Musanyuke Omugole. Tuli mu kufuuka Omu naYe. Buli lunaku, atuwa Okubikkulirwa okusingawo ku Ye ne ku Ffe. Tugenda tweyongera okutegeera Amaanyi ago Agawa Obulamu agali era agatuula munda mu ffe.
Tetusobola na kutandika kunnyonnyola ngeri gye tuwuliramu. Tubulidde munda mu Mwoyo We. Buli kirowoozo kyaffe aba Ye. Tewali kirala kikulu gye tuli. Tulaba Ekigambo kye nga kifuuka Ekigambo mu ffe. Kiriisa emmeeme yaffe. Tubeerawo buli lunaku okumusinza, okumutendereza, n’okumwebaza nti tusobola okuwulira Eddoboozi lye nga Lyogera gyetuli.
Nga bwe tusoma Ekitabo kyaffe eky’Emirembe gy’Ekkanisa, kumpi tetusobola na kukiwummuzaako wansi; emitima gyaffe gitulika. Buli lunaku luleeta Okubikkulirwa okusingawo. Twagala okubuuka ne tuleekaana, ne tudduka mu kisenge wonna nga tukuba enduulu nti: “Ekitiibwa, Aleluya, Mukama Yeebazibwe.” “Kino wakisomye?” “Nnakiyisaamu langi eramba emitwe gyange emikulu gyemba nsomye, naye sikisomangako, SIKIKOLANGAKO, kusima nga kuluno.” Atubikkulira Baibuli yonna okuva mu Olubereberye okutuuka mu Kubikkulirwa, era nneerabayo NAFFE FFENNA MU KIGAMBO KYE.
Tulaba Omugole oyo Omutuufu eyasigala n’Ekigambo okuyita mu mirembe gyonna era nga teyalimbibwalimbibwa bulimba bwa Sitaani obw’ekitalo. Sitaani yali ayagala okusinzibwa nga Katonda. Naye ebbanga eryo lyonna waaliwo omugole oyo OWA NNAMADDALA, ng’asigala nga mwesigwa eri Ekigambo kye. Akabinja ako akatono akalondebwa akaasigala n’omubaka We. Nga ffe, nabo tebaasobola, era tebandyekkiriranyizza. Baali bakimanyi nti waliwo ENGERI EMU YOKKA ey’okubeera abakakafu: okusigala n’Ekkubo Lye lyeyateekawo, Ekigambo kye, malayika we.
Nga abadde mulimba nnyo Sitaani, kaatandikira kubala budde. Yasala amagezi ge okuyita mu Mirembe gy’Ekkanisa egy’enjawulo okutuusa lw’atuuse ku biruubirirwa bye. Kati afuuse wa kulusegere nnyo n’OYO OMUTUUKIRIVU okutuusa nga asobola okulimba abalonde bennyini oba nga kisoboka….naye Katonda atenderezebwe, TEKISOBOKA, TETULIMBIBWA. Lwaki? TWASIGALA N’EDDOBOZI LYA KATONDA, EKIGAMBO KYE EKIFUUSE OMUBIRI.
Tewali ngeri yonna ya kukyebalamamu. Eddoboozi lya Katonda lye Kkubo lye lyeYateekawo kulw’olwaleero. Tusigadde tukola emirimu gye n’obwesigwa okutuusa ku nkomerero. Tuweereddwa obuyinza ku mawanga, era tuli bafuzi ba maanyi, ab’obusobozi, abatakyusa mulamwa gwabwe abasobola okugumira embeera yonna n’amaanyi amangi ennyo. N’omulabe waffe asinga obumalirivu ayongobedde. Engeri gyetwolesaamu obusobozi bwaffe okufuga, olw’Amaanyi ge, efaananidde ddala nga ey’Omwana We yennyini.
Oh, nga twagala nnyo okulaga mu bigambo engeri gye tuwuliramu. Olunaku lumu tujja kusobola okukitegeeza, mikwano gyange. Tujja kumala Obutaggwawo ne Mukama waffe, malayika we, era ne bannaffe.
Nga omukyala w’olususu lwa langi enkwafu e Memphis, twamanya nti ye Ye bwe twamuwulira. Lwaki? Oh, tuli OMU KU BBO.
Wandyagadde Omwoyo Omutukuvu okwogera naawe era akubuulire ky’oli? Jjangu weewulirireko ku kubeerawo kwa Mukama wamu naffe, Ssande ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa 1:00 ey’akawungeezi e Uganda), nga bwe tuwulira: Omulembe Gw’Ekkanisa Ya Suwatira 60-1208. Kijja kukyusa obulamu bwo.
Waliwo EDDOBOZI LYA KATONDA LIMU era teryetaagisa kukakasibwa nga biri OMWENDA, wadde okusengejjebwa nga buli obw’emirundu ETAANO; WABULA EDDOBOOZI LIMU LYOKKA EDDONGOOFU ERY’EKIGAMBO!!
Tusobola okuwuliriza abaweereza abalala? Weewawo, naye eky’ekyenkizo kwe kwogera ekyo KYOKKA ekyayogerwa nnabbi. Abalala basobola, era basaanye, okubuulirira, okuyigiriza n’okubuulira; naye Katonda atukoledde ekkubo leero mu ngeri ETEEFAANANYIZIBWAKO NA LUNAKU OLULALA LWONNA. Tusobola okuwulira kyennyini Katonda ky’Ayogera eri Ekkanisa.
Yatugamba nti tulina okwegendereza ennyo. YATUGAMBA, SSI NZE, nti bongerako wano, oba ne batoolako wali, era mu bbanga ttono obubaka buba tebukyali bulongoofu. Nga owuliriza entambi, Kigambo ku kigambo, aba Bwatyo Bw’Ayogera Mukama.
Obukakafu bw’Omwoyo okuba nga Ali munda mu muntu kwe kukkiriza mu mutima nti nnabbi wa Katonda alina Obubaka bweyawa olw’omulembe guno, n’olangirira nti ge Mazima era n’OBUGOBERERA nga bweyasengeka ekkanisa.
Y’ensonga lwaki TUGOBERERA, ne tugamba nti, omusumba waffe ye mubaka malayika ow’omusanvu era twagala kuwulira ebyo byokka by’ategeeseeyo okwogera gyetuli. Eri ffe, Ye Maanu Enkusike.
Okubikkulirwa kwafukibwa ku mubaka malayika waffe. Ebbaluwa eyawandiikibwamu Okubikkulirwa kw’Ekigambo kulw’omulembe gwaffe yajja eriko linnya LYE. Alina Okubikkulirwa okunene-ko okwa kiki Kristo ky’ali; okuyitibwa okwa waggulu-ko, okusinga abalala bonna. Bwe kiba nti tetusobola kutambulira mu bulamu bwa waggulu kusinga ku musumba waffe, olwo kye tuba twetaaga ye William Marrion Branham okubeera omusumba waffe.
Tukimanyi nti abalala tebajja kulaba bye tulaba, newankubadde okukkiriza ebintu bye tukkiriza, naye basigala baganda baffe era bannyinaffe, era tujja kumala Obutaggwawo wamu nabo. Naye tulina okusigala nga tuli beesigwa eri ekyo kyetukkiriza nti ly’ekkubo Katonda ly’atulaze okumusinzaamu n’okumugoberera.
Kyangu nnyo abalala okugamba nti tuyitiriza nnyo omubaka, naye mu butuufu, tuli mu kunokola bunokozi kyeyagamba. Okwogerezaganya kw’ekyo olina kugenda wa Mukama. Kubanga Ddoboozi lya Katonda lye liri mu kwogera ebintu bino.
Ajja mu nsi mangu, malayika omukulu oyo ow’Ekitangaala agenda okujja gyetuli, alitukulembera okutufulumya, Omwoyo Omutukuvu omukulu, alijja mu maanyi, era ajja kututwala eri Mukama waffe Yesu Kristo. Oboolyawo tajja kukimanya naye ajja kuba wano ezimu ku nnaku zino. Ajja kuma…Katonda ajja kumumanyisa. Tajja kwetaaga kwemanyisa, Katonda y’Ajja okumumanyisa. Katonda ajja kukakasa oyo owuwe. Ekyo kyeYayogera nga Yesu ali wano era tebaaMumanya, laba. Yagamba nti, “Bwe sikola mirimu gya Kitange, olwo temukkiriza; naye bwe nkola emirimu gya Kitange, era nga temuyinza kunzikiriza, kale mukkirize emirimu egyo.” Ekyo kituufu ?
Tali mu kweyita malayika omukulu ow’Ekitangaala olw’olunaku luno? Tukimanyi nti Mwoyo Mutukuvu ali mu ye y’Ali mu kukikola, naye yagamba nti: Oboolyawo tajja kukimanya, naye ajja kuba wano ezimu ku nnaku zino. Omwoyo Omutukuvu tajja kumanya ky’Ali? Tajja kwetaaga na kwemanyisa ; Katonda Ajja kumumanyisa .
Kale ali mu kugamba nti, nnabbi ow’omulembe gwaffe ye malayika omukulu ow’Ekitangaala agenda okutukulembera okutufulumya n’okututwala eri Yesu Kristo olw’Omwoyo Omutukuvu oyo Ayita mu ye. Kukwo awo Okubikkulirwa okw’omulembe gwaffe.
Ani agenda okwanjula Omugole eri Mukama? OMUSUMBA WAFFE.
Naye nnabbi ono alijja, era ng’omulanzi w’okujja kwe okwasooka bwe yaleekaana nti, “Laba Omwana gw’endiga owa Katonda, aggyawo ekibi ky’ensi,” bw’atyo awatali kubuusabuusa naye bw’ajja okuleekaana nti, “Laba Omwana gw’endiga owa Katonda, ajja mu kitiibwa.” Kino ajja kukikola , kubanga era nga Yokaana bwe yali omubaka w’amazima eri abalonde, bw’atyo n’ono bw’ali omubaka asembayo eri abalonde n’ omugole eyazaalibwa Ekigambo.
Nga bwetumanya amazima gano, era nga tulina Okubikkulirwa kwe OKUJJUVU mu lunaku luno, tufuuse Omugole we eyazaalibwa Omwoyo, ajjudde Omwoyo.
SANYUKA OMUGOLE, KINO KYETULI!
Omusajja eyazaalibwa Omwoyo, ajjudde Omwoyo mu kukkiriza bw’atwala Ekigambo ekyo mu mutima gwe n’akiteeka ku mimwa gye, nga lwaki, ekyo kyenkanankana n’Obulamba bwa Katonda nga bwogera. Buli lusozi luba lulina okuseetuka. Sitaani tayinza kuyimirira mu maaso g’omusajja oyo.
Kati enkolagana eya nnamaddala w’eri wakati w’Omugole omusajja naffe, Omugole we omukazi. Atulaze Ekigambo kye eky’obulamu, era tukifunye. Tetujja kukibuusabuusa. N’olwekyo, tewali kiyinza kutukola bulabe, wadde okufa.
SANYUKA OMUGOLE, KINO KYETULI!
Ekigambo kiri mu mugole (nga bwe kyali mu Maliyamu). Omugole alina endowooza ya Kristo kubanga amanyi Omugole omusajja ky’ayagala kikolebwe n’Ekigambo. Akola ekiragiro ky’Ekigambo mu linnya lyE kubanga “Bw’ati bw’ayogera Mukama.” Olwo Ekigambo ne kizuukizibwa Omwoyo ne kituukirira. Ng’ensigo esimbibwa n’efukirirwa, etuuka ku makungula nga ekuze bulungi, ng’etuukiriza ekigendererwa kyayo.
Tutuuse mu makungula nga tukuze bulungi era kati tukola ekigendererwa Ye kyeYatutonza.
Tusobola kukola Kwagala kwe kwokka. Tewali ayinza kutuleetera kukola kirala. Tulina “Bw’ati Bw’ayogera Mukama,” oba tusigala cce. Tukimanyi nti Katonda y’Ali mu ffe, nga Akola emirimu gino, ng’Atuukiriza Ekigambo kye YE Mwene.
Tusanyuka, kubanga nnabbi yatulaba emitala w’olutimbe lw’ebiseera nga ffenna tuyimusa amaloboozi gaffe ne tuleekaanira wamu mu ddoboozi eriwoomu nti, “Tuwummulidde ku ekyo!”
Jjangu okuŋŋaanire wamu naffe , Ssande ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa 1:00 ey’akawungeezi e Uganda), nga tuwulira Eddoboozi Lya Katonda lituleetera ekyama kya: Omulembe Gw’Ekkanisa Ya Perugamo 60-1207.
Tuli nga abaana ba Isirayiri abaava e Misiri ne bayimirira mu okumala akabanga katono nga tebannatuuka mu nsi ensuubize. Ffenna tutambudde wamu. Ffenna tulabye ebyamagero bya Katonda bye bimu; bonna baalya emmaanu y’emu n’amazzi okuva mu Lwazi olwakubibwa. Ffenna tugambye nti tugoberera Empagi y’Omuliro. Naye BABIRI BOKKA be baatuuka mu Nsi Ensuubize mu kiseera ekyo. Lwaki? BABIRI BOKKA BE BAALI ABAKKIRIZA ABEESIGWA OBA ABANNAMADDALA. Njawulo ki eyaliwo wakati w’ekiseera ekyo ne kati? Abakkiriza abannamaddala baasigala n’Ekigambo.
Yesu yatusuubiza nti Ajja kuba abeera mu buli omu ku ffe. Yali wa kutukulembera, Atuluŋŋamye era Atulagirire ffe nga bassekinnoomu. Naye emyaka 72 egiyise leero, Katonda yayogera ng’ayita mu malayika we ow’amaanyi n’alangirira eri ensi nti, “Nze Ddoboozi lya Katonda gyemuli”. Yagamba buli kitonde ekiramu nti “Nze Omwoyo Omutukuvu nnina EDDOBOOZI lye ŋŋenda okukozesa okwogera nammwe n’okubikkula ebyama byange byonna”. Yali tafunangako mukisa Ddoboozi lye kukwatibwa ku lutambi ffe okusobola okuwulira Eddoboozi lye nga Lyogera naffe kamwa ku kutu.
Ng’owulira Eddoboozi lye ku ntambi tekijja kukwetaagisa kwewuunya, kusuubira, oba wadde okusaba nti by’owulira ge mazima. Omuntu ky’alina okukola KYOKKA kwe kunyiga Zannya, olwo n’asobola okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga lirangirira gy’ali nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama”.
Nga tulina okwegendereza ennyo mu kiseera kino eky’enkomerero okusigala n’Ekigambo ekyo. Okuva mu bigambo bya Paapa, eyeeyita Omutuukiriza w’obuvunaanyizibwa bwa Katonda yennyini, okutuuka okukyusaamu akatonnyeze kamu oba akasaze kamu mw’ebyo ebiba byogeddwa. Mu Maaso ga Katonda, KYONNA OKUTWALIZA AWAMU KIBA MULABE WA KIGAMBO, MULABE WA KRISTO.
Tetwagala kubeera ng’abantu abaaliwo mu kiseera kya Samwiri.
Bwe baatuukirira Samwiri ne basaba kabaka. Samwiri yatya nnyo olw’okuba yali amanyi obulabe obukirimu omutima gwe katono gumutyemuke. Katonda yali akulembeddenga abantu be ng’ayita mu nnabbi ono eyawongebwayo mu butukuvu, eyakakasibwa mu Byawandiikibwa, era n’awulira muli nti yali agaaniddwa…
Tusiima ebyamagero, amagezi, obugabirizi n’obukuumi bwa Katonda. Tukikkiririzaamu. Tukyagala nnyo. Era n’ekirala tetwagala kubeerawo nga tetubirina. Ensonga eri emu yokka nti twagala kabaka ow’okutukulembera mu lutalo…
Nga nneeyanzege nnyo okubeera nga nneegasse na buli omu kummwe, nga tuyingira mu Mwoyo era nga tuwuliriza Katonda ng’ayogera naffe, kamwa ku kutu. Tewali na yadde ekkomo ku ebyo by’atubikkulira. Emitima gyaffe gijjudde essanyu. Emyoyo gyaffe gibugaana essanyu. Omuntu ayinza atya okutegeera ebyo bye tuwulira?
Wuliriza buwuliriza Mukama yennyini by’atugamba, nti: “Ggwe Ekkanisa yange eya nnamaddala, Omugole Wange. Eri Nze, ogeraageranyizibwa ku zaabu OMULONGOOFU. Obutuukirivu bwo bwe butuukirivu bwange. Ebikula byo by’ebikula byange eby’ekitiibwa. Endagamuntu yo yennyini esangibwa mu Nze. Kye NDI, ky’ekiri mu kulabikira mu ggwe. KYE NINA, ggwe ky’oli mu kwolesa.
Eri NZE, temuli nsobi yonna mu ggwe, oli wa kitiibwa munda ne kungulu. Okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, ggwe mulimu gwange…era emirimu gyange gyonna gituukiridde.
Tojja kubeerayo mu kusalirwa omusango, kubanga ekibi tekiyinza kukubalirwako. Era nga n’ensi tennatondebwa, ekigendererwa kyange kyali kya kugabana na MWE Obulamu Bwange Obutaggwaawo.
Omuntu ayinza atya okukwata Ebigambo bino? Ebirowoozo byaffe biyinza bitya okutegeera ebigenda mu maaso? Kiki ekiri mu kubikkulirwa? Kirowoozeeko, tetwetaaga kukaaba mu mutima gwaffe ne tugamba nti, “Oo, ekyo kyandiba nga kyaliwo mu mulembe ogwasooka abatume we baasooka okusindikibwa.” TEWALI kitwetaagisa kutunula mabega, kubanga Ye, atakyuka wadde mu bukulu bwe oba mu makubo ge, ali mu masekkati gaffe KATI, ng’ayogera naffe era ng’atugamba nti aba bumu jjo, leero n’emirembe gyonna. Kino kye kiseera EKISINGA OBUKULU mu byafaayo by’ensi ky’oyinza okubeeramu.
Tukubibwa era ne tulongoosebwa, nga tujjudde okubonaabona Kristo kwe yaleka emabega. Tubalibwa ng’endiga ez’okuttibwa. Tuttibwa olunaku lwonna. Tubonaabona nnyo, naye mu byonna, tetwesasuza, era tetuleetera balala kubonaabona. Eri ye, tuli zaabu omulongoofu akubiddwa, tetuvunnamye, tetumenyese, tetuzikirizibbwa, wabula tufuuliddwa ekintu ekijjudde obulungi n’essanyu emirembe gyonna olw’ebigezo n’okugezesebwa kw’obulamu buno.
Kati alabula abalala bonna nti, “Muddeeyo ku kwagala kwammwe okwasooka”. Nga balina okwegendereza ennyo engeri gyekiri nti tosobola kukyusa KIGAMBO KIMU, wadde akatonnyeze oba akasittale.Ako ke kaali akakodyo ka Sitaani akasooka mu Lusuku Adeni. Kigambo kimu kyokka ky’ekigattibwako, olwo ne kifuuka mulabe w’Ekigambo.
Mu mulembe guno ogusembayo atulabula nti wajja kubaawo bannabbi ab’obulimba bangi abalirabika, nga bagamba abantu nti bwe batabakkiriza ne bye boogera , mujja kubula.
Waliwo ENGERI EMU YOKKA okukakasa nti TEWALI kyongeddwako, tewali kitooleddwako, tewali kikyusiddwa… nga tuwuliriza EDDOBOOZI LYA KATONDA erirongoofu…NYIGA ZANNYA.
Mukama yebazibwe olw’omuweereza owa nnamaddala, eyayigirizibwa n’obwesigwa, atakoma ku kubuulira obubuulizi endiga ze obukulu bw’okuwuliriza Obubaka buli lunaku mu maka gaabwe, naye nga babeera abakulembeze abatuufu, BASOOSA ERA BATEEKA KUMWANJO Obubaka Buno, Eddoboozi lino, Entambi Zino, mu maaso g’abantu mu kkanisa zaabwe.
Bwe njogera bino, bantegeera bubi ne banvunaana ogw’okwawulamu amasinzizo n’okugamba abantu obutagenda mu kkanisa. Ekyo mu njogera ennyangu si kituufu. EKIGAMBO ky’ekiri mu kuggya abantu mu makanisa gano agatali mu KUSOOSA ntambi mu masinzizo gaabwe. Abantu balumwa enjala okuwulira Ekigambo okuva eri Nabbi wa Katonda. Bawulira muli nti EKYO bwe Bubaka era Eddoboozi erisinga obukulu lye baagala okwegeka amatu. Bakiwulira muli nti okwo Kwe Kwagala kwa Katonda Okutuukiridde okuzannya entambi mu kkanisa yaabwe.
Okwo kwe KUBIKKULIRWA kwange. Balina okukola nga BWEBAWULIRA NTI BWEBAKULEMBEDDWA OKUKOLA. Nnina eddembe okubuulira n’okuyigiriza kye mpulira. Bwe baba baagala okugamba nti Ow’oluganda Branham tagambangako Kunyiga Zannya mu Kkanisa, Eddoboozi lya Katonda lyennyini lye bagamba nti bagoberera, ekyo kiri gye bali.
Omwoyo Omutukuvu ali mu kukulembera, era bulijjo abaddenga, Akulembera Omugole we. Tukkiriza nti atugamba nti, “MUNYIGE ZANNYA, MUSIGALE NE NABBI WANGE, EDDOBOOZI LYANGE, OMWOYO WANGE OMUTUKUVU.”
Kale, tujja kubaayo n’omwoleso ku kyo, kw’olwo, nga Eriya nnabbi nga kino tekinnatuuka. Era bw’oba omwana wa Katonda, ojja kusigala ne nnabbi wa Baibuli eno. Kye Kigambo. Weetegereze essaawa, entuuko.
Nnabbi wa Baibuli y’ani, Ekigambo, Omwoyo Omutukuvu!
Omwoyo Omutukuvu ye Nabbi w’essaawa eno; Ali mu kukakasa Ekigambo kye, ng’akiraga nti kituufu. Omwoyo Omutukuvu ye yali Nabbi w’omu ssaawa ya Musa . Omwoyo Omutukuvu ye yali Nabbi w’omu ssaawa ya Mikaaya. Omwoyo Omutukuvu eyawandiika Ekigambo, ajja n’akakasa Ekigambo.
Omwoyo Omutukuvu ow’essaawa eno atukulembera nga Akozesa nnabbi we, nga bw’akozenga mu buli mulembe. Katonda takyusa nteekanteeka ye.
N’olwekyo, muyitibwa okujja okutwegattako mu kye tuwulira nti y’enteekateeka ya Katonda nga tuwuliriza Omwoyo Omutukuvu ng’ayogera ng’ayita mu nnabbi we, era nga Akutukulembera nga bw’atuleetera Obubaka: Omulembe Gw’Ekkanisa ya Efeso 60-1205 , ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa 1:00 ey’akawungeezi e Uganda).
Obulamu bwe bubumbujja omuliro n’Omwoyo Omutukuvu. Olutambi lwe olusika amafuta (obulamu bwe) bunnyikiddwa mu Kristo. Okuyita mu lutambi olwo asika obulamu bwa Kristo bwennyini, era nga akozesa obwo, afulumya ekitangaala gye tuli, Omugole.
Awo n’Atugamba nti olutambi lw’omubaka We ow’amaanyi si lwelulimu lwokka, wabula ffenna tusaka ku nsibuko y’emu. Ffenna tunnyikiddwa mu kibya kyekimu. Tufudde mu mibiri gyaffe era obulamu bwaffe bukwekeddwa ne Kristo mu Katonda, nga busibiddwako akabonero Omwoyo Omutukuvu.
Tewali muntu ayinza kutusiguukulula mu ngalo ze. Obulamu bwaffe tebusobola kukwatibwako. Obulamu obulabika butwakiramu omuliro era bumulisiza mu ffe ekitangaala, nga buwa ekitangaala n’okwolesebwa kw’Omwoyo Omutukuvu. Obulamu bwaffe obw’omunda, obutalabika bukwekeddwa mu Katonda era buliisibwa Ekigambo kya Mukama . Tulina Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo mu lunaku lwaffe.
Engeri Ekigambo gye kiriisa emmeeme yaffe. Tewali kintu kyonna kikifaanana. Engeri gy’ataddewo ekkubo Omugole, okuva mu nsi yonna, gy’ayinza okukuŋŋaana okuwulira Eddoboozi lya Katonda mu kiseera kye kimu. Abavumirira oba ababuusabuusa ne bwe boogera ki, Katonda akoze ekkubo era kawoowo akawoomu gy’ali. Yaakamala okutugamba nti Ajja kutugatta ffenna wamu ku nkomerero y’olunaku olw’okusatu. Ekitiibwa!!
Ffenna tujje wamu ku Ssande eno ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa 1:00 ey’akawungeezi e Uganda), okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga kituleetera Okubikkulirwa kw’Ekigambo nga bwe tuwulira: Okwolesebwa okw’e Patumo 60-1204E .
Okusooka, tulina OKUYINGIRA MU MWOYO nga bwe tugenda okuwulira;
Eddoboozi eryafulumya Ekigambo kye mu Lusuku Adeni ne ku lusozi Sinaayi, eddoboozi eryo era nga ly’eryawulirwa mu kitiibwa ekisukkiridde eky’Olusozi olw’Okukyusibwa, lyali lizzeemu okuwulikika, era ku mulundi guno eri amakanisa omusanvu n’okubikkulirwa kwa Yesu Kristo okujjuvu era okw’enkomeredde.
Owol. Joseph Branham
Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga weetegekera okuwulira Obubaka.
Nga jubileewo nnyo Omuti gw’Omugole gyegulina. Emitima gyaffe n’emmeeme zaffe zitutyemuka munda yaffe nga bwe kitabangawo. Atambula era ayogera naffe, nga abikkula Ekigambo kye. Ebintu bigenda mu maaso mangu nnyo kumpi tetusobola kwekuumira ku bwangu bwebituukirirako.
Tuwulira Ekigambo kya Katonda ekituukiridde nga kyoleseddwa Omuti gwa Nabbi ogutuukiridde, nga gubuulira Ekigambo kya Nabbi ekituukiridde, nga guvaamu ekibala kya Nabbi ekituukiridde, olw’Ekigambo kya Katonda ekituukiridde.
Buli kintu ekyasaanyizibwawo era ekyaliibwa ababaka abana ab’okufa abatta Omuti guno, kati kizzeemu okuzzibwawo nate okuyita mu babaka bana ab’Obulamu. Si babaka BATAANO, si babaka ab’emirundi etaano, si kibinja; Ababaka BANA bazzeemu okuzzaawo Omuti gw’Omugole.
Okuva ku ntandikwa y’ebiseera, Katonda alindiridde olunaku luno n’ekiseera kino okutuukirira asobole okulaba ebibala bye, mu kiseera kye, olw’entuuko za nnabbi. Ffe Kibala ekyo. Zino z’entuuko. Ekiseera ky’amakungula kituuse.
Wiikendi eno eya Paasika yabadde yanjawulo ku Paasika endala zonna omuntu yenna zeyali abaddeko. Tetuliddamu kuba kyekimu. Okubeerawo kwa Mukama ng’okwo. Nabadde nnindiridde Okukwakkulibwa okubaawo akatikitiki konna.
Mu Baibuli, Dawudi yayogera Ebigambo bino: Bampummudde engalo zange n’ebigere byange. Nnyinza okubala amagumba gange gonna; Bantunuulira, banvulumulira amaaso.
Abantu baali basomye era nga bawulidde ekitundu ekyo okumala ebikumi n’ebikumi by’emyaka, naye Yesu bwe yali awanikiddwa awo mu maaso gaabwe ku musaalaba, Omugole ateekwa okuba nga yamutunuulira n’ategeera nti, Olunaku luno, Ekyawandiikibwa Kino Kituukiridde mu maaso gaffe gennyini.
Kye bateekwa okuba nga baawulira bwe baategeera nti baali balaba, n’amaaso gaabwe, Ekyawandiikibwa ekyo nga kituukirizibwa, era nga bali kitundu ku Kigambo ekiwandiike.
Abo ye ffe KATI. Tubeera mu nnaku Ebyawandiikibwa byonna ebisembayo mwe bituukirizibwa mu maaso gaffe; era tuli kitundu ku Byawandiikibwa ebyo.
Atambulira ddala wakati mu ffe. Kwe kuggwaako kw’olunaku olw’okusatu . Alabiseeko n’atulaga akabonero k’okuzuukira kwe. Ye y’omu jjo, leero, n’emirembe gyonna. Ffe bibala ebiramu eby’Okubeerawo kwe. Ayoleseddwa era alabika gye tuli ffenna, Ekkanisa ye.
AKIKOLA ATYA?
Nabbi aggyiddwa mu nsi eno, naye Omwoyo Omutukuvu ali ku ntambi , era agenda mu mawanga n’okwetooloola ensi yonna. BWE BUWEEREZA OBUWEEREZEBWA KU MPEWO OBUTEEREEVU OBWA MUKAMA YESU KRISTO. Ali mu kugatta Omugole We yenna wamu nga Akozesa ekintu kyokka ekiyinza okukikola, era ekijja okukikola: Ekigambo kye. Eddoboozi lye. OKUNYIGA ZANNYA!
Leero, Ekyawandiikibwa Kino, Kituukiridde.
Ye Muti gw’Omugole Omusajja okuva mu Lusuku Adeni. Naye Omuti gw’Omugole Omusajja ogutaliiko Mukazi, teguyinza kubala bibala; Alina okuba n’Omuti gw’Omugole Omukazi. Oyo ye GGWE. Wazaalibwa ne matiiriyo y’omu. Ekigambo kifuuliddwa omubiri mu mmwe. Obulamu bwe bumu obuli mu Mugole Omusajja kati buli mu GGWE.
Ensonga lwaki tuba n’obudde buno obw’enjawulo eri nti tusobolenga oku… Ku mutima gwange Omwoyo Omutukuvu yali antaddeko okulabula kuno okw’ okulumirizibwa, nti, “Ekkanisa mu lunaku luno erina okuba n’Obubaka buno.” Kubanga, nzikiriza nti bwe Bubaka bwa Baibuli obusinga okuba obukukunavu, kubanga bubikkula Kristo mu Kkanisa ye mu kiseera kino.
Bwe kityo, Omugole agenda kukuŋŋaana ku Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa 1:00 ey’akawungeezi e Uganda), nga bwe tuwulira: Okubikkulirwa Kwa Yesu Kristo 60-1204M.
Njagala okukukubiriza okuwulira, oba okusoma, buli wiiki okuva mu Kitabo ky’Emirembe gy’Ekkanisa, essuula gye tuba tuwulidde buli Ssande. Tujja kuba tuteeka Eddoboozi ly’Olungereza ku Lifeline – Voice Radio buli lunaku mu biseera eby’enjawulo, naye wulira eddembe okulisoma, okuwuliriza n’okulisoma wiiki yonna essaawa yonna.
Leka tusanyuke era tubeere basanyufu. Tossa mwoyo ku nsi eno n’ekibi n’okuggwaamu essuubi byonna ebitwetoolodde. Leka tujaguze kulwa byonna by’atukolera buli lunaku.
Mu biseera bya Musa, nkakasa abantu baakanya kubuuzanga Musa nti,
“Tuva ddi mu kifo kino? Tuva ddi wano?”
Mpulira Musa ng’akkakkanya abantu n’agamba nti:
“Katonda bw’anaaba nga mwetegefu. Naye kati, munyumirwe byonna by’abakolera MMWE”.
Okuyita mu mwaka gwonna, nneesunga wiikendi lwe nsobola okusibira ddala ensi yonna wabweru, ne njijako ebyuma byange byonna, ne nsaba olunaku lwonna, ne mpulira Eddoboozi lye nga lyogera n’omutima gwange, ne mba n’Okussa ekimu naye, era ne mpongayo obulamu bwange mu bulamba bupya eri Obuweereza bwe. BULI LUNAKU lulina okuba lunaku lwa Paasika gye tuli, wabula wiikendi eno kikujjuko kya njawulo nnyo, ekitukuvu; ekiseera ekizziddwa ku bbali Omugole mw’ajjira awamu Okusinza. KINCAMUSIZZA NNYO bannange. Siyinza kulinda kweggalira munda ne Katonda mu kifo eky’ekyama, eyo mu Mwoyo, nga ndaba Obwenyi bwe; nga neeggasse ku Omugole wa Kristo okwetoloola ensi yonna, nga tutudde mu bifo eby’omu Ggulu. Erinnya lya Mukama waffe Lyebazibwe! Mazima ddala erina okubeera wiikendi esinga okwesungibwa era entukuvu mu bulamu bwaffe.
Oh, ka tukomeko wano nate, eddakiika endala emu yokka. “Mu bifo eby’omu Ggulu.” Kati, si kubeera bubeezi awantu wonna ebweru, wabula mu bifo eby’omu Ggulu. Tukuŋŋaanyiziddwa mu “by’omu Ggulu,” kitegeeza nti ekifo ky’omukkiriza. Nti, bwe mba nsabye ne necca, ggwe n’osaba ne wecca, oba ekkanisa n’saba ne yecca, era twetegekedde Obubaka, era nga tukuŋŋaanyidde wamu ng’abatukuvu, abaayitibwayo, ababatiziddwa n’Omwoyo Omutukuvu, nga tujjudde emikisa gya Katonda, nga twayitibwa, twalondebwa, nga tutudde wamu mu bifo eby’omu Ggulu kati, tuli bitonde bya mu Ggulu mu myoyo gyaffe. Emyoyo gyaffe gituyingizza mu mbeera ey’omu Ggulu. Oh, ow’oluganda! Kikyo awo, embeera ey’omu Ggulu! Oh, kiki ekiyinza okubaawo ekiro kya leero, kiki ekiyinza okubaawo ekiro kya leero singa tubeera tutudde wano mu mbeera ey’omu Ggulu, n’Omwoyo Omutukuvu ng’atambulira ku buli mutima oguzziddwa obuggya ne gufuulibwa ekitonde ekiggya mu Kristo Yesu? Ebibi byonna nga biri wansi w’Omusaayi, mu kusinza okutuukiridde, nga emikono gyaffe tugiwanise eri Katonda n’emitima gyaffe nga giyimusiddwa, nga tutudde mu bifo eby’omu Ggulu mu Kristo Yesu, nga tusinziza wamu mu bifo eby’omu Ggulu.
Wali otuddeko eyo? Oh, ntuddeko eyo okutuusa lwe nkaaba olw’essanyu ne ŋŋamba nti, “Katonda, tondeka kuva wano.” Ebifo eby’omu Ggulu mu Kristo Yesu, kyokka!
Nga Atuwa mikisa ki? Okuwonyezebwa okw’obwakatonda, okumanya ebintu nga tebinnatuukawo, okubikkulirwa, okwolesebwa, amaanyi, ennimi, okutaputa, amagezi, okumanya, emikisa gyonna egy’omu Ggulu, n’essanyu eritoogerekeka erijjudde Ekitiibwa, buli mutima nga gujjudde Omwoyo, nga tutambulira wamu, nga tutudde wamu mu bifo eby’omu Ggulu, mpaawo kirowoozo na kimu eikibi mu ffe, mpaawo sigala n’omu akommonteddwa, mpaawo lugoye lumu olumpi, mpaawo kino na kimu, kiri oba ekirala, mpaawo kirowoozo kimu ekibi, mpaawo alina nsonga ku munne, buli omu ng’ayogerera mu kwagala n’okukwatagana, buli muntu ng’alina endowooza emu mu kifo kimu , “olwo Amangu ago okuwuuma ne kuba mu ggulu ng’empewo ewuuma n’amaanyi.” Kikyo awo, “eyatuwa buli mukisa gwonna ogw’Omwoyo.”
Mukama waffe Yesu kkiriza okusinza kwaffe kwetunaakuwa ku wiikendi eno eya Paasika. Leka tuyingire mu bifo eby’omu Ggulu mu Kristo Yesu; tuwaguze tuyingire Awatukuvu w’Awatukuvu. Awatali kirowoozo kibi na kimu, awatali kituwugulaza na kimu, wabula mu ndowooza emu, mu Kifo kimu; olwo leka wabeerewo eddoboozi okuva mu Ggulu lijje ng’empewo ey’amaanyi efuuwa ng’eyingira mu buli maka gaffe. “Jjangu Mukama Yesu”, tuli beetegefu okukulaba maaso ku maaso.
Kubanga Omugole akomezeddwawo okuyita mu Bubaka bw’Ekitangaala eky’akawungeezi obw’omulembe gwaffe; okuyita mu Bubaka bwa Malaki 4. Tukwebaza Mukama olw’okwolesebwa kwa Kristo mu bujjuvu mu Kkanisa ye, si ekkanisa eyazimbibwa n’emikono, wabula okwolesebwa kwa Kristo mu bujjuvu nga kwolesebwa mu muntu, nnabbi wo, okuyita mu bubonero obunene n’ebyewuunyo, era azzeemu okubikkula Ekigambo kya Katonda kyonna. Era kati Kibeera mu Mugole Wo okwetoloola ensi yonna. Mwebale olw’okutuleka ne tuba abalamu okulaba Ekitangaala kino ekinene eky’akawungeezi, okusinziira ku bunnabbi.
Era Ekitangaala eky’ akawungeezi kiviirayo ki? Ekitangaala eky’akawungeezi kya ki? Kya kuzzaawo. Whew! Okifuna? [Ekibiina kigamba nti, “Amiina.”—Ed.] Ekitangaala eky’akawungeezi kirina ekigendererwa kye kimu nga Ekitangaala eky’oku makya kye kyalina, okuzzaawo ebyo ebyasalibwako Emirembe egy’Ekizikiza, okuyita mu Rooma. Katonda agenda kuzzaawo, ng’Ayasa Ekitangaala eky’akawungeezi (kiki?), okuzzaawo Ekigambo kya Katonda kyonna nate, okwolesebwa kwa Kristo mu bujjuvu mu Kkanisa ye. Buli kintu kye yakola, mu ngeri yennyini ddala bwe yakola, kiriba kityo nate mu Kitangaala eky’akawungeezi. Mulaba kye ntegeeza? Oh, ekyo si kya kitalo? [“Amiina.”] Era okumanya tubeera wano wennyini okukiraba kati, Ekitangaala eky’akawungeezi, ddala okusinziira ku bunnabbi.
Omugole omutuufu takoma ku Kujjibwako musango, newankubadde nga akimanyi nti ebibi bye biri nga by’atakolanga nako; Takoma ku Kutukuzibwa, newankubadde nga Alongooseddwa n’ateekebwa ku bbali okuweereza; Takoma ku Pentekooti, wadde nga Afunye okubatizibwa kw’Omwoyo Omutukuvu; naye Agendera ddala okutuuka ku KIGAMBO KY’OLUNNAKU LWAFFE: Malaki 4, Ekigambo kyennyini nga kifuuse omubiri nate mu muntu. Ekyo, “Nja kuzzaawo bw’ayogera Mukama,” ekijja okuleetera Omugole Okukkiriza Okw’Okukwakkulibwa. Era Ekigambo ekyo ekyoleseddwa, engeri yokka gyekijjamu, kisobola okujja nga tuwulira Entambi, Erinnya lye ery’ekitalo lyebazibwe.
Omu ku bo, Martin Luther, atandika okumulisa Ekitangaala. Waaliwo Ekitangaala ekitono, amaanyi matono nnyo gokka, ag’okujjibwako omusango.
Awo ne wajja Wesley, n’amaanyi agasingako, okutukuzibwa.
Oluvannyuma lwa Wesley, ne wajja amusinga amaanyi, Pentekooti, okubatizibwa kw’Omwoyo Omutukuvu, mu nnabbi omulala omukulu. Mukiraba?
Naye mu nnaku ez’enkomerero, eza Malaki 4, Eriya wa kujja n’Ekigambo kyennyini. “Ekigambo kya Mukama kyajja eri nnabbi.” Mu Byaka eby’akawungeezi, wa kuvaayo, okuzzaawo n’okukomyawo. Kiki? “Okukyusa emitima gy’abaana eri Okukkiriza kwa Katonda.” Ekitangaala eky’okuna!
Mujje mukuŋŋaane okwetooloola Ekigambo, mu maka gammwe, mu wiikendi ya Paasika eno era leka tusinze Mukama. Mujjeeko amasimu gammwe okuggyako okukuba ebifaananyi, okuwulira Okunokola Kw’olunaku, n’okuzannya entambi okuva mu apu ya Table, apu ya Lifeline, oba omukutu gw’okuwanulayo olutambi.
Njagala ffenna twegatte kulw’enteekateeka eno wammanga:
OLUNAKU OLW’OKUNA
Lwali Lwakuna ekiro Mukama waffe Yesu n’alya ekyeggulo ekyasembayo n’abayigirizwa be, ng’ajjukira embaga ey’Okuyitako nga okuva kw’abaana ba Isirayiri tekunnatandika. Nga mukisa gwe tulina okussa ekimu ne Mukama mu maka gaffe, nga wiikendi yaffe entukuvu tennabaawo, era tumusabe atusonyiwe ebibi byaffe, era atuwe byonna bye twetaaga mu lugendo lwaffe.
Katonda, kebera emitima gyaffe kati. Omusaayi kweguli, Mukama? Bwe kiba nga si bwe kiri, tusaba ekyo — nti Ojja kuguteekako kati kati, nga okuggyawo ebibi byaffe n’obibikka, era bijja kwawukanyizibwa naffe, Mukama, ebibi by’ensi eno, tusobole okuba abatukuvu era abayanjulika eri Kitaffe kati nga bwe tujja okutwala — omubiri n’Omusaayi ogwayiika ogw’Omwana gw’endiga gwaffe, Omwana wa Katonda, Omulokozi waffe.
Ffenna tutandike ku ssaawa 12:00 (kkumi na bbiri) mu budde bw’omu kitundu kyammwe, era tuwulire Okussa Ekimu 57-0418.
Ekinadda ku Bubaka, tujja kukuŋŋaana n’ab’enju zaffe mu maka gaffe tulye ekyeggulo kya Mukama.
Mu bbanga ttono tujja kuba n’akayungiro k’okuwanula olutambi n’olukuŋŋaana lw’Okussa Ekimu byombi, oba, bijja kubeera ku Voice Radio.
OLUNAKU OLW’OKUTAANO
Leka tugende mu kusaba n’amaka gaffe ku ssaawa 3:00 (ssatu) ez’oku makya, n’oluvannyuma nate ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omu ttuntu, nga tuyita Mukama abeere naffe era ajjuze amaka gaffe n’Omwoyo Omutukuvu nga bwe twewaayo gy’ali.
Leka ebirowoozo byaffe biddeyo ku lunaku olwo e Kalvario, emyaka egisukka mu 2000 egiyise, tulabe Omulokozi waffe ng’alengejjera ku musaalaba, era olwo tweweeyo naffe mu ngeri y’emu okukola bulijjo ekyo ekisanyusa Kitaffe:
Kati tukizuula nti kyamwoleka bulungi. Omubumbi kati yalina Ekigambo nga kyoyoleseddwa mu Mulimu gwe ogw’ekikugu nate, ogwayitibwa Omwana we, Katonda, Emmanuel. Lowooza bulowooza, nti Omuntu ne yeewaayo nnyo okutuusa Katonda lwe yeeragira munda mu ye, mu mubiri ogwo, n’afuuka, Ye ne Katonda ne bafuuka Omu. “Nze ne Kitange tuli Omu. Kitange abeera mu Nze. Nkola ekyo ekisanyusa Kitange bulijjo.”
Watya singa Omukristaayo leero asobola okuba n’obujulizi obw’engeri eyo? Wandibadde mulimu gwa kikugu wano wennyini mu Yuma, ku luguudo. Bw’oba oli mukyala mwozi wa ngoye ebweru eyo emabega w’eyo gyebooleza engoye, osigala oli mulimu ogw’ekikugu eri Katonda, ng’ate osobola okugamba nti, “Nkola ekyo bulijjo ekisanyusa Katonda,” era ensi yonna esobola okulaba —omulimu gwa Yesu Kristo nga gwolesebwa mu ggwe.
Olwo ku ssaawa 6:30 (mukaaga kitundu) ez’omu ttuntu, leka twegatte wamu mu maka gaffe okuwulira, Okutuukirizibwa 57-0419.
Olwo tuddemu twegattire wamu mu kusaba ku ssaawa 9:00 (mwenda) ez’ekawungeezi nga tujjukira okukomererwa kwa Mukama waffe.
OLUNAKU OL’WOMUKAAGA
Tuddemu ffenna twegatte mu kusaba ku ssaawa 3:00 (ssatu) ez’oku makya, ne 6:00 (mukaaga) ez’omu ttuntu, era tutegeke emitima gyaffe olw’ebikulu by’anaatukolera wakati mu ffe,
Nga luno lugenda kuba lunaku lwa bbaluwa Myufu eri Omugole We okwetoloola ensi yonna.
Olwo tuddemu twegattire wamu mu kusaba ku ssaawa 9:00 (mwenda) ez’akawungeezi nga tujjukira okukomererwa kwa Mukama waffe.
SANDE
Nga lunaku olutuukiridde olw’okuwuliriramu n’okulya ku Kuzzibwawo Kw’Omuti Gw’Omugole. Ka tusooke tuzuukuke nga bukyali nga Ow’oluganda Branham bwe yakola ku makya mukwano gwe omuto, kaamukuukulu bwe yamuzuukusa ku ssaawa 11:00 (kkumi n’emu) ez’oku makya. Ka twebaze Mukama olw’okuzuukiza Yesu mu bafu:
Ssaawa kkumi n’emu enkya ya leero, mukwano gwange omuto alina ekifuba emmyuufu yabuuse n’agwa waggulu ku ddirisa n’anzuukusa. Kyalabise ng’omutima gwe omutono ogwagala okwabika, nga gugamba nti, “Azuukidde.”
Ku ssaawa 3:00 (ssatu) ez’oku makya tuddemu okwegattira ku lujegere lwaffe olw’okusaba, nga tusabiragana n’okwetegekera okuwulira Eddoboozi lya Katonda.
Oluvannyuma lw’olukuŋŋaana luno, leka tuddemu okwegatta mu kusaba, nga tumwebaza olwa WIIKENDI EY’ENJAWULO GY’ATUWADDE OKUBEERA NAYE WAMU N’OMUGOLE WE MU NSI YONNA.
Eri baganda bange ne bannyinaze emitala w’amayanja, ng’omwaka oguwedde, nnandyagadde okubayita okwegatta naffe ku mikolo gino mu budde bw’e Jeffersonville, olw’ebiseera byonna eby’okusabiramu ku nnyanjulabudde eno n’olw’olutambi olw’okuzannyibwa ku Ssande ku makya. Wabula nkitegeera nti okuzannya Entambi ku Lwokuna, Olwokutaano, n’Olwomukaaga akawungeezi mu budde bw’e Jeffersonville kiyinza okubabeerera ekizibu nnyo abasinga obungi ku mmwe, kale nsaba mubeere ba ddembe okuzannya Obubaka obwo mu kiseera kyonna eky’olunaku ekibanyumira. Wabula, ate, nandyagadde ffenna twegattire wamu ku Ssande ku ssaawa 6:30 (mukaaga kitundu) ez’omu ttuntu, mu budde bw’e Jeffersonville, okuwulira Obubaka bwaffe obwa Ssande nga tuli wamu.
Era njagala okubayita n’abaana bammwe okubeera ekitundu ku mpapula z’okukola eza Creations n’okusomesebwa, n’ebibuuzo bya YF, amaka go gonna bye gasobola okunyumirwa awamu. Tulowooza nti mujja kubyagala anti byonna byesigamiziddwa ku KIGAMBO kye tugenda okuwulira wiikendi eno.
Ku lw’ennyanjulabudde ya wiikendi, okutegeezebwa ku ngeri y’okutegekamu olukuŋŋaana lw’Okussa Ekimu, ebintu ebigenda okwetaagibwa mu pulojekiti za Creations, Ebibuuzo bya Paasika (Quizzes), n’amawulire amalala, laba emikutu wammanga.
Kiba kitiibwa nnyo gyendi okukuyita ggwe n’ab’omu maka go okujja awamu n’Omugole okwetoloola ensi yonna ku wiikendi ejjudde OKUSINZA, OKUTENDEREZA N’OKUWONYEZEBWA. Nzikiriza nti ddala enaaba wiikendi ejja okukyusa obulamu bwo emirembe gyonna.
Ow’oluganda Joseph Branham
Empeereza Audio
Wansi waliwo okubuulira kwa wiikendi ya Paasika. Empeereza y’Ekijjulo/Okwoza Ebigere ku Lwokuna y’emu ku nkola y’okuwanula.