Obubaka: 63-1229E Tunula Eri Yesu
Category Archives: Uncategorized
22-0717 Waliwo Omusajja Wano Asobola Okussaako Ekitangaala
Obubaka: 63-1229M Waliwo Omusajja Wano Asobola Okuteekako Ekitangaala
- 24-0204 Waliwo Omusajja Wano Asobola Okuteekako Ekitangaala
- 22-0717 Waliwo Omusajja Wano Asobola Okussaako Ekitangaala
- 20-0524 Waliwo Omusajja Wano Asobola Okuteekako Ekitangaala
- 18-0318 Waliwo Omusajja Wano Asobola Okuteekako Ekitangaala
Ekifaananyi Kya Yesu Kristo Abaagalwa,
Nga akalenzi akatono akaatunula mu ndabirwamu ne katategeera nti keetunuulidde, kati tutunudde mu Ndabirwamu ya Katonda, Ekigambo kye, era nga tukizuula nti, TAATA, OYO YENZE, nze kifaananyi ky’Ekigambo kyo. Nze Kigambo Kyo nga kyayolesebbwa. Ndi mukkiriza, Nze Mugole Wo!
Buli Bubaka bwe tuwulira busitula Okukkiriza kwaffe okutuuka ku ddaala eppya. Yatugamba nti tulina okuja mu kimu ku bibinja ebisatu: Abakkiriza, abeefuula abakkiriza oba abatakkiriza. Nga bwe tutunudde mu ndabirwamu Ye twaleekaana nti, “Ndaba, awatali lufu lwa kubuusabuusa, tuli Bakkiriza. Kubanga Omukkiriza yekka y’ajja okukkiriza buli nnukuta na buli katonnyeze; TAATA, OYO NZE.”
Tewali kiyinza kutumatiza n’okutuwa Obulamu wabula Ekigambo kya Katonda ekyogere ku lutambi. Y’engeri yokka Obulamu gye buyinza okujja, okuyita mu Kigambo kye ekyogere, Eddoboozi lya Katonda kulw’olunaku lwaffe.
Weetegeke, waliwo ebirala ebigenda okujja ku Ssande eno, Omwezi Gw’omusanvu nga 17, 2022. Wano waliwo omusajja asobola okussaako Ekitangaala, era bw’Anaakikola, ffenna tugenda kuba n’okulumizibwa emimiro lwa kuleekaana n’okukuba enduulu za Amiina, Aleluuya , Erinnya Lya Mukama Lyebazibwe, Ekitiibwa Kibe Eri Katonda, kubanga Katonda yennyini Ajja kuba ayogera naffe butereevu era abikkule ebisingawo ku Kigambo kye.
Nga enjuba y’emu yennyini, eyaka leero, egenda kuba eyengeza empeke olw’amakungula mu Mwezi Gw’omusanvu. Laba kye ntegeeza? Naye ekitangaala kya leero tekijja kukola kalungi konna emabega eyo mu Mwezi Gw’omusanvu. Eba ekaluba okusingako. Eŋŋaano eba yeeyongedde okukula; eba nneetegefu okuKitwala. Amiina. Mazima ddala bwe kiri.
Amakungula gengedde! Tweyongedde okukula era tuli beetegefu nnyo okukitwala. Yesu alina emmeeza ennyanjuluze, abatukuvu ba Katonda webaliisibwa Emmere eyengedde ey’olunaku. Ekitangaala ky’Enjiri nga kiraga obutuufu era nga kikakasa nti ali wano leero naffe. Abatukuvu balya Emmere ey’omwoyo eyaterekebwa, nga beetegekera Okukwakkulibwa.
Omusumba waffe, Omwoyo Omutukuvu ng’Ayogera okuyita mu nnabbi we eyakakasibwa, bw’anyiga swiiki eyo n’assaako ekitangaala ky’Okubikkulirwa, Ajja kutubuulira ky’Ali kyennyini mu kiseera kyaffe. Ajja kuleekaanira waggulu Atulabule nti, .
Kansuubire nti toli mu tulo.
Nuuwa ye yali Omusana mu kiseera kye. Musa ye yali Omusana gw’essaawa ye, kati nkutumidde nnabbi ow’amaanyi mu kiseera kyo era njolesa Ekigambo kyange kye nasuubiza nga mpita mu ye. Ye Kigambo kya Katonda nga kyolesebbwa mu kiseera kyo. Ye Musana gwa leero.
Bwe nnali wano ku nsi mu mubiri omulundi oguwedde, nakwata emigaati gya sayiri etaano nnakabala ne ntandika okugimenyamu. Okuva mu egyo gyennyini, nakola emigaati ne giliisa enkumi ttaano.
Olwo ne nfuna ebyennyanja, era okuva mu byennyanja ebyo, ne nkola ebyennyanja ebirala n’ebyennyanja ebirala, ne biliisa enkumi ttaano.
Naye mu kiseera kyo, nnali sirina kintu kyonna. Nnayogera bwogezi ne ŋŋamba nti, “Yogera kijja kubaawo,” era nekibaawo, nga tewali kintu kyonna mwekivudde. Ssaalina kaamuje; tewaaliwo n’akamu. Namala gagamba nti, “Leka wabeewo,” era ne wabaawo. Ekigambo kyange tekisobya, era Kiteekwa okutuukirira.
Okufaananako abaana ba Isirayiri, bwe baali mu lugendo lwabwe, buli lunaku baali balya emmaanu empya. Baali batambulira mu Kitangaala ky’Empagi ey’Omuliro. Empagi eyo ey’Omuliro yali Yesu Kristo.
Leero ali naffe omulundi omulala, Empagi y’Omuliro y’emu, ng’akola ebintu bye bimu bye yakola bwe yali wano ku nsi ng’Atuukiriza Ekigambo kye.
Tukuyita okutwegattako ku Ssande ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda), nga omusumba waffe, Omwoyo Omutukuvu, Empagi y’Omuliro, Assaako ekitangaala kye eky’Okubikkulirwa, nga bwe tuwulira: 63-1229M “Waliwo Omusajja Wano Asobola Okussaako Ekitangaala”.
Owol. Joseph Branham
Olubereberye 1:3, Essuula 2
Zabbuli 22
Yoweeri 2:28
Isaaya 7:14, 9:6, 28:10, 42:1-7
Omut Matayo 4:12-17, Essuula 24 ne 28
Omut Makko Essuula 16
Okubikkulirwa Essuula 3
22-0710 Ebika Ebisatu Eby’Abakkiriza
Obubaka: 63-1124E Ebika Ebisatu Eby’Abakkiriza
- 24-0128 Ebika Ebisatu Eby’Abakkiriza
- 22-0710 Ebika Ebisatu Eby’Abakkiriza
- 17-0917 Ebika Ebisatu Eby’Abakkiriza
Omukkiriza Omwagalwa,
Kirowoozeeko, Katonda, eyakola ebintu byonna n’abitegeka, yakka n’afuuka omubiri mu masekkati gaffe, okutununula. Era awo n’Atussaamu nnyo ekitiibwa n’Okubeerawo kwe okw’ekitiibwa, okuba nti Yayimirira wano ku nsi eno ey’ekibi mu nnaku ez’oluvannyuma, era n’Akakasa Ekigambo kye okuba nga k’ekyo ddala, kubanga Avunaanyizibwa ku Kigambo ekyo.
Omwoyo Omutukuvu azuukizza Ekigambo ekyo okuba ekiramu gye tuli. Kifuuse kiramu. Olw’okukkiriza tukiraba. Tukimanyi nti ky’ekyo kubanga Ekigambo kyayogera bwekityo, era Omwoyo awa Ekigambo obulamu mu ffe. Kati tugattibwa wamu Ekigambo kya Katonda ekyayolesebwa mu mubiri, ddala nga nnabbi bwe yagamba nti bwekiriba.
Omukkiriza Akikkiriza, akkiriza (ki?) Ekigambo. Si ekikwate; Ekigambo! Si ekibiina ky’eddiini; Ekigambo! Si ekyo omuntu omulala ky’agamba; Ekigambo kye kigamba! Kati, jjukira, oyo ye mukkiriza. Omukkiriza tateekako kabuuza. Omukkiriza tagamba nti, “Kiyinzika kitya? Bwemba nsobola okukifuna nga kinnyonnyoddwa!” Oyo ye mutakkiriza. Ha-haa, Omukkiriza bw’ati bw’abeera, nti, ne bwe Kiba ki, “Bwe kiba nga Kigambo, Kiba Kigambo! Ekyo kituufu.” Oyo bw’atyo ye mukkiriza.
Olina okukkiriza buli katonnyeze na buli nnukuta, na buli kimu ekyogerwa Omwo. Kiteekwa kuba nga kituufu. Bw’ogamba nti, “Ekyo sikikkiriza. Ebimu Katonda, ebimu muntu, ebimu ziba bubeezi mboozi za kuyigga.” Kale, olwo nno oba mutakkiriza. Omukkiriza tateekako kabuuza. Omukkiriza Akikkiriza, awatali kulowooza ku ngeri gye Kiwulikika oba omuntu omulala yenna ky’alina okwogera ku kyo, oba Kirabika nga ekitasoboka kwenkana wa, TUKIKIRIZA!
Buli muntu ali wano, mu buliwo, buli muntu awuliriza olutambi luno; era newankubadde nga olunaku lumu nnina okuva mu nsi eno, entambi zino zaakuwaangaala zisigalewo. Ekyo kituufu. Okiraba? Era oli mu kimu ku bibiina bino. Olina okubeera mu kimu ku byo.
Tuli mu nnaku ezisembayo era olina okutunuulira obulamu bwo olabe kibiina ki eky’abantu ky’olimu. Ogamba nti, “Nzikiriza Katonda yatuma nnabbi eyakakasibwa Empagi y’Omuliro?” Yatugamba okukkiriza buli Kigambo. Okwogera BYENNYINI DDALA ebiri ku ntambi n’obutakyusa Kigambo na kimu. Tuliramulwa ebyo by’AYOGEDDE, si ebyo omuntu omu bye yanyumya nti bye yayogera, oba omuntu omu by’agamba nti bye yali ategeeza, wabula ebyo entambi bye zoogera.
Oba, ogenda kugenda ne Koola ne Dasani, n’abo abagamba nti, “Si ye musajja omutukuvu yekka. Abantu abalala bayitiddwa okukola ebintu bino bye yakola. Mutikka nnabbi wa Katonda omugugu ogumususse. Omwoyo Omutukuvu y’atukulembera kati. Guno mulembe gya njawulo”.
Oli mu kimu ku bibiina bino. Mu mbeera yo eya kati, gy’olimu kati kati, embeera y’okutegeera kwo gy’olimu kati, okuba nga, ggwe ali wano mu abampuliriza bano abalabika, ko naawe ajja okuba mu balimpuliriza bessirabako wano ab’olutambi luno, embeera yo ey’okutegeera kwo gy’on’oba nayo oluvannyuma lw’okuwuliriza olutambi luno, ekukakasa kibiina ki ky’olimu. Egenda kuba ekubuulira wennyini ddala w’oli, oba oli mukkiriza mu Kigambo era nga ojja kusigala nakyo oba on’ofuluma, oba on’oggyako olutambi.
Erinnya lya Mukama Litenderezebwe, tuli BAKKIRIZA aba nnamaddala, so si omuntu omu asikirizibbwa omuntu omulala; si lwa kintu kirala, wabula Omwoyo Omutukuvu Atubikkulidde Ekigambo kyennyini. Tulaba Ekigambo nga kya lwatu, nga kikakasibbwa era nga k yolesebbwa.
Tugezesebwa n’ebigezo, amakubo ag’enfuufu, omusana ogw’okya ogw’okuyigganyizibwa, naye obwesigwa bw’emitima gyaffe butujja matiiriyo wa Kigambo. Kati tuli beetegefu okugenda mu kikula kiri. Tuli baana ba Katonda, abakoleddwako obulungi butuukirivu ddala ku Kigambo kye. Tuli byakulabirako ebiramu, era Ekigambo kya Katonda kiramu era kikolera mu ffe. Ebigezo bijja okutukankanya, okututeekera ddala ku ntobo, tulabe wetunaayimirira. Naye tetusobola kusigulwa, tuyimirira ku buli Kigambo.
Wuliriza nga bw’Akubuulira ky’oli.
Jjukira bujjukizi nti buli kitundu kyo kyali wano, Katonda weYayogerera ekigambo ensi n’ebeerawo. Omubiri gwo Yaguteeka wano mu kiseera ekyo kyennyini. Era tewali kiyinza kuguggyawo okuggyako Katonda.
Tewali kiyinza KuKikuggyako. Tewali ayinza kutwala kifo kyo ne bw’oba mutono otya. Ogamba nti, “Nze ndi mukyala wa waka kyokka.” Tewali asobola kutwala kifo kyo! Katonda, mu mbalirira Ye ey’ekitalo, bw’Atyo bw’Ategese Omubiri gwa Kristo, okutuusa nga tewali n’omu asobola kutwala kifo kyo.
Ekitiibwa… Aleluya… Okuwuliriza Emmere ya Katonda eterekeddwa kiri kweyongera bweyongezi okuba EKY’EKITALO. Gyetukoma okuwulira Katonda ng’Ayogera okuyita mu mubaka we gwe yalonda ng’Atubuulira kye tuli, Okukkiriza kwaffe gye kukoma okweyongera. Essanyu ery’amaanyi ery’okumanya nti:
Ye ffe “BAKKIRIZA ABANNAMADDALA” .
Ye ffe “OMU KUBO” .
Ye ffe “MUGOLE” .
Njagala OKUBAANIRIZA OKUNYIGA ZANNYA wamu nange, ko ne Branham Tabernacle, n’ekitundu ku Omugole okuva mu nsi yonna ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda), nga bwe tujja okuba nga tukuŋŋaana okuva mu Buvanjuba, Obugwanjuba, Obukiikakkono n’Obukiikaddyo okuwulira: Ebika By’Abakkiriza Ebisatu 63-1124E. Kino Omwoyo Omutukuvu ky’Atukulembera okukola. Eri ffe, eno ye pulogulaamu ya Katonda.
Nyiga Zannya: Olutambi lwonna Katonda lw’A teeka ku mutima gwo.
Nyiga Zannya: Wuliririza mu budde bwonna bweweerondera.
NYIGA ZANNYA: Bwe bubaka bwange gye muli.
Owol. Joseph Branham.
Omut. Yokaana 6:60 – 71
22-0703 Nnaakola Ntya Yesu Ayitibwa Kristo?
Obubaka: 63-1124M Nnaakola Ntya Ne Yesu Ono Ayitibwa Kristo
- 24-0121 Nnaakola Ntya Yesu Ayitibwa Kristo?
- 22-0703 Nnaakola Ntya Yesu Ayitibwa Kristo?
- 20-0517 Nnaakola Ntya Yesu Ayitibwa Kristo?
Empungu abaagalwa. Leka ffenna tukuŋŋaanire wamu tuwulire Obubaka 63-1124M Nnaakola Ntya Yesu Ayitibwa Kristo? Ssande eno Omwezi Gwomukaaga Ennaku Z’omwezi 3, 2022 ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda).
Ow’oluganda. Joseph Branham.
22-0626 Oyo Ali Mu Ggwe
Obubaka: 63-1110E Oyo Ali Mu Ggwe
Omugole Ow’okukkiriza Okusinga Omwagalwa,
Nkimanyi nti eno bbaluwa enyoomebwa erimu ggulama omukyamu, naye njagala ensi emanye nti tukkiriza buli kigambo nnabbi waffe kye yayogera era tukikkiriza okuba Bw’atyo bw’Ayogera Mukama. Bwe tumuwulira ng’ayogera ekintu ku lutambi, tuKikkiriza, tukisembeza, olwo ne tukifuna nga bassekinnoomu nga Katonda yennyini Ayogera naffe butereevu.
Kibuuliddwa, era ne kikakasibwa mu bujjuvu Ekigambo kya Katonda, nti tekiyinza kuba muntu, kirina okuba Katonda.
Tukkiriza nti obubonero bwe bumu obulabikako obwalabika nga Yesu ali wano bulabise ku nsi leero. Empagi y’Omuliro y’emu Pawulo Omutukuvu gye yalaba n’Obutonde bwe bumu, ng’ekola ekintu kye kimu, yajja mu kiseera kyaffe. Katonda y’Ayogera naffe butereevu nti:
Akabonero ke kamu ak’omwoyo ke Yeeraga nako nti Ye Masiya, kamulaze leero. Akyali Masiya!
Osobola okufuna emikisa gino eminene SINGA okkiriza nti buli Kigambo kiri Bw’atyo Bw’Ayogera Mukama, ng’onyiga zannya. Bw’oba oli muntu atakkiriza ekyo, era ng’olina okusalawo mu magezi go oba ng’omuntu akugamba nti: “Kino kye Kigambo kya Mukama, ate wano Ow’oluganda Branham yekka y’Ayogera,” olwo kino si kikyo.
Mu kiseera Musa kye yakulemberamu abaana ba Isirayiri, waaliwo omu, ye Musa. Abasigadde baagoberera bugoberezi Bubaka. Okiraba?
Naye leero, ku lwaffe ABAKIKIRIZA MU NGERI EYO, emitima gyaffe gijjudde nnyo essanyu era nga gifukumuka, kumpi tetusobola kukyebeera.
Mpulira nti Atununudde. Mpulira nti amannya gaffe gali ku Kitabo kye. Nzikiriza nti tununuliddwa Omusaayi gw’Omwana gw’Endiga.
Olw’okuba tukkiriza nti Obubaka buno Ddoboozi lya Katonda nga Lyogerera butereevu gye tuli, lino tulikkiriza nga Katonda yennyini Ayogera naffe kamwa ku kutu. TEWALI kubuusabuusa amannya gaffe gali ku Kitabo kye.
Ka nkiteekewo bwe kiti, obuweereza bwa Yesu Kristo okuddamu okulabikako mu Kkanisa ye mu lunaku luno olw’oluvannyuma. Ekyo bangi ku ffe kye tukkiriza. Nzikiririza wamu nammwe.
Bwetutyo ddala bwe tukkiriza, Yesu Kristo Yaddamu okulabikako, ng’ayogera n’Omugole we ku lutambi.
Buli lwe tunyiga zannya okukkiriza kwaffe kutuuka ku ddaala eppya. Ono si mubuulizi mulala-lala yenna ng’ayogera, ono Katonda Mwene y’Ayogera naffe. Twagala Ekigambo ekirongoofu 100% kyokka.
Ka nkubuuzeeyo ekibuuzo. William Marrion Branham ye musumba wo? Ye mubaka malayika wa Katonda ow’omusanvu eyakakasibwa? Okkiriza nti ebyo bye yasaba Katonda okukola, Katonda yabikola? Okkiriza nti ye yali Eddoboozi lya Katonda olw’olunaku luno? Okkiriza buli kigambo kye yayogera? Olwo ogenda okuddamu okufuna omukisa ogutoogerekeka ku Ssande.
Tewali ngeri ndala yonna gy’osobola kufunamu mukisa guno okujjako nga owuliriza entambi era nga okkiriza by’owulira okubeera Bw’atyo bw’Ayogera Mukama. Olina okukkiriza nti ky’ali mu kwogera Ye Katonda nga Ayogera naawe butereevu.
Nze nga omusumba wo, muganda wo, n’okukkiriza kwe nnina, nsabye Katonda okukikuteekako. Nzikiriza nti nja kufuna kye nsabye. Kaakano bw’onookikkiriza nange; n’okukkiriza kwe nnina, nkibawa olw’essaawa eno.
Eri ffe, ye musumba waffe. Tewali muntu yenna mu nsi alina Okukkiriza okusingako obungi, oba okusingako obunene, ku MUSUMBA WAFFE, nnabbi wa Katonda. Kati nnabbi wa Katonda asabye Katonda atuwe OKUKKIRIZA KWE OKW’EKITALO. Bw’okikkiriza n’omutima gwo gwonna, Kati KUKKIRIZA KWO….KITIIBWA, TUKULINA!!! Okukkiriza kwaffe kwandiba nga kubadde kunafu, naye nga tekukyali, kubanga kati tulina OKUKKIRIZA kwe.
Era kati, mu Linya lya Yesu Kristo, Omwana wa Katonda, weegaane okubonaabona kwo, obulwadde bwo, era obugambe nti, “Olina okugenda,” ‘kubanga olina okukkiriza kwo, nga kwogasse n’okukkiriza kwange, n’amaanyi ga Yesu Kristo, Okubeerawo kwe okubuna wonna nga bwe kuli wano okukikakasa mu kulabisibwa n’okukakasa nti Ali wano, Ajja kukuwonya mu kiseera kino.
Kiki kye nsobola okwogera ekyandikuleetedde okujja okutwegattako n’ofuna omukisa guno omunene? Kirowoozeeko, kyonna kyewewtaaga, osobola okukifuna singa on’ojja owulirize era omale gakikkiriza.
Jjangu owulirize Ssande ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda), n’Omugole. Tujja kuba nga tukuŋŋaana era nga tuwuliriza okuva mu Buvanjuba, Obugwanjuba, Obukiikakkono n’Obukiikaddyo, wonna mu kaseera ke kamu, nga Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama bw’ayogera naffe era n’atubuulira byonna ebikwata ku: Oyo Ali Mu Ggwe 63-1110E.
Bw’oba tosobola kuwuliriza naffe mu kiseera kye kimu ku Ssande, si nsonga, nyiga bunyizi zannya akaseera konna era owulirize era okkirize by’owulira okubeera Eddoboozi lya Katonda nga Lyogera naawe.
Owol. Joseph Branham
22-0619 Ememe Eziri Mu Kkomera kati
Obubaka: 63-1110M Ememe Eziri Mu Kkomera kati
- 24-0107 Ememe Eziri Mu Kkomera kati
- 22-0619 Ememe Eziri Mu Kkomera kati
- 17-0813 Ememe Eziri Mu Kkomera kati
Kitaffe Omwagalwa, kiki kye nsobola okuwandiika leero osobole okunkozesa, mu ngeri emu entono, okuzzaamu Omugole Wo ow’omuwendo amaanyi?
Katonda yajja mu mulembe gwaffe era n’abeera mu mubiri gw’omuntu, mu musajja ayitibwa William Marrion Branham, asobole okubikkula n’okutuukiriza Ekigambo kye. Okwo kwe kubikkulirwa kwa Yesu Kristo mu lunaku lwaffe.
Okuwuliriza Eddoboozi eryo n’okukkiriza buli Kigambo ly’ekkubo lyokka Katonda ly’Ataddewo olwaleero. Yatumira ensi abasajja bangi abaafukibwako amafuta n’Omwoyo we Omutukuvu, naye yatuma era n’ayogera ng’ayita mu muntu omu yekka okubikkula Ekigambo kye n’okukulembera Omugole we.
Takyusangako Pulogulaamu Ye oba Engeri Ye gy’akolamu ebintu. Engeri gye yakikola omulundi ogwasooka, akikola buli mulundi. Akulembera abantu be yennyini, ng’Akozesa Empagi y’Omuliro.
Ggwe Mugole wa Katonda omulonde gweYeeroboza era tewali sitaani ky’ayinza kukola oba kwogera ekiyinza okukikuggyako ekyo, TEWALI! Yabamanyirawo edda nga ensi tennatondebwawo. Yakumanya eyo, era wali naye mu kiseera ekyo. Yamanya erinnya lyo. Yamanya buli kimu ekikukwatako. Yamanya obuwonvu bwo n’obukko. Yamanya okulemererwa kwo, ensobi zo, era yasigala akyakwagala, kubanga wali kitundu ku Ye.
Emmeeme yo esobola kulya ku Kigambo kye kyokka. Tewali kiyinza kukumatiza okuggyako Ekigambo kye. Oyagala nnyo okusoma Ekigambo kye n’okumufumiitirizaako, ng’osaba okuva mu buziba bw’omutima gwo, naye bw’owulira Eddoboozi lye nga lyogera butereevu naawe, likusitula okusukka olutimbe lw’ebiseera. Kubanga omanya nti otudde naye mu bifo eby’omu Ggulu nga bw’Ayogera gy’oli mumwa ku kutu, ng’abikkula Ekigambo kye, ng’akujjukiza nti, GGWE MUGOLE WANGE.
Sitaani asobola okukusekula n’akusekula n’akusekula. Oluusi osobola okuggwaamu nnyo amaanyi n’owulira ng’oli kimerwa wenna; n’owulira ng’omuyiye nga bwekitakolebwanga muntu mulala yenna. Ggwe asingayo obubi mu basinga obubi, naye awantu awamu, wansi mu buziba bw’emmeeme yo, owulira Eddoboozi eryo ettonotono ery’eggwoowo ery’essingo nga likugamba nti: “Tewali kiyinza kukwawula ku Kigambo Kyange, GGWE KIGAMBO KANGE. Nateeka erinnya lyo ku Kitabo Kyange Eky’Obulamu Eky’Omwana Gw’endiga, Nze kennyini.”
Kiki kye nnyinza okwogera okukuzzaamu amaanyi leero? Munyige bunyizi Zannya buli lunaku muwulire Eddoboozi lya Katonda nga lyogera era nga likugamba nti: Bw’ati bw’ayogera Mukama.
Oyitibwa okwegatta ku Mugole ku Ssande eno ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda), nga bwe tukuŋŋaana okuwuliriza Eddoboozi eryo ettonotono ery’eggwoowo ery’essingo: 63-1110M Emmeeme Eziri Mu Busibe Kati.
Owol. Yusufu Branham
Ebyawandiikibwa by’okusoma:
Olubereberye 15:16
Omut. Matayo 23: 27-34
Omut. Yokaana 4:23-24 / 6:49 / 14:12
1 Peetero 3:18-22
2 Peetero 2:4-5
Yuda 1:5-6
22-0612 Okumalirira Mu Mutima
Obubaka: 63-0901E Okumalirira Mu Mutima
- 23-1231 Okumalirira Mu Mutima
- 22-0612 Okumalirira Mu Mutima
- 19-0901 Okumalirira Mu Mutima
- 17-0903 Okumalirira Mu Mutima
Abantu ba Katonda abasibiddwa Omusaayi, Abasibiddwa Akabonero, Ab’Endagaano abaagalwa.
Jjukira bujjukizi, tetuli Kaawa, tetuli omu ku bano ababuusabuusa abali mu kwekkiriranya ne Setaani. Tulina okukkiriza nnantaseeseetulwa mu Kigambo kino! Tunywerera ku buli Kigambo kya Katonda kye yawandiika n’ayogera ku ntambi. Kituwadde OKUKKIRIZA OKUTUUKIRIDDE.
Tetutunuulira kukkiriza kumu okunene kwe tulina okuba nakwo mu ffe. Tetugezaako kuba balungi kimala; tetulibeerako balungi kimala, bulijjo tuliremererwa. Ekyo si kye yatugamba nti tubeere n’okukkiriza mu ekyo. Yagamba nti mubeere n’okukkiriza era mukkirize BULI KIGAMBO kye yayogera okuba Bw’ati bw’Ayogera Mukama. TUKOLA TUTYO era Kituwadde OKUKKIRIZA OKUTUUKIRIDDE MU KIGAMBO KYE.
Ka tuwulirize Omwoyo Omutukuvu by’abadde ategeeza era ng’abuulira Kitaffe ebitukwatako.
“Ngondedde ebiragiro byo. Nanoonya era nfunye obubinja bw’abantu obutonotono obusaasaanidde mu nsi yonna. Nasindika ba ssentambi abamu mu nnyumba yaabwe ne bazannya entambi ezimu. Bwe baawulira entambi, ne bakkiriza buli Kigambo. Kati ennyumba yaabwe bagifudde ekkanisa okufuna Obubaka. Abo z’Empungu Zo ezaayawulibwa edda nga zikuŋŋaana okuwulira Ekigambo kyo.
Nabagamba nti bonna abanajja wansi w’Akabonero, Obubaka bw’Ekiseera, banaalokolebwa. Nabagamba nti bajja kufuuka Omu naawe n’Ekigambo kyo. Bwe kaba nga kabakozeemu omulimu, olwo Akabonero ako bakasiige ne ku baana baabwe. Bakasiige ne ku baagalwa baabwe babaleete wansi w’Akabonero ako nabo banaalokolebwa.
Nabagamba, abo abaali bawuliriza olutambi, nti: Nze mbawozaako ku lwa Katonda. Baakikkiriza bwe nakyogera, n’emitima gyabwe gyonna n’emyoyo gyabwe gyonna.
Bantu bange, abo be njagala ennyo, abali mu kuwuliriza entambi.
Nabagamba bekkaanye ekinajja oluvannyuma lw’Obubonero Omusanvu: okwegatta awamu kw’abantu, obubonero obw’obumu, ekimyanso ekimyufu nga kyaka mu nnaku ez’enkomerero, nga zibikkiddwako mu kintu kino ekimu, Akabonero.”
Oh, Ekkanisa, situka weeyeenye! Suna ku muntu wo ow’omunda, weegugumule, mu ssaawa eno! Tuteekwa okubyangatana, oba tuzikirire! Waliwo ekijja nga kiva eri Mukama! Nze nkimanyi nti kiri BW’ATI BW’AYOGERA MUKAMA. Waliwo ekigenda okujja, era kyanditubeerera ekirungi singa tutanula okubyangatana. Kiri wakati w’Obulamu n’okufa. Kijja kutuyitamu era tetujja kukiraba.
Tukimanyi nti waliwo ekitegeka okubeerawo. Okujja kwa Mukama kujja kuba kugenda kwa mangu, okw’ekyama. Tuli mu kubyangatana. Ebiseera bituuse. Tutegedde Akabonero ak’olunaku lwaffe era kasiigiddwaako.
Tugenda kulya obubonero bw’Embaga y’Okuyitako ku Ssande eno, obwatwalibwa mu mbeera ey’amangu, mu biseera eby’okubyangatana. Tukuŋŋaana okwetoloola ensi yonna, ku Kigambo kye.
Jjangu obeere ekitundu ku mukolo guno omunene ku Ssande eno ku ssaawa 10 (kkumi) ez’akawungeezi mu budde bwa Jeffersonville (z’essaawa ttaano ez’ekiro e Uganda), nga bwe tukuŋŋaana okuwulira Ekigambo: 63-0901E – Obubyangatano.
Ow’oluganda. Joseph Branham
Okuva 11:12
Yeremiya 29:10-14
Omut. Lukka 16:16
Omut. Yokaana 14:23
Abaggalatiya 5:6
Omut. Yakobo 5:16
22-0605 Akabonero
Obubaka: 63-0901M Akabonero
- 23-1217 Akabonero
- 22-0605 Akabonero
- 21-1219 Akabonero
- 20-0315 Akabonero
- 19-0825 Akabonero
- 17-0820 Akabonero
Empungu Abaagalwa, leka fenna tukuŋŋaanire wamu tuwulire Obubaka 63-0901M Akabonero Sande eno ku ssaawa 6 ez’omu ttuntu mu budde bw’e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda).
Ow’oluganda Joseph Branham
22-0529 Okukkiriza Okutuukiridde
Obubaka: 63-0825E Okukkiriza Okutuukiridde
Omugole Ow’okukkiriza Okutuukiridde Omwagalwa,
Nate, nsanga nga tekisoboka kuteeka mu bigambo Obubaka buno, ebbaluwa za Katonda ez’omukwano eza ssekinnoomu, ezaawandiikibwa n’Omusaayi Gwe, ezaayogerwa n’Eddoboozi Lye, kye kitegeeza gye tuli. Ebirala byonna tebirina kye bitegeeza. Tumwagala okuva mu buziba bw’omutima gwaffe era Kituwadde Okwagala Okutuukiridde gy’Ali. Tewali kiyinza kutusigula kuva ku Kigambo ekyo. Tewali bumativu bulala mu bulamu bwaffe okuggyako okumuwulira ng’Assa ekimu naffe ng’Ow’omukwano ne mukwano gwe.
N’okuba si ffe, Ye y’Abeera mu ffe, ng’Akoowoola Ye Yennyini. Bwe buziba nga bukoowoola obuziba. Essanyu ery’amaanyi ery’okunyiga zannya n’okuwulira Katonda ng’Akozesa eddoboozi ly’omuntu okutugamba nti, ffe balonde be. Okutugamba nti Yatwagala nga ensi tennatondebwawo; kubanga Yali Akimanyi nti tulimwagala n’ebyo byonna ebiri munda mu ffe, era tulisigala nga tuli beesigwa gy’ali n’Ekigambo kye.
Byonna bye twetaaga, Abituwadde. Tewali kibulako. Yaganya Ekigambo kye okuwandiikibwa mu ngeri y’ennukuta era n’akikuuma okumala enkumi n’enkumi z’emyaka asobole okutubuulira Okwagala kwonna okwali mu mutima gwe ku lwaffe.
Olwo okwagala kwe nekweyongera nnyo okuba okungi gye tuli nga bw’Atugamba nti: “Ndijja nate mu mubiri Njogere nammwe mumwa ku kutu waleme kubaawo butategeeragana, kutabulwatabulwa, ewatali kwetaagisa kuvvuunula. Nja kutwala obudde bwange era mbalage Okwagala Kwange, era mujja kusobola okukiwulira emirundi n’emirundi. Njagala mumanye, Kitange ali mu Nze, nze ndi mu mmwe, mmwe muli mu Nze, tuli BUMU. Omubiri gwo gwe Mubiri gwange, eggumba lyo ly’ Eggumba lyange, omwoyo gwo gwe Mwoyo gwange.
Nja kubabuulira byonna ebiri mu Mutima Gwange mu bujjuvu ennyo. Nja kukifuula kya lwatu nnyo okutuusa nti mujja kumanya awatali kubuusabuusa,nti Ebigambo bye mpandiise era bye njogedde byammwe, era tebijja kulemererwa.
Nja kukuwa Okukkiriza Okutuukiridde, era Kujja kuba Mukama w’embeera zonna. Omulabe ne bw’anaaba ayogera ki, Kujja kukifuga nga bw’olina Okukkiriza Okutuukiridde mu ekyo Ekigambo kyange kyekigamba nti ky’oli. Omulabe ne bw’aba agezaako okukugamba ki, tomuwuliriza wadde. Amatu gammwe mazibe ku kintu ekirala kyonna wabula Omwoyo wange by’Amaze okubagamba. Kisudde ennanga mu mitima gyammwe, era tewali kigenda kubaleetera kusenguka okuva mu Kyo.”
Okukkiriza okwo okutuukiridde kwe tulina mu kumanya Obubaka buno nti buli Bwati bw’Ayogera Mukama, tukozesa OKUKKIRIZA OKUTUUKIRIDDE okwo kwekumu ku buli kisuubizo kye Yatugamba nti kyali kyaffe mu Kigambo kye. Bwe tuba balwadde nga twetaaga okuwona, kiba kyaffe. Bwe tuba n’obwetaavu bw’ekintu kyonna, tusobola okukifuna, kubanga tufuuse abaafukibwako amafuta n’Omwoyo we. Ffe bamasiya be abaafukibwako amafuta ab’olunaku olw’enkomerero, nga tulaga okuzuukira kwa Yesu Kristo.
Nsonga ya mukwano Ye nga Yeeyiwamu mu ffe. Tufuuka Omu naye olw’Ekyeggulo ekyo eky’embaga ekinene. Omwoyo we Ali wano naffe era Ali mu ffe. Tulina ekintu kimu kyokka eky’okukola, era ekyo kwe kukikkiriza, okukisembeza.
Siffe Mubaka Malayika wa Katonda ow’omusanvu, wabula tuli batabani be ne bawala be. Emikono gyaffe mikono gye. Tukkiriza ebyogerwa ku lutambi nti biri Bw’atyo Bw’Ayogera Mukama. Kye Kigambo ekiramu.
Nabbi we ye musumba waffe. Nga bwetuwuliriza Ekigambo ekyakwatibwa, tukkiriza nti Aba Katonda nga Ayogera naffe butereevu. Tulina Okukkiriza Okutuukiridde nga tukkiriza ekyo.
Nga tukuŋŋaana wamu okwetoloola ensi yonna okuwuliriza Katonda ng’Ayogera naffe ng’Ayita mu nnabbi we, okukkiriza kwaffe kweyongera waggulu nga Katonda bw’Agatta Omugole We okwetooloola Ekigambo kye ekikakasibbwa.
Olw’enkya lugenda kuba lunaku lwanjawulo ku ndala zonna. Tujja kutwala Okukkiriza kwaffe Okutuukiridde kw’Atuwadde era tujja kukukozesa ku kyonna kye twetaaga, era tujja kukifuna nga Empagi y’Omuliro bw’Eyogera ng’Eyita mu mubaka We gwe Yalonda era n’Etugambe nti:
Mumanyi kye mbakoze? Mumpise, “omusumba wammwe”; era mwogera bulungi, kubanga ekyo kyendi. Bwemba nga nze, omusumba wo, Ntegeezebbwa Yesu Kristo, nti nkola omulimu Gwe, olwo mukkirize Ekigambo kyange. Nga nkola ekikolwa kino eky’okukkiriza, nga nkuteekako emikono, nvumiridde obulwadde n’okubonaabona ebikutawaanya. Mukkirize ekyo, bwe mutyo bwe munaafunanga kye musaba, ka kibeere ki, kubanga byonna biyinzika eri abo abakkiriza. Era bw’o saba, kkiriza nti ofuna ekyo kye wasabye. Era nzikiriza mu mazima nti nkifuna, era mu mutima gwange nzikiriza buli kimu eky’okuwonyezebwa kwo, nkikkiriza, nti kikoleddwa. Nkikkiriza, nkikkiriza n’ebyo byonna ebiri mu nze.
Tukkiriza n’ebyo byonna ebiri mu ffe, nti Obubaka buno ly’Eddoboozi lya Katonda, eryayogerwa, nerikwatibwa, nerikakasibwa era nerikuumibwa olw’olunaku luno. Tukkiriza nti buli kye tusaba, tujja kukifuna, kubanga Kiri BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA KYAFFE.
Jjangu otwegatteko Ssande ku ssaawa 6:00 ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda), okufuna kyonna kyeweetaaga nga bwe tuwuliriza nnabbi wa Katonda ng’atubuulira engeri y’okufunamu: Okukkiriza Okutuukiridde 63-0825E.
Ow’oluganda. Joseph Branham
Ebyawandiikibwa by’okusoma:
Makko Omutukuvu 11:22-26 / 16:15-18
Yokaana Omutukuvu 14:12 / 15:7
Abebbulaniya 11:1 / 4:14
Yakobo 5:14
1 Yokaana 3:21
22-0522 Nnyinza Ntya Okuwangula?
Obubaka: 63-0825M Nnyinza Ntya Okuwangula
- 23-1203 Nnyinza Ntya Okuwangula?
- 22-0522 Nnyinza Ntya Okuwangula?
- 19-0818 22-0522 Nnyinza Ntya Okuwangula?19-0818
- 17-0910 22-0522 Nnyinza Ntya Okuwangula?
Abagattiddwa awamu Abaagalwa,
Ebiseera bijja kwebulungulira mu butaggwaawo nga Katonda n’abantu be beegatta wamu.
Mbaaniriza okujja mwegatte era mubulire munda mu Mugole wa Katonda muwulire Obubaka 63-0825m Nnyinza Ntya Okuwangula? Ssande ku ssaawa 6:00 ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda),
Ow’Oluganda. Joseph Branham
Ebyawandiikibwa okusoma nga Olukuŋŋaana tebunnabaawo biri
Okubikkulirwa 3 : 21 – 22.