22-1106 Ensigo Tesikira Wamu Na Kisusunku

Obubaka: 65-0218 Ensigo Tesikira Wamu Na Kisusunku

PDF

BranhamTabernacle.org

Omugole W’Ekigambo Embeerera Abaagalwa,

Tuli wano. Tutuuse. Ebiseera bisembedde. Ekisusunku kyawukanye ku Nsigo. Tubadde tugalamidde mu Kubeerawo kw’Omwana, nga twengera. Tujja kusigala mu Kubeerawo okwo okutuusa akabinja kaffe akatono lwe kaanengerera ddala nnyo eri Kristo, okutuusa lwe tunaafuuka omugaati ku mmeeza ye. Katonda yeebazibwe!

Obubaka buno bulaze Malaki 4 nti mutuufu, bulaze Lukka 17:30 nti mutuufu, bulaze Abebbulaniya 13:8 nti ntuufu, bulaze Omutukuvu Yokaana 14:12 nti mutuufu, bulaze Okubikkulirwa essuula ey’ekkumi nti ntuufu, okubembula kw’Obubonero Omusanvu, ebyama bya Katonda, ezzadde ly’omusota, okufumbiriganwa n’okwawukana n’ebyama bino ebirala byonna ebibadde bikwekeddwa wansi w’empagi okumala emyaka gino gyonna.

Tuli mbeerera eri Ekigambo. Tetusobola era tetujja kukwata ku kintu kirala kyonna. Buli Bubaka bwe tuwulira, buba buggya era bupya; Emmaanu ensu eyaakagwa okuva mu Ggulu.

Naye yatulabula nti mu kiseera eky’enkomerero walibeerawo emyoyo ebiri egiryebeera okumpi ennyo, gyandirimba abalonde bennyini, oba nga kiyinzika. Na bwegutyo, tulina okubeera ku bunkenke olw’omwoyo ogwo nga bwekiri nti gujja kulabika ng’Omugole yennyini.

Weetegereze, laba engeri gye kyefaananyiriza ennyo. Matayo yagamba, Omutukuvu Matayo 24:24, yagamba, nti, “Emyoyo ebiri egyo mu nnaku ez’oluvannyuma,” omwoyo gw’ekkanisa ogw’abantu b’ekkanisa, n’Omwoyo gw’Omugole ogw’abantu b’omugole, “gijja kwebeera kumpi nnyo okutuusa lwe kirikkirizisisa abaalonde bennyini obulimba oba nga kiyinzika.” Bwegityo bwe giryesemberera ennyo.

Yagamba nti OMWOYO gw’abantu b’ekkanisa n’OMWOYO gw’abantu b’omugole gijja kwebeera kumpi nnyo. Ekyo kitegeeza nti omwoyo gw’abantu b’ekkanisa kijja kugwetaagisa okugamba nti bakkiriza Obubaka bw’ekiseera gusobole okubeera OKUMPI ENNYO BWEGUTYO.

Oyo teyandibadde Mumesodisiti, Mubaputisiti, Omupulesibeteriyani, oba wadde Omupentekooti; bali wala nnyo n’Ekigambo ne batuuka n’okugaana Obubaka. Tewali n’omu ku bo alina mwoyo gusembereganye na gwa Mugole.

Sitaani agezezzaako, era abadde n’obuwanguzi bungi, mu kubeera omulimba bitya. N’okuba okuva ku lubereberye, yagamba bugambi nti, “Mazima,” bw’atyo n’agamba Kaawa akozese okulowooza kwe era mbu alina okumuwuliriza so si Kigambo kyokka. Waliwo ekintu kimu kyokka kye yalagirwa okukola: okusigala n’Ekigambo.

Eby’amazima ebyenkalakkalira:

Bw’oba ​​olina ekibuuzo, walina okubaawo eky’okuddamu. Ekyo nnabbi kye yatugamba. Eky’okuddamu kirina kuva mu Kigambo. Ekigambo kijja eri nnabbi yekka. Nabbi ye muvvuunuzi w’Ekigambo yekka. Omusajja oba omukazi yenna bw’akuwa eky’okuddamu, kirina okuba ekyo nnabbi kye yamala edda okwogera. Tekiyinza kuba kuvvuunula kwabwe, ndowooza oba kutegeera kwabwe. Balina okukiwagira n’Ekigambo ekyayogerwa nnabbi wa Katonda eyakakasibwa. Si kigambo kya nnabbi ng’ogasseeko, wabula ekyo nnabbi kye yayogera kyokka.

Kati waliwo enzikiriza bbiri ezigobererwa.

1: Oteekwa okukkiriza buli Kigambo ekiri ku butambi nga bwe buli Obubaka obusinga obukulu bw’olina okuwulira.

2: Tekikwetaagisa kukkiriza buli Kigambo ekiri ku butambi, era obuweereza kati bwe bulina obubaka obusinga obukulu bw’olina okuwulira.

Waliwo engeri ezaawukana nnyingi nnyo ez’endowooza ey’okubiri: Omwoyo Omutukuvu ajja kunkulembera oba omusumba wange okutubuulira Ekigambo ky’ekiriwa n’ekitali Kigambo ky’ekiriwa. Twetaaga ekisingawo ku ebyo Ow’oluganda Branham bye yayogera ku lutambi. Oteekwa okuba n’obuweereza okunnyonnyola oba okumenya-menyamu Ekigambo. Awatali buweereza tosobola kuba Mugole.

Waliwo ebikontana n’amazima ebirala bingi, naye tekisoboka kubiwandiika byonna. Naye tewali ngeri zaawukana oba oba bikontana na mazima mu ndowooza eri esooka. Mu ngeri ennyangungu, kiri, KKIRIZA BULI KIGAMBO.

Ng’abakkiriza mu Bubaka buno obw’ekiseera eky’enkomerero, mulina okwebuuza ebibuuzo bino:

1: Okkiriza nti nnabbi bye yayogera ku butambi ye Abusoluuti wo, oba okkiririza nti Mwoyo Mutukuvu ayita mu ggwe oba omusumba wo ye Abusoluuti?
[Abusoluuti kitegeeza : kamala byonna, nantateekebwako bukwakkulizo, ekirongoofu, ekituukiridde, ekijjuvu, ekiteetaagisa kakwate na birala, ekyenkomeredde, ekyemalirira, ekitafugibwa tteeka, ekitatyobolwa.]

2: Okkiriza nti obuweereza obw’emirundi etaano bulina obubaka obusinga obukulu Omugole bw’alina okuwulira, oba Bubaka obuli ku butambi bwe businga obukulu?

Bw’aba nga omusumba wo, omubuulizi wo, omusomesa wo, omubuulizi w’enjiri oba nnabbi wo takugamba nti okuwuliriza obutambi bwe BUBAKA OBUSINGA OBUKULU bw’olina okuwulira, aba MULIMBA, ERA GWE OMWOYO NNABBI GWE YATULABULAKO NTI GULIJJA.

Bw’aba agamba nti BWE Bubaka obusinga obukulu bw’osobola okuwulira, naye ng’akyagaana okuzannya obutambi mu kkanisa ye, WALIWO EKIKYAMU. Bw’aba nga ddala akkiririza nti okuwuliriza obutambi kye kintu ekisinga obukulu ky’osobola okukola, olwo yandisoose kuzannya butambi, olwo n’abuulira bw’aba awulira okukulemberwa.

Ekyokulabirako eky’ekyangu:

Bwemba nkugambye nti, okunywa amazzi amayonjo kye kintu nnamunigina ekisinga obukulu ky’osobola okukola kulw’obulamu bwo, era nti waliwo amazzi amayonjo ag’okunywa agalina obukakafu obuwandiike era agaakakasibwa GAMU…naye bw’ojja ewange okulya ekyeggulo, amazzi ago agalina obukakafu obuwandiike si ge nkuwa. Nkugamba nti, “amazzi ago osobola okuganywera mu maka go naye ewange, olina kunywa kye nkuwa.”

Bwe kiba nti amazzi ago KY’EKINTU EKISINGA OBULUNGI kye nsobola okukuwa olw’obulamu bwo, ekinaakuwa obulamu, olwo ekintu kye ngenda okusooka okukuwa ng’oyingidde mu maka gange ge mazzi ago amayonjo ag’okunywa.

Ndi mukyamu mu kugamba nti, “MUZANNYE ENTAMBI MU MAKANISA GAMMWE, ky’ekintu ekisinga obulungi ennyo ky’osobola okukolera abantu bo. Kiri Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama.”

Oba, bakyamu mu kugamba nti, “Kikyamu okuzannya obutambi mu kkanisa, Ow’oluganda Branham teyagambangako kuzannya butambi mu kkanisa yo. Tugamba abantu bazannye obutambi mu maka gaabwe, mu mmotoka zammwe, buli kiseera, NAYE ku kkanisa balina okuwulira NZE.”

Mwoyo ki ogukukulembera? Ogamba nti, “ebyo ebyogerwa ku butambi ye Abusoluuti wange era ky’ekintu ekisinga obukulu kye nsobola okuwulira”? Oba, ogamba nti, “Entambi tezimala. Si ze Abusoluuti wange era si ky’ekintu ekisinga obukulu eky’okuwulira, obuweereza ye Abusoluuti era bwe tulina okusinga okuwulira”?

Kati kye kiseera ky’Ensigo, oba ekiseera ky’Omugole. Ebisusunku bifudde. Ebisusunku bikaze. Ekiseera ky’Ekigambo embeerera, ekikwatibbwako. Mbeerera, jjukira, Ekiseera ky’Ekigambo embeerera.

Jjangu owulire Emmaanu ensu eyaakagwa okuva mu Ggulu Ssande eno ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda), nga bwe tuwulira: 65-0218 Ensigo Tesikira Wamu Na Kisusunku.

Owol. Joseph Branham