22-1113 Leero Ekyawandiikibwa Kino Kituukiridde

Obubaka: 65-0219 Leero Ekyawandiikibwa Kino Kituukiridde

PDF

BranhamTabernacle.org

Ensigo Ya Ibulayimu Ey’Omwoyo Ennangira Abaagalwa,

Kkanisa ki gy’oyinza okugendamu n’omanya, awatali kisiikirize kya kubuusabuusa, nti buli Kigambo ky’owulira kiri Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama? Mpaawo, okuggyako ng’owulira Eddoboozi lya Katonda nga lyogera naawe ku ntambi.

Tuli empungu za Katonda era tetujja kwekkiriranya na Kigambo wadde ekimu. Twagala maanu ensu yokka buli lukuŋŋaana era Tejja nga nsu okukira ku bw’ejja ogiwulirira butereevu okuva eri Katonda yennyini. Tweyongera okubuuka waggulu nnyo nga bwe tuwulira buli Bubaka. Gye tukoma okugenda waggulu, gye tukoma okulaba. Bwe muba nga mu kkanisa eno temuli maanu, empungu za Katonda zeyongera okutumbiira waggulu-ko okutuusa lwe zigisanga.

Emitima gyaffe nga gibugaana essanyu bwe tuwulira Katonda ng’ayogera naffe era ng’atugamba nti tuli Ekkanisa ye eya Katonda eya nnamaddala, eyazaalibwa omulundi ogw’okubiri, ekkiriza buli Kigambo kya Katonda mu maaso g’ekintu kyonna, awatali kufaayo oba ki, kubanga ffe Mugole we Omugole w’Ekigambo embeerera atatabikiddwamu bitali birongoofu.

Waliwo akavuyo kangi nnyo mu bantu ennaku zino. Nga bwe kyali mu biseera bya Yesu, abo abeeyita abakkiriza baali batwala okuvvuunula okw’ebyo kabona bye yayogera ku Byawandiikibwa. Baali bakkiriza okuvvuunula kw’omuntu ku Kigambo. Eyo y’ensonga lwaki baalemererwa okulaba Amazima ga Katonda, kubanga waaliwo entaputa z’abantu ku Kigambo kya Katonda nnyingi nnyo ekisusse. Katonda teyeetaaga muntu yenna kuvvuunula Kigambo kye. Ye ye Muvvuunuzi We Yennyini.

Okkiririza nti singa wali obaddewo mu kiseera kya Yesu, wandikkirizza buli Kigambo kye yayogera, kabona wo ne bwe yandyogedde ki ? Wandigambye kabona wo nti okuwuliriza Yesu kye kintu ekisinga obukulu ky’oyinza okukola? Wandimugambye nti Ebigambo bya Yesu tebyetaaga kuvvuunulwa? Singa baali balina obutambi bwa Yesu ng’abuulira, wandigambye kabona wo nti oyagala anyige zannya osobole okuwulirira ddala Yesu bye yayogera n’engeri gye yabyogeramu?

Kaale, ogwo tegwali mulembe gwo; guno gwe mulembe gwo, bino by’ebiseera byo. Baibuli yagamba nti, Ye y’omu jjo, leero, n’emirembe gyonna. Ky’okola era ky’oyogera kati ky’ekyo kyennyini kye wandikoze mu kiseera ekyo.

Tukkiriza nti O-m-w-a-n-a wa Katonda y’omu ava mu buvanjuba ne yeekakasa nga Katonda ayoleseddwa mu mubiri, ye M-w-a-n-a wa Katonda y’omu mu kitundu ky’ensi eky’obugwanjuba nga yeemanyisa mu ffe. Tukkiriza leero ekyawandiikibwa kino kituukiridde mu maaso gaffe.

Nzikiririza ddala nti guno gwe mwaka ogw’okukkiririzibwamu, omwaka gwa jubireewo. Bw’oba ​​oyagala okusigala ng’oli muddu era nga tokkiriza Bubaka buno nti buli Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama; Bwe buba nga Obubaka buno si ye Abusoluuti wo; Bw’oba okkiriza nti kyetaagisa omusajja okutaputa Obubaka; Bw’oba ​​okkiririza nti kikyamu okuzannya obutambi mu kkanisa yo; Olwo olina okutwalibwa era ekituli kijja kuwummulibwa mu kutu n’olukato, olwo olina okuweereza mukama wo oyo mu buddu ennaku zo ezisigaddeyo.

Naye Ekkanisa y’Omugole entuufu eya nnamaddala ekkiriza Ekigambo kya Katonda kyonna mu bujjuvu bwakyo ne mu maanyi gaakyo. Ffe Kkanisa Ennonde eri mu kwesikayo n’okwezza ku bbali okuva ku bintu ebyo, era nga okwolesebwa kwa Katonda kutusikiriza. Yeffe Nsigo eyo Ey’omwoyo Ennangira eya Ibulayimu.

Tubasiima nnyo okubeera wano okunyumirwa okussa ekimu kuno naffe, kwe tusuubira nti Katonda Agenda kutuwa mu lukuŋŋaana luno.

Kale tukuyita okutwegattako Ssande eno ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), nga bwe tuwulira 65-0219 Leero Ekyawandiikibwa Kino Kituukiridde. Tuli mu kusuubira kungi olw’ebyo Katonda by’akola mu nkuŋŋaana zino. Ekitangaala ky’Omwana eky’akawungeezi kituuse.

Owol. Joseph Branham

Omut. Yokaana Essuula 16
Isaaya 61:1-2
Omut. Lukka 4:16