22-1120 EKIFO KYA KATONDA KYE YALONDA EKY’OKUSINZIZAAMU

Obubaka: 65-0220 EKIFO KYA KATONDA KYE YALONDA EKY’OKUSINZIZAAMU

BranhamTabernacle.org

Mukyala Yesu Kristo Omwagalwa,

Nga twagala nnyo okuwulira amannya gaffe nga gayitibwa. Okulowooza obulowooza nti, ffe B’Acima. Omugole omukyala Omumbejja ow’Omwana Omulangira Eyasuubizibwa. Ensigo ye ennangira ensuffu eya Ibulayimu ebadde ya mazima era nga nneesigwa eri buli Kigambo.

Tetukoze bwenzi, oba wadde okupepeya, n’Ekigambo ekirala kyonna; twekuumye bwekuumi nga tuli balongoofu ne tusigala na buli Kigambo.

Waliwo abakyala Abakristaayo abalungi bangi mu nsi leero, abakazi abeesigwa; naye waliwo Mukyala Yesu Kristo omu yekka. Ffe Abagenda Awaka naye. Ffe Mukyala We omulonde.

Yatugamba mu Kigambo kye nti ajja kuddamu okujja, mu ngeri yennyini gye yajjamu emabegako. Era n’Ayimirira awo, nga yeeyoleka mu mubiri gw’omuntu, ng’asoma Ekigambo era ng’atugamba nti, “Leero Ekyawandiikibwa kino kituukiridde mu maaso gammwe,” ne tumutegeera, ne tufuuka Omugole we Mukyala Yesu Kristo .

Kitubikkuliddwa nti O-m-w-a-n-a wa Katonda y’omu eyajja mu buvanjuba ne yeekakasa nga Katonda Ayoleseddwa mu mubiri, ye M-w-a-n-a wa Katonda y’omu mu kitundu ky’ensi eky’ebugwanjuba, Eyeeyanjulidde mu masekkati g’Omugole we. Ekitangaala ky’Omwana eky’akawungeezi kituuse.

Era singa mba mbuuzizza ekibuuzo ku kintu kyonna, walina okubaawo eky’okuddamu ekituufu. Wandibaawo ekikirinaanye; naye wateekwa okubaawo ekituufu, eky’okuddamu ekitereevu eri buli kibuuzo. Kale, n’olwekyo, buli kibuuzo ekijja mu bulamu bwaffe, wateekwa okubaawo eky’okuddamu ekituufu, ekigolokofu.

Mu lunaku lwaffe waliwo ebibuuzo bingi n’okukaayana mu bantu.

. Kikulu kitya okuwuliriza entambi za nnabbi wa Katonda?

. Kikulu kitya okuwulira n’okukkiriza buli Kigambo?

. Abusoluuti waffe y’ani? Ddala Kye yayogera ku lutambi, oba Omwoyo Omutukuvu akulembera buli muntu okusalawo Ekigambo ky’ekiriwa n’ekitali Kigambo ky’ekiriwa.

. Tulina okuba n’omusajja omu, oba ekibinja ky’abasajja, nga bakitumenyera-menyera?

. Ekigambo kigamba nti oluvannyuma lw’okusindika Eriya nnabbi, Ajja kusindika ekibinja ky’abasajja abateekwa okukikunnyonnyola?

. Twetaaga omuntu okuvvuunula Ekigambo oba okukitumenyera-menyera?

. Tulina kuwuliriza ntambi mu maka gaffe wokka, mu mmotoka zaffe, ne mu masundiro g’amafuta gaffe, era tuwulirize obuweereza nga tugenze mu kkanisa?

. Tulina okuzannya entambi mu masinzizo gaffe?

. Lino Ddoboozi lya Katonda eri olunaku lwaffe oba nedda?

Kati, bwe kiba nga kibuuzo kya Baibuli, olwo kirina okuba n’eky’okuddamu kya Baibuli. Tekirina kusobola kuva mu kibinja ky’abasajja, okuva mu kibiina kyonna ekimanyifu, oba okuva mu musomesa omu, oba okuva mu kibiina ky’eddiini ekimu. Kisaanye okuva butereevu mu Byawandiikibwa…

N’olwekyo bwe tuba twagala okufuna eky’okuddamu ekituufu ku bibuuzo byaffe, tuteekwa okugenda mu Byawandiikibwa. Ekiddako, tulina okusalawo, ani omuvvuunuzi wa Katonda ow’Ebyawandiikibwa. Buli musajja yeesalirawo?

Nabbi tekitegeeza butegeeza kwogera Kigambo kyokka, naye n’okulangirirawo eby’omumaaso, era n’okuba omuvvuunuzi ow’Obwakatonda ow’Ekigambo, Ekigambo eky’Obwakatonda ekyawandiikibwa.

Kale nnabbi bw’aba nga ye muvvuunuzi w’Ebyawandiikibwa ow’Obwakatonda, olwo nnabbi oyo kye yayogera ky’EKigambo kya Katonda eri Omugole We ekyavvuunulwa edda, KIKOMA AWO.

Kino tekikendeeza ku buweereza, oba ekifo Katonda ky’abayitidde. Bayitiddwa Katonda okukuuma Ekigambo ekyo ekyayogerwa nnabbi wa Katonda mu maaso g’ekisibo kyabwe. Balina okusonga abantu baabwe eri omubaka oyo n’Obubaka bw’ekiseera.

Buli kigambo kye babuulira kirina okulamulwa okusinziira ku bigambo nnabbi wa Katonda bye yayogera ku lutambi. Tebasobola kukyusa, era tebasobola na kuvvuunula, KIGAMBO KIMU. Ebyawandiikibwa bya Katonda bivvuunulwa nnabbi we YEKKA.

Kati, buli emu ku go, ddala, oyinza okulaba ekirowoozo kyago, era siyinza kuganenya. Gonna geelangirirako nti ge matuufu, balina amazima. Era abantu ababeera mu makanisa ago basaana okukkiriza ekyo, kubanga enko- enkomerero yabwe baagitalaafiya, enkomerero yabwe ey’Obutaggwawo, baagyesigamiza ku njigiriza y’ekkanisa eyo. Era baawukana nnyo, buli emu ne ginnaayo, okutuusa lwe biwera ebibuuzo lwenda n’omusobyo eby’enjawulo.

Bwe buba nga Obubaka buno obwayogerwa nnabbi wa Katonda si ye Abusoluuti wo, wabula nga Abusoluuti wo muntu omu oba abantu abamu bye bagamba nti ky’EKigambo, olwo enkomerero yo ey’Obutaggawo ewummulidde ku BYE BOOGERA.

Ebigambo byange biwulikika nga ebiwakanyiza ddala obuweereza obumu ne bwonna. Nze sibuwakanya. Nzikiriza nti Katonda atadde abasajja ab’amazima mu Kkanisa ye n’okulabirira ebisibo bye okukuuma Obubaka buno mu maaso gaabwe. Nzikiriza nti babuulira era bakkiriza Obubaka buno. Naye lwaki tebajja kuzza Ow’oluganda Branham ku bituuti byabwe ng’Eddoboozi erisinga obukulu okuwulira? Lwaki obuweereza bwabwe babussaawo nga obwenkana-nkana mu buli kimu, ne mu mugaso nga, Eddoboozi eryo?

Malaki 3 yagamba nti, “Nja kusindika omubaka Wange mu maaso gange okuteekateeka ekkubo.” Era oyo eyatumibwa okuteekateeka ekkubo, Yamulaga, ekifo ekyo. “Y’Oyo! Tewali nsobi yonna. Y’Oyo! Ndaba akabonero nga kamugoberera. Nkimanyi nti y’oyo; Ekitangaala nga kikka okuva mu Ggulu ne kigenda ku Ye.” Kyali kikakafu, oyo ye yali Ye.

Olwo muganda wange, njagala okubaako kye nkubuuza, mu kufundikira. Kino tuyinza okukyogera. Mu Malaki 4, naffe tetwasuubizibwayo empungu endala, Empagi y’Ekitangaala gye tugenda okugoberera, okulaga ekkanisa esobezza leero nti Ye Abebbulaniya 13:8, “Aba obumu jjo, leero, n’emirembe gyonna”? Tetwasuubizibwayo omulala okujja ng’abuuka okuva mu ddungu?

Kiki kye tulina okuba nga tugoberera? Empagi eyo ey’Ekitangaala. Empagi eyo ey’Ekitangaala y’ani? Empungu eyo, Malaki 4. Ani yalina Empagi y’omuliro ku mutwe gwe okukakasa ky’ali? William Marrion Branham.

Buli lwe tukuŋŋaana, tuteekwa okukuuma Eddoboozi eryo mu maaso g’abantu. Tulina OKUSOOSA Eddoboozi lya Katonda. Si kusinza musajja oyo, wabula okusinza Katonda mu musajja oyo.

Oyo ye musajja Katonda gwe yalonda okukulembera Omugole we. Omusajja oyo ye musajja Katonda gwe yalonda okuvvuunula Ekigambo kye. Omusajja oyo ye musajja Katonda gwe yalonda okubikkulira ebyama bye byonna. Omusajja oyo ye Katonda gwe yagamba nti, Leetera abantu OKUKUKKIRIZA, SSI OMUNTU OMULALA OBA OMUNTU OMULALA KY’AYOGERA, WABULA GGWE, WILLIAM MARRION BRANHAM. Omusajja oyo y’agenda okutwanjula eri Yesu Kristo.

Omusajja oba omukazi yenna ateeka ekintu kyonna ku bye njogera, aba takkiriza bye njogera.

Jjangu ofuuke Mukyala Yesu Kristo wamu naffe Ssande eno ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), nga bwe tuwulira akamwa ka Katonda ke yalonda nga koogera era nga Katugamba: Ekifo kya Katonda Kye Yalonda Eky’Okusinzizaamu 65-0220.

Owol. Joseph Branham

Ekyamateeka 16:1-3
Okuva 12:3-6
Malaki Essuula 3 ne 4
Lukka 17:30
Abaruumi 8:1
Okubikkulirwa 4:7