22-1127 Okufumbiriganwa n’Okwawukana

Obubaka: 65-0221M Okufumbiriganwa n’Okwawukana

PDF

BranhamTabernacle.org

Ekisibo kya Nabbi Ekyagalwa,

Kati, mujjukire nti, bino mbyogera eri kibiina kyange kyokka. N’abali eyo abayungiddwa ku mukutu, bino mbyogera eri bagoberezi bange bokka. Obubaka buno bugenda eri bo bokka, awamu n’ebyo bye ŋŋenda okwogera wano.

Omuweereza yenna, ye, ekyo kikye, weewaawo, ye musumba w’ekisibo, leka akole kyonna ky’ayagala. Ekyo kiri gy’ali ne Katonda. Kabona yenna, omubuulizi yenna, ekyo kiri gy’oli, muganda wange.

Njogerera wano wokka mu Jeffersonville, ekifo kyokka we nsobola okwogerera kino, kubanga kye kisibo kyange. Kye kisibo Omwoyo Omutukuvu kye yankwasa okutegeera okukirabirira, era Ye alinvunaana ebikikwatako. Era abantu bange bano be bakyuse okuva mu nzikiriza endala okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo, be ndeese eri Kristo.

Nga mpunzika nnungi nnyo ey’okufundikiramu wiikendi y’okwebaza. Ndi musanyufu nnyo okubeera ekitundu ku kisibo ekyo ekitono ky’akyalabirira wamu na buli omu ku mmwe. Tewali kifo kirala we twandisobodde kugenda.

Kitaffe atusindikidde empungu ennene ebuuka okukulembera Omugole we. Waliwo amaloboozi mangi agazzaamu abantu amaanyi n’okwogera Ebigambo ebyogeddwa nabbi we, naye waliwo EDDOBOZI LIMU lyokka eryasindikibwa okukulembera n’okugatta Omugole we.

Ebigambo nnabbi wa Katonda bye yayogera ku katambi ye Abusoluuti waffe. Tutegeerwa bubi kubanga tugamba nti tukkiriza BULI KIGAMBO, naye twalagirwa nnabbi wa Katonda okukola ekyo kyennyini.

Bwentyo nange bwenjogera, mu Linya lya Yesu Kristo: Togattako kintu kimu, totwala, kukiteekamu ebirowoozo byo, ggwe yogera bwogezi ebyo ebyogerwa ku ntambi ezo, kola bukozi ekyo kyennyini Mukama Katonda ky’Akulagidde okukola; toKyongerako!

Zuukuka ensi. Ebiseera bisembedde. Ebigambo nnabbi wa Katonda bye yayogera, KATONDA ATULAGIDDE; okukkiriza, okwogera n’okukola, BYENNYINI bye yayogera ku ntambi. Si bye njogera, si kabona wo oba ababuulizi bo bye boogera, wabula nabbi wa Katonda bye yayogera KU LUTAMBI.

Tewali kikulu okusinga okuwulira Eddoboozi eryo ku lutambi, MPAAWO. Tugenda kulamulwa okusinziira ku byayogerwa KU NTAMBI. Si bye nnayogera, wabula bye YAYOGERA.

Mbaagaliza EKISINGIRAYO DDALA OBULUNGI. Ebigambo byange ebitono bya kubazzaamu maanyi, nga omusumba yenna bw’alina okukola, okukkiriza buli Kigambo. Sibayigiriza bino : okubuusabuusa ekintu kyonna ky’owulira ku lutambi, mulimu ensobi mu ntambi, mulina okumpulira nga bwe mulina okuwulira nnabbi. Mbawandiikira ebigambo ebitonotono okubakubiriza OKUSIGALA N’EKIGAMBO NNAKABALA, MUNYIGE ZANNYA. Njagala mubeere Omugole w’Ekigambo omulongoofu, atalina kamogo.

Katonda yasiima Ebigambo bye bikwatibwe ku lutambi mu lunaku luno kisobozese buli kitonde ekiramu okuwulira Eddoboozi lye. Mu biseera bya Pawulo, baalina bubeezi bawandiisi okuwandiika bye yali abuulira, ebyo nga ye Baibuli. Naye LEERO, Katonda yayagala KISUKKEWO n’okusukkawo OBUKULU. Tusobola okunyiga zannya ne twewulirira n’amatu gaffe Yesu Kristo eyazuukira ng’ayogera naffe, mumwa ku kutu.

Nga olunaku lukulu lwe tulimu. Ng’ensi, mu ngeri erabikirako ddala, esasika wonna okutwetooloola, tulina ekifo ekyateerwawo we tusobola okugenda ne twewummuliramu. Tukifunira ku LUTAMBI. Tutuula mu kaweweevu ok’omu bisenge byaffe ne tulya ku lujjuliro lw’Emmere eyaterekebwa mu ggwanika. Nabbi waffe ayinza okuba nga yagenda ebbanga ggwanvu nnyo emabega, naye tukyajjukira nti ebintu bino bituufu, era tukolera ddala nga Katonda bwe yatulagira okukola, OKUSIGALA N’ENTAMBI.

Jjangu olye ekijjulo makeke ky’okwebaza ekisinga obulungi kye wali olidde Ssande eno ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), ng’Eddoboozi lya Katonda litugamba Obubaka: Okufumbiriganwa N’Okwawukana 65-0221M.

Owol. Joseph Branham.

Omut. Matayo 5: 31-32 / 16: 18 / 19: 1-8 / 28:19
Ebikolwa By’Abatume 2:38
Abaruumi 9:14-23
1 Timoseewo 2:9-15
1 Abakkolinso 7:10-15 / 14:34
Abebbulaniya 11:4
Okubikkulirwa 10:7
Olubereberye 3 essuula
Eby’Abaleevi 21:7
Yobu 14:1-2
Isaaya 53
Ezeekyeri 44:22