22-1030 Omusajja Nga Adduka Okuva Mu Maaso Ga Mukama

Abaana b’Endiga ba Mukama Abaagalwa,

Emitima gyaffe nga giyaayaanira olunaku luno buli wiiki lwe tusobola okwegatta okuva mu nsi yonna okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga litugamba Ekigambo ky’Obulamu Obutaggwaawo. Tewali kirala kimatiza mmeeme zaffe ne kimalawo ennyonta yaffe okuggyako Eddoboozi lya Katonda.

Watugamba, Kitaffe, nti ennimiro ennene ey’amakungula njeru, eyengedde, era n’empeke kati nneetegefu okukubibwa okuggibwako akakuta. Empeke kati zanjaddwa mu Maaso g’Omwana era zengera eri Obwakabaka bwa Katonda.

Tuyimiridde, Kitaffe, ku kumatizibwa kwaffe kw’ekyo kye tumanyi nti Ge Mazima; Eddoboozi lyo ku lutambi lye ddoboozi LYOKKA erigenda okututuukiriza, ffe Omugole Wo.

Kizibu anti baganda baffe ne bannyinaffe batutegeera bubi nnyo. Tubasaba era ne tubeegayirira baleme kudduka kuva mu maaso Ge, wabula badduke okuyingira mu maaso ge.

Tukimanyi nti waliwo abasajja bangi abaafukibwako amafuta b’olonze n’oteekawo okutunuulira ebisibo byo, abaagala Obubaka buno n’emitima gyabwe gyonna, naye Kitaffe, balemererwa okuteeka Eddoboozi lyo eryakakasibwa ku lutambi mu maaso gaabwe. Balemererwa okubagamba nti buno Bubaka bwa musajja omu era nti Ggwe walonda omusajja oyo okukulembera Omugole Wo. Balemererwa okubagamba nti Eddoboozi Lyo lye ddoboozi LYOKKA erigenda okugatta n’okutuukiriza Omugole Wo.

Nteekwa “okukuba omulanga ogukivumirira.” Nkube omulanga oguvumirira buli kimu, na buli muntu, awakanya okuzannya Entambi Zo mu masinzizo gaabwe. Nkube omulanga oguvumirira omulimu gwabwe, nkube omulanga oguvumirira ekkanisa yaabwe, nkube omulanga oguvumirira bannabbi baabwe, nkube omulanga oguvumirira abaweereza baabwe, nkube omulanga oguvumirira bakabona baabwe. Nteekwa okukuba omulanga oguvumirira ekintu kyonna!

“Katugambe nti nzize okwegatta ne ba ggaayi mmwe. Omanyi, nzikiriza nti nja kukubuulira kye nzija okukola. Nninawo-kko akantu akatono wano ke nzikiriza nti nsobola okuleetera okubeera ak’o…okutugatta ffenna, ne tukola kino, ekyo, oba ekirala.”

Nteekwa okukuba omulanga ogukivumirira, nga bwekiri nti Ekigambo Kyo kyokka, ekyayogerwa nnabbi Wo, kye kiyinza OKUTUGATTA.
Okubuulira kwabwe kuyinza kutya? Bonna tebakkiriziganya buli omu ne munne era ebintu babiraba mu ngeri ya njawulo buli omu okwawukanako ne munne, okujjako ekintu kimu, bonna bakkiriziganya ku… OBUTAZANNYA NTAMBI MU MAKANISA GAABWE. Ekyo kiyinza kitya okubaawo, Kitaffe?

Watugamba nti tulina okuba ne ABUSOLUUTI OMU, oyo nga ky’EKigambo Kyo. Watugamba nti Ekigambo Kyo kijja eri nnabbi Wo, YEKKA. Watugamba nti ye YEKKA asobola okuvvuunula Ekigambo Kyo. Watugamba nti buli muweereza, buli mmemba mu kibiina, buli muntu, asobola KWOGERA EKYO OYO KYE YAYOGERA KYOKKA. Eddoboozi lye lye DDOBOZI LYOKKA eryakakasibwa Empagi Yo ey’Omuliro okuba Bw’ati Bw’ayogera Mukama.

Sigamba nti ba bulimba oba nti tebalina kubuulira. Era sigamba nti Mukama tali nabo, oba nti tebaafukibwako mafuta na kuyitibwa kubuulira, naye nnina okukuba omulanga ogubavumirira bwe beerema okugamba bantu baabwe nti okuwuliriza entambi kye kintu ekisinga obukulu kye bayinza okukola.

Okukyusa ennukuta emu oba akatonnyeze akamu kuba kufa. Oteereddewo Omugole Wo ekkubo okuwulira Bw’atyo Mukama n’amatu gaabwe. Bayinza batya obutabuulira bantu baabwe nti bwe Bubaka obusinga obukulu bwe bateekwa okuwulira? Bwe Bubaka bwokka bwe nsobola okugambirako AMIINA eri buli Kigambo, nga bwe butali Kigambo ky’omuntu, newankubadde okuvvuunula kw’omuntu ku Kigambo Kyo, ky’EKigambo Kyo Ekirongoofu.

Wagamba nti Obubaka n’omubaka bye bimu. Nabbi wo yakyogera era Ggwe wali wa kukituukirizanga. Ekigambo kyo ekyayogerwa nnabbi Wo TEKYETAAGA kuvvuunula engeri gye kiri nti Mwana w’Omuntu y’Ayogera obutereevu n’Omugole we.

Nteekwa okwegayirira abantu, mukomeewo eri okwagala kwammwe okwasooka. Mukomeewo eri ekyo kye mumanyi nti kiri BW’ATI BW’AYOGERA MUKAMA. Bw’oba ​​obadde weebuuza ekkubo ly’olina okuyitamu oba ky’olina okukola, jangu, saabala naffe ku mmeeri eyo ekiro kino. Tugenda mmanga e Nineeve, okukikaabirira. Tulina omulimu mu maaso ga Katonda, obwo bwe Bubaka buno ku lutambi.

Tukkiriza nti Okujja kwa Mukama kuli kumpi, era Agenda kuba n’Omugole, era tuli mu kwetegeka. Tetwagala kintu kirala okuggyako Ekigambo kya Katonda Ekirongoofu ekyayogerwa nnabbi we. Tugenda mu Kitiibwa, mujje musaabalire mu mmeeri yaffe.

Bw’oba nga ​​okkiririza nti Obubaka buno Ge Mazima, era nga busaana okububeererawo, nga busaana okufiirirwa, jangu otwegatteko Ssande eno ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda), nga bwe tuwulira Obubaka bwe tukkiriza nti bukulu nnyo era bwa mangu gye tuli okuwulira: Omusajja Nga Adduka Okuva Mu Maaso Ga Mukama 65-0217.

Muli ndiga zange. Ekyo kibaawo kitya? Muli baana b’endiga ba Mukama be yampa okuliisa.

Owol. Joseph Branham.

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma

Yona 1:1-3
Malaki 4.
Omut. Yokaana 14:12
Lukka 17:30