Kino ky’ekifo kyange eky’awaka; kino kye kitebe kyange; wano we tuteekeddwateekeddwa. Kati, ekyo kikuume mu birowoozo si nsonga kiki ekibaawo. Kati, bw’oba oli mugezigezi, ojja kubaako ky’okwata. Ka kibeere ki, kino kye kitebe kyaffe, wano wennyini! Era ekyo mukikuume mu birowoozo era mukomengawo mujulize olutambi luno olunaku lumu, nti mumpulidde nga mpa obunabbi. Kirungi, ekyo kijjukire!
Nnabbi yali akola ki? Atereka Mmere. Nga Atereka Emmere tusobole okuba n’Eky’okulya, tusobole okuba n’Eky’okulya nga ekijjulo. Tukifuna ku ntambi zaffe nga tutudde mu kaweweevu k’ekisenge kyaffe.
Yagamba nti mu ggwanga lyonna mwalimu akaduuka kamu kokka akatono, akawanika k’emmere kamu akatono. Yayingiza omwo eby’okulya nkumuliitu; Akabonero, Abusoluuti, Obubonero, Emirembe gy’Ekkanisa Omusanvu, Amaka Agajja, Okukakasa Ekigambo Kye, byonna ku lwaffe, bwetutyo tusigalenga busigazi wano tuwulirize nga amaze okugenda.
Kirabika nga ali ewala nnyo naffe, naye tukyajjukira, ebintu bino bituufu. Buno bwe bulamu bwe tulina okutambuliramu ffekka.
Bw’oba oyagala okuliira ku lujjuliro lwaffe, tukwaniriza okutwegattako, Ssande eno ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda), nga tujja ku Mmeeza okulya nga omugenyi We.
Wuliriza okumpi ekkanisa. Bangi nnyo bategeera bubi, oba tebalina Kubikkulirwa kwa Kigambo. Balowooza tussa bingi nnyo ku musajja. Bw’oba okkiriza mu mazima nti Ow’oluganda Branham ye nnabbi wa Katonda, olwo ggulawo omutima gwo n’emmeeme yo owulirize Bw’atyo bw’ayogera Mukama ky’agamba.
Tusobola kubeera balamu ku buli Kigambo ekiva mu Kamwa ka Katonda kyokka! Katonda akakasizza nti nnabbi waffe ke Kamwa ka Katonda olwaleero. Tumanya tutya nti Kigambo kya Katonda? Yagamba bwatyo, olwo N’akikakasa n’Ekigambo kye.
Ffe Mugole-Kkanisa eyategekebwa mu nnaku ez’enkomerero. Abayitiddwayo okuva mu birala bonna; ekinyonyi ekyo eky’amabala ekitonnyezeddwako amabala ag’Omusaayi gwe.
Taata, emitima gyaffe gibuuka, era omutima gwange gukuba, bwe ndowooza ku ekyo ne mmanyi nti Ebigambo byo bituufu, tewali na kimu ku Byo kiyinza kulemererwa.
Lino lyokka Katonda ly’ataddewo olwaleero. Y’engeri YOKKA ey’obutakyusa Kigambo na kimu. Jjukira, Omwoyo Omutukuvu asobola okujja n’afuka ku muntu amafuta, era ne kiba nga kikyali wabweru wa Kwagala kwa Katonda. TULINA OKUSIGALA N’EKIGAMBO EKYO EKYAKAKASIBWA NNAKABALA.
Bw’oba oyagala okusigala n’Ekigambo ekyo n’okuwulira Eddoboozi lya Katonda wamu naffe, nkuyita okutwegattako Ssande ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda), nga bwe tuwulira: Okukakasa Ekigambo Kye 64-0816.
Tekikwetaagisa kutwegattako wadde okuwulira olutambi lwelumu mu kiseera kye kimu naffe, naye nkulaajanidde, wulira nnabbi wa Katonda.
Ow’oluganda. Joseph Branham
Ebyawandiikibwa by’okusoma nga olukungaana terunnatandika:
Omutima gwange guvulula olw’essanyu bwe ndowooza ku ffe okukuŋŋaana awamu ku Ssande eno okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga lyogera naffe. Tewali ssanyu lisinga mu bulamu bwange okusinga okubeera mu maaso g’Omwoyo Omutukuvu ne mmuwulira ng’ayogera n’Omugole we, mumwa ku kutu.
Tewali kirala mu nsi eno ekindeetera essanyu n’emirembe, wabula Ekigambo kye. Bwe mpulira obuwulizi nti, “Amakya Amalungi Mikwano,” nneetuulira bwetuulizi ntende, ne nzikakkana, ne nnywa okuva mu Luzzi olwo olw’ensulo nga Lwogera nange Ebigambo by’Obulamu Obutaggwaawo. Okulowooza nti, Katonda yamututumira NZE NAAWE, era tuli MIKWANO gya nnabbi era omubaka wa Katonda.
Atwagala nnyo okutuusa nti yatuma nnabbi we okutubuulira byonna ebikwata ku Maka gaffe Agajja. Yali musanyufu nnyo okutubuulira byonna ebigakwatako, n’okuba mu bulambulukufu obungi n’okukira ku Yokaana byeyategeezebwa. Yatubikkulira nti, Si kibuga ekiri mu kikula kya sikweya, wabula kibuga kya piramidi, Omwana gw’endiga mw’anaabeereranga ku ntikko era nga ye Kitangaala ky’ensi.
Yatutegeeza nti enguudo zigenda kukolebwa mu zaabu ate n’amayumba mwe tusula gajja kuba ga zaabu omutangaavu. Kaakano Ateeka buli kantu akatono ddala mu ngeri ddala enaakatwegombesa, gyetwandikaagaddemu. Talina ky’Atakoze. Omwolesi w’endabika z’ebizimbe ow’obwakatonda agizimbidde FFE ffekka, Abaagalwa we.
Abo abaavaayo okuva mu nsi empya wamu ne Nuuwa nnabbi? Abo abaayingira naye mu lyato. Ekyo kituufu? Abo be bakitambulirako. Okiraba? Abo abayingira ne Nuuwa, olw’obubaka bwe, be baatambulira ku nsi empya oluvannyuma lw’okubatizibwa kwayo n’mazzi.
Ayogera ku ffe bannange! Tuli mu Lyato lyaffe olwaleero; Ekigambo kye, Obubaka buno, ne nnabbi Nuuwa waffe. Era eyo ku mutala guli mu Nsi eyo, Ekibuga ekyo Omwana gw’endiga gy’ali Omusana, ajja kuba atumanyi. Tuli bantu be, amayinja ge ag’omuwendo mu ngule. Tuvudde mu Buvanjuba ne Bugwanjuba, ne tujja eri Ekibuga ekyazimbibwa nga obugazi bwakyo n’obuwanvu ku ttaka byenkana. Ekibuga ekyo Ibulayimu kye yali anoonya.
Nga bwe ndaba Ekigambo nga kyekakasa, nkimanyi, awatali kisiikirize na kimu eky’okubuusabuusa, nti amayinja ag’omuwendo ag’engule yange gajja kwakayakana okukira buli kimu mu nsi, ku lunaku olwo.
Tusobola n’okutandika okuteebereza… Nnabbi wa Katonda yagamba nti, YAMANYA, awatali kisiikirize na kimu eky’okubuusabuusa, nti FFE mayinja ag’omuwendo ag’engule ye, era tujja kwakayakana tukire buli kimu mu nsi ku lunaku olwo. Aleluya… Ekitiibwa…Erinnya lya Mukama Lyebazibwe.
Mikwano, bwe tuba tulowooza nti kya kitalo kati, okutuula awamu okuva mu nsi yonna, nga tuwuliriza era nga tulya ku Ekigambo kye mu ntambi zino, kinaaba kitya nga tubeera mu Kibuga ekyo wamu naye!
Nnabbi wa Katonda ajja kuba muliraanwa waffe ow’oku muliraano. Tujja kulya naye ku miti egyo, era tujja kutambulira wamu mu nguudo ezo. Tujja kwambukira mu nguudo ezo eza zaabu paka ku nsulo, tunywe ku nsulo eyo, tutambule twesogge obulimiro bw’ebimuli bwa Katonda, nga Bamalayika beeyiye wonna ku nsi, nga bayimba ennyimba.
Oh, nga luliba Lunaku Lulungi! Lujaamu byonna. Ekkubo lirabika nga ery’akazeerezi n’ebinnya, oluusi bikuufa bizibu nnyo, naye, oh, bijja kundabikira nga buntu butono nnyo bwendimulaba, butono nnyo. Agannyannya agabi agakuyitibwa n’ebintu bye boogedde, ebyo byonna binaaba kiki nga mmulabye mu Kibuga ekyo ekirungi, ekirabika obulungi ekya Katonda?
Mikwano, kumpi sisobola kulinda kulaba, n’okubeera mu Kibuga ekyo. Nneegomba okubeerawo ne Mukama waffe era Omulokozi waffe, ne nnabbi we, era na buli omu ku mmwe.
Ŋŋenda mu Kibuga ekyo ekirungi Mukama wange ky’ategekedde Ababe; Eyo Abanunule ab’emirembe gyonna Gyebayimbira “Ekitiibwa!” okwetooloola Nnamulondo Enjeru. Oluusi mba awo ne nsubwa nnyo eggulu, . N’ebitiibwa byalyo Nze byendilabira eyo; Nga liriba ssanyu nga Omulokozi wange mukubyeko emmunye, . Mu Kibuga ekyo ekirungi ekya zaabu!
Nnyaniriza ensi okujja okutwegattako, mikwano gya nnabbi, nga tukuŋŋaana okwetooloola Nnamulondo ye okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga lyogera naffe ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda), nga bwe tumuwulira ng’atubuulira byonna ebikwata ku: Amaka Agajja Ag’Omugole Omusajja Ow’omu Ggulu N’omugole Omukazi Ow’okunsi 64-0802. Nsobola okukusuubiza, lujja kuba lunaku lwa Kijjulo Makeke mu bulamu bwo.
Tetuli bakookereko, tuli kitundu ku Kigambo kiri nnakabala ekyasooka okufuluma. Omwoyo Omutukuvu yennyini, akyengezza, n’akikasa, ne yeeyoleka gye tuli. Tukikkirizza mu bujjuvu bwakyo, mu maanyi g’okulabisibwa kwakyo n’okubikkulirwa kw’ekyo kye kiri, era ne tufuuka ekitundu ku kyo. Kitusingira obulamu.
Kitabudde ba kabona okulaba abantu nga bava mu masinzizo ne bagenda okuzannya entambi. Baagamba nti, “Singa omu ku mmwe agenda mu nkungaana, mujja kugobwa mu kibiina, tujja kubafulumya ekibiina kyaffe”.
Eky’okuddamu kyabwe kye baabaddamu: Oyinza okutusumulula, kasita tugenda mu buli ngeri yonna! Tuli mu lugendo ne Mukama waffe Yesu, Olwazi lwaffe olwakubibwa, nga tulya Emmere ya malayika, emmaanu eyaterekebwa eyagwa okuva waggulu, era nga tunywa ku Lwazi. Tetulina kweraliikirira kyetunywa, Si kirala wabula EKIGAMBO EKIRONGOOFU.
Tuwangaalira ku luzzi olwo olwefukumula lwokka buli lunaku! Tetulina kusika, kusima, kupika oba ekintu kyonna; kugabana bugabanyi ku kubo lye eryaweebwa, eriweebwa obuwa, kyokka. Osobola okutwala enkola zo zonna ezaakolebwa omuntu z’oyagala, enzizi zo zonna enkadde ezaalegama; ku lwaffe, tutuuse ku Nsulo ye ennongoofu. Yo ly’Essanyu lyaffe. Kye Kitangaala kyaffe n’Amaanyi gaffe.
Ye Mazzi gange. Ye Bulamu bwange. Ye Muwonya wange. Ye Mulokozi wange. Ye Kabaka wange. Buli kimu kyonna kye nneetaaga kisangibwa mu 0Ye. Kiki ekiyinza okunjagaza okugenda eri ekintu ekirala kyonna?
Ku lwaffe tewali walala we tuyinza kulaga okuggyako butereevu ku Nsulo Katonda gyeyatuwa. Tekyitwetaagisa nako kweraliikirira kye tunaanywa. Tekyitwetaagisa na kussaako kaziina ka kawero okusengejjamu agantu aganene agakulukutiramu, naye ne kayitamu kazambi w’oluzzizzi luli. TUFUNA BUFUNYI MAZZI G’ENSULO AGALIMU EBIRUNGO N’EBIRIISA BYONNNA BYETWETAAGA.
Atugumizza: Abaana bange abato, temuddamu kweraliikirira, mulina obujulizi obwa nnamaddala obw’okubeera n’Omwoyo Omutukuvu. Munkakasizza nti mukkiriza buli Kigambo. Mukisembezza, MMWE BANGE. TULI OMU. MWAMI NA MUKYALA.
Mbajjira mu kaseera katono, mu kutemya kw’ekikkoowe. Mbategekera Amaka amaggya. Mujja kwagala nnyo ka finisingi kenjiyooyoose. Nkimanyi nti kibazibuwalira nnyo kati, era mulina ebigezo bingi n’okugezesebwa era emigugu gyammwe mitizo. Naye temwerabira, temulina kya kweraliikirira kyonna, mbawadde Ekigambo kyange. Ggwe Kigambo kyange. Nnakukolera dda buli kimu. Yogera Ekigambo era tobuusabuusa. Beera n’Okukkiriza kwo, kw’okwo nga ne Nabbi Wange yakuwa Okukkiriza kwe.
Nnandyagadde mutwegattako Ssande ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda), okuwulira 64-0726E Ttanka Z’omu Ttaka Eziwomoggose, era tunywe ku Luzzi luno olw’Ensulo nga bwe luvulula Kigambo kyereere Ekirongoofu ekiteetaaga busengejja.
Njagala buli omu amanye lwaki tuli basanyufu nnyo!!
Tukkirizza Ekigambo kya Mukama. Ekigambo ekibikkule ekyayogerwa nnabbi wa Katonda owa Malaki 4. Ffe Mugole wa Yesu Kristo. Yeffe abasigadde abeesigwa eri Eddoboozi lye eryakakasibwa. Yeffe b’Awadde Luulu ey’omuwendo omunene, Okubikkulirwa okw’amazima okw’Obubaka bwe n’omubaka we.
Katonda atutte Ekigambo kya nnabbi we n’atemayo Omugole akkiriza buli nnukuta na buli katonnyeze. Atutemyeyo, nga bwe yasuubiza nti ajja kukola. Yeffe ndiga za Katonda, era tuwulira Eddoboozi lya Katonda lyokka! “Endiga zange ziwulira Eddoboozi lyange,” nga bwe tunyiga Zannya.
Tukuŋŋaanyiziddwa okuva mu bitundu by’eggwanga byonna; okuva e New York, okuva e Massachusetts, okutuuka e Boston, Maine, Tennessee, Georgia, Alabama, n’okwetooloola eggwanga. Okuva mu Afrika okutuuka e Mexico, Bulaaya okutuuka mu Australia, tukuŋŋaana wamu, wansi w’Obubaka Bumu, Eddoboozi limu, era Liri mu kugatta Omugole olw’Okukwakkulibwa.
Nabbi waffe, omubaka wa Katonda, Omwana w’Omuntu nga yeebikkula mu mubiri, aleekaanira waggulu nti, “Sitaani, vva mu kkubo lyange, nnina Obubaka bwa Kabaka. Nze Mubaka wa Kabaka. Nnina Ekigambo ekikakasibwa ekya leero. Nnategekebwa dda okukoowoolayo n’okukulembera Omugole We.”
“Nzigyayo abantu ba ssekinnoomu, nga mbatema okuva mu bintu bino. Okubaggyamu; okubalaga, mu Byawandiikibwa, nti Katonda ayimiridde wano; n’okukakasibwa kw’Empagi ey’Omuliro.”
Katonda yakitegeera nti ku nsi waliwo abantu be yali yayawula edda okubeera n’Obulamu. Yategeera nti kye kyali ekiseera okutuma omubaka we okuyitayo Omugole we, bwatyo n’akikola. Ffe tukitegedde. Ffe be yali amanyi nti tujja kukkiriza buli Kigambo.
Ibulayimu yakitegeera nti Katonda yali ayogera naye ng’ayita mu mubiri gw’omuntu. Yategeera akabonero ke n’amuyita M-U-K-A-M-A, Elohim, era n’aweebwa Mukama omukisa. Tukitegedde nti nga bwe kyali ku lunaku olwo, bwe kityo bwe kiriba Omwana w’Omuntu bw’aliyolesebwa, Elohim, ng’ayogera okuyita mu mubiri gw’omuntu.
Tuli kitundu kye, n’ Omwana we, era tujja kusigala naye emirembe gyonna. Si lwa kuyitibwa kwaffe oba okulonda kwaffe, wabula lwa kulonda kwe. Tetwalina kya kukola kyonna ku nsonga eyo. Y’oyo eyatulonda ng’ensi tennatondebwawo.
Ne bw’obuulira otya, kyonna ky’okola, tekiyinza kwengera, tekiyinza kwolesebwa, tekiyinza kukakasibwa; okujjako ku lw’oyo yekka Eyagamba nti, “Nze Musana gw’ensi,” Ekigambo. Kale wajja kujja a—a—Amaanyi, Omwoyo Omutukuvu yennyini, okwengeza, oba okukakasa, oba okulaga nti kituufu, oba okwolesa ekyo kye yalagula nti kiribaawo mu lunaku luno. Ekitangaala eky’akawungeezi kye kileetera ekyo okubaawo. Nga kiseera kikulu!
Yatulaba mu kwolesebwa nga tuyita mu maaso ge. Twali mu mbeera y’emu Omugole gye yalimu ku ntandikwa, Alfa ne Omega. Yali atunuulira abamu nga baddiriza ebigere oba nga bakyamya enta, era ng’agezaako okubakomyawo, naye ffe twali tukuba enduulu nti, “Tuwummulidde kw’ekyo.”
Weetegereze, “Nga Yane ne Yambere nabo bwe baaziyiza Musa,” ajja kujjirako, abamu ku bo. Si, kati, tayogera ku Methodist, Baptist, wano; bavudde mu kifaananyi. Olaba? “Naye nga Yane ne Yambere bwe baaziyiza Musa ne Alooni, bwe batyo bwe bajja okuziyiza; omuntu eyayonooneka amagezi ge ku bikwata ku Mazima,” akyamiziddwa mu bigunje n’enjigiriza z’ekkanisa, mu kifo kya Baibuli.
Tulina kubeera beegendereza kwenkana wa okusigala n’Ekigambo ekituufu, ekikakasibwa eky’olunaku lwaffe. Bulijjo tulina okujjukira n’okutegeera ani Ekigambo gwekijjira. Ani muvvuunuzi yekka ow’Ekigambo ow’obwakatonda? Kigambo eky’ennaku zaffe y’ani?
Omwoyo wa Katonda, nga kye Kigambo kya Katonda, “Ekigambo kyange gwe Mwoyo era Bulamu,” Ajja kuteeka Omugole mu kifo kye. Kubanga, Ajja kutegeera ekifo kye mu Kigambo, olwo Abeere mu Kristo, ajja kumuteeka mu kifo kye.
Oyitibwa okujja okuwuliriza Eddoboozi lya Katonda lyokka erikakasibwa olw’olunaku lwaffe, era omanye ekifo kyo mu Kigambo era oteekebwe mu kifo kyo nga bwe tuwulira Elohim ng’ayogera okuyita mu nnabbi we era nga Atuleetera Obubaka: Okutegeera Olunaku Lwo N’Obubaka Bw’Alwo 64-0726M, ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda).
Buli Ssande tuba tukungaana ne tuwuliriza Obuweereza Obw’obuliwo obusinga okuba obw’ekitalo mu byafaayo by’ensi. Tubeera mu kiseera ekisinga okuba eky’ekitiibwa nga tusisinkana awamu okuwulira Eddoboozi lya Katonda! Ye Yesu, Omwana wa Katonda, nga Yeebikkula okuyita mu Byawandiikibwa, ng’afuula Ekyawandiikibwa ekyategekebwa edda olw’olunaku lwaleero, nga bwe kyali mu lunaku lwe, n’ennaku endala zonna, okubeera ekiramu. Era okukikkiriza ekyo, bwe bukakafu bw’Omwoyo Omutukuvu.
Obukakafu obw’annamaddala obw’okubeera n’Omwoyo Omutukuvu si kugenda mu kkanisa buli Ssande kyokka; Kwe kuba nga okkiriza nti “Nze Wuuyo,” Ekigambo ky’olunaku lwo. Ekigambo kya leero ki? Nabbi wa Katonda kye Kigambo kya leero era ye ow’okukomyawo abantu ku Kigambo, Omugole asobole okumanya Bba, amanye Balo, Ekigambo ekibikkuliddwa.
Obulamu bwe bwennyini, ebikolwa bye, bibikkula era ne bikakasa Ekigambo eky’olunaku luno.
Ye Mwoyo Omutukuvu nga akomyewo mu Kkanisa nate; Kristo, yennyini, nga abikkuliddwa mu mubiri gw’omuntu, mu kaseera ak’akawungeezi, ddala nga bwe yasuubiza nti Alikola. Nkimanyi nti ekyo kibalakira mu ngeri emu, katono, naye olina okusoma wakati w’ennyiriri n’olaba, ekyo kireetera ekifaananyi okuvaayo.
Nkimanyi nti abantu bangi ekyo bakyawukanako, naye mmanyi nti kyekino. Nze nkimanyi. Si lwakuba nti ngamba nti okyogera; kubanga, saakijje ku nze kennyini. Ebi -ebirowoozo byange —ebirowoozo byange si byange. Kyonna kyekiri ekyangambye, bwe kiba nga kikyamu, olwo kiba kikyamu. Naye sikibuulirira mu buyinza bwange nga nze, nkibuulira nga nkozesa Omuntu omulala by’agambye. Omuntu oyo omulala ye Katonda eyayogera naffe n’akola ebintu bino byonna by’akoze, n’atulabikira, olaba, kale nkimanyi nti kituufu.
Tukitegeera nti okuzannya entambi mu maka gammwe oba mu makanisa gammwe si kya buli muntu, naye kyaffe, Y’ENGERI YOKKA. Twagala nnyo okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga lyogera butereevu naffe. Tetwetaaga kuvvuunula oba kunnyonnyola kwonna; ye Katonda nga ayogera mimwa ku kutu gye tuli.
Ssande eno tugenda kuba tuwulira Katonda ng’ayogera era atubuulira engeri gye yatulagamu eri nnabbi we n’atulengera ku ludda luli. Engeri Omugole oyo gye yali amwekaliriza amaaso, ng’ayogera naye, era twali tuyimiridde wamu naye. Twali tutambula bulungi mu maaso ga Mukama.
Olwo Katonda n’ayogera ng’ayita mu nnabbi we n’alagula omulundi omulala n’agamba nti:
Wayinza okubaayo abamu ebweru okwetoloola amawanga, okwetoloola ensi yonna, okuba nti n’olutambi luno lwandibasisinkana mu maka gaabwe oba mu makanisa gaabwe. Tusaba, Mukama, nti ng’olukungaana lugenda mu maaso, ku—ku…oba ng’olutambi luli mu kuzannyibwa, oba kifo ki kye tunaabeeramu, oba —oba embeera, leka Katonda omukulu ow’Eggulu asseemu ekitiibwa obwesimbu bw’emitima gyaffe buno enkya ya leero, era Awonye abalina obwetaavu, Abawe bye beetaaga.
Bw’oba owuliriza Entambi, era ng’okkiririza nti ly’Eddoboozi lya Katonda ery’olunaku lwaffe, olwo kyonna ky’oyinza okuba nga weetaaga, Katonda ajja kuba ayogera ng’ayita mu mubaka we Agambe nti, “Bawe kyonna kye beetaaga.”
Engeri yokka ekyo okusobola okubaawo eri mu kuyita mu KUNYIGA ZANNYA mukwano gwange.
Bw’oba ng’oyagala okuwulira Katonda ng’ayogera era ng’Avvuunula Ekigambo kye Ye, nga Yeebikkula okuyita mu mubiri gw’omuntu, era ofune kyonna kyeweetaaga, jangu otwegatteko Ssande eno ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda), nga bwe tuwulira Katonda ng’ayogera naffe nga tuwulira: Embaga Ey’Amakondeere 64-0719M.
Nnyinza ntya okubawandiikira leero ne sibajjukiza omusumba waffe bye yayogera ku buli omu ku ffe ku Ssande ewedde?
Naye okumanya nti wonna we nnyinza okugenda…teriiyo—kibinja kyonna ku nsi, kye mmanyi, ekiyimirira wamu nange ng’ekibinja kino. Ka—Katonda Atukuume nga tetwawukanye olwo, okutuusa nti, ne mu Bwakabaka obujja, tubeere eyo ffenna wamu; kwe kusaba kwange okwo.
Tewali kibinja ku nsi ekiyimirira okumpi ne nnabbi wa Katonda, n’Obubaka Katonda bwe yayogera ku ntambi, nga ffe. Era olw’okuba tukola tutyo, tujja kuba tetuyinza kwawukanibwa mu Bwakabaka obwo obuggya nga tuli wamu naye ne Mukama waffe Yesu Kristo. Tekiyinza kulungiwa kukira awo!
Zino ze nnaku ezisinga obukulu mu bulamu bwaffe. Tuli bamativu ddala n’okubeera abasirusiru ba Kristo n’Obubaka bwe obw’ekiseera eky’enkomerero. Okuyitibwa abazoole kubanga tukkiriza buli Kigambo ku ntambi ezo ne tugamba nti, NYIGA ZANNYA.
Tuli ba kkanisa Emu yokka bw’eti. Tetwagyegattako, twagizaalibwamu. Buli wiiki tukuŋŋaana okuva mu nsi yonna ne tukola omukwano ne Kristo ne tugamba nti, “Oo, nga nkwagala nnyo ‘Yesu!’”
Twandiba abazoole eri ensi, naye Kitaffe atuwadde Okubikkulirwa kwe ku mulembe gwaffe, Katonda ng’aliko olususu, era okwo kutusise, ffe Omugole we, gy’ali.
Twagala bwagazi engeri gye kiri eky’angu, naye ate mu kiseera kye kimu, engeri obugeri gye kiri eky’obuziba. Naye olina okuba n’Okubikkulirwa okukiraba, era TUKULINA.
Yekweka mu kibikka ky’omuntu, mu Kkanisa ye, nga yeeyoleka olw’okukkiriza kwo n’okukkiriza kwange, awamu, nga kujja awamu, okukola obumu bwa Katonda. Siyinza kukola kintu kyonna awatali ggwe; tolina ky’oyinza kukola we ssiri; era ffembi tetulina kyetusobola kukola awatali Katonda. Kale, omugatte gwaffe gukola obumu, okuyungibwa. Katonda Yantuma olw’ekigendererwa; ggwe okikkiriza; era awo ne kibeerawo. Kiri bubeezi bwekityo, laba, nga kikakasiddwa butuukirivu ddala.
Tulinga abasajja abaali batambulira ku luguudo oluva e Emawo ku lunaku olwo. Tumuwuliriza ng’ayogera naffe okuyita mu lunaku. Olwo netumuyita mu maka gaffe tusobole okuggalwa munda naye yekka. Olwo n’Akola ekintu Ye yekka ky’Asobola okukola, Amenya Omugaati ogw’Obulamu obutaggwaawo. Tumutegeererawo mu kaseera ako. Olwo ne tugamba nti, emitima gyaffe tegyabadde nga gitutyemuka munda mu ffe nga Ayogera naffe mu kkubo.
Buli wiiki tukuŋŋaana n’okwesunga okw’amaanyi, nga twebuuza nti, “Kiki ky’agenda okutubuulira n’okutubikkulira wiiki eno”. Tujja kugabana okunokola buli omu ne munne era tukyogereko wiiki yonna. “Mwamuwulira bwe yagamba”:
Muganda wange tolowooza bubi ku kino, naye lowoozaayo akadakiika. Bw’Aba nga Yamuggyamu, ekitonde nnakabala, okumukolera Omugole, takolangayo kitonde kirala. Yaggyamu kitundu kya kitonde nnakabala. Olwo, oba nga Ye Kigambo, Omugole ateekeddwa kubeera kiki? Kiteekeddwa kubeera Ekigambo nnakabala, Katonda omulamu mu Kigambo.
Yogera ku jubireewo y’okulya emmere kawoomera. Tuli kitundu ku kitonde nnakabala. Tuli kitundu kya Kigambo nnakabala. Katonda abeera mu ffe. Ffe mulimu gwe ogw’ekikugu. Ffe ekibiina ekiyimirira okumpi ennyo ne nnabbi we. Tetuyinza kwawukanyizibwa okuva ku nnabbi we ne Mukama waffe Yesu Kristo. Tuli OMU naye.
Naawe bw’oba oyagala omutima gwo okukutyemuka munda yo nga bwe kibeera mu gyaffe, jangu otwegatteko Ssande eno ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda), ng’ekitundu ky’Omugole kikunŋŋaana ne kimuyita okujja mu maka gaffe, ne mu makanisa gaffe, nga bwe tuwulira Katonda ng’ayogera era n’atubikkulira Ebigambo by’Obulamu obutaggwaawo, nga bw’atuleetera Obubaka: Omulimu Ogw’ekikugu 64-0705.
Omugole W’Okubeerawo Kwa Katonda Okuwulikika Abaagalwa,
Nga emitima gyaffe n’emyoyo gyaffe gyayimusiddwa okutuuka ku ddaala empya nga twabadde tukuŋŋaanye wamu okuva mu nsi yonna, nga tuwuliriza Eddoboozi lya Katonda nga lyogera okuyita mu mubaka we era nga liddamu okutukakasa, kye tuli.
Yebikka leero, mu bibya eby’ebbumba, n’okubeerawo kwa Katonda okuwulikika. Kungulu balabika nga ekibinja ky’abatukuvu abeevulungula, ensusu z’eŋŋonge enkadde, naye munda mukwekweddwamu Ekitiibwa Kya Katonda ekiwulikika.
Ekitiibwa kya Katonda! Munda mu ffe mukwekeddwamu Ekitiibwa ky’okubeerawo kwa Katonda ekiwulikika. Tugenze emabega w’eggigi era tusobola okulaba Kristo nga Ayeruddwa bulungi.
Leero, Katonda takolera mu muntu, akola okuyita mu muntu. Yali akolera mu Musajja mu kiseera ekyo, Yesu. Kati, akola ng’ayita mu muntu gw’alonze olw’ekigendererwa kino. Katonda, mu kikula ky’omuntu; Yeekyusa okuva mu kikula kya Katonda, n’adda mu kikula ky’omuntu.
Katonda yennyini yalabikira mu kikula ky’omuntu, eri ezzadde lya Ibulayimu ery’omubiri, nga okuzikirizibwa tekunnabaawo, era Yesu n’Agamba nti kijja kuba ekintu kye kimu eri ensigo eno ery’obwakabaka nga Omwana eyasuubizibwa tannadda.
Katonda azzeemu okulabika mu kikula ky’omuntu, nga bwe yasuubiza nti ajja kukikola. Ye Katonda nga Yeekwese emabega w’eggigi ly’omubiri oguyitibwa William Marrion Branham. Okujjako nga ogenze emabega w’ekibikkako ekyo n’olaba Katonda, so si muntu, osubiddwa pulogulaamu ya Katonda yonna.
Abantu abamu bagamba nti, “Bantu mmwe, mufuula Ow’oluganda Branham katonda”. Umm, tulowooza nti ekyo kiringa ekitalina buzibu. Tukimanyi nti bagezaako bugeza kutusangamu nsobi. Tukimanyi nti ekyo tetwakikola. Naye era tukimanyi nti tebaakitegeera, kubanga bali ku ludda olulala olw’olususu, tebazze mabega wa kibikkako.
Tusobola okugamba bulungi nti, “Kale, ekyo tekiri wala nnyo okuva ku Kigambo kya Katonda, si kyo?” Twagala kubategeeza butegeeza nti tetubuze. Tumanyi wa we tuyimiridde. Tumanyi ekika ky’amaato kye tutaddewo, na empewo kika ki eri mu kutufuuwa. Tumanyi enjola ze tulina, ne ennatti yaffe ky’eri. Era tumanyi wa we tuyimiridde.
Katonda bwe yeeyoleka mu nsi, yali yeekwese emabega w’ekibikkako, emabega w’olususu lw’Omuntu ayitibwa Yesu. Yabikkibwako era nga Yeekwese emabega w’olususu lw’omuntu ayitibwa Musa, era baali bakatonda so si Ba Katonda; naye baali Katonda, Katonda omu, nga akyusa bukyusa akakookolo ke yali yeesibyeko, nga akola ekintu kye kimu mu buli mulundi, lwe yaleetanga Ekigambo kino.
Tusaliddwako enjola z’Ekigambo, Obubaka ne nnabbi w’ekiseera, era ziri mu kutusika nga zitutwala mu Maka gaffe ag’omu Ggulu. Tuli bantu abatategeerekeka eri ensi, naye Katonda yatutumira ennatti esika Omugole We okuva mu kavuyo kano, nga emuzza mu kubeerawo kwa Katonda. Tuli ennatti esaliddwako enjola z’Ekigambo.
Katonda, ng’aliko olususu! Kiyinza okuwulikika ng’obuzoole, eri ensi, naye nga nnatti eno eri mu kuwalulira bantu gy’ali bonna.
Obubaka buno ye maanu eva mu Ggulu, Emmere y’abakkiriza eya ffe ffekka, era buli mu kusika Omugole we gy’ali. Ekitiibwa ky’okubeerawo kwa Katonda okuwulikika, ekyabeeranga waggulu w’omugaati ogw’okulaga, kyagukuuma obutayonooneka.
Katonda ataddewo Ekkubo eri leero, Obubaka buno n’omubaka we; Katonda nga abikkiddwako olususu. Kati Katonda nga Yeekwese mu ffe, Omugole we, y’asobola okulya Eddoboozi lya Katonda erirongoofu lyokka erikakasiddwa Empagi y’Omuliro.
Tetuwakanya buweereza bwa mirundi etaano, kikafuuwe, Katonda abayise mu buweereza. Bagoberera era bakola nga Omwoyo Omutukuvu bw’abakulembera. Tukola bukozi nga Omwoyo Omutukuvu bw’atukulembera okukola era akulembera era n’okutulungamya okusigala na ntambi zokka.
Eri ffe, ENGERI YOKKA EY’OKWULIRAMU: “BULI KIGAMBO,” “SI KIRALA KYONNA OKUJJAKO EKYO OLUTAMBI KYE LWOGERA,” “KYENNYINI ENTAMBI ZE KYOGERA,” KWE KUNYIGA ZANNYA NE TUWULIRA ENTAMBI.
Kale tukwaniriza ojje owulirize kyokka entambi ze kyogera ku Ssande ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda), era ofuuke Omuntu Atategeerekeka wamu naffe nga bwe tuwulira Obubaka: Omuntu Atategeerekeka 64-0614E
Buli sabbiiti yeeyongera okubeera ey’ekitalo. Ku Ssande, twafuna omukisa okutunula, n’okusalawo, KIKI KYE TWAALABA? Twalaba muweereza, NEDDA! Twalabye musumba waffe, NEDDA! Bwe twatunudde okusukka ekibikkako eky’omubiri gw’omuntu twalabye Yesu Kristo nga Yeebikkula era nga Yeeyoleka.
Nga bwetubadde tuwuliriza entambi nga bwe zizze zibaako, Kyeyongeredde ddala okufuuka eky’olwatu, bw’oba olina amatu okuwulira n’amaaso okulaba. Kati tulaba Katonda mu lwatu. Ekibikkako kiyuziddwa, era tulaba Katonda ng’ayimiridde mu lwatu mu maaso gaffe, Empagi y’Omuliro nga yeeyolekera mu lwatu.
Abamu kibazibye amaaso, naye gye tuli, Kitubikkulidde Amazima. Katonda agulumizza omubaka we mu maaso gaffe, nga bwe yakola ku Musa.
Temukyali mabega w’eggigi eryo Abato, Katonda azze mu maaso gammwe mu bujjuvu.
Kiki ekyo? Obulamba bwa Katonda nga bubikkiddwa mu mubiri gw’omuntu. Katonda, mu kifaananyi ky’omuntu, nga yekweka baleme okumulaba. Basobola okulaba omusajja yekka ne bagamba nti nnabbi wa Katonda akola ensobi, yatuuka n’okukyogera ye kennyini, ng’agezaako okuyigiriza abantu nti waliwo ensobi ku ntambi. Naye eri ffe Omugole We Eyayawulibwa edda, tulaba era ne tuwulira Katonda nga temuli nsobi.
Omu yalaba omuntu, omulala n’alaba Katonda. Okiraba? Era yali Katonda nga Abikkiddwako mu muntu, ekifuula abalabi bombi okubeera abatuufu, naye okukkiriza kwo mu ekyo ky’otolaba.
Ku lwaffe, tujja kukkiriza era tugoberera ensobi za nnabbi wa Katonda eyakakasibwa, bwe ziba zaaliwo, nga tetunnatwala na kukkiriza Bw’atyo bw’Ayogera Mukama we.
Musa teyalina kukuba Lwazi mulundi gwakubiri. Omwoyo ogwo gwe gumu gwandigambye ku lunaku olwo nti, “Laba, Musa akola ensobi.” Naye amazzi era gajja mu ngeri yonna, era bw’otonywanga ku kye baayita ensobi ya Musa, wafanga. Bwe kityo bwe kiri ne leero. Ebirumiriza biyitirivu nnyo.
Musa yalina Ekigambo. Kati jjukira, oluvannyuma lw’Ekigambo okwolesebwa, Musa yafuuka Musa nate. Olaba? Naye Ekigambo ekyo bwe kyali kikyali mu ye okukifulumya, ye yali Katonda; bulungi, yali takyali Musa.
Ow’oluganda Branham yalina Ekigambo. Ekigambo bwe kyamala okweyoleka, Ow’oluganda Branham yali Ow’oluganda Branham nate, naye ng’Ekigambo ekyo kikyali mu ye okuweebwa abantu ku lutambi, yali Katonda; teyali waluganda Branham. Bwetutyo tuyiga, ebiri ku ntambi bye bigambo bya Katonda, era tewali nsobi mu bigambo bya Katonda.
Tetukoma ku kukikkiriza kyokka, wabula tukibeera. Abasigadde bonna bwe batambula okukivaako, tusigala nakyo! Tukikkiriza! Si nsonga omuntu omulala yenna ky’akola oba ky’ayogera, tukikkiriza era ne tukikolerako. Bw’otokikola, olwo tokikkiriza.
Bwentyo nange bwengamba, mu Linya lya Yesu Kristo: Togattako kintu kimu, totwala, oteekemu ebirowoozo byo, Yogera bwogezi kiri ku ntambi ezo, kola bukozi ekyo kyennyini Mukama Katonda ky’Alagidde okukola; toyongerako ku Kyo!
Nyiga zannya era okkirize BULI KIGAMBO nga Katonda bwe yatulagira okukola. Ye Katonda nga Ayogera kamwa ku kutu eri Omugole we.
Katonda takyusa, era tasobola, kukyusa pulogulaamu ye. Ye Yesu Kristo aba obumu jjo, leero n’emirembe gyonna. Bwe kityo, ku lwaffe, nnabbi we eyakakasibwa, William Marrion Branham ly’ Eddoboozi lya Katonda eryaffe, era Ekigambo Ekiramu eri olunaku lwaffe.
Kati si Kigambo kyokka ekiwandiikiddwa gye tuli, wabula mazima. Tuli mu Ye. Kati tunyumirwa. Kati tumulaba. Kati tulaba Ye, Ekigambo, nga Yeeyoleka. Kikwekeddwa, ebweru awo, kubanga (lwaki?) Kibikkiddwa mu mubiri gw’omuntu. Okiraba?
Ne bwe kiba ki, tebakiraba. Lwaaki? Tekyabaweerezebwa.
Olw’okuba okiraba, oli mwetegefu okuwulira ng’akugamba omulundi omulala KIKI KY’OLI? Bw’atunula wansi okuva ku bbugwe w’Ekitiibwa n’akulaba, ani gw’alaba?
*Ndaba Ekigambo nga kyolesebbwa. Kye yagamba nti agenda kukola mu nnaku zino ez’enkomerero, ndaba nga kikula. Ndaba abaana nga balya Omugaati ogwo ogwa Amaanyi Agawulikika nga guva mu kwengera kw’Ekigambo ekyo, abo abakikkiriza. Amiina!
*Olwo ne tufuuka ekitundu kye, engeri gyetubeera ekibikkako ekimubikka. Muli kitundu ku Ye, kasita Kristo abeera mu mmwe, nga Kristo bwe yali ekitundu ku Katonda. Kubanga Katonda yali mu ye, yamufuula Katonda. Era nga Kristo bw’Ali mu mmwe, essuubi ery’Ekitiibwa, mufuuka ekitundu ku Kristo.
*“Mmwe,” Kyagamba, “muli bbaluwa empandiike,” oba, “mmwe Kigambo, ekyawandiikibwa, nga kyayolesebbwa,” tewali kiyinza kwongerwako ku Kyo. Toyinza kugamba nti, “Ndi bbaluwa empandiike,” n’owangaalira mu kika ky’ekintu ekirala ekitali Kino kyekyawandiika edda, kubanga tewali kiyinza kwongerwako oba okuggyibwako.
Erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo lyebazibwe. ATULABA. TUMULABA. Ffe Kigambo kye ekyolesebbwa leero.
Jjangu otwegatteko ku Ssande ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda), nga Katonda bw’ayimirira mu maaso gaffe; Empagi ey’Omuliro ebikkiddwa mu mubiri gw’omuntu, n’eyogera gyetuli Ekigambo kye tulina okubeerako ku lunaku luno. Ky’ Ekitiibwa ekiwulikika n’obusimu bw’omubiri nga kitukuza. Omugaati ogw’okulaga eri omukkiriza.