All posts by admin5

24-0609 Leero Ekyawandiikibwa Kino Kituukiridde

Obubaka: 65-0219 Leero Ekyawandiikibwa Kino Kituukiridde

PDF

BranhamTabernacle.org

Omugole Ensigo Ennangira Ey’Omwoyo Okukirawo Abaagalwa,

Tewakyali kulinda, tewakyali kwebuuza, TUTUUSE! YEFFE Mugole Ensigo Ennangira Ey’Omwoyo Okukirawo. Ezzadde ery’Omwoyo eryajja eri Omulangira w’Obwakabaka eyasuubiza. Si kibinja ekimu ekiribaawo mu biseera eby’omu maaso; si omulembe ogugenda okujja; tuli mu lunaku olusembayo, ffe mulembe ogugenda okulaba Yesu Kristo ng’Akomawo ku nsi.

Olunaku luno, Ekyawandiikibwa Kino Kituukiridde!

Enjiri y’emu, Amaanyi ge gamu, Omwana w’omuntu Y’OMU eyaliwo jjo, w’Ali leero, era Ajja kubeerawo emirembe gyonna.

Leero, Ekyawandiikibwa Kino Kituukiridde!

Mikwano gyaffe abaagalwa mu Arizona, California, Texas, wonna okwetoloola Amerika n’OKWETOOLOOLA ENSI YONNA nga muwuliriza olutambi luno okuyita ku mukutu ogw’oku mpewo; Omwana wa Katonda y’omu eyajja mu buvanjuba ne Yeekakasa okubatalekaawo kabuuza nga Katonda Ayolesebbwa mu mubiri, ye Mwana wa Katonda y’omu mu kitundu-tundu ky’ensi eky’omu bugwanjuba wano, Ali mu kwemanyisa ky’Ali mu masekkati g’ekkanisa ekiro kino, aba obumu jjo, leero, n’emirembe gyonna. Ekitangaala ky’Omwana eky’omu kawungeezi kizze.

Leero, Ekyawandiikibwa Kino Kituukiridde!

Eddoboozi lya Masiya, eryali Liyimiridde nga Lyogererera ku kadaala mu Lunaku Lwe, nga Lyemanyisa n’Ekigambo ky’ekisuubizo eky’omulembe ogwo, lye Ddoboozi lye limu erya Masiya, nga lyogera n’Omugole we leero okwetoloola ensi yonna ku ntambi, nga Litugamba: Mba bumu jjo, leero n’emirembe gyonna. NZE Eddoboozi lya Katonda gyemuli. MMWE MUGOLE WANGE ENSIGO ENNANGIRA EY’OMWOYO  asigadde n’Ekigambo kyange.

Leero, Ekyawandiikibwa Kino Kituukiridde!

Waliwo akajagalalo kangi nnyo mu bantu ennaku zino ne kiba nga balemererwa okulaba Amazima ga Katonda. Kiva ku kuba nti waliwo enzivuunula z’Ekigambo kya Katonda ezikoleddwa abantu nnyingi nnyo. Katonda teyeetaaga muntu yenna kuvvuunula Kigambo kye. Ye muvvuunuzi We Yennyini. Yatumira Omugole We nnabbi We Malayika ow’ennaku z’Eddoboozi owa Okubikkulirwa 10:7 okuvvuunula Ekigambo kye. KIRI BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA.

Leero, Ekyawandiikibwa Kino Kituukiridde!

Ogamba nti, “Ssinga nnaliwo nga Yesu ali ku nsi, nnandikoze kino na kino.” Munaaye, ogwo tegwali mulembe gwo. Wabula, guno gwe mulembe gwo, kino kye kiseera kyo. Ddobozi ki ly’ogamba nti lye Ddoboozi lya Katonda? Ddoboozi ki erisinga obukulu gy’oli?

Leero, Ekyawandiikibwa Kino Kituukiridde!

Sitaani alawuna wonna nga bwe kitabangawo nga alumba Omugole we. Ayinza okukuleetera okulowooza nti olina obulwadde oba ekika ky’obulwadde, oba okulumba ab’omu maka go. Oluusi Katonda aleka ebintu okukwata ekizikiza ekikwafu ddala okutuusa nga tosobola kulaba biri waggulu bikwetoolodde, oba awantu awalala wonna. Olwo n’Ajja n’Akukolera ekkubo okubiyitamu, osobole okugamba nti, “Siri zzadde lya Kaggali, siri zzadde lya Saala, n’okuba siri zzadde lya Maliyamu, ndi Nsigo Ya Katonda Ennangira Ey’Omwoyo Okukirawo Eya Ibulayimu. Ntwala Ekigambo kya Katonda ekyasuubizibwa ku lwange, kiri Bw’atyo Bw’Ayogera Mukama. Sirisigulwa. Si nsonga kifaanana kitya, kiki sitaani ky’ayogera. Kyonna kye nneetaaga, nja kutwala Katonda nga Ekigambo kye bweKiri.

Leero, Ekyawandiikibwa Kino Kituukiridde!

Eddoboozi lya Katonda Lyogedde. Nterese Emmere yonna ey’Omwoyo gye mwetaaga. Mwogere KYOKKA ekiri ku ntambi ezo. Nze Eddoboozi lya Katonda gye muli. Ekigambo kyange tekyetaaga kuvvuunula. Temuyomba wadde okulwana, mwagalane, NAYE musigale n’EKIGAMBO KYANGE.

Leero, Ekyawandiikibwa Kino Kituukiridde!

Tokeŋŋentererwa. Tonyigirizibwa kuggwamu maanyi. Toleka sitaani kukunyagululako SSANYU lyo. Jjukira kiki ky’oli, wa gy’ogenda, butya bwe kigenda okuba ku Ekyeggulo ekyo mawuuno eky’Embaga Ey’Obugole. Okubeera mu Kibuga ekyo ekirabika obulungi Ye Ky’Azimbye lwansonga emu ggwe. Eyo gy’ogenda okuwangaalira mu Butaggwawo bwonna naye wamu na bano bonna abatusooseeyo.

Nga tewakyali bulwadde. Nga tewakyali nnaku. Nga tewakyali kufa. Nga tewakyali ntalo. Obulamu obutaggwaawo naye. Olwo tujja kugamba nti:

Leero, Ekyawandiikibwa Kino Kituukiridde!

Leka tuleme kubuutikirwa nnaku okugamba nti, “Mpulira ekifo kino kindwaza nnyo, njagala kuva wano. Leka tukyogere bwetuti: Ajja eddakiika yonna kati, NG’AJJIRA NZE…EKITIIBWA! Siyinza kulinda. Ngenda kulaba abaagalwa bange bonna. Bagenda kulabikira awo ddala mu maaso gange, olwo nja kumanya nti, KIWEDDE, TUTUUSE.

Olwo, nga tewannayita kaseera ka kutemya kwa liiso, ffenna tujja kubeera wamu ku ludda luli olulala.

Leka tusanyuke era tujaganye, kubanga Obugole bw’Omwana gw’Endiga busembedde, era Omugole We… Omugole We Yeetegese .
    

Bw’oba nga wandyagadde okujaganya, n’okubeera ku Bugole bw’Omwana gw’Endiga wamu naffe, jjangu weetegeke Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga bwe tuwulira:

Leero, Ekyawandiikibwa Kino Kituukiridde 65-0219

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma:

Omut. Yokaana Essuula ey’ekkumi n’omukaaga yonna
Isaaya 61:1-2
Omut. Lukka 4:16

24-0602 Ensigo Tesikira Wamu Na Kisusunku

Obubaka: 65-0218 Ensigo Tesikira Wamu Na Kisusunku

PDF

BranhamTabernacle.org

Ezzadde Lya Ibulayimu Eddangira Abaagalwa,

Nsindika okulamusa okwetoloola ensi yonna, eri Abo abakuŋŋaanye awamu, nga bawuliriza nga bakozesa engeri y’omukutu ogw’oku mpewo, nga baliisa emmeeme zaabwe ku Maanu ensu empya egwa okuva mu Ggulu. Ye mmwe abaagulibwa Omusaayi gwa Yesu Kristo yennyini.

Mukama waffe Yesu, nsaba Ofuke amafuta ku bigambo ekiro kyaleero okuwulirwa buli kutu okuli wansi w’eddoboozi lino ery’Obwakatonda. Era bwe wabaawo abamu abali wano, oba abateze omukutu nga bawuliriza, ebweru okwetoloola eggwanga.

Katonda afuka amafuta mu matu ga buli omu ku ffe, nga bwe tuteze omukutu nga tuwuliriza okuva mu nsi yonna era nga tuwulira okuleekaana okw’Obwakatonda okw’Eddoboozi lya Katonda nga lyogera naffe, Bw’Atyo bw’Ayogera Mukama.

Yeffe Ekkanisa ya Katonda eya nnamaddala, eyazaalibwa omulundi ogw’okubiri ekkiriza BULI Kigambo kya Katonda mu maaso g’ekintu kyonna, si nsonga kiki kyekiri, kubanga lye Ddoboozi lya Katonda erya nnamaddala eritatabikiddwamu birala nga Lyogera.

Katonda ali mu kweyolekera mu ffe, Ekkanisa Omugole we. Si ffe abasitula Ensigo, FFE TULI ENSIGO ENNANGIRA. Obulamu bwe bwonna obwali mu Ye buzzeemu okwefulumya mu FFE, Ekkanisa Omugole entuufu, eya nnamaddala, ng’Ereeta Ekigambo kya Katonda kyonna mu bujjuvu bwakyo ne mu maanyi gaakyo.

Tewayinza kubaawo mirembe gya kkanisa mirala oluvannyuma lwa guno. Tuli ku nkomerero, ab’oluganda ne bannyinaze. Tuli wano. Tutuuse. Katonda yeebazibwe!

Tuli ku nkomerero. Tutuuse. Omugole AMAZE Okutegeera kyetuli. Kino ky’ekiseera ky’Omugole Ensigo. Ebisusunku bifudde. Ebisusunku bikaze ne biggwawo. Yeffe Kigambo kya Katonda ekyazaalibwa embeerera nga kyolesebbwa, Yesu Kristo Aba obumu jjo, leero, n’emirembe gyonna.

Tetujja kukwatibwako. Tewajja kubaawo kutukwatibwa bubi kwa ngeri yonna mu FFE. FFE TULI Okuzaalibwa embeerera okw’Omugole. Twalagirwa Katonda okusigala nga tuli beesigwa eri Ekigambo embeerera ekirongoofu. Ensigo eteekeddwa okutuula mu Maaso g’Omwana, Omwoyo Omutukuvu, Eddoboozi ly’Omwana w’Omuntu Oli, esobole okwengera. Era eri ffe, waliwo ENGERI EMU YOKKA: NYIGA ZANNYA OWULIRE EDDOBOOZI LY’OMWANA W’OMUNTU LYENNYINI.

Era ŋŋamba nti waliwo Ekkanisa Ennonde awantu awamu mu nsi eno, eri mu kufulumayo era nga yeebalama ebintu ebyo, era okwolesebwa kwa Katonda kugisikirizza n’essaayo omwoyo. Tuli mu nnaku ezisembayo .

Tuli Empungu za Katonda. Temuli kwekkiriranya mu ffe. Tusobola kulya Maanu nsu yokka. Tulinga ennyana mu kiraalo. Emmere Eyaterekebwa Yokka Etuweereddwa gyetulya yokka.

Tulaba Empungu Za Katonda okwetoloola ensi yonna nga baagala Emmaanu eyo ensu. Zijja kweyongerayo nga zinoonya okutuusa lwe zinaaGizuula. Zijja kubuuka zeeyongerenga okutumbiira mu bbanga. Bwemuba temuli kantu mu kiwonvu kino, zijja kweyongera okutumbiiramu kko waggulu. Zaagala Ekigambo kya Katonda ekyava obuvi mu Ddoboozi lya Katonda. Ekifo kyazo gyezinaakomekkerera mu butaggwawo kyesigamiziddwa kw’ekyo. Awaba ennyama ensu wonna, awo empungu wezinakuŋŋaaniranga.

Omwoyo we azze ku ffe okukola ebintu bye bimu bye Yakola. Kwe kwekubisaamu kw’obutonde okukomyawo Empeke yennyini eyafa. Yeffe Ezzadde lya Ibulayimu Eddangira ery’Okukkiriza abatwala buli kimu ekikontana n’Ekigambo kya Katonda ne tukiyita nga ekitaliiwo. Tetusobola kubuusabuusa oba okubuzaabuza Kigambo kya Katonda n’ekimu, kubanga tukkiriza nti kiri BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA. Yesu Kristo aba obumu jjo, leero, n’emirembe gyonna.

Katonda omwagalwa, tuyambe tuleme kuKikuba mugongo, nga tukyefuulira olw’obusirusiru ob’engeri emu obw’ensi, naye ekiro kyaleero leka tuMusembeze Oyo n’omutima gwaffe gwonna. Mukama, ntondaamu omwoyo omulungi, Omwoyo w’Obulamu, nsobole okukkiriza Ebigambo Byo byonna, era nkkirize Yesu Ekigambo, oyo aba obumu jjo, leero, n’emirembe gyonna, era nzikirize leero ŋŋendere ku ttu ly’Ekigambo Eryasibwa ne Literekebwa olw’omulembe guno. Kituwe Mukama. Nkisaba mu Linya lya Yesu .
   

Nnandyagadde okubayita mujje muwulire Eddoboozi lya Katonda eryakakasibwa obutalekaawo kabuuza olw’ekiseera eky’enkomerero nga bw’Atuwa Emmere y’Empungu; ekisuubizo kya Katonda. Kyetaagisa okukkiriza okutamanyi musajja mu Kigambo kya Katonda kino okubeera Omugole we.

Owol. Joseph Branham

Obudde: Essaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda),

Obubaka: Ensigo Tesikira Wamu Na Kisusunku 65-0218

Ebyawandiikibwa:

Omut. Matayo 24:24

Omut. Lukka 17:30

Omut. Yokaana 5:24 / 14:12

Abaruumi 8:1

Abaggalatiya 4: 27-31

Abebbulaniya 13:8

1 Yokaana 5:7

Okubikkulirwa 10

Malaki 4.

Naye bw’otuuka ku kugamba nti, “Nze ne Kitange tuli Omu,” n’ebintu bino ebirala, olwo ekisusunku kyesika ne kiGiviira. Naye Ekkanisa Omugole entuufu, eya nnamaddala ejja kufulumya Ekigambo kya Katonda kyonna, mu bujjuvu bwaKyo ne mu maanyi gaaKyo, kubanga Ye y’omu jjo, leero, n’emirembe gyonna.

65-0218 – “Ensigo Tesikira Wamu Na Kisusunku”.

Owek. mu Katonda William Marrion Branham

Yesu Kristo aba obumu jjo, leero, n’emirembe gyonna, Omwoyo akka ku Mugole okukola ebintu bye bimu bye Ye Yakola. Okiraba? Kwe kwekubisaamu kw’obutonde okukomyawo Empeke yennyini eyafa.

65-0218 – “Ensigo Tesikira Wamu Na Kisusunku”.

Owek. mu Katonda William Marrion Branham

24-0526 Omussajja Ng’adduka Okuva Mu Maaso Ga Mukama

Obubaka: 65-0217 Omussajja Ng’adduka Okuva Mu Maaso Ga Mukama

BranhamTabernacle.org

Abasaabaze b’e Nineeve Abaagalwa,

Kitaffe, Ennyama Yo Ensu w’ebeera, Empungu zo we zikuŋŋaanira wamu. Oli mu kutuliisa ku Maanu Yo ey’Obwakatonda. Emmeeme zaffe Ziwe ekyo kye zeetaagira ddala. Tulumwa ennyonta Yo, Kitange. Tuli mu Mikono Gyo.

Tugalamidde mu maaso Go, nga twengera, okuyita mu kuwulira Eddoboozi Lyo. Omugole Ateekeddwa okukola okusalawo era bakyolekeze obwenyi. Kiba kituufu oba kikyamu. Okuwulira Eddoboozi Lyo erikakasiddwa obutalekaawo kabuuza kye kintu ekisinga obukulu Omugole Wo ky’alina okukola oba nedda? Bwe kiba kituufu, katukikole. Toddamu kulinda bbanga lisukka wano, zuula kati Amazima ge galuwa n’ekituufu ky’ekiruwa, era osigale nakyo. Tukimanyi nti Kituufu, tukimanyi nti Lye Kkubo Lyo ly’Otaddewo ku lw’olwaleero.

Nteekwa okulangirira nti, “Empologoma ewulugumye, ani ataatye? Katonda ayogedde, ani ayinza obutalagula?” Tukiraba mu Kigambo. Wakisuubiza. Ani ayinza okwefuga n’asigala nga asirise?

Tetwagala kirowoozo kya bantu bangi. Twagala Amazima. Era tetukola, (twagala) tetwagala —tetwagala kwolekagana na kintu kyonna wabula Katonda ky’Agambye nti ge Mazima .

Ekiseera kituuse ng’olina okusalawo emmeeri ki gy’oliko. Oli mu kulya ku Kigambo ekyayogerwa obutereevu okuva mu Mwana w’Omuntu oli, oba ekintu ekirala? Waliwo akugamba nti olina okuwulira amaloboozi amalala okubeera Omugole we? Okuzannya entambi mu maka gammwe oba mu masinzizo gammwe si kye kintu ekisinga obukulu Omugole ky’ayinza okukola?

Owuliriza eddoboozi lya ani? Eddoboozi eryo likugamba ki? Ddoboozi ki ly’otaddeko enkomekkerero yo, n’ey’amaka go, etaggwaawo?

Si nze, teyali malayika ow’omusanvu, oh, nedda; kwali kwolesebwa kw’Omwana w’omuntu. Teyali malayika, obubaka bwe; kyali kyama Katonda kye yabikkula. Si musajja; wabula Katonda. Malayika oyo si ye yali Omwana w’omuntu oli; wabula ye yali omubaka okuva eri Omwana w’omuntu. Omwana w’omuntu ye Kristo; Ye Oyo gw’oli mu kulyako. Toli mu kulya mubiri gwa muntu omu; omuntu, ebigambo bye bijja kulemererwa. Wabula olya ku Mubiri-Ekigambo ekitalemererwa eky’Omwana w’omuntu.

Towuliriza ddoboozi lyonna eritateeka Eddoboozi eryo, Omubiri-Ekigambo ekitalemererwa eky’Omwana w’omuntu, mu maaso go nga EKY’OKU MWANJO. Bayinza okubuulira, okuyigiriza, oba okukola byonna Katonda by’Abayise okukola, naye bo SI lye ddoboozi erisinga obukulu ly’OLINA OKUWULIRA.

Singa ekyo baali bakkiririza, olwo bandizannye Eddoboozi eryo nga mukuŋŋaanye awamu ne bakugamba nti, “Eddoboozi lino, ku ntambi, lye ddoboozi erisinga obukulu okuwulira. Lyo, era LYO lyokka ly’eliri BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA.”

Oli mu mukwano na Ddoboozi ki? Lwaki kyaMwetaagisa okulaba nga Eddoboozi lye Likwatibwa ku lutambi ne Literekebwa? Katonda Yalonda Eddoboozi ly’ani okwogera Ekigambo kye olw’omulembe gwaffe?

Nga Akozesa nnabbi we gwe Yatuwa, oyo gwe Yayawula okukkirira eyo ayiteyo obubaka obwo, kati, yalabika ng’Ayinza okutumamu nnabbi omulala, naye yayawula Yona, era ne Eriya yandibadde tajaawo, Yeremiya yandibadde tajaawo, Musa yandibadde tajaawo, Yona ye yalina okugenda e Nineeve. Ekyo kyokka kye kyali kimala eggobe mu kibya. Yamulagira n’Amugamba agende. Era bw’Agamba nti, “Genda eyo, Yona, genda e Nineeve,” mpaawo mulala ayinza kugenda kukola ekyo okuleka Yona

Katonda Yatuteekateekerawo okutambulira mu bulamu buno. Eddoboozi lino Lyogera gye tuli Ebigambo by’Obulamu obutaggwaawo. Eri ffe, lino lye Kkubo Katonda lye yatuwa. Eno y’Emmeeri yaffe. Bw’oba oli ku mmeeri egenda e Talusiisi, gy’amuke ng’obudde tebunnakeerewa.

Bw’oba obadde weebuuza, oba nga olina ebibuuzo byonna ku mutima gwo kkkubo ki ly’olina okuyitamu oba kiki ky’olina okukola, jjangu otwegatteko. Saabaala ku mmeeri eno wamu naffe. Tugenda e Nineeve, okukilangirira. Tuleka emmeeri eyo ey’e Talusiisi okuserengeta eyo bwe baba baagala. Tulina omulimu mu maaso ga Katonda, obwo bwe Bubaka bwetuvunaanyizibwako.

Sigamba nti bw’ogenda mu kkanisa etazannya ntambi eba mmeeri egenda e Talusiisi, naye OMUNTU YENNA bw’aba tateeka Ddoboozi lya Katonda ku ntambi ng’eddoboozi erisinga obukulu ly’olina okuwulira, kirungi n’okebera okulaba ani mugoba w’emmeeri yo na wa emmeeri yo gy’eraga.

Nkuyita okutwegattako ku Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga Omugoba w’Emmeeri yaffe ng’ayogera era ng’atuleetera Obubaka : Omusajja Ng’Adduka Okuva Mu Maaso Ga Mukama 65-0217 .
    

Katutandike bulungi okudda obuggya kuno. Kituufu! Okyalinze ki? Tukkiriza nti Okujja kwa Mukama kuli kumpi, era agenda kuba n’Omugole, era Kwetegese. Era tetwagala mmeeri za ngeri yonna zigenda Talusiisi w’engeri yonna. Tugenda e Nineeve. Huh! Tugenda mu Kitiibwa. Amiina. Ekyo kituufu. Tugenda Katonda gy’Agenda okuwa omukisa, era ekyo kye twagala okukola.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma:

Yona 1:1-3
Malaki 4
Omut. Yokaana 14:12
Lukka 17:30

24-0519 Ebibuuzo N’eby’okuddamu #4

Obubaka: 64-0830E Ebibuuzo N’eby’okuddamu #4

BranhamTabernacle.org

Ab’Enju Y’Olutambi Abaagalwa,

Ntegeeza mmwe, ab’enju yange, n’ab’enju abali ebweru mu nsi gye tuge…entambi zaffe gye zigenda.

Abo ye ffe, ab’Enju y’Olutambi eya nabbi ; abaana be abasaasaanidde mu nsi, be yazaalira Kristo. Abo Kitaffe b’Awadde Okubikkulirwa kwe mu nnaku zino ez’oluvannyuma.

Njagala okubakuŋŋaanya bonna awamu olumu ku nnaku zino, olaba, Kitaffe Ajja kukikola, n’oluvannyuma tujja —tujja kuba n’Amaka gye tutaliddamu kubungeeta.

NJAGALA OKUBAKUŊAANYA BONNA AWAMU . Kigenda mu maaso mu kiseera kino. Obubaka buno, Ekigambo kye, Entambi zino ziri mu kukola ekyo kyennyini: ziri mu kuleeta Omugole ffenna awamu, nga zitutugattira awamu nga EKITOLE KIMU okuva mu nsi yonna. Mpaawo kirala okuggyako Eddoboozi lye; Eddoboozi lya Katonda ku ntambi, ekiyinza okugatta Omugole we.

Era ggwe, bw’ojjula Omwoyo, kano ke kamu ku bubonero obusinga obulungi bwe mmanyi: ogwa mu mukwano nnyo bw’otyo ne Kristo era n’okkiriza buli Kigambo ky’Agamba nti Mazima. Okiraba? Obwo bwe bujulizi obulaga nti olina Omwoyo Omutukuvu. Era obulamu bwo buba bujjudde essanyu, era — era oh owange, buli kimu kiba kya njawulo (laba?) okwawukanako ku bwe byaberanga. Oyo ye Mwoyo Omutukuvu.

Emitima gyaffe, ebirowoozo n’emmeeme zaffe bijjudde nnyo essanyu, okwagala n’Okubikkulirwa, kumpi tetusobola kwefuga. Buli bubaka bwe tuwulira buleeta Okubikkulirwa okusingawo. Tulaba kye tuli ffe ne kye tuli mu kukola okubeera mu Kwagala Kwe okutuukiridde. Tewali kintu kyonna kiyinza kutuggya ku ekyo Katonda ky’Atadde mu mitima gyaffe. Okunyiga Zannya ly’ Ekkubo Katonda ly’Ataddewo leero. Tewali kuteebereza, tewali kusuubira, tewali kubuuza Mwoyo Mutukuvu nti, “Kye nnaakawulira kye Kigambo ekituufu?” “Nneetaaga okukikebera n’Ekigambo?”

Si ffe. Kye tuwulira ku ntambi KYE KIGAMBO. Ekigambo ekyo kye tuwulira ku ntambi kye KIGAMBO KYOKKA ekikakasiddwa Omwoyo Omutukuvu yennyini, Empagi y’Omuliro, okubeera Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama eri Omugole.

Singa omuntu atugamba nti, “Eriyo bingi nnyo ebyogerwa ku ntambi nga byali Ow’oluganda Branham ng’omuntu nga y’ayogera, so si Kigambo ekyafukibwako amafuta. Oyo yali muntu buntu. Omwoyo Omutukuvu Yatukulembera okutuuka eri ekyali Kigambo na kiruwa nga yali bubeezi Ow’oluganda Branham ng’ayogera.”

Si eri ffe. Mu ngeri ennyangungu tukkiriza bukkiriza ekyo nnabbi kye yatugamba obuteerabiranga.

Njagala muleme kwerabiranga Kigambo ekyo . Musa bye yayogera, Katonda yabissaamu ekitiibwa, kubanga Ekigambo kya Katonda kyali mu Musa.
    

Teturyerabira nabbi kye yayogera, era tukikkiriza; kubanga Kyooleddwa n’ekkalaamu ey’ekyuma ku mitima gyaffe. Bye yayogera ku ntambi, Katonda yaBissaamu ekitiibwa, era tuBikkiriza.

Tewali kitiibwa kisinga ku kutuula n’owulira Eddoboozi lya Katonda nga Lyogera naffe. Agenda kuba Ayogera n’Omugole We ku Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), era ng’Addamu ebibuuzo: 64-0830E Ebibuuzo N’Okwanukulwa #4. Nnandyagadde okubayita okwegattira awamu naffe. Kwe kusalawo kw’otaryejjusa.

Owol. Joseph Branham

24-0512 Ebibuuzo N’Eby’Okuddamu #3

Obubaka: 64-0830M Ebibuuzo N’Eby’Okuddamu #3

BranhamTabernacle.org

Omugole Omuwala Omulongoofu Omwagalwa,

Nga njagala nnyo okubazzaamu amaanyi buli wiiki okunyiga Zannya n’okuwulira Eddoboozi lya Katonda ery’olunaku lwaffe. Kubanga nkimanyi nti Y’ Enteekateeka ya Katonda etuukiridde eri olunaku lwaffe.

Si ekyo Joseph Branham ky’ayogera oba ky’akkiriza. Wabula ekyo Eddoboozi lya Katonda eryakakasibwa kye Litugambye:

Nze Eddoboozi lya Katonda gye muli.

Bw’oba olina okubikkulirwa okw’Obubaka buno waakiri okutono, okunokola okwo okutono kuba kulina okuba nga kukumala n’okukirawo okubuulira buli gw’osisinkana; buli mukkiriza, okubuulira amakanisa go, nti Eddoboozi eryo lye Ddobozi erisinga obukulu LYEMUTEEKEDDWA OKUWULIRA.
    

Okulowooza ku kino nti, Ebigambo byennyini bye tuwulira nga tunyiga Zannya lye ddoboozi lya Katonda nga Lyogerera butereevu naffe. Kitaffe Yasiima Likwatibwe ku lutambi era Literekebwe tusobole okunyiga Zannya buli katikitiki ka buli lunaku; bwetutyo tusobole okuMuwulira ng’Atuzzaamu amaanyi, ng’Atuwa omukisa, ng’Atufukako amafuta, era ng’Agobera ebweru okutya kwaffe kwonna n’okubuusabuusa kwaffe, byonna nga bibaawo okuyita mu Kunyiga bunyizi Zannya.

Kyonna kye twetaaga mu kiseera ekyo, Nyiga Zannya, era okiweebwe awo. W’Ali okutujjukiza nti FFE EKIGAMBO. Ali naffe, atwetoolodde, ALI MU FFE. Sitaani kiguumaaza. Awanguddwa. Tewali kiyinza kutuggyako Kigambo ekyo. Katonda yaKituwa olw’okumanyirawo Kwe, ng’Akimanyi nti tuli Mugole we. Twali naye okuva ku lubereberye.

Eddoboozi ki lye twandiwulidde eryandibadde eddene okusinga Eddoboozi lyokka eryakakasibwa Empagi y’Omuliro  obutalekaawo kabuuza okuba Eddoboozi lya Katonda?

Tewali Ddobozi eddala.

Eddoboozi eryo Lyatugamba ki sabbiiti ewedde?

Bulijjo mbabanja, era nkubanja nga muganda wange ne mwannyinaze. Mwe muli baana bange; Nze—nze kitammwe mu Njiri , si faaza nga bwe kyandibadde okuba kabona, ndi—nze kitammwe mu Njiri nga Pawulo bwe yagamba eyo. Nze nkuzadde eri Kristo, era kaakano, nze—mbafumbiza eri Kristo; ekyo kwe kugamba nti mbafumbiza eri Kristo nga omuwala omulongoofu. Temunjiwa! Temunjiwa! Musigale nga muli omuwala omulongoofu .

Tuteekwa okusigala nga tuli omuwala omulongoofu eri Ekigambo, eri Eddoboozi eryo. Eri ffe, waliwo ENGERI EMU yokka ey’okubaamu omukakafu nti ekyo tukikola: NYIGA ZANNYA.

Bw’oba onzikiriza nti ndi ekyo ky’oyogera, omuweereza wa Katonda, nnabbi, wuliriza bye nkugamba. Okiraba? Oyinza obutasobola kukitegeera, era bw’oba tosobola, olwo kola bukozi kye nkugamba.

Weewaawo, waliwo abasajja abalala ab’Omwoyo Omutukuvu abaafukibwako amafuta, era olw’ekisa kya Katonda n’okusaasira kwe, nsaba mbe nga ndi omu ku basajja abo. Nzikiriza nti mpitiddwa Ye okukuuma Ekigambo kye mu maaso gammwe n’okubalaga Obubaka buno, Ekigambo kya Katonda, Eddoboozi eryo.

Nga Peetero bwe yagamba, Kyennaavanga njagala ennaku zonna okubajjukiza ebyo, nti waliwo EDDOBOZI LIMU LYOKKA Katonda lye Yayita okubikkula ekigambo kye eri eryo. Eddoboozi limu Katonda lye Yakakasa obutalekaawo kabuuza. Eddoboozi limu Katonda lye yagamba nti, “Mumuwulire.” Eddoboozi limu Katonda lye yagamba nti, “Nze Eddoboozi lya Katonda gyemuli.”

Kino kijjukire n’omutima gwo gwonna: Sigala n’Ekigambo ekyo! Tolekanga Ekigambo ekyo! Ekintu kyonna ekikontana naKyo, kireke kyokka, ne bwe kiba ki. Olwo omanye nga nti Ekigambo ekyo Kituufu.

Mazima ddala nkitegeera lwaki ntegeerebwa bubi era nti abamu bawulira nti mpakanya abaweereza bonna; mbu nzikiriza nti tewali muntu yenna alina kubuulira. Bagamba nti “Bw’owuliriza omuweereza atali Ow’oluganda Branham, toli Mugole .” Nga bwe njogedde emirundi mingi, ekyo sikyogerangako newankubadde okukkiriza ekyo.

Nabbi yakinnyonnyola bulungi sabbiiti ewedde butuukirivu ddala nga bwe mpulira ne kye nzikiriza.

Waaliwo amakanisa amalala ag’Obubaka waakiri asatu mu kitundu kya Jeffersonville mu kiseera Ow’oluganda Branham we yabeerera wano. Mu lukuŋŋaana olwabaddewo ku Ssande ewedde, yategeezezza nti abasumba b’omu kitundu tebaaliwo mu kusaba okw’omu kawungeezi. Baalinayo okusaba kwabwe okw’omu kawungeezi. Bwe batyo, tebaakiwulira mu bo okujja okuwuliriza Ow’oluganda Branham mu kusaba okw’omu kawungeezi, wabula okuba n’okusaba mu kkanisa zaabwe. Okwo kwe kwali okusalawo kwabwe era kye baali bawulira nti baluŋŋamiziddwa okukola, era Ow’oluganda Branham n’akkiriziganya.

Leero wakyaliwo amasinzizo agawerako mu kitundu kya Jeffersonville. Nabo balina okukola nga bwe bawulira nga bakulembeddwa Mukama okukola. Bwe baba tebakiwulira muli eky’okuzannya entambi, Mukama Atenderezebwe, bali mu kukola kye bawulira nga bakulembeddwa okukola, era ekyo kye balina okukola. Bakyali baganda baffe ne bannyinaffe era baagala Obubaka buno. Naye tulina okukola kye tuwulira nti tukulembeddwa okukola: Nyiga Zannya. Twagala kuwulira nnabbi.

Nga Ow’oluganda Branham bwe yakola mu Mwezi Gw’omunaana nga ennaku z’omwezi 30, 1964, mbaaniriza okujja okutwegattako ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga bwe tuddamu okuwulira nnabbi ng’atuleetera Obubaka: 64-0830M Ebibuuzo N’Okwanukulwa #3 .

Owol. Joseph Branham   

24-0505 Ebibuuzo N’eby’okuddamu #2

Obubaka: 64-0823E Ebibuuzo N’eby’okuddamu #2

BranhamTabernacle.org

Omugole w’Ekigambo Ekituukiridde Omwagalwa,

Tulindiridde bulindirizi kujja kwa Mukama waffe. Nga tukuuma ettabaaza zaffe nga zirongooseddwa, nga zijjuziddwa ne zijjula Amafuta, nga tuwulira Ekigambo ekibikkuliddwa emisana n’ekiro. Nga byonna tubimalira mu kusaba, buli ssaawa; si buli lunaku, buli ssaawa. Tuli mu kwekuuma nga twetegese nga twekuumira mu BULI KIGAMBO, era nga tukkiriza, BULI KIGAMBO.

Tutunula nga tulindiridde, buli kaseera, abo abeebase mu nfuufu y’ensi okusooka okuzuukira. Mu kaseera katono, tujja kubalaba; ba taata baffe, bamaama baffe, abaami baffe, abakyala baffe, baganda baffe ne bannyinaffe. Baabo awo, nga bayimiridde ddala mu maaso gaffe. Tujja kumanya mu kaseera ako, nti tutuuse, ekiseera kituuse. Okukkiriza okw’okukwakkulibwa kujja kujjuza emmeeme zaffe, ebirowoozo n’emibiri gyaffe. Olwo emibiri gino egivunda gijja kwambala obutavunda mu kisa kya Mukama waffe eky’okukwakkulibwa.

Era awo tujja kutandika okukwatagana. Ffe abalamu era abasigaddewo tujja kukyusibwa. Emibiri gino egifa tegijja kulaba ku kufa. Mu mbeera ey’ekibwatukira, wajja kubaawo okuwuuma okunaatuyitamu… tujja kukyusibwa. Abadde omusajja omukadde afuuke omuvubuka, abadde omukazi omukadde afuuke omuwala omuvubuka.

Oluvannyuma lw’akaseera, tujja kuba tutambulira wamu ng’ekirowoozo n’abo abazuukidde edda. AWO…EKITIIBWA…tujja kusitulwa wamu nabo tusisinkane Mukama waffe mu bbanga.

Nga kiseera nnyo ekyo ekitusemberedde. Omulabe AGEZAAKO okutukuuma nga tukubiddwa ne tugwa butaka, nga tuli bayongobevu olw’ebirowoozo-lowoozo, era nga tuweddemu amaanyi, naye ekitiibwa kibe eri Katonda, tasobola. Tulina Okubikkulirwa KULI okw’Oyo ky’Ali; ani gwe Yatuma okutuyitayo; kye tuli, so si kye tugenda okuba, wabula KYETULI. KATI Kusudde ennanga mu MMEEME zaffe, MU BIROWOOZO NE MYOYO GYAFFE, era tewali kiyinza kukutuggyamu okwo. Tumanya tutya? Katonda bw’atyo bweYagamba!

Eno si maka gaffe, yonna yiyo, Sitaani, osobola okugyetwalira. Tetwagala kitundu kyonna ku yo era tetukyagyetaaga. Tulina Amaka Agajja agatuzimbiddwa. Ate nno ng’okyali awo, sitaani, tufunye okutegeezebwa, EWEDDE EMIRIMU. Okuzimba kuwedde. Okuyooyootebwa kwonna kumaze okutonebwamu. Era nkufuniddeyo n’amawulire amalala ag’okukugamba, MANGU DDALA, Ajja okutucima bwetutyo tusobole okuba n’emyaka 1000 egya Hanemuunu nnantataataganyizibwa wamu naYe, era toyitiddwa, era tojja kubeerayo.

Nga bintu bya kitiibwa Obubaka buno bye butubikkulira buli lwe Tunyiga Zannya. Katonda Mwene yakka, n’Ayogera ng’Ayita mu mimwa gy’omuntu ow’oku nsi Asobole okutubuulira ebintu bino byonna. Yatulonda era n’Atuwa Okubikkulirwa okutuufu era okujjuvu ku Ye ky’Ali.

Ye yali Ekigambo ekyafuuka omubiri, si Ekigambo ky’olunaku lwa Musa, Musa ye yali olunaku olwo, Ekigambo; si Ekigambo ky’omu nnaku za Nuuwa, Nuuwa ye yali Ekigambo ky’olunaku olwo; si olunaku…Ekigambo ky’olunaku lwa Eriya, Eriya ye yali Ekigambo ekyo eky’olunaku olwo; naye Ye yali Kigambo ekiriko mu kiseera ekyo kyennyini, ate nga bo bali bawangaalira mu by’emabega.

Oli mwetegefu?….Kiikino wano kijja. Gwe mugemera-wala ogw’emidumu ebiri ate omuzito, era tuGwagala nnyo!!

Ekintu kye kimu kiddiŋŋana! Obwo bwe bukakafu bwetulabirako Omwoyo Omutukuvu, Katonda bw’Akubikkulira n’okiraba, BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA era n’okikkiriza. Si ky’oli, kye wali, newankubadde ekintu kyonna ku ekikwata ky’ekyo, wabula Katonda ky’Akukoledde kati. Bwebwo awo obukakafu bwetulabirako.

Aleluuya, Omusumaali Agukubye ennyondo n’Aguyingizaamu. KATI katuwulire nga Agunywerezaamu.

Atuwa obukakafu bwetulabirako Omwoyo Omutukuvu, Yokaana 14. Yagamba nti, “Nnina bingi bye njagala okubagamba. Sifunye budde kukikola, naye Omwoyo Omutukuvu bw’Alijja, Ajja kubabuulira, Ajja kubajjukiza ebintu bye nnabagambako, era Ajja kubalaga n’ebintu ebigenda okujja.” Temukiraba? Bwebwo awo obukakafu bwetulabirako. Ekyo kirangirira era ne kiba nga… okuba n’Okuvvuunula okw’Obwakatonda okw’Ekigambo ekiwandiikiddwa. Kati, obwo si bwe bukakafu bwetulabirako nnabbi?

Omwoyo Omutukuvu ye nnabbi wa buli mulembe. Ye nnabbi ow’omulembe gwaffe. Ekigambo kijja eri nnabbi oyo YEKKA. Ye Katonda nga Ayogera era nga Yeebikkula ng’Ayita mu nnabbi We. Ye Kigambo eky’olunaku luno. Obubaka buno, KU LUTAMBI, kwe kuvvuunula okutuukiridde okw’Ekigambo, nga kulina okukakasibwa okumalawo buli kabuuza okw’Obwakatonda.

“Ebituukirivu bwe birijja, eby’ekitundu birivaawo.” Kale ebintu bino byonna ebitonotono eby’okubuuka waggulu ne wansi ng’omwana omuto, okugezaako okwogera mu nnimi, n’ebintu bino byonna ebirala, ebyo ebituukirivu… Era ddala tulina leero, olw’obuyambi bwa Katonda, okuvvuunula okutuukiridde okw’Ekigambo nga kuliko okukakasibwa Okw’Obwakatonda okumalawo buli kabuuza! Kale n’olw’ekyo eby’ekitundu bivuddewo. “Bwe nnali omuto, nnayogeranga ng’omuto, nnategeeranga ng’omuto; naye bwe nnafuuka omusajja, ne ndeka eby’obuto.” Amiina!

Ebituukirivu bizze; okuvvuunula okutuukirivu okw’Ekigambo. NYIGA ZANNYA. Ekyo kye kyokka Omugole We kyeYeetaaga, era kyokka ky’Ayagala.

Jjangu onyige Zannya wamu naffe Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), owulire EKIGAMBO EKITUUKIRIVU, N’OKUVVUUNULA OKUTUUKIRIVU, N’OKUKAKASIBWA  OKW’OBWAKATOKA OKUMALAWO BULI KABUUZA nga bwe tuwulira :

Ebibuuzo N’Okwanukulwa #2 – 64-0823E Owol. Joseph Branham

24-0426 Ebibuuzo N’eby’okuddamu

Obubaka: 64-0823M Ebibuuzo N’eby’okuddamu

BranhamTabernacle.org

Abawuliriza b’Entambi Abaagalwa,

Siyinza buyinza kukyogera kimala, TEWALI KINTU kikulu okusinga okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga lyogera naffe okuyita mu mubaka we malayika eyakasibwa okusukka buli kibuuzo kulw’olunaku lwaffe. Okubikkulirwa ku Kubikkulirwa Mukama kw’Ali mu kutubikkulira. TeKiriiko kkomo. Buli Bubaka bulinga bwe tutawulirangako. Kye Kigambo Ekiramu, Emmaanu Eyakagwa, Emmere ya Katonda Eterekeddwa Omugole We, era kye tulina okukola kyokka kwe KUNYIGA ZANNYA.

Tuwulira byonna ebikwata ku Kukwakkulibwa KWAFFE okugenda okujja mu bbanga ttono. Tugenda…EKITIIBWA, TUGENDA ku Kyeggulo ky’Embaga ey’Obugole. Yatuteekateerawo FFE okubeera Eyo olw’okumanyirawo Kwe, era tewali kigenda kukiziyiza. Ekigambo wano kyegatta n’omuntu, era bombi ne bafuuka Omu. Kyoleka Omwana w’omuntu. Ekigambo n’Ekkanisa bifuuka Omu. Kyonna Omwana w’omuntu kye Yakola, Ye yali Kigambo, Ekkanisa ekola ekintu kye kimu.

Nga sinnagenda mu maaso, oyinza okwagala okuddamu okusoma ekyo!! Tuyinza tutya okuleka sitaani okutukkakkanya wansi? Wuliriza bye twesunga. Wuliriza kye tuli. Wuliriza ebigenda mu maaso KATI.

Tugenda wa? Ku kijjulo KYAFFE eky’Embaga ey’Obugole kyetwategekerwa olw’okumanyirawo Kwe, eyo FFE, Ekigambo kye n’Ekkanisa ye, gye tufuuka OMU NAYE, era kyonna Omwana w’Omuntu kye yakola, TUKOLA KYE KIMU!!

Awo ne tuwulira byonna ebikwata ku maka gaffe Agajja. Omukubi w’Ebifaananyi ow’Obwakatonda akoze pulaani y’Ekibuga KYAFFE Ekiggya, gy’Agenda okubeera naffe, Omugole We. Akizimbye era n’Ateekamu buli kantu okusinziirira ddala ku bitunyumira FFE; byokka ebyo byetwandyagadde FFE. Eyo etaryetaagisa kitangaala, kubanga Omwana gw’Endiga y’Aliba Ekitangaala kyaffe. Eyo nabbi gy’anaaba nga awangaalira ku muliraano gwaffe; ajja kuba muliraanwa waffe. Tulirya ku miti egyo, tujja kutambulira mu nguudo ezo eza zaabu okutuuka ku nsulo eyo tunyweko. Tuliba tutambulira mu nsuku za Katonda, nga Bamalayika bamaamidde ku nsi, nga bayimba ennyimba. Ekitiibwa! Aleluuya!

Okukakasa Ekigambo kye gye tuli; Ye, Empagi y’omuliro, Yasiima ekifaananyi kye ne kikubibwa wamu n’omubaka we malayika okukakasa n’okugamba ensi nti, “Mumuwulire.” Tuteekwa obutabuusabuusa Kigambo na kimu, kubanga Si kigambo kya nnabbi, Kigambo kya Katonda ekyayogerwa eri Omugole we. Awo n’Atugamba nti, tulina okukiikirirwa okuva mu kuteekateekerwa, ng’Atukakasa. Tatulaba, awulira buwulizi ddoboozi lyaffe okuyita mu Musaayi gwa Yesu. Tutuukiridde mu maaso ge.

Obuziba bukoowoola obuziba nga bwe kitabangawo, era Kitaffe Ali mu kutujjuza Ekigambo kye ekyabikkulirwa. Byonna bye twetaaga okumanya bikwatiddwa ku lutambi ne bituweebwa FFE. Mu ngeri ennyangungu tebuliiko kkomo Obubaka buno obw’Ekigambo Ekiramu. Tewali kisinga kumanya nti FFE tuli Mugole we. Obukakafu obuli mu kumanya nti okuwulira Eddoboozi eryo, Okunyiga Zannya, kwe Kwagala kwa Mukama waffe okutuukiridde; Enteekateeka ye gy’Atuteereddewo.

Waliwo bingi nnyo ebikyajja! Kye Kigambo ky’Amazzi Amalamu nnantakazibwa eri Omugole we. Tetubangako bayonta kusukka wano mu bulamu bwaffe bwonna, naye tetuweeweezebwangako mu lugendo lwaffe nga tuti, nga tunywa ne tunywa byonna bye twagala.

Buli Ssande, Omugole afuna essanyu lingi nnyo okukuŋŋaanyizibwa n’ekitundu ku  Mugole okuva mu nsi yonna, okuwulira by’Agenda okuddako okubikkula. Yatugamba nti bwe tuba tetusobola kujja wano ku Tabanako,  funayo ekkanisa emu awantu awamu; genda mu eyo.
    

Ffenna tetusobola kukuŋŋaanyizibwa wamu mu maka ga nnabbi; ekitebe kye we yazimba, naye tusobola okufuula amakanisa gaffe, oba Amaka gaffe amakanisa, eyo gye tumuteekera ku kituuti. Eyo gye tusobola okuliisibwa EKIGAMBO EKITUUKIRIVU DDALA NGA BWE KYABIKKULIBWA.

Tewali kukuŋŋaana kw’abantu kukulu okukirawo, mpaawo kufukibwako mafuta kukirawo, mpaawo kifo kikulu nnyo okubeeramu okusinga okubeera nga tutudde wamu mu bifo eby’omu Ggulu, nga tuwuliriza Eddoboozi lya Katonda.

Nkwaniriza okujja okuwulira Eddoboozi lya Katonda eryakakasibwa wamu naffe Ssande eno  ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga bw’Ayogera naffe omulundi omulala ng’Ayita mu mubaka we malayika, era ng’Addamu ebibuuzo byonna bye tulina ku mitima gyaffe, era n’Atukakasa nti ffe Mugole We.

Owol. Joseph Branham Obubaka bwa Ssande: Ebibuuzo N’Okwanukulwa #1 64-0823M

24-0421 Okukakasa Ekigambo Kye

Obubaka: 64-0816 Okukakasa Ekigambo Kye

BranhamTabernacle.org

Ekkanisa-Omugole Abaagalwa,

Omwana w’omuntu azze ne Yeeyoleka mu mubiri gw’omuntu ow’oku nsi eri Omugole we. Akyogedde, tukikkiriza, era Akikakasizza. Yeffe Ekkanisa-Mugole ye abeetegese nga tuwuliriza era nga tukkiriza buli Kigambo ekyava mu kamwa Ke.

Wajja kubaawo okuzuukira kw’abafu. Ajja kukikakasa. Wajja kubaawo Okukwakkulibwa kw’Ekkanisa. Ajja kukikakasa. Wajja kubaawo emyaka lukumi. Ajja kukikakasa. Wajja kubaawo Eggulu eppya n’ensi empya. Ajja kukikakasa, kubanga Ekigambo kye kyayogera bwekityo.

Ffe tujja kuba abo abanaabeerayo. Ajja kukikakasa. Yeffe abafuuliddwa ekitundu ku Kigambo kino. Yatutegekerawo FFE okubeera Eyo. Wagenda kubaawo Okukwakkulibwa olw’Okumanyirawo Kwe era tewali kigenda kukuziyiza, tugenda kubeerayo !

Sitaani amaze ebbanga ddene ng’agezaako okuleetera abantu okubuusabuusa Ekigambo kimu kyokka ekyayogerwa. Ekyo tokikola. Kkiriza bukkiriza buli Kigambo. Oteekwa okukkiriza buli Kigambo okusobola okubeerayo Eri. Si kigambo kya nnabbi, Kigambo kya Katonda kye kikwatiddwa ne kiterekebwa ku Ntambi.

Kabona omukulu, omulabirizi, kalidinaali, omusumba? “Katonda! Buli Kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.” Tumanya tutya nti Kigambo kya Katonda? Y’Akyogera bw’Atyo, olwo n’Akikakasa. Akakasa Ekigambo kye.

OTEEKEDDWA okukkiriza buli Kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda. Akakasizza nti Kigambo kye kye kiri ku Ntambi ezo. Akakasizza nti William Marrion Branham ye mubaka we malayika ow’omusanvu; Eddoboozi lya Katonda eri olunaku lwaffe. Bonna abatakkiriza Bubaka n’omubaka bajja kubula.

Kati, sikoma bukomi ku kwogera eri ekibiina kino ekiri mu kundaba. Kino kikwatibwa ku ntambi, olaba, era Kigenda mu nsi yonna. Mutegeera, abantu b’ensi yonna, nti Ekigambo kimu, Ekigambo kimu, si olunyiriri lw’ebigambo lumu, si akatundu kamu ak’ennyiri, wabula Ekigambo kimu, kye kyokka Kaawa ky’atakkiriza.

Ye Kigambo, era twali kitundu ku Kigambo kye. Eyo y’ensonga lwaki tuli wano, okukakasa ekifo kyaffe mu bulamu. Okukkiriza buli Kigambo. Okusigala n’Ekigambo. Okusonga Omugole ku buli Kigambo ekiri ku Ntambi.

Mu lunaku lwaffe, Omwana w’omuntu abikkuliddwa. AYUNZE Ekkanisa ku Mutwe guli; mw’ekyo n’Aba nga Agasse obufumbo bw’Omugole. Okuleekaana kw’Omugole Omusajja kuzze. Omwana w’omuntu ajjidde mu mubiri gw’omuntu ow’okunsi okugatta bombi wamu. Ye Kigambo. Ffe tuli Kigambo Kye, era ebibiri byegatta wamu.

Kijja kwetaagisa okwolesebwa kw’okubikkulirwa kw’Omwana w’omuntu… Si munnaddiini… wabula Yesu Kristo, ajja kukka mu mubiri gw’omuntu ow’okunsi wakati mu ffe, era ajja kufuula Ekigambo okuba ekya nnamaddala ennyo okutuusa lwe kinaagatta Ekkanisa na Ye okufuuka kimu, Omugole, n’oluvannyuma Omugole Omukyala oyo ajja kugenda Awaka okwetaba mu Kyeggulo ky’Embaga Ey’Obugole. Amiina.

Okwolesebwa kw’Ekigambo kujja kugatta Omugole. Kuddamu okwolesa Omwana w’omuntu, so si bannaddiini b’amakanisa. Omwana w’omuntu! Ekigambo n’Ekkanisa bifuuka kimu. Buli kyonna Omwana w’omuntu kye yakola kyali Kigambo. Naffe, Omugole we, tujja kukola ekintu kye kimu .

Tugattibwa wamu Omwoyo Omutukuvu, Ekigambo kye, Eddoboozi lye, era tuli mu kwetegekera kugenda ku Ky’eggulo ky’Embaga Ey’Obugole. Ekigambo kitugasse wamu, n’ababiri ne bafuuka OMU.

Tugamba nti ENTAMBI, ENTAMBI, ENTAMBI. Muteekwa okuzannya Entambi mu maka gammwe, mu masinzizo gammwe. Tukolokotwa olw’okussa essira eddene ku kuzannya Entambi. Lwaki twogera bwe tutyo? Ani ayogera na FFE ku Ntambi?

Kati, jjukira, oyo teyali Yesu eyali ayogera ne Ibulayimu eyo, oyo eyasobola okwawula ebirowoozo ebyali mu birowoozo bya Saala emabega we. Oyo teyali Yesu, Yali tannazaalibwa. Naye yali Musajja omu eyali mu mubiri gw’omuntu ow’oku nsi, oyo Ibulayimu gwe yayita “Elohim, Omuyinza w’Ebintu Byonna ow’amaanyi.”

Bw’oba nga okkiriza nti Omwana w’omuntu abikkuliddwa mu lunaku lwaffe; mw’ekyo nga Katonda y’Ayogera ng’Ayita mu mimwa gy’omuntu ow’oku nsi, olwo omuntu yenna ayinza atya obutalaba bukulu bw’okuteeka Eddoboozi eryo ng’EDDOBOOZI ERISINGA OBUKULU LY’OLINA OKUWULIRA?

Siri mu kukolokota balala abatalaba era abatakkiriza bye tukkiririzaamu; baganda baffe era bannyinaffe, naye ndi MUMATIVU NNYO, NJIJUDDE NNYO, NKAKASIDDWA NNYO nti lino lye kkubo lya Katonda ly’Ataddewo olw’Omugole we. Mpaawo kirala kyonna kyensobola kukola. Nze n’ab’enju yange, Nyiga Zannya ly’EKKUBO LYOKKA.

Nziramu okuyita ensi okujja okwegatta naffe Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga bwe tuwulira: Okukakasa Ekigambo kye 64-0816.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga olukuŋŋaana terunnatandika:

Omut. Matayo 24:24
Omut. Makko 5:21-43 / 16:15
Omut. Lukka 17:30 / 24:49
Omut. Yokaana 1:1 / 5:19 / 14:12
Abaruumi 4:20-22
I Abasessaloniika 5:21
Abebbulaniya 4:12-16 / 6:4-6 /13:8
I Bassekabaka 10:1-3
Yoweri 2:28
Isaaya 9:6
Malaki 4 

24-0414 Amaka Agajja Ag’Omugole Omusajja Ow’Omu Ggulu N’Omugole Omukazi Ow’Oku Nsi

Obubaka: 64-0802 Amaka Agajja Ag’Omugole Omusajja Ow’Omu Ggulu N’Omugole Omukazi Ow’Oku Nsi

PDF

BranhamTabernacle.org

Omunnyo Gw’ensi Abaagalwa,

Oh Omugole omwagalwa, nga kiseera kya njawulo kye tulina, nga tutudde wamu mu bifo eby’omu Ggulu, mu maaso g’Ekigambo, nga tukula, nga tutegeera kye tuli, gye tuva, ne gye tugenda.

Okumanya, okuva mu buziba bw’emitima gyaffe, nti KATI tuli batabani ne bawala ba Katonda. Si nti tuliba, tuli KATI. Yeffe bikula by’endowooza ya Katonda.

Sitaani bw’atulumba, n’agezaako okutulaga ensobi zaffe, ebyayita byaffe, n’okulemererwa kwaffe okwa buli lunaku; bw’agezaako okutumenya ebirowoozo byaffe n’omwoyo gwaffe ng’ayita mu bulimba bwe, tumujjukiza bujjukiza ne tumugamba nti, “ Katonda, okuva ku kutondebwa kw’ensi, yandabirawo; ekyo kituufu Sitaani, NZE, era n’Atuma Yesu okunnunula NZE.” AWO NG’OMUKUBYE EŊŊUUMI ENZITO!

“Kati Sitaani, nvaako, kubanga Omusaayi gw’Omwana we gwogera ku lwange NZE. Sisobola kwonoona. Ensobi yange, weewaawo, ensobi zange enkumu, n’okulabibwa teziyinza kulabibwa Katonda. Ekintu kyokka ky’Awulira lye ddoboozi LYANGE nga Limusinza n’okumutendereza, era ekintu kyokka ky’Alaba kwe kukiikirirwa KWANGE.”

Atukiikirira ali mu kutukuŋŋaanya okuva ebuvanjuba n’ebugwanjuba, obukiikakkono n’obukiikaddyo, nga Atugattira wamu wansi w’Ekigambo ky’Awadde Omugole we ku lutambi. Kye kintu kyokka ky’Ajja okussaamu ekitiibwa; kubanga Lye Kkubo lye Ly’Ataddewo.

Kiki ky’agenda okuddako okutugamba n’okutubikkulira? Tumuwulidde ng’Ayogera ng’Ayita mu nnabbi we emirundi mingi nnyo era ng’Atubuulira ku ngeri Amaka gaffe amaggya bwe ganaalabika, naye ku mulundi guno tugenda kuba nga abatawulirangako kintu kyonna kigakwatako.

Omukubi w’ebifaananyi by’amayumba ow’obwakatonda kino yakitegekera Omwagalwa we. Okiraba? Oh, nga kiteekwa okuba nga kifo kyanjawulo kitya, nga, ow’engeri y’Obutonde obw’Obwakatonda, Omukubi w’ebifaananyi  Eby’Obwakatonda Akitegekese okugendwamu ekikula eky’Obwakatonda ekyali kyategekerwawo Katonda ow’Obwakatonda mu ngeri ey’obw’Obwakatonda Oyo —Oyo nga ye Mutandisi w’Obulamu obw’Obwakatonda! Ekibuga ekyo kinaafaanana kitya! Kirowoozeko.

Kumpi tetusobola kwefuga bulungi. Okucamuka n’okusuubira kwaffe biri mu bujjjuvu bwabyo. Emitima gyaffe gikuba ku misinde okuwulira Katonda ng’Ayogera naffe butereevu n’Atugamba nti kati Ali mu kukola n’okwola endabika y’Amaka gaffe amaggya tusobole okubeera naYe obutagggwawo bwonna.

Kirala ki kye tunaawulira, era kiki ekigenda okutubikkulirwa ku Ssande, nga bw’Atubuulira byonna ebikwata ku Kutegekerwawo, Okukiikirirwa, Emirembe [twogera ku biseera – omuvvuunuzi], Olunaku olw’Omunaana, Olusozi Olutukuvu, Piramidi, n’Okukuŋŋaana Okutukuvu?

Tusobola okufuna engeri gye tutegeeramu ebyo ebigenda mu maaso mu kiseera kino? Katonda Ali mu kukuŋŋaanya Omugole we okuva mu nsi yonna Asobole okutubuulira butya Amaka gaffe amaggya bwe galifaanana. Agenda kutubuulira okutuukira ddala ku buli ka nyumero akalimu. Kigenda kuba kiseera kinyunvu kitya kye tugenda okubeeramu.

Ebyo nga bikyali awo, entalo zaffe tezikalubangako kusukka ku bweziri kati. Sitaani Atulumbisa maanyi nga bw’Atakolangako. Obulumbaganyi bwe tebutulabirangako nga obukeendeddemu-kko oba okuvuddewo.

Naye EKITIIBWA kibe eri Katonda, OKUKKIRIZA kwaffe mu Kigambo Kye tekubangako waggulu nga bwekuli kati. OKUKIRIZA kwaffe mu kumanya kye tuli kusudde ennanga buziba nnyo mu Mmeeme yaffe, ne kiba nga tetusobola kukankanyizibwa.

TETULINA KINTU KYONNA kye tutya; MPAAWO kyakyeraliikirira. Kitaffe Atuvunaanyizibwako mu bujjuvu. Aluŋŋamya era n’Akulembera BULI LUTA lwaffe. Atuwaniridde mu bibatu by’Omukono Gwe. Sitaani ye kiguumaaza obuguumaaza ng’enkomerero yaakyo eri kumpi, era akimanyi. Ye y’atidde, akimanyi nti gw’ali mu kusoomooza ye Mugole w’Ekigambo kya Katonda Ekyogere era Sitaani buli mulundi awangulwa.

YEFFE KIGAMBO. Twali mu Ye okuva ku lubereberye. Si nti bwetulibeera olunaku olumu, TULI KATI. Bwe tuba nga tuli Kigambo, olwo tusobola OKWOGERA EKIGAMBO, SINGA TUNAAKKIRIZA BUKKIRIZA… ERA TUKKIRIZA .

Oli mukkiriza (EKIGAMBO) oba oli mubuusabuusa (TOLI KIGAMBO). Temuli kaayi n’akamu mu mubiri gwaffe akalinayo Ekigambo ekimu kyekatakkiriza. Kiikyo awo! Twakamala okukakasa eri Sitaani: ffe Kigambo. Tuyinza okuba nga tuli lususu olubeera wansi w’ekigere, WABULA TUSIGALA TULI KITUNDU KU MUBIRI OGWO!!!

Kale omulimba oyo bw’ajja nga alondoola omu ku ffe, Omugole ajja wamu okuva mu nsi yonna ne TUMUKUBA EŊŊUUMI ENZITO ERA NE TUMWONGERA EŊŊUUMI ENZITO n’Ekigambo.

Obulwadde bwe bulumba omu ku ffe, twegatta wamu ne TUMUKUBA EŊŊUUMI ENZITO! Omu ku ffe bw’atuuka n’aba nga awulira ng’aweddemu amaanyi era ng’ali wansi, ffenna tukola ki? TUMUKUBA EŊŊUUMI ENZITO!

Tugenda Awaka, Omugole. Ekiseera kituuse. Omugole Yeetegese. Tuli mu Lyato munda. Aggaddewo oluggi era tuli munda butebenkevu. Tusobola okuwulira oluyimba oluleeta Omugole okujja ng’Atambula mu lukuubo ayolekera okugattibwa n’Omugole Omusajja.

Tujja kuba mu hanemuunu yaffe okumala emyaka 1000, olwo tugende ffenna wamu naYe mu Maka Gaffe Amaggya.

Temusubwa mikwano. Waliwo ekkubo limu yokka eriteereddwawo era ne Likakasibwa Katonda obutaleekaawo kubuusabuusa: ENTAMBI. Ye Mpagi y’Omuliro ng’Eyogera era nga Ekukulembera Omugole We.

Kyonna ky’okola, teeka Eddoboozi eryo mu maaso go ne mu maaso g’ab’omu maka go ku Ssande eno. Okukkiriza kujja na kuwulira, okuwulira Ekigambo, n’Ekigambo kijja eri nnabbi. Omwoyo Omutukuvu ye Nabbi ow’olunaku lwaffe ng’Ayogera n’Omugole we nga Ayita mu Ntambi.

Oyanirizibwa okutwegattako Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu eky’omukawungeezi e Uganda), ekitundu ky’Omugole bwekinaaba nga kyegatta wamu nga bawuliriza, bonna mu kiseera kye kimu, Katonda nga Ayogera okuyita mu malayika we ow’amaanyi era nga Atubuulira byonna ebikwata ku: Amaka Agajja Ag’Omugole Omusajja Ow’Omu Gggulu N’Omugole Omukazi Ow’okunsi 64-0802.

Owol. Joseph Branham

24-0407 Ttanka Z’omu Ttaka Eziwomoggose

Obubaka: 64-0726E Ttanka Z’omu Ttaka Eziwomoggose

PDF

BranhamTabernacle.org

Abanywa Amazzi Ag’Oluzzi Lw’Ensulo Abaagalwa,

Omugole taliba kyekimu oluvannyuma lwa wiikendi ya Paasika etaryerabirwa Mukama gyeYatuwadde. Tweggalidde munda mu mayumba gaffe wamu naYe, nga tussa kimu naye era nga tumusinza wiikendi yonna. Okubeerawo Kwe kwajjudde amaka gaffe n’amakanisa gaffe.

Twabadde wansi w’okusuubira okunene ennyo kutyo. Twabadde tukimanyi nti kuno kwe Kwagala kwa Mukama waffe ku lwaffe. Katonda yabadde alina ky’Ali mu kutegeka okukola. Twasibidde ensi wabweru n’ebyayo byonna ebituwugula. Twegasse okuva mu nsi yonna mu ndowooza emu. Twabadde tutudde wamu mu bifo eby’omu ggulu, nga twetegeka anti Yabadde wa kwogera NAFFE mu kkubo.

Emitima gyaffe gyabadde gikaaba nti, “Mukama, mmumba nnyongere okukufaanana Ggwe. Nteetateeka olw’Okujja Kwo okubindabinda. Mpa Okubikkulirwa okusingawo. Omwoyo wo Omutukuvu ajjuze buli kaayi akali ku mubiri gwange.”

Buli lukuŋŋaana nga lutandika, twabadde tugamba munda mu ffe nti, “Lugenda kuba lutya? Obubaka buno mbuwulidde obulamu bwange bwonna, naye kati bwonna buwulikika nga obupya, nninga atabuwulirangako. Yabadde abikkula ekigambo kye eri emitima gyaffe n’emmeeme zaffe nga bwe kitabangawo”.

Okubikkulirwa okusukkiridde kwazzeemu okujja mu mitima gyaffe… Ye Ye…OYO. Ye Mwoyo Omutukuvu yennyini NGA AYOGERA BUTEREEVU NAFFE.

Si nze! Ye! Ye Oyo! Nnaakamala okukibagamba, Yeddizza bweddiza omubiri gwange. Yeddiza olulimi lwange, n’antwala amaaso, kubanga yakimanya nti nja kwewaayo gy’Ali, kale Azze buzzi n’Andeetera okukola ekyo. Kale taba nze! Ye Ye! Era taba nze  abeera ebweru eyo nammwe, aba Ye ebweru eyo nammwe. Ye Kuzuukira n’Obulamu . Ayi Katonda, Katonda; Mukikkirize. O, abantu: Mumukkirize. Mumukkirize. Ali wano.
    

Atuwadde Okubikkulirwa okumanya nti ENTAMBI  lye Ddoboozi lya Katonda eryogera naffe leero. Bye bigambo bye, Eddoboozi lye…EDDOBOZI LYE, eryakwatibwa ku lutambi era ne LITEREKEBWA bwetutyo tusobole OKUMUWULIRA ng’Ayogera naffe Ebigambo by’obulamu obutaggwaawo. Ebyo Lye kkubo lye Yateekerawo Omugole We.

Ge Mazzi agaakasundibwa, amayonjo, ag’Oluzzi olw’ensulo agagenda mu maaso nga geefukumula n’okwefukumula. Gyetwakomye okunywa, gye twakomye okukaaba nti, “Twongere Mukama, TWONGERE. Jjuza ekikompe kyange Mukama, kijjuze Mukama”. Era Yakikoze! Gyetukoma okunywa, GY’AKOMA OKUTWONGERA.

Awo Sitaani n’alangirirwa nti awanguddwa amaanyi g’Enjiri. Awanguddwa Katonda w’eggulu Eyayawula era n’Atuma malayika we okutubuulira Enjiri. Awanguddwa Katonda oyo Eyawandiika Ekigambo n’Atuma Malayika we era Eyabaddewo okukakasa Ekigambo kye. Fuluma abantu bange, mu Linya lya Yesu Kristo”.

Sitaani yabadde ATEEKWA okwamuka buli mulwadde, buli muntu anyigirizibwa. Kati amaanyi ga Katonda gatuzuukusirizza mu bulamu obulungi n’amaanyi amalungi nate.

Awo, okuva mu buziba bw’omutima gwaffe ne tugamba nti:

 Kati nkiriza nti Yesu Kristo, nga Omwana wa Katonda eyazuukizibwa, Ye Mulokozi wange , Ye Kabaka wange, Ye Muwonya wange. Kati mponyezeddwa. Ndokose. Nja kuwangaalira oyo Eyanfiirira. Nja kuva wano nga nsitukira mu bulamu obuggya, okugenda mu maaso okukola ekisingayo kyemmanyi Oyo…ku lw’oyo Eyazuukira ku lwange. Aleruuya!”

Gano ge Mazzi ag’Oluzzi lw’Ensulo ge tunywamu buli lunaku. Lwe luzzi lwokka nga ensulo zaalwo ziva butereevu mu Ggulu  nga zisindika amazzi entakera. Lwebeezaawo lwokka. Bulijjo luba luggya ate nga luyonjo. Terubaako awo ne lulegama amazzi obutatambula. Ge Mazzi ag’Obulamu agakyuka buli kiseera, nga galiko ekipya kyegabikkula eri Omugole buli kiseera.

Bulijjo luba lufukumula. Tetwetaaga kulusunda kulusisaayo omugwa, kulunyoola oba okulwegattako. Ye nsulo ya Katonda ey’Amazzi amalamu, era tetusobola kulowooza ku kya kunywa kintu kirala kyonna.

Tuwulira leero nti, “Amazzi gaffe ge mazzi agasinga obulungi g’osobola okunywa. Tugayisizza mu mitendera  7 egy’okugasengejja. Olwo ne tugazzaamu ebirungo byonna bye TWASENGEJJEEMU byetulowooza nti obyetaaga okuba n’amazzi mu mubiri gwo.”

Ekitiibwa kibe eri Katonda, tetwetaaga kukozesa lukisa-kisa oba okwebuuza bye tunywa oba ebigattiddwamu oba ebisegejjeddwa okuggyibwamu. BULI kye twetaaga kiri mu Mazzi gaffe. Kye tulina okukola kyokka kwe KUNYIGA ZANNYA ne twenywera nga Bwe Lwefukumula.

Nga kubudaabuda okunywa Amazzi gano. Twanditambudde mayiro na mayiro okuva mu kkubo lyaffe okusobola okunywako obunywi okuva mu lwo, naye tekitwetaagisa kukola ekyo. Tugenda naLwo buli we tugenda. Mu maka gaffe, mu masinzizo gaffe, ku mirimu, nga tuvuga mu mmotoka zaffe, nga twetambuliramu kko awo…TUNYWA, ERA TUNYWA, ERA NE TUNYWA.

Ayi ensi, jangu munywe okuva mu Nsulo Katonda gye Yateekawo. Kye kifo KYOKKA ky’otolina kweraliikirira n’ogamba nti, “Nsaba Omwoyo Omutukuvu ankuume nneme okunywa ekintu kyonna kye sisaanidde kunywa.” KYONNA KIGAMBO EKIKAKASIDDWA OKUSUKKA OKUBUUSABUUSA KWONNA NGA KIKULUKUTA OKUVA MU NSULOI Z’EGGULU.

Teri kifo kirala Mugole we w’ayinza kunywa!

Jjangu Onywe ku Luzi Olw’Ensulo wamu naffe ku Ssande eno  ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga bwetuwulira: Ttanka Z’omu Ttaka Eziwomoggose 64-0726E .

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnawulira Bubaka:

Zabbuli 36:9
Yeremiya 2:12-13

Omut. Yokaana 3:16

Okubikkulirwa Essuula ey’ekkumi n’ettaano