Eddoboozi lye tuwulira ku ntambi lye Ddoboozi lye limu eryafulumya Ekigambo kye mu Lusuku Adeni, ku Lusozi Sinaayi, ne ku Lusozi olw’Okufuusibwa. Livuga leero n’Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo okujjuvu era okw’enkomeredde. Liri mu kukoowoolayo Omugole We, nga Limuteekateeka olw’Okukwakkulibwa. Omugole ali mu kuLiwulira, nga aLikkiriza, nga Abeerawo okusinziira ku Lyo, era Yeetegese nga Ayita mu ku Likkiriza.
Tewali muntu ayinza kuLituggyako. Obulamu bwaffe tebusobola kwerijjirwako. Omwoyo we Abumbujja era Agaba ekitangaala ng’Asinziira mu ffe. Atuwadde Obulamu bwE, Omwoyo gwE, era Ali mu kwolesa Obulamu bwe mu ffe. Tukwekeddwa mu Katonda era tuliisibwa Ekigambo kyE. Sitaani tayinza kutukwatako. Tetuyinza kusigulwa. Tewali kiyinza kutukyusa. Olw’okubikkulirwa, tufuuse OMUGOLE-EKIGAMBO wE.
Sitaani bw’agezaako okutukkakkanya, tumujjukiza bujjukiza engeri Katonda gy’Atulabamu. Bw’Atunula wansi okutulaba, ky’Alaba kyokka ye zaabu OMULONGOOFU. Obutuukirivu bwaffe bwe butuukirivu BWE. Ebikula byaffe bye bikula byE byennyini eby’ekitiibwa. Ebimanyisa ensi kyetuli bisangibwa mu Ye. Ky’Ali, kati kye tulabisa. By’Alina, KATI BYE TWOLESA.
Nga Ayagala nnyo okugamba Sitaani nti, “SiMulabamu nsobi yonna Omukyala oyo; ATUUKIRIDDE. Eri Nze, Ye Mugole Wange, ow’ekitiibwa munda ne kungulu. Okuva ku lubereberye okutuuka ku nkomerero, Ye Mulimu Gwange, era Emirimu gyange gyonna giba Mituukirivu. N’okuba, mu Ye amagezi gaNge agataggwawo n’ekigendererwa mwe biwunzikirira”.
“Muzudde nga asaanidde, Omugole Wange omwagalwa. Nga zaabu bw’agoomezebwa ebimukuba, Agumidde okubonaabona olw’okuba nga Nze. Teyekkiriranyizza, tavunnamye, newankubadde okumenyeka omwoyo, wabula agoomezeddwa okufuuka ekintu ekisikiriza. Okugezesebwa kwe n’ebimugezesa mu bulamu buno biMufudde Omugole wange Omuganzi”.
Ekyo tekiwulikika nga Mukama yekka? Amanyi bulungi engeri y’okutuzzaamu amaanyi. Atugamba nti, “Temugeza ne muggwaamu amaanyi, wabula muddeemu amaanyi”. Alaba okufuba kwaffe okw’okwagala gy’Ali. Alaba bye tulina okuyitamu. Alaba entalo ze tulina okugumira buli lunaku. Nga bw’Atwagala ng’Atuyisa mu buli emu ku zo.
Mu Maaso Ge tutuukiridde. Abadde Atulinze okuva ku ntandikwa y’ebiseera. Tajja kuleka kintu kyonna kututuukako okuggyako nga kibaawo olw’obulungi bwaffe. Akimanyi nti tujja kuvvuunuka buli kizibu Sitaani ky’atuteeka mu maaso. Ayagala nnyo okumukakasa nti tuli Mugole wE. Tetuyinza kusigulwa. Ffe b’Abadde Alinze okuva ku lubereberye. Tewali kiyinza kutwawula ku Ye n’Ekigambo kyE.
Yatuweereza omubaka wE malayika ow’amaanyi asobole okwogera naffe kamwa ku kutu. Yasiima Kikwatibwe ku lutambi waleme okubaawo ebibuuzo byonna ku bye Yayogera. Yasiima Kiterekebwe Omugole We asobole okuba n’eky’okulya okutuusa lw’Alijja okumucima.
Si nsonga oba abalala batutegeera bubi era ne batuyigganya olw’okugamba nti tuli “Bantu ba Ntambi”, tusanyuka, kubanga kino ky’Atubikkulidde okukola. Abalala balina okukola nga bwe bawulira nga bakulembeddwa okukola, naye ku lwaffe, tuteekwa okwegatta wamu wansi w’Eddoboozi limu, Eddoboozi lya Katonda eryakakasibwa obutalekaawo kabuuza ku ntambi.
Tetusobola kugenda mu buziba bwa kintu kirala kyonna. Tetusobola kutegeera kintu kirala kyonna. Tetusobola kukola kintu kirala kyonna. Tetusobola KUKKIRIZA kintu kirala kyonna. Tetuwakanya abakkiriza abalala kye bawulira nga bakulembeddwa Mukama okukola, naye kino Katonda ky’ATUKULEMBEDDE FFE OKUKOLA, era wano we tuteekwa OKUSIGALA.
Tuli bamativu. Tuli mu kuliisibwa Eddoboozi lya Katonda. Tusobola okugamba nti “amiina” ku BULI KIGAMBO kye tuwulira. Lino ly’Ekkubo Katonda lye Yatuteerawo. Tetusobola kukola kintu kirala kyonna.
Njagala nnyo okukamala okuyita buli muntu okujja okutwegattako. Enkuŋŋaana tuli mu kuzikola bukozi ddala nga Ow’oluganda Branham bwe yazikolamu nga ali wano ku nsi. Newankubadde tali wano mu mubiri, ekikulu ky’ekyo Katonda kye Yagamba Omugole we ku ntambi.
Yayita ensi yonna okubeera ekitundu ku MUKUTU OGWEYUNGIBWAKO ogw’oku ssimu, naye ekyo baakikola bwe baaba nga BAAGADDE. Yabaleetera nga okukuŋŋaana buli we baali basobola okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga Lyogera nabo bonna mu kiseera kye kimu. Ekyo nnabbi wa Katonda kye yakola mu kiseera ekyo, kale nange nfuba okukola ekyo kyennyini kye yakola ng’ekyokulabirako kyange.
Bwemutyo, muyitibwa okujja okutwegattako ku mukutu ogweyungibwako Sande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga tuwuliriza omubaka wa Katonda nga atuleetera Obubaka : Katonda W’omulembe Guno Omubi 65-0801M.
Owol. Joseph Branham
Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnawulira Bubaka:
Katonda yatuma omubaka malayika we omusanvu okukulembera Omugole We ; so si musajja mulala, si kibinja kya bantu, wabula OMUSAJJA OMU, kubanga Obubaka n’omubaka we bye bimu. Ekigambo kya Katonda tekyetaaga kuvvuunula. YaKyogera eri Omugole we ng’Ayita mu mimwa gy’omuntu ow’oku nsi era tuKikkiriza ddala nga bwe YaKyogera.
Tulina okwegendereza ennyo leero eddoboozi ki eritukulembera, na ki kye litugamba. Enkomekkerero yaffe mu butaggwawo yennyini esinziira ku kusalawo okwo kwennyini; kale tulina okusalawo eddoboozi ki erisinga obukulu lye tulina okuwulira. Eddoboozi ki eryakakasibwa Katonda obutalekaawo kabuuza? Eddoboozi ki eririna Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama? Teriyinza kuba ddoboozi lyange, bigambo byange, enjigiriza yange, naye Liteekwa okuba nga lye Kigambo, kale tulina okugenda mu Kigambo okulaba kye Kitugamba.
Kitugamba nti Ajja kuyimusaawo obuweereza obw’emirundi etaano butukulembere ku nkomerero? Tusobola okulaba butangaavu ddala mu Kigambo nti balina ekifo kyabwe; ebifo ebikulu ennyo, naye Ekigambo kirina we Kigamba WONNA nti be baliba ab’okuba n’amaloboozi agasinga obukulu ge TUTEEKEDDWA okuwulira okubeera Omugole?
Nabbi yatugamba nti wajja kubaawo abasajja bangi nnyo abagenda okuyimukawo mu nnaku ez’enkomerero abagenda okugezaako okuweereza Katonda nga Katonda si bw’Ayagala. Ajja kuwa omukisa obuweereza bwabwe, naye si y’engeri ye etuukiridde ey’okukulembera Omugole we. Yagamba nti Okwagala kwe okutuukiridde kwe, era bulijjo kubadde nga, okuwulira n’okukkiriza Eddoboozi lya nnabbi We eyakakasibwa obutalekawo kabuuza. Kubanga Lyo, era Lyokka, ly’eririna Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama. Eno y’ensonga lwaki Yatuma malayika We; lwaki Yamulonda; lwaki Yasiima Likwatibwa ku lutambi. Y’Emmere Ey’Omwoyo Mu Ntuuko Zaayo, Emmaanu Eyakwekebwa, eri Omugole We.
Okumala emirembe musanvu ku ginnaagyo, sirina kirala kye ndabye okuleka abantu okussa ekitiibwa mu kigambo kyabwe okukigulumiza waggulu w’ekyaNge. Kale ku nkomerero y’omulembe guno mbasesema mmwe okuva mu kamwa kange. Byonna biwedde. Ŋenda kwogera bulungi. Weewaawo, ndi wano wakati mu Kkanisa. Oyo Amiina wa Katonda, omwesigwa era ow’amazima ajja kwebikkula era ajja KUBA NABBI WANGE .” Oh weewaawo, ekyo bwe kiri.
Emirembe musanvu ku ginnaagyo, abantu bassa ekitiibwa mu ekigambo kyabwe okukigulumiza waggulu w’ekyaNge. Olina okwebuuza, kino tekigenda mu maaso mu masekkati gaffe mu kiseera kino? “Temuzannya ntambi mu kkanisa, wabula muteekwa okuwulira omusumba wammwe, entambi muzizannyire mu maka gammwe”. Tebateeka Eddoboozi Lye ku lutambi ng’Eddoboozi erisinga obukulu, wabula eddoboozi lyabwe.
Basonga abantu eri bo bennyini, n’obukulu bw’obuweereza BWABWE, okuyitibwa KWABWE okuleeta Ekigambo, okukulembera Omugole; naye Omugole tayinza kukyeyimirira. Tebajja kukikkiriza. Tebajja kukikola. Tebajja kwekkiriranya ku Kyo; Ddoboozi lya Katonda gwe mulamwa so mpaawo kirala kyonna. Ekyo Ekigambo kye kyogera.
Ekibuuzo ekiri mu birowoozo by’abantu leero kiri nti: Ani Katonda gwe Yalonda okukulembera Omugole we, entambi oba obuweereza obw’emirundi etaano? Obuweereza bunaatuukiriza Omugole? Obuweereza bunaaluŋŋamya Omugole? Okusinziira ku Kigambo kya Katonda, eyo tebangako ngeri ye.
Waliwo abasajja bangi nnyo ennaku zino abagamba nti bagoberedde era bakkirizza Obubaka buno okumala emyaka n’emyaka, naye nga kati bateeka obuweereza BWABWE ng’eddoboozi erisinga obukulu ly’olina okuwulira.
Olwo buweereza ki bw’onoogoberera? Buweereza ki bw’oneesigamizaako ekifo gy’ogenda okukomekkereza mu butaggwawo? Bonna bagamba nti bayitiddwa Katonda okubuulira Obubaka. Ekyo sikigaana wadde okukibuusabuusa, naye abamu ku baweereza abasinga obwatiikirivu mu nnyiriri z’obuweereza obw’emirundi etaano bagamba nti, “Eryo si Ddoboozi lya Katonda, ddoboozi lya William Branham lyokka”. Abalala bagamba nti, “ennaku z’Obubaka bw’omuntu omu zaggwako”, oba “Obubaka buno si ye Abusoluuti”. Oyo y’akukulembedde?
Abasajja ababuulidde mu bikumi n’ebikumi by’enkuŋŋaana zaabwe; abakulembeze abakulu ab’obuweereza obw’emirundi etaano, KATI beegaana Obubaka ne BAGAMBA nti, “Obubaka buno bwa bulimba”.
Obuweereza obusinga obungi leero bugamba nti, “temusaanidde kuwuliriza malayika wa Ddobozi lya Katonda mu kkanisa, wabula mu maka gammwe mwokka.” “Ow’oluganda Branham tagambangako kuzannya ntambi mu kkanisa.”
Ekyo kisukka awakkirizika. Siyinza kukkiriza nti muganda waffe oba mwannyinaffe agamba nti akkiriza Obubaka buno, nti Ow’oluganda Branham ye mubaka malayika wa Katonda ow’omusanvu, Omwana w’Omuntu oli ng’Ayogera, ayinza okuwugulazibwa enjatula ey’obulimba ng’eyo. Eba erina okukulwaza mu lubuto. Bw’oba oli Mugole, EBA EJJA KUKUKOLA ETYO.
Katonda tAkyusa ndowooza Ye ku Kigambo Kye. Bulijjo Alonzenga omusajja omu okukulembera abantu Be. Abalala balina ekifo kyabwe, naye balina okukulembera abantu eri oyo YE gwe Yalonda okukulembera abantu. Muzuukuke, abantu. Muwulirize abaweereza bano byebabagamba. Okunokola kwe bakozesa okuteeka obuweereza bwabwe mu maaso g’obuweereza bwa nnabbi. Obuweereza bw’omuntu yenna buyinza butya okuba obukulu eenyo okuwulira okusinga Eddoboozi lya Katonda eryakakasibwa obutaleekaawo kabuuza Lye Yakakasa era Lye Yakakasa obutalekaawo kabuuza nti Liri Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama?
Atubuulidde n’Atubuulira, nti kisoboka okubaawo n’abasajja abaafukibwako amafuta mu mazima, nga balina Omwoyo Omutukuvu ow’amazima ku bo, nga ba bulimba. Waliwo ENGERI EMU yokka ey’okubaamu omukakafu, SIGALA N’EKIGAMBO NNAKABALA, kubanga Obubaka buno n’omubaka bye bimu. Waliwo Eddoboozi limu lyokka Katonda lye Yalonda Okubeera Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama…LIMU.
Obuweereza obw’amazima bujja kukugamba nti MPAAWO KIRALA kikulu nnyo okusinga okuwulira Ekigambo kya Katonda ekiva mu Ddoboozi lya Katonda ku lutambi. Basobola okubuulira, okuyigiriza, oba kyonna kye bayitiddwa okukola, NAYE BALINA OKUKULEMBEZA EDDOBOOZI LYA KATONDA; NAYE TEBALI MU KIKOLA, WABULA BALI MU KUKULEMBEZA BUWEEREZA BWABWE. Ebikolwa byabwe byennyini bikakasa ekyo kye bakkiririzaamu.
Beewala okuddamu ekibuuzo ekikwata ku kuteeka Eddoboozi lya Katonda mu bituuti byabwe nga bakozesa enjogera nti, Ow’oluganda Yusuufu takkiririza mu baweereza. Takkiririza mu kugenda mu kkanisa. Abo basinza muntu. Bagoberera njigiriza eyo eya Yusuufu. Ali mu kukola kibiina kya ddiini ng’ayita mu kuzannya n’okuwuliriza entambi ze zimu. Kusasamaza busasamaza bantu okubajja kibuuzo ekikulu. Ekikolwa kyabwe kikakasa bye bakkiriza nga bayita mu ebyo bye bayigiriza abantu baabwe, OBUWEEREZA BWABWE NGA BUKULEMBEZEDDWA.
Bagamba nti, okuleetera abantu okuwulira olutambi lumu mu kiseera kye kimu, kibiina kya ddiini. Ekyo si ky’ekyo kyennyini Ow’oluganda Branham kye yakola ng’ali wano; nga ayunga abantu ku mukutu okuwulira Obubaka bonna mu kiseera kye kimu?
Weebuuze, singa Ow’oluganda Branham abadde wano leero mu mubiri, teyandileetedde Mugole yenna kuyungibwa ku mukutu bonna okumuwulira mu kiseera kye kimu? Teyandigezezzaako okukuŋŋaanya Omugole awamu okwetooloola OBUWEEREZA BWE nga bwe yakola nga Katonda tannamutwala ka?
Ka nyingizeemu ekintu wano. Abavumirira bajja kugamba nti, laba, wuuyo awo, bayitiriza omuntu; bali mu kugoberera omuntu, William Marrion Branham!! Ka tulabe Ekigambo kye kyogera ku ekyo nakyo:
Mu nnaku z’omubaka ow’omusanvu, mu nnaku z’Omulembe gwa Laodikiya, omubaka waagwo ajja kubikkula ebyama bya Katonda nga bwe byabikkulirwa Pawulo. Ajja kwogera bifulume, era abo abasembeza nnabbi oyo mu linnya lye bajja kufuna omugano omulungi oguva mu buweereza bwa nnabbi oyo.
Kino kigenda kunyiiza sitaani nga ekirala kyonna bwekitamunyiizanga, era ajja kwongera okungobaganya n’okusinga bw’abadde, naye abantu, kirungi kino mukikebere n’Ekigambo. Si lwakuba nti nakyogera, nedda, olwo nandibadde ng’omusajja omulala yenna, wabula muggule emitima gyammwe n’ebirowoozo byammwe mukebere n’Ekigambo. Si ebyo omuntu omulala yenna by’akugamba oba by’akuvvuunulira, wabula ebyo nnabbi wa Katonda bye yayogera.
Oluvannyuma lw’ebbaluwa eno bajja kukuwa kunokola ku kunokola ku kunokola, era ŋŋamba AMIINA eri buli kunokola, NAYE ATE EBY’EKINTU EKISINGA OBUKULU BYO BIRI BITYA? Okunokola bali mu kukukozesa okukugamba nti okuwulira nabbi kyemulina okukola, oba BUWEEREZA BWABWE? Bwebaba bagamba Bubaka, nnabbi, olwo obagambe nti BAKULEMBEZE Eddoboozi eryo mu kkanisa yo.
Ku musingi ogw’enneeyisa ey’obuntu yokka, omuntu yenna akimanyi nti awali abantu abangi era wabaawo endowooza ezaawukana ku nsonga entonotono ez’enjigiriza enkulu bonna gye bakwata awamu.
Kiikyo awo. Okunokola okumu kuno kukugamba nti tekisobola kuba, era TEKIRISOBOKA KUBA , ekibinja ky’abasajja. Si buweereza bwe bugenda okugatta abantu kubanga nga tuzze ku nneeyisa obweyisa ey’abantu, bulijjo baba baawukana ku nsonga entonotono ez’enjigiriza ennene, tekiyinzika bonna okukkiriziganya, na bwegutyo olina okudda ku KIGAMBO NNAKABALA.
Olwo ani agenda okuba n’amaanyi ag’obwa nnantakola-nsobi ag’okuzzibwawo mu mulembe guno ogusembayo, kubanga omulembe guno ogusembayo gugenda kuddayo mu kwolesa Omugole w’Ekigambo Omulongoofu ?
ANI anaatukulembera? EDDOBOOZI LIMU eririna amaanyi ag’obwa nnantakola-nsobi lijja kuba lirina okukulembera Omugole.
Ekyo kitegeeza nti tujja kuddamu okufuna Ekigambo nga bwe kyaweebwanga butuukirivu ddala, . era nga bwe kyategeerebwanga butuukirivu ddala mu nnaku za Pawulo.
Ekitiibwa…Kiweebwa butuukivu ddala era…kitegeerebwa butuukivu ddala. Tekyetaaga kuvvuunula, anti kyamala dda okuweebwa butuukirivu ddala, era ffe, Omugole, tutegeera butuukivu ddala era ne tukkiriza buli Kigambo.
Kiikyo awo. Ali mu kusindika nnabbi akakasiddwa obutalekaawo kabuuza.
Ali mu kusindika nnabbi oluvannyuma lw’emyaka kumpi enkumi bbiri.
Ali mu kusindika omuntu ali ewala ennyo okuva awali ebibiina ebitegeke, obuyigirize, n’ensi y’eby’enzikiriza ne kiba nti nga Yokaana Omubatiza ne Eriya ab’edda, .
Aliwulira okuva eri Katonda yekka
Aliba ne “bw’ati bw’ayogera Mukama” era ayogere ku lwa Katonda.
Ajjakubeera kamwa ka Katonda
YE , NGA BWE KYALANGIRIRWA MU MALAKI 4:6, ALIKYUSA EMITIMA GY’ABAANA ERI BAKITAABWE.
Ajja kukomyawo abalonde ab’olunaku olw’oluvannyuma era baliwulira nnabbi eyakakasibwa ng’awa amazima amapime obuteerevu ddala nga bwe kyali ku Pawulo.
Ajja kuzzaawo amazima nga bwe baagalina.
Era n’abo abalonde abaliba naye ku lunaku olwo be baliba abo aboolesa mu mazima Mukama waffe erababeere Omubiri gwe era babeere eddoboozi Lye era bakole emirimu gye. Aleluuya! Okiraba?
Tukiraba. Tukikkiriza. Tuwummulidde ku KYO.
Muyitibwa okujja okutwegattako nga bwe tuwulira akamwa ka Katonda, Eddoboozi erigenda okugatta Omugole wa Yesu Kristo, nnabbi we eyakakasibwa, nga bw’Atuwa amazima amapime obuteerevu ddala, ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda).
Owol. Yusuufu Branham
65-0725M — Abafukeko Amafuta Mu Kiseera Eky’Enkomerero
Omugole wa Kristo omwagalwa, ka tujje wamu Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), okuwulira
65-0718M – Okugezaako Okuweereza Katonda Nga Katonda Si Bw’Ayagala
Tewabangawo kiseera oba abantu nga leero. Tuli mu Ye, abasika ba byonna bye Yatugulira. Ali mu kugabana naffe obutukuvu Bwe, okutuusa nga mu Ye, tufuuse obutuukirivu bwa Katonda bwennyini.
Yatumanyirawo edda ku bw’ekiragiro ky’Obwakatonda, nti tuliba Mugole We. Yatulonda, tetumulondangako. Si ffe abeereeta, kwali kweroboza Kwe. Kati Atadde mu mutima gwaffe ne mu mmeeme yaffe Okubikkulirwa okujjuvu okw’Ekigambo kye.
Olunaku ku lunaku, Atubikkulira Ekigambo kye, ng’Afuka Omwoyo gwe ku ffe, ng’Ayolesa obulamu bwe bwennyini mu ffe. Omugole We tasuulangako nnanga nywevu nnyo okusukka wano mu mitima gyabwe nga bamanyi nti bali mu kwagala Kwe okutuukiridde, ne mu nteekateeka Ye, ng’asigala n’Ekigambo Kye, ng’awulira Eddoboozi Lye.
Okwagala kwa Katonda n’Obubaka buno bujjuza emitima okutuusa we kituuka nga givulula buvuluzi. Tewali kirala kye twagala kuwulira, kwogerako, kussa kimu ku kyo, oba okumala gagabana okunokola kwe twaakawulira ne tutendereza Mukama.
Tulinga Musa emabega w’eddungu. Tutambudde ne tutuuka we twolekeganiza obwenyi ne Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, era tulaba Eddoboozi nga Lyogera naffe; butereevu ddala n’Ekigambo n’ekisuubizo ky’essaawa. Kirina kye kitukozeeko. TetuKikwatibwa nsonyi. Twagala nnyo okuKilangirira eri ensi. Tukkiriza nti Mukama waffe Yesu ye Bubaka bw’ekiseera era TULI MUGOLE WE.
Atwetoolozza olugo olw’Ekigambo kye. Tewali kisiikirize kya kubuusabuusa, lino lye kkubo lya Katonda ly’Ataddewo. Katonda mpaawo lw’Akyusa ndowooza Ye ku Kigambo Kye. Yalonda malayika We ow’omusanvu okukoowoolayo Omugole we, n’oluvannyuma okumukuumira mu buteerevu n’Ekigambo kye.
Tewali kintu kyonna mu bulamu buno okuggyako Ye n’Ekigambo kye. Tetusobola kuKikoowa. Kitusingira obulamu. Enjiri n’Amaanyi ga Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna bisaasaanidde mu nsi yonna nga bwe kitabangawo. Ekigambo kati kiri mu mikono ne mu matu g’Omugole. Ekiseera ky’okwawukana kati kigenda mu maaso, Katonda mw’Ali mu kuyitira Omugole, nga sitaani ayita ekkanisa.
TuKwagala Ggwe n’Ekigambo Kyo, Mukama. Tetusobola kufuna kimala. Tutuula mu maaso g’Ekigambo Kyo buli lunaku, nga twengera, nga twetegekera Okujja Kwo okw’amangu. Kitaffe, kirina okuba nga kiri kumpi nnyo. Tusobola okukiwulira, Mukama waffe. Tulindirira n’okusuubira okungi.
Kitaffe, tufuule abeesimbu okusingawo era tuzze buggya ebirayiro byaffe nate. Tukimanyi nti Okukkiriza kwaffe mu Kigambo Kwo kubumbujjira mu mutima gwaffe. Oggyeemu okubuusabuusa kwonna. Tewali kintu kyonna kisigaddemu awo okuggyako Ekigambo Kyo. Tukakasa, era tetukwatibwa nsonyi kugamba nsi nti, tuli Mugole Wo ow’Olutambi.
Njagala okuyita ensi okujja okuwuliriza wamu naffe Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga tuwulira Obubaka: Okukwatibwa Ensonyi 65-0711.
Owol. Joseph Branham
Omut. Makko 8:34-38
34 N’ayita ebibiina n’abayigirizwa be, n’abagamba nti Omuntu bw’ayagala okungoberera, yeefiirize yekka, yeetikke omusalaba gwe, angoberere.
35 Kubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe alibubuza; na buli alibuza obulamu bwe ku lwange n’olw’enjiri alibulokola.
36 Kubanga kimugasa ki omuntu okulya ensi zonna, n’okufiirwa obulamu bwe?
37 Kubanga omuntu yandiwaddeyo ki okununula obulamu bwe?
38 Kubanga buli ankwatirwa ensonyi nze n’ebigambo byange mu mirembe gino egy’obwenzi era emibi, n’Omwana w’omuntu alimukwatirwa ensonyi oyo lw’alijjira mu kitiibwa kya Kitaawe ne bamalayika abatukuvu.
Olunaku lwa kikeerezi n’Okujja kwa Mukama kuli kumpi. Oluggi luli mu kuggalwa era obudde bugenda buggwaako, bwe buba nga tebunnaggwaako. Obudde bukeereye nnyo okudda awo okwewuunya; okubeera ng’olumuli olunyeenyezebwa n’empewo; okubeera n’amatu agasiiwa. Kye kiseera okukola okusalawo nga ensalosalo zaakwo ntangaavu bulungi. Kiki kye nnina okukola okusobola okubeera Omugole We?
Katonda akyusa Endowooza ye ku Kigambo kye? TALIKIKOLA. Olwo tulina okufuba buli lunaku, n’omutima gwaffe gwonna n’emmeeme yaffe yonna okubeera mu KWAGALA KWE OKUTUUKIRIDDE. Tulina okwewaayo eri by’ayagala n’Ekigambo kye. Tetukibuusabuusa nako, tuKikkirize bukkiriza era tuKisembeze. Tetugezaako okunoonya engeri ey’okukyebalamamu. Kitwale butwazi nga bwekiri.
Nabbi atugamba mu Bubaka buno nti ekigendererwa kye kyonna kwe kutulaga nti Katonda Alina okukuuma Ekigambo Kye okusobola okusigala nga Katonda, naye bangi nnyo baagala okuKyebalama, n’okufuna ekkubo eddala. Bwe bakikola, beesanga nga bagenda mu maaso, era nga Katonda Abawa omukisa, naye nga bakolera mu kwagala Kwe okw’ekyerekerezi so si mu kwagala Kwe okutuukiridde, okw’Obwakatonda.
Nabbi atuzzaayo mu Kigambo n’Atuwa ebyokulabirako bye tulina okutunuulira, okusoma, era n’Atujjukiza nti, Katonda TAKYUSA Ndowooza Ye oba ekkubo lye, Ye Katonda era TAjjulukuka.
Kati, twetegereza nti bombiriri bano baali basajja ba mwoyo, bombi baali bannabbi, bombi baali baayitibwa. Era Musa, nga ali ddala mu kukola mulimu gwe, ng’alina Empagi y’Omuliro ensu mu maaso ge buli lunaku, Omwoyo wa Katonda ku ye, nga ali mu kukola mulimu gwe. Ne wajjawo omuweereza wa Katonda omulala, eyayitibwa Katonda, eyayawulibwa Katonda, nnabbi ekigambo kya Katonda gwe Kituukirako. Wano we wali olugwanyu ensalosalo y’akabi. Tewali yali ayinza kuwakanya musajja oyo okuba nga wa Katonda — wa Katonda, kubanga Baibuli yagamba nti Omwoyo wa Katonda Yayogera naye, era yali nnabbi.
Mukama, ekyo nga kisembereganye kitya? Nnyinza ntya okumanya, nga BOMBI baali bannabbi? Bombi bantu abajjudde Omwoyo abaayitibwa Katonda, abaayawulibwa Katonda; bannabbi ba Katonda ekigambo kya Katonda be Kyatuukirangako. Bombi nga bagamba nti Omwoyo Omutukuvu y’Abakulembera.
Leka tusome era twekalirize okunokola okutonotono bwegendereza ddala ku ebyo omubaka wa Katonda ow’omusanvu by’ayogera. Twagala by’ayogera; si ekkanisa by’eyogera, Dokita Jones by’ayogera, oba omuntu omulala by’ayogera. Twagala ekyo BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA ky’Ayogera nga tuyita mu nnabbi we.
Musa, nga bweyali nnabbi eyayawulibwa n’Ekigambo kya Mukama, ng’akakasiddwa obutalekaawo kabuuza nti yali alondeddwa okuba omukulembeze waabwe ow’omu kiseera ekyo , era nga Ibulayimu yali asuubizza ebintu bino byonna,…
Tewali n’omu yali asobola kutwala kifo kya Musa. Si nsonga ba Koola baali bameka abaayimukawo, ne ba Dasani bameka; yali Musa, Katonda gwe Yali ayise, awatali kwekuusa ku birala.
Musa ye Katonda gwe Yali Alonze okukulembera abantu. Abasajja abalala ne bagolokokawo ne bagamba nti nabo baali basajja abaafukibwako amafuta, abajjuzibwa Omwoyo Omutukuvu. Katonda nbao yali abayise okukulembera. Naye Musa ye yali omukulembeze wa Katonda ow’Okwagala Okutuukiridde nnakabala okubakulembera.
Naye, era abantu bwe baba si ba kutambulira mu kwagala Kwe okutuukiridde, ddala Alinayo okwagala Kwe okw’ekyerekerezi kw’Ajja okukuleka okutambuliramu. Weetegereze, Akikkiriza kibe, bulungi, naye Ajja kukileetera okukomekkereza nga kigulumizzaamu Ye, mu Kwagala Kwe okutuukiridde. Kati bw’oba oyagala…
Teri ayagala kubeera mu kwagala kwa Katonda okw’ekyerekerezi. Omugole omutuufu ayagala okubeera mu Kwagala kwe okutuukiridde, buli kiseera, si nsonga kimuseeza kitya.
Ffenna tukimanyi eno ye nsonga yennyini ereetedde abakkiriza Obubaka okwawukanamu leero. Tukimanyi nti Omugole ATEEKWA, ERA AJJA KUBEERA, nga yeegasse wamu; ekyo kye Kigambo.
Waliwo abasajja abajjuzibwa Omwoyo, abaayitibwa Katonda mu Kkanisa leero. Be basajja ba Katonda abaafukibwako amafuta abaayitibwa okubuulira Obubaka buno. Naye mu ngeri ennyangungu, mpaawo n’omu ku bo gwe tusobola okukkiriziganyizaako ffenna.
Bayinza batya okuba nga be bagenda okugatta Omugole? Tusobola okwegatta nga twekuŋŋaanyirizza ku buweereza bwabwe? Mazima bayitiddwa okukulembera ekisibo kyabwe, naye kubakulembera okuddayo mu NTEEKATEEKA ya Katonda NNAKABALA. OMUKULEMBEZE WE. NABBI WE. Si obuweereza bwabwe.
Bwe baba nga tebakuyigiriza nti Eddoboozi eriri ku ntambi ly’eryo ly’OLINA okugoberera, era ly’olina okukkiriza nti lye Ddoboozi erisinga obukulu ly’olina okuwulira, mu ngeri ennyangungu, baba bali mu kwagala kwe okw’ekyerekerezi.
Bwe baba nga ddala bakugamba nti lye Ddoboozi erisinga obukulu, era nga ekyo bakikkiriza mu mazima, olwo bayinza batya obutanyiga zannya buli lwe mubeera awamu?
Bw’oba oyagala okukakasa, OBUKAKAFU DDALA, nti oli mu kwagala Kwe okutuukiridde, waliwo ENGERI emu yokka ENKAKAFU. Kwe kuwulira Eddoboozi lya Katonda eryakakasibwa obutalekaawo kabuuza ku ntambi.
Oba okyali awo, olutambi nga lugwa mu nnyumba yaabwe. Abo baba balufunye, awo. Bw’aba ndiga, ajjira ddala nalwo. Bw’aba mbuzi, olutambi alusamba-ggere ppaka bweru.
Nnina okubeera MUKAKAFU. Sisobola, era sijja, kugezesa mikisa-kisa n’akasembayo obutono ku kifo kyange gyennaakomekkereza mu butaggwawo. NKIMANYI Eddoboozi eriri ku ntambi lye ddoboozi lya Katonda eri Omugole. NKIMANYI Terikola nsobi. NKIMANYI Lyakakasibwa Empagi y’Omuliro. NKIMANYI Ly’eryo Katonda Lye Yalonda okukulembera Omugole we. NKIMANYI Eddoboozi eryo lye ddoboozi lyokka eriyinza era erigenda okugatta Omugole. NKIMANYI liriba Eddoboozi eryo lyendiwulira nga Ligamba
“Laba, Omwana gw’Endiga wa Katonda”.
NTEEKEDDWA OKUNYIGA ZANNYA mpulire Eddoboozi eryo. Oyitibwa okujja okutwegattako Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga bwe tuwulira: 65-0418E Katonda Atera Okukyusa Endowooza Ye Ku Kigambo Kye?
Owol. Joseph Branham
Tujja kutandika Obubaka ku katundu 61.
Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnawulira Bubaka:
Omugole Wa Kristo Omwagalwa, leka tujje wamu Sande ku Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda, okuwulira 65-0221E – “Merukizeddeeki Ono Y’Ani?”
Yeffe Mukyala We omutono omwagalwa; atatabikiddwamu birala, atakwatibwako kibiina kya muntu yenna ekitegeke, endowooza yonna ekoleddwa omuntu. Ffe Mugole w’Ekigambo, atatabikiddwamu birala bulongoofu ddala! Ffe muwala wa Katonda ali olubuto.
Yeffe baana ab’Ekigambo kye Ekyogere, ekyo nga kye Kigambo kye nnakabala! Temuli kibi mu Katonda, bwe kityo temuli kibi muffe, nga bwe tuli ekifaananyi kye Ye Mwennyini. Tuyinza tutya okugwa? Tekisoboka….TEKISOBOKA! Tuli kitundu ku Ye, EKIGAMBO kye NNAKABALA.
Kino tuyinza tutya okukimanya awatali kubuusabuusa kwonna? OKUBIKKULIRWA. Baibuli yonna, Obubaka buno, Ekigambo kya Katonda, kyonna Kubikkulirwa. Bwetutyo bwetumanyi amazima wakati w’Eddoboozi lino n’amaloboozi amalala gonna, kubanga kuba Kubikkulirwa. Era Okubikkulirwa kwaffe kukwataganira ddala n’Ekigambo, so tekukontana na Kigambo.
Era ku lwazi luno” (okubikkulirwa okw’omwoyo okw’Ekigambo kye lwekuli) “Ndizimba Ekkanisa Yange; n’emiryango gy’emagombe tegiriginyeenya kugisuula wansi.” Omukyala we tajja kukemebwa na basajja balala. “Ndizimba Ekkanisa Yange, n’emiryango gy’emagombe tegiriyinza kuginyeenya.”
Tujja kuba ba mazima era abeesigwa eri Ekigambo kye n’Eddoboozi lye, lyokka. Tetulyonoonebwako musajja mulala kukola bwenzi. Tujja kusigala nga Tuli Mugole w’Ekigambo kye Embeerera. Tetujja kutunula, kuwuliriza newankubadde okupepeya n’ekigambo ekirala kyonna.
Kiri wansi mu mitima gyaffe. Tetuliyinza yadde okuba n’omwami omulala, wabula OMWAMI waffe OMU, Yesu Kristo, Omusajja omu, Katonda, Imanueri. Omukyala we aliba enkumi emirundi enkumi z’enkumi. Ekyo kiraga nti Omugole ateekeddwa kuva mu Kigambo. “Mukama waffe Yesu omu, n’Omugole we bangi, nnamunigina.”
Tulina okujjukira n’okutegeera kino si kya buli muntu, kya kibinja kya nnabbi KYOKKA. Abagoberezi be ababe nga ye. Obubaka buno buli eri bo bokka, ekisibo ekitono Omwoyo Omutukuvu kye yamuwa okulabirira.
Katonda Alimubalirako obuvunaanyizibwa bw’ebyo by’atugamba, era Katonda Alitubalirako, abaakyusibwa ye okuva mu nsi yonna, b’akulembedde eri Kristo, Alitubalirako obuvunaanyizibwa bw’okukkiriza buli Kigambo mu kyo n’obutekkiriranya.
Nga kya kitalo nnyo gye tuli okutuula ne tuMuwuliriza ng’Atubuulira nga bwe tuli abalonde be. Nga Omugole We eyasooka, n’Omugole we ow’okubiri, gye yaMulemererwa; naye ffe, Omugole We ow’ekitalo ow’ekiseera eky’enkomerero TETULI MULEMERERWA. Tujja kusigala nga tuli Mugole we ow’Ekigambo embeerera, omwesigwa, ow’amazima, okutuusa ku nkomerero.
Okukkiriza kwaffe mu kigambo kye kweyongera buli lunaku. Tuli mu kwetegeka nga tuwuliriza era nga tugondera buli Kigambo Kye, nga tuwulira Eddoboozi lye nga lyogera naffe, nga tusoma Bayibuli zaffe, nga tuMusaba era nga tuMusinza olunaku lwonna.
Tukimanyi nti Ajja mangu nnyo. Eddakiika yonna kati. Okufaananako ne Nuuwa, twali tusuubira nti yali ajja jjo; mpozzi enkya ku makya, mu ttuntu, akawungeezi, naye tukimanyi nti Ajja. Nabbi wa Katonda n’Ekigambo kye tebakola nsobi, AJJA. Tuwulira nga luno lwe lunaku lw’omusanvu, era tulaba ebire nga bitkwata n’amatondo g’enkuba amanene ennyo nga gagwa; ekiseera kituuse.
Tuli butebenkevu era tuli ntende mu Lyato, nga tulindirira n’okusuubira okungi. Jjangu twegatteko nga tuwulira Eddoboozi lya Katonda nga Litubudaabuda Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga bwetuwulira: Okufumbiriganwa N’Okwawukana 65-0221M .
Owol. Joseph Branham
Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnawulira Bubaka:
Singa twebuuza ekibuuzo ku kintu kyonna mu bulamu bwaffe, wateekwa okuba nga waliwo eky’okuddamu ekituufu. Wayinza okubaawo ekintu ekikifaananye, naye wateekwa okubaawo eky’okuddamu ekituufu, ekitereevu eri buli kibuuzo. N’olwekyo, buli kibuuzo ekijja mu bulamu bwaffe, wateekwa okubaawo eky’okuddamu ekituufu, ekigolokofu.
Bwetuba nga tulina ekibuuzo eky’omu Baibuli, wateekwa okubaawo eky’okuddamu eky’omu Baibuli. Tetukyagala kuba nga kiva mu kibinja ky’abasajja ekimu, okuva mu kuŋŋaaniro ly’abantu erimu, oba okuva mu musomesa omu, oba okuva mu kibiina ky’eddiini ekimu. Twagala kive butereevu mu Byawandiikibwa. Tuteekwa okumanya: ekifo kya Katonda ekituufu era ekigolokofu okumusinzizaamu kye kiruwa?
Katonda yasalawo okusisinkana omuntu; tekyali mu kkanisa, si mu kibiina kya ddiini, si mu nzikiriza, wabula munda mu Kristo. Ekyo kye kifo kyokka Katonda w’Anaasisinkaniranga omuntu, naye n’asobola okusinza Katonda, ye munda mu Kristo. Ekyo kye kifo kyokka. Si nsonga oba oli Mumethodist, Mubaputisiti, Mukatoliki, Mupulotesitante, kyonna ky’oyinza okuba, waliwo ekifo kimu kyokka ky’osobola okusinzizaamu Katonda mu butuufu, ekyo ye munda mu Kristo.
Ekifo kya Katonda kyokka ekigolokofu, era kyeYalonda okuMusinzizaamu ye munda mu Yesu Kristo; eryo ly’Ekkubo Lye lyokka lye Yateekawo.
Baibuli Yatusuubiza Empungu mu Malaki 4; Empagi y’Omuliro gye tulina okugoberera. Ajja kulaga ekkanisa ebadde ewabye nti Ye Abebbulaniya 13:8, Yesu Kristo aba obumu jjo, leero, n’emirembe gyonna. Era twasuubizibwa mu Lukka 17:30 nti Omwana w’omuntu oli (Empungu) ajja kuba Yeebikkula eri Omugole we.
Naye Baibuli yagamba nti mu budde obw’akawungeezi, Ekiramu ekyasembayo ekyali kigenda okujja yali Empungu ebuuka. Katonda yali wa kuwa Omugole We ow’ekiseera eky’enkomerero Empungu; Omwana w’omuntu yennyini, nga Yeebikkulira mu mubiri okukulembera Omugole we.
Baibuli era egamba nti ebintu byonna eby’edda, ebiri mu ndagaano enkadde, byali bisiikirize by’ebintu ebyali bigenda okujja. Ekisiikirize ekyo nga bwe kigenda kisemberera, ekisiikirize ky’ekifaananyi kigenda kimiribwa okufuuka ekifaananyi kiri kyennyini. Ebyaliwo mu kiseera ekyo kisiikirize ky’ebyo ebyali eby’okubeerawo leero.
Mu I Samwiri 8, endagaano enkadde etugamba nti Katonda yali awaddeyo Samwiri nnabbi okukulembera abantu. Abantu ne bamutuukirira ne bamugamba nti baagala kabaka. Samwiri n’agwamu ekikangabwa eky’amaanyi ennyo olw’akabi ke yali alabye omutima gwe katono gumutyemuke.
Katonda ebbanga lyonna yali Akulembedde abantu be ng’Ayita mu nnabbi ono eyawongebwayo mu butukuvu, eyakakasibwa mu Byawandiikibwa obutaleekaawo kabuuza era yawulira nti yali agaanibbwa. Yakuŋŋaanya abantu n’abeegayirira baleme kuva ku Katonda eyabasitula ng’abaana, n’abaaza n’abawa omukisa. Naye ne bawalaaza empaka.
Ne bagamba Samwiri nti, “Tobangako mukyamu mu bukulembeze bwo. Tobangako atali mwesimbu mu nkwata yo ey’eby’ensimbi. Okoze kyonna ekisoboka okutukuuma nga tukwatagana n’Ekigambo kya Mukama. Tusiima ebyamagero, amagezi, enteekateeka n’obukuumi bwa Katonda. Tukkiririzaamu. Tukyagala nnyo. Era n’ekirala tetwagala kubaawo nga tetukirina. Ensonga eri bubeezi nti twagala kabaka atukulembera mu lutalo.
Kati kirabikirawo nti buli bwe tufuluma okulwana kikyali kigendererwa kyaffe okuba nga bakabona batusooka mu maaso nga Yuda abagoberera, era tujja kufuuwa amakondeere tuleekaane era tuyimbe. Tetugenderera kukomya kintu kyonna n’ekimu ku ebyo. NAYE TWAGALA KABAKA NGA MUNTU AVA MUFFE ATUKULEMBERE .”
Bano si be baali abantu b’ebibiina by’amadiini ab’olunaku olwo. Bano n’okuba mu bukakafu, be bantu abaali bagamba nti ddala YE NABBI wa Katonda Katonda gwe Yalonda okubakulembera.
“Weewaawo, oli nnabbi. Tukkiriza Obubaka. Katonda Akubikkulira Ekigambo kye, era tukyagala nnyo Ekyo, era tetwagala kubeerawo weKitali, naye twagala omuntu omu ng’oggyeko GGWE atukulembere; o’w’omu bantu baffe. Tukyagenderera okugamba nti tukkiriza Obubaka bwewatuleetera. Kye Kigambo. Ggwe nnabbi, naye si ggwe Eddoboozi lyokka oba erisinga obukulu.”
Waliwo abantu abatalina buzibu mu nsi leero, amakanisa amalungi. Naye waliwo Mukyala Yesu Kristo omu, era ffe Ye, Abo b’Ali mu kujjja okucima; Omugole Ekigambo We embeerera omulongoofu anaasigala n’EDDOBOZI LYA Katonda LYOKKA ERYAKAKASIBWA OBUTALEKAAWO KABUUZA ERA ERYALAGIBWA NTI LIRI BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA.
Bw’oba oyagala okutwegattako Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), tujja kuba tukyali ku mukutu ogw’oku mpewo ku ssimu okwetoloola ensi yonna nga tuwuliriza. Kino kye kigenda okubaawo.
Tambulira ku baganda bange, bannyinaze, mikwano gyange, wano mu kifo kino ekiro kino n’ebweru eyo ku ssimu. Amasaza ag’enjawulo agawerako nga gawuliriza, okuva ku lubalama lw’ebuvanjuba okutuuka mu bugwajuba. Nsaba, Katonda Omwagalwa, ewala emmanga okuyita mu ddungu eyo mu Tucson, okugendera ddala okutuuka mu California, engulu mu Nevada ne Idaho, ewala nnyo mu Buvanjuba n’okwetooloola, emmanga mu Texas; nga okuyitibwa kuno kuweebwa, abantu nga bayingira — mu masinzizo amatono, mu masundiro g’amafuta, mu maka, nga bawuliriza okuva eno. Ayi Katonda, leka omusajja oyo eyabula oba omukazi, omulenzi oba omuwala, mu ssaawa eno, ajje gy’Oli. Leka kibe kati kati. Tukisaba mu Linnya lya Yesu, nti banaafuna ekifo kino eky’obutebenkevu ng’ekiseera kikyali kino.
Kaakano Mukama, okusoomoozebwa kuno kusisinkaniddwa, nti Sitaani, ekiguumaaza ekinene, talina ddembe kusigaza mwana wa Katonda yenna. Ye kitonde ekiwanguddwa. Yesu Kristo, ekifo kyokka eky’okusinzizaamu, Erinnya lyokka ettuufu, Yamuwangula e Kalvario. Era tukoowoola Omusaayi gwe mu kiseera kino, nti Yawangula buli bulwadde, buli ndwadde.
Era ndagira sitaani okuva mu kibiina kino. Mu Linya lya Yesu Kristo, va mu bantu bano, era bafuulibwe ba ddembe.
Buli muntu akkiriza okuwonyezebwa kwe ku musingi gw’Ekigambo ekyawandiikibwa, kola obujulizi bwo ng’oyimirira ku bigere byo era ogambe nti, “Kaakano nzikiriza okuwonyezebwa kwange mu Linnya lya Yesu Kristo.” Situka ku bigere byo.
Katonda Atenderezebwe! Weerabireko n’agago. Weetegereze wano, ku balema n’ab’ebirala nga bagolokoka. Katonda Atenderezebwe! Ekyo bwe kiri . Kkiriza kyokka. Ali wano.