All posts by admin5

Paasika 2026 – Okusembera okw’enjawulo  n’okunaazaganna ebigere

Batuuze Bannange Abw’Obwakabaka Abaagalwa,

 Paasika eno esuubiza okuba Paasika esinga obukulu Omugole gy’eyali abadde nayo.  Tubadde tutudde mu Maaso g’Omwana, nga twengera, nga tutegeera kye tuli.  Obujjuvu bwa Yesu Kristo bweyolekera mu buli omu ku ffe ng’Ekigambo kye, Eddoboozi lye, bwe lyo gelera waggulu, Eri Empungu emu okutuuka ku mpungu eddala  , nga lituyita okugenda ku kyeggulo kyaffe eky’embaga.

 Buli mwaka mu kiseera kino Omugole afuna okusuubira okunene ku wiikendi ya Paasika eno.  Ekiseera ky’anaatugatta okuva mu nsi yonna okumala ennaku nnya ezitasalako, nga tumusinza, nga tumwebaza, nga tumutendereza;  kubanga azuukidde era abeera mu buli omu ku ffe.  Omugole omusajja n’Omugole bafuuka OMU.

 Atuwa obudde buno obw’enjawulo okuggalawo ebintu byonna eby’ensi ebitwetoolodde n’okumala naye obudde bwonna.  Tewali biwugulaza bya nsi eno, nga bwe tutonda ensi yaffe naye.  Tuggalawo enzigi zaffe, tuggyako ebyuma byaffe byonna eby’amasannyalaze n’abuli kintu kyonna ekituwugula okuva gy’ali.

 Okuyaayaana okusinga obukulu buli omu ku ffe kw’alina kwe kubeera okumpi naye.  Twagala okutambulira mu bulamu obwewereddeyo ddala ku lulwe;  okubeera bulijjo mu kwagala kwe okutuukiridde.  Okuba abetegefu ku lw’okujja kwe.  Tewali kintu kyonna mu nsi muno, oba mu bulamu bwaffe, ekisinga kino.

 Atuwadde omukolo guno ogw’enjawulo okumala obudde naye, okwogera n’okumufumiitirizaako.  Okuyingira mu maaso ge n’okumuggulira emitima gyaffe.  KUJJA KUBA KUKYUSA KW’ABULAMU ERI MUGOLE WE!

 Akimanyi nti kiyinza okuba ekizibu eri abamu ku mmwe n’abaana, amaka, n’obuvunaanyizibwa obulala bwe tulina, naye bwe tunaakozesa buli sikonda  gye tuffisaawo okwogera naye, Okusembera okumpi naye, ne tuggulawo emitima gyaffe gy’ali, wajja kubaawo enkyukakyuka ng’eyo mu kutambula kwaffe naye, okutuusa lwe tutajja kuba kye kimu.

 Nga bwe yakola ku lunaku lwa Musa bwe yaleeta abaana be okuyingira mu maka gaabwe, omusaayi gwali gusiigiddwa era nga beetegekera Okuva kwabwe;  bwe kityo wiikendi eno ey’enjawulo eya Paasika gy’ategese ejja kuba bwetyo eri buli omu ku ffe.

 OLUNAKU OLW’OKUNA

 Lwali Lwakuna ekiro Mukama waffe Yesu n’alya ekyeggulo ekisembayo n’abayigirizwa be, ng’ajjukira embaga ey’Okuyitako ng’abaana ba Isirayiri tebannatandika Kuva kw’abwe.  Nga mukisa gwe tulina okusa ekimu ne Mukama mu maka gaffe, nga wiikendi yaffe entukuvu tennabaawo, n’okumusaba atusonyiwe ebibi byaffe, era atuwe ffenna bye twetaaga mu lugendo lwaffe.

 Kitaffe ow’omu ggulu, tusiima nnyo kulwa kino, ekiseera ekirala okukuŋŋaanyizibwa wamu, oludda luno olw’obutaggwaawo.  Era tutunuulira enkya ya leero okuzza obuggya amaanyi okuva gy’oli, okutuwa obuvumu ku lw’olugendo oluli mu maaso.  Tukungaannya ng’abaana b’Abaebbulaniya bwe baakola ku makya ennyo, okufuna maanu eyali ebaweereddwa ekiro kyonna, okubabezaawo okuyita mu lunaku olujja.  Tukuŋŋaannye ku lwa Manu ey’omwoyo, enkya ya leero, okutuwa amaanyi ag’olugendo.

 Ffenna tutandike ku ssaawa 6:00 P.M.  ku ssaawa yo mu kitundu kyo okuwulira Okusembera 62-0204, olwo nnabbi atutwale mu kukuŋŋaana lwo Kusembera n’okunaazaganna ebigere  olwe njawulo ng’olutambi luwedde, olugenda okuzannyibwa ku app ya Lifeline (mu Lungereza), oba osobola okuwanula olukuŋŋaana mu Lungereza oba ennimi endala ng’onyiga ku kayungiro kano wammanga.

 OLUNAKU OLW’OKUTAANO

 Tugende mu kusaba n’amaka gaffe ku ssaawa 9:00 A.M., n’oluvannyuma nate ku ssaawa 12:00 P.M., nga tuyita Mukama abeere naffe n’okujjuza amaka gaffe n’Omwoyo Omutukuvu nga bwe twewaayo gy’ali.

 Ebirowoozo byaffe biddeyo ku lunaku olwo e Kalvario, emyaka nga 2000 egiyise, era tulabe Omulokozi waffe ng’awanikiddwa ku musaalaba.  Tujjukire omuwendo omunene gwe yatusasulira.  Yali Mwana wa Katonda atalina kibi, naye yalina okubonaabona nga tewali muntu mulala ayinza kubonaabona bwatyo, kubanga ebibi byaffe byateekebwa ku ye.

 Yalina okumusindika mu magoobe nga asaliddwa omusango (Okilaba?), kubanga yatwala ebibi byaffe.  Era Kristo n’afa, si nga mutuukirivu;  Kristo yafa nga mwonoonyi.  Okilaba?  Kristo ye kennyini teyayonoona, wabula ebibi byaffe yabiteeka ku ye.

 Olwo ku ssaawa 12:30 P.M., ka twegatte wamu mu maka gaffe okuwulira: 57-0419 Okutuukirizibwa.

 Olwo tuddemu okwegatta mu kusaba amangu ddala nga tumaze olukuŋŋaana, nga tujjukira okukomererwa kwa Mukama waffe.

 OLUNAKU OLW’OMUKAAGA

Tuddemu ffenna twegatte mu kusaba ku ssaawa 9:00 A.M.  ne 12:00 P.M., era tutegeke emitima gyaffe olw’ebintu ebikulu by’anaatukolera wakati mu ffe.

 Nsobola okuwulira ng’agamba nti, “Setaani, jjangu wano!”  Ye Boss kati.  Atuuka waggulu, n’akwata ekisumuluzo ekyo eky’okufa n’amagoobe okuva ku ludda lwe, n’akiwanika ku ludda lwe.  “Njagala okukutegeeza. Wefudde nnyo kyatali ebbanga ddene. Nze Mwana wa Katonda omulamu eyazaalibwa embeerera. Omusaayi gwange gukyatonnya ku musaalaba, era ebbanja erijjuvu lisasuddwa! Tokyalina Lukusa lwanna.  Oyambuddwa. Mpa ebisumuluzo ebyo!”

 Olwo ku ssaawa 12:30 P.M., ffenna tujja kukuŋŋaana okuwulira EKIGAMBO: 57-0420 Okuziika.

 Nga luno lugenda kuba lunaku lwa bbaluwa Emmyufu eri Omugole We okwetoloola ensi yonna.

 Olwo ka tuddemu okusaba amangu ddala nga tumaze olukuŋŋaana.

 KU SUNDAY

 Ka tusooke tuzuukuke nga bukyali kumanya nnyo nga Ow’oluganda Branham bwe yakola ku makya mukwano gwe omutini, robin, bwe yamuzuukusa ku ssaawa 5:00 A.M.. Ka twebaze Mukama kyokka olw’okuzuukiza Yesu mu bafu:

 Ssaawa kkumi n’emu enkya ya leero, mukwano gwange omutini alina akifuba eki mmyuufu yabuuse najja waggulu ku ddirisa n’anzuukusa.  Kyalabika ng’omutima gwe omutini gwandyebise, nga gamba nti, “Azuukidde.”

 Ku ssaawa 9:00 A.M.  twegatteko omulundi omulala mu lujegere lwaffe olw’okusaba, nga tusabiragana era nga twetegekera okuwulira Eddoboozi lya Katonda.

 Ku ssaawa 9:30 A.M., tujja kujja wamu okuwulira Obubaka bwaffe obwa Paasika: 65-0418M Kwe ku Vvaayo kwe Njuba.

 Ku ssaawa 12:00 P.M.  tujja kusitula amaloboozi gaffe waggulu gy’ali nga tumwebaza olw’Amaanyi agazzukiza.

 Ku ssaawa 3:00 P.M., ka tuddemu okwegatta mu kusaba, nga tumwebaza kulwa WEEKEND ENKULU GYA TUWADDE AWAMU NAYA ERA N’OMUGOLE WE OKWETOLOOLA ENSI.

 Eri baganda bange ne bannyinaze emitala w’amayanja, ng’omwaka oguwedde, njagala okubayita okwegatta naffe ku ssaawa ya Jeffersonville, olw’ebiseera byonna eby’okusaba ku nteekateeka eno.  Kyokka nkitegedde nti oku zzannya Entambi ku Lwokuna, Lwakutaano, n’Olwomukaaga akawungeezi ku ssaawa ya Jeffersonville kyandibabeerela kizibu nnyo eri abasinga obungi ku mmwe, kale nsaba obeere nga oli waddembe oku Zzannya Obubaka obwo mu kiseera ekikusaanira.  Kyokka nandyagadde ffenna twegatte wamu ku Ssande ku ssaawa 9:30 A.M., mu budde bwa Jeffersonville, okuwulira Obubaka bwaffe obwa Ssande nga tuli wamu.

 Era njagala okukuyita ggwe n’abaana bo okubeera ekitundu ku pulojekiti za Creations, okuwandiika mu jurnal, n’enkola ezo kufumba mmere, amaka go gonna bye gasobola okunyumirwa awamu.  Tulowooza nti mujja kuzaagala anti zonna zeesigamiziddwa ku KIGAMBO kye tugenda okuwulira wiikendi eno.

 Ku nteekateeka ya wiikendi, ebikwata ku kwetegekera olukuŋŋaana kw’Okusembera, ebintu ebigenda okwetaagisa mu pulojekiti z’Acreation, n’okutegeezabwa okulalal, laba akayungiro wansi.

 Ka tuggko amasimu gaffe ku wiikendi ya Paasika okuggyako okukuba ebifaananyi, okuwulira Ekinnokole kyo lunaku, n’oku Zzannya etambi okuva ku Table app, Lifeline app, oba akayungiro gy’owanulira.

  kitiibwa nnyo gyendi okukuyita ggwe n’ab’omu maka go okujja awamu n’Omugole okwetoloola ensi yonna ku wiikendi ejjudde OKUSINZA, OKUTENDEREZA N’OKUWONYA.  Nzikiriza nti ddala wiikendi ejja okukyusa obulamu bwo emirembe gyonna.

 Ow’oluganda Joseph Branham

26-0329 MERUKIZEDDEEKI ONO Y’ANI

Obubaka: 65-0221E MERUKIZEDDEEKI ONO Y’ANI

BranhamTabernacle.org

Omugole Ow’obulamu Obutaggwaawo Omwagalwa,

Lya’ni Eddoboozi eryo eryogerera naffe ku ntambi?

Tusobola okumanya kyokka eky’okuddamu ku kibuuzo ekyo nga tuyita mu Kubikkulirwa okuva eri Katonda. Omugole we yekka eyategekebwa edda y’ajja okuba n’Okubikkulirwa okwo. Bwetutyo, tulina okunoonyereza mu Kigambo kye okutegeera ani gwe yagamba nti: Omuvvuunuzi yekka ow’Ekigambo kye. Ani yandibebudde n’abikkula Envumbo Omusanvu? Ani yandibikkudde ebyama byonna ebikusike ebiri mu Baibuli? Ani anaakoowoola n’akulembera Omugole we? Ani agenda okuba n’Eddoboozi erinatakola nsobi?

Okusinziira ku Kigambo, si mulala wabula Merukisedeeki, Ye kennyini. Omusajja atalina kitaawe wadde nnyina, Atalina ntandikwa wadde enkomerero y’ennaku. Katonda, eyayambala omubiri n’alya ennyama n’akawunga , n’anywa Amata, n’ayogera ne Ibulayimu. Yali Muntu alina enkula y’omuntu, ng’abeera mu mubiri gw’omuntu.

Ekigambo ekyo kye kimu ky’agamba nti Merukizeddeeki, Omuntu oyo, ekikula kyo omuntu oyo, ajja kuba mulamu era yeeyolekera nate mu mubiri gw’omuntu nga bwe yakola eri Ibulayimu, olwo nate mu Yesu Kristo; naye leero, mu malayika we ow’omusanvu omubaka we Okubikkulirwa 10:7.

Omwoyo we ajja kusanikira weema eyo ey’oku nsi asobole okwogera n’okwebikkulira Omugole we. Katonda yennyini ng’abeera era ng’ayogelera mu mubiri gw’omuntu. Ensigo ye eyasooka eyadizibwawo mu bujjuvu yali etuuse mu kukula kwayo mu bujjuvu. Enteekateeka ya Katonda enzijuvu yali etuuse; Katonda n’omuntu baali Omu. Katonda yali ayogera mimwa ku kutu eri Omugole we nga bwe yayogera eri Ibulayimu.

Yayingira n’abeera mu ekyo, mu Muntu wa Merukizeddeeki, olwo oluvannyuma tetwaddamu kuwulira ku Merukizeddeeki, kubanga yafuuka Yesu Kristo, Merukizeddeeki yali Kabona naye n’afuuka Yesu Kristo, kati, ekyo mwakyebalama, kubanga mu kifaananyi ekyo yali amanyi byonna, era ekyo tokisobola kukimanya n’okutuusa kati.

NAYE…!! Olwo ffe baani?

Amaaso gaffe, ekigera kyaffe, kyonna kye twali, twali mu ndowooza ye ku ntandikwa. Nga tewannabaawo Malayika, emmunyeenye, Bakerubi, oba ekintu ekirala kyonna. Yakirowooza, N’akyogera, era wano we tuli.

Ekyo tekirina kkomo. Tetusobola kukitegeera mu birowoozo byaffe, naye oyo ye Katonda. Katonda, atalina kkomo!

Olw’okuba twali mu Ye mu ntandikwa, kiki ekitutuukako oluvannyuma lw’obulamu buno obw’okufa wano ku nsi okuggwa?

Ekyambalo kino eky’omubiri bwe kisuulibwa, wabaawo omubiri ogw’obutonde, theophany, omubiri ogutakolebwa na ngalo, wadde ogutazaalibwa mukazi, gwe tugendamu. Olwo omubiri ogwo ne gudda ne gugyayo omubiri ogwagulumizibwa.

Nga bintu ebyewuunyisa ebitegekeddwa Omugole We. Laba ebigenda mu maaso mu kiseera kino nga bw’atubikkulira ekigambo kye nga bwe kitabangawo. Yogera ku bbaluwa y’omukwano eri Omugole We! Nga lunaku luno lwetulimu.

Tulina Okubikkulirwa era tukimanyi nti ye Merukizeddeeki, Eddoboozi lya Katonda, ng’ayogera naffe ku ntambi. Tulina Okubikkulirwa kwe kwe kwagala kwa Katonda okwaweebwa era okutuukiridde olwaleero. Bwetutyo, TUMANYI YE YAANI ERA TULI MUGOLE WE.

Okubikkulirwa okwo kweyongera obunene buli lunaku. Buli lunaku oluyitawo lutuleetera essanyu elingi, Okubikkulirwa okusingawo. Omugole yeetegeka ng’atudde mu maaso g’Eddoboozi lye, nga bw’atubuulira kye tuli, engeri gy’atwagala, engeri gy’atayinza kulinda ewatali naffe!!!

Jjangu, weetegeke ku ssaawa 12:00 P.M., mu budde bwa Jeffersonville, kw’ebyo ebinaatera okubaawo, nga bwe tuwuliriza Eddoboozi lya Merukizeddeeki

Ow’lugands. Joseph Branham.

Obubaka: 65-0221E “Merukisedeki Ono Ye Ani?”

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma:

Olubereberye Essuula ey’ekkumi n’omunaana
Okuva 33:12-23
Yokaana Omutukuvu 1:1
Abaruumi 8:1
2 Abakkolinso 5:1
1 Abasessaloniika 4:13-18
Timoseewo Asooka 3:16 / 6:15
Abebbulaniya 7:1-3 /13:8
Okubikkulirwa 10:1-7 / 21:16

26-0322 Okufumbiriganwa n’Okwawukana

Obubaka: 65-0221M Okufumbiriganwa n’Okwawukana

PDF

BranhamTabernacle.org

Omugole Eyalondebwa, Omulonde, era Eyateekebwateekebwa edda Omwagalwa:

 Nzijukira nga nkyali muvubuka nga nkula, nga ngezaako okulonda olutambi olw’okuwuliriza.  Nga nsoma emitwe  nnalowoozanga bulijjo, sijja kuwuliriza Kufumbiriganwa n’Okwawukana, anti bwo tebuirina kakwate nange;  Bw’abantu abafumbo bokka.

 Awo olunaku lumu, bwe nnali mpuuliriza Okufumbiriganwa n’Okwawukana, Taata yampa Okubikkulirwa kw’Obubaka obwo.  Okufukibwako amafuta kwe kwajja mu mutima gwange.  Ayogera nange.  Obubaka Buno BWAANGE.  AŊŊAMBA nti Yannonda nga ensi tennatandikibwawo.  Guno mukolo gwange ogw’obufumbo.  Tewali muntu yenna gwe jagala okuggyako Ye.  Ndi wa mazima era mwesigwa gy’ali, n’Ekigambo kye, n’Eddoboozi lye, LYOKKA.  Ffe tuli OMU.

 Mazima Obubaka buno bwali eri ab’oluganda ne bannyinaffe bangi abaali abafumbo era kati nga baayawukanna, era Ye ng’ababuulira kye balina okukola;  naye waaliwo amakulu agasingako awo AMAJJUVU ERA AMANENE, amakulu ennyo, ag’amaanyi ennyo.

 Waaliwo Omwami omu, era yali ayita era ng’ayogera n’Omugole we omungi, omulonde.  EDDOBOOZI LY’ KATONDA LYALI LIYITA MUGOLE WE OMULONGOFU, ATALIMUKWATEKO, EMBEERERA EKIGAMBO.  Oyo atakwatibwangako wadde okwonoonebwa omuntu yenna.  Oyo ow’amazima era omwesigwa gy’ali n’Ekigambo kye kyokka.  Oyo eyamumatilira ddala n’Eddoboozi lye.

 Olw’Ekisa kye n’Okusaasira kwe, leero tusobola okugamba, awatali kisiikirize ne kimu eky’okubuusabuusa, FFE MUGOLE WE EKIGAMBO EMBEERERA.  EKITIIBWA!!

  Yali ayagala okukakasa nti tewajja kubaawo Kiffo Kilagaya kyonna  bwe kituuka ku kuyita Omugole we, n’olwekyo yajja Ye kennyini n’abeera mu mubiri gw’omuntu okubikkula Ekigambo kye n’okuyita Omugole we gy’ali.   Ye yali Eliezer eyandironze Omugole We yennyini.

 Okukakasa nti tewali ngeri gye twandisobeddwamu ani eyali atwogereza, Ye kennyini yakakasa ekibya kye kye yalonda ng’ayogera naye ng’asinziira mu kibuyaga eyali alengekara ku muti.  Awo N’ayogera naye mu ngeri erabika wansi ku mugga Ohio mu maaso g’enkumi n’enkumi.

 Yatuuka n’okukubibwa n’ekifaananyi kye awamu naye okulaga era n’okubuulira ensi, NABANGAMBA NDI DDAMU NE NBEERA MU MUBIRI.  YE GGWE NNALONDA OKUBEERAMU, OKUKUYITA OKUBEERA MUGOLE WANGE.  SSI YE;  YE NZE NYOGERA MU YE.  NZE NKOZESA DDOBOZI LYE KUBEERA EDDOBOOZI LYANGE ERI GWE.  NZE ABAKUYISEEYO NE NKUTUUKIRIZA OKUBEERA OMGOLE WAANGE ATUUKIRIDDE.

 Okubikkulirwa kw’Obubaka Buno, Ekigambo kye, Eddoboozi lye, era kati kye TULI kisukka ebigambo by’abantu okugezaako okunyonyora.  Nkimanyi nti omanyi bulungi kye njogerako.  Okukwakulibwa mu Kukkiriza kugenda mu maaso.  Omugole yeetegeka ng’atudde mu maaso ga Katonda yennyini, ng’atuukiridde.

 Nga ensi erina omukisa okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga lyogera nabo;  okutuula n’okuwuliriza kigambo ku Kigambo nga bw’ayogera n’okubikkula Ekigambo kye n’okutubuulira kye tuli.  Tewali kiringa kutuula mu maaso ge, kale jangu otwegatteko ku Ssande ku ssaawa 12:00 P.M., obudde bwa Jeffersonville, nga bwe tumuwulira ng’ayogera n’Omugole We, Obubaka, “Okufumbiriganwa N’Okwawukana” 65-0221M.

 Ow’oluganda.  Joseph Branham.

 Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnawulira Bubaka:

 Matayo Omutukuvu 5:31-32 / 16:18 / 19:1-8 / 28:19

 Ebikolwa 2:38

 Abaruumi 9:14-23

 Timoseewo Ekisooka 2:9-15

 Abakkolinso Ekisooka 7:10-15 / 14:34

 Abebbulaniya 11:4

 Okubikkulirwa 10:7

 Olubereberye essuulab 3

 Eby’Abaleevi 21:7

 Yobu 14:1-2

 Isaaya 53

 Ezeekyeri 44:22

26-0315 Ekifo Kya Katonda Kye Yeeroboza Eky’Okumusinzizaamu

Obubaka: 65-0220 Ekifo Kya Katonda Kye Yeeroboza Eky’Okumusinzizaamu

PDF

BranhamTabernacle.org

Mukyala Yesu Kristo omwagalwa,
Luno lwe lunaku. Kino kye kiseera. Katonda yasindika empungu ye ey’amaanyi ku nsi okukoowoola Mukyala wa Yesu Kristo, okwogera n’okumugamba nti, “Ggwe Ggwe gwe nnalonda. Ggwe gwe njagala. Ggwe Kigambo kyange ekituukiridde embeerera Omugole. Ffe tuli BUMU.”

Bwe tuwulira ebigambo ebyo byokka, emitima gyaffe gibuuka olw’essanyu. Okulowooza, mu nsi yonna, n’obukadde bwayo n’obukadde n’obukadde bw’abantu, waliwo Mukyala Yesu Kristo OMU yekka, era GGWE Ye, OMU gw’ajjira okukima.

Waliwo ekifo KIMU kyokka ekirondeddwa eky’okusinzizaamu. Waliwo Obubaka BUMU bwokka obulondeddwa obutuukiridde. Waliwo omugole OMU yekka alondeddwa OMUGOLE ATUUKIRIDDE…ERA FFE YE!!

Kitaffe alina ekifo KIMU kye yeroboza okusinzizaamu, Mukama waffe Yesu Kristo; Ye kye Kigambo. Leero, waliwo ekifo KIMU kyokka okufa okw’omwoyo we kutasobola kukuba: Ekigambo. Okufa tekuyinza kukuba Kigambo, kubanga Kye Kigambo kya Katonda Ekiramu.

Okubikkulirwa okujjuvu okw’Ekigambo ekyo Ekiramu kubikkuliddwa eri Mukyala Yesu Kristo yekka. Waliwo ekifo KIMMU kyokka ekirondeddwa Mukyala Yesu Kristo wasobola okugenda n’awulira EKIGAMBO EKITUUFU EKYOGERE. Waliwo nnabbi OMU yekka omulonde okubeera Eddoboozi lya Katonda. Waliwo ekifo KIMU kyokka Mukyala Yesu ky’ayinza okugendamu n’awulira, BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA: NNYIGA ZZANNYA.

Wajja kuba Kitangaala nga mu budde obw’akawungeezi, ekifo kyokka Katonda kye y’eloboza okusinzizaamu. Oh, Obubaka buno bujja kulwa ki, AGENDA kukola ki? Era mu lunaku lwe wajja kuba Musana mu budde obw’akawungeezi, era (kiki?) okwaniriza abaana be okudda eka mu Nsi ensuubize entuufu, olw’akabonero ke kamu ak’empagi ey’omuliro eyakulembera abaana ba Isirayiri okuyita mu ddungu.

Nga Omugole We alina okwegendereza okugoberera n’okuwulira Eddoboozi lya Bba we nga lyogera naye. Waliwo ekifo KIMU kyokka gye tusobola okugendamu ne tukakasa kikumi ku kikumi. Waliwo Eddoboozi LIMU lyokka lye twataddeko ekifo kyaffe eky’Obutaggwaawo.

Mukyala Yesu Kristo akkiriza nti Ebigambo by’awulira ku ntambi bye bigambo bya Bba. Akkiriza nti Ekigambo kye tekyetaaga kutaputa. Bwatyo, Akkiriza nti waliwo ekifo KIMU kyokka ekiweereddwa Gy’asobola okugenda n’agamba nti AMIINA eri buli Kigambo, Eddoboozi lya Bba we ku ntambi.

Nate, Mukyala Yesu Kristo, okuva mu nsi yonna, asobola okugamba nti, “Olunaku luno, Ekigambo kino ekyogere, kituukiridde”.

Katonda omwagalwa, ewala wansi emitala w’eddungu eyo mu Tucson, ewala ennyo mu California, waggulu mu Nevada ne Idaho, ewala ennyo mu Buvanjuba n’okwetooloola, wansi mu Texas; nga okuyitibwa kuno kuweebwa, abantu nga bayingira —mu kkanisa amatonotono, mu masundiro g’amafuta, mu maka, nga bawuliriza.

Oyitibwa okujja okuwuliriza wamu ne Branham Tabernacle ku ssaawa 12:00 P.M., Jeffersonville time, nga tuwulira Katonda ng’ayogera n’Omugole we omulonde, Obubaka: “Ekifo kyokka Katonda Kye Yeroboza Eky’okusinzizamu” 65-0220.

Ow’luganda. Joseph Branham.


Ebyawandiikibwa: Ekyamateeka 16:1 okutuuka ku 3.

26-0308 Leero Ekyawandiikibwa Kino Kituukiridde

Obubaka: 65-0219 Leero Ekyawandiikibwa Kino Kituukiridde

PDF

BranhamTabernacle.org

Ezzadde Eddangira Ekkulu Abaagalwa,

Ekiseera kye tulindirira n’okwesunga era kye twegomba kituuse. Tutuuse. Tukiraba nga kibikkulwa mu maaso gaffe. Buli lunaku obunnabbi butuukirizibwa, era tusobola okugamba nti: OLUNAKU LUNO EKYWANDIIKIBWA KINO KITUKIRIZIDDWA MU MAASO GAFFE.

Nga ku kyamuka okw’Okubikkulirwa kugenda mu maaso mu mugole. Buli Bubaka bwe tuwulira, tuwulira munda mu mitima gyaffe n’emmeeme zaffe, “Buyinza butya okufuka obukulu era obw’ekitalo, Mukama?” Awo n’addamu okujja mu ffe n’atufukako amafuta nga bwe tuwulira Eddoboozi lye nga lituyita ne ligamba nti, “Ggwe Sweetheart wange. Nakulonda obeere Omugole Wange. Nga bwe nnakusuubiza, nzija ku lulwo. Ndi mu kkubo. Mu bbanga ttono Tujja kuba wamu emirembe n’emirembe.”

Tulekaanila waggulu okuva mu nsi yonna, nga bwe tubwatukira e Ggulu ne hallelujahs zaffe, ekitiibwa, okutendereza, n’okumusinza. Sitaani awanguddwa. Taata atujjeko okubuusabuusa kwaffe kwonna, ebitategerekeka byaffe byonna, okutebereza kwonna akujjewo. Tusobola okulangirira n’omutima gwaffe gwonna n’emmeeme zaffe zonna nti, FFE TULI Zzadde lya Ibulayimu ekkulu Eddangila. Omugole w’Obwakabaka eri Omwana w’Obwakabaka eyasuubizibwa.

Okubeerawo kwa Mukama kubadde kwa kitalo nnyo nga bw’atubikkulira ekigambo kye nga bwe kitabangawo. Agatta Omugole we wamu n’Ekigambo kye, n’atuteeka mu Ddowoozo emu n’emu mwoyo gumu ng’ekitole kimu, nga tuwuliriza Eddoboozi lya Katonda nga lyogera n’okututuukiriza olw’Ekigambo kye.

Buli Bubaka bwe tuwulira bulinga oluzzi oluyitibwa Olw’ensulo olufubutuka munda mu mmeeme zaffe; nga lubimba, nga lusindika, n’okuvulula nga lussu okuva ku Nnamulondo ya Katonda. Tunywa era ne tunywa era ne tunywa, nga tuzzaamu emmeeme zaffe amaanyi.

Baganda bange ne bannyinange, ffe tuli kutuukirizibwa kw’ebyawandiikibwa ebigamba nti ajja kuba n’Omugole w’Ekigambo embeerera. Ffe Kyetuli: Leero ekyawandiikibwa kino kituukiridde.

Katonda yennyini yayogera okuva mu Ggulu eri malayika we ow’omusanvu n’agamba nti, “Nga Yokaana omubatiza bwe yatumibwa okukulembera okujja kwa Kristo okw’asooka, n’Obubaka bwo bulikulembera okujja kwe okw’okubiri, mu nsi yonna.” Omugole asobola okugamba nti: Leero Ekyawandiikibwa kino kituukiridde.

Tuyinza okutegeera nti Eddoboozi lya Katonda lyenyini elyogerwa mu kiseera kyaffe okuyita mu mimwa gy’abantu, ne liwandiikibwa, ne literekebwa, era ne likuumibwa asobole okwogera ne buli omu ku ffe, Bw’atyo Bw’ayogera Mukama? Akisobozesezza nti tetulina bwetaavu bwa kutwala kigambo kya muntu yenna, ddowoozo ya muntu yenna, birowoozo bya muntu yenna, tutuula butuuzi ne tuwuliriza Eddoboozi lye nga lyogera butereevu naffe Ekigambo kye Ekirongoofu.

KIKI EKIGENDA MU MAASO LEERO?

Era Mwana y’omu owa Katonda eva mu buvanjuba ne yeekakasa nga Katonda bwe yeeyolekera mu mubiri, ye Mwana y’omu owa Katonda mu kitundu ky’ensi eky’ebugwanjuba wano, ekyo Kye kimu manyisa wakati w’ekkanisa ekiro kino, y’omu eggulo, leero, n’emirembe gyonna. Ekitangaala ky’Omwana eky’akawungeezi kituuse. Leero Ekyawandiikibwa kino kituukiridde mu maaso gaffe.

TULI MU KWAGALA KWA KATONDA OKUTUUKIRIDDE NGA TWOGERA N’OKUKKIRIZA: “OKUZANYA ENTAMBI LY’EKKUBO KATONDA LY’AWADDE MUGOLE WE”?

WALIWO EKIKULU OKUSINGA OKUWULIRA ENTAMBI?

Bulijjo mu ssatu, nga bwe nnagambye ekiro ekikeesezza olwaleero, Katonda mwa kiikirirwa. Waaliwo Abasodomu, Abalooti, n’Abaibulayimu. Kiri mu mbeera y’emu ekiro kino, ensi bwetyo bwe etuuse.

Weetegereze, Oyo eyasigala ne Ibulayimu yali Katonda yennyini. Abalala ababiri baali babaka ba Malayika.

KALE ANI AYOGERA NAFFE KU TAPES?

Ka mbabuuze ekintu. Laba ensengeka eno kati. Ibulayimu yayita Omusajja ono eyali ayogera naye nti, “Elohim.” Ekigambo ky’Olwebbulaniya Elohim kitegeeza “Oyo Amala Byonna, Oyo y’Oyo Ataggwaawo,” Elohim, Katonda Yennyini!

KIKULU KITYA OKUNYIGA ZZANNYA?

… “olunaku lumu Omwoyo Omutukuvu ajja kujja akola ekintu kye kimu, n’okwogera ekigambo kimu ekiguwakanya tekijja kusonyiyibwa.” Olwo lwe lunaku luno, buli Kigambo mwe kirina okukwatira awamu. “Yogera ekigambo ekiguwakanya; tekijja kusonyiyibwa mu nsi eno oba mu nsi ejja.”

Hallelujahs zaffe eza wiiki ewedde n’okutendereza Mukama kwali kwetegekera kwokka okututeekateeka olw’ebigenda okubaawo ku Ssande eno, ng’Omugole azzeemu okwegatta n’awuliriza KATONDA ng’atuzzaamu amaanyi n’okutugumya nti tuli balonde be, era ajja mangu okututwala ku Kyeggulo kyaffe ekinene eky’ebbaga, olwo Amaka gaffe ag’omu maaso.

Luno lwe lunaku Mukama lwe yakola; tujja kusanyuka era tujja kusanyukira mu lwo.

Ow’oluganda. Joseph Branham.

Obubaka: 65-0219 – “Leero Ebyawandiikibwa kino kituukiridde”.
Ebyawandiikibwa:
Yokaana Omutukuvu Essuula ey’ekkumi n’omukaaga
Isaaya 61:1-2
Lukka Omutukuvu 4:16

26-0301 Ensigo Tesikira Wamu Na Kisusunku

Obubaka: 65-0218 Ensigo Tesikira Wamu Na Kisusunku

PDF

BranhamTabernacle.org

Omugole w’ekigambo Embeerera omwagalwa,

Ntudde wano enkya ya leero nga mpulira okufukibwako amafuta ng’okwo nga bwe mpulira, nga nsoma n’okusoma Obubaka buno Omugole bw’agenda okuwulira ku Ssande. Obulamu bwange bwonna bufukiddwako amafuta. Omutima gwange guvvulula essanyu bwe lityo nga mmanyi, FFENNA TUJJA KUKUŊŊANA OKUVA MU NSI YONNA NA MAFUTA GGANO GEEGAMU. Tujja kuba tusanyuka, nga tutendereza Mukama, byonna mu kiseera kye kimu, nga YE ayogera ne buli omu ku ffe era n’abikkula Ekigambo kye.

Okufukibwako amafuta kujja kuba kwa maanyi nnyo ne kiba nti wajja kubaawo enduulu n’okuleekaana nti, “aleluya, amiina, tendereza Erinnya lya Mukama” okwetoloola ensi yonna mu kiseera kye kimu, nga bwe tubwatukira eggulu n’okutendereza n’okusinza kwaffe.

Kiki ekigenda okubaawo? Katonda ajja kuba agatta era nga ayogera n’Omugole we. Tujja kuba Ekitole emu, mu dowoozo emu n’emu mwoyo gumu nga bw’atubikkulira era nga yeeyoleka gye tuli.

Tewali kifo kya maanyi ky’osobola kugenda mu, tewali Eddoboozi lya maanyi ly’osobola okuwulira; tewali kufukibwako kwa mafuta kusinga Eddoboozi lya Katonda okwogera naawe butereevu ku ntambi.

Katonda alabiridde ekigambo kye okuva ku lubereberye era ataddewo ekifo abaana be bonna we basoborela okugenda ne bamuwulira ng’ayogera n’okutaputa Ekigambo kye. Ekifo awatali kuteebereza, awatali kusuubira, awatali kwewuunya; Kye kifo kya Katonda kya taddewo okuwulira BWATI BW’AYOGERA MUKAMA.

Bwe kikubikkulirwa, kiringa ekitangaala ekinene ekikoleezeddwa mu mutima gwo ne meeme yo…olekaana nti, “kino kye kyo. Nze nkilaba. Ndi OMU N’EKIGAMBO. NZE KIGAMBO. NZE MUGOLE. NTUSE.”

Kigenda mu maaso, era tebakimanyi. Laba, ekyo kye kiri. Okilaba? Yee, ssebo. “Kubanga Ennyama ensu we’li, empungu we zinaakuŋŋaanira,” nga kikakafu nnyo nge ensi. Okilaba? Ekyo ky’ekyo Kyayogera. Ennyama ensu kye ki? Ekigambo. Ye Kigambo, Ennyama ensu, Kristo! “Kristo mu ggwe,” Yo mu eggulo, leero, n’emirembe gyonna. Nga kituufu nnyo!

Nga bwe tukuŋŋaana okuwulira Ekigambo, okweraliikirira kwaffe kwonna, situleesi yaffe yonna, ebizibu byaffe byonna, bibulawo bubuzi. Tusanyuka nga bwe tukitegeera nti tetulina kye tweraliikirira; ffe tuli Mugole We. Tali naffe ffekka, NAYE ALI MU FFE. FFE TULI MUGOLE KIGAMBO ENSIGO. Buli kimu kituukiridde. Ebiseera bye bituukiridde. Tutuukiridde.

Tuli bamativu nnyo era twebaza nnyo okugamba nti tuli Kigambo kye ekizaaliddwa embeerera ekyayolesebwa; Yesu Kristo y’omu eggulo, leero, n’emirembe gyonna, ng’abeera era ng’atuula munda mu ffe. Aleluya!

Tetusobola kwekkiriranya ku KIGAMBO YADDE NE KIMU. Tulina Eddoboozi lya Katonda ku ntambi.

Wali olabye ng’empungu nga yekkiriranya? Nedda ssebo. Tewali kwekkiriranya mu ye. Era n’Omukristaayo owa nnamaddala takola. Si mugonvu. Ajja kuyigga okutuusa lw’anaagizuula. Amiina. Yee, ssebo. Ajja kufuna Ennyama ye. Ayagala Manu ensu. Ajja kukka wansi awo asima okutuusa lw’anaagizuula. Ajja kubuuka waggulu nnyo. Bwe kiba nga tewali mu kiwonvu kino, ajja kwambukako waggulu katono. Gy’okoma okugenda waggulu, gy’okoma okulaba. Kale kye kiseera empungu ez’omulembe guno okutandika okubuuka waggulu, okusima mu bisuubizo bya Katonda, so si kubeera ku mmere ya ssegga eyattibwa emyaka egiyise; muve mu kyo.

Weetegeke Omugole, tujja kuba tulya Manu eyo ensu, nga tutudde wansi w’okufukibwako amafuta okusinga ng’ali yabadde yo, ku Ssande eno ku ssaawa 12:00 P.M, obudde bwa Jeffersonville, nga bwe tuwulira: 65-0218 Ensigo Tesikira Wamu Na Kisusunku.

Tuyita Omugole okuva mu nsi yonna okutwegattako okulya ku Kkubo lya Katonda erituukiridde eryaweebwa olwaleero. Ekifo kyokka OMUGOLE w’asobola okugamba nti amiina eri buli Kigambo. Awali okufukibwako amafuta okw’oku ntikko okw’Omwoyo Omutukuvu nga yogera n’okutuukiriza Omugole we ng’anyiga Zzannya n’okuwulira n’okusebeza Ekigambo kye.

Ow’oluganda. Joseph Branham.

Ebyawandiikibwa:
Matayo Omutukuvu 24:24
Lukka Omutukuvu 17:30
Yokaana Omutukuvu 5:24 / 14:12
Abaruumi 8:1
Abaggalatiya 4: 27-31
Abebbulaniya 13:8
1 Yokaana 5:7
Okubikkulirwa 10
Malaki 4.

26-0222 Omussajja Ng’adduka Okuva Mu Maaso Ga Mukama

Obubaka: 65-0217 Omussajja Ng’adduka Okuva Mu Maaso Ga Mukama

BranhamTabernacle.org

Abaana b’endiga abaagalwa,

Nga kitiibwa n’omukisa okugamba nti, “Ffe tuli baana ba ndiga ba Katonda, be yatumira malayika we ow’omusanvu okutukoowoola n’okutuliisa Manu ye eyaterekebwa era eyakwekebwa.”

Tuli bamativu era tukkiriza nti Obubaka buno lye Ddoboozi lya Katonda eryasindikibwa okutuukiriza Omugole we. Tukkiriza nti ekisusuku kyesika okuva ku ŋŋaano, era kati Omugole We agalamidde mu Maaso g’Omwana, ANYIGIZA ZZANNYA okwengera.

Era ekyo kyekituleta wano, mukwano, sigala mu Maaso g’Omwana okutuusa akabinja kaffe akatono ak’abantu wano, okutuusa lwe kafuuka akegefu ennyo eri Kristo, lwe kafuuka omugaati ku mmeeza ye. Ekyo kye njagala kakole.

Omuntu yenna atakkiririza nti OKUNYIGA ZZANNYA n’okuwulira Eddoboozi lya Katonda erikakasibwa nga lyogera lye ddoboozi erisinga obukulu ly’olina okuwulira, muntu yo adduka okuva mu maaso ga Mukama.

Olina okukisisikana, oba okubaako ky’okikola. Olina obuvunaanyizibwa, buli muntu alina, era olina okwolekagana n’ebintu bino.

Nga ekijuliziddwa kino kituufu era kikulu nnyo olwa leero. Waliwo enjawukana nnyingi nnyo mu baayitibwa aba Katonda. Kyakinzo nnyo okuzanya entambi mu kkanisa okuwulira Eddoboozi lya Katonda, oba kati kyetaagisa nnyo obuweereza okuweereza Ekigambo?

Katonda ayise n’ateeka obuweereza wano okukuuma Ekigambo mu maaso g’abantu. Bano Basumba. Ekigambo kikiyigiriza. Balina okuweebwa ekitiibwa n’okuweebwa ekitiibwa ng’abasajja Katonda be yayita n’abateekawo.

Tetusobola, era tetulina kugamba nti bo si Mugole. Ekyo KIKYAMU era tekili okusinziira ku nabbi bye yatuyigiriza. Mpulidde abantu nga bagamba nti: “Bwe baba te bazanya entambi mu masinzizo gaabwe, baba bawakanya Kigambo.” Tolina kwogera kintu ng’ekyo. Ekyo kindaga nti olina omwoyo omukyamu.

Nze mpulidde abalala nga bagamba nti, “Bonna balina kweyunga ku BT oba si ekyo bavudde mu kwagala kwa Katonda”. Tolina kwogera kintu ng’ekyo. Katonda yekka y’amanyi ani ali n’atali Mugole. Ogwo si gwe mwoyo gw’Omugole okwogera ekintu ng’ekyo.

N’abamu ku bantu abeyuunga ku BT bagamba nti, “bw’ogenda mu kkanisa okuwulira entambi n’otazzanyira mu maka go oba okyamu!” Ekyo si kituufu muganda wange ne bannyinaffe. Bw’oba oyogera bw’otyo, Lekelaawo, oli mukyamu. Buli muntu alina okukola nga BWEWULIRA MUKAMA BW’AMULUŊŊAMIZZA OKUKOLA.

Abaweereza bangi bawulira nti okubuulira lye kkubo Katonda lye taddewo leero. Ffe bintu tubilamuko mugeri eye njawulo, ekyo ekituufu. Ow’oluganda Branham yakola okugeraageranya kuno kwe kumu emirundi emeka? Twaakamuwulira mu Q&A, abantu bwe baali boogera ku w’oluganda Jackson nti mukyamu, yabannenya nga boogera ekintu kyonna ekimunnenya n’ekkanisa ye.

Nze mbuulira kyokka nga mpita mu bbaluwa eno kye nzikiriza nti lye kkubo Katonda lye yateekawa eri Weema ya Branham. Bano baganda baffe ne bannyinaffe. Baagala nnyo Mukama n’Obubaka buno. Bw’ebatyo bwe bawulira nti Mukama bw’abakulembedde. Mukama Mutendereze.

Bakiraba mu ngeri emu ate ffe ne tukiraba mu ngeri endala,tekirina buzibu. Sisobola kukiraba mu ngeri yaabwe era nabo tebasobola kuraba kyange. Eri nze, waliwo engeri nnyingi Katonda z’atuwadde, naye waliwo ENGERI EMU yokka ENTUUFU, ERA KU NZE, EYO KWE KUNYIGA ZZANNYA.

Nsaba wano sitegeerwa bubi. Okuteekako emikono n’okusabira abantu kituufu100% okusinziira ku Kigambo. Okufuka amafuta n’okusabira abalwadde kigambo kya Katonda okusinziira ku Byawandiikibwa. Ow’oluganda Branham yabuulira era n’atuyigiriza nti byombi Ekigambo. Naye njagala EKKUBO LYE KATONDA ERI TUUKIRIDDE LYA TADDEWO…. NKKIRIZA BUKKIRIZA KUBANGA KATONDA YAYOGERA BWATYO. Ekyo kye nfuba okukola.

Naye kati olw’okuwona, kusaasira kwa Katonda kwokka nti Ye, “Mu miggo gye mwawonyezebwa.” Kati, okusooka Ekigambo kigamba bwe kityo, ekyo kimala, naye bw’oba tokikkiriza mu Kigambo, olwo waliwo ebirabo mu Kkanisa, gamba ng’abasajja abaluŋŋamizibwa okumanya engeri y’okuyigiriza ekyo, ekyo ekijja kukifuula nga kitegeerekeka ennyo gy’oli, ekyo, n’okukkiriza obukkiriza.

Nzikiriza mu buweereza obw’emirundi 5. Nzikiriza Katonda yayita abasajja okubuulira n’okuyigiriza Ekigambo. Naye, nzikiriza nti okuwulira Eddoboozi lya Katonda ku entambi y’engeri ya Katonda ETUUKIRIDDE GYE NDI.

Mu kuwulira entambi, silina na kubitegeera, NZIKIRIZA BUKKIRIZA BULI KIGAMBO KYE MPULIRA. Tewali muntu, tewali muweereza, tewali kifo kirala kye nsobola kugendamu gye nzikiriza BULI KIGAMBO ne nteeka etuuko yange ey’Emirembe n’Emirembe, wabula entambi.

Tewali n’akatono okuva ku ntandikwa y’ebiseera Katonda nga awa abantu be omukisa n’obusobozi okwewulira ku lwabwe Eddoboozi lye nga lyogera mimwa ku kutu. Buli kyama kibikkulwa mu entambi. Buli kibuuzo kiddibwamu ku entambi. Buli Mugole ky’ayetaaga okutuukirizibwa kiri ku entambi.

Buli Kigambo ekyogerwa ku entambi kigambo kya Katonda. Nnyinza obutategeera oba obutasobola kunnyonnyola buli kimu, naye silina kukikola. Yeetaaga kyokka okugamba AMIINA KU BULI KIGAMBO, era NTAMBI kye kifo KYOKA kye nsobola okukorela ekyo.

Naye bwe —bw’oba olina okukola ekintu eky’enjawulo, bw’oba olina okuyimirira kwekyo kyokkiriza kw’ekyo ky’omanyi nti Mazima, awo awali ekitundu ekizibu, ekyo we kiva okusiiga wekugila, awo wennyini.

Nzikiriza n’ebyo byonna ebiri mu nze, tuli mu Kwagala kwa Katonda okutuukiridde era ku mmeeri egenda e Nineeve. Njagala nnyo ensi okujja okusaabala ku mmeeri yaffe naffe ku Ssande eno ku ssaawa 12:00 P.M., mu budde bwa Jeffersonville, nga bwe tuwulira Katonda ng’ayogera n’Abaana b’endiga be.

Ow’luganda. Joseph Branham

Obubaka: 65-0217 “Omusajja nga dduka Mu maaso Ga Mukama”.

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma:
Yona 1:1-3
Malaki 4.
Omutukuvu Yokaana 14:12
Lukka 17:30

26-0215 Ebibuuzo n’Okuddibwamu Kwabyo #4

Obubaka: 64-0830E Ebibuuzo n’Okuddibwamu Kwabyo #4

PDF

BranhamTabernacle.org

Famire y’Obwakabaka abaagalwa,

Waliwo ekifo KIMMU kyokka ekikakasibwa w’osobola okugenda okuwulira Mukama ng’ayogera ng’ayita mu malayika we n’akugamba nti, “Bulijjo mu jjukira nti, muli baana ba Katonda, Amaka g’Obwakabaka agalina Omusaayi gw’Obwakabaka. Tewali Musaayi gusinga ogwammwe mu nsi.Muli baana bange, abasaasaanidde mu nsi yonna, abo be nazaala eri Kristo.”

Tuli Famire ya Katonda ey’Obwakabaka nga Omusaayi gw’Obwakabaka ogutabulira mu misuwa gyaffe. Abaana abazaalibwa eri Kristo olw’Eddoboozi lya Katonda nga lyogera okuyita mu nnabbi we ow’amaanyi. Tekisobola kusinga ekyo bannange.

Ow’oluganda Branham, Omugole yeetaaga okugenda e Jeffersonville oba Arizona okubeera mu Kukwakulibwa?

“Mu buliri mujja kubaamu babiri; nja kutwala omu ndeke omu; n’ababiri mu nnimiro, nja kutwala eomu ndeke omulala.” Okilaba? Kale osanga…Mu nsi yonna, tebajja kukuŋŋaanyizibwa mu kifo kimu okuba n’ebintu bye bafaanaganya. Naye ebibinja ebitono ku bo bijja kuba bisaasaanidde mu nsi yonna.

N’olwekyo mu mubiri, tetujja kuba mu kifo kimu omulundi gumu. Naye ekitiibwa kidde eri Katonda, Yalina enteekateeka esingako awo ey’okugatta Omugole we.

Tusabira amakanisa gonna n’ebibiina ebikuŋŋaanye okwetooloola — o_o — obuzindaalo obutono ebweru eyo, okuva mu buli ggwanga, okutuukira ddala ku lubalama lw’amaserengeta, waggulu mu nsozi za Arizona, wansi mu biwonvu bya Texas, nneri okuyingira mu lubalama lw’Ebuvanjuba, wonna okwetoloola eggwanga, Mukama, gye bakuŋŋaanidde. Twawukana mu Essaawa nnyingi, tuli mu budde, naye, Mukama, tuli wamu ekiro kino nga ekitole ekimu, abakkiriza, nga tulindirira Okujja kwa Masiya.

Leero, takoma ku kukuŋŋaanya bukuŋŋaanya Mugole we okuva okwetoloola eggwanga lino, naye akuŋŋaanya FFE okuva ku ssemazinga 7 ez’ensi. Okuva mu Afrika okutuuka mu Antarctica. Obukiika ddyo obwa America no Obukiika kkono obwa America, Asia, Australia ne Bulaaya. Akuŋŋaanya era nga agatta Omugole we nga EKITUNDU KIMU okuwulira Eddoboozi lya Katonda.

Yatugamba tugende mu kkanisa; ne webayiigiriza ekitundu ky’Ekigambo, OKUTUUKA nga tusobola okufuna ekkanisa mwebasomesa EKIGAMBO KYONNA. Katonda atenderezebwe Omugole kati afunye ekifo ekyo, Eddoboozi lya Katonda ku Lutambi kye KIGAMBO KYONNA.

Oba oli mu kkanisa eyo lutambi eye waka, mu kkanisa yo amaka mangi gye gakuŋŋaanidde, oba mu kasiisira mu nsiko z’omu Amazon oba Africa, wonna w’osobola Okunyiga Zzannya okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga lyogera emimwa ku kutu gy’oli, ojja kuba mu Kkanisa ye EKIGAMBO KYONNA.

Tuzudde ekkanisa eyo ey’Ekigambo kyonna era tukuyita okutwegattako ku Ssande eno ku ssaawa 12:00 P.M., obudde bwa Jeffersonville, nga bwe tuwulira: Ebibuuzo N’Eby’okuddamu #4 64-0830E.

Owo. Joseph Branham.