26-1004 Olutalo Olukyasinzeeyo Mu Zaali Zirwaniddwa

Obubaka: 62-0311 Olutalo Olukyasinzeeyo Mu Zaali Zirwaniddwa

PDF

BranhamTabernacle.org

Ba Mikaaya Abaagalwa,

Olutalo olw’amaanyi olusingayo olwali lulwaniddwa kati lubindabinda okutandika. Katonda abadde alondobamu abajaasi be ab’omutindo ogusinga ku gwa bulijjo okumala emyaka egisukka mu kakaaga, era mwategekerwawo era mwerobozeddwa okubeera ejje lyE ery’ekitalo.

Abadde Abambaza, nga Abatendeka, era kati eddwaniro ttegeke, okulwana kunaatera okutandika. Takulonze kubeera mu Ggye lyE ery’ekitalo kyokka, n’okukulonda Akulonze okubeera Mikaaya nnabbi mu Ggye lyE.

Ekiseera kituuse, olunaku lutuuse; mugenda kuba mufuna okutendekebwa butereevu okuva ku Mpagi y’Omuliro Mwennyini okuwangula buli mulabe. Mugenda kufuna ebiragiro eby’enjawulo, Kigambo ku Kigambo, ku kiki eky’okukola okusaanyaawo buli mwoyo omubi. Kijja kufuumuula buli bulwadde na buli sitaani ajja mu maaso go. Tewali kiyinza kuyimirira mu kkubo lyo.

Oluvannyuma lw’okutendekebwa kuno okw’enjawulo, ojja kuba weetooloddwa nnyo olukomera lw’Ekigambo okutuusa lw’onoogobera ebweru ebibi byonna. N’osuula wansi okukubaganya ebirowoozo. N’osuula wansi by’obadde okkiriza olw’okutya n’obutamanya ebikubaddemu. N’osuula wansi okweraliikirira. N’osuula wansi endwadde. Osuule wansi ekibi. Ojja kutegeera nti oli waggulu waakyo, ozuukiziddwa mu Kristo Yesu, ng’otudde mu Bifo eby’omu ggulu, na buli sitaani nga ali wansi w’ekigere kyo. Ojja kutegeera mu bujjuvu era OKKIRIZE nti ggwe Ekigambo.

Ajja kuba akutendeka by’olina okwekengera. Ajja kukulagirira nti omulabe wo bw’awaguza n’akukkirizisa nti Eky’okulwanyisa kyo si kya maanyi kimala, ajja kukusikako buli kyakulwanyisa.

Wabula tujja kujjukira okutendekebwa kwaffe, ffe abajaasi, era tugambe sitaani oyo: Si ffe, tetulina kyetuli. Eky’okulwanyisa kyaffe Kye Kigambo kya Katonda era Kijja kuwangula BULI MULABE, essaawa yonna, mu kifo kyonna, kubanga kye KIGAMBO KYE, ERA ATUTENDESE N’ATUBIKKULIRA NTI KAAKANO TULI KIGAMBO KYE EKIFUUSE OMUBIRI. N’OLW’EKYO, tetusobola kuwangulwa, tuli jje lya KATONDA eritawangulwa.

Olumu ku nnaku ezisinga obukulu mu byafaayo by’ensi lugenda kubeerawo ku Ssande eno. Ba Mikaaya bE bajja kuba bagattiddwa wamu okuva mu nsi yonna wansi w’Eddoboozi lya Genero waabwe ery’ekitalo, gye tunaabeerera nga tulukibbwa bunywevu ddala wamu mu ndowooza emu, nga tewali kisiikirize na kimu kya kubuusabuusa awantu wonna.

Olwo, singa tunakkiriza bukkiriza, ERA TUKKIRIZA, tewajja kubaawo muntu munafu okwetoloola ensi yonna. Singa tunaasobola okutereeza obutereeza ekintu ekyo ekimu, tewajja kubaawo muntu yenna ayaayaana kufuna Mwoyo Mutukuvu ataaMufune, era wajja kubaawo okuwonyezebwa kw’emmeeme n’omubiri wano na wali awatali kuteebereza ani addako, singa tunaanyweza bunyweza bifo byaffe. Kaakano kye kiseera. Ye ffe bantu abo. Omwoyo wa Katonda ayimusizza omutendera ku buli mulabe; tuli OMU KU BO era tewali kutuyimiriza!!

Tufudde eri obusimu bwaffe, tufudde eri okukubaganya ebirowoozo kwaffe, tufudde eri ebintu ebyo byonna. Obulamu bwaffe bukwekeddwa era tuziikiddwa mu Linnya lya Yesu Kristo, ne tuzuukizibwa wamu naye. Era wonna w’Abeera, naffe we tubeera.

Tukoonye ekikalappwa kyo sitaani n’obumwa bwaffe obw’ekinyonyi okutuusa lwe tukifulumye, nga tukwasa tukozesa “BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA. BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA. BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA.” Kyaddaaki kati tusika ku mpewo ensu. “BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA.” Tuutuno tuzze sitaani, emitwe gyaffe tugiyisizzaamu giri wabweru. “BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA, OWANGUDDWA.”

Sitaani tumuwangula na ki?

Ekigambo!
Leka tukyogere; Ekigambo! Ekigambo! EKIGAMBO!!

EBIRAGIRO BY’OKUTENDEKEBWA EBISINGAWO

Kati omulabe bw’alumba n’agezaako okukugamba nti olina okukola kino, olina okukola ekyo, toliiko kalungi konna, tosaanira, towonyezeddwa, okyalina ebizibu byo bye bimu. Kiki ky’ogenda okukola?

Va wendi.” Weppa! Omutema nga okozesa Ekigambo. Oba dayimooni, oba mulabe, oba bulwadde, oba kimbe, kyonna kye kiri, twala Ekigambo ekyo okigalule nga okozesa Ekitala kiri. Era bw’okitema omulundi ogusooka, ne kirabika nga ekitava mu kifo, ddamu okisanjage, oddemu okisanjage, era oddemu okisanjage.

Ekigambo tukikkiriza bukkiriza ku musingi nti, “Katonda bw’Atyo bwe Yagamba,” era ekyo kiteekawo ensulo etuyunga ffe na Ye. Buli mukutu gugguddwawo wakati waffe. Tugamba nti, “Simanyi ddi lwe ŋŋenda kukifuna, naye nja kukifuna. KATONDA BW’ATYO BWE YAGAMBA. Buli kubuusabuusa kwonna KUVUDDEWO…n’okubuusabuusa tubuusabuusa okubuusabuusa kwaffe.”

Tulwana ne sitaani ne tutwala Ekigambo kya Katonda. Bwemba nnina kye mpulira mu mubiri gwange, oba nga sirina kyempulira mu mubiri gwange, si nsonga kiki ekibaawo, Katonda bw’Atyo bwe Yagamba. Ekyo kikimala.

Mugoberere ebiragiro bino, abajaasi, okutuukira ddala ku nnukuta. Muddiŋŋanenga Ebigambo bino omulabe bw’alumba. Si bigambo byammwe, BIGAMBO BYE, ERA EBIGAMBO BYE TEBISOBOLA KULEMERERWA. Atuwadde amaanyi okukozesa Ekigambo kyE nga atufuula Ekigambo kyE. Sitaani bw’alumba, musomere ebiragiro byo.

EBIRAGIRO BYA GENERO WAFFE

Biibino byennyini bye njagala mukole.

Ddamu ekirayiro kino era okkirize buli Kigambo olw’okusumululwa kwo okujjuvu.

Sitaani, nviira! Wano ŋŋenda kuvaawo.

Sigenda kweyongerayo kugalamira wano. Sigenda kweyongerayo kutuula wano. Sigenda kweyongerayo kubeera mu ttwalwe lya sitaani lino ekadde. Njasa ekikalappwa kino, enkya ya leero.

Ndi mpungu. Amiina! Aleruuya!

Awo njagala okole kino:

Nga okyasa okozesa, “BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA. BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA. BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA.”

Ggulawo ebirowoozo byo, ogambe nti, “Ekigambo kyo kituufu.”

Mukama, sigenda kufaayo ku ngeri gye mpulira, omuntu yenna ky’agamba, oba nze kye ŋŋamba. Ŋŋenda kuzibikira ebituli, nzibukule buli kkubo lyange, okutabulwatabulwa kwonna, n’okubuusabuusa, n’obutakkiriza byennali mbaddeko nabyo. Buli nneewulira y’omubiri gye nnali nfunye, obulwadde bwonna bwe nnali nfunye, ebirala byonna bye nnali nfunye, byonna mbifuumuulira wabweru. Ebyo byonna mbiyitako. Nzija butereevu ddala ku mwoyo gwange.

OKUKKIRIZA kwo kujja kutandika okweyongera era nga kweyongera waggulu. Awo mugambe nti, “Ai Mukama, kka wansi. Wagamba nti wankola nga ndi omuntu ow’eddembe eryesalirawo nga njawula ekituufu ku kikyamu n’olw’ekyo byenkola mbivunaanyizibwako.”

“Oli mwana wange.”

Kirungi, nzigulawo omutima gwange n’ebirowoozo byange.

“Yingira, Mukama waffe Yesu.”

Sikayo Okukkiriza, Ekitala ekyo eky’Omwoyo, BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA.

Leekaana nti, “Aleruuya!” Amiina.

Olwo oteme buli mulabe akuli maaso. Amiina. Kiikyo awo. Tema buli mulabe. Singa ako—okooyo-yo k’edda akateekawo embeera y’okuwulira nga w’oli awali emizimu katandikiriza okukuleetera okuwulira nga… Tema akantu ako, n’Ekigambo kya Mukama waffe.

EBIRAGIRO BYO EKISEMBEYO OMUJAASI.
GAMBA OMULABE NTI:

“Nviira.” We ppa!

Omutema n’Ekigambo. K’ebeere dayimooni, oba nga mulabe, oba bulwadde, oba kimbe, kyonna kye kiri, kwata Ekigambo ekyo okigalule nga okozesa Ekitala. Era bw’okitema omulundi ogusooka, ne kiba nga ekitaseguka, ddamu okisanjage, oddemu okisanjage, era oddemu okisanjage. Era kifumite okutuusa nga okiwomogoddemu ekituli, ng’akakoko akato akayasa ejji mwekali kafulume; oba empungu, ggwe gy’oli. Koona ekikalappwa ky’obulwadde gwe mwennyini okutuusa okukifuluma. Kozesa kutema-tema nga engeri yo ey’okukifuluma, era ogambe nti, “Aleruuya! Addako ali ludda wa?” Amiina. Olutalo bwe lutyo bwe luli. Omujaasi bw’atyo bw’aba. Oyo y’aba omujaasi w’omusaalaba. Weewaawo, ssebo. Buli mulabe mukube tonziriranga. Lwaki? Lwaki?

Ffe, Ezzadde lya Ibulayimu eddangira, eryategekerwawo.

Ekitiibwa, buli mulabe awanguddwa. TEWALI KINTU KYONNA kiyinza kuyimirira mu maaso g’Ekigambo kya Katonda, era tuli Kigambo kya Katonda. Yeffe zzadde lyE eddangira era buli kisuubizo kyaFFE.

Olunaku lutuuse, Omugole akkirizza buli Kigambo era aKikolerako. Tweteeseteese nga tuyita mu kuwulira n’okukkiriza Ekigambo kyE.

Bw’oba olina obwetaavu bw’ekintu kyonna, bw’oba oyagala okujjuzibwa n’Omwoyo Omutukuvu, bw’oba oyagala okuwonyezebwa, bw’oba oyagala buli sitaani agoberwe ebweru, bw’oba oyagala okubeera Omugole wa Kristo, kaakano kye kiseera, okuwulira n’okukkiriza Eddoboozi lyE kye kifo.

Bw’oba oyaayaanira ebintu bino era ng’oyagala okubeera mu kubeerawo kwa Mukama, okusembera okumpi ennyo okusinga we wali obadde, jangu otwegatteko ku Ssande ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu, mu budde bw’e Jeffersonville (y’essawa 1(emu) ey’omu kawungeezi e Uganda), nga Genero waffe ow’amayinja ana bw’Alagirira Omugole wE Mikaaya ow’amaanyi ku ngeri y’okuwangula buli sitaani, buli mulabe, okusumululwa, n’okujjuzibwa Omwoyo wE Omutukuvu, n’okubeera abeetegefu olw’okujja kwe okubindabinda.

Owol. Joseph Branham

Obubaka: Olutalo olw’amaanyi olusingayo olwali lulwaniddwa. 62-0311

Ebyawandiikibwa:
1 Peetero 5: 8-10
Abeefeso 6:10-17
Danyeri 12: 1-7