All posts by admin5

21-1107 Olusuku Adeni Olwa Ssitaani

Obubaka: 65-0829 Olusuku Adeni Olwa Ssitaani

PDF

BranhamTabernacle.org

Empungu zikuŋŋaanira awamu

Omugole ayakiddwaako ekitangaala abaagalwa,

Obudde bw’emisana bwebwabadde nga buddako eddiba, twabadde tuyungiddwa ku mikutu era n’ajja mu mayumba gaffe n’abeera wamu naffe. Okuyita mu mawanga, ekitundu ku Mubiri gwa Kristo, Ogwo nnabbi We gweyaweebwa olukusa okuliisa, baatudde wamu mu bifo ebyawaggulu nga BW’AYOGERA naffe okuyita mu malayika We ow’amaanyi Gweyatuma; okwaasa ekitangaala eri ensi ng’Akozesa Omwoyo We Omutukuvu ayitira mu ye, okuyitayo Omugole We.

Ow’oluganda Branham yagamba,
Katonda yatuma, mu ssuula eno eyekuumin’omunaana, malayika omukulu, ekyama ekyo nga kimaze okutegeerebwa, malayika ow’amaanyi, oba, omubaka….

Katonda yatuma malayika, omubaka (okukolaki?) okuyitayo, “Muveeyo!” Obubaka Bw’ekiseera!…

Mumuveemu! Katonda yatuma omungi…malayika omukulu, oba, omubaka. Era Ekitangaala kye tekyali mu kasonda, Kyasaasaana wonna ku nsi… Okwaasa ekitangaala eri ensi, era ayiteyo abantu Be okuva mu kyo…

Kati, mumanyi ekyo geemazima. Omubaka yatumibwa okuva mu Ggulu, okuyitayo abantu ba Katonda okuva mu Babulooni. Era Ekitangaala kye kyamulisa ensi, Omwoyo Omutukuvu Ow’ekitalo.

Ow’oluganda Joseph agenfa mumaaso,
Sabbiiti ewedde omuweereza yagamba ekibiina kye nti njagala abantu bakkirize nti ow’oluganda Branham yeeyali malayika wa Kubikkuliwa 18, naye n’akisongako nti oyo yali malayika okuva mu Ggulu, era yali tayinza kuba waluganda Branham. Singa ow’oluganda yali akoze bukozi ekyo nnabbi KYEYAMUGAMBA okukola, okukikebera n’Ekigambo, era SSI nakutegeera kwe, YANDIWULIDDE, NTI N’OKUBA, YALI WAALUGANDA BRANHAM YEEYAGAMBA NTI YEEYALI MALAYIKA OYO.

Ow’oluganda Branham yagamba,
…Weetegereze, ono ye Malayika w’Ekitangaala, jjukira, malayika eyasemba, ye Malayika mu mulembe gw’ekkanisa eri Lawodikiya. Ye mubaka wa Lawodikiya, oyo nga, y’asembayo, kubanga essuula eddako yennyini y’essuula ey’ekkumun’omwenda, oyo nga ye Mugole ajja.

Ab’oluganda na bannyinaze, NKYAWA okwogera ebintu bino n’okubisongako. Ng’ow’oluganda Branham bw’agamba, “Ntegeerebwa kifuula nnenge ekisusse enyo”. Ssitegeeza nti abaweereza bonna bali kwogera bwebati, kakibe okukkiriza nti abaweereza bonna bakyamu nakyo ssikikola, oba nti tebalina kuweereza. NEDDA, naye bangi bali mukulimba abantu okuyita mu kuteeka essila erisingako kubuweereza bwabwe okuyita mu kubuulira Ekigambo, lyebanditadde mukunyiga zannya n’abantu baabwe ne mukuwulira KYENNYINI nnabbi kyeyayogera.

Bw’oba wayawulibwa edda, Okilaba. Tewali ngeri YaakuKikukweekamu. Otunula n’ogamba, “Kyeeruddwa bulungi nnyo mu maaso gange! Nkiteereddeko ddala amaaso. Nkiraba. Kiikino wano, Ekigambo, buli Kigambo, Kigambo ku Kigambo. Kyolesebbwa mu maaso gange era emmeeme yange yonna ezingiddwa mu kyo.”

Ka mbawe okunokola kuno baganda bange abaweereza, okutegeeza ddala ekyo nze, n’ekkanisa Mukama gy’ampadde okubeera omusumba waayo, kyetukkiriza bwekituuka ku kuzannya entambi mu kkanisa.

Era kino bwekiba nga kiri kukwatibwa ku lutambi; eri abaweereza bonna mu kifo kyonna, any time, kino tekitunuuziddwa mu butalabawo buweereza bwammwe, kino n’okuba tekitunuuziddwa eri ndiga zammwe. Obubaka Buno, n’obubaka obulala bwonna bwenjogerako, butunuuziddwa eri kibiina kyange. Ssi bwakibiina kyo okujjako nga baagala Kubufuna. Naye butunuuzuddwa abantu bano wano.

Abantu bagula entambi zino. Abantu okwetooloola ensi yonna bazigula ne bazizannya. Emirundi mingi bawandiika amabaluwa agajja eno. Era bulijjo mbajuliza, bwebaba abakyiise b’ekkanisa emu, “Laba omusumba wo.”

Ow’oluganda Joseph agenda mumaaso,

Bantunuulira ng’omusumba waabwe ow’okukyalo, bwentyo nembagamba, “NZIKIRIRIZA MU KUFUNA ENTAMBI N’OKUNYIGA ZANNYA. Ow’oluganda Branham ye musumba waffe. Tuli kitundu ku kisibo kye”.

Kaakati, musumba, njagala okimanye nti, nti, kino kiri eri kibiina kyange kyokka benjogerera ebintu bino. Era nnina olukusa okukola ekyo, kubanga ntumiddwa Omwoyo Omutukuvu okulabirira endiga zino. Era zinsanze bwessibagamba kyendowooza nti geemazima, n’engeri gyemmanyi nti gyegajjamu. Naye tekiri eri ensi oba eri amakanisa amalala. Mukole kyonna Katonda kyabagamba okukola. Ssisobola kukwanukulira, kakibe ggwe okunnyanukulira. Naye buli omu kuffe alina okwanukula mu maaso ga Katonda, olw’obuweereza bwaffe.

Ow’oluganda Joseph agenda mumaaso,

Nnina okwanukula eri Katonda olw’obuweereza bweyampa. Nabuli kaayi akali mumubiri gwange nzikiriza nti muteekwa okuzannya Eddoboozi Lya Katonda mu ngeri y’Obubaka obwakwatibwa ku ntambi mu kkanisa yo. Ly’ekkubo lya Katonda ly’ataddewo leero okwengeza Omugole We. Y’engeri YOKKA ey’Omugole okugattibwa awamu n’okutuukirizibwa.

Obubaka bwetunaatera okuwulira ku Sande bwayogerwa ne bukwatibwa ku lutambi KULW’OLUNAKU LWALEERO. Y’emmere Y’Omwoyo Muntuuko Zaayo. Ka tuggule emitima gyaffe Omwoyo Omutukuvu asobole okutufukako amafuta okuwulira kyeyali Atulabula okubeera obulindaala olw’ennaku zino ezisemba.

Yatugamba emyoyo gyombiriri gijjakuba gyolesebbwa mubujjuvu mu lunaku luno olusembayo. Yatugamba nti kijja kubeera kumpi nnyo kijja kulimba omulonde yennyini singa kibadde kiyinzika. Olunaku olwo luuluno.

Ow’oluganda Branham agamba,
Tunula, Yesu bweyajja, laba, Setaani yali mukibiina ekyo eky’abayigiriza ab’ekiyudaaya, ne balabbi ne bakabona, ng’agezaako okubagamba okukuumba etteeka lya Musa, kyokka ng’Ekigambo kyennyini kyagamba nti mu lunaku olwo Omwana w’omuntu ajja kubikkulirwa, laba, nti Yali Waakwebikkula. Kale baali bagezaako, kasita baabakuumanga nga banzikiriza, era n’okubakuumira kutteeka lya Musa.…Olaba kyayakola? Yali agezaako okubagamba, “Ekitundu ky’Ekigambo ekyo ddala kituufu, naye omusajja ono ssiyeye omuntu oli.” Olaba nga bw’ali omulimba? Lwerwo olunaku olwo lwennyini olw’obulimba.

Ow’oluganda Joseph agenda mumaaso,
Ffe TETUSOBOLA kulimbibwa, ffe Mugole. Ffe TULI baana ba Katonda. TULI kitundu ku kikula kya Katonda ekyali mu YE, ekyafuuka omubiri nga bweyafuuka omubiri, bwetutyo tusobole okuba n’okussa ekimu buli omu ne munne nga ab’eju ya Katonda ku nsi. Tetukijjukira kati, naye twaliyo. Yakimanya. Era yayagala ffe okubeera mumbeera w’asobolera okutukwatako, n’ayogera naffe era n’atwagala, era n’anyeenya emikono gyaffe, KITIIBWA!!!

Tewakyaliwo , “NDOWOOZA NDI Mugole We. KANSUUBIRE NTI NDI Mugole We.” TUMANYI TULI MUGOLE WE.

Omwoyo Omutukuvu ali munkola munda yaffe. Bulamu, ssi nneewulira yamubiri; ssi ngeri emu ey’ubujulizi bw’omubiri, naye Muntu, Yesu Kristo, Ekigambo kya Katonda nga kisimbye amakanda mu Mitima gyaffe, okuwa obulamu eri buli Kigambo eky’omulembe guno.

Oyanirizibwa okutwegattako ku mukutu egitegeddwa Ssande eno ku ssaawa 8:00 ez’akawungeezi, mu budde bwe Jeffersonville. (Z’essaawa 3:00 (ssatu) ez’ekiro e Uganda), Omwoyo Omutukuvu nga bw’Atwakira n’Ekigambo Kye ekyayogerwa okuyita mu Malayika We, era ng’atuleetera Obubaka buno: Edeni Ya Setaani 65-0829.

Owol. Joseph Branham.

Bwetyo bw’efundikira ebbaluwa, kale biibino ebyawandiikibwa by’okusoma ng’okuwulira obubaka bw’enkya ku lutambi tekunnaba.

2 Timoseewo 3:1-9
Okubikkuliwa 3:14
2 Abassesalonika 2:1-4
Isaaya 14:12-14
Matayo 24:24

21-1031 Akasegajja k’omuntu Alowooza

Obubaka: 65-0822E Akasengejja K’omuntu Alowooza

BranhamTabernacle.org

Empungu zikuŋŋaanira awamu

Abakkiriza ba Baibuli abaagalwa,

Nga lunaku lwakitiibwa lwetulimu. Emitima gyaffe gitutyemuka munda yaffe nga bwayogera naffe mu kkubo buli lunaku. Kristo abikkuliddwa gyetuli ng’ayita mu Kigambo Kye. Kwe kubikkulirwa kwa Yesu Kristo, Ekigambo kyennyini nga kyolesebbwa mu mubiri. Ly’Eddoboozi lya Katonda nga liyitayo Omugole We.

Tulina ekigambo ekisembayo, ekisukkulumu, Ekyenkomeredde kyaffe; Ky’Ekigambo Kye, Baibuli. Kaakati “Baibuli” bw’eba nga ye Abusooluuti waffe, leka tulabe nnabbi kyeyagamba nti Baibuli kyeyali.

Yagamba Katonda yawandiika Baibuli ng’Akozesa bannabbi kyokka. Eyo yeyali engeri Ye ey’okukikolamu. Eyo y’engeri gyeyalina ey’okuleetamu Ekigambo Kye eri abantu: okuyita mu mimwa gya bannabbi Be. Ekigambo Kye kyajja eri bannabbi bokka.
    
Nnabbi okutegeera kwe bulikiseera kwali nga kutegeddwa kw’ekyo Katonda kyeyagamba ; ssi omuntu kyeyalowooza, omulembe kyegwalowooza, ekkanisa kyeyalowooza, obwakabaka kyebwalowooza, naye Katonda kyeyalowooza!  Kyeyakolanga kyokka kwali kumanyisa birowoozo bya Katonda ng’abifuula Ekigambo. Katonda bweyamubikkulira ebirowoozo Bye gyali, yakitegeezanga ng’akozesa Ekigambo Ekiwandiike.

N’olwekyo, Baibuli yonna ssi bigambo byamuntu, era teyawandiikibwa muntu, oba okuleetebwa omuntu, era bwetyo tesobola kuvvuunulwa muntu. Kye Kigambo Kya Katonda nga kivvuunulwa Katonda Mwene, Omuvvuunuzi We Mwene. Ekigambo Kye.

Kaakati bannabi bano baagamba, “Ssinze. Tekirina bwekinkwatako, naye kiri BWATYO BWAYOGERA MUKAMA.”Kale, Baibuli eri BWATYO BWAYOGERA MUAKAMA ng’Ayise mu bannabbi. Bannabbi bano tebaayogera bwogezi n’okuwandiika Ekigambo obuwandiisi kyokka, naye era ye yali Omuvvuunuzi Owakatonda YEKKA ow’Ekigambo Ekyo.

N’olwekyo, Baibuli bye birowoozo bya Katonda byennyini nga biwandiikiddwa bannabbi. Nnabbi ye muvvuunuzi wakatonda yekka owa Baibuli. Obubaka, Ekigambo, Baibuli n’omubaka biri ekintu kyekimu. Y’ensonga lwaki, tulilamulwa okusinziira ku kuvvuunulwa kwa Baibuli okwayogerwa nnabbi.

“Watumibwa, okubeera omukulembeze. Era Katonda alijja. Era bwekiriba kityo, Alikulamula okusinziira kw’ebyo byewabayigiriza, okusooka, okulaba oba nga bayingira oba nedda. Tuliyingira kusinziira ku kuyigirizakwo.”

KIKI kyeyakoogera? Y’ALISOOKA okulamulwa okusinziira kubyeyatuyigiriza. Engeri YOKKA gyetuyinza okuyingira kiri kusinziira ku kuyigiriza KWE. Kale nga kyamugaso nnyo okwogera obwogezi ekiri kuntambi engeri gyekiri nti tulisalirwa omusango okusinziira ku KIGAMBO KYE KU NTAMBI; ekyo nga kwekuvvuunula kwa Baibuli.
Ogenda kwesigamya ekifo kyo gy’olikomekkerera obutaggwawo ku muntu omu ky’agamba? Taba Mugole!! Tugenda kukola era twogere ki?

Era bonna nebaleekaanira waggulu mubumu, “Ekyo tukimanyi! Tuwummudde n’obukakafu.” 

Kale, Omugole awummulidde ku buli Kigambo nnabbi kyeyayogera, ekyo nga kwekwali okuvvuunula kw’ebirowoozo bya Katonda ebyawandiikibwa bannabbi, era nga mu nnaku zino ez’oluvannyuma byogeddwa Katonda Mwene okuyita mu mimwa gyannabbi We.

“Olitwanjula Gyali, era tuliddayo ffenna kunsi nate, okuba abalamu lubeerera.”

O ab’oluganda ne bannyinaze, muzuukuke nga tebunabeera kikeerezi. Kuno kwe kuyita Kwe okusemba. Ggulawo omutima gwo era olabe engeri gy’oyinza okubeera ng’owuliriza Eddoboozi lya Katonda kuntambi. Bwetuba nga tugenda kulamulwa kusinziira ku Bubaka Katonda bweyayogerera mu nnabbi We ku ntambi, oyinza otya obutalaba ngeri gyekiri eky’amakulu, era engeri yokka ey’okugolola n’okutereera n’Ekigambo Kye , kiri kuyita mu kuwulira Ddoboozi Lya Katonda ku ntambi.

Weewawo, Katonda ayise obuweereza bw’emirundi 5, naye balina okussa essira ku kuwuliriza entambi okusinga obuweereza bwabwe. Ssitegeeza nti omusumba wo talina kubuulira oba kuyigiriza. Ssigamba nti lekeraawo okugenda ku kkanisa; olina okugenda ku kkanisa, naye omusumba wo bw’aba nga tasoosa ntambi, Eddoboozi Lya Katonda eririkusazisa omusango, era nga taziteeka mumaaso go ggwe okuziwuliriza, otaddeko akasengejja akakyamu.

Weebuuze, omuweereza bw’akugamba, olina kuzannya ntambi mu makaago era ssi mu kkanisa, ekyo n’okukola kikola amakulu? Mazima, tolimbiddwa nnyo bw’otyo. Eddoboozi n’Ekigambo byennyini ebigenda okukozesebwa okukusalira omusango birina kuwulirizibwa mu maka gammwe era ssi mu kkanisa? Ow’oluganda Branham teyayogerako nti Muzannye entambi mu kkanisa, naye mulina kuwuliriza nze ng’omusumba kyokka wammwe bwemujja ku kkanisa. Ddala olina okubikkulirwa kwonna?

Kiki ekyandibadde kisingako omugaso bwemujja awamu okusinza Mukama, okukula mu kutegeera Ekigambo, okusemberera Katonda, okusinga okwengezebwa nga muwulira LYOKKA…Eddoboozi Lya Katonda erikakasibbwa LYOKKA.

Osobola okukubamu akafaananyi Yoswa ng’agamba Isiraeri yonna, nkimanyi nti tulina ebigambo byennyini Musa byeyayogera, naye Musa teyakyogerako nti bwetujja awamu tulina okusoma byeyawandiika. Nze abakulembera kaakano era nja kubabuulira ebigambo bya Musa.

Era oluvannyuma yasoma ebigambo byonna eby’etteeka, emikisa n’ebikolimo, okusinziira ku byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo ky’etteka.

Tewaaliwo Kigambo kw’ebyo byonna Musa byeyalagira, Yoswa kyataasoma mumaaso g’ekibiina kyonna ekya Isiraeri, n’abakazi, n’abato, abagwira abaali bamanyiddwa mu bo.

Mu njogera endala, ssinga Yoswa yalina akuuma akakwata entambi mu lunaku lwe, bweyakuŋŋaanyanga abantu, YANYIGANGA ZANNYA.

Malaki 4 azze ne BWATYO BWAYOGERA MUKAMA, era ogenda kulamulwa buli kigambo ekyayogerwa ku ntambi. Obubaka buno ke kasengejja ko. Wuliriza obe omulamu, gaana offe.

Tuyinza tutya okubizannyiramu zzaala ng’ekifo kyaffe gyetulikomekkererera mu butaggwawo kiriko akabuuza? Tuina okubeera nga tuwulira Ekigambo ntakera; mu maka gaffe, mu motoka zaffe, nga twoza engoye, nga tusomesa abaana, nga twoza emmotoka zaffe, nga tuli kutambulatambulamu, era n’okusingira ddala obukulu, nga tukuŋŋaanye mu makanisa gaffe.

Oyanirizibwa okwegatta ku kitundu ku Mugole We, ekikkiriza buli Kigambo ku ntambi, nga bwetuwulira obubaka: Akasegajja k’omuntu Alowooza 65-0822E, Sande ku ssaawa 8:00 ez’akawungeezi, mu budde bwe Jeffersonville. (Z’essaawa 3:00 (ssatu) ez’ekiro e Uganda). Oba kubiriza omusumba wo okuzannya olutambi mu kkanisayo bwotyo nawe osobole okuwulira Eddoboozi lyennyini erigenda okukwanjula eri Mukama waffe Yesu Kristo, era olwo tujja kuddayo kunsi nate okubeera abalamu lubeerera. TEKIRUNGIWA KUSUKKA AWO.

Owol. Joseph Branham

21-1024 Kristo Abikkulibwa Mu Kigambo Kye

Obubaka: 65-0822M Kristo Abikkuliddwa Mu Kigambo Kye Ye.

BranhamTabernacle.org

Empungu zikuŋŋaanira awamu

Omugole akooledde abaagalwa,

Tetubangako basanyufu kisingako, oba abamativu ekisingako mu bulamu bwaffe. Tulina Okukoleera olw’Okubikkulirwa nga bwekitabangawo. Ensi ensasika. Abantu bagwiiridde ddala eddalu. Tulaba ebintu byetwawulirako mu bulamu bwaffe bwonna nga bibaawo ddala mumaaso gaffe.

Buli Bubaka bwetuwulira buli kubudde ekituukiridde ennyo era ddala kyetwagala okuwulira. Y’Emmere y’Omwoyo Mu Kiseera Kyayo. Tuli bamativu nti ssi birowoozo byamuntu, era ng’ate ssi bigambo byamuntu, By’Ebigambo bya Katonda nga Ayogerera mu Muntu, ng’Ayitayo Omugole We.

Tusobola okugamba okuva ku ntobo z’emitima gyaffe:

Obubaka buno buli Bwatyo Bw’Ayogera Mukama.
Ly’Ekkubo lya Katonda ly’Attaddewo olw’olunaku lwaleero.
Tebwetaaga kuvvuunula kwabwannannyini.
By’Ebigambo by’obwannantakola nsobi.

Okuwuliriza Obubaka obw’omuddiriŋŋanwa gyebuvuddeko kyekibadde ekitundu ky’obulamu bwange ekisinga okunyuma n’okujjukirwa. Njagala bwagazi kugabana kunokola ku kunokola na buli omu. “Wawulidde okunokola kuno…Mbadde ssikiwulirangako bwentyo…Mpulirizza olutambi olwo emirundi 4 mu nnaku entonotono eziyise era mbadde ssikifunanga nga bwenkifunye leero. Obubaka buno bwa buliwo nnyo okusinga nga bwebwabuulirwa emyaka 56 egiyise”.

Tewali kiringa essanyu erijjuvu ery’okumanya nti owuliriza Eddoboozi lya Katonda erikakasibbwa eddongoofu. Tekikwetaagisa kukwatiririra wagulu engabo yo. Tekyetaagisa kwewunya, kino kiri butereevu n’Ekigambo. Ebyo birowoozo bye oba kuvvuunula kwe? Nnina okukikebera n’Ekigambo.

Si ffe, tutuula butuuzi mabega, netukkakkana, netugamba AMIINA eri buli Kigambo, nga bwetumanyi nti buli kimu kyetuwulira kiri BWATYO BWAYOGERA MUKAMA.

Mungeri ennyangungu, tekirungiwa kusingako oba tekyanguwa kusingako kw’ekyo.

Mbadde nsaba era nga nnoonya Mukama era Ankulembera okweyongera mumaaso n’Obubaka buno obuyise nnabbi bweyayogera. Nkimanyi nti tuwulirizza Obubaka buno obuddako emyezi mitono egiyise, naye buli kiseera lwetubuwulira Aba yeeyongera okutubikkulira ebisingako era ebisingako.

Bwendowooza ku Mugole We, ng’akuŋŋaanidde wamu okuva wonna mu nsi, ng’alindiridde n’okusuubira okw’ekitalo okutandika Obubaka okuwulira Katonda ng’ayogera gyebali okuva mu mimwa gya nnabbi We, Ncamuka nnyo. Kiki ky’Agenda okutubikkulira leero?

Waliwo okuzuukusibwa okugenda mumaaso okwetoolola ensi. Omugole akaaba, ng’agamba: “Twagala kuwulira ntambi. Twagala kunyiga zannya. Twagala kugattibwa wamu n’Omugole ku Kigambo”.

Tulikwegattira wamu era nga tutuula mumaaso g’Omwana, nga twengera, nga twetegekera Okukwakkulibwa. Nandyagadde okukwaniriza okujja okwengerera wamu naffe Sande ku ssaawa 8:00 ez’akawungeezi, mu budde bwe Jeffersonville. (Z’essaawa 3:00 (ssatu) ez’ekiro e Uganda), nga bwetuwulira Katonda ng’Ayogera eri Omugole We era ng’aleeta Obubaka, Kristo Abikkulibwa Mu Kigambo Kye 65-0822M.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’okusoma ng’okuwulira Obubaka tekunnaba:

Okuva 4:10-12
Isaaya 53:1-5
Yeremiya 1:4-9
Malaki: 4:5
Omut. Lukka 17:30
Omut Yokaana 1:1 / 1:14 / 7:1-3 / 14:12 / 15:24 / 16:13
Abaggalatiya 1:8
2 Timoseewo 3:16-17
Abaebbulaniya 1:1-3 / 4:12 / 13:8
2 Peetero 1:20-21
Okubikkulirwa 1:1-3 / 10:1-7 / 22:18-19

21-1017 ra Nga Takimanyi

Obubaka: 65-0815 So Tokimanyi

BranhamTabernacle.org

Empungu zikuŋŋaanira awamu

Empungu eziri okukuŋŋaana abaagalwa,

O, nga kaseera, nga budde! Tewali kilekeddwaayo ekitannakolebwa. Empungu za Katonda ziri mukukuŋŋaanira ku nnyama ensu. Obunnabbi butuukirira. Tekisubwangako wadde n’omulundi n’ogumu, era tekirikikola, kubanga ffe, abaayawulibwa edda okukiraba, tukiraba.

Taata kaatwalira nnabbi eka, Omugole We teyeegattirangako ku Kigambo Kye nga bwekiri leero. Yalonda engeri Ekigambo Kye gyekyajjangamu, era nga eyo kwali kuyita mu bannabbi Be, abaamanyibwa edda era nebaawulibwa. Era tuli bamativu, era nga tumatidde, nti ono ye Yesu Kristo nga Yeemanyisa, nga Yeeraga mu bunnabbi.

Ow’oluganda Branham yagamba,
Nga bwekyali nti yakulembera abaana ba Isiraeri okuyita mu ddungu, mu lugendo lwabwe, nga akaafananyi k’omugole ayitiddwaayo leero. Kiikino wano, okuyita mu kunoonyereza kwa ssaayansi, n’okweraga Yeeragirawo nga ne ssaayansi tannakikola. Era okuyita mu bikolwa Bye byennyini n’okuyita mu bunnabbi Bwe bwennyini, ebintu ebyamuweebwako obunnabbi byanaakola mu lunaku luno, okumufuula omu jjo, leero, n’emirembe gyonna, bikakasibbwa mu ngeri etuukiridde. Ekyo tekimala okuleetera emitima gyaffe okubeera nga gitutyemuka munda yaffe?

Nga abo abatume b’olunaku olwo, twayawulibwa eri Obulamu. Ekintu kyokka kyetulina okukola kwekutegeeza Eddoboozi Lye Limanyibwe. Era Eddoboozi eryo by’ebirowoozo bya Katonda byennyini nga bilagibbwa. Tukikkiriza kyonna. Tekitweetaagisa kukakasa kintu kyonna ne ssaayansi, oba okubuuza Omufalisaayo oba Omusaddukaayo yenna, oba omuntu yeena omulala kukyo. Yakyogera era tukikkiriza. Endiga Ze ziwulira Eddoboozi Lye, nga Lyogerera mu nnabbi We.

Obubaka buno Ly’Eddoboozi lya Katonda ku ntambi. Kwekubikkulirwa kwonna okwa Yesu Kristo, Endagaano Enkadde n’Empya nga biteekeddwa wamu. Ebyama byonna bibikuddwa. Tetugatta newankubadde okwongera kukyo. Tukola bukozi ddala nga Bweyatulagira okukola, SIGALA N’EKIGAMBO.

Ow’oluganda Branham yagamba,
Kyekyo. Ye muntu oyo owomunda. Ekyo ekyomunda ekijja okuddamu Ekigambo, kyekwatire ku Kigambo, ssi nsonga oba ki.

Ow’oluganda Joseph agenda mumaaso,
Yawa obunnabbi era n’atugamba kiki ekinaatukawo. Ensi yonna egyakuba nga yegattira wamu mu bugu bw’eddalu, era ejja kweyongera okubijja, era ebijje, era ebijje, okutuusa bwebalibeera kabondo ka bazzoligo.

Yagamba essaawa eri kumpi nnyo wetugenda okulabira ekintu ekimu nga kibeerawo, waliwo ekintu ekijja okutuukawo. Era Obubaka buno bwonna bubadde butegeka embeera era nga buzimba omusingi kulw’Obubaka obwamangu, obumpi obujja okunyeenya amawanga gonna. Tukkiriza nti kaakano tuli mukulaba ebintu bino nga bibaawo kaakano.

Ow’oluganda Branham yagamba,
Era mmanyi nti, nga mmaze okugenda okuva munsi eno, entambi ezo n’obutabo obwo bujjakuba bukyeyongerayo okuwaangaala, era bangi kummwe abaana abato mulizuula, munnaku ezirijja, nti kino ge Mazima gennyini ddala, kubanga nkyogera mu Linnya lya Mukama.

Leka tuwulire era tusseeyo omwoyo kumpi ddala ku byalambululwa byonna eby’ebirooto nnabbi byeyatubuulirako. Nga bwebaamulaba ng’ayimiridde ku lwazi olwatuuka okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba, nga luli mu nkula ensongovu nga piraamiidi. Nga bweyali ku mbalaasi gyebaali tebalabanga kigifaanana mu bulamu bwabwe; embalaasi ey’ekitalo, n’ekiviiri kyayo ekyokumutwe ekyeru nga kireebeeta.

Engeri ekire ekyeru bwekyakka nekimufuna nekimusitulawo. Olwo oluvannyuma lw’akabanga nekimutuuza waggulu ku mmeeza era yali mweeru ng’omuzira. Yali ayimiridde awo era yayogera n’obuyinza obw’ekitalo. Tekyaliko kuteebereza. Buli muntu yategeera kyeyayogera mu ngeri etuukiridde ddala.

“Nja kuvuga omukululo guno omulundi gumu nate!”

Nzikiriza tuli mukulaba ekyo nga kituukawo leero. Obubaka buno buli mukuvuga omukululo ogwo omulundi gumu nate. Katonda ali mukukoowoola Empungu Ze awamu okuva wonna mu nsi. Bali mukwegattira ku Kigambo Kye, Eddoboozi Lye, Obubaka Buno.

Ensi eri bukunya, esaasirwa, nnaku, nzibe yaamaaso, era tekimanyi. Naye Omugole ayambaziddwa Ekigambo, wakitiibwa mu Mwoyo, musanyufu olw’Ekisakye, era tusobola okulaba era netumanya kiki kyetuli: OMUGOLE WE.

Yatugamba okusinziira ku kyeyali amanyi, teyalaba kintu kiziyiza, mu budde bunno, okujja kwa Mukama Yesu, okujjako obwetegefu bw’Ekkanisa Ye.

Empungu, katwetegeke. Mbaniriza okukuŋŋaanira wamu naffe ku nnyamu ensu Sande ku ssaawa 8:00 ez’akawungeezi, mu budde bwe Jeffersonville. (Z’essaawa 3:00 (ssatu) ez’ekiro e Uganda), okuwulira Eddoboozi lya Katonda kulw’olunaku lwaffe nga litutegeka olw’okuwakkulibwa okubinabinda okujja nga bwetuwulira:  65-0815 Era Nga Takimanyi.

Owol. Joseph Branham
    
Okubikkulirwa 3:14-19
Abakkolosaayi 1:9-20

21-1010 Ebyokubaawo Ngabitangazibwa Obunnabbi

Obubaka: 65-0801E Ebyokubaawo Ngabitangazibwa Obunnabbi

BranhamTabernacle.org

Empungu zikuŋŋaanira awamu

Embeerera ya Kristo entonotono, Ekigambo, Ekisibo, Omugole,
Ffe tuli Mugole Kigambo We, nga tulindirira Omugole Kigambo omusajja, n’akaseera kaffe ak’okuwujjaala oluvannyuma lw’embaga (oba hanemmuunu) ak’emyaka olukumi.

Tuwuliriza Eddoboozi limu lyokka.”Endiga zange zimanyi Eddoboozi lyange. Omugwiira tezijja kumugoberera.” Eddoboozi Lye kyekiki? Kaakati ngenda kunokola,

“Eddoboozi ly’omuntu yenna ky’ekigambo kye. Era Kyekino, Baibuli, ekigambo kimu teekigattibwa ku Yo newankubadde okuggibwa ku Yo. Sigala busigazi ddala n’Eddoboozi eryo. “Omulala tezirimugoberera, ” ekibiina ky’eddiini”.

Ow’oluganda Joseph agenda mumaaso,
Eddoboozi eryo ly’Eddoboozi Lye nga Lyogerera ku ntambi okuyita mu mutaputa w’omwoyo yekka ow’Ekigambo Kye, nnabbi We William Marrion Branham. Ye Yesu Kristo ng’ayogera okuyita mu mimwa gy’omuntu. Tetufaayo ku bigambo by’omuntu, ebirowoozo by’omuntu, oba okuvvuunula kw’omuntu. Kyetufaako kyokka ly’Eddoboozi eryakakasibwa ery’olunaku lwaffe. Liri “BWATYO BWAYOGERA MUKAMA.” Katonda yatambuzanga emikono gya nnabbi waffe, Katonda yatambuzanga amaaso ge mu kwolesebwa Kwe. Teyayogeranga kintu, okujjako ekyo kyeyali atunuulira. Mpaawo kyeyali ayinza okugamba, kubanga Katonda yali yeddizza ddala olulimi lwe, olugalo lwe, ebitundu bye eby’omubiri byali byewuubira bulambalamba bulungi ne Katonda. Tekyewunyisa, Baibuli egamba nti bannabbi be baali bakatonda. Baali kitundu ku Katonda.

Yali Kigambo Kya Katonda nga kituukirizibwa ku lw’olunaku lwaffe. Baibuli eno eranga, ng’eyita mu bunnabbi, olunaku n’ekiseera kyetulimu. Byakubaawo nabaki ebiribaawo? Ekirangirira okutuukira ddala ku kanukuta era tesubwangako yadde omulembe.

Abo abaayawulibwa edda okukiraba bajja kukiraba. Kigambo nga kiri kwegatta n’Ekigambo. Mu buli mulembe, abantu baaleka abantu okuteeka okuvvuunula kwabwe ku Kigambo, era kibareetera okubeera abazibe eri ekyokubaawo ekiri okuyita.

Kintu kyekimu kyekyakola ku bafalisaayo n’abasaddukaayo. Baagamba abantu, “Tufukibbwako amafuta, Katonda yagatufuseeko. Mutwetaaga okubagamba Ekigambo kyekigamba. Mutwetaaga okukibavvuunulira. Nga bwekyali mu lunaku olwo, bwekityo bwekiri ne leero. Ekitundu ekileetera omuntu okukkiriza obulimba kiri nti bafukiddwako Omwoyo Omutukuvu. Ddala balina okuyitibwa okuva eri Katonda okuweereza Ekigambo, baakugamba abantu kiki nnabbi kyeyagamba naye bangi ku bo BATEEKA OKUVVUUNULA OKWABWE KUKYO okuyita mu kuyitiriza obuweereza bwabwe nebabusukkulumya okusinga ne ku DDOBOOZI LYA KATONDA lyennyini.

Weetegereze, engeri gyebaagala okugezaako okukuŋŋaanyiza abantu okwetooloola obuweereza bwabwe, okwetooloola okuvvuunula kwabwe okw’ekyo nnabbi wa Katonda kyeyagamba. Naye kyo tebayinza buyinza kukikola. Beekweka emabega, NEBATIISA abantu okulaga nti obutazannya ntambi mu makanisa gaabwe ssi kibi, nga bayita mu kugamba nti “Abantu abo basukkulumya nnyo omusajja era bali kumusinza era tebali kusinza Yesu Kristo. Kibiina kya ddiini okuwulira Obubaka ffenna mu kaseera keekamu okuva mu kifo kyekimu. Ow’oluganda Branham teyayogerako nti muzannye Entambi mu kkanisa. Okwo kwebalama nsonga yennyini tebaagala bwagazi kuzannya ntambi mu makanisa gaabwe, kyangu bwe kityo.”

Obuweereza bwabwe, enteegera yaabwe, okuyitibwa kwabwe kwamugaso okusinga okuwuliriza Entambi mu kkanisa. Tebalina buvumu buvaayo kugamba “nedda”, naye ebikolwa byabwe bibogerera. Omuweereza yenna owannamaddala owamazima, agamba nti akkiriza nti Buno bwebubaka obulamba obutuufu, Eddoboozi lya Katonda mu lunaku lwaffe, tasobola kufuna kasongasonga konna akamugaaana okuzannya entambi mu kkanisa ye.

Mukebere Olunyiriri olwo nga mukozesa Ekigambo, Omugole. Ssigambangako, “Buli omu alina okuwuliriza ku ssaawa 8:00 ez’akawungeezi, mu budde bwe Jeffersonville ekitali ekyo toli Mugole.” SSIKIKOLANGA. Sisinzaangako muntu. Yesu Kristo y’afuna ekitiibwa kyonna. Nsinza Katonda mu musajja, NG’EKIGAMBO BWEKYATUGAMBA OKUKOLANGA.

Nga balimba era bazibwa nnyo nnyini ! Soma busomi byawandiikibwa muganda wange. Kiri awo wennyini. Setaani amanyi nti omuweereza yenna oba ekibiina ky’abaweereza TEBALISOBOLA kugatta mugole. N’okukwatagana tebakwatagana, era ddala ng’Abamesodisiti, Ababaputisiti, Abapuleesibeta, n’Abapentekoote. Omu kubo oba omugatte gwa bonna bayinza batya okugatta Omugole ? Tebayinza buyinza. EKINTU KYOKKA, ekiyinza okugatta Omugole, LY’EDDOBOOZI LYA KATONDA ku ntambi, era Liri kukikola.

Omulabe akikyawa, kale ali kugezaako okukizikiriza naye tekijja kuyinzika okukola ekyo. KITIIBWA !

Ow’oluganda Branham yagamba,
“Nga bwekibaddenga, bo bulijjo, ku nkomerero y’omulembe, bazze mu katogo akalinga ekiki olwa bannassiyologiya ne bakabona baabwe okutuusa nga bulikiseera kabeera kavuyo. Bulijjo okuvvuunula kwabwe kubeera kukyamu, tekiremangako yadde omulundi ogumu okubeera ekikyamu. Era Ekigambo Kya Katonda tekiremangako yadde omulundi ogumu okubeera ekituufu. Eyo y’enjawulo.”

Waliwo engeri emu ennyangungu okubeeramu omukakafu, Sigala n’Ekigambo, Eddoboozi lya Katonda ku Ntambi. Soma Baibuli yo, Ejja kukugamba byakubaawo ki eby’okubaawo mu lunaku luno. Ejja kukugamba ku malayika We owamaanyi ow’okujja mu lunaku luno. Ejja kukugamba okusigala n’Eddoboozi eryo, okusigala n’omubaka We omulonde.

Setaani bw’aba ng’akyawa Ekitabo kyonna Ekya Baibuli, ky’ekitabo ky’okubikkulirwa. Kyawandiikibwa Kristo Mwene. Olwo nno okusinziira ku Mwoyo oyo, Kristo Mwene ateekwa okuba ng’ataddemu kingi nnyo bwekiba nga kino kiri ku mubaka w’omusanvu. Era ow’oluganda Branham agamba, nnokola,

“Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba malayika omulala ng’akka okuva mu ggulu, ng’alina obuyinza bungi; n’ensi n’emulisibwa ekitiibwa kye.”

Kristo Mwene agamba ensi yonna yamulisibwa ekitiibwa kye. Teyagamba nti ensi yonna yamulisibwa ekitiibwa kyange. Kati okusinziira ku kuteegera kwo oli mu kulumiriza Kristo Mwene olw’okusimba ennyo essira ku malayika We ow’omusanvu.

Malayika oyo owokunsi yali kumpi nnyo ne Kristo Mwene. Yokaana yagezaako okumusinza emirundi ebiri. Naye yagamba, “Nedda, sinza Katonda.” Ekyo kyennyini kyetukola, kusinza Katonda. Tetusukkulumya muntu, tugamba bugambi Kristo , Kigambo, kyeyayogera.

Ensi yamulisibwa ekitiibwa kye. Ekyo kituwa okukoleera olw’okubikkulirwa. Ow’oluganda Branham agamba,

“Katonda Akola okulonda kwe Ye kennyini, okuyita mu kwawula edda, yalonda bannabbi kulwa buli mulembe. Kyetegeereze. Akola enneeyisa y’oyo nnabbi okuja mu mulembe ogwo. Olaba, Akola sitayilo ye n’emujaamu, buli kimu ky’akola. Amuleetera okujaawo oba yasoma oba teyasoma. Akola ebirabo, engeri gy’anaabuulira, ebirabo by’alibeera nabyo, byonna nebimujaamu. Era Obubaka bw’Omulembe ogwo gwennyini, Katonda yayawula dda ekintu ekyo nti kijja kutuukawo era tewali kintu kirala ekiyinza okutwala ekifo ky’ekyo.”

Zannya olutambi, olutambi lwonna lw’osobodde, ku Sande, tewali kiyinza kutwala kifo kyalwo. Bw’oba ng’oyagala kwegatta ku Branham Tabanako nga bwetuwuliriza olutambi, oyanirizibwa, era oyitibwa okutwegattako Sande ku ssaawa 8:00 ez’akawungeezi, mu budde bwe Jeffersonville. (Z’essaawa 3:00 (ssatu) ez’ekiro e Uganda), nga bwetuwulira, “Ebyokubaawo Ngabitangazibwa Obunnabbi” 65-0801E.

Owol Joseph Branham.

Kati, ebyawandiikibwa byokusoma ku lw’olukuŋŋaana lwa Sande biri,

Olubereberye 22 : 17 – 18
Zabbuli 16 : 10
Zabbuli 22 yonna
Zabbuli 35 : 11
Zabbuli 41 : 9
Zakaliya 11 : 12
Zakaliya 13 : 7
Isaaya 9 : 6
Isaaya 40 : 3 – 5
Isaaya 50 : 6
Isaaya 53 : 7 – 12
Malaki 3 : 1
Malaki 4 yonna
Yokaana 15 : 26
Lukka 17 : 30
Lukka 24 : 12 – 35
Abaruumi 8 : 5 – 13
Abaebbulaniya 1 : 1
Abaebbulaniya 13 : 8
Okubikkulirwa 1 : 1 – 3
Okubikkulirwa 10 yonna

21-1003 Katonda W’omulembe Guno Omubi

Obubaka: 65-0801M Katonda W’Omulembe Guno Omubi

BranhamTabernacle.org

Empungu zikuŋŋaanira awamu

Omugole akoleezebbwa okubikkulirwa abaagalwa,

Kiki ekibadde kigenda mu maaso wonna mu nsi wiikendi eno eyise? Kiki ekibaddewo ? Enduulu ezo ezawaggulu zibadde zaaki? Omugole okuva wonna mu nsi yabadde yeegasse wamu, ng’akola ensozi okuva mu pulaasita, ebbumba, omusenyu n’obuti, ng’akuŋŋaanira ku byoto by’omuliro, ng’ayimba ennyimba z’okusinza n’okutendereza Mukama.

Abakulu n’abato nga bafaanagana, bambadde amasaati agawaandikiddwako nti “Okukoleera olw’okubikkulirwa”. Baavudde e Michigan okutuuka e Florida, e Maine n’e California, okuva mu Amerika y’omumambuka okutuuka mu Amerika yomumaserengeta, Bulaaya, Afirika, Asiya, Awusutulariya, buli kasonda konna ak’ensi. Babadde bawuliriza nga bakozesa emikutu gyebateze eyo mu maka gaabwe, nga bawulira eddoboozi lya Katonda nga lyogera butereevu eri bo.

Ekisikiriza kyabadde kiki? Ensigo ya Katonda eyayawulibwa edda etasobola kukola kintu kyonna ekirala okujjako okugoberera Obubaka Bwekiseera, ekkiriza buli Kigambo ekyayogerwa akamwa ka Katonda, yabadde ekuŋŋaanye wamu mukutendereza, n’okusinza, n’okujaguza kw’ekintu eky’ekitalo ekyabaawo mu lunaku lwaffe lu lusozi Sunset.

Yabadde Katonda ng’akakasa Ekigambo Kye. Ekyo Oluyoogaano lwonna kwelwabadde luva. Weetegereze, Ye Katonda ng’atuukiriza Ekigambo Kye Ekisuubize nate, ekya Kubikkulirwa 10 : 1 – 7, “… naye mu nnaku z’eddoboozi lya malayika ow’omusanvu, bw’aliba ng’agenda okufuuwa, ekyama kya Katonda ne kiryoka kituukirira…” Yabadde Katonda nga akola ebyafaayo, yabadde Katonda nga atuukiriza obunnabbi. Ky’ekyabadde eky’okuddamu ky’obunnabbi bwa nnabbi, era twayadde okubeerayo era tufune era tuwulire ekintu kyonna kyeyali akoledde okuyita mu nnabbi We.

Twagaanye okulabawo okulamula kw’okwekenneenya ensobi ebiva mu batakkiriza n’abeefuula abakkiriza. Tetulina nkaayana yonna nabo. Tulina ekintu kimu koykka eky’okukola, ekyo kwekukkiriza n’okufuna buli katundu kukyo ketusobola okufuna.Tukuŋŋaanira wamu buli sabbiiti ng’ekibiina ekiri awamu okuwulira eddoboozi lya Katonda, nga bwetulindirira okujja kwa Masiya. Nga ssaawa yakitalo gye tulimu, okulaba Ebyawandiikibwa nga bituukirizibwa mu bulamu bwaffe bwennyini.

Naye yatulabula mu Kigambo Kye nti okufukibwako amafuta okw’obulimba kujja kubeera kumpi nnyo, kujja kukyamy a abalonde ba Katonda bennyini oba nga kiyinzika. Naye ettendo liddire Mukama tekijja kusoboka kukyamya Mugole We, kubanga bajja kusigala n’Eddoobozi lya Katonda eryo erikakasibbwa, erirabisibbwa, eryoresebbwa, nnakabala, era tekijja kukyusa yadde ennukuta emu newakudde oba akatonnyeze akamu. Tebajja kwongerako kuvvuunula kwabwe kukyo naye mungeri ennyangungu bajja kukkiriza bukkiriza BULI KIGAMBO. Nga tulina kubeera beegendereza nnyo bwekiba nga kiteekwa kuba nga KISEMBEREGANYE NNYO BWEKITYO. Twewunya, kinaabeera makanisa g’amadiini? Balabika nga abali ewala ennyo era nga tebali nakumpi wadde nakatono. Kinaabeera ani? Ow’oluganda Branham yagamba,

“Kaakati, amakanisa ag’ekibuguumirize, ag’enneeyisa y’ekikungu, amannyogovu obunnyogovu, n’ebiringa ebyo, aga siyologiya w’abantu, ago tegandibadde; Omugole tali gassaako mwoyo wadde n’akatono. Naye gali eyo waggulu ddala nga kiri ekyannamaddala. Kulekayo bulesi Kigambo kimu kyokka ekyo kyokka ky’olina okukola. Yagamba, “Kaawa teyafuluma bufulumi mubwangungu n’ayogera ng’akitegeeza nti takkiriza Katonda. Yakkiriza ensobi, ky’ekyo kyeyakola. Setaani yakkiriza nti kyali Kigambo kya Katonda. Naye obuzibu bwali nti yateeka okuvvuunula kwe nga ye kukyo, era n’amuleetera okukkiriza obulimba, era n’agwa buzibu kulw’ekyo.”

Ekibikkako kijjiddwako. Piramiidi ebikuddwa. Ebyawandiikibwa bijibbwako ekibikkako. Okubikkulirwa kuweereddwa eri Omugole. Ye Yesu Kristo, aba obumu jjo, leero, n’emirembe gyonna. Ekyo kireetera Setaani okubeera omunyiivu ennyo gyetuli. Akimanyi nti alina okutuuka ku nkomerero ye. Ayagala ffe okuba nga tulina akabuuza ku kiki kyetuli. Tuyita mubigezo, n’okugezesebwa, ebikalubo okusinga kubyetwali tuyiseemu. Oluusi twewuunya, Lwaki bino byonna biri mukututuukako? Ow’oluganda Branham agamba,

“Ensonga eri nti, Kumugezesa, Omugole We. Kumu… Bw’ayolesebwa, ng’agezesebbwa, n’akakasibwa, okukakasibwa eri Setaani.”

Kitiibwa! Ebigezo byaffe n’okugezesebwa ye Ye nga akakasa eri Setaani nti tuli Mugole We Ayolesebbwa.

Ow’oluganda Branham agamba, “Tukizuula kati, omulembe guno omubi gwakukakasa, eri Setaani, Omukyala tali nga Kaawa, nti ssi mukazi wa kika ng’ekyo. Era ajja kugezesebwa Ekigambo Kye, Omugole, ng’omugole wa Adamu bweyagezesebwa Ekigambo. Era omugole wa Adamu yakkiriza buli katundu konna ak’Ekigambo, kyonna, naye n’abuzabuuzibwa ku kisuubizo kimu.”

Ow’oluganda Yusufu agenda mumaaso,
Naye tetujja kubuzabuuzibwa ku Kigambo yadde ekimu, newankubadde okugoberera obulombolombo bwabwe, enzivuunula zaabwe ez’Ekigambo. Tujja kusigala N’EKIGAMBO NNAKABALA.

Bwetuba n’ekyuma ekizannya entambi, tujja kukuŋŋaanya ekibiina ky’abantu era tuluzannye, era tuwuliririze kumpi, nga ddala bweyatugamba okukola.

Ow’oluganda Branham agamba
“Ddala ng’obulamu bwo n’ebikula byo ggwe ng’omuntu bwe byongezebwayo okuyita mu kitaawo okuzaala ng’obutonde bwebuli, bwegutyo bweguli Omwoyo Gwa Katonda, ogwayawulibwa edda ng’ensi tennatondebwa.”

Ow’oluganda Joseph agenda mumaaso,
Nga tweyanzege nnyo, nti Omwoyo Gwa Katonda, ezzadde lyaffe, lyayawulibwa ng’ensi tennatondebwa okubeera n’okubikkulirwa okwannamaddala okw’obubaka buno.

Oyanirizibwa okujja ofune OKUKOLEERA OLW’OKUBIKKULIRWA okwo kwekumu wamu naffe Sande ku ssaawa 8:00 ez’akawungeezi, mu budde bwe Jeffersonville. (Z’essaawa 3:00 (ssatu) ez’ekiro e Uganda), nga bwetuwulira 65-0801M “Katonda W’omulembe Guno Omubi.”

Ow’oluganda Joseph Branham.

Ebyawandiikibwa by’okusoma,

Omut Matayo 24 yonna
Omut Matayo 27 : 15 – 23
Omut Lukka 17: 30
Omut Yokaana 1 : 1
Omut Yokaana 14 : 12
Ebikolwa by’Abatume 10 : 49
1 Abakkolinso 4 : 1 – 5
1 Abakkolinso 14 yonna
2 Abakkolinso 4 : 1 – 6
Abaggalatiya 1 : 1 – 4
Abaefeso 2 : 1 ne 2
Abaefeso 4 : 30
2 Abassesalonika 2 : 2 – 4
2 Abassesalonika 2 : 11
Abaebbulaniya 7 yonna
1 Yokaana 1, 3 : 10
1 Yokaana 4 : 4 – 5
Okubikkulirwa 3 : 14
Okubikkulirwa 13 : 4
Okubikkulirwa essuula 6 – 8, 11 – 12, 18 : 1 – 5
Engero 3 : 5
Isaaya 14 : 12 – 14