22-0306 Akabonero Akoomukaaga

Endiga za Katonda abaagalwa,

Kintu ki ekisinga ko obukulu, twandisinzewo tutya okubeera abantu bannamukisa, okusinga okubeera ne Kabaka wa bakabaka mu masekkati gaffe,Mukama w’abakama?

Kirowoozeeko bulowooza. Okubeerawo kwa Kabaka wa bakabaka, Mukama w’abakama kuli naffe. Atubikkulidde nti TUTUUSE. Tuli wano! Okubikkulirwa kw’Atuwadde kuva eri Katonda. Ge Mazima. Yeffe Mugole We, Endiga Ennonde.

Tuwulira amabaluwa Ge ag’omukwano buli sabbiiti nga Atugamba: “Abaana b’endiga ba swiitimutima bange, nkoze okuyita-endiga kwange . Embuzi teziKumanyi, naye mmwe muKutegedde. Musigadde beesigwa, kubanga Endiga zange ziMmanyi era omugwiira teziimugoberere. Lirina kubeera Ddoboozi lyange ery’akabonero ak’omwoyo ekikakasibbwa LYOKKA.”

Temwogeraganyizza byakikaba wonna newankubadde okutunuulira eddoboozi eddala; MUsigadde nga muli BEESIMBU eri Eddoboozi lyange. Yemmwe bembadde nnindiridde. Nkimanyi nti musekererwa nnyo era mutegerwa bubi, naye Nnabagamba Nze nja kubakomerawo kasita MUSIGALA N’EKIGAMBO KYANGE, era ekyo kyemukoze. KAAKANO MBAJJIRA nga bwennabasuubiza nti bwendikola. Ekigambo kyemubadde mufukirira kiri mukujja kubatwala mu Maka Gaffe Amaggya.

Abalala bayinza obutaba na kubikkulirwa kwetulina era ne bagamba mbu tuli mu kusosola mu bantu; oba mbu tuli mu kusinza muntu mu kifo kya Mukama waffe . Nga bazibe bitya. Bwekiba nga ddala ekyo bwekiri, olwo Omugole Wa Kristo abaali ebusukka lutimbe lw’ebiseera nabo baali bakyamu.

Nnabbi bweyalaba Omugole nga ajja adduka gyali nga agamba, “muganda waffe omwagalwa”, baamubaka nebamuwanika mu kifo ekimu ekigulumivu. Kiki…OMUGOLE wa Kristo yali alaga obusosoze mu bantu ku nnabbi bwebaamuwanika mu kifo ekigulumivu? Kyogamba tebandikikoze ekyo?

Olwo oluvannyuma lw’ekyo, Omugole yenna yali ayimiridde awo mu byambalo byabwe ebyeru ne batandika okuleekaana, “Singa wali togenze mu maaso n’Enjiri, tetwandibadde wano.” Singa yali tagenze mu maaso tebandibaddeyo?

Olwo Eddoboozi okuva waggulu ne ligamba tuliramulwa okusinziira ku KIGAMBO kyeyatubuulira, era olwo alitwanjulayo eri OYO.
Eddoboozi teryagamba mbu tuliramulwa ekyo omuntu omu kyeyagamba oba omuntu omu kyeyannyonnyola nti kyeyagamba, naye ye kyeyagamba. Olwo alitwanjulayo eri OYO.

Ka nkozese eddembe lino okwogera kulw’ekitundu ky’Omugole ekirina Okubikkulirwa kwekumu nga nze kwennina, njogere ekyo kyetuwulira. Bwetuba nga tugenda KULAMULWA, era nga ENKOMEKKERERO YAFFE EY’OBUTAGGWAWO yeesigamizibbwa ku Kigambo Katonda kyeYayogera okuyita mu nnabbi We, olwo tulina KUWULIRA kyokka Ekigambo ekyo okuva eri Eddoboozi lya Katonda kulw’olunaku lwaffe. Tetuyinza, era teturyesigamya nkomekkerero yaffe ey’obutaggwawo ku ekyo omuntu omu ky’annyonnyola, oba ky’agamba, naye ekyo YE KYEYAYOGERA. TUSOBOLA KUWULIRA DDOBOOZI LYA KATONDA, era William Marrion Branham LY’EDDOBOOZI LYA KATONDA LYOKKA…KATONDA BWATYO BWEYAGAMBA.

Nkwesittazza bwenjogedde ekyo, nsonyiwa, naye, ndowoozezza nti ekyo kaayuukirwa oba okunyiigirwa, naye, Ndi Ddoboozi lya Katonda Gyemuli.

Kale tuli basanyufu era abeeyanzeege eri Mukama nti tuli kukola bukozi nga Omugole bweyali akola kuluuyi luli. Ekitiibwa kyonna, Ekitiibwa n’Ettendo bigenda eri MUKAMA WAFFE YESU KRISTO Omu bwati yekka. Nga nnabbi wa Kubikkulirwa 22:9 bweyatugamba, sinza Katonda…EKYO KYETUKOLA era tuMwagala nnyo nnyini.

Essaawa ya kamalirizo. Ebyawandiikibwa biri mu kutuukirizibwa mu bwangu n’okusinga bwetusobola okusoma ebigenda mu maaso byonna. Ajja okucima Omugole We mangu. Ensi eri mu kwegatta. Omugole ali mu kwegatta. Ssiteegi eri mu kutegekebwa kulw’okukwakkulibwa.

Twebaza Mukama kulw’abasajja abaayitibwa Mukama ababuulira Ekigambo, naye abaweereza, musooose Eddoboozi eryo erigenda okubalamula mmwe n’abantu bammwe. Mukuŋŋane mu makanisa gammwe era muwulire Eddoboozi lya Katonda erikakasibbwa lyokka nga lyogera. Munyige Zannya.

Twaniriza bonna abandisobodde okuyingira Eryato bwebatyo balokorebwe wamu naffe nga bwetwegatta okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga Lyogera Ebigambo ebiritulamula, ku ssaawa 6 ezoomuttuntu mu budde bwe Jeffersonville (z’essaawa 2 ez’ekiro e Uganda), era tuwulire Akabonero Akoomukaaga 63-0323.

Mmere ya Ndiga kulw’Endiga za Katonda. Mpawo kigattiddwako, mpawo kitooleddwako era mpawo kinnyonnyoddwa, MMERE Y’ENDIGA etatabikiddwamu birala ennoongoofu kyokka.

Owol. Joseph Branham.

Okuva 10:21-23
Isaaya 13:6-11
Danyeri 12:1-3
Matayo 24:1-30
Matayo 27:45
Omut. Yokaana 10:27
Okubikkulirwa 6
Okubikkulirwa 11:3-6