Category Archives: Uncategorized

23-0716 Ebbanga Wakati w’Emirembe gy’Ekkanisa Omusanvu N’Obubonero Omusanvu

Obubaka: 63-0317E Ebbanga Wakati w’Emirembe gy’Ekkanisa Omusanvu N’Obubonero Omusanvu

BranhamTabernacle.org

Amalanga G’oku Mazzi Amato Abaagalwa,

Twesindise okutuuka waggulu ku mazzi ag’ettosi ne twanjuluza ebiwaawaatiro byaffe. Ebimuli byaffe ebitonotono bifulumyeyo era kati birabibwamu Eddanga Ery’omu Kiwonvu eryo. Tuwaddeyo obulamu bwaffe mu bujjuvu eri Katonda n’Ekigambo kye.

Tuli mu kiseera eky’enkomerero era tuva Ebuvanjuba n’Ebugwanjuba, mu Bukiikakkono n’Obukiikaddyo, nga twetegekera Okukwakkulibwa okwo. Tukyenywerezza kuli obutasagaasagana okumala eddakiika entonotono okutuusa nga buli kaayi k’omubiri kajjudde Omwoyo Omutukuvu. Tuli mu kwetegekera KWAMBUKA.

Olunaku lutuuse. Ali mu kuyita abantu be okujja awamu gy’Ali mu bumu obwannamaddala ne Ye Mwene. Ye Yesu Kristo nga Awangaalira n’Omwoyo we mu mubiri gwaffe, ng’Akola ebintu bye bimu bye yakola nga bendera ewanikiddwa eri ensi.

Ekintu ekisinga obukulu mu Byawandiikibwa kigenda mu maaso mu kiseera kyaffe .

Ekikolwa, wadde Malayika, oba ekintu kyonna, ky’atasobola kukola, okujjako Omwana gw’Endiga yekka. Yajja n’Aggya Akatabo ku Mukono ogwa ddyo ogw’Oyo eyali Atudde ku Nnamulondo, n’Akabikkula, n’Akayuzaako Envumbo ezo ezaakaliko, n’Akasindika wansi ku nsi, eri malayika we ow’omusanvu, okuKabikkulira Ffe, Omugole we.

Ebintu ebigenda mu maaso; Ekigambo ky’Atubikkulira buli lunaku, tekyogerekeka. Tuyimusa amaloboozi gaffe ne tuleekaana n’okukuba enduulu nti, Aleluuya! Okufukibwako amafuta, amaanyi, ekitiibwa, okwolesebwa, Okubikkulirwa kw’Ekigambo kye kusinga bwe kubadde kasookedde ensi etondebwawo.

Na buli kitonde ekiri mu Ggulu, ne ku nsi, ne wansi w’ensi, munda mu nnyanja, ne byonna ebiri mu byo tuleekaana nti: nti Eri oyo atudde ku ntebe, n’eri Omwana gw’endiga, omukisa gubenga n’ettendo n’ekitiibwa n’amaanyi emirembe n’emirembe, amiina! Amiina, era amiina!

Buli kitonde, buli muntu okuva ku ntandikwa y’ebiseera abadde alinze olunaku luno okutuuka. Ne Katonda yennyini alinze okutuusa nga malayika we omulonde atuuse ku nsi nga tannavaayo kutwala Katabo, okukaayuza n’Akabikkula n’okubikkula ebyama bye byonna eri Omugole we omulonde.

Kati tumanyi ekyo omuntu yenna ku nsi, okuva ku ntandikwa y’ebiseera, ky’abadde tamanyi. Buli kintu ekyabuzibwawo mu kugwa kw’omuntu. Buli kintu ekibadde kikwekeddwa mu Kigambo kye. Buli Omugole ky’ayagala kiwandiikiddwa era ne kiteekebwa mu ggwanika lya Katonda ery’emmere ettonotono.

Atutunuzza okusukka olutimbe lw’ebiseera era tweraba naye ku Ludda olulala. Omugole yeetegese ng’awulira Ekigambo.

Tubadde mu kutendekebwa. Twambadde ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda. Tewali kiyinza kutusigula. Tewali kiyinza kututiisa. Tewali kiyinza kutukola bulabe. Tewali kiyinza kutuleetera kwekkiriranya ku Kigambo kimu. FFE KIGAMBO.

Tumulinze nga tulina ekimuli kyaffe mu ngalo. Ekiseera kumpi kituuse. Akalimi k’essaawa enkadde eri katambula. Tuwulira omusinde gw’embalaasi ziri nga zidduka, omusenyu nga gwekulukuunyiza wansi wa nnamuziga z’ekigaali. Ekigaali ekivugibwa embaalasi kiri ekikadde kinaatera okuyimirira.

Bw’Anaatuuka tujja kubuuka okuva mu nsi eno enkadde tuggwe butereevu mu Mikono gye. Ajja kutukwata Agambe nti, “ Mbadde nnagenda okukutegekera ekifo, naye Byonna biwedde kati, mubisi gwanjuki wange”.

Okujja kwe kuli kumpi nnyo. Tuli wansi w’okusuubira nga bwe kitabangawo. Tusanyuse nnyo kubanga Ayagala tuwulire Envumbo Omusanvu omulundi omulala. Tumanyi nti tugenda kufuna Okubikkulirwa okusingawo, kubanga buli Bubaka bwe tuwulira bulinga bwetutawulirangako.

Okubeerawo leero n’owulira Obubaka buno n’okusinga kisingako ku bwekyali nga bukwatibwa ku lutambi. Atubikkulira bingi ko ku luli kati n’okusingawo kati. Kiki ekiyinza okubaawo?

Jjangu okuŋŋaane wamu naffe ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu eky’omukawungeezi e Uganda), era onyumirwe okuwuliriza: 63-0317E Ebbanga Wakati w’Emirembe gy’Ekkanisa Omusanvu N’Obubonero Omusanvu .  Y’Emmere Eyaterekebwa Mukama gy’Ategekedde Omugole okulya.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga twetegekera okuwulira Obubaka:

Eby’Abaleevi 25:47-55
Yeremiya 32:1-15

Zakaliya 3:8-9 / 4:10

Abaruumi 8:22-23

Abaefeso 1:13-14 / 4:30

Okubikkulirwa 1:12-18 / Essuula ey’okutaano / 10:1-7 / 11:18

23-0709 Katonda Nga Yeekweka Mu Binyoomebwa, Olwo N’Abyebikkuliramu

Obubaka: 63-0317M Katonda Nga Yeekweka Mu Binyoomebwa, Olwo N’Abyebikkuliramu

BranhamTabernacle.org

Abantu ab’envuma, Abatali Ba Bulijjo, Abeewuunyisa, Bakabona Bakabaka, Ekika Ekitukuvu Abaagalwa,

Nga kiseera kya kitiibwa nnyo ky’abadde awa Omugole we, ng’Abikkula Ekigambo kye nga bwe kitabangawo. Buli Bubaka bwe tuwulira buwulikika nga bwetutawulirangako. Emitima gyaffe n’emyoyo gyaffe gijjudde essanyu nga bwe tulya ku Mmaanu Ensu ekka okuva mu Ggulu. Kiwulikika nga abali mu kulaba ku bimu kw’ebyo ebinaabaawo mu kyeggulo kyaffe eky’embaga ey’Obugole ebindabinda nga bw’Atuliisa Okubikkulirwa ku Okubikkulirwa.

Tuli mu kuwaayo ssaddaaka ez’omwoyo eri Katonda, okuyita mu bibala by’emimwa gyaffe, nga tutendereza Erinnya lye. Tukkalidde mu kifo kyaffe ng’emmunyeenye ez’omu bwengula.

Atugasse awamu mu bifo eby’omu ggulu, ng’Atufukako Omwoyo We Omutukuvu, ng’Atuteekateeka olw’okujja kwe okunaatera okubaawo. Kye kyokka kye tusobola okulowoozaako. Kye ekijjudde mu birowoozo byaffe byonna. Kye twagala okukola kwe KUWULIRA EKIGAMBO. Atugamba emirundi n’emirundi nti tuli Mugole we. Kuno kwe Kwagala kwe okutuukiridde okuyita mu kusigala n’Ekkubo lye lye Yateekawo.

Tuli bajaasi mu Kabondo ke Ak’Obuweereza Bw’Entambi , era tukyenyumirizaamu nnyo. Kabonero akatimbibwa ku lugoye ak’ekitiibwa. Twagala okukileekaana n’okutegeeza ensi nti, WEEWAAWO, TULI OMU KUBO.

Atugabiridde Emmere eyaterekebwa ffe okugirya. Emmaanu yennyini eya Katonda yennyini ng’Ayogera n’Omugole we, ng’atumanyisa nti tuli mu ggye Lye.

Tukuŋŋaanidde wansi w’ekiddukiro ekinene eky’eggulu mu bumu obungi ennyo, okutuusa nga Omwoyo Omutukuvu Atadde buli omu ali mu Mubiri ogwo mu kifo kye okutuusa okuwonyezebwa okutali na kwetegekere okw’omwoyo n’omubiri byombiriri lwe kutanudde okubaawo.

Tutwala Ekigambo kya Katonda ne tuwangula sitaani n’amaanyi ge. Tumutema-temamu obufi-fifi n’Ekigambo ekyo. Ssaabaduumizi waffe yatugamba nti: “Mmwe Kigambo. Temutya. Tambula kijaasi oyolekere Sitaani eri ogambe nti, ‘KYAWANDIIKIBWA.’”

Atulonze okubeerea abaserikale be. Tubadde mu kutendekebwa, nga twetooloddwa buggwe nga ky’Ekigambo kye. Kati twambadde era twetegese okulwana. Genero waffe ow’amayinja 5 atulagidde eky’okukola: Sigalira ddala n’okusomesa kwange okw’olutambi.

Era kakasa, yogera kyokka olutambi kye lwogera. Tobaako na kirala kyonna ky’oyogera. Okiraba? Kubanga, Ekyo Mba sikyogera kubwange nze. Ye Y’Aba Akyogera , laba. Era emirundi mingi nnyo, okutabulwatabulwa, abantu basituka ne bagamba nti, “Kale, gundi-ne-gundi yagamba kyali kitegeeza kino-na-kino.” Kireke — Kireke bulesi nga bweKiri.

Tekiri William Branham ky’atugamba ku ntambi, Kiri KATONDA ky’Ayogera eri Omugole we ku ntambi. Bino bye BIRAGIRO Bye. Waliwo engeri emu yokka gy’oyinza okugonderamu ebiragiro bino okuva ewa Genero wo ow’amayinja 5 era n’oKireka nga bweKiri, NYIGA ZANNYA.

Tuli mu ggye lya Katonda, nabwegutyo tulina okugondera ebiragiro byaffe Kigambo ku Kigambo. Tugenda mu maaso. Tuli basajja bazira, abasajja ab’okukkiriza, abasajja ab’amaanyi, abasajja ab’okutegeera, abasajja ab’Okubikkulirwa.

Tuyingira mu kussa ekimu okutuukiridde ne Kitaffe nate, nga tuyimiridde ku ludda luli olulala olw’oluwonko ssaabawonko, nga tewakyali kijjukizo kya kibi na kimu kiyimusibwa okutuwakanya. Adamu we azzibbwawo.

Ye Katonda mu binyomebwa omulundi omulala nate. Si kya buli muntu, wabula Omugole We yekka, era tukiraba bulungi era mu bulambulukufu.

Ndi wansi w’okusuubira okunene okuwulira Obubonero Omusanvu omulundi gumu nate. Ajja kuba Atubikkulira Ekigambo kye nga bwe kitabangawo. Tujja kuba tufuna Okubikkulirwa okusingawo okw’Ekigambo kye.

Abadde Alinze okutuusa leero okutubikkulira ebisingawo. Byonna bye twetaaga bikwatiddwa ku lutambi era nga bitulinze okubiwulira nga tukozesa olunwe lw’engalo zaffe okukoonako obukoonyi.

Obubaka buno by’Ebibwatuka Omusanvu ebyo ebijja okutuukiriza Omugole; kubanga EBYAMA BYA KATONDA BYONNNA BIJJA KUTUUKIRIZIBWA OMUBAKA MALAYIKA WAFFE OMUSANVU  ATUMIBWA ERI MUGOLE.

Kino kye kiseera ekisinga okuba eky’ekitiibwa mu byafaayo by’ensi. Tuli ku lusebenju lw’obudde bw’okujja kwe okucima Omugole we. Ensi esuubira ebintu bino byonna ebyayogerwa mu Byawandiikibwa; ng’enjuba okugwa mu ttuntu n’ebintu ebya buli ngeri okubaawo. Naye kyatuukawo dda, era tebaakimanya.

Mujjukire, Kwasibibwa envumbo nga kusibiddwa Ebibwatuka Omusanvu Ebyo Eby’ekyama. Mulaba?

Ebintu ebikulu bigenda kubaawo nga tuddamu okukuŋŋaana omulundi gumu nate okuwulira Katonda nga Abwatuka n’Abikkula ebisingawo eri Omugole we ku Bubonero Omusanvu obwo.

Nkwaniriza okutwegattako ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu eky’omukawungeezi e Uganda), nga bwetutandika ku lukalala olukulu luno olw’amasomo nga tulutandika n’Obubaka: 63-0317M Katonda Nga Yeekweka Mu Binyoomebwa, Olwo N’Abyebikkuliramu.

Nga Ow’oluganda Branham bw’addamu okuwongayo Branham Tabanako, n’abantu eri Katonda, ka tuddemu okwewongayo, amaka gaffe, amakanisa gaffe, oba yonna gye tukuŋŋaanidde, gy’Ali.

Owol. Joseph Branham

1 Ebyomumirembe 17:1-8
Isaaya 35:8 / 40:1-5 / 53:1
Malaki Essuula ey’okusatu
Matayo 11:10, 11:25-26
Omut. Yokaana14:1-6
1 Abakkolinso Essuula ey’ekkumi n’ettaano
Okubikkulirwa 21st Essuula

23-0611 Embeerera Ekkumi, N’Abayudaaya Emitwalo Ekkumi N’ena Mu Enkumi Nnya

Obubaka: 60-1211M Embeerera Ekkumi, N’Abayudaaya Emitwalo Ekkumi N’ena Mu Enkumi Nnya

BranhamTabernacle.org

Abaagazi b’Emmaanu Abaagalwa,

Tuli basanyufu kubanga tusobola okulya Emmere etaliimu ggumba oba ensigo mu Yo. Emigaati egikka okuva mu Ggulu, egiyitibwa “Emmaanu,” nga gisaabye obuwoomi bw’Eggulu gyonna.

Olw’okubikkulirwa okw’Omwoyo atubikkulidde nti waliwo ekifo kimu kyokka we tusobola okufunira Emmaanu eno Ensu nga temuli nsigo: nga tuwulira Eddoboozi lya Katonda ly’Awadde Omugole we.

Kwe kwegayirira kwe buli kiseera mu buli mulembe nti amakanisa gawulirize Eddoboozi lya Mukama. Mu mulembe guno ogusembayo, okwegayirira kwe kukkaatirivu n’okukira ku bwekyali mu mulembe omulala gwonna; kubanga luno lwe lunaku olw’okujja kwa Mukama. Atulabudde, n’obwangu bwonna, nti tulina okuwulira Eddoboozi lye erya nnamaddala, erykakasibwa.

Oh, waliwo amaloboozi mangi nnyo mu nsi — ebizibu bingi nnyo n’obwetaavu obutukaabira okubussaako omwoyo; naye tewajja kubaawo ddoboozi kkulu nnyo lityo era erisaanira okussibwako omwoyo ng’eddoboozi ly’Omwoyo. Kale, “Alina okutu okuwulira, leka awulire Omwoyo by’ayogera eri ekkanisa.”

Kukwo awo, okulabula kwe eri amakanisa, nga kikulu nnyo okuwulira EDDOBOZI ly’Omwoyo. Mazima awo omulabe w’anaalumbanga, ng’agezaako okukugira obukulu bw’okuwulira EDDOBOZI ERYO obutamanyibwa bantu.

Atugamba nti amaloboozi MANGI. Ebizibu n’ebyetaago bingi, ebitukaabira okubissaako omwoyo, naye tewerabira, olina okuwulira EDDOBOZI LYE ERYAKAKASIBWA.

Bwemba nga nkwesittazza mu kwogera ekyo, nsonyiwa, naye, mpulidde nga ekyo kyandibakaayira, naye, ndi DDOBOOZI LYA KATONDA GYEMULI.

Eky’okuddamu kikyo awo: NDI DDOBOOZI LYA KATONDA GYEMULI.

Kitegeerekeka bulungi nnyo eri Omugole We. Si kikusike, Kiri awo wennyini bwanjulukufu mu maaso gaabwe; omuntu yenna asobola okukisoma. Siri mu kubuulira bantu kintu ky’ataayogera…Siri mu kukigunjaawo. Atubuulira butangaavu ekintu ekisinga obukulu kye tulina okukola ky’ekiriwa. Okwagala kwa Katonda okutuukiridde kwe ku WULIRA EDDOBOZI LYE ATE YE LYE DDOBOZI LYA KATONDA ERI FFE.

Ab’oluganda ne bannyinaze, sigamba nti temukkirizibwa kuwulira basumba bammwe. Sigamba nti ba bulimba oba bakyamu singa baweereza. Kya lwatu nti Mukama atutadde wano tubeere ba kiyambi eri Omugole era akubasonga OKUDDAAYO ku Kigambo ekyasooka; okuteeka Eddoboozi eryo mu maaso gammwe ng’erisinga obukulu lyemusobola okuwulira. Tulina OKUDDA mu KWAGALA kwa Katonda OKUTUUKIRIDDE. Adamu azziddwawo mu bujjuvu, nga yeetooloddwa ekikomera nga ky’Ekigambo. Katonda yayogera buli lunaku kamwa ku kutu eri Adamu mu Lusuku, era leero, akola ekintu kye kimu.

Tusaanidde okuba nga tuyimiridde mu bbanga wakati nga tugamba nti, “Tuli baaluganda!” Tetuliimu njawukana, Ffenna Tuli Omubiri gumu; Tuli omu mu ssuubi n’Enjigiriza, (Enjigiriza ya Baibuli.)

Tuli baaluganda. Sigezaako kwawulamu Makanisa, ngezaako okutugatta awamu nga nkozesa ekintu KYOKKA ekiyinza okugatta Omugole. Ffenna tetusobola kukkiriziganya na MUNTU YENNA, OBA EKIBIINA KY’ABAWEEREZA; bonna ba njawulo, era boogera ebintu bya njawulo. Waliwo omubaka malayika ow’omusanvu OMU yekka. Waliwo Eddoboozi lya Katonda LIMU lyokka. Eddoboozi Katonda ly’Ataddewo ku lw’Omugole we ku lutambi.

Ka ntegeerekeke bulungi. Okubikkulirwa kwange kuli nti: Okuwuliriza Eddoboozi lya Katonda ku lutambi KWE KWAGALA KWA KATONDA OKUTUUKIRIDDE.

Nga bwe kyali mu biseera bya Samwiri, abantu bwe baamutuukirira ne bamugamba nti baagala kabaka abafuge. Kyanakuwaza omutima gwe. Yagenda eri Katonda n’amubuulira kye baagala. Katonda yagamba Samwiri nti, tebakugaanye, Samwiri, bagaanye Nze, nneme kubafuga.

Yali abafuga atya? KUYITA MU NABBI WE, SAMWIRI. Okwo kwe kwali OKWAGALA KWE OKUTUUKIRIDDE, era ne bamugaana. Okubeera Omugole we olina okuddayo mu kwagala kwa Katonda okutuukiridde. Tosobola kuba na KWAGALA KUTUUKIRIDDE KWA MIRUNDI EBIRI.

Nga nandyagadde nnyo Omugole yenna okujja awamu okuva mu nsi yonna okuwulira Eddoboozi lya Katonda ffenna mu kiseera kye kimu. Si lwakuba nti “nze” nkyogera, wabula lwakuba Katonda ALI MU KUKIKOLA. Kye kintu kyokka ekijja okugatta Omugole We.

Nkwaniriza okujja okuwuliriza wamu n’ekitundu ky’Omugole, Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu eky’omukawungeezi), okuwulira : Embeerera Ekkumi, N’Abayudaaya Emitwalo Ekkumi N’ena Mu Enkumi Nnya 60-1211M .

Bwoba tosobola kutwegattako, kukubiriza omusumba wo awulirize Eddoboozi lya Katonda ku Ssande eno ku makya mu kkanisa yo. Osobola okukubamu akafaananyi, Omugole okwetoloola ensi yonna, mu buli kkanisa, buli maka, oba wonna w’oli, nga awulira Emmaanu Ensu esaabanye obuwoomi bw’Eggulu yonna.

Owol. Joseph Branham

23-0604 Omulembe Gw’Ekkanisa y’e Firaderufiya

Obubaka: 60-1210 Omulembe Gw’Ekkanisa y’e Firaderufiya

BranhamTabernacle.org

Mukyala Yesu Kristo Omwagalwa,

Ekyo tekiwulikika nga kya kitalo? Omwana gw’endiga n’Omugole we emirembe gyonna basenze ne bakkalira lubeerera mu butuukirivu bwonna obwa Katonda. Tuyinza tutya okukinnyonnyola? Tukirowoozaako. Tukirootako. Tusoma Ekigambo kye kikyogerako. Tumulaba ng’agabana Obutukuvu bwe yennyini NAFFE. Mu Ye, tufuuse obutuukirivu bwa Katonda bwennyini.

Nga ppitirivu essanyu lye kituleetera bwe tunyigiriza zannya, ne tuwulira Katonda yennyini ng’Ayogera naffe ng’Ayita mu malayika we ow’amaanyi n’Atubuulira ebintu bino.

Tewali kintu kyonna mu bulamu buno, ne bwekiba nga kimatiza kitya, nga kirungi oba nga tekirina buzibu n’akatono nga bwekiyinza okuba, wabula ojja kusanga omugatte gw’obutuukirivu bwonna mu Kristo. Buli kintu kizimeera okufuuka ekitali kya makulu Ye w’Abeera.

Atugamba FFE nti tujja kuba n’erinnya eppya, Erinnya lye. Erinnya lye lijja kutuweebwa ng’Atututte gy’Ali. Kijja kuba kya kitalo nnyo n’okukira ku bwe tuyinza okulowooza. Tujja kugenda yonna Omugole Omusajja w’Anaagenda. Talitulekako mabega n’omulundi n’ogumu. Tetujja kuva ku Ludda lwe. Tujja kugabana naye Nnamulondo ye. Tujja kutikkirwa engule y’ekitiibwa kye n’ekitiibwa kye ekingi.

Era nga bwe Yeekakasa eri ensi, era nga ensi yonna evunnama ku bigere bye, mu kiseera ekyo ensi yonna ejja kuvunnama ku bigere by’abatukuvu, okukakasa nti baali batuufu mu kuyimirira kwabwe naye . Katonda atenderezebwe emirembe gyonna!


Yatumanyirawo mu kulamula kwe okw’obwakatonda nti tujja kuba Mugole we. Ye Yatulonda FFE; Siffe abaaMulonda. Ye Yatuyita; siffe abeereta. Yafa kulwaFFE. Yatunaaza FFE mu Musaayi gwe Ye Mwene. Yasasula omutango kulwaFFE. Tuli baBe, era Ye yekka. Tweweereddeyo ddala gy’Ali era akkiriza obuvunaanyizibwa. Ye mutwe GWAFFE. Ayogera naffe ng’Ayita mu malayika we ne tugonda, kubanga ekyo kye kitusanyusa.
         

Okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero, Obubaka ku ntambi bwonna KATONDA gyeTULI. Leka Obulamu obwo bubeere mu FFE. Ka gubeere Musaayi gwe ogututukuza. Ka abeere Omwoyo We y’Aaba Atujjula. Ka kibeere Kigambo kye mu mutima gwaffe ne mu kamwa kaffe. Leka gibeere Emiggo gye gy’egiba gituwonya FFE. Ka abeere Yesu, ne Yesu yekka. Si lwa bikolwa eby’obutuukirivu, ebyo bye tukoze. Kristo bwe bulamu bwange. Obubaka buno bwe bulamu bwaffe, kubanga Ye Kristo.

Oh, waliwo amaloboozi mangi nnyo mu nsi — ebizibu bingi nnyo n’obwetaavu obutukaabira okubussaako omwoyo; naye tewajja kubaawo ddoboozi kkulu nnyo lityo era erisaanira okussibwako omwoyo ng’eddoboozi ly’Omwoyo. Kale, “Alina okutu okuwulira, leka awulire Omwoyo by’ayogera eri ekkanisa.”

Katonda alina Eddoboozi ly’olunaku luno. Likakasiddwa Empagi y’Omuliro okuba Eddoboozi lya Katonda. Tewajja kubaawo Ddoboozi KKULU NNYO LITYO ERA ERISAANA OKUSSIBWAKO OMWOYO ng’Eddoboozi eryo eriri ku lutambi ku lw’olwaleero.

Jjangu twegatteko ku Ssande ku ssaawa 12:00 ez’olweggulo, mu budde bwa Jeffersonville. Tulina ekikapo kikubyeko eky’empapula omuzannyo kweguwandiikibwa kyonna nga kijjudde Omubissi gw’enjuki. Tujja kukiteeka ku Lwazi, so si ku kkanisa yonna; ku Lwazi, Kristo Yesu. Era mmwe endiga mugende nga mukomba. Mujja kuwonerawo mbagirawo kikakafu ddala. Ebizibu byonna eby’ekibi bijja kuggwaawo bw’on’okomba ku Lwazi olwo. Ky’ekyo kyokka ky’olina okukola, jjangu owulire Eddoboozi lya Katonda nga litubuulira byonna ebikwata ku: Omulembe Gw’Ekkanisa y’e Firaderufiya 60-1210 .

Owol. Joseph Branham

23-0521 Omulembe Gw’Ekkanisa Ya Suwatira

Obubaka: 60-1208 Omulembe Gw’Ekkania Ey’Omusuwatira

BranhamTabernacle.org

Emmunyeenye Mu Ngule Ye Abaagalwa,

Musanyuke Omugole. Tuli mu kufuuka Omu naYe. Buli lunaku, atuwa Okubikkulirwa okusingawo ku Ye ne ku Ffe. Tugenda tweyongera okutegeera Amaanyi ago Agawa Obulamu agali era agatuula munda mu ffe.

Tetusobola na kutandika kunnyonnyola ngeri gye tuwuliramu. Tubulidde munda mu Mwoyo We. Buli kirowoozo kyaffe aba Ye. Tewali kirala kikulu gye tuli. Tulaba Ekigambo kye nga kifuuka Ekigambo mu ffe. Kiriisa emmeeme yaffe. Tubeerawo buli lunaku okumusinza, okumutendereza, n’okumwebaza nti tusobola okuwulira Eddoboozi lye nga Lyogera gyetuli.

Nga bwe tusoma Ekitabo kyaffe eky’Emirembe gy’Ekkanisa, kumpi tetusobola na kukiwummuzaako wansi; emitima gyaffe gitulika. Buli lunaku luleeta Okubikkulirwa okusingawo. Twagala okubuuka ne tuleekaana, ne tudduka mu kisenge wonna nga tukuba enduulu nti: “Ekitiibwa, Aleluya, Mukama Yeebazibwe.” “Kino wakisomye?” “Nnakiyisaamu langi eramba emitwe gyange emikulu gyemba nsomye, naye sikisomangako, SIKIKOLANGAKO, kusima nga kuluno.” Atubikkulira Baibuli yonna okuva mu Olubereberye okutuuka mu Kubikkulirwa, era nneerabayo NAFFE FFENNA MU KIGAMBO KYE.

Tulaba Omugole oyo Omutuufu eyasigala n’Ekigambo okuyita mu mirembe gyonna era nga teyalimbibwalimbibwa bulimba bwa Sitaani obw’ekitalo. Sitaani yali ayagala okusinzibwa nga Katonda. Naye ebbanga eryo lyonna waaliwo omugole oyo OWA NNAMADDALA, ng’asigala nga mwesigwa eri Ekigambo kye. Akabinja ako akatono akalondebwa akaasigala n’omubaka We. Nga ffe, nabo tebaasobola, era tebandyekkiriranyizza. Baali bakimanyi nti waliwo ENGERI EMU YOKKA ey’okubeera abakakafu: okusigala n’Ekkubo Lye lyeyateekawo, Ekigambo kye, malayika we.

Nga abadde mulimba nnyo Sitaani, kaatandikira kubala budde. Yasala amagezi ge okuyita mu Mirembe gy’Ekkanisa egy’enjawulo okutuusa lw’atuuse ku biruubirirwa bye. Kati afuuse wa kulusegere nnyo n’OYO OMUTUUKIRIVU okutuusa nga asobola okulimba abalonde bennyini oba nga kisoboka….naye Katonda atenderezebwe, TEKISOBOKA, TETULIMBIBWA. Lwaki? TWASIGALA N’EDDOBOZI LYA KATONDA, EKIGAMBO KYE EKIFUUSE OMUBIRI.

Tewali ngeri yonna ya kukyebalamamu. Eddoboozi lya Katonda lye Kkubo lye lyeYateekawo kulw’olwaleero. Tusigadde tukola emirimu gye n’obwesigwa okutuusa ku nkomerero. Tuweereddwa obuyinza ku mawanga, era tuli bafuzi ba maanyi, ab’obusobozi, abatakyusa mulamwa gwabwe abasobola okugumira embeera yonna n’amaanyi amangi ennyo. N’omulabe waffe asinga obumalirivu ayongobedde. Engeri gyetwolesaamu obusobozi bwaffe okufuga, olw’Amaanyi ge, efaananidde ddala nga ey’Omwana We yennyini.

Oh, nga twagala nnyo okulaga mu bigambo engeri gye tuwuliramu. Olunaku lumu tujja kusobola okukitegeeza, mikwano gyange. Tujja kumala Obutaggwawo ne Mukama waffe, malayika we, era ne bannaffe.

Nga omukyala w’olususu lwa langi enkwafu e Memphis, twamanya nti ye Ye bwe twamuwulira. Lwaki? Oh, tuli OMU KU BBO.

Wandyagadde Omwoyo Omutukuvu okwogera naawe era akubuulire ky’oli? Jjangu weewulirireko ku kubeerawo kwa Mukama wamu naffe, Ssande ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa 1:00 ey’akawungeezi e Uganda), nga bwe tuwulira: Omulembe Gw’Ekkanisa Ya Suwatira 60-1208. Kijja kukyusa obulamu bwo.

Owol. Joseph Branham

23-0514 Omulembe Gw’Ekkanisa Ya Perugamo

Obubaka: 60-1207 Omulembe Gw’Ekkanisa Ya Perugamo

BranhamTabernacle.org

Abaana Ba Nabbi Abaagalwa,

Yeffe Kigambo ekyeyoleseddwa, nga tuweebwa amaanyi Omwoyo, nga tuwulira Eddoboozi lya Katonda, nga bw’atulangirira nti, TULI MUGOLE WE.

Kitaffe awadde Ekkanisa Ye ebirabo by’Omwoyo MWENDA, n’obuweereza obw’emirundi ETAANO, naye Yesu yagamba nti: Mu BULI mulembe nja kwetegeeza eri omuntu OMU YEKKA. Omubaka OMU yekka mu buli mulembe y’ajja okufunanga bye nnina okwogera eri omulembe ogwo. Oyo OMUBAKA OMU ye mubaka eri Ekkanisa eya nnamaddala.

Ayogera ku lwa Katonda olw’okubikkulirwa . Olwo Obubaka ne bulyoka busaasaanyizibwa eri abantu bonna, naye bufunibwa kibinja ky’abantu kimu kyokka ekirina ebisaanyizo mu ngeri emu. Buli muntu ssekinnoomu mu kibinja ekyo y’oyo alina obusobozi okuwulira Omwoyo by’ayogera ng’ayita mu mubaka . Abo abawulira tebafuna kubikkulirwa kwabwe okw’ekyama, era tewali kibinja na kimu kifuna kubikkulirwa kwabwe okw’omuggundu, NAYE BULI MUNTU AWULIRA ERA AFUNA EKYO OMUBAKA KYEYAFUNA EDDA OKUVA ERI KATONDA.

Nga tulina okubeera abeegendereza ennyo tutyo okuwulira Eddoboozi LIMU, kubanga Omwoyo talinaayo ddala lyonna wabula Eddoboozi limu lyokka eryo nga lye Eddoboozi lya Katonda.

Waliwo EDDOBOZI LYA KATONDA LIMU era teryetaagisa kukakasibwa nga biri OMWENDA, wadde okusengejjebwa nga buli obw’emirundu ETAANO; WABULA EDDOBOOZI LIMU LYOKKA EDDONGOOFU ERY’EKIGAMBO!!

Tusobola okuwuliriza abaweereza abalala? Weewawo, naye eky’ekyenkizo kwe kwogera ekyo KYOKKA ekyayogerwa nnabbi. Abalala basobola, era basaanye, okubuulirira, okuyigiriza n’okubuulira; naye Katonda atukoledde ekkubo leero mu ngeri ETEEFAANANYIZIBWAKO NA LUNAKU OLULALA LWONNA. Tusobola okuwulira kyennyini Katonda ky’Ayogera eri Ekkanisa.

Yatugamba nti tulina okwegendereza ennyo. YATUGAMBA, SSI NZE, nti bongerako wano, oba ne batoolako wali, era mu bbanga ttono obubaka buba tebukyali bulongoofu. Nga owuliriza entambi, Kigambo ku kigambo, aba Bwatyo Bw’Ayogera Mukama.

Obukakafu bw’Omwoyo okuba nga Ali munda mu muntu kwe kukkiriza mu mutima nti nnabbi wa Katonda alina Obubaka bweyawa olw’omulembe guno, n’olangirira nti ge Mazima era n’OBUGOBERERA nga bweyasengeka ekkanisa.

Y’ensonga lwaki TUGOBERERA, ne tugamba nti, omusumba waffe ye mubaka malayika ow’omusanvu era twagala kuwulira ebyo byokka by’ategeeseeyo okwogera gyetuli. Eri ffe, Ye Maanu Enkusike.

Okubikkulirwa kwafukibwa ku mubaka malayika waffe. Ebbaluwa eyawandiikibwamu Okubikkulirwa kw’Ekigambo kulw’omulembe gwaffe yajja eriko linnya LYE. Alina Okubikkulirwa okunene-ko okwa kiki Kristo ky’ali; okuyitibwa okwa waggulu-ko, okusinga abalala bonna. Bwe kiba nti tetusobola kutambulira mu bulamu bwa waggulu kusinga ku musumba waffe, olwo kye tuba twetaaga ye William Marrion Branham okubeera omusumba waffe.

Tukimanyi nti abalala tebajja kulaba bye tulaba, newankubadde okukkiriza ebintu bye tukkiriza, naye basigala baganda baffe era bannyinaffe, era tujja kumala Obutaggwawo wamu nabo. Naye tulina okusigala nga tuli beesigwa eri ekyo kyetukkiriza nti ly’ekkubo Katonda ly’atulaze okumusinzaamu n’okumugoberera.

Kyangu nnyo abalala okugamba nti tuyitiriza nnyo omubaka, naye mu butuufu, tuli mu kunokola bunokozi kyeyagamba. Okwogerezaganya kw’ekyo olina kugenda wa Mukama. Kubanga Ddoboozi lya Katonda lye liri mu kwogera ebintu bino.

Leka tuggulewo emitima gyaffe n’ebirowoozo byaffe tusome Omwoyo bye yatugamba ng’ayita mu malayika we:

Ajja mu nsi mangu, malayika omukulu oyo ow’Ekitangaala agenda okujja gyetuli, alitukulembera okutufulumya, Omwoyo Omutukuvu omukulu, alijja mu maanyi, era ajja kututwala eri Mukama waffe Yesu Kristo. Oboolyawo tajja kukimanya naye ajja kuba wano ezimu ku nnaku zino. Ajja kuma…Katonda ajja kumumanyisa. Tajja kwetaaga kwemanyisa, Katonda y’Ajja okumumanyisa. Katonda ajja kukakasa oyo owuwe. Ekyo kyeYayogera nga Yesu ali wano era tebaaMumanya, laba. Yagamba nti, “Bwe sikola mirimu gya Kitange, olwo temukkiriza; naye bwe nkola emirimu gya Kitange, era nga temuyinza kunzikiriza, kale mukkirize emirimu egyo.” Ekyo kituufu ?

Tali mu kweyita malayika omukulu ow’Ekitangaala olw’olunaku luno? Tukimanyi nti Mwoyo Mutukuvu ali mu ye y’Ali mu kukikola, naye yagamba nti: Oboolyawo tajja kukimanya, naye ajja kuba wano ezimu ku nnaku zino. Omwoyo Omutukuvu tajja kumanya ky’Ali? Tajja kwetaaga na kwemanyisa ; Katonda Ajja kumumanyisa .

Kale ali mu kugamba nti, nnabbi ow’omulembe gwaffe ye malayika omukulu ow’Ekitangaala agenda okutukulembera okutufulumya n’okututwala eri Yesu Kristo olw’Omwoyo Omutukuvu oyo Ayita mu ye. Kukwo awo Okubikkulirwa okw’omulembe gwaffe.

Ani agenda okwanjula Omugole eri Mukama? OMUSUMBA WAFFE.

Naye nnabbi ono alijja, era ng’omulanzi w’okujja kwe okwasooka bwe yaleekaana nti, “Laba Omwana gw’endiga owa Katonda, aggyawo ekibi ky’ensi,” bw’atyo awatali kubuusabuusa naye bw’ajja okuleekaana nti, “Laba Omwana gw’endiga owa Katonda, ajja mu kitiibwa.” Kino ajja kukikola , kubanga era nga Yokaana bwe yali omubaka w’amazima eri abalonde, bw’atyo n’ono bw’ali omubaka asembayo eri abalonde n’ omugole eyazaalibwa Ekigambo.

Nga bwetumanya amazima gano, era nga tulina Okubikkulirwa kwe OKUJJUVU mu lunaku luno, tufuuse Omugole we eyazaalibwa Omwoyo, ajjudde Omwoyo.

SANYUKA OMUGOLE, KINO KYETULI!

Omusajja eyazaalibwa Omwoyo, ajjudde Omwoyo mu kukkiriza bw’atwala Ekigambo ekyo mu mutima gwe n’akiteeka ku mimwa gye, nga lwaki, ekyo kyenkanankana n’Obulamba bwa Katonda nga bwogera. Buli lusozi luba lulina okuseetuka. Sitaani tayinza kuyimirira mu maaso g’omusajja oyo.

Kati enkolagana eya nnamaddala w’eri wakati w’Omugole omusajja naffe, Omugole we omukazi. Atulaze Ekigambo kye eky’obulamu, era tukifunye. Tetujja kukibuusabuusa. N’olwekyo, tewali kiyinza kutukola bulabe, wadde okufa.

SANYUKA OMUGOLE, KINO KYETULI!

Ekigambo kiri mu mugole (nga bwe kyali mu Maliyamu). Omugole alina endowooza ya Kristo kubanga amanyi Omugole omusajja ky’ayagala kikolebwe n’Ekigambo. Akola ekiragiro ky’Ekigambo mu linnya lyE kubanga “Bw’ati bw’ayogera Mukama.” Olwo Ekigambo ne kizuukizibwa Omwoyo ne kituukirira. Ng’ensigo esimbibwa n’efukirirwa, etuuka ku makungula nga ekuze bulungi, ng’etuukiriza ekigendererwa kyayo.

Tutuuse mu makungula nga tukuze bulungi era kati tukola ekigendererwa Ye kyeYatutonza.

Tusobola kukola Kwagala kwe kwokka. Tewali ayinza kutuleetera kukola kirala. Tulina “Bw’ati Bw’ayogera Mukama,” oba tusigala cce. Tukimanyi nti Katonda y’Ali mu ffe, nga Akola emirimu gino, ng’Atuukiriza Ekigambo kye YE Mwene.

Tusanyuka, kubanga nnabbi yatulaba emitala w’olutimbe lw’ebiseera nga ffenna tuyimusa amaloboozi gaffe ne tuleekaanira wamu mu ddoboozi eriwoomu nti, “Tuwummulidde ku ekyo!”

Jjangu okuŋŋaanire wamu naffe , Ssande ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa 1:00 ey’akawungeezi e Uganda), nga tuwulira Eddoboozi Lya Katonda lituleetera ekyama kya: Omulembe Gw’Ekkanisa Ya Perugamo 60-1207.

Owol. Joseph Branham
    

Okubala 23:8-9
Okubikkulirwa 2:12-17, 17:1-5, 17:15