21-0717 Okuva Okw’okusatu

Obubaka: 63-0630m Okuva Okw’okusatu

BranhamTabernacle.org

Empungu zikuŋŋaanira awamu.

Batabani ne bawala ba Katonda abaagalwa abalabisiddwa,

Omuntu n’ewokutandikira kumpi tamanyiiwo. Okulowooza nti, tubadde tutudde wamu mu mbeera ey’omuggulu, okuva mu nsi yonna, nga tunywa okuva ku Mazzi ago Amalamu, nga tufuuka batabani be ne bawala be abalabisiddwa. Obubaka buno buli mu kutuwa okutegeera okujjuvu, nga bututeeka ntende mu bifo byaffe, era nga butubuulira kiki     KYETULI mu Kristo Yesu.

Obubaka buno buli mu kukola ki?

“Kubanga mbafumbiza, mbanjula eri Kristo, nga omuwala omulongoofu.”

Ekitiibwa, Katonda yatuma omubaka we ow’omusanvu okutwanjula gy’Ali nga omuwala omulongoofu. Tujja kulamulwa buli kigambo KYE YAYOGERA. Ekyo kitegeeza nti oteekeddwa OKUNYIGA EPPEESA LYA ZANNYA.

Yawandiika Bayibuli ye eyasooka mu bwengula. Olwo n’awandiika Bayibuli ye ey’okubiri mu jjinja. Bayibuli ye ey’okusatu yawandiikibwa ku lupapula ku lw’ensi ey’ekitalo, engezi  ey’eby’obwongo ey’okujja. Naye leero, olunaku ol’okubikkulirwa olw’amaanyi, tulina omulimu gwe ogusinga gyonna  omujjuvu era omutuukirivu, eddoboozi lya Katonda lyennyini ngga liyitayo Omugole We, nga liyita Mu Ntambi:

“Era OLI-twanjula eri Mukama Yesu w’anajjira, ng’ebikompe ebiraga obuwanguzi bw’obuwereza bwo.”

Era ffenna ne tuleekaanira waggulu nti

“Ekyo tukimanyi! Tuwummudde n’obukakafu.” Baagamba, “Olitwanjula gy’Ali, era olwo tujja kuddayo ku nsi nate, okubeera abalamu emirembe n’emirembe.”

Ani Omugole wa Kristo gwe yaleekana n’agamba nti y’ali twanjula eri Katonda? Nabbi wa Katonda OLW’OBUWEREZA BWE. Oyinza otya obutayagala kuzannya ntambi zino mu kkanisa yo?

Bubaka buno bwokka, entambi zino, ze ziyinza okuleeta ekkanisa mu kutabagana kuti ne Katonda, okutuusa ng’okulabisibwa kw’Omugole Omusajja kulabisiddwa muffe. Mmanya ntya okubagamba nti “musigale n’Entambi,” nnaddayo ku ndagiriro nnakabala okulaba nnabbi kyeyagamba.

Nsuubira nti obwongo obw’omwoyo busobola okibaka. Nkakasa mukikola. Naye nneewunya, eyo wabweru. Mu ngeri yonna, oyinza okukyalira amawanga gonna. Osobola okusindikayo entambi. Katonda ajja kuba n’engeri emu ey’okukwatamu obwongo obwo eyo wabweru ensigo gy’esigibwa. Kituufu. Mangu ddala ng’omusana gugyakidde, eba egenze, efuna obulamu. Nga omukazi oli eyali ku luzzi, yagamba, “Kikyo awo.” Yakifuna.

Eri ffe mubissi mu lwazi, ssanyu eritoogerekeka, bwe bukakafu obw’omukisa, y’ennanga y’emmeeme, ly’essuubi lyaffe era ekitusigazaawo, lwe lwazi olw’edda, kiri byonna.

Obwongo bwaffe obw’omwoyo buggiddwako ettosi. Tumanyi ddala kiki ky’Ali. Tumanyi ddala kiki kyetuli. Tumanyi ddala wa gye tugenda. Tumanyi oyo gwetwakkiririzaamu era tuli bamativu nti ayinza okukuuma ekyo kyetumuteresezza okutuusa ku lunaku luli.

Olwo Katonda bw’aba atubikkulidde nti tuli bakiise be, amaanyi gonna agali mu ggulu, kyonna Katonda ky’Ali, ba Malayika be bonna n’amaanyi ge gonna gayimirira emabega w’ebigambo byaffe, kubanga yagamba, “Buli kye munaasiba ku nsi, ekyo kye nnaakisiba mu ggulu. Buli kye munaasumulula ku nsi, ekyo kye naasumulula mu ggulu. Era mbawa ebisumuluzo by’Obwakabaka.”

Kiseera kya kudda ka. Okuva kuli kumpi. Katonda atulaga ani y’ani. Omugole wa Yesu Kristo, ajja kujjibwayo, ayingizibwe mu Nsi eyasuubizibwa.

Mu kuva kwe okwasooka, yabajja mu nsi eyookunsi, n’abayingiza mu nsi eyookunsi. Okuva okwokubiri, Yabajja mu mbeera ey’omwoyo, okubayingiza mu kubatiza kw’Omwoyo Omutukuvu. Kaakano atujja mu kubatizibwa kw’Omwoyo Omutukuvu, okutuzzaayo mu butaggwaawo, ng’Akozesa Empagi y’Omuliro y’emu, ng’Akozesa enkola y’emu enfukeko amafuta, Katonda y’omu nga akola ebintu byebimu!

Embuyaga kazikunte. Leka mbeera y’obudde ejjudde embuyaga, okumyansa kw’eggulu n’okubwatuka bikankane, tukuumiddwa bulungi okuva eri ekabi luberera. Tuwummulidde wali wennyini ku buli Kigambo.

Jjangu otwegatteko Ssande eno ku ssaawa 8:00 ez’akawungeezi, mu budde bwe Jeffersonville, (z’essaawa 3:00 (ssatu) ez’ekiro e Uganda), era owummulire ku buli Kigambo kyonna Katonda kyeyagamba kulw’olunaku lwaffe. Wetegekere okujjakwe okusembedde era owulire: Okuva Okw’okusatu 63-0630M.

Birangiddwa ow’oluganda Joseph Branham.

Ebyawandiikibwa by’okusoma ng’okuwulira Obubaka tekunnaba:

Okuva  3 :1 – 12

Oluberyeberye essuula 37 yonna

Oluberyeberye essuula 43 yonna