21-0801 Akakasa Ekigambo Kye

Obubaka: 65-0426 Akakasa Ekigambo Kye

Empungu zikuŋŋaanira awamu

Abaana abato abaagalwa bwemutyo abayinza okuyiga,

Nga mbeera ya mu ggulu gye tutuddemu ku Ssande nga omugole wa Kristo akuŋŋaanidde awamu mu kubeerawo kw’Omwoyo Omutukuvu. Tulinga abakiwulira nga afuula emibiri gyaffe egifa emiramu.

Tewali kufukibwako mafuta kusingako, yadde embeera eberwamu esingako, ku mbeera eyo mw’onyigira zannya n’owulira eddobooza lya Katonda nga lyogera nawe. Katonda aterezezza n’azza mu kifo amatu gaffe okuwulira n’okukkiriza buli Kigambo, kubanga ssi kirala okujjako El, Elah, Elohim, oyo Eyeebeezawo Yekka, Omuyinza Wa Byonna, kirimaanyi Omu, ng’ayogera eri buli omu kuffe era nga atubikkulira nti tuli batabani be era bawala be abalabisiddwa.

Nga kyali kya maanyi nnyo ng’ensigo ya Katonda eyayawulibwa edda, okuva wonna mu nsi, nga bassa emikono gyabwe emitukuvu buli omu ku munne. Amaka gaffe n’amakanisa gaffe gajjuzibwa okubeerawo kw’Omwoyo Omutukuvu. Okukkiriza kwaffe kwali kuzimbiddwa, kubanga twali tumanyi ani yali ayogera naffe. Olwo yatugamba amaanyi ago agafuula ekintu okuba ekiramu gaali mu ffe. Twakkiriza n’emitima gyaffe gyonna n’emmeeme zaffe, kubanga bwatyo bwe Yayogera.

Olwo n’atugamba okugamba, “Mukama Katonda, Nzikiriza n’omutima gwange gwonna.” Twaddamu buli kigambo okuva ku ntobo z’emitima gyaffe. Yagamba, “Obulwadde tebusobola kuyimirira mu kibiina nga kino.” Omwoyo gwaffe gwasanyuka nga bwe tuwulira Ebigambo bino, kubanga twali tumanyi kiki ekyali kigenda mu maaso.

Yagamba, “Buli omu ayagala Omwoyo Omutukuvu, wanika emikono gyo, BULI WAMU W’OLI. abaKyagala …Ddala nzikiriza nti Katonda ajja kujjuza buli omu kummwe, Kati kati, n’Omwoyo Omutukuvu.”
Ddala mu kaseera ako, twajjuzibwa, ne tujjuzibwa nate, n’Omwoyo we Omutukuvu, Eddoboozi lya Katonda lyali lyakamala okukyogera.

Olwo eri abo abaali beetaaga okuwonyezebwa mu mibiri gyabwe, Yagamba, “Mbalagira, mu Linnya lya Yesu Kristo, okuyimirira ku bigere byammwa era musembeze okuwonyezebwa kw’emibiri gyammwe.” Mu kaseera ako kennyini, buli mukkiriza, okuva wonna mu nsi, eyalina okukkiriza era ng’akkiriza, YAWONYEZEBWA.

Kino kyabaawo wa? Mu kabiina akamu akatono ak’abantu abakuŋŋaanidde awamu? Nedda, kyali kuva mu WONNA MU NSI omugole bweyali nga atuula awamu mu bifo eby’omu Ggulu ng’awuliriza Eddoboozi lya Katonda ery’olunaku lwaffe.

TEKISOBOKA omuntu yenna, oba ekibiina ky’abantu, okugatta Omugole mu ngeri etyo. Mwoyo Mutukuvu yekka y’ayinza okukikola ng’akozesa okwogera okuyita mu muwereza we ateereddwao ku lw’olunaku. Obubaka buno buli BWATYO BW’YOGERA MUKAMA. Tekiriiko kwewuunya, tekiriiko kukubaganya birowoozo, Katonda ataddewo kino ly’ekkubo Lye eriteereddwawo olw’olunaku lwa leero.

Nga kiwummulo n’emirembe bye tulina. Tewali we kitwetaagisiza kweraliikirira oba okubuuza ekyo ekiri okwogerwa gyetuli. Tewali we kitwetaagisiza kuddayo ku Kigambo kukikebera, kubanga tuwuliriza Ekigambo kya Katonda Ekikakasibbwa ku lw’olunaku lwaffe. Twetuulira bwetuulizi mabega, ne tuggula emitima gyaffe, okutegeera kwaffe n’emmeeme zaffe, era tugambe AMIINA, AMIINA, AMIINA.

Nedda, tetusaanidde. Nedda, tetutegeera buli kimu. Naye TUKKIRIZA buli Kigambo. Yagamba ako kekaali akabonero akannamaddala akalaga nti olina Omwoyo Omutukuvu, era Mugole We yekka yajja okukkiriza era asigale na buli Kigambo. FFE MUGOLE OYO….Alleluia!.

Kiyitira waggulu ddala w’ab’ekitalo, abeeyita abalowooza ennyo, n’akibikkulira abaana abato bwebatyo abayinza okuyiga.

Ndi musanyufu nnyo nti ndi mwana omuto bwentyo nnyinza okuyiga.

Akakasizza okuyita mu byaasa kiki kye Yali mu buli mulembe. Yakikakasa ng’ayita mu bannabbi be. Yakikakasa bweyajja mu mubiri, n’atwala ebyoonoono byaffe nakubibwamu emisumaali ku musaalaba, olwo n’azuukira nate n’atuma Omwoyo Omutukuvu okukomawo.

Kaakati akikakasizza mu mulembe gwaffe ng’ayita mu kukomawo n’okwebikkulira mu mubiri g’omuntu omulundi gumu nate nga bwe yasuubiza mu Kigambo Kye nti bwalikola. Yeekakasa okubeera Omwana w’omuntu, obuweereza bwa Yesu Kristo mwennyini, nga abikkiddwa mu mubiri g’omuntu.

Era kati, essuula Ye eyaakamalirizo, ensonga yennyini ey’enteekateeka eno ey’ekitalo, okutujjira, Omugole we azziddwawo mu bujjuvu, era akakasiddwa, asigadde n’Ekigambo.

Wandyagadde okubeera ku lusozi olunaku olwo Yesu we yayogerera ne 5000? Wandyagadde okumulaba ng’akakasa eri ensi kiki kye Yali ng’agabirira emigaati n’ebyennyanja? Wandyagadde okuba ng’otudde wansi w’amafuta ago, ng’owulira buwulizi ddoboozi Lye nga libudabuda omutima gwo n’Ebigambo bye eby’Obulamu Obutaggwawo?

Osobola, bw’oba nga okkiriza Obubaka buno n’omutima gwo gwonna.

Jjangu otuule wansi w’amafuta ago ku lusozi wamu naffe Ssande eno ku ssaawa 8:00 ez’akawungeezi, mu budde bwe Jeffersonville. (Z’essaawa 3:00 (ssatu) ez’ekiro e Uganda), era owulire Katonda nga akakasa ensi kiki ky’Ali mu lunaku lwaffe. Lukka 17:30 ng’ayogera gy’oli era ng’akutegeeza B-R-A-N-H-A-M ly’Eddoboozi lyange gy’oli Erikakasibbwa era Eddonde. Jjangu omuwulire nga: Akakasa Ekigambo Kye 65-0426.

Ow’oluganda. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’okusoma:

Omutukuvu Matayo 11:4-19 / 28:20
Omutukuvu Makko 11:22-26
Omutukuvu Lukka 8: 40-56 / 17:30
Omutukuvu Yokaana 14:12
Abaebbulaniya 4:12-15 / 13:8
Malaki 4