21-0808 Katonda Akyusa Endowooza Ye?

Nsango: 65-0427 Katonda Akyusa Endowooza Ye?

BranhamTabernacle.org

BA MPONGO BAZALI KOYANGANA

Omugole w’Okwagala Okutuukiridde omwagalwa,

Ai Katonda omwagalwa, tetwagala kwagalakwo okw’ekyerekerezo , Kitaffe. Ka tutambulire mu kwagalakwo okutuukiridde. Katu—tetumala gajja Kigambo wano na wali, ne tukireetera okuja mu kikwate ekimu oba ekiyiiye, oba ekintu ekimu. Leka tutwale Ekigambo nga bwekiri, nga tukkiriza Enjiri enzijuvu, byonna Yesu byeyatuyigiriza ffe okukola.

Okwo kwekuyaayaana kwaffe okusinga obukulu era okuviira wansi ddala ku ntobo z’emitima gyaffe, okubeera mu kwagala kwa Katonda okutuukiridde. Tetukyetaagirako ddala okumunyiiza, naye okumusanyusa mu byonna byetwogera ne byetukola. Twagala okubeera batabani be ne bawala be abatongozeddwa era abalabisiddwa.

Tukizuula wa engeri y’okubeeramu mu kwagala kwe okutuukiridde ne tumusanyusa? Tuteekwa okugenda eri Ekigambo Kye, kubanga tumanyi Ekigambo Kye ge mazima n’obulamu. Ekigambo kye bulijjo kiba kyekimu, enteekateeka ye bulijjo eba y’emu, kubanga tayinza kujjulukuka.

Ekigambo kitugamba, engeri gyeyakolamu ebintu omulundi ogwasooka, bulijjo alibikola mu ngeri y’emu. Lubeerera ateekwa kusigala nga y’omu. Ekigendererwa kye bulijjo kibadde nga kyekimu. Ebikolwa bye bibadde nga bye bimu. Engeri gy’Akolamu ebintu, engeri gy’Awonyamu abantu, engeri gy’Akulemberamu abantu be, bulijjo Alisigala nga y’omu.    

Baibuli etugamba mu Kigambo Kye ekitakyuka nti Ekigambo kya Katonda kijja eri bannabbi be bokka. Tekiribaawo nti akibikkulira bakulu ba kkanisa oba omuyigirize mu by’okusoma Katonda, eri ba nnabbi be bokka. N’okugamba yagamba nti taliiko kye yakola okutuusa nga asoose kukilaga bannabbi be.

Omuntu bulijjo ayagadde ekibiina ekikoleddwa abantu, akabondo k’abantu abamu okubakulembera. Naye tekibangako bwekityo nti eyo y’enkola ya Katonda, Bulijjo yatuma omukulembeze omuyiteyo mu ngeri ey’omwoyo , nnabbi omwawule n’Ekigambo okukulembera abantu be. Nnabbi oyo yalabisibwa era yalondebwa okubeera omukulembeze waabwe ow’essaawa eyo.

Katonda yalonda era n’ateeka mu bifo abakulembeze abalala abaawule bangi nga bajjuziddwa n’Omwoyo Omutukuvu; era balina ebifo byabwe,naye Yalabula abakulembeze abo, “mwekuume okuva eri Empagi y’Omuliro eyo.” Empagi y’Omuliro eyo ekolaki…EKULEMBERA ABANTU EKIRO N’EMISANA.

Olwo Ekigambo ne kitugamba, “Nga bwekyali mu nnaku za Sodoma, bwekityo bwekiriba Omwana w’Omuntu nga abikkulibwa.”  Okusiinzira ku Kigambo Kye mu Malaki 4, n’Ebyawandiikibwa bingi, Ye waakukomawo mu Kkanisa ye mu ngeri ekwatikako; mu bantu, mu bitonde eby’olulyo lw’abantu, mu ngeri y’okubeera nnabbi.

Nnabbi ono tulimumanya tutya? Alikakasa kiki ky’ali ng’akozesa Ekigambo. Alimanya ebyama ddala eby’omutima. Alibikkula Ekigambo kyonna eri abantu. Alikakasibwa Empagi y’omuliro okukulembera Omugole. Katonda n’okuba alyekubisa ekifaananyi ne nnabbi We.

Abamu balibeera nga Yokaana ku kazinga Patumo bagezeeko okumusinza, naye aligamba, “Tunula ekyo obutakikola, kubanga ndi muddu munno, era omu ku ba nnabbi, sinza Katonda.” Omugole alikimanya obutamusinza, omuntu, wabula okusinza Katonda MU MUNTU OYO.

Alikimanya nti ye ye Katonda gw’alonze okwogera Ebigambo eby’obwannantakolansobi. Alikimanya nti ye yeyali omubaka malayika ow’omusanvu eyalondebwa Katonda. Ensi eriraba era n’ewulira Eddoboozi lya Katonda nga lyogera okuyita mu ye era eriraba Adamu asoose okuzzibwawo mu bulamba.

Alikulembera omugole ng’akozesa Empagi y’Omuliro. Aliba afuna obubaka bwe obufunika era obutegeerekeka ng’abujja eri Logos era ng’abuwa Omugole mu lugendo lwabwe okugenda mu nsi ensubize. Omugole aliba n’Okubikkulirwa era amanye nti ono ye mubaka wa Katonda ateereddwawo. Lino ly’ekkubo lya Katonda eriteereddwawo. Kuno kwe kwagala kwa Katonda okutuukiridde.

Jjangu otwegatteko Ssande ku ssaawa 8:00 ez’akawungeezi, mu budde bwe Jeffersonville. (Z’essaawa 3:00 (ssatu) ez’ekiro e Uganda), era owulire: Katonda Akyusa Endowooza Ye? 65-0427.

Owol. Joseph Branham

Okubala 22:31