23-0917 Okuyimirira mu Muwaatwa

Obubaka: ###

BranhamTabernacle.org

Abalonde Abaagalwa,

Mukama waffe Yesu Atwagala nnyo, okutuusa nti kyaMusanyusa okutusindikira nnabbi mu kiseera kyaffe. Oyo gweYalinamu obwesige kikumi ku kikumi. Oyo gwe yali asobola okujja n’abeeramu, bw’Atyo asobole okwebikkula ng’Ayita mu mubiri ogwo ogw’omuntu ow’okunsi okuyitayo Omugole We.

Nabbi we yatwagala nnyo okutuusa nga yakola ekisuubizo, gye tuli, ne eri Katonda, nti Obubaka bwonna obupya bwa kujja nga buva mu weema eno entono. Yali wa kubukwatanga ku lutambi, abutereke, bw’atyo Omugole wa Katonda asobole okuba n’Emmere ey’Omwoyo ey’okulyanga ku lujjuliro, ne bw’aliba nga takyaliwo.

Katonda yayagala nnyo nnabbi malayika, Yayamba nnabbi we okukuuma ekigambo kye gye tuli.

Katonda nga Amaze okwogera ng’Ayita mu malayika we ow’amaanyi era n’Abikkula mu bujjuvu n’okuvvuunula n’avvuunula Baibuli yonna gyetuli, olwo Yasabuukulula entikko y’Olwazi luli oluli mu kikula kya piramidi, olwali teruwandiikiddwako wadde, n’Alubikkulira malayika we, bw’atyo asobole okutuwa ebyama bye byonna ebikusike, ffe Omugole we.

Katonda yatuuka n’okuwa Ow’oluganda Roberson okwolesebwa, gye yalaba Empagi y’Omuliro ng’esitula nnabbi we n’emutwala e Bugwanjuba, olwo n’emukomyawo n’amuteeka waggulu ku Emmeeza awo ngai akyusiddwa.

Awo Omwoyo Omutukuvu n’ayogera n’amugamba nti, “Ono ye muweereza wange. Era mmuyise abeere nnabbi eri omulembe, okukulembera abantu era ddala nga Musa bwe yakola. Aweereddwa obuyinza okwogera ekintu ekitaliiwo ne kibeerawo.”

Okuyitibwa kwa Musa kwali ki? Kiki kye yali alina okukola? Katonda yali alagidde Musa okukulembera abantu okutuuka mu nsi ensuubize. Wabula waasituka abasajja abaali basazeewo nti bagenda kuyingirira okutumibwa Katonda kwe yali awadde Musa, nga bagamba nti, “Ggwe weeyitiriza okole ebisukka ku by’olina okukola. Ogezaako okwefuula nti ggwe wekka mu kibiina gw’alina eky’okwogera.”

Ekikolwa kino kyanyiiza nnyo Katonda okutuusa lwe yagamba Musa nti, “Mweyawule okubavaamu. Nja kutta bussi ekibinja kyonna, era ntandikewo omulembe omupya nga nsookera ku mmwe.” Era Musa n’agwa mu Maaso ga Katonda n’agamba nti Yalina kukigezeseza ku ye.

Katonda singa Abadde wa kusanyawo bantu mu kiseera kyaffe, ani yandiyimiriddewo nga Musa ku lw’abantu? Twandimujje wa eyandiyimiridde, oba eyandisobodde okuyimirira, oyo Katonda gwe yandikkirizza nga bwe yakkiriza Musa?

Waliwo obulamu bw’omuntu omu yekka ku nsi obutegeeza ekinene nnyo eri Katonda okusobola okumuleetera okukwatiriramu ku busungu bwe, oyo ye malayika we ow’ekitalo omusanvu.

Katonda bulijjo abadde n’enteekateeka. Omugole we ajja kutegeera enteekateeka eyo era ajja kusigala nayo Kigambo ku Kigambo.

Bakimanyi nti balina okusigala n’Eddoboozi eryo Katonda lye yalonda okubakulembera okutuuka mu Nsi Ensuubize.

Katonda yayogera ng’Ayita mu nnabbi we era n’Alekawo omwagaanya munene omuntu okugenda mu makubo ery’enjawulo, era nga Nuuwa bwe yakola mu Lyato ku jjiba ne namuŋŋoona. Naye nga ejjiba eryaddangayo bulijjo mu Lyato, Omugole bulijjo ajja kuddayo ku Bubaka, Eddoboozi eryo, THE TAPES.

Nabbi w’olunaku lwaffe yali ani? Wabaddewo bannabbi ab’amaanyi emabegako Katonda be yayita n’atuma okukulembera abantu be mu mirembe gyonna: Ibulayimu, Musa, Eriya, Erisa, naye tewali n’omu ku bo yali nga nnabbi ow’amaanyi ow’omulembe gwaffe. Yayitibwa okukolera mu office eya waggulu-ko ennyo okusinga bonna. Ye yali oyo Katonda gwe yalonda okubikkulira ebyama bye byonna. Ye yali oyo Katonda gwe yalonda okwogera ekigambo ekintu ekitabaddewo ne kibaawo. Ye yalondebwa okubikkula Okusika okw’okusatu. Ye yali oyo Katonda gwe yalonda okukulembera Omugole we.

Nga tuli bantu ba mukisa, Omugole Katonda gwe yalonda. Tuyinza tutya okuggwamu amaanyi? Tuyinza tutya okuba abanakuwavu? Sitaani agezaako okutumalamu amaanyi, naye tulina obuwanguzi, tuyingiziddwa munda n’envumbo n’essibwako, nga tutebenkedde mu Lyato. Enzigi ziggaddwa. Tewali kiyinza kutukola bulabe. Ffe Adamu we eyazzibwawo.

Ajja okutucima, Omugole we omulonde. Waliwo abamu ku ffe abatajja kulega ku kufa, wabula tulikyusibwa mangu ago, nga kutemya kikowe. EKITIIBWA!!

Nga buli omu ku mmwe, nange nsanyuse nnyo, nga buli lunaku, Ekigambo kye, Okubikkulirwa kwange kwe yampa, bwe kweyongera obunene. Ndi wansi w’okusuubirwa okunene. Bwaba tajja leero, mpozzi enkya, naye nkimanyi nti ajja mangu nnyo era ajja KUCIMA NZE NAAWE.

Jjangu twegatteko ku Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu eky’omukawungeezi e Uganda, nga tuwulira Emmere ebadde eterekeddwa mu kifo ekimu ekitono nga bwe tutunuulira era nga tuwulira: Okuyimirira mu Muwaatwa 63-0623M. Tujja kutandikira Obubaka ku katundu nnamba 27.

Owol. Joseph Branham

Okubala 16:3-4