Nsango: 64-0614M Omuntu Atategeerekeka
- 25-1109 Omuntu Atategeerekeka
- 24-0225 Omuntu Atategeerekeka
- 22-0807 Omuntu Atategeerekeka
- 21-0523 Omuntu Atategeerekeka
- 16-1130 Omuntu Atategeerekeka
Katonda Alina Olususu Abaagalwa,
Tetukyali mabega wa lutimbe, Abato, Katonda azze mu maaso gaffe mu bujjuvu. Katonda ow’amaanyi ow’eggulu n’ensi, Eyeebikkanga bulijjo okuva eri abantu mu ngeri y’Empagi y’omuliro eyava eri Katonda n’Abeera mu mubiri ogw’oku nsi ogwayitibwa Yesu; oluvannyuma n’Addayo mu ngeri y’Empagi y’omuliro mweYava n’Alabikira Pawulo mu luguudo olugenda e Ddamasiko, kati Akomyewo nate nga tuMulaba mu bujjuvu era n’Addamu okubeera mu mubiri gw’omuntu mu malayika we Omubaka, William Marrion Branham, ng’Akoowoola Omugole wE okujja gy’Ali.
Katonda Yateeka malayika wE ku nsi Yeekiikirire ng’omubaka (ambasada) we gweYalonda okugenda ayingire mu nsi esukkulumye ku maanyi ag’obutonde. Ayawula n’aggyayo ebintu endowooza ey’obutonde by’etasobola kutegeera. Yatumibwa okufulumya ekyama kya Katonda n’okulagula ebintu ebiriwo, n’ebintu ebibaddewo, n’ebintu ebigenda okubaawo. Ye Ddoboozi lya Katonda eri Omugole.
Kye ki? Katonda, Katonda emabega w’ensusu, olususu lw’omuntu ow’oku nsi. Ekyo kituufu ddala.
Abanoonyereza ensobi bangi ennaku zino tebasobola kututegeera ffe abakkiriza abannamaddala abatuufu. Eri bo, tufuuse ba katwe-wungu. Bagamba nti tuli bantu abakkiririza mu bulamba bwa Katonda obulala era tusinza nabbi…
Omunoonyereza w’ensobi, ennaku ntono emabega, yaŋŋamba, emmanga mu Tucson. N’agamba nti, “Omanyi, abantu abamu bakufuula katwe-wungu, ate abalala ne bakufuula katonda omutono.”
Nnagamba nti, “Kale, ekyo kirina engeri gye kigendamu mu maaso obulungi.” Nnakimanya nti yali agezaako kunnoonyamu nsobi. Olaba? Yagamba nti, “Abantu balowooza nti oli katonda omutono.”
Nga bwe kyali nga Yesu ali wano ku nsi, bwekiri ne leero eri nnabbi wE. Abantu tebali mabega w’olutimbe; bazibiddwa amaaso obutalaba mazima. Tetwagala kirala okuggyako ekkubo lya Katonda lyeYateekawo kulw’olwaleero: Ye kennyini nga Abikkiddwa mu mubiri, Eddoboozi lya Katonda eryakwatibwa ku lutambi era ne Literekebwa kulw’Omugole.
Katonda bwe Yalabisibwa mu nsi, Yali Yeekwese emabega w’olutimbe; emabega w’olususu lw’Omusajja ayitibwa Yesu. Yali abikkiddwako ekibikkako era nga Yeekwese emabega w’olususu lw’omuntu ayitibwa Musa, era baali bakatonda abatono, so si BaKatonda abalala; naye baali Katonda, Katonda oyo omu, nga Akyusa bukyusa kakookolo kE, nga bakola ekintu kye kimu buli mulundi, nga baleeta Ekigambo kino. Katonda bw’Atyo bweYakikola.
Tusaliddwamu enjola z’Ekigambo, Obubaka bw’ekiseera. Kati kitufudde Ekigambo ekibikkiddwa emabega w’omubiri gw’omuntu ow’oku nsi. Omugole omukazi n’Omugole omusajja bali omu. Katonda ali omu, era Ekigambo ye Katonda! Tusaliddwamu enjola nga Ekigambo ky’ekitwola.
Eky’ennaku, okwawukana wakati mu bakkiriza leero kwe kuba nti bawulira nti tusukkulumya nnyo nnabbi wa Katonda eyakakasibwa obutalekaawo kabuuza. Okukontana n’ekyo, bo be baagala okussa obukulembeze obwo ku basumba baabwe.
Katonda takyusa nteekateeka Ye; Atuma OMUSAJJA OMU okukulembera Omugole wE. Ye Mwoyo wE Omutukuvu mu buli omu ku ffe, ng’Atukulembera nga akozesa Empagi Y’OMULIRO.
Ekigambo kijja eri omu. Mu buli mulembe, kye kimu, ne mu mirembe gy’ekkanisa, okuva ku mulembe ogusooka okutuuka ku gusembayo. Abalala balina ebifo byabwe, ekyo kituufu, weetegereze, naye mubeere wala n’Empagi eyo ey’Omuliro. Olaba?
NAYE LEERO TUWULIRA KI…EKINTU KYEKIMU.
Ojjukira Dasani ne banne bye baayogera ebweru eri? Ne bagamba nti, “Kaakano, Musa, lindamu wano eddakiika emu yokka! Ggwe weeyitiriza ekisusse, laba. Kati, waliwo abasajja abalala wano Katonda be Yayita.”
Tetuwakanya buweereza; Katonda abayise, wabula ab’oluganda ne bannyinaze, omusumba wammwe bw’aba tateeka Eddoboozi lya Katonda lyennyini ng’Eddoboozi erisinga obukulu ly’oteekwa okuwulira nga ayita mu kuzannya entambi mu kkanisa yammwe, aba takukulemberera mu kkubo lya Katonda lye Yateekawo.
Ekyo kituufu. Bano, buli omu, baali bagoberera awatali buzibu nga bwe beeyongerayo, naye omu ku bo bwe yagezaako okulinnya waggulu atwale ekifo kya Katonda kye Yawa Musa, oyo eyateekerwateekerwa era eyayawulibwa mu ntandikwa olw’omulimu ogwo, n’agezaako okutwala ekifo ekyo, omuliro gwakka ne gwasamya ensi n’ebamira ne babulirayo ddala mu yo. Olaba? Olaba? Beera mwegendereza. Olaba?
Ffenna tuteekwa okusalibwamu enjola z’Ekigambo ekyo ekyayogerwa ne kiteekebwa ku ntambi. Ekyo ye Abusoluuti wa Katonda. Ekyo kye Kigambo kyokka Omugole ky’ayinza okukkaanyaako. Obuweereza tebulisobola kugatta Mugole, Eddoboozi lya Katonda lyokka ku ntambi.
Siyinza kukola kintu kyonna awatali mmwe; temuyinza kukola kintu kyonna awatali nze ; era temuyinza kukola kintu kyonna awatali Katonda. Kale, awamu kikola omugatte, ennyungagana. Katonda Yantuma olw’ekigendererwa ekyo; mukikkiriza; era awo ne kibeerawo. Ky’ekyo kyokka, laba, kikakasiddwa butuukirivu ddala.
Nga bikwataganira wamu WOKKA webisobola okukola EKIMU, ennyungagana. Katonda Yatuma William Marrion Branham olw’ekigendererwa ekyo. Olwo, bw’oba oKikkiriza, y’embeera yokka enaaKisobozesa okubaawo; nga kikasiddwa butuukirivu ddala.
Si nze ayogera ekyo ab’oluganda ne bannyinaze. KATONDA Y’AKYOGERA EKYO NGA AYITA MU NABBI WE. Toganya musajja yenna kukugamba bya njawulo oba okugezaako okukunnyonnyola mu ngeri ey’enjawulo. EDDOBOOZI LYA KATONDA LYOKKA KU NTAMBI LYE LIJJA OKUGATTA N’OKUTUUKIRIZA OMUGOLE. ENGERI ENDALA YONNA, TOJJA KUBA MUGOLE.
Kale ndowooza nti abasingira ddala obungi ku ffe abakulu tulowooza ekintu kye kimu. Katonda, ng’Aliko olususu! Katonda, ng’Aliko olususu! Kiyinza okuwulikika ng’eky’obwa katwe-wungu, eri ensi, naye kiwalulira abantu bonna gy’ali.
Owulira bye yaakagamba? Katonda ng’Aliko olususu awalula abantu bonna gy’ali.
Ensi nga ensalwamu enjola z’ebyobwa katwe-wungu, ffe tuli mu kusalibwamu enjola ezitunyoola okutuyingiza Eddoboozi lya Katonda era tuyitibwa Omugole. Zituggya mu kavuyo kano, nga zituzza mu Maaso ga Katonda. Ffe tuli nnatti za Katonda ezisaliddwamu enjola z’Ekigambo kya Katonda.
Jjangu osalibwemu enjola ezikusibira mu Ddoboozi lya Katonda wamu naffe Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), nga bwe Liwalula abantu bonna okubaleeta gy’Ali.
Owol. Joseph Branham
Obubaka: Omuntu Atategeerekeka. 64-0614E
Ebyawandiikibwa: I Abakkolinso 1:18-25. / II Abakkolinso 12:11