22-1009 Ebibuuzo N’Eby’okuddamu #2

Omuwala Omulongoofu Afumbiziddwa Abaagalwa,

Katonda atwagala nnyo ne kiba nti yaleetera nnabbi we okuddamu ebibuuzo byaffe BYONNA, era n’ateeka eby’okuddamu ku lutambi. Bwe tuba tukyetaaga, kye tulina okukola kyokka kwe KUKKIRIZA NE TUNYIGA ZANNYA.

Nnina Omwoyo Omutukuvu?

Obukakafu bw’Omwoyo Omutukuvu, Katonda bw’akubikkulira n’okiraba, BW’ATI BW’AYOGERA MUKAMA era n’okikkiriza.

Awo nkirina Mukama, nga bw’ombikkulidde Obubaka buno era mbukkirizza nga Bw’atyo bw’Ayogera Mukama!

Naye, kirabika nnemererwa nnyo…era ate eby’emabega byange byo?

Ensonga teri ekyo ky’oli, kye wali, oba ekintu kyonna ku ekyo, eri ekyo Katonda ky’akukoledde kati. Obujulizi bw’obwo.

Mukama, Tolaba by’emabega byange era n’okulaba tolaba wadde ensobi zange ennyingi ennyo kati, Owulira buwulizi ddoboozi lyange; Ekitiibwa Mukama, NINA OMWOYO OMUTUKUVU.

Ow’oluganda Branham, nkimanyi nti wagamba si ggwe kayinja kokka ku bbiici, naye ani anaabeera ng’alagirira Omugole wa Kristo mu kiseera eky’enkomerero?

Nga nyambibwako Katonda, nzikiriza nti nze ndagirira Omugole wa Yesu Kristo.

Nnina ebintu bingi ku mutima gwange, nkole ntya?

Mpaawo kirala kikulu kati wabula okugatta abaana ba Katonda bonna n’obagamba nti, “Tugende.”

Webale Mukama, ekyo kyennyini kye tukola. Tewali kirala kikola makulu gyetuli okuggyako Ekigambo kyo. Omwoyo wo Omutukuvu atulungamya ng’Akozesa nnabbi Wo era tukuŋŋaana okwetooloola Ekigambo kyo okuva mu nsi yonna, era tuli beetegefu okugenda.

Nnina ebibuuzo bingi, nneetaaga okulungamizibwa, obuyambi, n’eby’okuddamu. Ekyo nkiggya wa?

Ndi wano okugezaako okubayamba, kubanga mbaagala. Mmwe baana bange be nazaala eri Kristo. Mbabanjaayo buli omu ku mmwe. Nja kubabanjayo ekiro kya leero; Mwenna mbabanjayo ekiseera kyonna; Bulijjo mbabanjayo, era ekyo nga muganda wange ne mwannyinaze.

Naffe tukwagala nnyo Ow’oluganda Branham. Tukimanyi nti Katonda yakutuma okutulungamya n’okutulagirira. Tukikebedde n’Ekigambo era kikwataganira butereevu.

Kitange mu Njiri y’ani?

Muli baana bange; Nze—nze kitammwe mu Njiri, si taata nga bwe kyandibadde kabona, ndi—ndi kitammwe mu Njiri nga Pawulo bwe yagamba eyo.

Tukimanyi Omwoyo Omutukuvu akukulembera okutukulembera, Ow’oluganda Branham. Ogamba nga Pawulo bwe yagamba mu Baibuli, okugobererera ddala kye wayogedde, nga bwe kiri mazima, era tetuli ba kukyusa nnukuta emu newankubadde akatonnyeze akamu.

Kiki ky’olina okukola Ow’oluganda Branham?

Mbazadde eri Kristo, era kaakano, nze — mbafumbiza Kristo; mu ekyo mbanjula eri Kristo nga omuwala embeerera omulongoofu. Temunjiwa! Temunjiwa! Musigale nga muli muwala embeerera omulongoofu.

Otufumbizza Kristo nga embeerera eri Ekigambo kye. Tetusobola, era tetujja na kupepeya na mulala. Tukebera buli kye tuwulira ne kye tukola nga tuyita mu Kigambo Kyo ekiterekeddwa.

Ekintu ekisinga obukulu kye nsobola okukola okubeera Omugole We kye kiki, Ow’oluganda Branham?

Sigala butuufu n’Ekigambo.

Eby’okuddamu byonna eri ebibuuzo byaffe bisobola okufunzibwa mu bigambo bino:

SIGALA BUTUUFU N’EKIGAMBO.

Obubaka buno KYE Kigambo eky’olunaku lwaffe. Ow’oluganda Branham lye Eddoboozi lya Katonda eri olunaku lwaffe. Buli kimu kirina kusimba butereevu n’Ekigambo. Ekigambo tekyetaaga kuvvuunula. Bwe TUNYIGA ZANNYA, BYONNA BYETWETAAGA BIGABIRIRWA AWO, KU NTAMBI.

Olina ekintu ku mutima gwo kyewetaaga okufunira eky’okuddamu? Jjangu otwegatteko Ssande ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda), nga bwe tufuna eby’okuddamu byaffe byonna nga bwe tuwulira: 64-0823E – Ebibuuzo N’Eby’okuddamu #2.

Owol. Joseph Branham