Obubaka: 65-0718M Okugezaako Okuweereza Katonda Nga Katonda Si Bw’Ayagala
All posts by admin5
22-1231 Okumeggana
Obubaka: 62-1231 Okumeggana
Ekisibo Eky’okukyalo Abaagalwa,
Njagala tube n’Okusembera nate mu maka gaffe mu Kiro Ekikeesa Olusooka, Ddeesemba nga 31. Ebiragiro ku ngeri ey’okufunamu Omwenge, n’engeri ey’okufumbamu omugaati gw’okusembera osobola okubisanga mu mikutu gino wammanga. Omukutu gw’olutambi lw’eddoboozi olw’olukuŋŋaaana oluwanulibwa ku mutimbagano gujja kubateerwayo ku kibanja kyaffe. Oba, oyinza okuzannya olutambi lw’eddoboozi mu apu ya Lifeline.
Ku lw’ab’okukyalo e Jeffersonville, muyinza okukima Omwenge gw’Okusembera ku Lw’okutaano, Ddeesemba nga 30, okuva ku ssaawa 7:00 (musanvu) ez’omuttuntu – 10:00 (kkumi) ez’akawungeezi, wansi w’olusiisira lwa VGR.
Tujja kuwuliriza 62-1231 Okumeggana, okuva ku ssaawa 11:00 (kkumi n’emu) ez’akawungeezi EST ku Lw’omukaaga (z’essaawa 7 (musanvu) ogw’ekiro e Uganda), Ddeesemba nga 31. Ow’oluganda Branham nga amaze okuleeta Obubaka bw’Ekiro Ekikeesa Olusooka, tujja kuyimirizaamu ku lutambi tube n’eddakiika nga 10 ez’ennyimba ez’okusinza nga bwetwetegekera Ekyeggulo kya Mukama waffe. Tujja kugenda mu maaso n’olutambi awo ow’oluganda Branham w’atandikira olukuŋŋaana lw’Okusembera. Ku lutambi luno, alekayo ekitundu eky’okunaaza ebigere, kyetujja okukola nakyo.
Nga bwetuyingira mu mwaka omuggya mu kuMuweereza, leka tuddemu tuweeyo obulamu bwaffe bupya gy’Ali okuyita mu kusooka okuwulira Ekigambo, olwo ne tulyoka tulya ku Kyeggulo Kye. Nga mukisa gwa muwendo gwetulina nate okufuula amaka gaffe Awatukuvu okwaniriza Kabaka wa Bakabaka okuyingirawo Atweyungeko.
Katonda Abawe omukisa,
Ow’oluganda Joseph
22-1225 OKUKWATIBWA ENSONYI
Obubaka: 65-0711 OKUKWATIBWA ENSONYI
Omugole Lebbeeka Omwagalwa,
Taata atumye omuweereza we omwesigwa, Erieza, okuyiggayo Omugole we Lebbeeka. Tumutegedde, omubaka malayika we ow’omusanvu, William Marrion Branham, gwe yalagira: Okutuyita, Okutukuŋŋaanya, Okutukulembera era ku nkomerero ya byonna okutwanjula, gy’Ali.
Atugonnomoleddeko Amaanyi ge Agazuukiza era Atuleetedde okutegeera ekifo kyaffe, ekifo kyaffe, n’obuvunaanyizibwa bwaffe, nga bwe tuli abantu abayitibwa, abeeyawudde ku nsi, abeewaddeyo eri Katonda. Atuluŋŋamya era Atukulembera mu bintu bye tukola ne bye twogera, okuweesa Erinnya Lye ekitiibwa n’ettendo.
Tewali kintu kyonna, awantu wonna, ekiyinza okutwawula ku Ekyo, MPAAWO. Tukuumiddwa Butaggwawo mu Bwakabaka bwa Katonda. Kitaffe Atukubyeko sitampu ey’Envumbo Ye okutuusa ku nkomerero y’olugendo lwaffe.
Sitaani atukuba ebikonde emisana n’ekiro. Atugamba buli kimu, n’atulumiriza, n’agezaako okutulowoozesa nti si ffe Omugole oyo. Atukasukira buli kimu mu kkubo lyaffe okugezaako okutuwugula, ng’obulwadde n’ennaku, naye tetumuwuliriza. Amaanyi ago agazuukiza KATI gali mu ffe era tussiddwako akabonero ne twesigamizibwa ku Kigambo ekyo. Tubuuka okuva ku ŋŋamiya yaffe, nga tudduka gy’Ali mu lugendo lwaffe olututwala ku Kyeggulo kyaffe eky’Embaga makeke.
Tetuswala mu bye tukkiririzaamu; okwawukana ku ekyo, twagala ensi emanye, TULI BANTU BA NTAMBI ABAKKIRIZA BULI KIGAMBO EKYOGEDDWA NABBI WE ERIEZA Omwesigwa gwe yatuma okukoowoolayo n’okukulembera OMUGOLE WE LEBBEEKA. Tetwongerako oba okutoolako yadde Ekigambo KIMU. Obubaka buno ye Abusoluuti waffe.
Omusajja ajjudde Omwoyo Omutukuvu, ajjudde Amaanyi ga Katonda, n’okwagala kwa Katonda mu mutima gwe, ayinza atya okwogera n’omusajja omu eddakiika entono-tono n’atayogera kintu kyonna ku Bubaka bwe yaakawulira ku Lutambi?
Bw’osisinkana abantu abeeyita abakkiriza mu Bubaka buno obw’ekiseera eky’enkomerero, osobola okwogera nabo eddakiika entono-tono era osobola okumanyira ddala wa we bayimiridde ku kuzannya entambi. Bantu ba Ntambi oba si kye bali.
Tekilowoozeka nti bakitwala nga eky’obuswavu, oba ekikyamu, singa ogamba nti ozannya entambi mu kkanisa yo oba mu maka go. Bawulira nti kikontana n’Ekigambo so si Kkubo Katonda lye Yateekawo. Onyoomebwa lwa kubanga ogamba nti oli “Muntu wa Ntambi”.
Abaweereza abazannya entambi mu masinzizo gaabwe bavumirirwa, ne batuuka n’okubayita abagayaavu. Era bw’owuliriza olutambi lwe lumu mu kiseera kye kimu, kale, toba na muweereza, oba kibiina kya ddiini, oba asinza omuntu.
Ntebereza abantu abo bonna abaatusooka abaabeeranga ku mikutu gy’amasimu mu masinzizo gaabwe n’amaka gaabwe, nga bawuliriza Ow’oluganda Branham bonna mu kiseera kye kimu, nabo bateekwa okuba nga baali kibiina kya ddiini. Bateekwa okuba nga baali bavudde mu Pulogulaamu ya Katonda. Tebaakwatibwa nsonyi ERA NAFFE TETUKWATIBBWA NSONYI.
Mu ddakiika ntonotono ng’oyogera n’abantu, bajja kukutegeerezaawo mbagirawo wa we bayimiridde: Yee, tunyiga Zannya. Yee, tuwuliriza entambi ku Ssande mu kkanisa yaffe oba mu maka gaffe. Yee, olutambi lwe lumu, mu kiseera kye kimu.
Lwaki abalala bagamba nti, “Tugenda mu kkanisa ku Ssande ku makya, Ssande ekiro, ne ku Lwokusatu ekiro. Tulina omusumba ow’ekitalo bw’atyo; akitegeeza bulungi nnyo era mu ngeri etegeerekeka ennyo gye tuyinza okutegeera. Annyonnyola Obubaka nsobole Okubutegeera. Olina okuba n’obuweereza okubeera Omugole. Ow’oluganda Branham teyagambangako kuzannya ntambi mu kkanisa.”
Olwo kiki ky’ogamba nti kye kisinga obukulu? Ababuulizi kye boogera, Ow’oluganda Joseph ky’ayogera, oba Eddoboozi lya Katonda lyennyini kye ligamba ku Lutambi? Abusoluuti wo y’Ani? Ekiri ku Lutambi, oba omuntu omulala ky’ayogera?
Obuweereza bwa kitalo, era buli mu Kigambo. Tubwetaaga. Naye EKISINGA OBUKULU kye kiki, okubuulira oba Entambi?
Bwe kiba nti Entambi si kye kintu ekisinga obukulu mu bulamu bwo ng’omuntu, mu bulamu bwo obw’ekkanisa, olwo waliwo ekikyamu. Ovudde mu Pulogulaamu ya Katonda ey’Okwagala kwe Okutuukiridde. KOMAWO MU LAYINI.
Omuntu bw’asisinkana Katonda; si mu nneewulira ey’omubiri emu enkolerere, okucamuukirira okumu, oba enjigiriza emu ey’eby’enzikiriza, katekisimu oba ekikwate ekimu, oba ekiyiiye ky’akkirizza olwa- olw’okwebudaabuda, naye bw’atuukira ddala mu kifo nga Musa bwe yakola, emabega w’eddungu, n’atambula okwolekeganya obwenyi ne Katonda Omuyinza w’ebintu byonna, era n’olaba Eddoboozi eryo nga lyogera naawe, nga likwataganira ddala n’Ekigambo n’ekisuubizo ky’ekiseera, waliwo kye Likukola! Olaba, oba tokyalikwatibwa nsonyi, Lirina kye Likukola.
Mu lunaku lwaffe, olutimbe olwo olw’ennono luyuziddwamu wabiri. Yiino Empagi y’Omuliro Eyimiridde wano, ng’Eyoleka Ekigambo eky’olunaku luno. Obulamba bwa Katonda nga bubikkiddwa mu mubiri gw’omuntu. Ekitiibwa kya Katonda ekirabikako eky’olunaku lwaffe olwaleero. Katonda ng’Ayimiridde era ng’Ayogera mu maaso gaffe, ng’Abikkiddwa mu mubiri gw’omuntu.
Musa yalina Ekigambo. Kati jjukira, oluvannyuma lw’Ekigambo okwolesebwa, Musa yali Musa nate. Okiraba? Naye nga Ekigambo ekyo kikyamulimu nga kirinze okukifulumya, yali Katonda; kale, yali takyali Musa n’akatono. Yalina Ekigambo kya Mukama eky’omulembe ogwo.
Nga KRISTO-MAASI ya njawulo ffe ba Lebbeeka gye tunaaberamu ku Ssande eno. Olunaku lwonna, mu budde obw’enjawulo okuyita mu olunaku lwonna. Tujja kuba tuwulira Erieza waffe ng’Ayitayo Omugole we era tujja kuba tuMugamba nti Tetukwatibwa Nsonyi.
Mukama abawe Ssekukkulu ey’enjawulo, ejjudde “OKUBEERAWO KWE.”
Owol. Joseph Branham
Obubaka: 65-0711 Okukwatibwa Ensonyi
Ekyawandiikibwa: Makko Omutukuvu 8:34-38
Enteekateeka ya Ssekukkulu
Ab’oluganda abaagalwa,
Olw’okuba Ssekukkulu eriwo ku Ssande omwaka guno, mpulidde ku mutima gwange obutaba na kiseera kigere kye tuyinza okuwuliriramu Obubaka ku lunaku olwo. Amaka mangi galina abaana abato abacamuka ennyo okusabuukulula ebirabo byabwe ku makya ga Ssekukkulu, era kyandibadde kizibu nnyo gye bali okubakkakkanya okuwulira Obubaka oba okubalinza okutuusa obudde obw’edda-ko.
Era, naye, ku Ssekukkulu, mumanyi, abaana abato, toyinza kubagamba kintu kirala kyonna. Bo, bamanya bumanya, nti kiseera kya Ssekukkulu gye bali. Era tebayinza kwagala kuwanika bu sokisi bwabwe, wandibaawo obuzibu. Nnono, ne mu ggwanga lyaffe, nti bawanika ka sokisi, n’ekintu ekirala. Lwaki, nakikola, nga nkyali mwana muto, era — era newankubadde nga kkubo erikubiddwawo eriri ewala nnyo n’ebyawandiikibwa nga bwe liri. Kyokka, abaana bagira, bawulira abaana abalala nga bagamba nti, “Kale, nafunye kino ku lwa Ssekukkulu. Nakifunye kino.” Abato bayimirira ne beetooloola ekyo bambi, ne batunula, omanyi. Ggwe, tosobola kubaleetera kutegeera. Okiraba? Kale, bw’etyo kale, Ssekukkulu ya kubeerangawo bulijjo. Yee.
Era wayinza okubaawo abalala abyandiyagadde okuzuukuka nga bukyali ne bawulira Obubaka, anti balina enteekateeka n’abantu abalala ab’omu maka gaabwe edda-ko mu lunaku olwo. N’olwekyo nsazeewo buli maka galonde essaawa esinga okutuukagana n’enteekateeka yaabwe ey’okuwulira Obubaka. Tugenda kuweereza Obubaka ku Lifeline emirundi esatu egy’enjawulo ku lunaku lwa Ssekukkulu: Ssaawa 3:00 (ssatu) ez’okumakya. – Ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu. – ssaawa 11:00 (kkumi n’emu) ez’akawungeezi mu (z’essaawa 11: 00 (kkumi n’emu), 2:00 (bbiri) ez’akawungeezi, ne 7:00 (musanvu) ez’ekiro e Uganda).. Nsaba muleme kuwulira nti muteekwa okuwuliriza mu bumu ku budde buno, wabula londa ekiseera ekisinga obulungi eri ggwe oba ab’omu maka go. Ekisinga obukulu kwe ku, NYIGA ZANNYA.
Kiyinza okulabika ng’eky’okusesa, enkya ya leero, okwambala ekkooti yange ey’okungulu ku kadaala, naye nnabadde musanyufu nnyo —oku -okwolesa ekkooti eyo ey’okungulu ennungi ekkanisa eno gyeyampadde. Nalabye Ow’oluganda Neville waggulu wano jjuuzi, ng’ayambadde essuuti eyo ennungi, engeri gye yabadde emugyamu obulungi ennyo, era ne ndowooza, kaale, nze — nze…yalabise bulungi nnyo, era ekibiina nga kigyogerako, ne ndowooza nti, “Nja kumala gambala ekkooti yange ey’okungulu ku kadaala.” Ndi bubeezi…
Omanyi nzikiriza nti tetukula. Bulijjo…Era saagala kukula. Ekyo kiri kitya, Ow’oluganda Luther? Nedda, saagala kukula. Twagala tusigale nga tuli baana bato bulijjo.
Mukama abawe Oluwummula olunyuvu olujjudde Okubeerawo kwe.
Owol. Joseph Branham
22-1218 KATONDA WABAAWOKKO LW’AKYUSA ENDOWOOZA YE KU KIGAMBO KYE?
Obubaka: 65-0418E KATONDA WABAAWOKKO LW’AKYUSA ENDOWOOZA YE KU KIGAMBO KYE?
- 24-0707 KATONDA WABAAWOKKO LW’AKYUSA ENDOWOOZA YE KU KIGAMBO KYE?
- 22-1218 KATONDA WABAAWOKKO LW’AKYUSA ENDOWOOZA YE KU KIGAMBO KYE?
Ba Masiya Abatono Abaagalwa,
Ffe Abaafukibwako amafuta ba Katonda; nga twafukibwako amafuta g’Omwoyo We y’Omu, olw’emirimu gye gimu, n’Amaanyi ge gamu, n’obubonero bwe bumu. Kitambudde okuva ku mpungu okudda mu mpungu, okuva ku Kigambo okudda ku Kigambo, okutuusa obujjuvu bwa Yesu Kristo lwe bwoleseddwa mu mubiri gwa buli sekinnoomu muffe, okusisinkana obwetaavu obw’omubiri, obw’omwoyo, oba obw’obwetaavu bwonna bwe tulina. Amaanyi Agazuukiza gabeera era gatuula munda mu ffe. Ffe ba Masiya abatono aba Katonda.
Buli wiiki Okubikkulirwa kw’Obubaka buno; ki kye tuli, wa gye tuva, na wa gye tugenda, kweyongera obunene. Twebuuza n’okusuubira okunene, Kiyinza kitya okusukkawo mu kuba eky’ekitiibwa ? Kiyinza kwanguwa kusukkawo kitya? Naye na buli lutambi olupya lwe tuwulira, Katonda Ayogera naffe kamwa ku kutu era n’Atubikkulira ebisingawo ku Kigambo kye, era n’atukakasa, FFE B’ANI.
Okuyaayana okusinga okw’omutima gw’omukkiriza yenna kwe kubeera mu KWAGALA kwa Katonda OKUTUUKIRIDDE. Tetwagalangako kubeera mu kwagala kwe okw’ekyerekerezi. Emitima gyaffe gimenyeka era ne tunyigirizibwa singa tuwulira nga tukoze ekintu kyonna ekyandiMunyiizizza. Tukimanyi nti Katonda alina Okwagala kwe Okutuukiridde, era twagala kubeera mu NTEEKATEEKA Y’OKWAGALA KWE OKUTUUKIRIDDE.
Mu bulamu bwange, nkoze okusalawo okugumu kwennaayimirirangako bwe ŋŋambye nti nzikiriza nti ekintu ekisinga obukulu buli mmemba w’Omugole ky’ayinza okukola, ab’omukibiina n’abaweereza ng’obatwalidde wamu, kwe KUNYIGA ZANNYA. Nzikiriza nti Lye Ddoboozi Lya Katonda erikakasibbwa lyokka olw’olunaku lwaffe mw’olina okuwulira n’okugondera buli Kigambo.
Njogedde nti nzikiriza obuweereza bwetaaga okuzza Ow’oluganda Branham mu bituuti byabwe n’okuzannya entambi mu masinzizo gaabwe, nga bweLiri Eddoboozi nnamunigina erisinga obukulu abantu lye balina okuwulira.
Nfunye okunenya kuyitirivu mu bulamu bwange olw’okukola okusalawo kuno ku ekyo kye nzikiriza nti ye Pulogulaamu Ye era Okwagala Kwe Okutuukiridde. Kitegeereddwa bubi era ne kigambibwa nti sikkiririza mu buweereza obw’emirundi etaano obw’Abaefeso 4.
Nkitegeezezza emirundi mingi nnyo nti ekyo kya bulimba. Ekyo sikyogerangako, yadde okukkirizangako. Eriyo bangi abakyusizza ebigambo byange ne babuulira abantu ebintu bye soogerangako wadde okubikkiriza, naye ekyo kisuubirwa.
Wateekwa okubaawo amazima g’Ekigambo kya Baibuli. Bw’oba ogamba nti okkiriza Obubaka buno, olwo tulina okutwala Ekyo nnabbi Kye yayogera, nga bwekiri nti kwe Kuvvuunula kwennyini okw’Ekigambo kya Katonda. Kubanga ye muvvuunuzi w’Ekigambo ekyo YEKKA.
Singa mbuuzizza buli omu ku mmwe nti, “Ani ayagala okubeera mu kwagala kwa Katonda okutuukiridde?”
Buli omu ku mmwe yandigambye nti, “YEE, okwo kwe kuyaayana kw’omutima gwange.” Bwe tutyo tulina okutunuulira ekyo nnabbi kye yagamba nga Okwagala kwa Katonda okutuukiridde.
MANYA KINO: Singa Obubaka obuli ku lutambi si ye Abusooluuti wo, era nga tokkiriza buli Kigambo, LEKERAAWO OKUSOMA EBBALUWA ENO. Ku nze, toba mukkiriza, na bwe gutyo ebbaluwa eno teba yiyo. Kyensobola kyokka kwe kusigala obusigazi ne Katonda bye yayogera ku lutambi.
Twagala Ye bye yayogera; si ekkanisa bye yayogera, Dokita Jones bye yayogera, omuntu omulala bye yayogera. Twagala ekyo BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA ky’Ayogedde, ekyo Ekigambo kye yayogera.
Tulina okwewaayo eri Okwagala kwe n’Ekigambo kye. Tetulina kuba na kabuuza konna kukyo. Tulina kukikkiriza bukkiriza. Togezaako kunoonya ngeri ya kukyebalama. Kitwale butwazi nga bwekiri.
Kale bangi baagala okukyebalama ne bagenda mu kkubo eddala. Bw’okola bw’otyo, Katonda ajja kuba akuwa omukisa, naye ng’okolera mu Kwagala Kwe okw’ekyerekerezi, so si mu kwagala kwe okutuukiridde, okw’Obwakatonda. Katonda ajja kukukkiriza okukola ekintu ekimu, n’okukuwa omukisa akikuweeremu omukisa ng’okikola, naye kusigala si kwe kwagala Kwe Okutuukiridde.
Katonda yatuma omubaka malayika we ow’omusanvu ku nsi okukoowoolayo Omugole we. Tukkiriza nti Yali Mwana w’Omuntu nga Yeebikkulira mu mubiri gw’omuntu. Ddoboozi lya Katonda lyennyini ly’eryakwatibwa era ne literekebwa olw’Omugole we.
Katonda yennyini yagamba nnabbi we nti, bw’on’oleetera abantu okukukkiriza, tewali kijja kuyimirira mu kkubo lyo. Y’eyalondebwa Katonda okukulembera Omugole we. Tewali ayinza kutwala kifo kye. Ne bwe wayimukawo ba Kora bameka, oba ba Dasani bameka, William Marrion Branham y’oyo Katonda gwe yayita okukulembera Omugole we. Eno ye Pulogulaamu ya Katonda era OKWAGALA KWE OKUTUUKIRIDDE.
Abantu bwebaba nga tebatajja kutambulira mu kwagala kwe okutuukiridde, ddala Alina okwagala kwe okw’ekyerekerezi kw’Ajja okukuleka okutambuliramu.
Kati, Katonda ye Ka… omulungi. Atuma Ekigambo kye. Bw’oba tojja kukkiriza Kigambo kye, olwo ateeka mu Kkanisa woofiisi ttaano ez’enjawulo: Esooka, omutume, bannabbi, abasomesa, abasumba, ababuulizi b’enjiri. Babeerawo olw’okutuukirizibwa kw’Ekkanisa.
N’olw’ekyo, obuweereza bwayimusibwangawo kubanga abantu okuyita mu mirembe gyonna tebaayagalanga kukkirizza NTEEKATEEKA EY’OKWAGALA KWA KATONDA OKUTUUKIRIDDE kyokka; Ekigambo Kye ekyayogerwa nnabbi We. Mu ngeri ennyangungu, twetaagibwa kukkiriza bukkiriza Kigambo nnabbi wa Katonda kye yayogera. Tetwetaaga mulala yenna oba ekirala kyonna.
Olwo omulimu gw’obuweereza kwe kuzza abantu mu Nteekateeka Ey’Okwagala Kwe Okutuukiridde, eyo nga kwe: KUSIGALA N’ENTAMBI, KUBANGA KWE KWAGALA KWA KATONDA OKUTUUKIRIDDE. Olwo nno mukuume ENTEEKATEEKA EY’OKWAGALA KWE EYO mu maaso gaabwe buli kiseera nga: MUNYIGA ZANNYA.
Osaanye oddeyo otandikire we watandikira, oba we wakoma, era otwale buli Kigambo kya Katonda.
Kale kiki ky’olina okukola okubeera mu KWAGALA KWE OKUTUUKIRIDDE: Nyiga Zannya.
Abasumba balina kukola ki okubeera mu KWAGALA KWE OKUTUUKIRIDDE: Kunyiga Zannya.
Nabbi wa Katonda yakola ki bwe yagenda mu nkuŋŋaana? Kusabiranga busabizi balwadde, n’ebintu ng’ebyo? Yayogeranga ebintu mu ngeri eya twekisize endiga zisobole okukitegeeera, kubanga tumanya ky’aba ayogerako. Bwe kitaba ekyo, kyali nga kyakulya ku ddobo. Yabalaganga obubonero ng’okukwawula emyoyo, n’Amanya ebyama by’emitima gyabwe, okusiikuula abantu kyokka. Naye oluvannyuma n’agamba nti ekisinga obukulu kye kyali nti:
Ekintu ky’osooka okumanya, olutambi lugwa mu nnyumba yaabwe. Olwo luba lugirina, olwo. Bw’aba ndiga, ajja butereevu nalwo. Bw’aba mbuzi, olutambi alugoba kifuba ddembe.
Oli ndiga oba oli mbuzi? Akabinja ka Katonda akatono keesigamye ku Kigambo ekyo. Tuli mu Kwagala Kwe Okutuukiridde nga Tunyiga Zannya nga ekyo bwe kyali, era bwe kiri, enteekateeka Ye eyasooka.
Sigala butuufu n’Ekigambo Kye, kubanga ekyo kye kigenda okuvaayo ku nkomerero, Ekigambo, Ekigambo ku Kigambo. “Buli alikitoolako Ekigambo kimu, oba okukigattako ekigambo kimu!” Kirina okusigalawo, Ekigambo ekyo.
Nneebaza nnyo Mukama okumanya, olw’Okubikkulirwa okw’omwoyo, nti ndi mu Kwagala Kwe Okutuukiridde okusinziira ku Kigambo kye. Sigatta kuvvuunula kwange ku Kyo, oba okutegeera kwange ku Kyo, wabula mpulira n’amatu gange ekyo ekiri BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA ERA Okwagala kwe Okutuukiridde.
Nkwaniriza tugende tunoonyereze wamu ebirungi ebiyaayanirwa Ssande ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), nga bwe tuwulira: Katonda Atera Okukyusa Endowooza Ye Ku Kigambo Kye? 65-0418E. Mulimu ebinnonnogo bingi nnyo mu Bubaka buno, ogenda kuba MUGAGGA mu Mwoyo We Omutukuvu we tunaamalira.
Owol. Joseph Branham
Okuva essuula 19 yonna
Okubala 22:31
Omut. Matayo 28:19
Lukka 17:30
Okubikkulirwa essuula 17 yonna
22-1211 Kwe Kuvaayo Kw’Enjuba
Obubaka: 65-0418M Kwe Kuvaayo Kw’Enjuba
Yeekaalu Y’Amaanyi Agatambuza Ebyuma Abaagalwa,
Omuntu bulijjo yeegomba mu mutima gwe okubeera nga Ibulayimu bwe yali atudde mu maka ge akawungeezi akamu ku ssaawa nga 5:00 (ttaano). Yatunula waggulu n’alaba abasajja basatu nga bajja gy’ali nga engoye zaabwe zijjudde enfuufu. Yadduka mangu gye bali, n’agamba nti, “Mukama wange.” Eyali ayimiridde awo mu maaso ge, mu mubiri gw’omuntu ng’Ayogera, yali Merukizeddeeki Omukulu.
Ssande eno, okwegomba okwo mu mitima gyaffe kujja kubeerawo ku buli omu ku ffe. Ffenna tujja kukuŋŋaanyizibwa okuva mu nsi yonna, nga tuwuliriza Merukizeddeeki omukulu y’omu ng’ayogera NAFFE. Omuntu ataalina Kitaawe, newankubadde nnyina, ataalina ntandikwa ya nnaku za bulamu bwe, Katonda, en morphe, ng’Ayogera naffe okuyita mu mimwa gy’omuntu ow’okunsi, ddala nga bwe yakola ku lunaku olwo eri Ibulayimu.
Tewali ngeri ndala yonna gy’oyinza kuwuliramu Ddoboozi eryo okuggyako nga ONYIGA ZANNYA. Tewabangawo kiseera mu byafaayo Omugole weyali yegasse okuva mu nsi yonna okuwulira Eddoboozi lya Merukisedeki nga lyogera mu kiseera kye kimu ddala. Katonda agatta Omugole we n’Eddoboozi eryo.
Okumala emyaka mingi, tubadde n’Ekigambo kya Katonda. Kati twafuna Katonda w’Ekigambo, laba, era Ali wano wennyini ng’Akola nga Ekigambo kye bwe Kimwogerako. Kale kituufu, akamu ku bubonero obukulu obusembayo obwasuubizibwa Ekkanisa nga Mukama tannajja.
Ku Ssande eno, Omugole agenda kuba n’Obubaka bwa Paasika mu December; era nga Bubaka nnyo bwetugenda okuwulira.
Ebyuma ebikola. Amaanyi agabitambuza. Amaanyi Agawa Obulamu (Agazuukiza). Kristo eyazuukira. Abaana ba Katonda abooleseddwa. Omwoyo y’omu eyabeeranga mu Kristo abeera mu ffe. Obulamu bwe bumu bweyalina, amaanyi ge gamu, abaganyulwa be bamu, naffe tubirina. Ekyapa eky’obwannannyini. Ensigo eyasooka okukula okutuuka ku kwengera ewuubibwa mu maaso g’abantu. Kati tuli nnyama ya nnyama ye, eggumba ly’eggumba lye; Bulamu bwa Bulamu bwe, Maanyi g’Amaanyi ge! Tuli Ye!
Yesu Kristo eyazuukira; Merukizeddeeki yennyini, ajja kuleekaana Atugambe nti, “Nnasiima Eddoboozi lyange likwatibwe liteekebwe ku butambi bwa magineeti nsobole okubawalulira gye ndi, era nsobole okwogera nammwe nga bwe nnakola Ibulayimu. Njagala muwulire butereevu okuva gyendi.”
Ye mmwe Ekkanisa yange eyategekerwa edda, eyayawulibwa edda! Emibiri gyammwe ye yeekaalu y’Amaanyi Agatambuza Ebyuma, kubanga okuva ku lubereberye mwali kitundu ku Byuma Ebyo.
Okwo kwe kubikkulirwa okwo okw’Obwakatonda okw’Ekigambo efuuse omubiri. Bwe kiba nga kyali mubiri mu lunaku olwo nga kiyita mu Mwana, Omugole Omusajja, Kibeera mubiri leero nga kiyita mu Mugole omukazi. Okiraba?
Amaanyi ago Agazuukiza gabeera mu ffe. Tetwetaaga kutya KINTU KYONNA. Omwoyo oyo yennyini eyali mu Ye, kati ali mu ffe era Awa emibiri gyaffe egifa obulamu. Tetukisuubira, TUKIMANYI. Twamala dda okuwangula, Yatuwangulira.
Olwo, okufundikira akawungeezi, Merukisedeeki ajja kwogera omulundi omulala Agambe nti;
Abantu bano, banaffe abatuuze mu Bwakaba, banannyini Amaanyi Agazuukiza, gazuukize gye baali, Mukama, kaakano. Era leka Omwoyo agende okuva ku mpungu okutuuka ku mpungu, okuva ku buli Kigambo okutuuka ku Kigambo, okutuusa ng’okutuukirira kwa Yesu Kristo kulabisiddwa mu buli muntu, mu kye betaaga, nga ku lw’eby’omubiri, oby’omwoyo, obabuli kyetaago kye betaaga, nga tutadde buli omu ku munne emikono. Mu Linnya lya Yesu Kristo.
Mpungu ku mpungu, Ekigambo ku Kigambo, obujjuvu bwa Yesu Kristo bujja kwolesebwa mu mubiri gwa buli sekinnoomu kuffe. EKITIIBWA!!
Kino kiyinza okubaawo kuyita mu KUNYIGA ZANNYA teri engeri ndala, kale jangu otwegatteko era weetabe mu kijaguzo kya jubileewo y’okulya ebisanyusa olubuto, nga tulya emmere Eyaterekebwa edda, nga bwe tuwulira Eddoboozi Eryo, Ssande ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), nga lituleera Obubaka, Kwe Kuvaayo Kw’Enjuba 65-0418M.
Owol. Joseph Branham
Ebyawandiikibwa
Eby’Abaleevi 23:9-11
Matayo 27:51 / 28:18
Makko 16:1-2
Omut. Lukka 17:30 / 24:49
Omut. Yokaana 5:24 / 14:12
Ebikolwa 10:49 / 19:2
Abaruumi 8:11
1 Abasessaloniika 4:16
Abebbulaniya 13:8
Okubikkulirwa 1:17-18
22-1204 MERUKIZEDDEEKI ONO Y’ANI
Obubaka: 65-0221E MERUKIZEDDEEKI ONO Y’ANI
- 24-0630 MERUKIZEDDEEKI ONO Y’ANI
- 22-1204 MERUKIZEDDEEKI ONO Y’ANI
- 19-0707 MERUKIZEDDEEKI ONO Y’ANI
- 17-1105 MERUKIZEDDEEKI ONO Y’ANI
Ekirowoozo Kya Katonda Abaagalwa,
Nsuubira mwetegekedde Ssande eno. Yogera ku ngeri emitima gyaffe gye gigenda okwaka munda mu ffe nga bw’Ayogera naffe mu kkubo mu maka gaffe ne mu masinzizo…LINDIRIRA BULINDIRIZI!
Mu mwezi guno oguwedde Atugambye tukakase nti tusaabalira ku emmeeri entuufu…era kyetukola. Yatugamba nti Ezzadde lya Katonda erya nnamaddala terigenda kusikira wamu na kisusunku…olwo n’Agamba nti, FFE ENSIGO EYO. Awo, ne tuwulira n’amatu gaffe, Katonda nga Ayogera okuyita mu muntu n’Atutegeeza nti, Leero, Ekyawandiikibwa kino Kituukiridde mu maaso gaffe gennyini.
Yatugamba ku Ssande eyaddako nti tuli mu Kifo kya Katonda Kye Yateekawo Eky’Okusinzizaamu, era n’olw’ekyo, TETUKOZE bwenzi na Kigambo kye. Bwetutyo, tuli Mugole we Embeerera ow’Ekigambo Omulongoofu.
Ssande eno, agenda kutugatta ffenna wamu omulundi gumu nate era ayogere ng’ayita mu nnabbi malayika we omukulu atugambe nti, NZE MERUKIZEDDEEKI ONO, era ndi mu kukbeebikkulira mu mubiri gw’omuntu, nga bwe nnagamba nti ndikola mu Kigambo kyange.
EKITIIBWA! Oli mucamufu? Oweereddwa omukisa ebitagambika? KAALE, N’EBIRALA BINGI BIJJA. Agenda kumaliriza emboozi eno enkulu.
Kirowoozeeko bulowooza, TWALI mu birowoozo bya Katonda byennyini okuva ku lubereberye. Emyaka enkumi nnya nga Yesu tannajja ku nsi, n’obufukunya bw’enkumi z’emyaka nga tonnajja ku nsi, Yesu, mu birowoozo bya Katonda, yafa olw’ebibi byaffe. ERA OLWO, AMANNYA GAFFE ne gateekebwa ku Kitabo ky’Obulamu eky’Omwana gw’Endiga.
Ekyo kinnyikira mu birowoozo byo? Amannya gaffe gaayawulibwa Katonda ne gateekebwa ku kitabo ky’Omwana gw’endiga eky’Obulamu ng’ensi tennatandikibwawo. Yamanya amaaso gaffe, ekikula kyaffe, kyonna kye tuli. Twali mu ndowooza ye ku lubereberye….mu ndowooza ya Katonda! Olwo, ekintu kyokka kye tuli ky’ EKigambo kya Katonda ekyogere. Oluvannyuma lw’okukirowoozaako, Yakyogera, era tuutuno wano.
Kizibu okutegeera. Katonda ng’Atubuulira ebintu bino byonna. Yatwagala nnyo era Yayagala Akakase nti tunaakiwuliranga butereevu okuva gy’ali Ye yennyini, bw’atyo n’Asiima kikwatibwe ku lutambi, kibe nti ku Ssande mu Omwezi ogw’ekkumi n’ebiri nga ennaku z’omwezi 4, 2022, Anaasobola okuddamu okugatta Omugole we Atugambe nti: “Bino byonna nabikolera mmwe. Nnali njagala mukiwulire butereevu okuva gyendi. MBAAGALA. MMWE MUGOLE WANGE. NJIJA MANGU NNYO OKUBAKIMA.”
Y’ensonga lwaki tumanyi bwe tujja mu Kubeerawo kwa Katonda, ekintu ekimu muffe kitugamba nti tulina gyetuva, era tuli mu kuddayo nate nga tukozesa Amaanyi ago agatusika.
Katonda ekintu kyonna akiggyeko akakookolo era tukiraba. Katonda, en morphe, nga Abikiddwa mu kakookolo k’Empagi ey’Omuliro. Katonda, en morphe, mu Musajja ayitibwa Yesu. Katonda, en morphe, mu Kkanisa Ye. Katonda waggulu waffe, Katonda naffe, era Katonda mu ffe; okwetoowaza kwa Katonda.
Tetulinaawo mu buli mbeera yonna kye tutya. Mpaawo kyakweraliikirira, wadde okufa. Bwe tuva wano, tuba n’okufa tetufudde. Ennyumba yaffe ey’ensiisira ey’omu nsi bw’eryabizibwa, tulinayo emu eyaggwa edda etulinze, En morphe.
Siyinza kulinda kumuwulira ng’ayogera naffe n’okubikkula ebintu bino byonna Ssande eno ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda). Jjangu otwegatteko mu kifo kyokka ky’osobola okuwuliriramu EDDOBOOZI LYA KATONDA erikakasibwa nga likugamba kamwa ku kutu Ye Y’ANI, ffe B’ANI, na wa gye tugenda. NYIGA ZANNYA.
Merukizeddeeki Ono Y’Ani? 65-0221E
Owol. Joseph Branham
Ebyawandiikibwa by’olina okusoma
Olubereberye Essuula ey’ekkumi n’omunaana
Okuva 33:12-23
Omut. Yokaana 1:1
Abaruumi 8:1
2 Abakkolinso 5:1
2 Abasessaloniika 4:13-18
Timoseewo Asooka 3:16 / 6:15
Abebbulaniya 7:1-3 /13:8
Okubikkulirwa 10:1-7 / 21:16
22-1127 Okufumbiriganwa n’Okwawukana
Obubaka: 65-0221M Okufumbiriganwa n’Okwawukana
Ekisibo kya Nabbi Ekyagalwa,
Kati, mujjukire nti, bino mbyogera eri kibiina kyange kyokka. N’abali eyo abayungiddwa ku mukutu, bino mbyogera eri bagoberezi bange bokka. Obubaka buno bugenda eri bo bokka, awamu n’ebyo bye ŋŋenda okwogera wano.
Omuweereza yenna, ye, ekyo kikye, weewaawo, ye musumba w’ekisibo, leka akole kyonna ky’ayagala. Ekyo kiri gy’ali ne Katonda. Kabona yenna, omubuulizi yenna, ekyo kiri gy’oli, muganda wange.
Njogerera wano wokka mu Jeffersonville, ekifo kyokka we nsobola okwogerera kino, kubanga kye kisibo kyange. Kye kisibo Omwoyo Omutukuvu kye yankwasa okutegeera okukirabirira, era Ye alinvunaana ebikikwatako. Era abantu bange bano be bakyuse okuva mu nzikiriza endala okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo, be ndeese eri Kristo.
Nga mpunzika nnungi nnyo ey’okufundikiramu wiikendi y’okwebaza. Ndi musanyufu nnyo okubeera ekitundu ku kisibo ekyo ekitono ky’akyalabirira wamu na buli omu ku mmwe. Tewali kifo kirala we twandisobodde kugenda.
Kitaffe atusindikidde empungu ennene ebuuka okukulembera Omugole we. Waliwo amaloboozi mangi agazzaamu abantu amaanyi n’okwogera Ebigambo ebyogeddwa nabbi we, naye waliwo EDDOBOZI LIMU lyokka eryasindikibwa okukulembera n’okugatta Omugole we.
Ebigambo nnabbi wa Katonda bye yayogera ku katambi ye Abusoluuti waffe. Tutegeerwa bubi kubanga tugamba nti tukkiriza BULI KIGAMBO, naye twalagirwa nnabbi wa Katonda okukola ekyo kyennyini.
Bwentyo nange bwenjogera, mu Linya lya Yesu Kristo: Togattako kintu kimu, totwala, kukiteekamu ebirowoozo byo, ggwe yogera bwogezi ebyo ebyogerwa ku ntambi ezo, kola bukozi ekyo kyennyini Mukama Katonda ky’Akulagidde okukola; toKyongerako!
Zuukuka ensi. Ebiseera bisembedde. Ebigambo nnabbi wa Katonda bye yayogera, KATONDA ATULAGIDDE; okukkiriza, okwogera n’okukola, BYENNYINI bye yayogera ku ntambi. Si bye njogera, si kabona wo oba ababuulizi bo bye boogera, wabula nabbi wa Katonda bye yayogera KU LUTAMBI.
Tewali kikulu okusinga okuwulira Eddoboozi eryo ku lutambi, MPAAWO. Tugenda kulamulwa okusinziira ku byayogerwa KU NTAMBI. Si bye nnayogera, wabula bye YAYOGERA.
Mbaagaliza EKISINGIRAYO DDALA OBULUNGI. Ebigambo byange ebitono bya kubazzaamu maanyi, nga omusumba yenna bw’alina okukola, okukkiriza buli Kigambo. Sibayigiriza bino : okubuusabuusa ekintu kyonna ky’owulira ku lutambi, mulimu ensobi mu ntambi, mulina okumpulira nga bwe mulina okuwulira nnabbi. Mbawandiikira ebigambo ebitonotono okubakubiriza OKUSIGALA N’EKIGAMBO NNAKABALA, MUNYIGE ZANNYA. Njagala mubeere Omugole w’Ekigambo omulongoofu, atalina kamogo.
Katonda yasiima Ebigambo bye bikwatibwe ku lutambi mu lunaku luno kisobozese buli kitonde ekiramu okuwulira Eddoboozi lye. Mu biseera bya Pawulo, baalina bubeezi bawandiisi okuwandiika bye yali abuulira, ebyo nga ye Baibuli. Naye LEERO, Katonda yayagala KISUKKEWO n’okusukkawo OBUKULU. Tusobola okunyiga zannya ne twewulirira n’amatu gaffe Yesu Kristo eyazuukira ng’ayogera naffe, mumwa ku kutu.
Nga olunaku lukulu lwe tulimu. Ng’ensi, mu ngeri erabikirako ddala, esasika wonna okutwetooloola, tulina ekifo ekyateerwawo we tusobola okugenda ne twewummuliramu. Tukifunira ku LUTAMBI. Tutuula mu kaweweevu ok’omu bisenge byaffe ne tulya ku lujjuliro lw’Emmere eyaterekebwa mu ggwanika. Nabbi waffe ayinza okuba nga yagenda ebbanga ggwanvu nnyo emabega, naye tukyajjukira nti ebintu bino bituufu, era tukolera ddala nga Katonda bwe yatulagira okukola, OKUSIGALA N’ENTAMBI.
Jjangu olye ekijjulo makeke ky’okwebaza ekisinga obulungi kye wali olidde Ssande eno ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), ng’Eddoboozi lya Katonda litugamba Obubaka: Okufumbiriganwa N’Okwawukana 65-0221M.
Owol. Joseph Branham.
Omut. Matayo 5: 31-32 / 16: 18 / 19: 1-8 / 28:19
Ebikolwa By’Abatume 2:38
Abaruumi 9:14-23
1 Timoseewo 2:9-15
1 Abakkolinso 7:10-15 / 14:34
Abebbulaniya 11:4
Okubikkulirwa 10:7
Olubereberye 3 essuula
Eby’Abaleevi 21:7
Yobu 14:1-2
Isaaya 53
Ezeekyeri 44:22
22-1120 Ekifo Kya Katonda Kye Yeeroboza Eky’Okumusinzizaamu
Obubaka: 65-0220 Ekifo Kya Katonda Kye Yeeroboza Eky’Okumusinzizaamu
- 24-0616 Ekifo Kya Katonda Kye Yeeroboza Eky’Okumusinzizaamu
- 22-1120 Ekifo Kya Katonda Kye Yeeroboza Eky’Okumusinzizaamu
Mukyala Yesu Kristo Omwagalwa,
Nga twagala nnyo okuwulira amannya gaffe nga gayitibwa. Okulowooza obulowooza nti, ffe B’Acima. Omugole omukyala Omumbejja ow’Omwana Omulangira Eyasuubizibwa. Ensigo ye ennangira ensuffu eya Ibulayimu ebadde ya mazima era nga nneesigwa eri buli Kigambo.
Tetukoze bwenzi, oba wadde okupepeya, n’Ekigambo ekirala kyonna; twekuumye bwekuumi nga tuli balongoofu ne tusigala na buli Kigambo.
Waliwo abakyala Abakristaayo abalungi bangi mu nsi leero, abakazi abeesigwa; naye waliwo Mukyala Yesu Kristo omu yekka. Ffe Abagenda Awaka naye. Ffe Mukyala We omulonde.
Yatugamba mu Kigambo kye nti ajja kuddamu okujja, mu ngeri yennyini gye yajjamu emabegako. Era n’Ayimirira awo, nga yeeyoleka mu mubiri gw’omuntu, ng’asoma Ekigambo era ng’atugamba nti, “Leero Ekyawandiikibwa kino kituukiridde mu maaso gammwe,” ne tumutegeera, ne tufuuka Omugole we Mukyala Yesu Kristo .
Kitubikkuliddwa nti O-m-w-a-n-a wa Katonda y’omu eyajja mu buvanjuba ne yeekakasa nga Katonda Ayoleseddwa mu mubiri, ye M-w-a-n-a wa Katonda y’omu mu kitundu ky’ensi eky’ebugwanjuba, Eyeeyanjulidde mu masekkati g’Omugole we. Ekitangaala ky’Omwana eky’akawungeezi kituuse.
Era singa mba mbuuzizza ekibuuzo ku kintu kyonna, walina okubaawo eky’okuddamu ekituufu. Wandibaawo ekikirinaanye; naye wateekwa okubaawo ekituufu, eky’okuddamu ekitereevu eri buli kibuuzo. Kale, n’olwekyo, buli kibuuzo ekijja mu bulamu bwaffe, wateekwa okubaawo eky’okuddamu ekituufu, ekigolokofu.
Mu lunaku lwaffe waliwo ebibuuzo bingi n’okukaayana mu bantu.
. Kikulu kitya okuwuliriza entambi za nnabbi wa Katonda?
. Kikulu kitya okuwulira n’okukkiriza buli Kigambo?
. Abusoluuti waffe y’ani? Ddala Kye yayogera ku lutambi, oba Omwoyo Omutukuvu akulembera buli muntu okusalawo Ekigambo ky’ekiriwa n’ekitali Kigambo ky’ekiriwa.
. Tulina okuba n’omusajja omu, oba ekibinja ky’abasajja, nga bakitumenyera-menyera?
. Ekigambo kigamba nti oluvannyuma lw’okusindika Eriya nnabbi, Ajja kusindika ekibinja ky’abasajja abateekwa okukikunnyonnyola?
. Twetaaga omuntu okuvvuunula Ekigambo oba okukitumenyera-menyera?
. Tulina kuwuliriza ntambi mu maka gaffe wokka, mu mmotoka zaffe, ne mu masundiro g’amafuta gaffe, era tuwulirize obuweereza nga tugenze mu kkanisa?
. Tulina okuzannya entambi mu masinzizo gaffe?
. Lino Ddoboozi lya Katonda eri olunaku lwaffe oba nedda?
Kati, bwe kiba nga kibuuzo kya Baibuli, olwo kirina okuba n’eky’okuddamu kya Baibuli. Tekirina kusobola kuva mu kibinja ky’abasajja, okuva mu kibiina kyonna ekimanyifu, oba okuva mu musomesa omu, oba okuva mu kibiina ky’eddiini ekimu. Kisaanye okuva butereevu mu Byawandiikibwa…
N’olwekyo bwe tuba twagala okufuna eky’okuddamu ekituufu ku bibuuzo byaffe, tuteekwa okugenda mu Byawandiikibwa. Ekiddako, tulina okusalawo, ani omuvvuunuzi wa Katonda ow’Ebyawandiikibwa. Buli musajja yeesalirawo?
Nabbi tekitegeeza butegeeza kwogera Kigambo kyokka, naye n’okulangirirawo eby’omumaaso, era n’okuba omuvvuunuzi ow’Obwakatonda ow’Ekigambo, Ekigambo eky’Obwakatonda ekyawandiikibwa.
Kale nnabbi bw’aba nga ye muvvuunuzi w’Ebyawandiikibwa ow’Obwakatonda, olwo nnabbi oyo kye yayogera ky’EKigambo kya Katonda eri Omugole We ekyavvuunulwa edda, KIKOMA AWO.
Kino tekikendeeza ku buweereza, oba ekifo Katonda ky’abayitidde. Bayitiddwa Katonda okukuuma Ekigambo ekyo ekyayogerwa nnabbi wa Katonda mu maaso g’ekisibo kyabwe. Balina okusonga abantu baabwe eri omubaka oyo n’Obubaka bw’ekiseera.
Buli kigambo kye babuulira kirina okulamulwa okusinziira ku bigambo nnabbi wa Katonda bye yayogera ku lutambi. Tebasobola kukyusa, era tebasobola na kuvvuunula, KIGAMBO KIMU. Ebyawandiikibwa bya Katonda bivvuunulwa nnabbi we YEKKA.
Kati, buli emu ku go, ddala, oyinza okulaba ekirowoozo kyago, era siyinza kuganenya. Gonna geelangirirako nti ge matuufu, balina amazima. Era abantu ababeera mu makanisa ago basaana okukkiriza ekyo, kubanga enko- enkomerero yabwe baagitalaafiya, enkomerero yabwe ey’Obutaggwawo, baagyesigamiza ku njigiriza y’ekkanisa eyo. Era baawukana nnyo, buli emu ne ginnaayo, okutuusa lwe biwera ebibuuzo lwenda n’omusobyo eby’enjawulo.
Bwe buba nga Obubaka buno obwayogerwa nnabbi wa Katonda si ye Abusoluuti wo, wabula nga Abusoluuti wo muntu omu oba abantu abamu bye bagamba nti ky’EKigambo, olwo enkomerero yo ey’Obutaggawo ewummulidde ku BYE BOOGERA.
Ebigambo byange biwulikika nga ebiwakanyiza ddala obuweereza obumu ne bwonna. Nze sibuwakanya. Nzikiriza nti Katonda atadde abasajja ab’amazima mu Kkanisa ye n’okulabirira ebisibo bye okukuuma Obubaka buno mu maaso gaabwe. Nzikiriza nti babuulira era bakkiriza Obubaka buno. Naye lwaki tebajja kuzza Ow’oluganda Branham ku bituuti byabwe ng’Eddoboozi erisinga obukulu okuwulira? Lwaki obuweereza bwabwe babussaawo nga obwenkana-nkana mu buli kimu, ne mu mugaso nga, Eddoboozi eryo?
Malaki 3 yagamba nti, “Nja kusindika omubaka Wange mu maaso gange okuteekateeka ekkubo.” Era oyo eyatumibwa okuteekateeka ekkubo, Yamulaga, ekifo ekyo. “Y’Oyo! Tewali nsobi yonna. Y’Oyo! Ndaba akabonero nga kamugoberera. Nkimanyi nti y’oyo; Ekitangaala nga kikka okuva mu Ggulu ne kigenda ku Ye.” Kyali kikakafu, oyo ye yali Ye.
Olwo muganda wange, njagala okubaako kye nkubuuza, mu kufundikira. Kino tuyinza okukyogera. Mu Malaki 4, naffe tetwasuubizibwayo empungu endala, Empagi y’Ekitangaala gye tugenda okugoberera, okulaga ekkanisa esobezza leero nti Ye Abebbulaniya 13:8, “Aba obumu jjo, leero, n’emirembe gyonna”? Tetwasuubizibwayo omulala okujja ng’abuuka okuva mu ddungu?
Kiki kye tulina okuba nga tugoberera? Empagi eyo ey’Ekitangaala. Empagi eyo ey’Ekitangaala y’ani? Empungu eyo, Malaki 4. Ani yalina Empagi y’omuliro ku mutwe gwe okukakasa ky’ali? William Marrion Branham.
Buli lwe tukuŋŋaana, tuteekwa okukuuma Eddoboozi eryo mu maaso g’abantu. Tulina OKUSOOSA Eddoboozi lya Katonda. Si kusinza musajja oyo, wabula okusinza Katonda mu musajja oyo.
Oyo ye musajja Katonda gwe yalonda okukulembera Omugole we. Omusajja oyo ye musajja Katonda gwe yalonda okuvvuunula Ekigambo kye. Omusajja oyo ye musajja Katonda gwe yalonda okubikkulira ebyama bye byonna. Omusajja oyo ye Katonda gwe yagamba nti, Leetera abantu OKUKUKKIRIZA, SSI OMUNTU OMULALA OBA OMUNTU OMULALA KY’AYOGERA, WABULA GGWE, WILLIAM MARRION BRANHAM. Omusajja oyo y’agenda okutwanjula eri Yesu Kristo.
Omusajja oba omukazi yenna ateeka ekintu kyonna ku bye njogera, aba takkiriza bye njogera.
Jjangu ofuuke Mukyala Yesu Kristo wamu naffe Ssande eno ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), nga bwe tuwulira akamwa ka Katonda ke yalonda nga koogera era nga Katugamba: Ekifo kya Katonda Kye Yalonda Eky’Okusinzizaamu 65-0220.
Owol. Joseph Branham
Ekyamateeka 16:1-3
Okuva 12:3-6
Malaki Essuula 3 ne 4
Lukka 17:30
Abaruumi 8:1
Okubikkulirwa 4:7
22-1113 Leero Ekyawandiikibwa Kino Kituukiridde
Obubaka: 65-0219 Leero Ekyawandiikibwa Kino Kituukiridde
- 24-0609 Leero Ekyawandiikibwa Kino Kituukiridde
- 22-1113 Leero Ekyawandiikibwa Kino Kituukiridde
- 19-0616 Leero Ekyawandiikibwa Kino Kituukiridde
Ensigo Ya Ibulayimu Ey’Omwoyo Ennangira Abaagalwa,
Kkanisa ki gy’oyinza okugendamu n’omanya, awatali kisiikirize kya kubuusabuusa, nti buli Kigambo ky’owulira kiri Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama? Mpaawo, okuggyako ng’owulira Eddoboozi lya Katonda nga lyogera naawe ku ntambi.
Tuli empungu za Katonda era tetujja kwekkiriranya na Kigambo wadde ekimu. Twagala maanu ensu yokka buli lukuŋŋaana era Tejja nga nsu okukira ku bw’ejja ogiwulirira butereevu okuva eri Katonda yennyini. Tweyongera okubuuka waggulu nnyo nga bwe tuwulira buli Bubaka. Gye tukoma okugenda waggulu, gye tukoma okulaba. Bwe muba nga mu kkanisa eno temuli maanu, empungu za Katonda zeyongera okutumbiira waggulu-ko okutuusa lwe zigisanga.
Emitima gyaffe nga gibugaana essanyu bwe tuwulira Katonda ng’ayogera naffe era ng’atugamba nti tuli Ekkanisa ye eya Katonda eya nnamaddala, eyazaalibwa omulundi ogw’okubiri, ekkiriza buli Kigambo kya Katonda mu maaso g’ekintu kyonna, awatali kufaayo oba ki, kubanga ffe Mugole we Omugole w’Ekigambo embeerera atatabikiddwamu bitali birongoofu.
Waliwo akavuyo kangi nnyo mu bantu ennaku zino. Nga bwe kyali mu biseera bya Yesu, abo abeeyita abakkiriza baali batwala okuvvuunula okw’ebyo kabona bye yayogera ku Byawandiikibwa. Baali bakkiriza okuvvuunula kw’omuntu ku Kigambo. Eyo y’ensonga lwaki baalemererwa okulaba Amazima ga Katonda, kubanga waaliwo entaputa z’abantu ku Kigambo kya Katonda nnyingi nnyo ekisusse. Katonda teyeetaaga muntu yenna kuvvuunula Kigambo kye. Ye ye Muvvuunuzi We Yennyini.
Okkiririza nti singa wali obaddewo mu kiseera kya Yesu, wandikkirizza buli Kigambo kye yayogera, kabona wo ne bwe yandyogedde ki ? Wandigambye kabona wo nti okuwuliriza Yesu kye kintu ekisinga obukulu ky’oyinza okukola? Wandimugambye nti Ebigambo bya Yesu tebyetaaga kuvvuunulwa? Singa baali balina obutambi bwa Yesu ng’abuulira, wandigambye kabona wo nti oyagala anyige zannya osobole okuwulirira ddala Yesu bye yayogera n’engeri gye yabyogeramu?
Kaale, ogwo tegwali mulembe gwo; guno gwe mulembe gwo, bino by’ebiseera byo. Baibuli yagamba nti, Ye y’omu jjo, leero, n’emirembe gyonna. Ky’okola era ky’oyogera kati ky’ekyo kyennyini kye wandikoze mu kiseera ekyo.
Tukkiriza nti O-m-w-a-n-a wa Katonda y’omu ava mu buvanjuba ne yeekakasa nga Katonda ayoleseddwa mu mubiri, ye M-w-a-n-a wa Katonda y’omu mu kitundu ky’ensi eky’obugwanjuba nga yeemanyisa mu ffe. Tukkiriza leero ekyawandiikibwa kino kituukiridde mu maaso gaffe.
Nzikiririza ddala nti guno gwe mwaka ogw’okukkiririzibwamu, omwaka gwa jubireewo. Bw’oba oyagala okusigala ng’oli muddu era nga tokkiriza Bubaka buno nti buli Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama; Bwe buba nga Obubaka buno si ye Abusoluuti wo; Bw’oba okkiriza nti kyetaagisa omusajja okutaputa Obubaka; Bw’oba okkiririza nti kikyamu okuzannya obutambi mu kkanisa yo; Olwo olina okutwalibwa era ekituli kijja kuwummulibwa mu kutu n’olukato, olwo olina okuweereza mukama wo oyo mu buddu ennaku zo ezisigaddeyo.
Naye Ekkanisa y’Omugole entuufu eya nnamaddala ekkiriza Ekigambo kya Katonda kyonna mu bujjuvu bwakyo ne mu maanyi gaakyo. Ffe Kkanisa Ennonde eri mu kwesikayo n’okwezza ku bbali okuva ku bintu ebyo, era nga okwolesebwa kwa Katonda kutusikiriza. Yeffe Nsigo eyo Ey’omwoyo Ennangira eya Ibulayimu.
Tubasiima nnyo okubeera wano okunyumirwa okussa ekimu kuno naffe, kwe tusuubira nti Katonda Agenda kutuwa mu lukuŋŋaana luno.
Kale tukuyita okutwegattako Ssande eno ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), nga bwe tuwulira 65-0219 Leero Ekyawandiikibwa Kino Kituukiridde. Tuli mu kusuubira kungi olw’ebyo Katonda by’akola mu nkuŋŋaana zino. Ekitangaala ky’Omwana eky’akawungeezi kituuse.
Owol. Joseph Branham
Omut. Yokaana Essuula 16
Isaaya 61:1-2
Omut. Lukka 4:16