Obubaka: 63-1229E Tunula Eri Yesu
- 25-1026 Tunula Eri Yesu
- 24-0211 Tunula Eri Yesu
- 22-0724 Tunula Eri Yesu
- 20-0531 Tunula Eri Yesu
- 18-0325 Tunula Eri Yesu
Abawuliriza b’Olutambi Abaagalwa,
Ekiseera kituuse buli omu mw’ateekwa okwebuuza: “Bwe mpuliriza entambi, Eddoboozi ki lye mba mpulira? Liba bubeezi ddoboozi lya William Marrion Branham, oba mba mpulira Eddoboozi lya Katonda ery’olunaku lwaffe? Kigambo kya muntu, oba mba mpulira Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama? Nneetaaga omuntu okuvvuunula bye mpulira, oba Ekigambo kya Katonda tekyetaaga kuvvuunula?”
Eky’okuddamu kyaffe kiri nti: Tuli mu kuwulira Ekigambo Ekyogere nga kifuuse omubiri. Tuli mu kuwulira Alufa era Omega. Tuli mu kuwulira Ye, Empagi y’Omuliro, ng’Ayogera ng’Ayita mu mimwa gy’omuntu ow’oku nsi nga bwe Yagamba nti bw’Alikola mu lunaku lwaffe.
Tetuwulira musajja, tuwulira Katonda, aba obumu jjo, leero, n’emirembe gyonna. Eddoboozi lya Katonda eddamu, era ekkozi, era erisala okusinga buli kitala kyonna eky’obwogi obubiri, nga liyitamu n’okwawula ne lyawulamu eggumba, era lyangu okwawula okulowooza n’okufumiitiriza okw’omu mutima.
Kitubikkuliddwa nti kye Yali bwe Yatambulanga mu Ggaliraaya kye kimu ky’Ali ekiro kino e Jeffersonville; ekintu kye kimu ky’Ali ku Branham Tabanako. Kye Kigambo kya Katonda ekyoleseddwa. Kye yali mu kiseera ekyo, ky’Ali ekiro kino, era ky’Aliba lubeerera. Kye Yagamba nti Ajja kukola, Akikoze.
Omusajja nga ye si ye Katonda, wabula Katonda akyali mulamu era Ali mu kwogera n’Omugole wE ng’Ayita mu musajja oyo. Tetuyinza kweteeka mu ntata ya kusinza musajja, wabula tusinza Katonda oyo ali mu musajja oyo; kubanga ye musajja Katonda gwe Yalonda okubeera EDDOBOOZI LYE n’okukulembera Omugole wE mu nnaku zino ez’oluvannyuma.
Olw’okuba nga Atuwadde Okubikkulirwa kuno okw’ekiseera ekikulu eky’enkomerero, kati tusobola okutegeera KYE TULI, Ekigambo ekifuuse omubiri mu kiseera kyaffe. Sitaani takyasobola kutuguumaaza, kubanga tukimanyi nti tuli Mugole wE ow’Ekigambo embeerera azziddwawo mu bujjuvu.
Eddoboozi eryo lyatugamba nti: Byonna bye twetaaga byatuweebwa DDA. Tekyetaagisa kulinda. Kyogeddwa, KYAFFE, TUKIRINAKO OBWA-NNANNYINI. Sitaani tatulinaako buyinza; awanguddwa.
Weewaawo, Sitaani asobola okutukasukira obulwadde, okwennyamira, n’okulumwa omutima, naye Kitaffe Yatuwa dda obusobozi okumugobera EBWERU…TWOGERA BWOGERZI KIGAMBO, era aba alina okuvaawo….si lwakuba nga ffe tukyogedde, wabula lwakuba nga KATONDA YAKYOGERA.
Katonda y’omu eyatonda bu kaamuje, awataali na bukaamuje bwonna. Oyo eyawa Mwannyinaffe Hattie okuyaayaana kw’omutima gwe: batabani be ababiri. Oyo eyawonya Mwannyinaffe Branham ekizimba ng’omukono gw’omusawo tegunnamukwatako. Ye KATONDA Y’OMU atali bubeezi naffe kyokka, WABULA AWANGAALIRA ERA ATUULA MU FFE. YE FFE KIGAMBO EKIFUUSE OMUBIRI.
Bwetutunula era ne tuwuliriza Eddoboozi eriri ku ntambi, tulaba era tuwulira Katonda nga Yeebikkula ng’Ayita mu mubiri gw’omuntu ow’oku nsi. Tulaba era ne tuwulira Katonda gwe Yatuma okutukulembera okututwala mu Nsi Ensuubize. Tukitegeera nti Omugole yekka y’ajja okuba n’Okubikkulirwa okwo, bwe tutyo tufuuse abatatya. Tekyetaagisa kubeera ku bunkenke, kunakuwala, kwetamwa, kwebuuza oba kweraliikirira…FFE MUGOLE.
Wuliriza era obeere mulamu ow’oluganda, obeere mulamu!
Wuliriza Yesu kati era obeere mulamu;
Kubanga Lyakwatibwa ku ntambi, aleruuya!
Kiri ekintu kimu kyokka ffe okuwuliriza bwetutyo tube balamu.
Oh, Omugole wa Yesu Kristo, nga lunaku lukulu nnyo lwe tubeeramu. Kye tuli mu kwesunga, ddakiika ku ddakiika. Olunaku lwonna kati tugenda kulaba abaagalwa baffe, olwo, mu kaseera katono ak’okutemya kw’ekikoowe, tujja kuba tuvudde wano era nga tuli nabo ku ludda olulala. Kisembedde nnyo tulinga abasobola okukiwulira kati…EKITIIBWA!
Jjangu Omugole, ka tuddemu okwegatta okwetoloola Eddoboozi lya Katonda Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga bwe tuMuwulira ng’Ayogera naffe Ekigambo ky’Obulamu Obutaggwaawo.
Owol. Joseph Branham
Obubaka: 63-1229E Jja Amaaso ku Birala, Tunuulira Yesu
Ebyawandiikibwa:
Okubala 21:5-19
Isaaya 45:22
Zekkaliya 12:10
Omut. Yokaana 14:12