Eddoboozi lye tuwulira ku ntambi ye Ulimu ne Sumimu ya Katonda eri Omugole wE. Kati ligasse bunywevu ddala Omugole wE wamu mu mutima gumu n’okukkiriza okumu okubeera ekkanisa eya ddala ejjudde Omwoyo, ejjudde amaanyi ga Katonda, nga etudde wamu mu bifo eby’omu Ggulu, ng’ewaayo ssaddaaka ez’omwoyo, okutendereza Katonda, ng’Omwoyo Omutukuvu atambula wakati mu ffe.
Kristo yatusindika Omwoyo we Omutukuvu okwogera ng’Ayita mu malayika wE ow’omusanvu okutuzimba nga ba sekinnoomu mu kikula kya Yesu Kristo, tusobole okubeera abantu ab’amaanyi amangi agatakendeera era ekifo Omwoyo Omutukuvu mw’Abeera, olw’Ekigambo kyE.
Tuli basika ba buli kimu. Bintu ebyaffe ng’omuntu, tubirinako obwa nnannyini. Kye kirabo kya Katonda gye tuli, era tewali ayinza kukituggyako. BYAFFE.
“Kye musaba Kitange mu Linnya lyange, ekyo nja kukikola.” Ani ayinza okwegaana ekintu kyonna awo? “Mazima ddala, mbagamba nti, bw’oligamba olusozi luno nti, ‘Sigulibwa,’ n’otabuusabuusa mu mutima gwo wabula n’okkiriza nti ky’oyogedde kijja kutuukirira, osobola okuweebwa kyonna ky’oyogedde.” Nga kisuubizo! Tekikoma ku kuwonyezebwa kwokka, wabula ku nsonga yonna eyinza okuba.
Ekitiibwa kibe eri Katonda…KYONNA KYE TUSABA!
Okuva ku ntandikwa y’ebiseera, ebitonde bya Katonda byonna bibadde bisiinda era nga birindirira olunaku abaana ba Katonda abajjuvu lwe banaayolesebwa. Olunaku olwo lutuuse. Luno lwe lunaku olwo. Kino kye kiseera ekyo. YEFFE batabani ba Katonda abo abooleseddwa.
FFE TULI kikozesebwa kya Katonda ekiramu ky’Atambuliramu, ky’Alabiramu, ky’Ayogereramu, ky’Akoleramu. Ye Katonda, nga Atambulira ku bigere bibiri, MU FFE.
Tuli bbaluwa zE empandiike ezisomebwa abantu bonna. Abaana be ab’obulenzi n’ab’obuwala abaalondebwa, abaategekerwawo, abatongozeddwa, ekifaananyi ekiramu, ekikula ky’omuntu atuukiridde.
Nga tuvunnama mu maaso ga Katonda omulamu, empisa ennamu, amagezi amalamu, okugumiikiriza okulamu, obwakatonda obulamu, Amaanyi amalamu agava mu Katonda omulamu, kifuula omuntu omulamu ekifaananyi ekiramu mu kikula kya Katonda.
Ye Kristo, mu kikula eky’Omwoyo Omutukuvu ku ffe, n’okubatiza okwa nnamaddala okw’Omwoyo wE Omutukuvu, ng’empisa ze zonna ennungi zisibiddwako envumbo munda muffe. Katonda, nga abeera mu ffe mu Weema eyitibwa Ekizimbe. Weema enamu, ey’ekifo Katonda omulamu mw’Atuula; Ekkanisa etuukiridde, etegekeddwa Ejjinja ly’oku ntikko Eriituukiridde okugiteekako akasolya.
Katonda yatuma nnabbi okukoowoolayo n’okukulembera Omugole wE. Ye yali Adamu wE eyasooka okuzzibwawo mu bujjuvu, ekikula ky’omuntu atuukiridde mu lunaku lwaffe, okubikkula Ekigambo kyE eri Omugole wE.
Nneeyama, enkya ya leero, gy’Ali, n’omutima gwange gwonna, nti, nga Ye muyambi wange era olw’ekisa kyE, nsaba nti nja kunoonya buli lunaku, awatali kulekera awo, okutuusa lwe mpulira buli kimu ku byetaago bino nga kikulukutira mu kikula kyange kino ekitono ekikadde, okutuusa lwe naasobola okubeera okwolesebwa kwa Kristo omulamu.
ERI NZE okuwuliriza Eddoboozi lya Katonda ku ntambi ye nteekateeka ya Katonda eya leero. Kye Kigambo kya Yesu Kristo ekiramu. Ye Abusoluuti wange okusinziira ku Kigambo kya Katonda. Lye kkubo lya Katonda lye Yateekawo kulw’olwaleero.
Bwentyo, njagala okukuyita okunneegattako Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga bwe mpulira William Marrion Branham, gwe nzikiriza nti ye Eddoboozi lya Katonda eri olunaku lwaffe, ng’ayigiriza Omugole wa Kristo engeri y’okufuuka: Ekikula ky’Omuntu Atuukiridde 62-1014M.
Owol. Joseph Branham
Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga Obubaka tebunnatuuka:
Nga Tunyiga Zannya, tuba tuwuliriza Ekigambo kya Katonda nnantakola-nsobi. Kiri buli Kigambo mu kyo Mazima, buli lunyiriri mu Kyo. Tuyitiddwa ne tukuumibwa nga tuli balamu, ne tujjuzibwa era ne tuteekebwa ku bbali; nga tujjudde Omwoyo Omutukuvu, era kaakano tuli mu Nsi ya Kanani twajituukamu dda. Tetutya kintu kyonna…MPAAWO, tumanyi kye tuli.
Olw’okuba tusigadde n’Ekigambo kyE, nga bwe Yatulagira okukola, agenda kutugamba nti Yatulekera obusika. Ekyo wakikola ddi, Kitaffe? Bwe nabalonda ne nteeka amannya gammwe mu kitabo ky’Omwana gw’Endiga eky’Obulamu ng’ensi tennatondebwa.
Ekiseera bwe kyatuuka, natuma Yesu Omwana gw’Endiga, Eyattibwa okuva ku kutondebwa kw’ensi, mulyoke mufune obusika bwammwe mubeere batabani bange ne bawala bange, bakatonda abatono.
Nalina okubakebera oba temuliiko bitundu biyuugayuuga n’ebifo ebitanywedde nga sinnabateeka mu bifo byammwe.
“Okkiriza okuzannya Eddoboozi lyange ku ntambi mu kkanisa kikyamu?”
“Weewawo, tosaanidde kuzannya ntambi mu kkanisa.”
“Gumusingise. Kitundu ggwe ekiyuugayuuga.”
“Okkiririza nti Ekigambo kyange ekiri ku ntambi kyetaaga okuvvuunulwa?”
Bw’oba mwetegefu, ojja kugamba nti, “Amiina” eri buli Kigambo.
“Okkiririza nti ndi bumu jjo, leero, n’emirembe gyonna?”
“Amiina.”
“Okkiririza nti Eddoboozi lyange eriri ku ntambi lye DDOOBOZI ERISINGA OBUKULU ly’olina okuwulira?”
“Amiina.”
“Okkiririza nti Eddoboozi lyange eriri ku ntambi lijja kugatta Omugole?”
“Amiina.”
“Okkiririza nti malayika wange ow’amaanyi ajja kukwanjula gye Ndi?”
“Amiina.”
Kati oli mu kunyweera. Nkukebedde okulaba oba toliimu bitundu biyuugayuuga n’ebifo ebitanywedde. Ndi mwetegefu okuggala oluggi. Nja kukuteekako Envumbo Yange. Oyise okukebejjebwa kwaNge n’obuwanguzi.
Kati kambeeko ne kyembabuulira, Abantu bange ab’omuwendo abaagalwa mu nsi z’olutambi; emitala w’amayanja ne wonna wemuli, temutya. Byonna biteredde. Nnabamanya nga ensi tennatondebwa. Nnamanya byonna ebyali bigenda okubaawo.
Nzija okubacima mangu era Mbatwale mu Kifo eteri kufa, eteri nnaku, tewali buggya, tewali kintu kyonna; okutuukirizibwa kwokka, okwagala okutuukiridde.
Ŋŋenda kuddamu nkuweereze Eddoboozi lyange ku Ssande eno era byonna Mbikunnyonnyole. Ngenda kuddamu okukubuulira ky’oli, gy’olaga, era butya bwe Kifaanana eyo, kati kati.
Jjangu weegatte ku Mugole Wange nga bwe mbatuuza wamu mu bifo eby’omu ggulu Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), era muMpulire Nze nga mbateeka mu bifo byammwe mmwe nga nkozesa Ekigambo kyaNge. 60-0522E Okutongoza Omwana #4 Owol. Joseph Branham
Olw’okuba nga tunyiga Zannya, Eddoboozi lya Katonda Litwanjuddeyo; Litufumbizza eri Kristo, nga Omuwala Omulongoofu eri Ekigambo kyE. Tulina Omusomesa Omu yekka, Eddoboozi Limu, Nabbi Omu, ali mu kutukulembera nga akozesebwa Omwoyo Omutukuvu.
Wabula eno ye kkanisa, ndi mu kubayigiriza. Kino kigenda ku ntambi. Njagala abantu abawuliriza entambi bajjukire nti kino kiri eri ekkanisa yange.
Nga kukakasibwa nnyo gye tuli nti tuli mu Kwagala kwE okutuukiridde. Entambi zino zigendereddwa kugenda eri kkanisa ye. Atuyigiriza. Atugamba nti, muwulirize entambi.
Yatandika entambi ez’omuddiriŋŋanwa zino ez’Okutongozebwa ng’atubuulira ebyali byakabaawo mu nnaku ezaali zaakayita. Olwo, ku buli Bubaka, ayogera ku kaseera ako lwe yakyusibwa n’adda mu mubiri guli. Nga kiteekwa okuba nga kikulu nnyo Omugole okuwulira ebyaliyo n’Omugole bye yamugamba.
Nabbi waffe alisalirwa omusango okusinziira ku Kigambo kye yabuulira n’aleka ku ntambi. Omugole ku ludda luli olulala yamugamba nti alikkirizibwa Mukama waffe. Olwo alitwanjula gy’Ali ng’ebikompe by’obuwanguzi bw’obuweereza bwe , olwo tuddeyo ku nsi tubeere balamu emirembe gyonna.
Buli Kigambo kye tuwulira kiba kitole kya jjinja lya muwendo. Tukanya kuKiyooyoota n’okuKiyooyoota nga bw’Abikkula ebisingawo nga bwe tusoma wakati w’ennyiriri.
Nga twagala nnyo okukigabana ne baganda baffe ne bannyinaffe, “Bino mwawulidde?”
“Yatulonda mu Ye nga tewannabaawo yadde nsi”? Obwo bwe busika bwaffe. Katonda Yatulonda, n’Aleka Yesu ajje asasule omuwendo. Gwe guliwa? Okuyiwa kwE Omusaayi gwE, waleme okubaawo ekibi ekyonna ekitubalirwako. Mpaawo ky’okola nga ggwe.
“Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, eri Mukama.” Amaaso go ogatunuuliza Kaaluvaliyo, era tewali kigenda kukuyimiriza! Entambula yokka ey’obulamu bwo, oli mu kutambulira mu Luguudo olugulumivu lwa Kabaka, ng’ofukiddwako Amafuta ag’omuwendo, ng’oyingira Awatutukuvu w’Awatukuvu. Whew! Amiina .
Twabadde nga omuggo gwa Alooni, omuggo omukadde ogwakalambala gwe yali atambudde nagwo okumala emyaka amakumi ana mu ddungu. Naye kati, olw’okuba nga tugalamidde mu Kifo ekyo Ekitukuvu nga tuwulira Eddoboozi lya Katonda nga Lyogera naffe ku ntambi, tutandise okuloka n’okutintimuka, nga tujjudde Omwoyo we Omutukuvu, era tuli Mugole wE Aleekaana okumalirayo ddala amawuggwe gaffe:
Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, eri Mukama, entambi ze zisooka mu mitima gyaffe.
Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, eri Mukama, Yatulonda nga ensi tennatandikibwawo.
Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, eri Mukama, yeffe Mugole wa Yesu Kristo.
Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, eri Mukama, tekikola njawulo yonna omuntu yenna ky’ayogera, tetuggyaayo ntambi ze tumaze kuta kusaasaanira mu bantu, twongera bwongezi kuzizannya.
Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, eri Mukama, amaaso gaffe tugatunuulizza Kaluvaaliyo, era tewali kigenda kutuyimiriza.
Ndi musanyufu nnyo okugatta emitima n’abangi wano abamanyi nti Kino kye kigambo kya Katonda nnantakola nsobi. Olwo Kyo, Kiba buli Kigambo Mazima, buli Kigambo ekiri mu Kyo, buli mutendera gwakyo. Era n’olw’ekisa kya Katonda, nga bafunye omukisa okulaba Ensi eyo olunaku olumu gye tuligendamu.
Jjangu twegatteko Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga nnabbi atwala buli Kigambo n’akanya kuKiyooyoota. Ajja kuKitwala mu Olubereberye aKiyooyootere eyo, aKivvuunuse akizze mu Okuva addemu aKiyooyoote, ate aKigguse ne mu Kubikkulirwa; era ye Yesu, buli katundu akaKirimu!
Buli muntu luma olugalo lwo, suna ku mmeeme yo, era suna ku mutima gwo. Leero, Omugole wa Yesu Kristo ali mu kuleekaana nti:
Leero, obunnabbi buno butuukiridde mu maaso gaffe.
Nzikiriza, olumu ku nnaku zino ez’ekitiibwa, ekibiina kino eky’omukago ogugatta amakanisa ekigattiddwa awamu bwe kinaajja awamu, era Paapa oyo omuggya n’afunibwa okuva mu Masaza Amagatte aga Amerika n’ateekebwa eyo okusinziira ku bunnabbi, olwo bajja kukolera ensolo eri ekifaananyi ekigifaanaana.
Eddoboozi lya nnabbi wa Katonda lyakyogera Omwezi Ogw’ekkumi ebiri Ennaku Z’Omwezi 19 1954, era oluvannyuma lw’emyezi 9, Robert Prevost, kati amanyiddwa nga Paapa Leo XIV, n’azaalibwa. Kaakano ye Paapa omuggya ow’e Rooma. “Bw’Ati bw’Ayogera Mukama” atuukiridde.
Omwezi Ogw’okutaano Ennaku Z’Omwezi 7 1946, KATONDA yateeka nnabbi we mu Green’s Mill, Indiana, okumuwa okutumibwa kwe n’okulangirira eri ensi, ono ye mubaka malayika Wange ow’amaanyi ow’omusanvu, Eddoboozi lyange eri ensi. Mumuwulire.
Malayika wa Mukama bwe yansisinkana ebweru awo e Green’s Mill, Indiana, emyaka munaana egiyise, oluvannyuma lw’okubeera nga okuva mu buto, nga angoberera, nga andaga okwolesebwa, bwe nagenda gy’Ali, yagamba nti, “Bw’onooba omwesimbu, n’oleetera abantu okukukkiriza, tewali kigenda kuyimirira mu maaso g’essaala eyo.”
William Marrion Branham ye Ddoboozi lya Katonda lye yalonda eri ensi. Nnabbi ow’amaanyi Ekigambo kya Katonda gwe kijja gy’Ali. Okusinziira ku Kigambo, ye muvvuunuzi w’Ekigambo kya Katonda ow’obwakatonda YEKKA.
Omwezi Ogw’okutaano Ennaku Z’omwezi 7 2025, SITAANI yateeka Olutuula olw’ekyama olwa Bakalidinaali mu lutikko eyitibwa Sistine Chapel e Roma okulonda Abatuulira mu kifo kya Kristo, okutuukiriza Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama.
Yakakasiddwa omusajja nga alina AKALE AKAKWAFU AK’OMUKKA OMWEERU.
Omugole wa Kristo okwetoloola ensi yonna ali mu kusanyuka, ali mu kuleekaana, aleekaanira waggulu n’okutendereza Mukama nga bwe tuwulira, era nga tulaba n’amaaso gaffe, obunnabbi bwa nnabbi nga butuukirizibwa.
Kiringa abaabadde tulaba Ennyanja Emmyufu ng’eyawulwamu mu maaso gaffe. Emmaanu ensu ng’egwa okuva mu bbanga. Obukadde n’obukadde bw’obugubi nga buliibwa Omugole. Amazzi nga gava mu Lwazi. Omuliro nga gukka ne gwokya ssaddaaka nga bwekyali ku Eriya.
Obunnabbi butuukirizibwa buli lunaku. Ekigambo kya Katonda ekyasuubizibwa kiri mu kwolesebwa mu bulamu bwaffe. Ebintu bigenda mu maaso wonna okutwetooloola. Omugole yeetegese ng’awulira n’okukkiriza Ekigambo. Tuli Kigambo ekifuuse omubiri.
Mazima ddala, tutuuse. Ebiseera bisembedde. Omugole asanyuka era nga yeegatta wamu okwetoloola ensi yonna nga bwe kitabangawo. Nabbi agumya Omugole ng’atugamba nti tuli bakabaka bakabona ba Katonda, kika kitukuvu, bantu ba nvuma abaayitibwayo, abaalondebwa, abeerobozebwa, ne bateekebwa ku bbali.
KAAKANO TULI Batabani na Bawala ba Katonda, nga tukulemberwa Omwoyo wa Katonda; si muntu, wabula Omwoyo. Tumanyi, awatali kisiikirize na kimu eky’okubuusabuusa, FFE MUGOLE WE. OKUKKIRIZA kwaffe kuli mu kutuuka ku ddala erya waggulu-ko buli lunaku. Tewali kutuyimiriza oba kutusala sipiidi, Katonda akitubikkulidde era n’asuula ennanga yakyo mu mutima gwaffe ne mu mmeeme.
Omugole afunye okutegeera mu bujjuvu okw’ekyo kye tuli. Tuli mu Nsi yaffe ensuubize ey’omwoyo, nga tulina obwa nnannyini obujjuvu ku buli kimu. Tulina emirembe egy’omu Ggulu, Emikisa egy’omu Ggulu, Omwoyo ogw’omu Ggulu. BULI KIMU KYAFFE. Tuli mu kwetegekera bwetegesi by’azzaako okutuwa.
Ekkondeere lya Mukama lirivuga, n’abafu mu Kristo be balisooka okuzuukira.
Emibiri gino egy’omu nsi ey’omu bbanga gijja kukka gyambale emibiri egy’oku nsi eno, egiteekeddwako ekitiibwa era gijja kukyusibwa mu kaseera katono, mu kutemya kikoowe. Tujja kusitulwa waggulu wamu nabo, okusisinkana Mukama waffe mu bbanga.
Nga lunaku. Nga kiseera. Tewali ngeri gye nnyinza kwogera mu bigambo by’abantu ffenna bye tuwulira mu mmeeme zaffe. Emitima gyaffe gitujjira ku bwangu obw’ekitalo. Siffe abali mu kukikola, Omwoyo Omutukuvu alinga oluzzi olw’ensulo olwesundira munda mu ffe. Omugole abadde alinze akaseera kano okuva mu nnaku za Adamu…ERA KATI TULI WANO.
Tukwaniriza. Tukuyita. Tukwegayirira. Jjangu otwegatteko mu kiseera ekisinga okwewuunyisa ensi kye yali etegeddeko, nga bwe tuwulira Eddoboozi lya Katonda nga litubikkulira ekigambo kye Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga bwe tuwulira : 60-0518 Okutongozebwa#2 .
Owol. Joseph Branham
Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga Obubaka tebunnatandika:
Kaakano tuli mu kulya ebintu bya Katonda ebigumu era tulina okutegeera okutangaavu okw’Ekigambo kyE. Katonda atuwadde Okubikkulirwa okw’amazima okw’Ekigambo kyE. Endowooza yaffe ey’omwoyo eggiddwamu okutabulwatabulwa kwonna.
TuMANYI ddala y’Ani nga omuntu. TuMANYI ddala ky’ali. TuMANYI bulungi gye tugenda. TuMANYI ddala kye tuli. TuMANYI gwe twakkiriza, ne tutegeerera ddala ng’Ayinza okukuumanga kye twamuteresa okutuusa ku lunaku luli..
Ayogedde n’Atubikkulira ebyama byonna ebibadde bikwekeddwa okuva ensi lwe yatandikibwawo. Atubuulidde engeri abalala gye bazze bagaana bulijjo ekkubo lye lyeYateekawo ne bayaayaanira obukulembeze obw’enjawulo, naye Yabangawo n’akabinja akatono akaasigalanga nga keesigwa eri Ekigambo kyE.
Okwetooloola ensi yonna, tebajja kukuŋŋaanyizibwa mu kifo kimu okubeera n’ebintu bye bafaanaganya. Wabula obubinja bwabwe obutono bujja kuba busaasaanidde wonna mu nsi.
Ekitiibwa, tusaasaanidde wonna mu nsi, wabula nga tugattiddwa nga Omu okuyita mu Kunyiga Zannya n’okuwuliriza Eddoboozi lya Katonda nga lyogera gyetuli.
Ka tulengereyo-kko era tuloze ku by’Agenda okutugamba ng’Ayita mu malayika we ow’amaanyi ku Ssande.
Abalonde bange abaagalwa, kaakano mutudde wamu mu bifo eby’omu Ggulu. Si awantu wonna wabweru, wabula mu bifo “Eby’omu Ggulu”; kye kifo kyo ng’omukkiriza. Osabye ne wecca era oli mwetegefu okufuna Obubaka. Mwekuŋŋaanyizza wamu ng’abatukuvu, nga mubatiziddwa n’Omwoyo Omutukuvu, nga mujjudde emikisa gya Katonda. Mwayitibwa, mwalondebwa, era omwoyo gwo guleeteddwa mu mbeera ey’omu Ggulu.
Kiki ekiyinza okubaawo. Omwoyo wange Omutukuvu ajja kuba atambulira ku buli mutima. Muzziddwa buggya era mufuuse ekitonde ekiggya mu Kristo Yesu. Ebibi byammwe byonna biri wansi w’Omusaayi. Muli mu kusinza okutuukiridde, ng’emikono gyammwe n’emitima gyammwe giwanikiddwa waggulu Gyendi, nga munsinziza wamu mu bifo eby’omu Ggulu.
Wategekerwawo , Walondebwa, mu Kumanyirawo kwange byonna nga tebinnabaawo. Olondeddwa, otukuziddwa, oggyiddwako omusango olw’Okwawulibwawo byonna nga tebinnabaawo. Tekisoboka ggwe okulimbibwa. Nnakwawula ng’ensi tennatandikibwawo. Oli katonda omutono, eyassibwako akabonero n’Omwoyo Omutukuvu ow’ekisuubizo; si kuzaalibwa mu maka kyokka, wabula Batabani bange ne Bawala bange abatongozeddwa.
Buli mutima gujja kujjula Omwoyo Wange. Mujja kuba mutambulira wamu, nga mutuula wamu, mu bifo eby’omu Ggulu. Nga tewali kirowoozo kibi na kimu mu mmwe, nga tewali ssigala n’omu afuuyibwa, wadde ekiteeteeyi ekimpi n’ekimu, nga tewali kino, ekyo, oba kiri n’ekimu, nga tewali kirowoozo kibi na kimu, nga tewali alina nsonga ku munne, nga buli omu ayogerera mu kwagala n’okukwatagana, buli muntu ng’alina endowooza emu mu kifo kimu.
Olwo amangu ago okuwuuma kujja kuba mu ggulu ng’empewo ewuuma n’amaanyi era nja kubawa buli mukisa gwonna ogw’omwoyo. Olwo ojja kuba nga Dawudi, ng’ozinira mu maaso ga Ssanduuko, ng’ogamba ensi nti tokwatibwa nsonyi, GWE MUGOLE WANGE OW’OLUTAMBI! Onyiga zannya n’okkiriza BULI KIGAMBO kye Njogera. Tojja, era toyinza kusigulwa!
Abalala bayinza okukigaana, oba obutakitegeera, naye gy’oli, Ke kabonero ko ak’Ekitiibwa. Nga Dawudi bwe yagamba mukazi we nti; “olowooza kino kibadde kintu, lindako enkya, tujja kuba tuwuliriza entambi endlala, nga tutendereza Mukama, nga tujjudde Omwoyo gwE; kubanga tubeera kaakano mu Kanani, nga tugenda mu nsi ensuubize.”
Olwo nja kutunula wansi okuva mu Ggulu mbagambe nti:
“Mmwe Mugole atuukiriza ddala ekiri ku mutima gwange.”
Emikisa gino naawe giyinza okuba egigyo. Jjangu, otwegatteko Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), era weewulirire ku kubeerawo kwa Mukama waffe nga bwe kitabangawo nga bwe tuwuliriza Eddoboozi lya Katonda ery’olwaleero nga lyogera naffe era nga Lituleetera Obubaka: Okutongozebwa#1 60-0515E.
Jjukira nti kino kiri eri ekkanisa, so si eri ow’ebweru. Kyama ekiri mu ngero gy’ali, talisobola kukitegeera, kiyita waggulu w’omutwe gwe, ky’akimanyiiko tekisingako ku butakimanyaako. Naye, eri ekkanisa, gwe mubisi gw’enjuki mu lwazi, ssanyu eritoogerekeka, bwe bukakafu obw’omukisa, ye nnanga ewanirira emmeeme, lye ssuubi n’okubeerawo kwaffe, lye Lwazi olw’Edda n’edda, oh, kye buli kimu ekirungi. Kubanga eggulu n’ensi biriggwaawo, naye Ekigambo kya Katonda tekiriggwaawo.
Owol. Joseph Branham
Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga Obubaka tebunnatandika:
Yoweri 2:28 Abeefeso 1:1-5 I Abakkolinso 12:13 I Peetero 1:20 Okubikkulirwa 17:8 Okubikkulirwa 13
Abaagalwa bange, abaagalwa bange ennyo mu Njiri, abaana bange be nzadde eri Katonda.
Nga wiikendi yabadde nnungi nnyo gye twamazeeko ne Mukama waffe. Kyabadde kyanjawulo ku kintu ekirala kyonna, okumala obumazi naYe ebiseera, nga twogera naYe, nga tuwulira Eddoboozi lyE, nga tuMusinza, nga tuMwebaza, n’okuMubuulira engeri gye tuMwagala ennyo.
Nga kitiibwa nnyo okubeera omulamu mu lunaku luno n’okubeera ekitundu ku Byawandiikibwa nga bituukirizibwa. Ebigambo ebiva mu mibiri egifa biyinza bitya okulaga byonna ebiri mu mutima gwaffe? Nga nnabbi bwe yagamba, Si nze, mulimu Ekintu buziba munda, ekisindika era ekyesundira mu nze; oluzzi olw’ensulo olw’Omwoyo Omutukuvu. Ye Mugole nga Yeetegekera Omugole Omusajja.
Omugole omukyala nga acamuka ng’embaga ye tennatuuka. Omutima gwe gutandika okukubira ku bwangu obw’ekitalo nga obutikitiki obusembayo buyitawo….aba akimanyi nti obudde bumaze ne butuuka. “Mmaze okweteekateeka. Ajja okuncima. Kati tujja kuba OMU.”
Mazima ddala tuli kaakano mu biro ebisembayo eby’okubala ebiseera. Omugole mu bbanga ttono ajja kukwakkulibwa era ayitibwe okugenda ku ky’eggulo kyaffe mu kiwejjowejjo ky’abaakafumbiriganwa (Anemmuunu). Atutwala waggulo ko ku wetubadde tumanyidde. Tewakyali kubuusabuusa; tewakyali kwewuunya; FFE MUGOLE.
Era tannamaliriza. Akyayagala okuwa omukisa n’okuzzaamu amaanyi Omugole wE omulonde omwagalwa. Engeri gy’Ayagala ennyo okumuzzaamu amaanyi n’okumubuulira nga bw’Amwagala. Nga bw’Amwenyumirizaamu.
Nate Alina Okubikkulirwa okulala okw’enjawulo ennyo okw’okumuwa. Nga waliwo amaloboozi mangi nnyo mu nsi agagaana okuzannya entambi, ayagala nate okugumya Omugole nti bali mu Kwagala kwE okutuukiridde n’Ekkubo lyE lye Yateekawo.
Bulijjo enteekateeka yE ebadde egaanibwa. Bulijjo Omugole wE abadde ayigganyizibwa. Abantu bulijjo baagaddenga kkubo lyabwe bbo, ekirowoozo kyabwe. Baagala omukulembeze ow’enjawulo okubakulembera. Wabula Katonda Yatuma omukulembeze OMU okukulembera Omugole wE, Ye Mwene, Omwoyo Omutukuvu, era Omwoyo Omutukuvu ow’ennaku zino, nga bwe kibaddenga mu NNAKU ENDALA ZONNA, YE NNABI WA KATONDA.
Bulijjo baagaddenga basajja okubakulembera. Mu kiseera kya Samwiri, Katonda Yagamba nti baali baMugaana okuyita mu butaagala Samwiri kubakulembera . Kyalabika ng’ekitali kya bulijjo anti Samwiri naye yali musajja, wabula enjawulo yali nti Samwiri ye yali omusajja Katonda gwe Yalonda okubakulembera. Teyali Samwiri, Yali Katonda ng’Akozesa Samwiri. Yali DDOBOOZI LYA KATONDA EDDONDE ERA OMUNTU WA KATONDA OMULONDE OKUBAKULEMBERA, wabula bbo nga baagala maloboozi malala.
Sawulo yakimanya nti abantu batya Samwiri, kale yalina okulangirira nti, “Sawulo NE Samwiri”. Yalina okutiisa abantu basobole okumugoberera. Mazima, yali yayitibwa. Mazima, yali yafukibwako amafuta Samwiri okubeera kabaka waabwe, naye Katonda ERA YASIGALA alina Ekkubo lyE lye Yateekawo, ne nnabbi gwe Yalonda okubakulembera, ne Sawulo waakwo okumukulembera. Katonda Yayogera ne nnabbi wE n’Abuulira Sawulo eky’okukola. Sawulo bwe Yasalawo nti naye yafukibwako amafuta, era n’atayagala kuwulira nnabbi yekka, Katonda obwakabaka bwe Yabuggyawo.
Kale awo bwe baakola ekyo, okuwangulwa okunene bwe kwatuuka, Sawulo n’abaaga ente ennume ennene bbiri n’azisindika eri abantu bonna. Era singa muneetegereza wano, Sawulo bwe yasindika ebinywa by’ente ennume ezo eri Isirayiri yenna, n’agamba nti, “Leka buli muntu ataagoberere Samwiri ne Sawulo, leka oyo, ente eno ennume, abe nga yo.” Olaba engeri gye yagezaako okwesiigira ekifaananyi mu maaso g’abantu mu ngeri egenderedde okuwuddiisa nga yeekulubeeseza ku musajja wa Katonda? Nga —nga kyali kya butalibukristaayo nnyo! Okutya kw’abantu kwali lwakuba Samwiri. Naye Sawulo yabaleetera bonna okumugoberera ye olw’okuba nga abantu baali batya Samwiri. “Leka bajjire nnyuma wa Samwiri ne Sawulo.”
Kitaffe Yayagala Omugole wE amanye ani Ye gwe Yalonda okukulembera Omugole wE mu lunaku luno olw’oluvannyuma, bw’Atyo n’Atwala malayika wE ow’amaanyi okusukka olutimbe lw’ebiseera asobole okuddamu okutugamba, okutubudaabuda, n’okutuzzaamu amaanyi nti tuli mu Kwagala kwE okutuukiridde era kweYatuteerawo.
Wuliriza nga oteekeddeyo ddala omwoyo BYONNA nabbi by’ayogera.
Kati, sandyagadde mmwe kino mukiddemu. Kino kiri mu maaso g’ekkanisa yange , oba endiga zangeezo ze nsumba .
Nga tannatubuulira kintu kyonna, asooka kwagala tukimanye nti kino kya FFE FFEKKA, EKKANISA YE, ENDIGA ZE, EZO Z’ASUMBA. Bwe kityo, bw’oba tosobola kugamba nti, “Ow’oluganda Branham ye musumba WANGE NZE,” nkyogedde emabegako, wabula tekyetaagisa kwongera kusoma yadde, kino si kikyo, ko teyayagala ffe wadde okukiddiramu omuntu omulala wabula eri abo abakkiriza era abagamba nti, “Ow’oluganda Branham ye musumba wange”.
Awo wennyini we wali eky’okuddamu kyaffe eri kibuuzo kye tukolokotwako ennyo olw’okugamba nti: “Ow’oluganda Branham ye musumba waffe.” (Abo be bantu bali ab’entambi.) Batuufu, ye kyo, naffe ffe bbo.
Bambi temunnyiigira, bino sibyogera kunyiiza muntu yenna, ekyo kiba kikyamu, naye ky’ekyo ky’ayogera eri Omugole. Sikiteekako ntaputa yange, Ali mu kukyogera bwanjulukufu…Ekigambo kya Katonda tekyetaaga kutaputa.
Ne bwe kiba nga kyali, nga nnali mu mubiri guno oba bweru waagwo, oba nga kwali kuwaanyisibwa kwa mibiri, tekyali ng’okwolesebwa kwonna kwe nnali nfunye.
Kati atugamba nti kino tekyali ng’okwolesebwa kwonna kwe yali afunye. Yagenda mu kifo ekimu gye yali tagendangako. N’okusinga kyali KIKULU okusinga okwolesebwa kwonna kwe yali alabye. Teyali mu kirooto, yalaba omubiri gwe ku kitanda; YALIYO MU BULIWO.
Omugole wa Yesu Kristo, leka ekyo kinnyikire munda bulungi ddala. Yali Mugole wa Yesu Kristo ku ludda luli olulala, mu kiseera eky’obuliwo, be abajja nga badduka gy’ali, nga bakuba enduulu era nga bamubaka, nga bamuwambatizaako emikono gyabwe nga bamugamba nti, “Oh, muganda waffe ow’omuwendo!”
Kaakano tukikakasizza nti YALIYO, era Yali Mugole wa Yesu Kristo gwe yali alaba. Kati ka tuwulire eddoboozi okuva waggulu kye lyali limugamba.
Era awo Eddoboozi eryo eryali lyogera, okuva waggulu wange, ne ligamba nti, “Omanyi, kyawandiikibwa mu Baibuli nti bannabbi baakuŋŋaanyizibwa wamu n’abantu baabwe.”
Katonda yali takoma ku kulaga na kuzzaamu maanyi nnabbi we, wabula waaliwo n’ebisingawo bingi nnyo eby’ekuusa ku Kyo. Yali wa kukomawo atubuulire si wa gye tugenda na butya bwe kirifaanana akome awo, wabula n’okutugamba nti tuli mu Kwagala kwE okutuukiridde nga Tunyiga Zannya era eyo y’engeri gy’oyinza okutuukamu eyo Omugole gy’ali.
Ow’oluganda Branham yagamba nti yali ayagala kulaba Yesu mubi nnyo. Naye ne bamugamba nti:
“Kaakano, Ali waggulu ko katono, waggulu ddala ku luuyi olwo.” Yagamba nti, “Olunaku lumu ajja kujja gy’oli.”
Baagenda mu maaso n’okumubuulira YE Y’ANI .
“Watumibwa, okukola omukulembeze. Era Katonda ajja kujja. Era bw’Anaajja, ajja kusooka kusalirwa omusango okusinziira ku bye wabayigiriza, oba bayingira oba nedda. Tujja kuyingira okusinziira ku kuyigiriza kwo.”
Ani yatumibwa ng’omukulembeze? Tugenda kusalirwa omusango okusinziira ku ebyo ani bye yatuyigiriza? Tujja kuyingira mu Ggulu okusinziira ku njigiriza y’ani ?
Ka tweyongereyo tusome anti ayagala OKUKAKASA nti tutegeera butangaavu okusingawo.
Era abantu bo nebakuba enduulu, ne bagamba nti, “Ekyo tukimanyi. Era tukimanyi nti tugenda kuddayo naawe, olunaku lumu, ku nsi.” Ne bgamba nti, “Yesu ajja kujja, era ojja kusalirwa omusango okusinziira ku Kigambo kye watubuulira.
Tujja kusalirwa omusango okusinziira ku Kigambo YE kye yatubuulira. Bwe kityo, ensala y’omusango eva kuva mu ebyo Eddoboozi lya Katonda bye Lyayogera ku ntambi. Omuntu yenna ayinza atya okwogera nti Eddoboozi eriri ku ntambi si lye DDOBOOZI ERISINGA OBUKULU ly’oyinza okuwulira?
“N’oluvannyuma bw’onookkirizibwa mu kiseera ekyo, ate nga bwekiriba,” .
Oli mwetegefu. Kino kijja kunyweza omusumaali ku kuluwa Okwagala kwa Mukama waffe eri Omugole wa Yesu Kristo. Omugole ategeeza nabbi NABBI ky’ANAAKOLA. Si omuntu mulala yenna. Si kibiina. Si omusumba mulala, nnabbi wa Katonda, WILLIAM MARRION BRANHAM.
Ani alina okutulungamya okututwala gy’Ali? Ani akulembera Omugole? Omugole ali mu kumugamba nti AJJA KUKULEMBERA OMUGOLE AMUTWALE GY’ALI, olwo tuddeyo ku nsi tubeere balamu emirembe gyonna.
Bwe wabaawo Okubikkulirwa waakiri okutono ennyo KWONNA mu ggwe. Bw’oba ogamba nti okkiririza Obubaka Buno, nsaba Katonda akubikkulire nti OTEEKWA okuteeka Eddoboozi lyE, entambi, KU MWANJO.
Abasumba mukomyewo nabbi ku bituuti byammwe. Entambi ze Ddoboozi erisinga obukulu ly’oteekwa okuwulira anti ogenda kusalirwa omusango kusinziira ku DDOBOOZI ERYO.
Okusinziira ku Kigambo, tuli mu Kwagala kwE okutuukiridde era kwe Yateekawo olw’olunaku lwaffe nga tuwuliriza Eddoboozi lya Katonda ku ntambi.
Katonda bw’Aba azibudde amaaso go eri Okubikkulirwa okw’amazima eri Ekigambo kye, nkuyita okutwegattako Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga bwe tuwulira 60-0515M Kabaka Agaaniddwa .