Category Archives: Uncategorized

25-0105 Okubikkulirwa, Essuula ey’okuna Ekitundu 11

Obubaka: 61-0101 Okubikkulirwa, Essuula ey’okuna Ekitundu 11

BranhamTabernacle.org

Omugole W’Ekkanisa Y’Awaka Omwagalwa,

Leka ffenna tukuŋŋaane wamu tuwulire Obubaka, 61-0101 Okubikkulirwa, Essuula ey’okuna Ekitundu II Ssande eno Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda).

Ow’oluganda Joseph Branham

24-1231 Okumeggana

Obubaka: 62-1231 Okumeggana

BranhamTabernacle.org

Omugole Omwagalwa,

Nneesiga nti buli omu ku mmwe yabadde ne Ssekukkulu ennungi wamu ne mikwano gyo n’ab’omu maka go. Nga nneeyanzeege nnyo leero okumanya nti Mukama waffe Yesu talemedde mu kisibo ng’ensi bw’eMulaba leero, wabula Mulamu era Ali mu masekkati g’Omugole wE, nga Yeebikkula okuyita mu ddoboozi lyE nga bwe kitabangawo, MUKAMA ATENDEREZEBWE.

Nga bwennamaze edda okulangirira, nandyagadde okuddamu okuba n’Okussa Ekimu mu maka gaffe oba mu makanisa gaffe ku lunaku lw’Olusooka Omwaka, Desemba nga 31. Kulw’abo abaagala okulwetabamu, tujja kuwuliriza Obubaka, 62-1231 Okumeggana, n’oluvannyuma tugendere ddala mu lukuŋŋaana olw’Okussa Ekimu, Ow’oluganda Branham lw’ayanjula ng’akomeka Obubaka.

Kulw’abakkiriza ab’omu kitundu kino, tujja kutandika olutambi ku ssaawa 1:00 (emu) ey’omu kawungeezi. Wabula, eri abo abali mu bitundu ebyawukanamu mu ssaawa, nsaba mutandike Obubaka mu ssaawa ezibasaanira. Oluvannyuma lw’Ow’oluganda Branham okuleeta Obubaka bwe obw’Omwaka Omuggya, tujja kuyimiriza olutambi ku nkomerero y’akatundu namba 59, era tubeere n’eddakiika nga 10 ez’ennyimba ezizannyibwa ku nnanga nga bwe tulya Ekyeggulo kya Mukama waffe. Olwo tujja kuddamu tutandikire wetwakomye ku lutambi ng’Ow’oluganda Branham aggalawo okusaba. Ku lutambi luno, alekayo ekitundu ky’olukuŋŋaana eky’okunaaza ebigere, kye tujja okulekayo naffe.

Endagiriro ku ngeri ey’okufunamu wayini, n’engeri y’okufumbamu omugaati ogw’Okussa Ekimu osobola okubisanga ku mikutu gino wammanga. Osobola okuluzannyira ku mutimbagano oba okuluwanulayo olutambi lw’eddoboozi okuva ku mukutu, oba osobola okumala gazannya lutambi oluli ku Voyisi Leediyo ku apu ya Layifulayini (olugenda okuzannyibwa mu Lungereza ku ssaawa 1:00 (emu ey’omu kawungeezi) mu budde bw’e Jeffersonville.)

Nga tusemberera omwaka omulala ogw’okuweereza Mukama waffe, leka tumulage okwagala kwaffe nga tusooka kuwulira Eddoboozi lyE, n’oluvannyuma tulye ekyeggulo kyE. Nga kino kinaaba kiseera kya kitiibwa era kitukuvu nga bwe tuddamu okuwaayo obulamu bwaffe eri Obuweereza bwE.

Katonda abawe omukisa,

Ow’oluganda Yusufu

24-1229 Okubikkulirwa, Essuula ey’okuna Ekiunda 1

Obubaka: 60-1231-Okubikkulirwa, Essuula ey’okuna Ekiunda 1

BranhamTabernacle.org

Abatukuvu Abambaziddwa Ebyambalo Ebyeru Abaagalwa,

Bwe tuwulira Eddoboozi lya Katonda nga lyogera naffe, waliwo ekibaawo munda mu mmeeme yaffe. Obutonde bwaffe bwonna bukyusibwa n’ensi etwetoolodde erabika ng’egenda esangukawo.

Omuntu ayinza atya okulaga ebigenda mu maaso mu mitima gyaffe, mu birowoozo byaffe, ne mu mmeeme zaffe, ng’Eddoboozi lya Katonda bwe libikkula Ekigambo kyE na buli Bubaka bwe tuwulira?

Okufaananako ne nnabbi waffe, tuwulira nga tukwatiddwa waggulu mu ggulu ery’okusatu (heavens) era omwoyo gwaffe gulabika nga guva mu mubiri guno ogufa. Tewali bigambo bisobola kulaga kye tuwulira nga Katonda Atubikkulira ekigambo kyE nga bwe kitabangawo.

Yokaana yateekebwa ku kizinga Patumo era n’asabibwa okuwandiika bye yalaba era abiteeke mu kitabo ekiyitibwa Okubikkulirwa, bwe bityo bibe nga bijja kugendera ddala okuyita mu mirembe. Ebyama ebyo bibadde bikwekeddwa okutuusa lwe byatubikkulirwa okuyita mu mubaka we malayika ow’omusanvu gweYalonda.

Awo Yokaana n’awulira Eddoboozi eryo lye limu waggulu we era n’asitulibwa mu ggulu ery’okusatu (heavens). Eddoboozi eryo lyamulaga emirembe gy’ekkanisa, okujja kw’Abayudaaya, okuyiwa ebibonyoobonyo, Okukwakkulibwa, Okudda nate, Emyaka Olukumi, n’Amaka Agataliggwawo ag’Abalokoleddwa bE. Yamutwala waggulu ekintu kyonna ng’omuzannyo bweguliba nga bwe Yagamba nti Ajja kukola n’Akyegezaamu nga Yokaana alaba.

Naye Yokaana yalaba ani bwe yalaba okwegezaamu okwo? Tewali yali amanyi ddala okutuusa leero.

Ekintu kye yasooka okulaba mu kujja okwo yali Musa. Yakiikirira abatukuvu abaafa abaali bagenda okuzuukizibwa; emirembe gyonna omukaaga egyebaka.

Naye Musa teyali yekka nga ayimiridde awo, wabula n’Eriya naye yali awo.

Ani yali Eriya oyo eyali ayimiridde?

Naye Eriya yali awo; omubaka w’olunaku olw’oluvannyuma, n’ekibinja kye, eky’abo abakyusiddwa emibiri gyabwe, Abakwakkuddwa.

EKITIIBWA…ALERUUYA…ani Yokaana gwe yalaba ng’ayimiridde awo?

Tewali mulala okuggyako omubaka malayika wa Katonda ow’omusanvu, William Marrion Branham, wamu n’EKIBIINA KYE EKY’ABAKYUSIDDWA EMIBIRI GYABWE, EKIKWAKKUDDWA…BULI OMU KU FFE!!

Eriya yakiikirira ekibinja ekiriwanyisibwa mu ndabika. Jjukira nti Musa ye yasooka, n’oluvannyuma Eriya. Eriya yali wa kubeera omubaka w’olunaku olw’oluvannyuma, nti ye n’ekibinja kye okuzuukira kulibaleeta…kulibaleeta oku…kale, kulibaleeta okukwakkulibwa, kye ntegeeza. Musa yayingizaawo abalijjira mu kuzuukira ate Eriya n’ayingizaawo ekibinja eky’Abalijjira mu kukwakkulibwa . Era, awo, bombi abo baali bakiikiriddwa awo wennyini .

Yogera ku kumaamula ekibikkako ku kintu ekibadde ekibikkeko, okubikkula, n’Okubikkulirwa.

Kiikino wano! TuKirina bulungi kiri naffe kati, Omwoyo Omutukuvu, Yesu Kristo, aba obumu jjo, leero, n’emirembe gyonna. Oli mu ku…Kiri mu kukubuulira enjiri, Kiri mu kukuyigiriza, Kiri mu kugezaako okukuleetera okulaba ekituufu n’ekikyamu. Ye Mwoyo Omutukuvu yennyini nga Ayogera ng’Ayita mu mimwa gy’omuntu ow’oku nsi, ng’Akolera emirimu gye wakati mu bantu ab’oku nsi, ng’Agezaako okulaga okusaasira n’ekisa .

Yeffe Abatukuvu abambaziddwa Ebyambalo Ebyeru malayika wE be yalaba nga bava mu nsi yonna okulya Omugaati ogw’Obulamu. Yatusaba obufumbo ne tuMukkiriza era tuli mu bufumbo naye era tuwulidde okunywegera kwe okw’omusajja gw’okkirizza okuwa obufumbo mu mutima gwaffe. Tweyamayo ffe gy’ali, era eri Eddoboozi lye lyokka. Tetukikozeeko emabega, era tetujja kukila eky’okweyonoona n’eddoboozi eddala lyonna.

Omugole yeetegekera okugenda waggulu nga Yokaana bwe yakola; okugenda mu Maaso ga Katonda. Tujja kusitulibwa mu kaseera ako nga Ekkanisa Ekwakkulibwa. Ekyo nga kuwuzuumya buwuuzumya emmeeme yaffe!

Kiki ky’agenda okuddako okutubikkulira?

Okusala kw’emisango; ejjinja erya sadio, na ki kye likiikirira; kitundu ki kye lyazannya. Yasepi, n’amayinja gonna ag’enjawulo. Bino byonna agenda kubikulukusa abiyise mu Ezeekyeri, abikomyewo mu Olubereberye, abizzeeyo ebussuka mu  Okubikkulirwa, kkirira wansi mu masekkati ga Baibuli, bisibire wamu kaganda; amayinja gano gonna ne zi lanji ezo ez’enjawulo.

Ye Mwoyo Omutukuvu y’omu, Katonda y’omu, nga Alaga obubonero bwe bumu, ebyewuunyo bye bimu, ng’Akola ekintu kye kimu ddala nga bwe Yasuubiza. Ye Mugole wa Yesu Kristo nga Yeetegeka ng’awulira Eddoboozi lyE.

Tukwaniriza okutwegattako nga tuyingira mu bifo eby’omu ggulu ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), okuwulira Eriya, omubaka wa Katonda eri omulembe guno ogw’oluvannyuma, ng’abikkula ebyama ebibadde bikwekeddwa mu mirembe gyonna.

Owol. Joseph Branham

Obubaka: 60-1231 Okubikkulirwa, Essuula ey’okuna Ekitundu I

  • Bambi mujjukire Obubaka bwaffe obw’omwaka omuggya, ku Lw’okubiri ekiro: Okumeggana 62 -1231. Tewali ngeri ndala esinga eno ey’okutandika omwaka omuggya.

24-1222 Kirabo kya Katonda Ekisabike

Obubaka: 60-1225 Kirabo kya Katonda Ekisabike

BranhamTabernacle.org

Mukyala JÉSUS omwagalwa,

Oh Omwana gw’endiga gwa Katonda, Ggwe Ekirabo kya Katonda ekikulu ekisabike eri ensi. Otuwadde Ekirabo ekisinga obukulu ekyali kitoneddwa, Ggwe Mwene. Nga Tonnatonda mmunyeenye eyasookawo, nga Tonnatonda nsi, omwezi, ensengekera y’enjuba, Watumanya era n’Otulonda tubeere Omugole wO.

Bwe Watulaba mu kaseera ako, Watwagala. Twali nnyama ya mubiri Gwo, eggumba ly’eggumba lyo; twali kitundu ku Ggwe. Engeri gye Watwagala era nga Oyagala okussa nga ekimu naffe. Wayagala ogabane naffe Obulamu Bwo Obutaggwaawo. Twamanya olwo, twali ba kubeera Mukyala Wo JÉSUS.

Wakiraba nti tujja kulemererwa, bwekityo ne kikwetaagisa okuteekawo engeri ey’okutuzzaayo mu mbeera yaffe embereberye. Twali twabula era nga tetulina ssuubi. Waaliwo engeri emu yokka, Walina okufuuka “Ekitondeddwawo Ekiggya”. Katonda n’omuntu baalina okufuuka Omu. Walina okufuuka ffe, tusobole okufuuka Ggwe. Bw’Otyo, Wateeka enteekateeka yo enkulu mu nkola emyaka enkumi n’enkumi emabega mu lusuku Adeni.

Obadde weegomba nnyo okubeera naffe, Omugole-Ekigambo Wo atuukiridde, naye Wasooka kumanya nti olina okutuzzaayo  mu mbeera yaffe embereberye eri byonna ebyali bibuze mu lubereberye. Walindirira n’olindirira n’olindirira okutuusa leero okumaliriza enteekateeka Yo.

Olunaku lutuuse. Akabinja ako akatono keWalaba mu lubereberye kali wano. Omwagalwa wO akwagala Ggwe n’Ekigambo Kyo okukira ekintu kyonna.

Kyali kiseera Ggwe okujja okwebikkulira mu mubiri gw’omuntu ow’oku nsi nga bwe Wakola ne Ibulayimu, era nga bwe Wakola ng’Ofuuse Ekitondeddwa ekiggya. Engeri gye weegomba olunaku luno osobole okutubikkulira ebyama byo byonna ebikulu ebibadde bikwekeddwa okuva ku kutondebwawo kw’ensi.

Wenyumiriza nnyo mu Mugole Wo. Engeri gy’Onyumirwa ennyo okumussaawo n’ogamba Sitaani nti, “Ne bw’ogezaako okubakola ki, tebajja kuseguka; tebajja kwekkiriranya ku Kigambo kyaNge, Eddoboozi lyaNge. Bano ye MUGOLE-EKIGAMBO ATUUKIRIDDE wange.” Bandabikira bulungi nnyo. Batunuulire butunuulizi! Okuyita mu bigezo byabwe byonna n’okugezesebwa, basigala nga beesigwa eri Ekigambo kyange. Ndibawa ekirabo ekibeerera emirembe gyonna. Byonna bye ndi, mbibawa. TUJJA KUBA OMU.

Kye tuyinza okwogera kyokka kiri nti: “JÉSUS, TWAGALA. Ka tukwanirize mu maka gaffe. Tukufukeko amafuta era tukunaaze ebigere n’amaziga gaffe era tubinywegere. TuKubuulire nga bwe tuKwagala.”

Byonna bye tuli, tubikuwa Ggwe JÉSUS. Ekyo kye kirabo kyaffe gy’oli JÉSUS. Tukwagala nnyo. Tukusuuta. Tukusinza.

Mpita buli omu ku mmwe okutwegattako Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), era oyanirize JÉSUS mu maka go, mu kkanisa yo, mu mmotoka yo, wonna w’oyinza okuba, era ofune Ekirabo ekisinga obukulu ekyali kitoneddwa omuntu; Katonda Mwene ng’Ayogera era nga Assa Ekimu naawe.

Owol. Joseph Branham

60-1225 Ekirabo kya Katonda Ekisabike

EKIRANGO KY’ENJAWULO

Omugole omwagalwa,

Mukama akitadde ku mutima gwange okuddamu okuba n’Obubaka obw’enjawulo n’olukuŋŋaana olw’Okussa Ekimu mu kiro ekisembayo ng’Omwaka omuggya tegunnatandika omwaka guno nate. Kisingawo bukulu ki kye tuyinza okukola, mikwano, okusinga okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga Lyogera gyetuli, nga tulya ku kijjulo kya Mukama waffe, n’okuddamu okuwaayo obulamu bwaffe eri obuweereza bwe nga bwe tuyingizaawo omwaka omuggya. Nga kinaaba kiseera kitukuvu okuggalira ensi ebweru, n’okwegatta n’Omugole olw’olukuŋŋaana luno olw’enjawulo mu Kigambo, nga bwe tugamba okuva mu mitima gyaffe, “Mukama, tusonyiwe ensobi zonna ze tukoze okuyita mu mwaka gwonna; kaakano  tusembera gy’Oli, nga tusaba oba onootukwata ku mukono n’otuluŋŋamya omwaka guno ogujja. Leka tukuweereze okusinga bwe twali tukikoze, era bwe kuba nga kwe kwagala Kwo okw’Obwakatonda, ka gubeere omwaka gw’Okukw     akkulibwa okukulu okugenda okw’okubaawo. Mukama, twagala bwagazi kudda waka tubeere naawe okuyita mu Butaggwawo.” Siyinza kulinda kukuŋŋaana okwetoloola Nnamulondo Ye olw’olukuŋŋaana luno olw’enjawulo olw’okwewongawo obuggya, Mukama atenderezebwe.

Kulw’abakkiriza mu kitundu kya Jeffersonville, njagala olutambi lutandikibwe ku ssaawa 1:00 (emu) ey’omu kawungeezi mu budde obw’omu kitundu kyaffe. Obubaka n’olukuŋŋaana olw’Okussa Ekimu mu bulamba bwalwo lujja kuba ku Voyisi Leediyo mu kiseera ekyo, nga bwe tukozenga emabega. Tujja kubaawo n’obuta bw’envinyo ku Lwokusatu Omwezi Ogw’Ekkumi N’ebiri Ennaku Z’Omwezi 18, okuva ku ssaawa 7:00 (musanvu) ez’omu ttuntu – 11:00 (ez’omu kawungeezi), osobole okubucima ku kizimbe kya YFYC.

Kulwa mmwe abeera ebweru w’ekitundu kya Jeffersonville, nsaba mubeere n’olukuŋŋaana olwo olw’enjawulo mu kiseera ekibasaanira. Tujja kuba n’akayungiro akayinza okuwanulibwayo nga kaliko Obubaka n’olukuŋŋaana olw’Okussa Ekimu mangu ddala.

Nga bwe tusemberera Oluwummula lwa Ssekukkulu, njagala okukwagaliza ggwe n’ab’omu maka go Entuuko z’Oluwummula ENNYUVU era ENTEBENKEVU, era MMERI KRISTOmaasi, ejjudde essanyu lya Mukama waffe Yesu eyazuukira…EKIGAMBO.

Katonda abawe omukisa,

Ow’oluganda Yusufu

Ensibuko : https://branhamtabernacle.org/en/bt/F6/110067

24-1208 Ekkanisa y’Omulembe Gwa Lawodikiya

Obubaka: 60-1211E Ekkanisa y’Omulembe Gwa Lawodikiya

BranhamTabernacle.org

Abalonde abaagalwa,

Laba, nnyimiridde ku luggi, nneeyanjula: omuntu yenna bw’awulira eddoboozi lyange, n’aggulawo oluggi, nnaayingira gy’ali, era nnaaliira wamu naye, naye nange.

Obuweereza, mugguleewo enzigi zammwe eri malayika wa Katonda nga tebunnakeerewa nnyo. Muzze Eddoboozi lya Katonda mu bituuti byammwe nga muzannya entambi. Lye Eddoboozi lya Katonda lyokka eryakakasibwa obutalekaawo kabuuza eri olunaku lwaffe nga lirina Ebigambo by’obwa nnantakola-nsobi. Lye Ddoboozi lyokka eririna Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama. Lye Eddoboozi lyokka  Omugole yenna  ly’asobola okuddiramu nti AMIINA. 

Gwe mulembe ogusinga obukulu mu biseera byonna. Yesu ali mu kutuwa okunnyonnyola ku Ye ky’ali ng’ennaku ez’ekisa kyE zigenda zifundikira. Ebiseera bituuse ku nkomerero yabyo. Atubikkulidde engeri ze zennyini mu mulembe guno ogusembayo. Atutunuzza omulundi gumu ogusembayo ku Bulamba bwE obw’ekisa era obusukkulumu Ye nga Katonda Mwene. Omulembe guno kwe kubikkulirwa okw’ejjinja ery’oku ntikko kwa Ye Mwene.

Katonda yajja mu mulembe guno ogwa Laodikiya era n’ayogera ng’ayita mu mubiri gw’omuntu ow’oku nsi. Eddoboozi lye Likwatiddwa era ne Literekebwa okukulembera n’okutuukiriza Omugole-Ekigambo wE. Mu ngeri ennyangungu tewali ddoboozi ddala liyinza kutuukiriza Mugole We wabula Eddoboozi lyE ye Mwene.

Mu mulembe guno ogusembayo, Eddoboozi lye ku ntambi liteekeddwa ku bbali; liggyiddwa mu masinzizo. Okukyogera mu ngeri ennyangungu tebaggya kuzannya ntambi. Kale Katonda agamba nti, “Ŋŋenda kubalwanyisa mwenna. Ŋŋenga kubasesema okuva mu kamwa kange. Eno y’enkomerero.”

“Okumala emirembe musanvu ku ginnaagyo, sirina kirala kye ndabye okuleka abantu okussa ekitiibwa mu kigambo kyabwe okukigulumiza waggulu w’ekyaNge. Kale ku nkomerero y’omulembe guno mbasesema mmwe okuva mu kamwa kange. Byonna biwedde. Ngenda kwogera bulungi. Weewaawo, ndi wano wakati mu Kkanisa. Oyo Amiina wa Katonda, omwesigwa era ow’amazima ajja kwebikkula era ajja KUBA NABBI WANGE.”

Nga bwe kyali edda, bagenze mu maaso mu ngeri ebasuumirwamu  nga bajjajjaabwe bwe baakola mu biseera bya Akabu. Baali ebikumi bina era bonna baali bakkiriziganya; era nga okuyita mu bonna okwogera ekigambo kimu, ne balimbalimba abantu. Naye nnabbi OMU, OMU BUMU, yali mutuufu n’abalala bonna nga bakyamu kubanga Katonda yali Okubikkulirwa akuwadde OMU YEKKA.

Kino tekitegeeza nti obuweereza bwonna bwa bulimba era nti bali mu kusiruwaza bantu. Era sigamba nti omusajja alina okuyitibwa okuweereza tasobola kubuulira wadde okuyigiriza. Ndi mu kugamba nti obuweereza obw’emirundi etaano OBUTUUFU bujja kuteeka ENTAMBI, Eddoboozi lya Katonda eri Omugole, nga Eddoboozi erisinga obukulu ly’OTEEKWA OKUWULIRA. Eddoboozi eriri ku ntambi lye ddoboozi LYOKKA erikakasiddwa Katonda yennyini obutalekaawo kabuuza okuba Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama.

Mwegendereze bannabbi ab’obulimba, kubanga gy’emisege egisikula.

Onoomanya otya mu bukakafu ekkubo ettuufu ery’olwaleero? Waliwo enjawukana obwenkanidde awo mu bakkiriza. Ekibinja ky’abantu ekimu kigamba nti obuweereza obw’emirundi etaano bujja kutuukiriza Omugole, ate ekirala kigamba nti Nyiga Bunyizi Zannya kyokka. Tetugenderera kwawukanyizibwa; tugenderera kwegatta nga OMGOLE OMU. Eky’okuddamu ekituufu kye kiruwa?

Ka tuggule emitima gyaffe nga tuli wamu tuwulire Katonda by’Ayogera ng’Ayita mu nnabbi we eri Omugole. Kubanga ffenna tukkiriziganya, Ow’oluganda Branham ye mubaka wE, malayika ow’omusanvu.

Ku musingi ogw’enneeyisa ey’obuntu yokka, omuntu yenna akimanyi nti awali abantu abangi era wabaawo endowooza ezaawukana ku nsonga entonotono ez’enjigiriza enkulu bonna gye bakwata awamu. Kale ani agenda okuba n’amaanyi ag’obwa nnantakola-nsobi agagenda okuzzibwawo mu mulembe guno ogusembayo, kubanga omulembe guno ogusembayo gugenda kuddayo mu kwolesa Omugole-Ekigambo Omulongoofu? Ekyo kitegeeza nti tujja kuddamu okufuna Ekigambo omulundi gumu nate nga bwe kyaweebwa butuukirivu ddala, era ne kitegeerwa butuukirivu ddala mu nnaku za Pawulo. Nja kubabuulira ani agenda okugafuna. Ajja kuba nnabbi nga akakasiddwa obutalekaawo kabuuza ddala nga, oba n’okukirawo okukakasibwa obutalekaawo kabuuza mu bujjuvu okusinga nnabbi yenna mu mirembe gyonna okuva ku Enoka okutuusa leero, kubanga omusajja ono ajja kuba n’obuweereza buli obw’obunnabbi obw’ejjinja ery’oku ntikko, era Katonda ajja kumulaga. Tajja kwetaaga kweyogerako, Katonda ajja kumwogerera nga Ayita mu ddoboozi ly’akabonero kali. Amiina .

Bwe kityo, Obubaka buno obwayogerwa omubaka wE bwaweebwa butuukirivu ddala, era butegeerwa butuukirivu ddala.

Kirala ki Katonda kye Yayogera ku mubaka we malayika ow’omusanvu n’Obubaka bwe?

  • Aliwulira okuva eri Katonda yekka.
  • Aliba ne “bw’Ati bw’Ayogera Mukama” era ayogere ku lwa Katonda.
  • Aliba kamwa ka Katonda.
  • YE , NGA BWE KYALANGIRIRWA MU MALAKI 4:6, ALIKYUSA EMITIMA GYABAANA ERI BAKITAABWE.
  • Alikomyawo abalonde ab’olunaku olw’oluvannyuma era bajja kuwulira nnabbi eyakakasibwa obutalekaawo kabuuza ng’awa amazima gennyini-nnyini nga bwe kyali ku Pawulo.
  • Alizzaawo amazima nga bwe baagalina.
  • Era awo kiki kye Yatwogerako ffe?

Era n’abo abalonde abaliba naye ku lunaku olwo be baliba abo aboolesa mu mazima Mukama waffe era babeere Omubiri gwe era babeere eddoboozi Lye era bakole emirimu gye. Aleluuya! Okiraba?

Bw’oba okyalimu okubuusabuusa kwonna, saba Katonda nga Ayita mu Mwoyo wE akujjuze era akukulembere, kubanga Ekigambo kigamba nti, “ABALONDE BENNYINI TEBASOBOLA KUSIRUWAZIBWA”. Mpaawo musajja yenna ayinza kukusiruwaza singa oba Mugole.

Abamesodisiti bwe baalemererwa, Katonda Yayimusaawo abalala era bwe kityo bwe kigenze mu maaso okuyita mu mirembe okutuusa ku lunaku luno olw’oluvannyuma lwe wazzeewo abantu abalala mu nsi, nga abo wansi w’omubaka waabwe be bajja okuba eddoboozi erisembayo eri  omulembe ogusembayo.

Yee ssebo. Ekkanisa tekyali “kamwa” ka Katonda. Ye kamwa kaayo yennyini. Kale Katonda ali mu kugikyukira kugirumba. Ajja kugireetera okutabulwatabulwa mu birowoozo  ng’ayita mu nnabbi n’omugole, kubanga eddoboozi lya Katonda lijja kuba mu Mugole. Weewawo bwe kiri, kubanga kigamba mu ssuula esembayo ey’Okubikkulirwa olunyiriri olwe 17 nti, “Omwoyo n’omugole boogera nti Jjangu.” Nate ensi ejja kuwulira butereevu okuva eri Katonda nga ku Pentekooti; naye era nga bwekisuubirwa Omugole-Kigambo oyo ajja kugaanibwa ng’omuntu atakyasaanira nga mu mulembe ogwasooka.

Omugole ddala alina eddoboozi, naye lijja kwogera byokka ebiri ku ntambi. Kubanga Eddoboozi eryo LIRI BUTEREEVU OKUVA ERI KATONDA, bwe kityo teryetaaga kuvvuunula anti lyaweebwa butuukirivu ddala era litegeerewa butuukirivu ddala.

Jjangu twegatteko Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), nga bwe tuwulira Eddoboozi eryo nga Litubikkulira: Ekkanisa y’Omulembe Gwa Lawodikiya 60-1211E.

Owol. Joseph Branham

24-1201 Embeerera Ekkumi, N’Abayudaaya Emitwalo Ekkumi N’ena Mu Enkumi Nnya

Obubaka: 60-1211M Embeerera Ekkumi, N’Abayudaaya Emitwalo Ekkumi N’ena Mu Enkumi Nnya

BranhamTabernacle.org

Amakya amalungi Mikwano,

Mu byafaayo by’ensi tewabangawo kiseera Omugole wa Kristo okuva mu nsi yonna lwe yasobola okugattibwa wamu mu ndowooza emu, okuwuuma okuva mu Ggulu, Eddoboozi lya Katonda lyenyini, lwe Lyayinzanga okuyingirangawo mu n’amaanyi amangi.

Ebyawandiikibwa biri mu kutuukirira. Kye kiseera eky’okwegatta Akabonero k’Ensigo. Okwegatta okutalabika okw’Omugole wa Kristo kugenda mu maaso nga bwe tutudde mu maaso g’Omwana, nga twengera, nga Omugole yeetegeka okuyita mu kuwulira Eddoboozi lya Katonda lyenyini.

Tuli mu kutuukirizibwa obuweereza bwe obw’emirundi etaano.

Bameka abakkiriza nti ebirabo n’okuyitibwa tebyejjusibwa? Bayibuli yagamba nti mu kkanisa mulimu ebirabo bitaano. Katonda atadde mu kkanisa Abatume, oba abaminsani, abatume, bannabbi, abayigiriza, ababuulizi b’enjiri, abasumba.

  • Omubuulizi: Nandigenze emmanga ku luguudo. Omuntu omu yandigambye nti, “Oli mubuulizi?” Nnandigambye nti, “Weewawo ssebo. Oh weewawo, ndi mubuulizi.”
  • Omuyigiriza: Era kati ensonga lwaki sizze mu ngeri ya kubuulira enkya ya leero, eri nti, mbadde ndowooza nti, okuyita mu kuyigiriza, twandikitegedde bulungi okusinga ku kutwala obutwazi eky’okuyigako ebimu ku bikirimu ne tubibuuka. Kinaasingako nga tukiyigirizza buyigiriza.
  • Omutume: Ekigambo “omuminsani” kitegeeza “oyo eyatumibwa.” “Apooso” kitegeeza “oyo eyatumibwa.” Omuminsani aba mutume. Nze —nze, ndi muminsani, nga bwe mumanyi, nkola omulimu gw’okubunya enjiri, ogw’obuminsani, emirundi nga musanvu emitala w’amayanja, okwetoloola ensi yonna.
  • Nabbi: Onzikiriza nti ndi nnabbi wa Katonda? Olwo genda okole kye nkugamba okukola.
  • Omusumba: Mumanyi kye mbakoze? Mumpita omusumba wammwe, era mwogera bulungi, kubanga bwentyo bwe ndi.

Era ne ndaba obukadde bw’abantu abo nga bayimiridde awo, ne ŋŋamba nti, “Bonna ba Branham?” Yagamba nti, “Nedda.” Yagamba nti, “B’abo bewakyusa.” Era ne ŋŋamba nti, nze—nnagamba nti, “Njagala kulaba Yesu.” N’agamba nti, “Tebunnatuuka. Kijja kuba kiseera nga tAnnajja. Naye Ajja kusooka kujja gy’oli era ojja kusalirwa omusango okusinziira ku Kigambo kye wabuulira, .

Olwo ffenna tujja kusitula emikono ne tugamba nti, “Tuwummulidde kw’ekyo!”

Waliwo ekitegeka okubeerawo. Kiki ekigenda mu maaso? Abafu mu Kristo bali mu kutandika kuzuukira wonna okwetooloola wendi. Mpulira okukyusibwa nga kujja mu mubiri gwange. Envi zange, ziweddewo. Laba obwenyi bwange…enkanyanya zange zonna zibuzeewo. Obulumi n’ebitera okunnuma….BIGENZE. Enneewulira yange ey’okwennyamira eweddewo amangu ago. Nkyusiddwa mu kaseera akatono, mu kutemya kw’ekikkoowe.

Olwo tujja kutandika okutunula okwetooloola tulabe abaagalwa baffe. Oh owange, Maama ne Taata baabo awo…Ekitiibwa, mutabani wange…muwala wange. Jjajja musajja, Jjajja mukyala, oh mbadde mbasubwa nnyo mwembi. Owange…wuuyo awo munywanyi wange omukadde. OH LABA, ye Ow’oluganda Branham, nnabbi waffe, Aleluuya!! Kiri wano. Kigenda mu maaso!

Olwo nga tuli wamu, omulundi gumu, tujja kusitulibwa waggulu ebweru eyo awalala mu bwengula okusukka ensi. Tujja kusisinkana Mukama waffe mu kkubo nga Ali mu kkubo lyE ng’Akka. Tujja kuyimirira awo naye ku mpagi ezeetoolola ensi eno tuyimbe ennyimba z’obununuzi. Tujja kuyimba era tuMutendereze olw’ekisa kye ekyatununula ky’Atuwadde.

Biki mu bulambirira ebiterekeddwa Omugole we. Nga tugenda kuba n’akaseera akanyuvu obutaggwawo bwonna buli omu ne munne, ne Mukama waffe Yesu. Ebigambo ebiva mu mubiri ogufa tebiyinzi kutegeeza, Mukama waffe, engeri gye tuwuliramu mu mitima gyaffe.

Bw’oba oyagala okuMuwulira nga Akuyita Omugole we, era nga Akubuulira bwekigenda okuba nga ali naYe, jjangu otwegatteko Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), era ojja kuweebwa omukisa ogusukkiridde ogutaliiko kigero.

Owol. Joseph Branham

60-1211M Embeerera Ekkumi, N’Abayudaaya Emitwalo Ekkumi N’Ena Mu Enkumi Nnya

24-1124 Omulembe Gw’Ekkanisa y’e Firaderufiya

Obubaka: 60-1210 Omulembe Gw’Ekkanisa y’e Firaderufiya

BranhamTabernacle.org

Mukyala Yesu Kristo Omwagalwa,

Ssande eno egenda kubeeramu biki by’eterekedde Omugole wa Yesu Kristo? Biki mu bulambirira Omwoyo Omutukuvu by’anaatubikkulira ? Okutegeera Okutuukiridde . Kati tujja kutegeera mu bujjuvu okuyita mu Okubikkulirwa, ekyaciikirirwa mu ngeri emu nga tekinnabaawo nga kigeraageranyizibwa bwankaliriza n’ekyo ekyakiciikirira n’ekintu kyennyini nga kigeraageranyizibwa n’ekisiikirize kyakyo. Yesu ye Mugaati ogw’Obulamu ogwa nnamaddala. Ye kyonna awamu mu bulamba bwakyo. Ye Katonda Omu. Ye Abebbulaniya 13:8. Ye NDI oli.

Kristo, nga ayita mu kulabikako mu mubiri n’okuyiwa Omusaayi gwe ye Mwene, aggyeewo ebibi byaffe omulundi gumu era kulwa byonna nga Yeewaayo Ye  Mwene; n’olwekyo kati atufudde ABATUKUVU. Obulamu bwe bwennyini buli mu ffe. Omusaayi gwe gutunaazizza. Omwoyo we atujjuza. Emiggo gye GYAMALA DDA okutuwonya.

Ekigambo kye kiri mu mutima gwaffe ne mu kamwa kaffe. Ye Kristo mu bulamu bwaffe so si kirala, kubanga buli kimu mu bulamu bwaffe kizimeera ne kifuuka ekitali kya makulu, okujjako Ye n’Ekigambo kye.

Omutima gwaffe gujja kujjula essanyu nga bw’Atugamba nti olw’ekiragiro kyE eky’obwakatonda, yamanya bulungi ani yali ow’okuba Omugole wE. Engeri gye Yatulondamu. Yatuyita. Yatufiirira. Yatusasulira omuwendo era tuli babE, era ye yekka. Ayogera, naffe ne tuMugondera, kubanga kye kitusanyusa. Ffe tuli kya bwannanyini kyE Ye yekka era talina balala bonna okuggyako FFE. Ye Kabaka wa Bakabaka waffe era ffe bwakabaka bwE. Tuli kya bwannanyini kyE obutaggwawo.

Ajja kutunyweza era Atwakeko Ekitangaala kyE nga Akozesa Ekigambo kyE eddoboozi lyE. Ajja kunnyonnyola bulungi era abikkule nti Ye Mulyango gw’endiga. Ye Alpha ne Omega byombiriri. Ye Kitaffe, Ye Mwana, era Ye Mwoyo Omutukuvu. Ali Omu, era naffe tuli bumu naye era mu Ye.

Ajja kutuyigiriza obugumiikiriza, nga bwe yakola Ibulayimu, ng’Annyonnyola engeri gye tulina okulindirira n’okuguma n’obugumiikiriza bwe tuba twagala okufuna ekisuubizo kyonna.

Ajja kutulaga butangaavu ddala olunaku lwennyini lwetulimu. Engeri omugendo ogugatta amakanisa n’enzikiriza bwegulifuuka ogw’amaanyi ennyo mu kisaawe ky’ebyobufuzi, era guyimusize ku gavumenti akazito okuleetera bonna okugwegattako okuyita mu kugondera enkola ennambike ab’obuyinza ze banaafuula amateeka, kibe nti tewaabe bantu banaatwalibwa nga kkanisa okuggyako okubeera mu bufuzi n’obuyinza bw’olukiiko lwabwe buteerevu oba si buteerevu.

Ajja kubikkula engeri abangi gyebagenda okugenda mu maaso batyo nakyo, nga balowooza nti baweereza Katonda wansi w’olusiisira lw’ekibiina ekitegeke. Wabula atugamba nti, “Temutya, kubanga Omugole tajja kulimbibwa, tujja kusigala n’Ekigambo kyE, Eddoboozi lyE.”

Nga kinaaba kizzaamu nnyo amaanyi okuMuwulira ng’Atugamba nti: “Munyweze, mukikuume. Temuggwaamu maanyi, wabula mwambale ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, buli kyakulwanyisa, buli kirabo kye mbawadde kiri mu maaso gyammwe. Toggwaamu maanyi mukwano, sigala busigazi ng’otunula mu maaso n’essanyu kubanga ogenda kutikkirwa Nze engule, Kabaka wa Bakabaka wo era Mukama wa Bakama, Omwami wo.”

Ggwe ekkanisa Yange eya nnamaddala; yeekaalu yennyini eya Katonda olw’Omwoyo Wange Omutukuvu abeera munda mu mmwe. Mulifuuka empagi mu yeekaalu empya;

omusingi gwennyini ogujja okuwanirira busimba ekizimbe ekizimbibwa waggulu ku ggwo. Nja kubateekawo ng’abawanguzi wamu n’abatume ne bannabbi, kubanga mbawadde Okubikkulirwa kw’Ekigambo kyange, ku Nze kyeNdi.

Ajja kutubikkulira butangaavu ddala nti amannya gaffe gaawandiikibwa mu kitabo kyE eky’Omwana gw’endiga eky’Obulamu ng’ensi tennatandikibwawo. N’olwekyo tujja kubeera mu maaso ga nnamulondo yE emisana n’ekiro okumuweereza mu yeekaalu yE. Ye ffe abantu ba Mukama waffe abafuna okufiibwako okw’enjawulo; ye ffe Mugole wE.

Tujja kuba n’erinnya eppya okuyita mu kufuna erinnya lyE. Lijja kuba linnya erituweebwa ng’Atutwala gy’Ali. Tujja kuba Mukyala Yesu Kristo wE.

Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva ewa Katonda okuva mu ggulu, Omugole ayonjereddwa bba. Tewaliba kufa nate, ennaku wadde okukaaba.Wadde okuddamu okuwulira obulumi nakyo tekiribaayo kubanga eby’olubereberye biweddewo. Ebisuubizo bya Katonda byonna eby’ekitalo birituukirizibwa. Enkyukakyuka eno erimalirizibwa. Omwana gw’Endiga n’Omugole wE bajja kusenga emirembe gyonna mu bintu bya Katonda ebituukirivu byonna.

Mukyala Yesu Kristo omwagalwa, KIROOTE KO. Kijja kuba kya kitalo nnyo okusinga bw’oyinza okulowooza.

Nnyaniriza buli muntu okujja okutwegattako ku Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), nga Bbaffe, Yesu Kristo, ayogera ng’Ayita mu mubaka we malayika ow’omusanvu ow’amaanyi era ng’Atubuulira ebintu bino byonna.

Owol. Joseph Branham

Obubaka: Omulembe Gw’Ekkanisa y’e Firaderufiya 60-1210

24-1117 Omulembe Gw’ekkanisa Ey’Omusaadi

Obubaka: 60-1209 Omulembe Gw’ekkanisa Ey’Omusaadi

BranhamTabernacle.org

Abantu b’Entambi Abaagalwa,

Nga twenyumiriza nnyo mu kuyitibwa “Abantu b’Entambi”. Emitima gyaffe gikuba n’essanyu buli wiiki nga tumanyi nti tujja kwegattira awamu okwetoloola ensi yonna nga tuwulira Eddoboozi lya Katonda nga Lyogera gyetuli.

Tukimanyi, awatali kisiikirize kya kubuusabuusa wadde ekimu, tuli mu Kwagala kwa Katonda okutuukiridde nga tusigala n’Ekigambo kye; okuwuliriza Eddoboozi lye ng’Ayita mu mubaka we malayika ow’omusanvu ow’amaanyi.

Omubaka gwe Yalonda ku lw’olunaku lwaffe ye William Marrion Branham. Ye ttabaaza ya Katonda eri ensi, nga emulisa ekitangaala kya Katonda. Ali mu kuyitayo Omugole-Ekigambo We Omulongoofu gwe Yalonda nga Ayita mu malayika We.


Okuyita mu kuyiga nkaliriza n’obwegendereza ku Kigambo kyE, Atubikkulidde nga Ayita mu Mwoyo wE Omutukuvu nti William Marrion Branham ye malayika gwe Yalonda okuwa Okubikkulirwa kwE n’Obuweereza bwE kulw’olunaku lwaffe. Tulaba malayika wE, EMMUNYEENYE YAFFE, nga ali mu mukono gwE ogwa ddyo nga bw’Amuwa amaanyi gE okubikkula Ekigambo kyE n’okukoowoolayo Omugole wE.

Atuwadde Okubikkulirwa okujjuvu okwa Ye Mwene. Omwoyo Omutukuvu nga Yeemanyisa gye tuli okuyita mu bulamu bw’omubaka wE malayika ow’omusanvu; malayika gwe Yalonda okubeera amaaso gE  kulw’olunaku lwaffe.

Nga emitima gyaffe gitutyemuka munda mu ffe nga bw’Atugamba mu buli Bubaka nti kye kigendererwa kyE okutuleeta gy’Ali; nti tuli Mugole-Kigambo wE.

Ayagala nnyo okutubuulira emirundi n’emirundi engeri gye Yatulondamu nga ensi tennatandikibwawo MU YE. Engeri gye twamanyibwawo Ye era n’Atufuula Abaagalwa bE.

Engeri gye twagala ennyo okumuwulira ng’Ayogera n’okutugamba nti twanunulibwa Omusaayi gwe era TETUSOBOLA kujja mu kusingibwa musango. Tetulisobola kubeerayo mu kusalirwa omusango, kubanga ekibi tekiyinza kutubalirwako.

Engeri gye tunaakkalira wamu naYe nga bw’Adda ku nnamulondo yE eya Dawudi ey’oku nsi, ne tufuga naYe; nga bwe Yakola mu ggulu, ng’Alina amaanyi n’obuyinza ku nsi yonna. Ebigezo n’okugezesebwa kw’obulamu buno bijja kulabika ng’ebitali kantu mu kaseera ako.


Naye era Atulabudde engeri gye tulina okwegendereza. Nti okuyita mu mirembe gyonna emizabbibu ebiri gyamerera wamu nga giriranaganye. Engeri omulabe gy’abadde okumpi ennyo bulijjo; nga mukugu nnyo mu kuwuddiisa obusimu bw’omubiri. Ne Yuda yalondebwa Katonda, era n’ayigirizibwa mu mazima. Yalegako ku kumanya ebyama. Yalina obuweereza obw’amaanyi obwamuweebwa era yawonya abalwadde n’agoba emizimu mu Linnya lya Yesu. Naye teyasobola kugenda lugendo lwonna.

Tosobola kugenda mu maaso na kitundu butundu ku Kigambo, olina okutwala Ekigambo KYONNA. Waliwo abantu abalabika nga beenyigira mu bintu bya Katonda kumpi kikumi ku buli kikumi, naye si bwe bali.

Yagamba nti tekimala okuba nga Yeekwataganyizza n’ekkanisa yonna, oba n’okuba nga Yeekwataganyizza  n’obuweereza obw’emirundi etaano obw’Abaefeso nnya. Yatulabula nti mu buli mulembe ekkanisa ebula, era si abagoberezi bokka wabula ekibiina ky’abakulembeze b’enzikiriza — abasumba bakyamu n’endiga bweziri mu ngeri y’emu bw’etyo.

N’olwekyo olw’okuteesa okuweweddwa ne kulyoka kuweebwa okw’okwagala kwe Ye Mwene, Yeereeta ku kifo mu mulembe gwaffe ng’Omusumba Omukulu mu buweereza bw’omubaka wE malayika ow’omusanvu okukulembera abantu bE okudda mu mazima n’amaanyi amangi okukirawo ag’amazima ago.

Ali mu mubaka wE era oyo anaaba ne Katonda mu bujjuvu bwE nga Katonda ajja kugobera omubaka oyo anti omubaka oyo mugoberezi wa Mukama waffe nga Akozesa Ekigambo kya Mukama waffe.

Njagala mbeere ne Katonda mu bujjuvu bwE nga Katonda era ngoberere omubaka wE. Bwe kityo, eri ffe, Branham Tabanako, engeri yokka ey’okugoberera omubaka nga bw’agoberera Mukama waffe nga akozesa Ekigambo kya Mukama waffe, kwe KUNYIGA ZANNYA n’okuwulira Eddoboozi lya Katonda Eddongoofu nga Lyogera gyetuli ebigambo eby’obwa nnantakola-nsobi.

Tetwetaaga kuteebereza oba kukebera bye tuwulira, tulina kunyiga bunyizi Zannya ne tukkiriza buli Kigambo kye tuwulira.

Nnawulira Ow’oluganda Branham ng’ayogera okunokola kuno wammanga amakya agamu ku Voyisi leediyo. Bwe nakiwulira, kyajja ku mutima gwange nti eno yennyini y’engeri nze / ffe gye tuwuliramu ku kwogera nti:

TUNYIGA BUNYIZI ZANNYA NE TUWULIRA ENTAMBI.

Gyendi kyawulikika nga enjatula etegeeza Okukkiriza kwaffe.

Eyo y’ensonga lwaki nzikiririza mu Bubaka buno, eri nti kubanga Buva mu Kigambo kya Katonda. Era ekintu kyonna ekiri ebweru w’Ekigambo kya Katonda, sikikkiriza. Kyandiba nga kiri kityo, naye era nja kusigala busigazi ne Katonda kye Yayogera, na bwentyo mbe mukakafu nti ndi mutuufu. Kati, Katonda asobola okukola ky’Ayagala. Ye Katonda. Naye kasita mba nga nsigala n’Ekigambo kye, awo mmanyi nti ekyo kyonna kiri bulungi. Nzikiriza ekyo.

Ekitiibwa, yakyogera BUTUUKIRIVU nnyo butyo. Obuweereza obulala bwonna bwandiba nga, kubanga Katonda asobola okukola ky’Ayagala, n’oyo gw’Ayagala okukikola naYe, Ye Katonda. Naye kasita mba nga nsigala n’Ekigambo kyE, Eddoboozi lyE, Entambi, awo nmanya nti ekyo kyonna kiri bulungi. Nzikiriza ekyo.

Nkimanyi bangi basoma ebbaluwa zange ne bategeera bubi bye njogera ne kye nzikiriza nti kwe Kwagala kya Mukama waffe eri ekkanisa yaffe. Mu bwetoowaze ka njogere nate nga nnabbi bwe yogera nti: “Ebbaluwa zino zigendereddwa eri kkanisa yange yokka. Abo abaagala okuyita Branham Tabanako ekkanisa yaabwe. Abo abaagala OKWERAGIRA AWAMU N’ABANTU B’ENTAMBI ERA ABAYITIBWA EKYO”.

Bw’oba tokkiriziganya na bye njogera ne bye nzikiriza, ekyo tekirina buzibu kikumi ku kikumi baganda bange ne bannyinange. Ebbaluwa zange tezigendereddwa eri mmwe oba okuwakanya mmwe oba ekkanisa zammwe. Ekkanisa yo yeemalirira era olina okukola nga bw’owulira nga okulembeddwa okukola, naye okusinziira ku Kigambo, bw’etyo n’eyaffe nayo yeemalirira, era kino kye tukkiriza nti lye kkubo Katonda lye Yatuwa.

Bonna bulijjo baanirizibwa okwegatta naffe buli Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda). Sabbiiti eno, Emmunyeenye ya Katonda ey’omulembe gwaffe, William Marrion Branham, egenda kutuleetera Obubaka, 60-1209 Omulembe Gw’Ekkanisa y’e Saadi.

Owol. Joseph Branham