All posts by admin5

25-0413 Akabonero Ak’okutaano

Obubaka: 63-0322 Akabonero Ak’okutaano

BranhamTabernacle.org

Abawummudde Abaagalwa,

Tuli wano. Tutuuse. Okukakasibwa obutalekaawo kabuuza okw’Ekigambo kukakasizza nti Okubikkulirwa kwaffe okw’Obubaka Buno kuva eri Katonda. Tuli mu KWAGALA KWE OKUTUUKIRIDDE nga tusigala n’Eddoboozi lya Katonda ku ntambi.

Kikulu kitya okunyiga Zannya? Ebigambo bye tuwulira ku ntambi bya makulu nnyo, bitukuvu nnyo, ne kiba nti Katonda yennyini teyasobola kubyesigisa wadde Malayika…wadde omu ku Bamalayika be ab’omu ggulu. Kyalina okubikkulwa n’okuleetebwa eri Omugole we nga kiyita mu nnabbi we, kubanga oyo Ekigambo kya Katonda gwe kijjira, nnabbi we, YEKKA.

Katonda yayuzaako Envumbo, n’Akikwasa omubaka we malayika ow’omusanvu ow’oku nsi, n’Amubikkulira Ekitabo ky’Okubikkulirwa kyonna. Olwo, Katonda n’Ayogera ng’Ayita mu malayika wE ow’oku nsi era n’Abikkula BULI KIMU eri Omugole we.

Buli katundu akatono konna kaayogerwako era kaabikkulwa gyetuli. Katonda yatufaako nnyo ne kiba nti teyakoma ku kutubuulira bibaddewo wano ku nsi okuva ku ntandikwa y’ebiseera, wabula Yayogera ng’Ayita mu malayika we n’Atubuulira ebigenda mu maaso mu kifo ng’olusuku lwa Katonda mu kiseera kino.

Yali tayagala tweraliikirire, oba obutaba bakakafu ku biseera eby’omu maaso bye binaatuleetera nga tuvudde mu lusiisira luno olw’oku nsi. Kale, Katonda yennyini yatwala malayika we ow’amaanyi ow’omusanvu okusukka olutimbe lw’ebiseera, asobole okuBiraba, okuBiwulira n’enneewulira ey’omubiri gwe, n’okwogera ayogere n’abo abali eyo. Tekwali kwolesebwa, yaliyo EYO.

Katonda yamutwalayo asobole okudda atugambe nti: “Nnaliyo, nakiraba. Kigenda mu maaso KATI KATI…Ba maama baffe, ba taata baffe, baganda baffe, bannyinaffe, batabani baffe, bawala baffe, abakyala, abaami, bajjajjaffe, Musa, Eriya, ABATUKUVU BONNA abaatusooka okugenda bali eyo mu Byambalo Ebyeru, nga bawummudde era nga batulinze FFE”.

Tetuliddamu kukaaba, ‘kubanga liriba ssanyu gyereere. Tetuliddamu kunakuwala, ‘kubanga kuliba kusanyuka kwereere. Tetulifa nate, ‘kubanga eyo bulamu bwokka. Tetusobola kukaddiwa, ‘kubanga ffenna tujja kuba bato emirembe gyonna.

Kwe kutuukirira…yongerako okutuukirira…yongerako okutuukirira, era tugendayo!! Era nga Musa, tetujja na kulekawo wadde ekisinziiro ky’ensolo, FFENNA TUGENDA…AB’ENJU YAFFE FFENNA.

Kikulu kitya OKWAGALA malayika oyo ow’amaanyi ow’omusanvu?

Era ne baleekaana, ne bagamba nti, “Bonna bewali oyagadde…” empeera y’obuweereza bwange. Seetaaga mpeera yonna. Yagamba nti, “Bonna bewali oyagadde, ne bonna abakwagala, Katonda abakuwadde.

Ekyo leka tuddemu tukisome bambi: Yagamba ki?….Katonda abakuwadde GGWE !!

Era tujja kwegatta nabo tuleekaane nti, “Tuwummulidde kw’ekyo”

Kiki kye tuwummulizzaako ekifo kyaffe gyetunaakomekkereza mu butaaggwawo? BULI KIGAMBO EKYAYOGERWA KU NTAMBI. Nneebaza nnyo Mukama nti atuwadde Okubikkulirwa Okutuufu nti Okunyiga Zannya kye kintu EKISINGA OBUKULU Omugole ky’ateekwa okukola.

Wandyagadde okuwummulako naffe? Jjangu otwegatteko Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga bwe tuwulira byonna ebikwata ku biri mu biseera eby’omu maaso, gye tugenda, n’engeri y’okutuukayo, nga bwe tuwulira Eddoboozi lya Katonda nga lyogera n’okubembula: Akabonero Ak’Okutaano 63-0322 .

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnawulira Bubaka:
Danyeri 9:20-27
Ebikolwa By’Abatume 15:13-14
Abaruumi 11:25-26
Okubikkulirwa 6:9-11 / 11:7-8 / 22:8-9

25-0406 Akabonero Akookuna

Obubaka: 63-0321 Akabonero Ak’okuna

BranhamTabernacle.org

Abatukuvu Abazaaliddwa Eggulu Abaagalwa,

Kitaffe ali mu kutukuŋŋaanya awamu nga Akozesa Ekigambo kye, era okukakasibwa obutalekaawo kabuuza okw’Okubikkulirwa okwo kuli mu kutuwa okucamusibwa. Yatulonda nga ensi tennatandikibwawo, kubanga yamanya nti tujja kuba beesigwa eri Ekigambo kyE mu kwesalirawo kwaffe.

Ekyo ka nkyogere nate  bwekityo kinannyikira buziba ddala. Yatunula n’Ayisa amaaso mu biseera byonna, okutuukira ddala ku nkomerero y’ebiseera byonna, n’ATULABA FFE…ekyo okiwulira? YAKULABA, YANDABA, era n’Atwagala, kubanga olw’okwesalirwo kwaffe, twali ba kusigala N’EKIGAMBO KYE.

Mu kiseera ekyo kyennyini, Ateekwa okuba nga Yayita bamalayika be bonna ne bakerubi wamu n’Atusongako n’Agamba nti: “OYO YE MUKYALA,” “OYO YE MUGOLE WANGE,” “ABO BE MBADDE NNINDIRIDDE!”

Okufaananako ne John, eyo y’ensonga lwaki tukola bino byonna eby’okuleekaana n’okukuba enduulu, era nga tutendereza Mukama, tucamusiddwa olw’okulega ku Mwenge Omusu era tumanyi, MU NGERI ENNAMBIKE BUTANGAAVU DDALA N’AMAKULU GAMU, FFE TULI Mugole We.

Kyefaananyirizaako n’enkuba, okumyansa n’okubwatuka kw’eggulu kwonna bye tubadde tufuna wano e Jeffersonville sabbiiti eno…Naffe tuli mu kusindika OKULABULA eri ensi.

Omugole ali mu kufuna OKUMYANSA N’OKUBWATUKA OKW’OKUBIKKULIRWA, ERA KULI MU KULEETAWO AMATABA AG’AKAGWIRAWO AGABIMBIRA KU BWANGU OBW’EKITALO AG’OKUBIKKULIRWA. OMUGOLE YEETEESETEESE ERA BATEGEDDE KIKI KYE BALI. DDUKA OYINGIRE EKIFO EKY’OBUBUDAMO MBAGIRAWO. NYIGA ZANNYA OBA OSAANYIZIBWEWO.

Tetubeera mu Mulembe gwa Mpologoma, oba mu Mulembe gw’Ente, wadde mu Mulembe gw’Omuntu; tubeera mu mulembe gwa MPUNGU, era Katonda atutumidde empungu ey’amaanyi, Malaki 4, okukoowoolayo n’okukulembera Omugole wE.

Nga kijja kuba kisaanira ku Ssande eno, nga bwe tunaabeera nga tugattiddwa wamu nga tuwuliriza Akabonero Ak’okuna. Lujja kuba lunaku lwa Mazaalibwa ga nnabbi wa Katonda empungu ey’amaanyi.

Leka tujaguze olunaku luno olw’ekitalo era twebaze Mukama olw’okutusindikira omubaka we empungu, oyo gwe Yatuma okutuyitayo n’okubikkula Ekigambo kyE.

Owol. Joseph Branham,

Obubaka: Akabonero Ak’okuna 63-0321
Obudde: Essaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda)

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga weetegeka.


Omut. Matayo 4
Omut. Lukka 24:49
Omut. Yokaana 6:63
Ebikolwa by’Abatume 2:38
Okubikkulirwa 2:18-23, 6:7-8, 10:1-7, 12:13, 13:1-14, 16:12-16, 19:15-17
Olubereberye 1:1
Zabbuli 16:8-11
II Samwiri 6:14
Yeremiya 32
Yoweri 2:28
Amosi 3:7
Malaki 4

25-0330 Akabonero Ak’okusatu

Obubaka: 63-0320 Akabonero Ak’okusatu

BranhamTabernacle.org

Kaawa ow’Omwoyo Omwagalwa,

Ka ntandike ebbaluwa yange leero ne bbomu nnamuzisa ya atomu ya Katonda; si mmundu ya kisasi kimu , wabula  BBOMU NNAMUZISA eri Omugole wa Yesu Kristo.

Kati, bw’oba oyagala okubiwandiika; ddala, mwenna mubimanyi: Yesu, Yokaana 14:12; ne Yoweeri, Yoweri 2:38; Pawulo, Timoseewo Eky’okubiri 3; Malaki, essuula ey’okuna; ne Yokaana omubikkulirwa, Okubikkulirwa 10:17, 1-17. Laba, kyennyini ddala ekyali eky’okubeerawo kati!

Ekirango n’okulabula: Okunokola kuno wammanga si kukwo bw’oba okkiririza.

“Nnabbi wa Katonda tumutikka emigungu mingi.” “Toyinza kubeera Mugole singa owuliriza nnabbi kyokka.” “Okuzannya entambi mu kkanisa kikyamu.” “Ttooci ekwasiddwa omulala; ekisinga obukulu leero kwe kuwuliriza obuweereza.” “Okunyiga zannya ffenna mu kiseera kye kimu kiba kibiina kya ddiini.”

Eri ekkanisa, Kye ki? Ekigambo ekiweereddwa omubiri nga kifuuse omubiri nate mu masekkati g’abantu be! Okiraba?

KABOOM…Kale nga tunyiga zannya, tusobola okuwulira Ekigambo ekyafuuka omubiri nga kifuulibwa omubiri, nga kyogera kamwa ku kutu gye tuli nga bw’Abikkula Ekigambo kye.

Era omuntu asobola okugamba nti Si lye DDOBOZI ERISINGA OBUKULU LY’OSOBOLA OKUWULIRA? Ekitundu kino mu kunokola kikyo.

Era tebakikkiririza bukkiriza .

Mukama gy’Akoma okutuwa Okubikkulirwa okw’Ekigambo kye, n’ekyo kye tuli, buli muntu ali ebweru w’Okubikkulirwa okwo gy’akoma okutubeera awala.

Ka njogere ekyo, ddala, kale ojja…kijja kunnyikira munda ddala. Njagala kino kitegeerebwe. Eyo y’ensonga ebateganya leero, mulaba, temumanyi Kigambo! Okiraba?

Katonda alinayo abasajja abaafukibwako amafuta okubuulira Obubaka Buno, wabula waliwo Abusoluuti omu yekka: Ekigambo. Bw’owulira omuweereza, oba omuntu yenna ng’ayogera, oteekwa okuba n’okukkiriza okukkiriza nti by’ayogera by’ebyo BYENNYINI DDALA nnabbi wa Katonda byeyamala edda okwogera. Ekigambo kyabwe, okubikkulirwa kwabwe, okuvvuunula kwabwe kuyinza okulemererwa; Eddoboozi lya Katonda ku ntambi TERIRI LEMERERWA.

Yogera ku Katonda mu binyoomebwa nga onyiga zannya…Akyogera NATE.

Bamusubwa, Ekigambo ekiramu ekyoleseddwa mu mubiri, olw’Ekigambo ekyasuubizibwa. Ekigambo kyasuubiza okukola ebintu bino. Ekisuubizo kyakolebwa, nti kijja kuba bwe kiti mu nnaku ez’oluvannyuma.

Wuliriza Okubwatuka kwe. Ekibwatuka lye Ddoboozi lya Katonda. William Marrion Branham ye Ddoboozi lya Katonda eri omulembe guno.

Omu—Omugole tannafuna kudda buggya. Okiraba? Tewabaddewo kudda buggya kubaawo, newankubadde Katonda okweyolesa okukuma omuliro mu Mugole n’okutuusa kati. Okiraba? Tuli mu kinoonya kati. Kijja kwetaagisa Ebibwatuka ebyo omusanvu ebitamanyiddwa emabega eyo, okuddamu okumuzuukusa, olaba. Weewaawo. Ajja kubiweereza. Yakisuubiza. Kati tunula.

Oyinza okukinyoola bw’oba oyagala, wabula Ebibwatuka Omusanvu bijja kuwa Omugole okucamuka okuleetebwa Okubikkulirwa n’okukkiriza okw’okukwakkulibwa, okujja mu ngeri emu yokka eyo nga ye Omwoyo Omutukuvu ng’Ayogera ng’Ayita mu nnabbi wa Katonda. Kigenda mu maaso KATI KATI okwetoloola ensi yonna. Katonda alina Omugole We Acamuse n’Ekigambo kyE.

Si ekyo kyokka, wabula amaze n’okugamba omulabe waffe eky’okukola.

Emikono gyo gikuume nga tegibakoonako. Bamanyi gye balaga, kubanga bafukiddwako amafuta gange. Era olw’okuba nga bafukiddwako amafuta gange, balina omwenge essanyu, ‘kubanga bamanyi Ekigambo kyange eky’ekisuubizo, Ŋŋenda kubazuukiza nate.’ Abo tolumya! Togenda ng’ogezaako okubatabulatabula.

Agambye omulabe waffe akuumire amagalo ge amakyafu okuva wetuli. Wabula obulwadde bukyayinza okutulumba? Weewaawo. Tukyalina ebizibu? Weewaawo. Wabula era Yatugamba eky’okukola.

Kya buziba. Kisome mpola mpola era okiddiŋŋane emirundi n’emirundi.

Nga tekinnaba Kigambo , kiba kirowoozo. Era ekirowoozo kiba kirina okutondebwawo. Kaale. Kale, ebirowoozo bya Katonda byafuuka ebitondeddwawo bwe byayogerwa, okuyita mu Kigambo. Awo w’Akyanjula gyo— gy’oli ng’ekirowoozo, ekirowoozo kyE, era ne kikubikkulirwa. Olwo, kisigala kirowoozo okutuusa lw’okyogera.

Ebirowoozo bye byafuuka ekitondeddwawo bwe byayogerwa. Olwo, ebirowoozo bye byayanjulwa era ne bitubikkulirwa nga biri mu ngeri y’Ekigambo. Kaakano Kikyali kirowoozo ekiri naffe okutuusa lwe tuna Kyogera. N’OLW’EKYO TUKYOGERA… ERA TUKIKKIRIZA.

Yenze Nsigo Ennangira eya Ibulayimu. Yenze Mugole wa Kristo. Nnalondebwa era nnategekerwawo nga ensi tennatondebwa okubeera Omugole we, era tewali kiyinza kukikyusa ekyo. Buli kisuubizo ekiri mu Baibuli kyange. Kye Kigambo kye gyendi. Ndi musika w’Ekisuubizo kyennyini. Ye Mukama Katonda awonya endwadde zange zonna. Kyonna kye nneetaaga kyange, Katonda bw’Atyo bwe yagamba.

Katonda mu Binyoomebwa: Okukkiriza kujja na kuwulira, okuwulira Ekigambo. Ekigambo kijja eri nnabbi.

Buli muntu ayagala okukozesa “OKUNOKOLA” okulaga nti ebirowoozo bye bituufu, okuyiiya kw’ebiriiwoozo bye, obubaka bwe. Era batuufu, nange bwentyo, eyo y’ensonga lwaki byonna bye mbawa kuba kunokola okubagamba nti: Musigale n’Entambi. Muwulirize Eddoboozi eryo. Eryo lye Ddoboozi lya Katonda. Olina okukkiriza buli Kigambo ekiri ku Ntambi, so si omuntu mulala yenna ky’ayogera. Eddoboozi eryo LYE DDOBOOZI ERISINGA OBUKULU LY’OTEEKWA OKUWULIRA.

Abalala bakozesa okunokola okubaleeta mu buweereza bwabwe, mu kkanisa yaabwe, mu kuvvuunula kwabwe, mu kubikkulirwa kwabwe. “Sigala n’omusumba wo.” (Kale, nange okwo nkwagala, kubanga tukikola, enjawulo eri bubeezi nti omusumba tulina mulala.) “Si ke kayinja kokka akali ku lubalama.” “Tagambangako nti muzannye  entambi mu kkanisa.”

Tokiteekako kuvvuunula kwonna okwa ssekinnoomu. Ayagala omulongoofu, atatabikiddwamu birala, tayagla wadde okupepeya. Ssandiyagadde mukyala wange kupepeya na musajja omu omulala. Era bw’otanula okutambula nga bw’owuliriza engeri yonna ey’okukubaganya ebirowoozo, esukka ku Ekyo, oba oteze okutu, oba opepeya ne Sitaani. Amiina! Ekyo tekikuleetera kuwulira ng’oli mu nzikiriza? Katonda ayagala osigale nga totabikiddwamu birala. Sigala awo wennyini n’Ekigambo ekyo. Sigalira ddala awo na Kyo. Kaale.

Naye nze n’ennyumba yange, tujja kunyiga zannya tugoberere Ekigambo kya Katonda ekyafuuka Omubiri nga Kyogera nga kiyita mu malayika we omubaka ow’omusanvu. Tetujja kuKyongerako kuvvuunula kwaffe nga ba sekinnoomu; tetujja kupepeya oba okuwuliriza okukubaganya ebiroowoozo okw’engeri yonna. Tujja KUSIGALA N’EKIGAMBO EKYO NGA BWE KYAYOGERWA KU NTAMBI. Ye Katonda mu Binyoomebwa.

Nga kiseera kya kitiibwa kye tugenda okuba nakyo Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga bwe tuwulira: Akabonero Ak’Okusatu 63-0320 . Njagala okukuyita okutwegattako nga bwe twegattira awamu okwetoloola Ekigambo eky’olwaleero.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnawulira Bubaka:

Omut. Matayo 25:3-4
Omut. Yokaana 1:1, 1:14, 14:12, 17:17
Ebikolwa 2 Essuula
I Timoseewo 3:16
Abebbulaniya 4:12, 13:8
I Yokaana 5:7
Eby’Abaleevi 8:12
Yeremiya Essuula 32
Yoweri 2:28
Zekkaliya 4:12

Ka ntwale omukisa guno okuddamu okukitangaaza obulungi. Siwakanya buweereza bwa mirundi etaano. Nzikiririza mu buweereza obw’emirundi etaano. Siwulira muli nti kikyamu okuwuliriza omuweereza. Nzikiriza nti olina okuwuliriza omusumba wo Katonda gy’akutadde. Ensonga yange eri nti, nzikiriza nti Katonda yatuma nnabbi mu lunaku lwaffe. Katonda Yabikkula Ekigambo kyE eri nnabbi wE. Nnyinza okuba omukyamu, omusumba wo ayinza okuba omukyamu, wabula TUTEEKEDDWA okukkaanya (bwe tuba tugamba nti tukkiriza OBUBAKA BUNO nti ge mazima era nti Ow’oluganda Branham ye nnabbi wa Katonda) ebyayogerwa ku ntambi biri Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama. Ekyo bw’oba tokikkiriza, olwo oba tokkiriza Bubaka buno. Bwentyo, nzikiriza nti lye DDOBOZI ERISINGA OBUKULU LY’OTEEKWA OKUWULIRA. Tekikweetagisa kumpulira nze, tekikweetaagisa kuwulira muntu mulala yenna, wabula OTEEKWA OKUWULIRA EDDOBOOZI ERYO KU NTAMBI.

25-0323 Akabonero Ak’Okubiri

Obubaka: 63-0319 Akabonero Ak’Okubiri

PDF

BranhamTabernacle.org

Abawuliriza b’Entambi Abaagalwa,

Ekibuuzo: Tuli mu Kwagala Kwe okutuukiridde nga tuzannya Entambi?

Okwanukula: WEEWAAWO.

Ekibuuzo: Omugole yeetaaga ebisinga ku ebyo ebyogerwa ku Ntambi?

Okwanukula: NEDDA.

Ekibuuzo: Waliwo kyetuba tusubwa bwetuwuliriza Entambi ZOKKA?

Okwanukula: NEDDA.

Ekibuuzo: Tusobola okubeera Omugole nga tuwuliriza Ntambi ZOKKA?

Okwanukula: WEEWAAWO emu, etaliiko kabuuza newankubadde okubuusabuusa!

Kati jjukira nti, “Mpaawo kinaabikkulibwa, Katonda taliiko ky’Alikola, n’akatono, okutuusa nga Asoose okukibikkulira abaddu be, bannabbi.”

Bwe kityo, BYONNA bye twetaaga byamala okwogerwa era biri ku ntambi; oba, malayika wE ow’omusanvu nga Akomyewo ku nsi, OYO y’ajja okutubuulira mu kaseera ako.

Oh Omugole, leka tufune ekifaananyi mu birowoozo byaffe eky’ebyo ebigenda mu maaso ku Omugole wa Kristo okwetoloola ensi yonna. Kitaffe ali mu kukuŋŋaanya Omugole wE awamu nga Akozesa Eddoboozi lyE era ali mu Kubwatuka nti, “Bw’Ati bw’Ayogera Mukama.”

Jjukira, yatugamba Ebibwatuka byali ki: “okubwatuka kw’Ekibwatuka okw’omwanguka lye ddoboozi lya Katonda”. Era Eddoboozi lya Katonda eri Omugole lye liruwa? Omubaka wa Katonda ow’omusanvu, William Marrion Branham.

Yagamba nti wagenda kujjawo Ebibwatuka musanvu ebisusse ku kutegeera kw’omuntu okwa bulijjo n’okuwandiikibwa ebitaawandiikibwa wadde n’akatono. Era nti okuyita mu Bibwatuka ebyo Omusanvu, bijja kugatta Omugole awamu olw’okukkiriza okw’okukwakkulibwa.

Ekigambo kya Mukama kijja eri bannabbi be. Singa yalina enkola esingako obulungi, Yandigikozesezza. Yeeroboza enkola esinga obulungi ku lubereberye era tasobola, era tali-kyuka.

Na bwerityo, Eddoboozi lya Katonda, nga lyogera okuyita mu malayika we ow’omusanvu, liri mu kugatta Omugole wE era nga lituwa Okukkiriza Okw’okukwakkulibwa.

Ekkanisa teyewuunyizzaako okuva mu 1933, wammanga ku mugga ku lunaku olwo, nti William Marrion Branham ye Ddoboozi lya Katonda, Nga Libwatuka, “Bw’Ati bw’Ayogera Mukama,” era nti yatumibwa okuyitayo, okukuŋŋaanya, n’okukulembera Omugole.

Njagala okubayita okujja okuwuliriza wamu naffe Ssande ku saawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga Mukama waffe Yesu Abikkula Ekitabo, n’ayuzaako Envumbo eyo, n’Akisindika wansi ku nsi, eri malayika wE ow’omusanvu, okukitubikkulira!

Owol. Joseph Branham

Olunaku: Ssande, Omwezi Ogw’Okusatu Nga 23, 2025
Obubaka: Akabonero Ak’Okubiri 63-0319
Obudde: Essaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda)

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnawulira Bubaka:

Omut. Matayo 4:8 / 11:25-26 / 24:6
Omut. Makko 16:16
Omut. Yokaana 14:12
2 Abasessaloniika 2:3
Abebbulaniya 4:12
Okubikkulirwa 2:6 / 6:3-4 / Essuula ey’ekkumi n’omusanvu / 19:11-16
Yoweri 2:25
Amosi 3:6-7

25-0316 Akabonero Akasooka

Obubaka: 63-0318 Akabonero Akasooka

BranhamTabernacle.org

Nnaabakyala Wange ow’Eggulu Omwagalwa,

Nnina bingi nnyo bye nkutegekedde ku Ssande eno. Okusooka, ojja kuwulira okubwatuka kwa Laddu. Lijja kuba Eddoboozi lyange, Eddoboozi lya Katonda nga lyogera naawe, Omugole Wange. Nja kuba nkubikkulira Ekigambo kyange nga bwe kitabangawo. Ojja kundaba Nze, Omwana gw’endiga ogwasaaba omusaayi eyattibwa okuva ku kutondebwa kw’ensi, nga ntwala Akatabo ne nkabikkula, nga nkayuzaako Envumbo ezikasibye, ne nkasindika wansi ku nsi, eri omubaka wange malayika ow’omusanvu, William Marrion Branham, okukubikkulira GGWE ebyama ebibadde bikwekeddwa okuva ku kutondebwa kw’ensi!

Wajja kubaawo enduulu, okuleekaana, ne zi Aleruuya okuva mu nsi yonna nga bwe Njogera nammwe. Empologoma ejja kuba ewuluguma; abaafukibwako amafuta, amaanyi, ekitiibwa, okwolesebwa bijja kuba biyitirivu obutoogerekeka. Ggwe Nnaabakyala wange, ojja kuba otudde wamu mu bifo eby’omu ggulu nga bwe njogera naawe era n’okukuwa Okuyimusibwa okw’amaanyi ennyo mu Kukkiriza.

Jjukira, oteekwa okuba n’Okukkiriza okwo abatukuvu kwe baaweebwa omulundi ogumu. Nakugamba nti, oteekwa okuwuliriza malayika Wange gwe Nakutumira.

Ye wa ku “kyusa Okukkiriza kw’abaana okukuzzaayo eri kitaabwe.” Okukkiriza kwa Baibuli okwasooka kwa kuzzibwawo malayika ow’omusanvu.

Ekigambo kyange kikugamba, mu nnaku z’Eddoboozi lya malayika ow’omusanvu, nga ayimusa eddoboozi lye, nga afuuwa ekkondeere ly’Enjiri; oyo wa kumaliriza ebyama bya Katonda byonna. Tewayinza kubaawo kintu kimu kyongerwako era mpaawo kitoolwako ku bye nnayogera ku ntambi; yogera kyokka kye njogedde nga mpita mu malayika Wange omubaka. Y’ensonga lwaki nnafuba ndabe nga nkikwata ku lutambi, osobolenga OKUNYIGA ZANNYA mu ngeri ennyangungu era owulire kyennyini ddala kye nnayogera, n’engeri gye nnakyogeramu. Kijja kukuwa Okuyimusibwa okw’amaanyi ennyo mu Kukkiriza.

Nnaabakyala wange omwagalwa, mu Maaso Gange, butuukirivu ddala, mu bulambirira, tolina kibi mu maaso gange. Teweeraliikiriranga, TOJJA kuyita mu kibonyoobonyo; kubanga okkirizza Omusaayi gwange, Ekigambo kyange, malayika wange, Eddoboozi lyange, bw’otyo tolina kibi kyonna mu maaso gange.

Nnina ebintu eby’ekitalo ennyo bityo bye mbategekedde. Olaba Ekigambo kyange nga kyeyanjululira mu maaso go buli lunaku. Mbadde nteeka obubonero mu bbanga okukutegeeza nti waliwo ekiteekateeka okubeerawo. Nzija, weetegeke. Teeka Ekigambo kyange, Eddoboozi lyange, mu kifo ekisooka mu bulamu bwo.

Teeka ku bbali buli kimu, tewali kikulu okusinga Ekigambo kyange. Nkimanyi omulabe agezaako okukukuba okukussa wansi, naye nakusuubiza nti nja kukusitula. Ndi naawe, era MU GGWE. Nze naawe tufuuka Omu nga bwe nkubikkulira Ekigambo kyange.

Omanyi mu mutima gwo, YE GGWE Mugole Nnaabakyala wange. Omanyi nakutegekerawo. Okimanyi nti nkwagala. Omanyi ndi naawe buli katikitiki ka buli lunaku. Omanyi SIRI KULEKA.

Tujja kuba tuba n’akaseera ak’ekitalo ennyo nga bwe nkubikkulira ebisingawo buli Ssande, buli lunaku, nga bw’oMpulira nga njogera naawe nga mpita mu malayika wange. Abalala bayinza obutategeera oba okulaba by’olaba, wabula Kisudde ennanga mu mutima gwo nti lino ly’Ekkubo lyange lye Nnateekawo.

Nga kiddukiro nnyo kye nkugabiridde. Osobola Okunyiga Zannya obudde bwonna, emisana oba ekiro, okumpulira nga njogera naawe. Nja kuleeta okubudaabudibwa eri emmeeme yo nga bwe mbikkula Ekigambo kyange era nga nkubuulira ky’oli. Buli Bubaka buweebwa lwa kuba nga ggwe, era bubwo wekka. Tusobola okussa ekimu n’okusinza ffenna buli lw’oyagala.

Ssande ku saawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), ekitundu ky’Omugole kigenda kukuŋŋaanyizibwa okuva mu nsi yonna okuwulira ebyama bino ebikulu nga bibikkulwa. Nkuyita okujja okutwegattako nga bwe tuwulira, 63-0318 – “Akabonero Akasooka”.

Owol. Yusufu

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga twetegekera okuwulira Obubaka:

Omut. Matayo 10:1 / 11:1-14 / 24:6 / 28:19
Omut. Yokaana 12:23-28
Ebikolwa 2:38
2 Abasessaloniika 2:3-12
Abebbulaniya 4:12
Okubikkulirwa 6:1-2 / 10:1-7 / 12:7-9 / 13:16 / 19:11-16
Malaki Essuula ey’okusatu n’ey’okuna
Danyeri 8:23-25 / 11:21 / 9:25-27

25-0309 Ebbanga Wakati w’Emirembe gy’Ekkanisa Omusanvu N’Obubonero Omusanvu

Obubaka: 63-0317E Ebbanga Wakati w’Emirembe gy’Ekkanisa Omusanvu N’Obubonero Omusanvu

BranhamTabernacle.org

Abazziddwawo Abaagalwa,

Sikoowa kuwulira Eddoboozi lya Katonda nga litugamba kye tuli, gye tuva, gye tugenda, bye tuli abasika baabyo, na butya bw’Atwagala.

Obwakabona obw’omwoyo, eggwanga ery’obwakabaka, nga liwaayo ssaddaaka ez’omwoyo eri Katonda, ebibala by’emimwa gyabwe, nga batendereza Erinnya lye.” Nga abantu —nga bantu nnabaki! Abalina.

Okubudaabudibwa kwaffe kwokka n’emirembe bijja nga tuwulira Eddoboozi lya Katonda nga Lyogera gyetuli, olwo ne twogera nga tuddamu Kitaffe nga tuwaayo ssaddaaka ez’omwoyo nga tuyita mu bibala by’emimwa gyaffe, nga tutendereza Erinnya lye.

Ensi eno yonna eri mu kusinda. Obutonde businda. Tusinda era nga tulindirira okujja kwa Mukama. Ensi eno terina ky’etukwatidde. Tuli beetegefu okuvaawo tugende mu Kyeggulo kyaffe eky’Embaga ey’obugole n’Amaka gaffe Agajja wamu naYe n’abo bonna abaatuukayo edda Eyo, nga waakasukka olutimbe lw’ebiseera, abatulindiridde.

Leka tugolokoke twegugumule! Tusune ku muntu waffe ow’omunda, twesisimule tulabe ebigenda mu maaso mu kiseera kino n’ebigenda okubaawo mu kaseera k’okutemya ekikoowe.

Mu byafaayo by’ensi tekisobokangako Omugole wa Kristo okwegatta okuva mu nsi yonna, bonna mu kiseera kye kimu ddala, okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga lyogera n’okubikkulira Omugole wE Ekigambo kyE.

Abakkiriza mwebuuze, ddoboozi ki, muweereza ki, musajja ki, ayinza okugatta n’okukuŋŋaanya Omugole wa Kristo yenna awamu? Bw’oba nga oli Mugole wa Kristo, okimanyi nti mu ngeri ennyangungu tewali Ddoboozi ddala lyonna okuggyako Eddoboozi lya Katonda ku ntambi.

Weewaawo, Omwoyo Omutukuvu ali mu buli omu ku ffe, mu buli woofiisi y’ekkanisa, wabula Katonda Mwene yatugamba nti aliramula ensi nga akozesa Kigambo kyE. Omugole amanyi nti Ekigambo kyE kijja eri nnabbi wE. Nabbi wE ye muvvuunuzi YEKKA ow’obwakatonda ow’Ekigambo kyE. Bye yayogera tebiyinza kwongerwako wadde okutoolwako. Ekigambo, ku ntambi, ffenna ky’ekiri sinziirwako okutusalira omusango, so si kigambo ekirala kyonna oba okuvvuunula kwonna okw’Ekigambo ekyo.

Tekisoboka eddoboozi eddala lyonna okugatta Omugole. Ddoboozi lya Katonda lyokka eriri ku ntambi lye Lisobola okugatta Omugole wE. Kye Kigambo kyokka Omugole ky’ayinza okukkaanyizaako yenna. Ly’Eddoboozi lyokka Katonda Mwene lye Yakakasa okuba Eddoboozi lyE eri Omugole wE. Omugole we alina okuba mu Ndowooza Emu n’Endagaano emu okusobola okubeera nayE.

Obuweereza bwa ddembe okuweereza, abayigiriza ba ddembe okuyigiriza, abasumba ba ddembe okusumba,wabula Eddoboozi lya Katonda ku ntambi lirina okuba nga ly’Eddoboozi erisinga obukulu lye balina okuteeka mu maaso g’abantu. Eryo ye Abusoluuti w’Omugole.

Bw’oba olina Okubikkulirwa kw’ekyo, olwo kino kye kigenda okubaawo.

Ekigambo kitugamba nti Adamu yafiirwa obusika bwe, ensi. Yamuva mu mikono n’edda mu gy’oyo eyamugula, Sitaani. Yatunda okukkiriza kwe mu Katonda, n’akuguza okukubaganya ebiroowozo okwa Sitaani. Yafiirwa buli kamu ne kadda mu mikono gya Sitaani. Yagiwaayo okuva mu mukono gwe n’agikwasa Sitaani.

Katonda ye Katonda w’obutonde bwonna n’obuli wabweru w’ensi eno omuntu kw’awangaalira, buli wamu, wabula omwana we, Adam, yalina ensi eno omuntu kw’awangaalira wansi w’obuyinza bwe. Yali asobola okwogera, yali asobola okutuuma amannya, yali asobola okugamba, yali asobola okuyimiriza obutonde, yali asobola okukola kyonna ky’ayagala. Yalina obuyinza obujjuvu, obw’enkomeredde ku nsi.

Adamu byonna yabifiirwa, naye ekitiibwa kibe eri Katonda, byonna bye yafiirwa ne bye yasingayo ng’omusingo binunuliddwa Omununuzi waffe Ow’omu lulyo, atali mulala yenna wabula Katonda Omuyinza w’ebintu byonna, eyafuuka Emmanweri, omu ku ffe. KAAKANO, BYAFFE.

Tuli batabani be era bawala be abagenda okufuga era tubeere bakabaka ne bakabona wmu nayE. Tulina obulamu obutaggwaawo wamu naye n’Abaagalwa baffe bonna. Nga tewakyali bulwadde, nga tewakyali nnaku, nga tewakyali kufa, wabula obutaggwawo nga tuli ffenna wamu.

Ekyo bwe tukirowoozaako, tuyinza tutya okuleka sitaani okutukkakkanya? KYAFFE, eyo gye tugenda okwolekera mu bbanga ttono ddala. Atuwadde ekintu ekisinga obukulu kye Yandituwadde. Ennaku zino entono ez’okugezesebwa n’ebigezo ku nsi eno zibbira mangu mu BUWANGUZI bwaffe OBW’EKITALO OBUTULI ENNAKU BUNAKU MU MAASO.

OKUKIRIZA kwaffe tekweyongerangako kusingako wano. Essanyu lyaffe teribangako waggulu nnyo kukira kati. Tumanyi kye tuli na wa gye tugenda. Tukimanyi nti tuli mu Kwagala kwe okutuukiridde nga tusigala n’Ekigambo kyE. Kye twetaaga okukola kwe kusigala n’entambi ne tukkiriza buli Kigambo; si okubitegeera byonna, WABULA OKUKKKIRIZA BULI KIGAMBO…era TUKIKOLA!

Okukkiriza kujja na kuwulira, okuwulira Ekigambo. Ekigambo kijja eri nnabbi. Katonda Yakyogera. Katonda Yakiwandiika. Katonda Yakibikkula. TuKiwulira EKYO. TukiKkiriza EKYO.

Okubikkulirwa kuno engeri yokka gy’osobola okukufuna eri ng’owulira Eddoboozi lya Katonda ku ntambi.

Ebyo byonna Kristo by’Agenda okukola ku nkomerero bijja kutubikkulirwa wiiki eno, mu Nvumbo Omusanvu, Katonda bw’Anaatukkiriza. Olaba? Kaale. Bijja kubikkulwa. Era nga bibikkuddwa, Envumbo nga bwe zimenyebwa ne zisumululwa gyetuli, olwo tusobola okulaba enteekateeka eno ey’ekitalo ey’okununulibwa ky’eri, era ddi na ngeri ki gy’egenda okukolebwamu. Byonna bikwekeddwa mu Kitabo kino eky’ekyama wano. Kissiddwako envumbo, kisibiddwa Envumbo Musanvu, era bwe kityo Omwana gw’Endiga ye yekka Asobola okuzimenya.

Ssande eno  ku saawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), ekitundu ky’Omugole okuva mu nsi yonna kigenda kuwuliriza Eddoboozi lya Katonda bonna mu kiseera kye kimu. Tujja kuba tubwatukira eggulu n’essaala zaffe era nga tumusinza. Nkuyita okujja okutwegattako nga bwe tuwulira: Ebbanga Wakati w’Emirembe gy’Ekkanisa Omusanvu N’Obubonero Omusanvu 63-0317E .

Nsaba muleme kwerabira ku nkyukakyuka mu budde mu Jeffersonville wiikendi eno.

Owol. Joseph Branham

25-0302 Katonda Nga Yeekweka Mu Binyoomebwa, Olwo N’Abyebikkuliramu

Obubaka: 63-0317M Katonda Nga Yeekweka Mu Binyoomebwa, Olwo N’Abyebikkuliramu

BranhamTabernacle.org

Amalanga G’oku Mazzi Abaagalwa,

Omwezi Ogw’Okubiri Ennaku Z’Omwezi 28, 1963, waaliwo Okubwatuka. Whew-whew, Bamalayika Musanvu baava mu butaggwawo nebalabikira Omubaka wa Katonda ow’omusanvu. Yasitulibwa waggulu n’ayungibwa mu piramidi y’ekibinja ky’emmunyeenye ekyo. Awo, ekire eky’amaanyi agasusse ku g’obutonde ne kirabika mu bbanga waggulu wa Arizona. Kaali kabonero, Katonda yali asindika malayika we ow’omusanvu okuddayo e Jeffersonville okubembula Envumbo Omusanvu.

Omwezi Ogw’Okubiri Ennaku Z’Omwezi 28, 2025, pulaneti musanvu zaasimbye mu lunyiriri lumu mu bwengula. Omugole ali mu kwetegekera okukuŋŋaana okuwulira Envumbo Omusanvu.

Oyitibwa, Mukama waffe yennyini, okukuŋŋaana n’Omugole okuva mu nsi yonna, okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga libikkula Okubikkulirwa kw’Envumbo Omusanvu.

Olunaku bannabbi n’abagezigezi lwe beegombanga era lwebaalindiriranga okuva ku ntandikwa y’ebiseera, lugenda mu maaso. Malayika ow’amaanyi Katonda gwe yagamba nti agenda kutuma ku nsi mu nnaku ez’oluvannyuma azze okubembula n’okubikkula ebyama bya Katonda ebikusike, Mukama waffe Yesu asobole okukomawo okucima Omugole wE omwesigwa n’okututwala ku ky’Eggulo kyaffe eky’Embaga ey’Obugole.

Obuvunaanyizibwa bwange obwasooka, bwe nnali nnyingira mu kizimbe ky’ekkanisa ekipya, nnagata omuvubuka omuto n’omuwala mu bufumbo obutukuvu nga bayimiridde mu woofiisi. Ka kibeere ekifaananyi, nti nja kuba muweereza omwesigwa eri Kristo, okuteekateeka Omugole olw’omukolo gw’Olunaku olwo.

Leero, Ekigambo kino kiri mu kutuukirizibwa. Katonda ali mu kwogera ng’Ayita mu malayika wE, ng’Ateekateeka Omugole wE olw’omukolo gw’Olunaku olwo. Tuli mu kugoberera ebiragiro bye okutuuka ku kutuukiriza buli nnukuta ebirimu. Omugole yeetegese nga ASIGALA N’EDDOBOOZI LYA KATONDA KU NTAMBI.

Kiki kye twaakawulira okuyita mu birooto n’okwolesebwa? Emmere, YIINO WANO, kino kye kifo. Eddoboozi ne limugamba nti, “Yingiza Emmere. Gitereke mu ggwanika munda. Eyo y’engeri yokka ey’okubakuumira wano, kwe kuziwa Emmere.”

Bangi bakkiriza nti ategeeza butegeeza nti, “sigala busigazi n’Ekigambo,” era ekyo KITUUFU, ekyo ali mu kukyogera; wabula Omugole era ajja kusoma wakati w’ennyiriri ng’Omugole Omusajja bw’Ayogera n’Omugole we.

N’okwolesebwa Katonda kw’Awa wano mu kifo kino, kutegeerebwa bubi nnyo. Eyo y’ensonga lwaki mumpulira ku ntambi, nga ŋŋamba nti, “Yogera entambi kye zoogera. Yogera okwolesebwa kye kwogera.” Kati, bw’oba nga outunula bwankaliriza nga toliimu tulo, ojja kubaako ky’olaba. Olaba? Ka nsuubire nti tekinneetagisa kukikwata mu ngalo ne mbalaga.

N’okwolesebwa kwategeerwanga bubi, n’ oluvannyuma lwe ng’abawadde enzivuunula. Ekyo ky’abadde atugamba, bw’oba toyagala kusoberwa, oba obutategeera, Nyiga Zannya owulire ddala Eddoboozi lya Katonda kye Ligamba.

Nkimanyi nti Ekigambo kirina amakulu ag’enjawulo, naye eno y’entaputa yange: Ebirooto n’okwolesebwa byonna byayogera ekintu ky’ekimu; sigala n’entambi. Bw’oba ofunye ekibuuzo, genda eri entambi. Entambi ye Mmere ya Katonda eyaterekebwa mu ggwanika. Yogera kyokka ekiri ku ntambi; toyongerako kintu kyonna ku Kyo. Entambi ziri Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama eri Omugole. Ekigambo kijja eri nnabbi, yekka. Nabbi ye muvvuunuzi YEKKA ow’obwakatonda ow’Ekigambo. Nabbi yali wa kuyitayo n’okukulembera Omugole. Ndisalirwa omusango kusinziira ku ebyo ebyogerwa ku NTAMBI.

Buli kimu kinsonga ku NTAMBI.

Amalanga gange ag’oku mazzi abaagalwa, gyendi, OKUNYIGA ZANNYA YE KATONDA MU BINYOOMEBWA KULW’OLWALEERO.

Buli wiiki nnyongera okucamuka; kiki ekigenda okubikkulwa leero nga Omugole wE akuŋŋaana okuwulira Obubaka? Nkimanyi Omwoyo Omutukuvu ajja kuba afuka amafuta ku buli omu ku ffe nga bw’Abikkula Ekigambo kyE nga bwe kitabangawo. Mpulira, mu kaseera konna, ajja kujja atukwate atutwale ku ky’Eggulo kyaffe eky’Embaga Ey’Obugole.

Ffe tuli, batabani era bawala ba Katonda. Ffe tuli, ezzadde eriva mu Katonda. Ffe tuli, obusika bw’ensi. Tulifuga obutonde. Tujja kwogera ebintu eitabaddewo ne bibeerawo. Ffe tuli Mugole!

Leka tweweeyo buggya eri omulimu, era twewongeyo eri Kristo.

Owol. Joseph Branham

Olunaku: Ssande Omwezi Ogw’Okusatu Ennaku Z’Omwezi 2, 2025

Obubaka: Katonda Nga Yeekweka Mu Binyoomebwa, Olwo Ne Yeebikkulira Mu Kintu kye kimu 63-0317M

Obudde: Ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda).

25-0223 Kano Ke Kabonero K’enkomerero Ssebo?

Obubaka: 62-1230E Kano Ke Kabonero K’enkomerero Ssebo

BranhamTabernacle.org

Bassebo Abaagalwa,

Kano ke, Akabonero. Kino kye kiseera. Buno bwe, Obubaka. Kino kye, Ekigambo. Lino lye, Eddoboozi lya Katonda. Ono ye Mwana w’Omuntu. Lino lye, ekkubo lya Katonda ly’Ataddewo. Eno y’enkomerero y’ebiseera.

Tewali nnabbi, tewali mutume, tewabangawo, mu kiseera kyonna, ali awangaalidde mu kiseera nga kye tulimu kati. Kiwandiikiddwa mu bwengula. Kiwandiikiddwa ku nsi kuno wonna. Kiwandiikiddwa mu buli lupapula lw’amawulire. Eno y’enkomerero, bw’oba osobola okusoma obuwandiike bw’omukono.

Oyo alina okutu, awulire Katonda bye Yayogera, era bye Yakwata ku lutambi, bwe kityo kireme kuba kigambo kyange, birowoozo byange, ekirowoozo kyange, wabula Eddoboozi lya Katonda lyenyini nga liragirira Omugole wE ekkubo lyE ettuukirivu LYOKKA lye Yateekawo ku lw’olwaleero lye liruwa.

Mujje muwulirize nga bw’Atubuulira era n’Atubikkulira okuyita mu byawandiikibwa, mu kwolesebwa, mu kutaputa ebirooto, okusigala n’Obubaka, okusigala n’entambi. Yogera KYOKKA ekiri ku ntambi.

Tewali kkubo lisingako obulungi, lisingako obukakafu, okusinga okuwulira Eddoboozi lya Katonda okuva eri Katonda Mwene. Katonda yalagira Omugole we nga Ayogera ng’Ayita mu nnabbi wE n’atugamba nti, MUNYIGE ZANNYA, kikoma awo.

Kyogere, Kibuulire, kijulireko, era obuulire ensi ku Kyo, naye Atugamba nti waliwo engeri emu yokka etuukiridde eyateekebwawo ey’okutuukiriza Omugole: wuliriza Eddoboozi lya Katonda ku ntambi. Bwe wabaawo ekintu ekikutabula okutegeera, zannya olutambi. Liteekwa okuba nga lye LISOOKA, era Eddoboozi erisinga obukulu ly’olina okuwulira. Kye Kigambo kye ekituukiridde kye Yateeka ku lutambi.

Kati n’ekyo kigeraageranye n’ebirala, ebirooto. Kuno kwali kwolesebwa. Emmere, yiino wano. Kino kye kifo.

Wuliriza, okusinziira ku birooto n’okwolesebwa, Emmere y’Omugole eri ludda wa? Ekifo kiri ludda wa? Obubaka eri Omugole buli ku ntambi.

Era wano wampulikira ng’awaka, gyendi. Kino kye kifo. Era bwe weetegereza, ebirooto byayogera ekintu kye kimu, laba, awo Emmere w’eri.

Okukakasa nti tukifuye, atugamba omulundi omulala, entambi ze Mmere y’Omugole.

“Ekiseera tekikyaliwo.” Bwe kiba bwe kityo, leka twetegeke mikwano okusisinkana Katonda waffe.

Weewawo, Mukama, okwo kwe kuyaayaana kw’omutima gwaffe, okuba abeetegefu okukusisinkana, okubeera Omugole Wo. Tukole ki Mukama? Ekkubo Lyo ly’Otaddewo lye liruwa? Enteekateeka Yo y’eruwa? Ekkubo Lyo erituukiridde lye liruwa? Watuweereza nnabbi gwe Wayinza okwogereramu okutubuulira. Tusaba otulagirire.

Wabaddewo Emmere nnyingi eyingiziddwa kati. Katukikozese. Katukikozese kati.

Omuntu ayinza okuba omuzibe w’amaaso kwenkana wa? Atubuulira eky’okukola: Waliwo emmere eterekeddwa nnyingi ku ntambi; muzikozese KATI. Kino kye kiragiro kya Katonda eri Omugole wE.

Bwoba ogamba nti okkiririza Obubaka buno, kkiriza nti William Marrion Branham ye nnabbi wa Katonda omubaka eyasindikibwa okuyitayo Omugole; obulamu bwe butuukiriza ebyawandiikibwa byonna ebyogera ku ye; kkiriza nti Lye Ddoboozi lya Katonda olw’olunaku luno, olwo YE; Katonda, ng’Ayogera ng’Ayita mu nnabbi wE, abuulira Omugole mu Lungereza olutegeerekeka eky’okukola.

Wadde nga tusekererwa, tuyigganyizibwa, era ne tunyoomebwa kubanga tuwuliriza ntambi zokka, tukola ekyo kyennyini kye Yatugamba okukola. Mukama Webale olw’Okubikkulirwa.

Njagala okuyita ensi okutwegattako Ssande eno ku saawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), nga bwetuwulira: “Kano Ke Kabonero K’Enkomerero, Ssebo?” Tugenda kuba tuwulira byonna ebikwata ku:

Ebibwatuka, Obubonero Omusanvu, Olwazi lwa Piramidi, Emmere ey’Omwoyo, Obutaggwawo, Ekibinja kya Bamalayika, Ekitebe kyange, Okwolesebwa, Ebirooto, Obunnabbi, Ebyama Ebikwekeddwa, Kyawandiikibwa oluvannyuma lwa Kyawandiikibwa.

Tewali kikulu mu bulamu buno okusinga okuwulira n’okugondera Eddoboozi lya Katonda.

Owol. Joseph Branham

Bw’eti bw’efundikira ebbaluwa.

Biibino ebyawandiikibwa eby’eky’okuyigako kyaffe eky’oku Ssande.

Ebyawandiikibwa :

Malaki Essuula 4 yonna

Omutukuvu Matayo 13:3-50

Abaruumi 9:33 / 11:25 / 16:25

1 Abakkolinso 14:8 / Essuula 15 yonna

Abaggalatiya 2:20

Abeefeso 3:1-11 / 6:19/ 5:28-32

Abakkolosaayi 4:3

1 Abasessaloniika 4:14-17

1 Timoseewo 3:16

Abebbulaniya 13:8

2 Peetero 2:6

Okubikkulirwa 1:20 / 3:14 / 5:1 / 6:1 / 10:1-7 / Essuula 17 yonna

25-0216 Wiiki Ya Danyeri Ey’Ensanvu

Obubaka: 61-0806 Wiiki Ya Danyeri Ey’Ensanvu

PDF

BranhamTabernacle.org

Abatunula Era Abalindiridde Abaagalwa,

Waliwo okucamuka mu Mugole nga bwe kitabangawo. Tuli wansi w’okusuubira okw’amaanyi; omwaka gwaffe ogwa jubileewo guteekateeka okubeerawo. Omugole alindiridde ebbanga ddene olunaku luno okutuuka. Enkomerero y’omulembe gw’ab’amawanga etuuse era entandikwa y’obutaggwawo ne Mukama waffe ejja kuba etandika mangu.

Tuli mu kutegeera ekiseera kye tulimu nga tuwulira Ekigambo. Ebiseera biweddewo. Ekiseera ky’Okukwakkulibwa kituuse. Tutuuse. Omwoyo Omutukuvu azze n’abikkula eri Omugole wE ebintu byonna ebikulu, eby’obuziba, eby’ekyama.

Tuli mu kabyangatano, nga tunoonya Katonda; nga tweteekateeka. Tukasuse eri ebintu byonna eby’ensi eno. Emitawaana gy’obulamu buno tegirina kye gitegeeza gye tuli. Okukkiriza kwaffe kutuuse ku ddaala erya waggulu ko okusinga bwe kyali kibadde. Omwoyo Omutukuvu ali mu kuwa Omukyala wE Omulonde Okukkiriza okw’Okukwakkulibwa, asobole okujja Amutwale.

Sabbiiti zino enkaaga mu omwenda zaatukagana bulungi ddala n’ekipimo; okugenda kw’Abayudaaya kwatukagana bulungi ddala n’ekipimo; omulembe gw’ekkanisa gwatukagana bulungi ddala n’ekipimo. Tuli mu kiseera eky’enkomerero, ekiseera eky’enkomerero, mu mulembe gw’ekkanisa y’e Lawodikiya, ku nkomerero yaagwo. Ababaka b’emmunyeenye bonna babuulidde obubaka bwabwe. Bufulumye ne bubuna wonna. Tuli mu kutambulira ku lubalama.

Nga kiseera Ekitakkirizikika ate nga kituufu. Kye kiseera ekisinga obuzibu kubanga omulabe alumba buli muntu nga bwe kitabangawo. Ali mu kutukanyugira buli ky’alina. Ali mu kubyangatana, kubanga akimanyi nti ekiseera kyE kituuse.

Wabula mu kiseera kye kimu kyennyini, tetubangako basanyufu kukirako wano mu bulamu bwaffe.

  • Tetwongerangako kusemberera Mukama waffe okusinga bwekiri kati.
  • Omwoyo Omutukuvu ajjuza buli luwuzi lw’omubiri gwaffe.
  • Okwagala kwaffe eri Ekigambo kyE tekwongerangako bungi okusinga bwekiri kati.
  • Okubikkulirwa kwaffe okw’Ekigambo kyE kujjuza emmeeme yaffe.
  • Tuli mu kumegga buli mulabe n’Ekigambo.

ERA, tetubangako bakakafu kukira nga bwetuli kati ku kiki kye tuli:

  • ABAATEGEKERWAWO
  • ABALONDE
  • ABO BE YEEROBOZA
  • EZZADDE EDDANGIRA
  • A’B’OKU MUTIMA
  • ABATAGGWAWO, ABAMBAZIDDWA EBYAMBALO EBYERU, MUKYALA JÉSUS, ABAWULIRIZA ENTAMBI, ABAAKIDDWAKO EKITANGAALA, OMUWALA OMULONGOOFU, ABAJJUZIDDWA OMWOYO, BA NNANTAMEGGWA, ABATONGOZEDDWA, ABATAGATTIDDWAMU BIRALA, OMUGOLE EKIGAMBO EMBEERERA.

Kiki ekiddako? Ejjinja lijja. Tuli mu kutunula, nga tulindiria era nga tusaba buli ddakiika ya buli lunaku. Tewali kirala kikulu okuggyako okwetegekera okujja kwE.

Tekiri nti, “Tusuubira bwe kiri”, TUMANYI. Tewakyali kubuusabuusa kwa ngeri yonna. Mangu ago, nga kutemya kikoowe kijja kuba kiwedde, era tujja kuba ku ludda luli olulala n’abaagalwa baffe bonna na YE ku Kyeggulo kyaffe eky’Embaga Ey’Obugole.

ERA EYO EBA EKYALI NTANDIKA BUTANDIKIWA…ERA TEKIJJA KUBAAKO  NKOMERERO!!

Jjangu weetegekere Eky’eggulo ekyo eky’Embaga Ey’Obugole wamu naffe Ssande eno ku saawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), nga Katonda Ayogera ng’Ayita mu malayika we ow’amaanyi, oyo gwe Yatuma okukulembera Omugole wE, nga bw’anyumya, n’okubikkula, ebyama bya Katonda byonna.

Owol. Joseph Branham

Obubaka: 61-0806 – Sabbiiti ey’ensanvu eya Danyeri