“Nze Omulyango oguyingira mu kisibo ky’endiga. Nze Ekkubo, Ekkubo lyokka, Amazima, n’Obulamu, era tewali ajja eri Kitange, wabula ng’ayita mu nze. Nze Omulyango oguyingira eri ebintu byonna, n’okukkiriza kye kisumuluzo ekisumulula Omulyango ogwo ggwe osobole okuyingira.”
Waliwo omukono gumu gwokka ogusobola okukwata ekisumuluzo kino, era ogwo gwe mukono gw’OKUKKIRIZA. OKUKKIRIZA kye kisumuluzo kyokka ekisumulula ebisuubizo bya Katonda byonna. OKUKKIRIZA mu mulimu gwE oguwedde kusumulula buli mulyango eri buli kya bugagga ekiri munda mu Bwakabaka bwa Katonda. OKUKKIRIZA kye Kisumuluzo kya Katonda kiri ki Muggula-buli-kinyolo ekisumulula BULI LUJJI LW’OMUGOLE WE era Tukutte Ekisumuluzo ekyo mu MUKONO gwaffe OGW’OKUKKIRIZA.
Ekisumuluzo ekyo eky’okukkiriza kiri mu mitima gyaffe, era tugamba nti, “Kye Kigambo kya Katonda; By’ebisuubizo bya Katonda gye tuli, era ffe tukutte ekisumuluzo”. Era awo, na buli katundu k’okukkiriza ke tulina, nga tetubuusabuusa yadde akatundu akamu, tusumulula buli mulyango oguyimiridde wakati waffe n’emikisa Katonda gy’Atutegekedde. Kuzikiza effujjo ly’omuliro. Kusumulula okuwonya eri abalwadde. Kusumulula obulokozi bwaffe. Tutuuse ku Mulyango era kyonna kye tukola mu kigambo oba mu bikolwa, byonna tubikola mu Linnya Lye, nga tumanyi nti tulina ekisumuluzo ky’okukkiriza; era nga kisumuluzo ekikoleddwa mu Byawandiikibwa.
Kitaffe yakwata emmunyeenye ze omusanvu, ababaka be omusanvu, abatumibwa eri emirembe omusanvu mu mukono Gwe. Abakutte mu mukono Gwe, bwe batyo bakwatagana n’amaanyi ge. Ekyo omukono kye gutegeeza. Kitegeeza amaanyi ga Katonda! N’obuyinza bwa Katonda.
Tukutte Ekigambo kye mu mukono gwaffe ogw’Okukkiriza, ekitegeeza nti amaanyi n’obuyinza bwa Katonda buli mu MIKONO GYAFFE era Atuwadde EKISUMULUZO okusumulula buli mulyango ku buli kimu kye twetaaga. Kye Kisumuluzo Mukama wa buli lujji ekigenda okusumulula BULI LUJJI.
Kaakano mmanyi lwaki Katonda Yatuwa engalo 5 mu buli mukono; si 4, si 6, wabula 5, kibe nti buli lwe tunatunuulira emikono gyaffe tujja kujjukira, tulina OKUKKIRIZA okusumulula buli luggi.
Kabonero ak’olubeerera eri olulyo lw’omuntu bwetutyo tulemenga okwerabira; bulijjo tujjukirenga era tufunenga obuvumu, nti OKUKKIRIZA okwo tukukutte mu mikono gyaffe. Era Ajja kukuza okukkiriza kwaffe okw’akasigo ka kalidaali era Atuwe OKUKKIRIZA KWE OKW’EKITALO MU KIGAMBO KYE EKITALEMERERWA, EKISIGALAWO LUBEERERA EKITALIREMERERWA!!!
Tusobola okuwanika emikono gyaffe nga gitunudde eri Eggulu, ne twanjuluza engalo zaffe 5 ku buli mukono ne tuMugamba nti, “Kitaffe, tukkiriza era tulina OKUKKIRIZA mu buli Kigambo kyeWayogera. Kye Kisuubizo Kyo, Ekigambo Kyo, era Ojja kutuwa OKUKKIRIZA KWE TWETAAGA singa tunakkiriza bukkiriza….era TUKKIRIZA.”
Nga bwetutajja kuba na Lukuŋŋaana lwaffe Olw’Okussa Ekimu okutuusa ku Ssande akawungeezi, njagala okubakubiriza okulondawo Obubaka bwemugenda okuwulira n’Ekkanisa yammwe, ab’omu maka gammwe, oba ssekinnoomu, ku Ssande ku makya, mu kiseera ekikusaanira. Mazima ddala tewali ngeri ndala esinga ey’okwekenneenyaamu Okukkiriza kwaffe esinga ku kuwulira Ekigambo; kubanga OKUKKIRIZA kujja na kuwulira, okuwulira Ekigambo, n’Ekigambo kyajja eri nnabbi.
Olwo ffenna twegatte wamu ku ssaawa 11:00 (kkumi n’emu) ez’omu kawungeezi. (mu budde obw’omu kitundu ky’olimu) okuwuliriza Obubaka, 62-1007 Ekisumuluzo Ky’Olujji. Nga bwe kyalangiddwa, nnandyagadde okufuula luno Olukuŋŋaana olw’enjawulo olw’Okussa Ekimu, olugenda okuzannyibwa ku Voyisi Leediyo ku ssaawa 5:00 11:00 (kkumi n’emu) ez’omu kawungeezi (mu budde bwe Jeffersonville, z’essaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttumbi e Uganda). Osobola okuwanula n’okuzannya olukuŋŋaana luno mu Lungereza oba ennimi endala ng’onyiga wano: MUKUTU GUNO.
Nga mukisa nnyo gwe tulina okuyita Mukama waffe Yesu okulya na buli omu ku ffe mu maka gaffe, mu makanisa gaffe, oba wonna w’oli. Munsabire bwe muba mwogerako naye, nga nange ddala bwe njija okuba nga mbasabira.
Njagala tubeere n’olukuŋŋaana olulala olw’Okussa Ekimu n’Okunaaza Ebigere Ssande eno Omwezi Ogw’Omwenda Ennaku Z’Omwezi 29, Mukama nga Ayagadde. Nga bwetukozenga emabega, mbakubiriza okutandika ku ssaawa 11:00 (kkumi n’emu) ez’omu kawungeezi mu budde obw’omu kitundu kye mulimu. Newankubadde nga Ow’oluganda Branham yagamba nti abatume buli lwe baakuŋŋaananga awamu baalyanga Okussa Ekimu, yasinganga kwagala kukukolanga mu budde obw’akawungeezi, era yakuyitanga Ekyeggulo kya Mukama waffe.
Obubaka n’olukuŋŋaana olw’Okussa Ekimu bijja kubaayo ku Voyisi leediyo, era wagenda kubaawo n’omukutu oguwanulwako olutambi ku lw’abo abatasobola kuba na muggukiro ku Voyisi leediyo ku Ssande akawungeezi.
Ku lw’abakkiriza mu kitundu kya Jeffersonville, tujja kuddamu okuba ne wayini w’ Okussa Ekimu gw’oyinza okucima. Ekirango kigenda kufuluma mu bbanga ttono nga kiraga ekifo, olunaku n’essaawa.
Mazima ndi wansi w’okusuubira okulaba nga tutuukiriza ekiragiro kino ery’omuwendo Mukama waffe kye Yatulekera. Nga mukisa nnyo gye tuli okuteekateeka amaka gaffe n’okuggulawo emitima gyaffe Kabaka wa Bakabaka okuyingira n’okulya naffe ku Meeza ye.
Tuli kikula kyennyini ekya Kitaffe ow’omu Ggulu; kubanga twali mu Ye ku lubereberye. Tetukijjukira kati, naye twaliyo eyo naYe, era Yatumanya. Yatwagala nnyo okukamala bw’Atyo n’Atufuula omubiri, Asobole okuwuliziganyanga naffe, okwogera naffe, n’okutusikako mu ngalo Atusikeko.
Naye Sitaani yajja agoberera n’akyusakyusa Ekigambo kya Katonda ekyasooka, Obwakabaka bwe, n’enteekateeka Ye ku lwaffe. Yakyusakyusa abasajja n’abakazi n’aba n’obuwanguzi mu kukyamya n’okweddiza ensi eno gye tulimu. Afudde ensi obwakabaka bwe, olusuku Adeni lwe.
Kye kiseera ekisinga okuba ekiwuddiisa obusimu bw’omubiri ate ekitateeberezeka mu ngeri ey’obulabe ekyali kibaddewo. Sitaani ateze buli katego ak’obulimba obw’ekikugu k’asobola; kubanga ye ye mulimba oli omukulu. Omukristaayo alina okwongera okubeera bulindaala leero okusinga bwe yali abadde mu mulembe omulala gwonna.
Naye mu kiseera kye kimu, kye kisinga ekitiibwa mu mirembe gyonna, kubanga twolekaganye obwenyi n’Emyaka Olukumi egy’ekitalo. Olusuku Adeni lwaffe olwa lunaatera okujja, gye tujja okuba n’okwagala okutuukiridde n’okutegeera okutuukiridde okw’okwagala kwa Katonda. Tujja kuba balamu era nga tutebenkedde naye mu Adeni yaffe obutaggwawo bwonna.
Yesu Yatugamba mu Matayo 24 engeri gye tulina okwegendereza mu lunaku luno. Yatulabula nti lujja kuba lunaku olusinga okuwuddiisa obusimu bw’omubiri olwali lubaddewo, “nga bisembereganye nnyo okutuusa okulimba Abalonde ba Katonda bennyini oba nga kiyinzika”; kubanga obulimba bwa sitaani obw’ekikugu bujja kuleetera abantu okukkiriza nti Bakristaayo, kyokka nga tebali.
Naye omulembe guno era gwa kuvaamu Omugole Ekigambo We omulongoofu ataayinzike, era atandibaddeko na w’osobola kulimbibwa; kubanga ba kusigala n’Ekigambo kye ekyasooka.
Okufaananako Yoswa ne Kalebu, Ensi yaffe Ensuubize etandise okujja wetugikubirako emmunye nga eyabwe bweyali. Nabbi waffe yagamba nti Yoswa kitegeeza, “Yakuwa-Omulokozi”. Yakiikirira omukulembeze ow’ekiseera eky’enkomerero eyali agenda okujja eri kkanisa, era nga Pawulo bwe yajja ng’omukulembeze eyasooka.
Kalebu yali akiikirira abo abaasigala nga ba mazima ne Yoswa. Okufaananako n’abaana ba Isirayiri, Katonda yabasimbula nga embeerera n’Ekigambo kye; naye baayagalayo ekintu eky’enjawulo. Nabbi waffe yagamba nti, “bw’etyo bw’ekola, n’ekkanisa eno ey’olunaku olw’enkomerero.” Kale, Katonda teYaganya Isiraeri kugenda mu nsi ensuubize okutuusa lwe kyatuuka ekiseera kye ye kennyini kye Yateekateeka edda.
Abantu bassa akazito ku Yoswa, omukulembeze waabwe Katonda gwe Yabawa, ne bagamba nti, “Ensi yaffe, tugende tugitwale. Yoswa, oyiseeko, oteekwa okuba nga oggiddwako okutumibwa kwo. Tokyalina maanyi ge wabanga nago. Wawuliranga okuva eri Katonda n’omanya okwagala kwa Katonda, n’okolerawo bunnambiro. Waliwo ekikyamu ekikuliko.”
“ Katonda yateeka obukulembeze obujjuvu mu mikono gya Yoswa kubanga yali asigadde n’Ekigambo. Katonda yali asobola okwesiga Yoswa, naye n’Ateesiga bali abalala. Kale kijja kuddiŋŋana mu lunaku luno olw’enkomerero. Ekizibu kye kimu, okussibwako akazito akatali kamu kwe kumu”.
Ddala nga Katonda bwe Yakola ne Yoswa, yateeka OBUKULEMBEZE OBUJJUVU mu mikono gya malayika we nnabbi, William Marrion Branham; kubanga yali akimanyi nti asobola okumwesiga, naye n’Ateesiga bali abalala. Waali wateekwa okubaawo Eddoboozi Limu, Omukulembeze Omu, Ekigambo Eky’enkomeredde Kimu, luli, era ne KATI.
Njagala nnyo engeri nnabbi gye yatugamba nti wajja kubaawo enkumi emirundi enkumi ezigenda okuwulira entambi. Yagamba nti entambi BUWEEREZA obuli awo. Wajja kubaawo abamu ku ffe abajja okuyiringitira mu maka agatali gamu ne mu masinzizo nga tulina olutambi (obuweereza bwe) okulobayo Ensigo Ya Katonda eyategekerwawo.
Bwe twakomawo ne tugamba nti, Mukama, tugondedde ebiragiro byo, era waliwo abantu be twasanze bwe twazannye entambi abakkirizza. Kaakati ekyo tukibuulidde, okwetoloola ensi yonna, Onookissaamu ekitiibwa?
Ajja kugamba nti: “Ekyo kye nnabatuma okukola.”
Katonda ajja kukissaamu ekitiibwa. Ennyumba yo terinyeenyezebwa kugwa wansi. Katonda bw’Anatowa wooda okusaanyaawo ekintu kyonna, ab’omu maka go bonna, eby’obwa nnannyini byo byonna, bijja kuba bitebenkedde ntende mu nnyumba yo. Osobola okuyimirira awo. Tekikwetaagiza kutunula mu ddirisa, Nyiga bunyizi Zannya ng’olutalo lunyinyiitira.
Ebigambo byo byalabika ne mbirya; n’ebigambo byo byali gye ndi ssanyu n’okusanyuka kw’omutima gwange: kubanga ntuumiddwa erinnya lyo, ai Mukama Katonda ow’eggye.
Mbayita okujja okutwegattako nga tulya obuweereza bwa Katonda obukulu, obulamu obuliwo kati, obw’ekiseera eky’enkomerero, Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga bwe tuwulira byonna ebikwata ku: Olusuku Adeni olwa Sitaani 65-0829 .
Leka tubeerewo okutuusa Okujja kwa Mukama, bwe kiba kisoboka. Leka tukole buli kimu kyonna kye tusobola, mu kwagala n’okulumirirwa, nga tumanyi nti Katonda anoonya mu nsi yonna, mu nnaku zino, nga anoonya buli ndiga eyabula. Era leka twogere gye bali n’essaala erungiddwamu okwagala n’Ekigambo kya Katonda, tusobole okuzuula oyo asembayo, tusobole okudda Eka, tulyoke tuve mu lusuku luno Adeni olukadde olwa Ssitaani wano, Mukama.
Owol. Joseph Branham
Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnawulira Bubaka:
Omwoyo wa Katonda omulamu, ssa omukka ogw’obulamu gutuyitemu. Leka tutwale Akasengejja Ko era tuwangaalire wansi waaKo, Mukama. Ssa empewo ensu ey’Omwoyo Omutukuvu eyite mu mawuggwe gaffe ne mu mmeeme zaffe buli lunaku. Kigambo Kyo kyokka kye kisobola okutubeezawo; buli Kigambo ekiva mu kamwa Ko olw’omulembe guno gwe tulimu.
Tulozezzaako ku bintu Byo eby’omu Ggulu era tulina Ekigambo kyo mu mitima gyaffe. Tulabye Ekigambo Kyo nga kyolesebwa mu maaso gaffe, era emmeeme yaffe yonna ezingiddwa mu Kyo. Ensi eno, n’ebintu byonna eby’Ensi bifu gye tuli.
Yeffe Ekigambo empeke ey’obulamu ekyali mu Ggwe okuva ku lubereberye, nga tuyimiridde wano, nga tusaka Obulamu Bwo obw’ensigo. Ensigo yo eri mu mitima gyaffe olw’okumanyirawo kwo. Watutegekerawo okuba nga tusaka okuva mu mpawo kirala kyonna, wabula Ekigambo Kyo, Eddoboozi Lyo, ku ntambi.
Leka tusimbe Ekigambo Kyo mu mitima gyaffe, era tumalirire nti tetujja kukyuka kudda ku mukono ogwa ddyo oba ku mukono ogwa kkono, wabula tubeere ba mazima eri Kyo ennaku zonna ez’obulamu bwaffe. Kitange, tusindikire Omwoyo Omutukuvu oyo ow’Obulamu, era Ekigambo kyo okifuule ekiramu gye tuli, tulyoke tusobole okukwolesa Ggwe.
Okuyaayaana kw’emitima gyaffe kwe kubeera batabani ne bawala bo ab’amazima gy’oli. Tutudde mu maaso g’Eddoboozi Lyo, nga twengera, nga twetegekera Ekyeggulo eky’Embaga yaffe Ey’Obugole naaWe ebindabinda.
Amawanga gasasika. Ensi eri mu kusensebuka emmizi. Musisi ow’omuddiriŋŋanwa nga ali mu kukankanya California nga bwe Watugamba nti bwe kiriba. Tumanyi mangu nnyo ekitundu-ttundu ku yo ekiwera mayiro lukumi mu bitaano; obugazi bwa mayiro ebikumi bisatu oba bina, kigenda kubbira, oba oli awo mayiro amakumi ana okukka wansi mu lwatika olwo olunene oluli ku ludda lw’eyo. Amayengo g’ekinankano ekyo gajja kuyuuguumya okuyitamu wonna ttegereza ppaka mu ssaza ly’e Kentucky, era bwe ganaakikola, gajja kukankanya nnyo ensi okutuusa buli kimu ekiri waggulu waayo we kirinyeenyezebwa ne kigwa wansi.
Okulabula kwo okusembayo kuli mu kufuluma nga kuyitamu. Ensi eri mu kavuyo keereere, naye ebbanga lino lyonna Omugole Wo awummulidde mu Ggwe n’Ekigambo Kyo, nga batudde wamu mu bifo eby’omu ggulu nga bw’Oyogera naffe, n’Okutubudaabuda nga bwe tutambula mu kkubo.
Nga tweyanzeege nnyo, Kitaffe, nti tusobola okumala ga “Nyiga Zannya” ne tuwulira Eddoboozi lyo nga Liitugamba, ne Lituzzaamu amaanyi n’okutugamba nti:
Temutya mmwe Ekisibo ekitono. Byonna bye ndi, nammwe muli basika baabyo. Amaanyi gange gonna gammwe. Obuyinza bwange obuyinza byonna bwammwe nga bwe nnyimiridde mu masekkati gammwe. Sizze kuleeta kutya na kulemererwa, wabula okwagala n’obuvumu n’obusobozi. Amaanyi gonna gaMpeereddwa era gammwe okugakozesa. Mwogere Ekigambo nange nja kukikola . Eyo ye ndagaano yange era teyinza kulemererwa.”
Oh Kitaffe, tetulina KINTU KYONNA kyetutya. Otuwadde okwagala Kwo, obuvumu n’obusobozi Bwo. Ekigambo kyo kiri mu ffe okuKikozesa we tukyetaagira. TuKyogera, era Ggwe ojja kuKikola. Ye ndagaano Yo, era TOSOBOLA KULEMEREMWA.
Ebigambo ebiva mu mubiri ogufa tebisobola kutegeeza ngeri gye tuwuliramu, Kitange, naye tukimanyi nti Olaba okuyitamu okutuuka mu mitima gyaffe ne mu mmeeme zaffe; kubanga tuli kitundu ku Ggwe.
Nga tweyanzeege nnyo nti Otaddewo ekkubo ensi okusobola okuwulira Eddoboozi lyo mu kiseera kino eky’enkomerero. Buli wiiki, Oyita ensi okujja okukyegattamu okuwulira malayika wo omubaka nga Bw’Otuliisa Emmere y’Endiga ebadde eterekeddwa okutubeezaawo okutuusa lw’Onookomawo okutucima.
Tukwagala Kitaffe.
Owol. Joseph Branham
Obubaka: 65-0822E Akasengejja K’Omuntu Alowooza
Obudde: Ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda)
Nga galina omukisa amaaso gaffe; kubanga galaba. Nga galina omukisa amatu gaffe; kubanga gawulira. Bannabbi n’abantu abatuukirivu beegomba nnyo okulaba ssaako n’okuwulira ebintu bye tulabye n’ebyo bye tuwulidde, naye ne batayinza. Ffe TULABYE ERA TUWULIDDE EDDOBOOZI LYA KATONDA.
Katonda Mwene Yasalawo okuwandiika Baibuli ye ng’Ayita mu bannabbi be. Katonda Mwene era Yasalawo okubikkulira ebyama byE ffenna mu kiseera kino eky’enkomerero eri Omugole we ng’Ayita mu nnabbi wE. Bye bikula bye, Ekigambo kye ekitegeezeddwa, ekibireetera okuba nga byonna biri kitundu ku Ye.
Omulembe gwaffe bwe gwatuuka, Yaleetera nnabbi wE okutuuka mu kiseera kye kimu. Yamuluŋŋamyanga era Yamwogererangamu. Eyo ye yali ngeri gye Yategekerawo era gye Yateekawo ey’okukikolamu. Okufaananako Baibuli, Kigambo kya Katonda, so si kigambo kya muntu.
Tuteekwa okuba ne Abusoluuti, ekintu ekimu ekisukkulumu; Ekigambo ekisembayo. Abantu abamu bagamba nti Bayibuli ye Abusoluuti waabwe, so si ebyo ebyayogerwa ku ntambi; gy’oli zo zoogera ebyawukana ku Yo. Kyewunyisa nnyo engeri Katonda gy’Akwese Okubikkulirwa okw’amazima okw’Ekigambo kyE eri bangi nnyo, naye n’Akubikkula era n’Akulambulula butangaavu nnyo butyo eri Omugole we. Abalala mu ngeri ennyangungu tebayinza kukyebeera, bazibiddwa amaaso era tebalina Okubikkulirwa okujjuvu okw’Ekigambo kya Katonda ekibikkuliddwa.
Katonda Yayogera mu kigambo kyE (Baibuli) ng’Ayita mu nnabbi we n’Atugamba nti, “Katonda, oyo edda mu bitundu ebingi ne mu ngeri ennyingi Eyayogeranga eri bajjajjaffe mu bannabbi, ”. Bwe kityo, bannabbi ba Katonda be baawandiika Bayibuli. Teyali bo, wabula Katonda ng’Ayogera ng’Ayita mu bo.
Yagamba mu lunaku lwaffe nti Ajja kututumira Omwoyo we ow’amazima atuluŋŋamye mu mazima gonna. Oyo talyogera ng’asinziira ku bibye nga ye; wabula buli ky’anaawulira, ky’alyogera: era alitulaga ebigenda okujja.
Obubaka obuli ku ntambi ge mazima ga Katonda agabikkuliddwa. Tebwetaaga kuvvuunula kwonna. Ye Katonda nga Yevvuunulira Ye Mwene Ekigambo kyE ng’eno bw’Akyogera ku ntambi.
Tewali kugoberegana mu bigambo mu ebyo abasajja abalala bye boogera, okujjako ebyo byokka Katonda by’Ayogera. Ebyogerwa ku ntambi lye Ddoboozi lyokka ERITALIKUKYA. Abantu bakyuka, ebirowoozo bikyuka, enzivuunula zikyuka; Ekigambo kya Katonda tekikyuka. Ekyo ye Abusoluuti w’Omugole.
Nabbi atuwa ekyokulabirako ekya liifali (omusazi w’empaka) okuba abusoluuti mu muzannyo gw’omupiira. Ekigambo kye kiba kya nkomeredde. Tosobola kukiteekako kabuuza. Bw’ayogera, ky’aba ayogedde, ky’ekyo, ekyo nga kiwedde. Kaakati liifali ono aba n’ekitabo ky’amateeka ky’alina okugoberera. Kimubuulira kifo ki omupiira weguba oba wegusimulwa, ddi lw’oba nga toli mu bulabe na ddi lw’oba osazzizza layini y’awatali bulabe; amateeka g’omuzannyo gw’omupiira kyegagamba.
Asoma n’ayiga bwankaliriza ekitabo ekyo kisoboke okuba nti bw’ayogera, n’akola ensala ye, eryo lye liba etteeka, ekyo kye kigambo eky’enkomeredde. Oteekwa okwekuumira kw’ebyo by’ayogedde, awatali kibuuzo, awatali kukuba mpawa, kyonna ky’ayogera, eyo y’engeri gye kirina okuba era tekiyinza kukyusibwa. Ekitiibwa.
Ow’oluganda Branham teyagambako nti tolina kubuulira, oba okuyigiriza; okwawukana ku ekyo, yagamba nti okubuulira, n’okuwuliriza abasumba bammwe, naye Eddoboozi lya Katonda ku ntambi lirina okuba nga ye Abusoluuti yammwe.
Ebigambo bye yayogera, engeri gye yeeyisaamu, biziba abalala amaaso, naye bituzibula amaaso. N’okuba yatuuka n’okumwambaza mu kika ky’olugoye lwe yayambalanga. Obutonde bwe, ebiruubirirwa bye, buli kimu mu ngeri ddala nga bwe yalina okuba. Yalondebwa butuukirivu ddala ku lwaffe, Omugole wa Katonda.
Eyo y’ensonga lwaki, bwe TUJJA AWAMU, eryo lye Eddoboozi lye twagala OKUSOOKA okuwulira. Tukkiriza nti tuba tuwulira Ekigambo Ekirongoofu ekyayogerwa okuva mu mubaka wa Katonda omweroboze era omulonde.
Tukimanyi abalala ekyo tebasobola kukiraba wadde okukitegeera, naye yagamba nti yali ayogera na kibiina kye kyokka. Teyalina buvunaanyizibwa ku abo Katonda be Yawa abalala okusumba; yali avunaanyizibwa ku kika kya Mmere ki gy’atuliisa kyokka.
Y’ensonga lwaki tugamba nti tuli Branham Tabanako, kubanga yagamba nti Obubaka bwali eri abantu be bokka mu Tabanako, ekisibo ekitono ekyayagala okufuna n’okuwuliriza entambi. Yali ayogera eri abo Katonda be yali amuwadde okukulembera.
Yagamba nti, “abantu bwe baba baagala okutabika emmere n’ebintu ebweru eyo, mufune okubikkulirwa okuva eri Katonda mukole Katonda by’Abagamba okukola. Nange nja kukola ekintu kye kimu. Naye Obubaka buno, ku ntambi, bugendereddwa kkanisa eno yokka.”
Nga ddala akifudde kyangu nnyo eri Omugole we okulaba n’okuwulira Eddoboozi lya Katonda n’okugoberera ebiragiro bye.
Bwoba oyagala okutwegattako okuwulira Eddoboozi eryo, tujja kuba tuwuliriza byonna mu kiseera kye kimu Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), ku: 65-0822M – “Kristo Abikkulibwa Mu Kigambo Kye Ye Mwene”.
Musigale kumpi ne Kristo. Ka mbalabule kati, ng’omuweereza w’Enjiri, ku kino. Temutwala obusirusiru bwonna. Temukuba kafaananyi ku kintu kyonna. Musigale busigazi awo wennyini okutuusa nga kino ekiri mu munda w’ekiri munda kisudde ennanga mu Kigambo, n’oba nga oli ddala mu Kristo, ‘kubanga ekyo kye kintu kyokka ekigenda…Kubanga, tuli mu mulembe ogusinga obulimba gwe twali tuwangaaliddemu.“ Gwandirimbye Abalonde bennyini oba nga kiyinzika,” olw’okuba baliko amafuta, basobola okukola ekintu kyonna ng’abalala bonna.
Kitaffe, Watulabula nti tuli mu mulembe ogusinga obulimba ogwali gubaddewo mu biseera byonna. Emyoyo ebiri mu nsi gyali gya kusemberegana nnyo, gyandirimba abalonde bennyini,oba nga kiyinzika. Naye Mukama Atenderezebwe, tekiriyizika kutulimba ffe, Omugole wo; tujja kusigala n’Ekigambo Kyo.
Ffe tuli Bitonde Byo Ebiggya, era tetuyinza kulimbibwa. Tujja kusigala n’Eddoboozi Lyo. Tujja kuyitaba buli Kigambo era tuKyelippeko, awatali kufaayo ku muntu yenna ky’ayogera. Tewali kkubo ddala okuggyako Ekkubo Lyo lye Wateekawo; Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama ku ntambi.
Nabbi Wo bwe yali wano ku nsi, yamanya obukulu ennyo obuli mu Omugole okuwulira buli Kigambo ekyayogerwa, n’olwekyo yagatta Omugole wo ng’akozesa omukutu ogweyungibwako ogw’essimu. Yatukuŋŋaanyiza ku Ddoboozi lyo ery’Ekigambo Ekyogere eryakakasibwa obutalekaawo kabuuza.
Yakimanya nti tewali kufukibwako mafuta kusinga Eddoboozi Lyo.
Okufuluma ebweru ku mayengo g’essimu eno, leka Omwoyo Omutukuvu ow’ekitalo agende okuyingira mu buli kibiina. Leka Omusana Omutukuvu gwe gumu gwe tutunuulira wano wennyini mu kkanisa, leka gugwe ku buli omu ne bonna,
Buli Mugole Wo kye Yeetaaga olw’Okujja Kwo kyayogerwa, ne kiterekebwa era ne kibikkulwa malayika Wo eri Omugole wo; ekyo kye Kigambo Kyo. Watugamba nti bwe tuba tulina ekibuuzo kyonna, tugende ku ntambi. Watugamba nti William Marrion Branham ye yali Eddoboozi lyo gye tuli. Wayinza watya okubaawo ekibuuzo mu birowoozo by’Omugole Wo ku mugaso ogw’okuteeka Eddoboozi Lyo mu kifo kyaLyo ng’Eddoboozi erisinga obukulu ly’Asobola okuwulira? Tekiriiwo Mukama, eri Omugole Wo.
Nabbi wo yatubuulira ekirooto mwe yagamba nti, “Nja kuvugira mu mukululo guno omulundi gumu omulala.” Tetumanyi ekyo kye kitegeeza, naye mu butuufu Mukama, Eddoboozi lyo Liri mu kuvugira mu mukululo ogwalekebwawo omukutu ogw’oku ssimu guli omulundi omulala leero, nga Lyogera, era nga Liyita Omugole Wo okuva mu nsi yonna.
Muyitibwa okujja okutwegattako, Branham Tababako, Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga bwe tuwulira okuyita mu mayengo g’oku ssimu Eddoboozi lya Katonda nga Litureetera Obubaka: 65-0815 – “So Tokimanyi .
Awali Ennyama ensu, awo empungu weziri mu kukuŋŋaanira. Budde bwa kawungeezi, era obunnabbi buli mu kutuukirira mu maaso gaffe. Emitima gyaffe giri mu kututyemuka munda yaffe anti tumuyise okujja mu masinzizo gaffe, mu maka gaffe, n’obusiisira bwaffe eby’ebitosi ebweru mu nsiko. Agenda kwogera naffe era abikkule Ekigambo kyE. Tulumwa enjala n’ennyonta y’okufuna ebisingawo ebya Katonda.
Yeerobozza engeri Ekigambo kyE gye kinajjanga gye tuli; eyo kwe kuyitira mu nnabbi we, oyo gwe Yateekateekerawo era n’Amwawulirawo. Yalonda William Marrion Branham okubeera omusajja w’omu ssaawa eno okukwata abantu be be Yeeroboza ab’essaawa eno, FFE, Omugole We.
Tewali musajja mulala asobola kutwala kifo kye. Twagala nnyo engeri gy’ayogeramu; hain’t, tote, carry, fetch, ye Katonda nga Ayogera eri amatu gaffe. Katonda, ng’Ayogera ng’Ayita mu mimwa gy’omuntu ow’oku nsi, ng’Akola ekyo kyennyini kye Yagamba nti Ajja kukola. Ekyo kimala eggobe mu kibya!
Katonda Yatambuza emikono gye n’amaaso ge mu kwolesebwa. Yali tasobola kwogera kintu kirala okuggyako bye yali atunuulidde. Katonda Yalina obuyinza obujjuvu ku lulimi lwe, olugalo lwe, ne buli kitundu ky’omubiri gwe kyali kitambuzibwa kiragiddwa Katonda mu bujjuv. Ye yali akamwa ka Katonda kennyini.
Katonda Yakimanyirawo nti mu mulembe guno ekkanisa egenda kutabulwa. N’olwekyo, Yategekerawo nnabbi We olw’omulembe gwaffe, okukoowoolayo n’okukulembera Omugole We omulonde ng’Akozesa Ekigambo kye ekyakakasibwa obutalekaawo kabuuza.
Mu nteekateeka ye ennene, era Yali Akimanyi nti Yali Agenda kutwala nnabbi we eka nga Okujja Kwe tekunnabaawo, kale n’Asiima Eddoboozi lye Likwatibwe ku lutambi era Literekebwe, bw’atyo Omugole We omulonde bulijjo Abeerenga ne Bw’ati Bw’Ayogera Mukama ku ntoli z’engalo zaabwe. Olwo tebajja kuba na kibuuzo kyonna. Tewajja kwetaagisa kuvvuunula kwonna, okujjako Ekigambo embeerera ekirongoofu kye banaasobolanga okuwulira buli kiseera.
Yali akimanyi nti mu nnaku ez’oluvannyuma wajja kubaawo amaloboozi mangi n’okutabulwa kungi.
Wiiki essatu ezisembyeyo ayogedde naffe n’alaga ekifo ky’essaawa gye tulimu. Yatubuulira ku bannabbi ab’obulimba abaali bagenda okujja balimbe abalonde, oba nga kiyinzika.
Engeri katonda w’omulembe guno gy’azibyemu amaaso g’abantu. Engeri Katonda yennyini gy’Ayogedde okuyita mu bunnabbi Bwe nti ebintu bino byali bya kubeerawo mu mulembe guno ogwa Laodikiya. Yatugambye nti tewali kisigadde kitannakolebwa.
Yeeyanjudde mu maaso gaffe nga Akozesa ebintu ebyaMulagulwako nti by’Alikola mu lunaku luno. Ebikolwa bye byennyini bitukakasizza nti Aba bumu jjo, leero, n’emirembe gyonna. Lye Ddoboozi lya Katonda, nga Lyogera eri, era nga Libeera mu, Omugole we.
Okkiriza nti Obubaka buno bwe Abaebbulaniya 13:8? Kye Ekigambo ekiramu? Ye Mwana w’Omuntu oli nga Yeeyoleka mu mubiri? Olwo obunnabbi bujja kubaawo ku Ssande eno singa okkiriza era n’ogonda.
Waliwo ekintu ekigenda okubaawo mu nsi yonna ekitasobokangako mu byafaayo by’ensi. Katonda Ajja kuba Ayogera ng’Ayita mu mimwa gy’omuntu ow’oku nsi, ng’Ayogera eri Omugole we okwetoloola ensi yonna bonna mu kiseera kye kimu. Ajja kutuleetera okussa emikono gyaffe ku bannaffe tusabiragane nga bw’Atusabira ffenna.
Ggwe ebweru eyo ku mikutu gy’essimu, bw’oba okkirizza n’omutima gwo gwonna, ng’abaweereza bwe bakussaako emikono, n’abaagalwa bo nga bakussaako emikono, bw’okkiriza n’omutima gwo gwonna nti kiwedde, kiwedde.
Kyonna kye tulinako obwetaavu, Katonda Ajja kukituwa singa tunaakkiriza bukkiriza… ERA TUKKIRIZA. FFE MUGOLE WE OMWESIGWA . Kijja kubaawo. Empagi y’Omuliro ejja kubeera yonna gye tunaaba tukuŋŋaanidde era ewe buli omu ku ffe kyonna kyetulinako obwetaavu, BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA.
Leka Ekitangaala Ekitukuvu kye kimu kye tutunuulira wano wennyini mu kkanisa, leka Kigwe ku buli omu, era leka bawonyezebwe mu kiseera kino. Tunenya omulabe, sitaani, mu Kubeerawo kwa Kristo; twogera eri omulabe, nti awanguddwa oku—okubonaabona mu kifo kyaffe, okufa kwa Mukama waffe Yesu n’okuzuukira kwe okw’obuwanguzi ku lunaku olw’okusatu; n’obujulizi Bwe obukakasiddwa nti Ali wano mu masekkati gaffe ekiro kyaleero, nga mulamu, oluvannyuma lw’emyaka lukumi mu lwenda. Leka Omwoyo wa Katonda omulamu Ajjuze buli mutima okukkiriza n’amaanyi, n’amaanyi agawonya agava mu kuzuukira kwa Yesu Kristo, oyo Alagiddwa ky’Ali kati nga Ateegezebwa Ekitangaala kino eky’ekitalo ekiri mu kwetooloolera mu kkanisa, mu Kubeerawo Kwe. Mu Linnya lya Yesu Kristo, kituwe olw’ekitiibwa kya Katonda.
Oli Mugole We. Tewali kiyinza kuKikuggyako, TEWALI. Sitaani awanguddwa. Oyinza okuwulira nga olina kajiiko bujiiko ku Ye, ekyo kyokka kye weetaaga, KYA NNAMADDALA . YE YE. OLI WUWE. EKIGAMBO KYE TEKIYINZA KULEMWA.
Nga kinaaba kiseera kikulu kyetunaabaamu. Tewali kifo kirala kye nnandyagadde okubeeramu. Omwoyo Omutukuvu ajja kuba Atwetoolodde. Okubikkulirwa okusingawo nga kutuweebwa. Emitima egimenyese nga gitungibwa. Buli omu nga Awonyezebwa. Tuyinza tutya obutagamba nti, “Emitima gyaffe tegyabadde nga gitutyemuka munda yaffe, era teguli mu kutyemuka kaakano, okumanya nti kati tuli mu Maaso ga Yesu Kristo eyazuukira, ekitiibwa n’ettendo bibe eri oyo emirembe gyonna.”
Owol. Joseph Branham
Twaniriza ensi okutwegattako ku:
Obudde: Ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda)
Obubaka: 65-0801E Ebigenda Mu Maaso Ng’Obunnabbi Bwabirambulula
Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnawulira Bubaka:
Eddoboozi lye tuwulira ku ntambi lye Ddoboozi lye limu eryafulumya Ekigambo kye mu Lusuku Adeni, ku Lusozi Sinaayi, ne ku Lusozi olw’Okufuusibwa. Livuga leero n’Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo okujjuvu era okw’enkomeredde. Liri mu kukoowoolayo Omugole We, nga Limuteekateeka olw’Okukwakkulibwa. Omugole ali mu kuLiwulira, nga aLikkiriza, nga Abeerawo okusinziira ku Lyo, era Yeetegese nga Ayita mu ku Likkiriza.
Tewali muntu ayinza kuLituggyako. Obulamu bwaffe tebusobola kwerijjirwako. Omwoyo we Abumbujja era Agaba ekitangaala ng’Asinziira mu ffe. Atuwadde Obulamu bwE, Omwoyo gwE, era Ali mu kwolesa Obulamu bwe mu ffe. Tukwekeddwa mu Katonda era tuliisibwa Ekigambo kyE. Sitaani tayinza kutukwatako. Tetuyinza kusigulwa. Tewali kiyinza kutukyusa. Olw’okubikkulirwa, tufuuse OMUGOLE-EKIGAMBO wE.
Sitaani bw’agezaako okutukkakkanya, tumujjukiza bujjukiza engeri Katonda gy’Atulabamu. Bw’Atunula wansi okutulaba, ky’Alaba kyokka ye zaabu OMULONGOOFU. Obutuukirivu bwaffe bwe butuukirivu BWE. Ebikula byaffe bye bikula byE byennyini eby’ekitiibwa. Ebimanyisa ensi kyetuli bisangibwa mu Ye. Ky’Ali, kati kye tulabisa. By’Alina, KATI BYE TWOLESA.
Nga Ayagala nnyo okugamba Sitaani nti, “SiMulabamu nsobi yonna Omukyala oyo; ATUUKIRIDDE. Eri Nze, Ye Mugole Wange, ow’ekitiibwa munda ne kungulu. Okuva ku lubereberye okutuuka ku nkomerero, Ye Mulimu Gwange, era Emirimu gyange gyonna giba Mituukirivu. N’okuba, mu Ye amagezi gaNge agataggwawo n’ekigendererwa mwe biwunzikirira”.
“Muzudde nga asaanidde, Omugole Wange omwagalwa. Nga zaabu bw’agoomezebwa ebimukuba, Agumidde okubonaabona olw’okuba nga Nze. Teyekkiriranyizza, tavunnamye, newankubadde okumenyeka omwoyo, wabula agoomezeddwa okufuuka ekintu ekisikiriza. Okugezesebwa kwe n’ebimugezesa mu bulamu buno biMufudde Omugole wange Omuganzi”.
Ekyo tekiwulikika nga Mukama yekka? Amanyi bulungi engeri y’okutuzzaamu amaanyi. Atugamba nti, “Temugeza ne muggwaamu amaanyi, wabula muddeemu amaanyi”. Alaba okufuba kwaffe okw’okwagala gy’Ali. Alaba bye tulina okuyitamu. Alaba entalo ze tulina okugumira buli lunaku. Nga bw’Atwagala ng’Atuyisa mu buli emu ku zo.
Mu Maaso Ge tutuukiridde. Abadde Atulinze okuva ku ntandikwa y’ebiseera. Tajja kuleka kintu kyonna kututuukako okuggyako nga kibaawo olw’obulungi bwaffe. Akimanyi nti tujja kuvvuunuka buli kizibu Sitaani ky’atuteeka mu maaso. Ayagala nnyo okumukakasa nti tuli Mugole wE. Tetuyinza kusigulwa. Ffe b’Abadde Alinze okuva ku lubereberye. Tewali kiyinza kutwawula ku Ye n’Ekigambo kyE.
Yatuweereza omubaka wE malayika ow’amaanyi asobole okwogera naffe kamwa ku kutu. Yasiima Kikwatibwe ku lutambi waleme okubaawo ebibuuzo byonna ku bye Yayogera. Yasiima Kiterekebwe Omugole We asobole okuba n’eky’okulya okutuusa lw’Alijja okumucima.
Si nsonga oba abalala batutegeera bubi era ne batuyigganya olw’okugamba nti tuli “Bantu ba Ntambi”, tusanyuka, kubanga kino ky’Atubikkulidde okukola. Abalala balina okukola nga bwe bawulira nga bakulembeddwa okukola, naye ku lwaffe, tuteekwa okwegatta wamu wansi w’Eddoboozi limu, Eddoboozi lya Katonda eryakakasibwa obutalekaawo kabuuza ku ntambi.
Tetusobola kugenda mu buziba bwa kintu kirala kyonna. Tetusobola kutegeera kintu kirala kyonna. Tetusobola kukola kintu kirala kyonna. Tetusobola KUKKIRIZA kintu kirala kyonna. Tetuwakanya abakkiriza abalala kye bawulira nga bakulembeddwa Mukama okukola, naye kino Katonda ky’ATUKULEMBEDDE FFE OKUKOLA, era wano we tuteekwa OKUSIGALA.
Tuli bamativu. Tuli mu kuliisibwa Eddoboozi lya Katonda. Tusobola okugamba nti “amiina” ku BULI KIGAMBO kye tuwulira. Lino ly’Ekkubo Katonda lye Yatuteerawo. Tetusobola kukola kintu kirala kyonna.
Njagala nnyo okukamala okuyita buli muntu okujja okutwegattako. Enkuŋŋaana tuli mu kuzikola bukozi ddala nga Ow’oluganda Branham bwe yazikolamu nga ali wano ku nsi. Newankubadde tali wano mu mubiri, ekikulu ky’ekyo Katonda kye Yagamba Omugole we ku ntambi.
Yayita ensi yonna okubeera ekitundu ku MUKUTU OGWEYUNGIBWAKO ogw’oku ssimu, naye ekyo baakikola bwe baaba nga BAAGADDE. Yabaleetera nga okukuŋŋaana buli we baali basobola okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga Lyogera nabo bonna mu kiseera kye kimu. Ekyo nnabbi wa Katonda kye yakola mu kiseera ekyo, kale nange nfuba okukola ekyo kyennyini kye yakola ng’ekyokulabirako kyange.
Bwemutyo, muyitibwa okujja okutwegattako ku mukutu ogweyungibwako Sande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga tuwuliriza omubaka wa Katonda nga atuleetera Obubaka : Katonda W’omulembe Guno Omubi 65-0801M.
Owol. Joseph Branham
Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnawulira Bubaka:
Katonda yatuma omubaka malayika we omusanvu okukulembera Omugole We ; so si musajja mulala, si kibinja kya bantu, wabula OMUSAJJA OMU, kubanga Obubaka n’omubaka we bye bimu. Ekigambo kya Katonda tekyetaaga kuvvuunula. YaKyogera eri Omugole we ng’Ayita mu mimwa gy’omuntu ow’oku nsi era tuKikkiriza ddala nga bwe YaKyogera.
Tulina okwegendereza ennyo leero eddoboozi ki eritukulembera, na ki kye litugamba. Enkomekkerero yaffe mu butaggwawo yennyini esinziira ku kusalawo okwo kwennyini; kale tulina okusalawo eddoboozi ki erisinga obukulu lye tulina okuwulira. Eddoboozi ki eryakakasibwa Katonda obutalekaawo kabuuza? Eddoboozi ki eririna Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama? Teriyinza kuba ddoboozi lyange, bigambo byange, enjigiriza yange, naye Liteekwa okuba nga lye Kigambo, kale tulina okugenda mu Kigambo okulaba kye Kitugamba.
Kitugamba nti Ajja kuyimusaawo obuweereza obw’emirundi etaano butukulembere ku nkomerero? Tusobola okulaba butangaavu ddala mu Kigambo nti balina ekifo kyabwe; ebifo ebikulu ennyo, naye Ekigambo kirina we Kigamba WONNA nti be baliba ab’okuba n’amaloboozi agasinga obukulu ge TUTEEKEDDWA okuwulira okubeera Omugole?
Nabbi yatugamba nti wajja kubaawo abasajja bangi nnyo abagenda okuyimukawo mu nnaku ez’enkomerero abagenda okugezaako okuweereza Katonda nga Katonda si bw’Ayagala. Ajja kuwa omukisa obuweereza bwabwe, naye si y’engeri ye etuukiridde ey’okukulembera Omugole we. Yagamba nti Okwagala kwe okutuukiridde kwe, era bulijjo kubadde nga, okuwulira n’okukkiriza Eddoboozi lya nnabbi We eyakakasibwa obutalekawo kabuuza. Kubanga Lyo, era Lyokka, ly’eririna Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama. Eno y’ensonga lwaki Yatuma malayika We; lwaki Yamulonda; lwaki Yasiima Likwatibwa ku lutambi. Y’Emmere Ey’Omwoyo Mu Ntuuko Zaayo, Emmaanu Eyakwekebwa, eri Omugole We.
Okumala emirembe musanvu ku ginnaagyo, sirina kirala kye ndabye okuleka abantu okussa ekitiibwa mu kigambo kyabwe okukigulumiza waggulu w’ekyaNge. Kale ku nkomerero y’omulembe guno mbasesema mmwe okuva mu kamwa kange. Byonna biwedde. Ŋenda kwogera bulungi. Weewaawo, ndi wano wakati mu Kkanisa. Oyo Amiina wa Katonda, omwesigwa era ow’amazima ajja kwebikkula era ajja KUBA NABBI WANGE .” Oh weewaawo, ekyo bwe kiri.
Emirembe musanvu ku ginnaagyo, abantu bassa ekitiibwa mu ekigambo kyabwe okukigulumiza waggulu w’ekyaNge. Olina okwebuuza, kino tekigenda mu maaso mu masekkati gaffe mu kiseera kino? “Temuzannya ntambi mu kkanisa, wabula muteekwa okuwulira omusumba wammwe, entambi muzizannyire mu maka gammwe”. Tebateeka Eddoboozi Lye ku lutambi ng’Eddoboozi erisinga obukulu, wabula eddoboozi lyabwe.
Basonga abantu eri bo bennyini, n’obukulu bw’obuweereza BWABWE, okuyitibwa KWABWE okuleeta Ekigambo, okukulembera Omugole; naye Omugole tayinza kukyeyimirira. Tebajja kukikkiriza. Tebajja kukikola. Tebajja kwekkiriranya ku Kyo; Ddoboozi lya Katonda gwe mulamwa so mpaawo kirala kyonna. Ekyo Ekigambo kye kyogera.
Ekibuuzo ekiri mu birowoozo by’abantu leero kiri nti: Ani Katonda gwe Yalonda okukulembera Omugole we, entambi oba obuweereza obw’emirundi etaano? Obuweereza bunaatuukiriza Omugole? Obuweereza bunaaluŋŋamya Omugole? Okusinziira ku Kigambo kya Katonda, eyo tebangako ngeri ye.
Waliwo abasajja bangi nnyo ennaku zino abagamba nti bagoberedde era bakkirizza Obubaka buno okumala emyaka n’emyaka, naye nga kati bateeka obuweereza BWABWE ng’eddoboozi erisinga obukulu ly’olina okuwulira.
Olwo buweereza ki bw’onoogoberera? Buweereza ki bw’oneesigamizaako ekifo gy’ogenda okukomekkereza mu butaggwawo? Bonna bagamba nti bayitiddwa Katonda okubuulira Obubaka. Ekyo sikigaana wadde okukibuusabuusa, naye abamu ku baweereza abasinga obwatiikirivu mu nnyiriri z’obuweereza obw’emirundi etaano bagamba nti, “Eryo si Ddoboozi lya Katonda, ddoboozi lya William Branham lyokka”. Abalala bagamba nti, “ennaku z’Obubaka bw’omuntu omu zaggwako”, oba “Obubaka buno si ye Abusoluuti”. Oyo y’akukulembedde?
Abasajja ababuulidde mu bikumi n’ebikumi by’enkuŋŋaana zaabwe; abakulembeze abakulu ab’obuweereza obw’emirundi etaano, KATI beegaana Obubaka ne BAGAMBA nti, “Obubaka buno bwa bulimba”.
Obuweereza obusinga obungi leero bugamba nti, “temusaanidde kuwuliriza malayika wa Ddobozi lya Katonda mu kkanisa, wabula mu maka gammwe mwokka.” “Ow’oluganda Branham tagambangako kuzannya ntambi mu kkanisa.”
Ekyo kisukka awakkirizika. Siyinza kukkiriza nti muganda waffe oba mwannyinaffe agamba nti akkiriza Obubaka buno, nti Ow’oluganda Branham ye mubaka malayika wa Katonda ow’omusanvu, Omwana w’Omuntu oli ng’Ayogera, ayinza okuwugulazibwa enjatula ey’obulimba ng’eyo. Eba erina okukulwaza mu lubuto. Bw’oba oli Mugole, EBA EJJA KUKUKOLA ETYO.
Katonda tAkyusa ndowooza Ye ku Kigambo Kye. Bulijjo Alonzenga omusajja omu okukulembera abantu Be. Abalala balina ekifo kyabwe, naye balina okukulembera abantu eri oyo YE gwe Yalonda okukulembera abantu. Muzuukuke, abantu. Muwulirize abaweereza bano byebabagamba. Okunokola kwe bakozesa okuteeka obuweereza bwabwe mu maaso g’obuweereza bwa nnabbi. Obuweereza bw’omuntu yenna buyinza butya okuba obukulu eenyo okuwulira okusinga Eddoboozi lya Katonda eryakakasibwa obutaleekaawo kabuuza Lye Yakakasa era Lye Yakakasa obutalekaawo kabuuza nti Liri Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama?
Atubuulidde n’Atubuulira, nti kisoboka okubaawo n’abasajja abaafukibwako amafuta mu mazima, nga balina Omwoyo Omutukuvu ow’amazima ku bo, nga ba bulimba. Waliwo ENGERI EMU yokka ey’okubaamu omukakafu, SIGALA N’EKIGAMBO NNAKABALA, kubanga Obubaka buno n’omubaka bye bimu. Waliwo Eddoboozi limu lyokka Katonda lye Yalonda Okubeera Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama…LIMU.
Obuweereza obw’amazima bujja kukugamba nti MPAAWO KIRALA kikulu nnyo okusinga okuwulira Ekigambo kya Katonda ekiva mu Ddoboozi lya Katonda ku lutambi. Basobola okubuulira, okuyigiriza, oba kyonna kye bayitiddwa okukola, NAYE BALINA OKUKULEMBEZA EDDOBOOZI LYA KATONDA; NAYE TEBALI MU KIKOLA, WABULA BALI MU KUKULEMBEZA BUWEEREZA BWABWE. Ebikolwa byabwe byennyini bikakasa ekyo kye bakkiririzaamu.
Beewala okuddamu ekibuuzo ekikwata ku kuteeka Eddoboozi lya Katonda mu bituuti byabwe nga bakozesa enjogera nti, Ow’oluganda Yusuufu takkiririza mu baweereza. Takkiririza mu kugenda mu kkanisa. Abo basinza muntu. Bagoberera njigiriza eyo eya Yusuufu. Ali mu kukola kibiina kya ddiini ng’ayita mu kuzannya n’okuwuliriza entambi ze zimu. Kusasamaza busasamaza bantu okubajja kibuuzo ekikulu. Ekikolwa kyabwe kikakasa bye bakkiriza nga bayita mu ebyo bye bayigiriza abantu baabwe, OBUWEEREZA BWABWE NGA BUKULEMBEZEDDWA.
Bagamba nti, okuleetera abantu okuwulira olutambi lumu mu kiseera kye kimu, kibiina kya ddiini. Ekyo si ky’ekyo kyennyini Ow’oluganda Branham kye yakola ng’ali wano; nga ayunga abantu ku mukutu okuwulira Obubaka bonna mu kiseera kye kimu?
Weebuuze, singa Ow’oluganda Branham abadde wano leero mu mubiri, teyandileetedde Mugole yenna kuyungibwa ku mukutu bonna okumuwulira mu kiseera kye kimu? Teyandigezezzaako okukuŋŋaanya Omugole awamu okwetooloola OBUWEEREZA BWE nga bwe yakola nga Katonda tannamutwala ka?
Ka nyingizeemu ekintu wano. Abavumirira bajja kugamba nti, laba, wuuyo awo, bayitiriza omuntu; bali mu kugoberera omuntu, William Marrion Branham!! Ka tulabe Ekigambo kye kyogera ku ekyo nakyo:
Mu nnaku z’omubaka ow’omusanvu, mu nnaku z’Omulembe gwa Laodikiya, omubaka waagwo ajja kubikkula ebyama bya Katonda nga bwe byabikkulirwa Pawulo. Ajja kwogera bifulume, era abo abasembeza nnabbi oyo mu linnya lye bajja kufuna omugano omulungi oguva mu buweereza bwa nnabbi oyo.
Kino kigenda kunyiiza sitaani nga ekirala kyonna bwekitamunyiizanga, era ajja kwongera okungobaganya n’okusinga bw’abadde, naye abantu, kirungi kino mukikebere n’Ekigambo. Si lwakuba nti nakyogera, nedda, olwo nandibadde ng’omusajja omulala yenna, wabula muggule emitima gyammwe n’ebirowoozo byammwe mukebere n’Ekigambo. Si ebyo omuntu omulala yenna by’akugamba oba by’akuvvuunulira, wabula ebyo nnabbi wa Katonda bye yayogera.
Oluvannyuma lw’ebbaluwa eno bajja kukuwa kunokola ku kunokola ku kunokola, era ŋŋamba AMIINA eri buli kunokola, NAYE ATE EBY’EKINTU EKISINGA OBUKULU BYO BIRI BITYA? Okunokola bali mu kukukozesa okukugamba nti okuwulira nabbi kyemulina okukola, oba BUWEEREZA BWABWE? Bwebaba bagamba Bubaka, nnabbi, olwo obagambe nti BAKULEMBEZE Eddoboozi eryo mu kkanisa yo.
Ku musingi ogw’enneeyisa ey’obuntu yokka, omuntu yenna akimanyi nti awali abantu abangi era wabaawo endowooza ezaawukana ku nsonga entonotono ez’enjigiriza enkulu bonna gye bakwata awamu.
Kiikyo awo. Okunokola okumu kuno kukugamba nti tekisobola kuba, era TEKIRISOBOKA KUBA , ekibinja ky’abasajja. Si buweereza bwe bugenda okugatta abantu kubanga nga tuzze ku nneeyisa obweyisa ey’abantu, bulijjo baba baawukana ku nsonga entonotono ez’enjigiriza ennene, tekiyinzika bonna okukkiriziganya, na bwegutyo olina okudda ku KIGAMBO NNAKABALA.
Olwo ani agenda okuba n’amaanyi ag’obwa nnantakola-nsobi ag’okuzzibwawo mu mulembe guno ogusembayo, kubanga omulembe guno ogusembayo gugenda kuddayo mu kwolesa Omugole w’Ekigambo Omulongoofu ?
ANI anaatukulembera? EDDOBOOZI LIMU eririna amaanyi ag’obwa nnantakola-nsobi lijja kuba lirina okukulembera Omugole.
Ekyo kitegeeza nti tujja kuddamu okufuna Ekigambo nga bwe kyaweebwanga butuukirivu ddala, . era nga bwe kyategeerebwanga butuukirivu ddala mu nnaku za Pawulo.
Ekitiibwa…Kiweebwa butuukivu ddala era…kitegeerebwa butuukivu ddala. Tekyetaaga kuvvuunula, anti kyamala dda okuweebwa butuukirivu ddala, era ffe, Omugole, tutegeera butuukivu ddala era ne tukkiriza buli Kigambo.
Kiikyo awo. Ali mu kusindika nnabbi akakasiddwa obutalekaawo kabuuza.
Ali mu kusindika nnabbi oluvannyuma lw’emyaka kumpi enkumi bbiri.
Ali mu kusindika omuntu ali ewala ennyo okuva awali ebibiina ebitegeke, obuyigirize, n’ensi y’eby’enzikiriza ne kiba nti nga Yokaana Omubatiza ne Eriya ab’edda, .
Aliwulira okuva eri Katonda yekka
Aliba ne “bw’ati bw’ayogera Mukama” era ayogere ku lwa Katonda.
Ajjakubeera kamwa ka Katonda
YE , NGA BWE KYALANGIRIRWA MU MALAKI 4:6, ALIKYUSA EMITIMA GY’ABAANA ERI BAKITAABWE.
Ajja kukomyawo abalonde ab’olunaku olw’oluvannyuma era baliwulira nnabbi eyakakasibwa ng’awa amazima amapime obuteerevu ddala nga bwe kyali ku Pawulo.
Ajja kuzzaawo amazima nga bwe baagalina.
Era n’abo abalonde abaliba naye ku lunaku olwo be baliba abo aboolesa mu mazima Mukama waffe erababeere Omubiri gwe era babeere eddoboozi Lye era bakole emirimu gye. Aleluuya! Okiraba?
Tukiraba. Tukikkiriza. Tuwummulidde ku KYO.
Muyitibwa okujja okutwegattako nga bwe tuwulira akamwa ka Katonda, Eddoboozi erigenda okugatta Omugole wa Yesu Kristo, nnabbi we eyakakasibwa, nga bw’Atuwa amazima amapime obuteerevu ddala, ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda).
Owol. Yusuufu Branham
65-0725M — Abafukeko Amafuta Mu Kiseera Eky’Enkomerero