Obubaka: 61-0730M Ebiragiro Bya Gabulyeri Eri Danyeri
All posts by AutoPost7
26-1115 Okutongozebwa #4
Obubaka: 60-0522E Okutongozebwa #4
- 26-1115 Okutongozebwa #4
- 25-0525 Okutongozebwa #4
- 21-0711 Okutongozebwa #4
- 18-0708 Okutongozebwa #4 – Preliminari
- 16-0228E Okutongozebwa #4
Abakyusiddwa Abaagalwa,
Nga Tunyiga Zannya, tuba tuwuliriza Ekigambo kya Katonda nnantakola-nsobi. Kiri buli Kigambo mu kyo Mazima, buli lunyiriri mu Kyo. Tuyitiddwa ne tukuumibwa nga tuli balamu, ne tujjuzibwa era ne tuteekebwa ku bbali; nga tujjudde Omwoyo Omutukuvu, era kaakano tuli mu Nsi ya Kanani twajituukamu dda. Tetutya kintu kyonna…MPAAWO, tumanyi kye tuli.
Olw’okuba tusigadde n’Ekigambo kyE, nga bwe Yatulagira okukola, agenda kutugamba nti Yatulekera obusika. Ekyo wakikola ddi, Kitaffe? Bwe nabalonda ne nteeka amannya gammwe mu kitabo ky’Omwana gw’Endiga eky’Obulamu ng’ensi tennatondebwa.
Ekiseera bwe kyatuuka, natuma Yesu Omwana gw’Endiga, Eyattibwa okuva ku kutondebwa kw’ensi, mulyoke mufune obusika bwammwe mubeere batabani bange ne bawala bange, bakatonda abatono.
Nalina okubakebera oba temuliiko bitundu biyuugayuuga n’ebifo ebitanywedde nga sinnabateeka mu bifo byammwe.
- “Okkiriza okuzannya Eddoboozi lyange ku ntambi mu kkanisa kikyamu?”
- “Weewawo, tosaanidde kuzannya ntambi mu kkanisa.”
- “Gumusingise. Kitundu ggwe ekiyuugayuuga.”
- “Okkiririza nti Ekigambo kyange ekiri ku ntambi kyetaaga okuvvuunulwa?”
- “Weewawo, Kyetaaga omuntu aKinnyonnyola.”
- “Kitundu ggwe ekiyuugayuuga. Musambe eggere agwe ebweru. Tonnaba mwetegefu.”
Bw’oba mwetegefu, ojja kugamba nti, “Amiina” eri buli Kigambo.
- “Okkiririza nti ndi bumu jjo, leero, n’emirembe gyonna?”
- “Amiina.”
- “Okkiririza nti Eddoboozi lyange eriri ku ntambi lye DDOOBOZI ERISINGA OBUKULU ly’olina okuwulira?”
- “Amiina.”
- “Okkiririza nti Eddoboozi lyange eriri ku ntambi lijja kugatta Omugole?”
- “Amiina.”
- “Okkiririza nti malayika wange ow’amaanyi ajja kukwanjula gye Ndi?”
- “Amiina.”
Kati oli mu kunyweera. Nkukebedde okulaba oba toliimu bitundu biyuugayuuga n’ebifo ebitanywedde. Ndi mwetegefu okuggala oluggi. Nja kukuteekako Envumbo Yange. Oyise okukebejjebwa kwaNge n’obuwanguzi.
Kati kambeeko ne kyembabuulira, Abantu bange ab’omuwendo abaagalwa mu nsi z’olutambi; emitala w’amayanja ne wonna wemuli, temutya. Byonna biteredde. Nnabamanya nga ensi tennatondebwa. Nnamanya byonna ebyali bigenda okubaawo.
Nzija okubacima mangu era Mbatwale mu Kifo eteri kufa, eteri nnaku, tewali buggya, tewali kintu kyonna; okutuukirizibwa kwokka, okwagala okutuukiridde.
Okutuusa kw’olwo, temwerabira, mbawadde Ekigambo kyaNge, ggwe KIGAMBO KYANGE ekifuuse omubiri. Bw’oba olina obwetaavu bw’EKINTU KYONNA, Kyogere, olwo Kikkirize; Bwe busika bwo.
Ŋŋenda kuddamu nkuweereze Eddoboozi lyange ku Ssande eno era byonna Mbikunnyonnyole. Ngenda kuddamu okukubuulira ky’oli, gy’olaga, era butya bwe Kifaanana eyo, kati kati.
Jjangu weegatte ku Mugole Wange nga bwe mbatuuza wamu mu bifo eby’omu ggulu Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), era muMpulire Nze nga mbateeka mu bifo byammwe mmwe nga nkozesa Ekigambo kyaNge. 60-0522E Okutongoza Omwana #4
Owol. Joseph Branham
26-1108 Okutongozebwa #3
Obubaka: 60-0522M Okutongozebwa #3
- 26-1108 Okutongozebwa #3
- 25-0518 Okutongozebwa #3
- 21-0704 Okutongozebwa #3
- 19-0701 Okutongozebwa #3
- 16-0228M Okutongozebwa #3
Abatongozeddwa Abaagalwa,
Gavumenti z’ensi yonna zigamba abantu nti, “Mwetegeke, mwetegekere enkomerero. Muterekere ab’enju zammwe emmere n’amazzi mube nga mwerinze ekijja.” Ensi eri ku bunkenke. Kiki ekigenda okubaawo? Olw’enkya lujja na ki?
Tulaba obunnabbi nga butuukirizibwa mu maaso gaffe. Ensi esasika. Okutya n’okubuguutana bibunye mu nsi yonna, nga tebamanyi kijja. Biki ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso? Kiki kye tuyinza okukola? Eno y’enkomerero?
Ebyo nga biri bityo, Kitaffe Katonda naffe abadde Atulabula n’okututeekateeka. Yatuterekera dda emmere n’amazzi, era tubadde tulya ekijjulo era nga tunywa ku luzzi lwaffe olw’ensulo. Twetegese, tetwetegekedde nkomerero, wabula Kukwakkulibwa!!
Omugole wa Kristo tabangako musanyufu oba omumativu okusinga kati. Kitaffe Katonda Agamba Omugole wE omutono okwetoloola ensi yonna nti, “TEMUTYA, musanyuke. Yemmwe balonde baNge. Mbategekera Okukwakkulibwa, Olunaku lwammwe olw’embaga. Mbaggya mu kavuyo kano. Yemmwe Batabani bange ne Bawala Abatongozeddwa. Ebiseera ebyagegerwa biri mu kutuuka webiggwerako.”
Nga kujaguza kwa maanyi kwetulimu. Buli Kigambo kye tuwulira eri ffe kaba kafunfugu akalimu zzaabu. Tukasoggolayo busoggozi ne tukanya kukasiimulako ttaka likeebulungudde enfunda n’enfunda. Olwo ne tugamba nti:
“Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama.” “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama.” “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama.”
Amaaso gaffe tugatunuulizza Kaluvaaliyo, era tewali kigenda kutulemesa! Tutambulira mu Luguudo lwa Kabaka, nga tufukiddwako amafuta n’amafuta gali ag’omuwendo, nga tutambula tuyingira Awatukuvu w’Awatukuvu.
Omulabe bw’agezaako okutugamba nti tubuze era tetuli Mugole wE, tunyiga bunyizi ppeesa lya Zannya n’Aleekaana n’Atugamba nti:
Kiggye mu birowoozo byo nti ogenda kubula era ogenda kukola kino, era kino okitidde. Totya kintu kyonna , kubanga agezaako okukubuulira wa w’oli, ani gw’oli, n’engeri gy’oyimiriddemu.
Ensi eri mu KUTYA okw’engeri emu, ate mu kiseera kye kimu Kitaffe Katonda atugamba nti, “TEMUBAAKO kye mutya, Ŋŋenda kubabuulira kyemuli ne gyemulaga.” …EKITIIBWA!!
Mu bunafu bwaffe nga abantu tulemererwa buli lunaku. Tukola ensobi nnyingi nnyo. Tukola ebintu bingi nnyo bye tutasaanidde kukola. Olwo sitaani n’abitukubisa n’abitukubisa, ng’agamba nti tuyinza tutya okubeera Omugole.
Wabula tuyigirizibbwa. Tumanyi kyennyini eky’okukola: Nyiga Zannya owulire Kitaffe Katonda by’Ayogera.
Kati, oyinza okukola ebintu mu ngeri enkyamu, era buli lw’okola ekikyamu kyonna ogenda kukisasulirwa. Weewawo, ssebo, ojja kukungula ky’osiga! Wabula ekyo tekirina kakwate konna na bulokozi bwo. Bw’ozaalibwa Omwoyo wa Katonda, oba ofunye Obulamu Obutaggwaawo era oba tokyasobola kufa ddala nga Katonda bw’Atayinza kufa. Oli kitundu ku Katonda, oli mwana wa Katonda.
Kyasanyusa Katonda okututeekateekerawo. Kyasanyusa Katonda okutufuula Batabani era Bawala bE. Kyasanyusa Katonda okututongoza. Kyasanyusa Katonda okutuwa Okubikkulirwa okwa nnamaddala okw’ekyo ky’Ali ne kye tuli. Kyasanyusa Katonda okutwala malayika wE eyo ng’osomose olutimbe lw’ebiseera n’amulage FFE ku mutala guli tusobole okusanyuka era tuleme kubeera na KUTYA.
Ebyembi, entambi zino si za buli muntu. Za kkanisa ya nnabbi yokka…Ekitiibwa, abo ye ffe. Buli ddakiika gye tusobola, na buli mulundi nga tukuŋŋaanye, kye twagala okukola kwe kunyiga Zannya okuwulira Eddoboozi lya Katonda.
Abalala baabitegeera bulungi. Enjawulo eri bubeezi nti tebabiraba nga ffe bwe tubiraba. Baabitegeera kyekimu nga ffe, wabula eri ffe… Kitufaananira bulungi nnyo okukitunuulira; kubanga tumanyi nti lye kkubo lya Kitaffe Katonda ly’Ataddewo kulw’olwaleero.
Buli lunaku ensi n’abantu baayo beeyongera okwennyamira. Buli kimu kirabika nga ekyoyengera obweyongezi okukwata ekizikiza n’okujjula entiisa. Naye eri Omugole, buli lunaku luleeta okucamuka okuleetebwa Okubikkulirwa okusingawo. Tuwummudde, nga tujjudde Omwoyo wE Omutukuvu, nga tutudde wamu mu bifo eby’omu ggulu.
Wali weebuuzizzaako kyali kitya ku lunaku lwa Pentekooti bwe wajja empewo ewuuma n’amaanyi era Omwoyo Omutukuvu n’Ajjula ennyumba, na buli muntu eyaliwo?
Komya okukitebeereza obutebeereza. Jjangu otwegatteko Ssande ku 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu, mu budde bw’e Jeffersonville (z’essaawa 2(bbiri) ez’ekiro e Uganda), nga bw’Akuŋŋaanya empungu zE awamu, ng’Ajjuza ekisenge kyo n’Omwoyo wE Omutukuvu, era ng’Atuteekateekera okujja kwE okubindabinda ng’Atuliisa emmere yE eyaterekebwa. Ojja kuba olya ng’onywa ku biva mu ggwanika lyE, Eddoboozi lya Katonda ku ntambi.
Owol. Joseph Branham
Obubaka: Okutongozebwa #3 60-0522M
Ebyawandiikibwa :
Matayo 28:19
Yokaana 17:7-19
Ebikolwa 9:1-6, Essuula 18 ne 19
Abaruumi 8:14-19
1 Abakkolinso 12:12-13
Abaggalatiya 1:8-18
Abeefeso Essuula 1
Abebbulaniya 6:4-6, 9:11-12
26-1101 Okutongozebwa #2
Obubaka: 60-0518 Okutongozebwa #2
- 26-1101 Okutongozebwa #2
- 25-0511 Okutongozebwa #2
- 21-0627 Okutongozebwa #2
- 18-0617 Okutongozebwa #2
- 16-0224 Okutongozebwa #2
Omubisi Gw’Enjuki Abaagalwa,
Mwetegese, abaana ba Katonda abooleseddwa era abatongozeddwa, okutuula wamu mu bifo eby’omu ggulu, nga mwegasse n’Omugole okuva mu nsi yonna, okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga lyogera nammwe kamwa ku kutu?
Weewawo!!! Tuli beetegefu okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga litubuulira kyennyini ddala kye tuli.
Nze mbayita “omubisi gw’enjuki” kubanga kyemuli. Ye—yemmwe ba mubisi gw’enjuki bange. Omanyi ki nno? Leka…Kiikino Ekyawandiikibwa. Pawulo yagamba nti, “Kubanga mbakwatirwa obuggya (mmwe Ekkanisa yE) bwa Katonda, kubanga mbafumbiza.” Kiikyo awo kiri mw’ekyo, ky’ekyo. “ Kubanga mbafumbiza, mbagaba eri Kristo, nga omuwala omulongoofu.”
Ekitiibwa kibe eri Katonda, malayika wE atufumbizza gy’Ali. Tuli bawala abalongoofu eri Ekigambo kyE, Obubaka buno, eri Eddoboozi lyE ku ntambi. Kati tugabiddwa eri Kristo.
Tujja kuba beetegefu era nga tuli mu kusuubira okw’amaanyi ku Ssande. Tugenda kuluma ku lugalo lwaffe, tusune ku mmeeme yaffe, era tusune ku mitima gyaffe. Tujja kuba tuddamu okuleekaana omulundi omulala nate, nga tutendereza Mukama, nga tuleekaana nti “amiina, aleluuya”, ddala nga emmunyeenye ez’enkya bwe zaayimbira awamu, n’abaana ba Katonda bonna ne boogerera waggulu olw’essanyu; bwe baalaba enteekateeka y’obulokozi, Katonda bwe Yateeka amannya gaffe ku Kitabo kyE nga ensi tennatondebwa.
Tusobola okutegeera nti Taata waffe Katonda alinze, okuva ku ntandikwa y’ensi, okutuusa leero, NG’ALINDIRIRA FFE? Yalaba we twali tujja kwolesebwa mu nnaku ez’oluvannyuma, era Abadde Atulindiridde nga Asinda okusituka n’amaanyi g’Omwoyo Omutukuvu okutubikkulira ebintu eby’ekyama ebibadde bikwekeddwa n’okutuusa leero.
Okuyita mu mirembe gyonna, bannabbi balindiridde okutuusa mu nnaku zino ez’oluvannyuma ebintu bino okulagibwa. Kitaffe Katonda yagamba nti Alinze Ekkanisa yE okukula okuva ku mulembe gw’Abaluza, ogw’Ababaputisiti, ogw’Abamesodisiti, ogw’Abapentekooti, ne kaakano okutuukira ddala ku Jjinja eryo eritikkira enju okutuulako. Olwo Ekizimbe nga kiwedde okuzimba.
Ennaku ezaasuubizibwa Mukama waffe ze Yayogerako era ze yeegomba kati zigenda mu maaso era zituukirizibwa mu maaso gaffe… NE MU FFE. Kati tuli mu Kristo Yesu, nga tutudde mu mirembe egy’omu Ggulu, Emikisa egy’omu Ggulu, Omwoyo ogw’omu Ggulu, nga buli kimu kyaffe. Tuli mu Nsi ensuubize era nga tulina obwannannyini ku buli kimu mu bujjuvu.
Ezzadde lyE ebbereberye lyakula ne lyengera era ne liwuubibwa mu maaso g’Omugole wE. Omwoyo Omutukuvu n’Azzaayo amawulire eri Kitaffe Katonda n’Ayogera bw’ati ku malayika wE ow’amaanyi:
Malayika wO akula mu kisa! Akuba ebikompola mu nsiko okwerula ekkubo. Akwata endiga ezo era asobola okuzilabirira ddala nga Ggwe bw’Okikola. Taliziwa bimererezi bya ku nnyanja. Tajja kuziwa muddo gwe zinaawanda bulusu. Bwe zimwekuŋŋaanyirizaako nga zigamba nti, ‘Twagala kwegatta ku kkanisa eri,’ agamba nti, ‘Bunira, ogwo togwetaaga! Nedda ssebo. Guuguno gwe weetaaga, “Mwenenye, mubatizibwe, buli muntu mu mmwe, okuyingira mu linnya lya Yesu Kristo, okuggibwako ebibi byammwe. Munaaweebwa ekirabo gwe Mwoyo Omutukuvu.”’
“Oo, ddala bw’atyo ayogera?”
“Weewawo Ssebo, mazima ddala akikola.”
“Bwe bulungi, eyo y’engeri ddala gye nnaKiwandiikamu.”
“Eyo y’engeri ddala gy’aKyogera.”
“Omanyi ki nno? Nnalaba Ssaabalabirizi gundi-ne-gundi nga amugamba nti ‘tayinza kujja mu kibuga kino n’akuba olukuŋŋaana.’ Naye, Omanyi, nnina engeri gye nnamukulembedde, nnagambye nti, ‘Mala gagenda.’ Baamugambye nti abe mugezi aggyeyo entambi ze zonna, era aleme kuzireka kufuluma. Twamaze gagenda!”
“Oyo ye mwana waNge Atongozeddwa gwe mbadde nnindirira. Kati Nsobola okuMwogereramu ne Mbikkula ebyama byaNge byonna ebikise eri endiga Zange.”
“Taata Katonda ow’ekitalo.”
“Kati wandyagadde nkuwe amawulire ku baana bO abalala?”
“Weewaawo, bali batya?”
“Oh taata…Ogenda kubeenyumirizaamu nnyo. Kabajjo akameguddwa mu ndoddo eri ebaddengawo. Ba ssaabalabirizi abo ba k’awo kadda bakyabagamba ekintu kye kimu, obutagenda mu makanisa g’entambi ago okuwulira Eddoboozi lyO. Bagamba nti entambi si ze Ddoboozi erisinga obukulu lye bateekwa okuwulira; waliwo amaloboozi agazisinga obukulu kati.”
“Omanyi Endiga zO kye zigamba ababuulizi abo?”
“MUBUNIRE, TUGENDA KUSIGALA N’ENTAMBI, TUGENDA KUSIGALA N’EDDOBOOZI LYA KATONDA.”
“Ddala kyebakola?”
“Weewaawo Ssebo, bali ddala nga Ggwe.”
“Oh, nga kya kitalo. Ekyo kiNsanyusa nnyo. Mbadde mbalindiridde ebbanga ddene nnyo. Kati nabo beeteeseteekedde OKUTONGOZEBWA!!”
“Bagenda kubeera ku nkondo zaabwe gye bavunaanyizibwa ku Ssande eno ku 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu, mu budde bw’e Jeffersonville (z’essaawa 2(bbiri) ez’ekiro e Uganda), okuwulira Eddoboozi lyO. Bajja kuba bumu era nga bakuŋŋaanye okuva mu nsi yonna era bayite buli muntu okubeegattako.”
“Kyanjawulo, NJA KUBEERAWO NABO. ”
Owol. Joseph Branham
Akajjukizo: Tewerabira essaawa z’obudde bw’emisana z’ogenzeddwamu essaawa emu.
Obubaka : Okutongozebwa #2 60-0518
Ebyawandiikibwa:
Olubereberye 1:26
Abaefeso Essuula Esooka
Abaruumi 8:19
Abaggalatiya 1:6-9
Abebbulaniya Essuula ey’omukaaga
Yokaana 1:17