All posts by AutoPost7

26-1129 The Sixfold Purpose Of Gabriel’s Visit To Daniel

BranhamTabernacle.org

Abaagalwa Ennyo Abaagalwa,

Waliwo ebintu bingi nnyo ebikulu ebigenda mu maaso era ebituterekeddwa u ggwanika. Katonda ali mu kubikkula Ekigambo kyE era nga Akituukiriza buli lunaku. Tuli mu kuzuula ddi lwe tugenda okusituka tugende waggulu, era tuli mu tweteekateeka. Tutadde amaaso gaffe eri Katonda nga tuyita mu kusaba n’okwegayirira, era Ali mu kutubikkulira essaawa gye tulimu. Ebiseera biweddeko; Ajja okutucima, Omugole wE Omwagalwa ennyo.

Naye okusooka, Katonda Aleekaanira waggulu ng’Ayita mu malayika wE okulabula abantu bE nti balina okuMuwulira. “ BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA, Katonda tAjja kukolagana na Kkanisa Ye okutuusa lw’elikomawo mu nsi yaayo, Obubaka bw’ekiseera. Mukomeewo ku ekyo eky’olubereberye!”

Ekyo nkyagala. Bwe nsobola okuwulira nnabbi ng’ayimiridde ne BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA KATONDA, ow’oluganda, ky’ekyo. Eri nze ekyo kikimala. Ekyo kye byo byonna.

Oh, ekyo nga naffe tukyagala nnyo. Kimala ensonga mu ffe. Tuli mu kukola kyennyini ddala nga bwe Yatutendeka okukola. N’okuba, tetuvangako ku Kigambo kyE eky’olubereberye, bulijjo tusigadde n’EDDOBOOZI LYA KATONDA eryo KU NTAMBI, kubanga lye BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA!!

Tuyinza obutasobola kutegeera byonna ebyogerwa gyetuli n’ebitubikkulirwa, naye ekintu kimu kye tumanyi, tukkiriza buli Kigambo ekiri ku ntambi. Ogwo gwe muggo omutuufu ogw’okupimisa okumanya nti oli Mugole wE.

Yeffe kibinja ekyo eky’abantu nnabbi kye yalaba ng’osusse Olutimbe lw’Ebiseera.

Gaali maloboozi gaffe agaali galeekaanira waggulu nti, “Tuwummulidde ku buli Kigambo kye wayogera.”

Twegomba era tusaba nga amaaso gaffe tugatunuulizza eri Eggulu, nga tukuumye Okujja kwe.

Nga Danyeri, Awulidde okusaba kwaffe era Asse wansi okubikkula by’asazeewo eri Abayudaaya ne Yerusaalemi, n’okutuusa ku nkomerero y’okumaliriza kwa byonna; ekintu kyonna. Yagamba Danyeri nti, “Bikka ku Bigambo osse akabonero ku Kitabo okutuusa ekiseera eky’enkomerero.”

Olunaku olwo olw’ekiseera eky’enkomerero lwe kati. Tutuuse. Yeffe Mugole wE Omwagalwa ennyo gw’Abadde alindirira. Gwe Mulembe gw’Ekkanisa ogusembayo. Obubaka n’omubaka bali Bumu era bali mu kubikkula EBINTU BYONNNA. Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo okwa nnamaddala, okwassibwako akabonero okutuusa mu kiseera kino, KATI KUGGIDDWAKO EKIBIKKAKO.

Si Muperesoona omu o’w’okusatu, si Muperesoona wa kubiri, si Muperesoona wa kusatu, wabula ye Muperesoona yekka oyo owa Katonda. Ebyama bino byonna ebirala ebya Katonda bijja kubikkulwa, kubanga byawandiikibwa wano mu Kitabo kino, era bibikkuliddwa eri omulembe ogw’omu kiseera eky’enkomerero.

Ekigambo kya Katonda kitubikkuliddwa nga bwe kitabangawo okusobola okuteeka Ekkanisa mu Ntegeka essaanidde ey’Okukwakkulibwa n’okudda Eka!! Ekkanisa eteekwa OKUKOMAWO KU NTAMBI. Mukomeewo mu nsi yammwe, eri ekyo eky’olubereberye. MUKOMEEWO ERI OBUBAKA BW’EKISEERA, ERI EDDOBOOZI EBBEREBERYE ERYAKUYITA. ERI BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA.

Ku Ssande eno, gamba omusumba wo nti, “Leero ka tuwulire Eddoboozi lya Katonda eryaliwo ku lubereberye. Eddoboozi Katonda lye Yalondawo okuMwogerera. Eddoboozi erigenda okutwanjula eri Mukama waffe Yesu ng’Azze. Eddoboozi lyokka Katonda yennyini lye Yagamba nti, Nze Ddoboozi lya Katonda gyemuli.”

Tewayinza kubaawo Ddoboozi KKULU okusinga Eddoboozi eryo. Eddoboozi ffenna lye tusobola okuddamu nti AMIINA eri buli Kigambo.

Oyanirizibwa okwegatta ku kitundu ky’Omugole okwetoloola ensi yonna nga Katonda ayogera n’okubikkula embala y’ekiseera ekituufu eky’okujja kwE. Kwe kujja okuba okufukibwako amafuta okusinga obunene okwali kukubaddeko.

Tugenda kukuŋŋaana ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu, mu budde bwa Jeffersonville (ze ssaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), okuwulira: 61-0730E – “Ekigendererwa eky’emirundi omukaaga eky’okukyala kwa Gabulyeri eri Danyeri”.

Owol. Joseph Branham