22-0102 Abusoluuti

Omugole w’Obubaka bw’Omuntu Omu abaagalwa,

Nga ngubadde mwaka gwa njawulo nnyo eri Omugole. Atugasse awamu okuva mu nsi yonna nga Akozesa ekintu kyokka ekisobola okuleeta Omugole We awamu, Obubaka Bw’Ekiseera, Eddoboozi lya Katonda Lyennyini nga liyitayo Omugole We.

Era kaakano nzikiriza nti Anaatera okutuuka ku ntumbiiri eyo waggulu, okuleeta Okukkiriza okujja okukwakkula Ekkanisa okugitwala mu Kitiibwa. Era Omugole ayingiza Obubaka kul’Ebiseera ebijja mumaaso.

Okubikkulirwa kw’Obubaka buno kati kusulidde ddala ennanga buziba mu mitima gyaffe. Ebikolwa byaffe biri buteerevu n’Ekigambo. Tukimanyi nti Okuyigiriza kwaffe kuli busimbalaala n’Ekigambo, nga mpawo kyetugattako oba okutoolako ekintu kyonna ku Kyo. Eri ffe, ssi kirala okujjako Ekigambo ku Ntambi.

Abadde Atutegekera Entumbiiri y’Akamalirizo nga Atuwa okukkiriza kwetwetaaga olw’Okukakkulibwa. Okukkiriza okwo, okuli mu ffe KAAKANO. Obulamu bwa Kristo buli mu kubbulukukira muffe mungeri eyannamaddala ennyo, okuyita muffe, nga bwebwali mu Kristo.

Tusobola okulaba Obulamu bwe. “Emirimu Gyenkola nnamwe muligikola, oyo akkiriza.” Ssi oyo eyeefula nti akkiriza, oyo alowooza nti akkiriza, naye, “Oyo akkiriza.” “Oyo akkiriza nze, Emirimu Gyenkola naye aligikola.” Lwaki? Aba asudde ennanga mu lwazi lwelumu. Lwali lwazi ki? Ekigambo, bulijjo. Osimbye awo ennanga. Y’emmunyeenye yo ey’omubukiika obwa kkono bw’oba nga obuze ku nnyanja.

Tusudde ennanga buziba nnyo mu lwazi olwo. Tulwekakasa. Tulwagala. Tetutwala Kigambo kya muntu omu omulala, tusigala ne Bwatyo Bwayogera Mukama. Tuzze eri Abusoluuti waffe.

Tuli bamativu mubujjuvu era tetuliimu kabuuza. Tewakyali kubungeetabungeeta nga bwekyali mu nnaku z’abalamuzi, era ne bangi leero, buli omu bweyakolera ekyali ekituufu mu maaso ge, buli omu nga alina abusooluuuti owuwe era nga akola bukozi ekyo ky’ayagala okukola. Katonda takyusa nkola Ye, Tasobola kukikola n’Asigala nga Ye Katonda. Katonda bwabaako ky’Ayogera oba ky’Akola, Ateekwa okukola kyekimu bulijjo.

Katonda bulijjo Atuma nnabbi okukulembera abantu be. Yatusindikira nnabbi we Malayika ow’omusanvu; Omwana w’Omuntu nga Yeebikkula mu mubiri gw’Omuntu w’okunsi, okuyitayo n’okukulembera Omugole We. Entambi ly’Eddoboozi lya Katonda eri Omugole We. OYO YE ABUSOOLUTI WAFFE.

Omukyala yayambuka eyo. yakimanya. Era ekyo nkyagala, engeri gyeyajjamu. Yatuuka eri Abusooluuti We, enkondo ye.

Katonda ayita Omugole We awamu. Tajja kukyusa nkola Ye. Tajja kusindika kibiina ky’abantu okukuŋŋaanya Omugole We. Omugole We ajja kukuŋŋaanira ku Kigambo Ekitatabikiddwamu kantu kyokka, ekyo nga ly’Eddoboozi lya Katonda ku Ntambi. Bwe buweereza bwa Katonda obw’amazima kulw’olunaku lwaleero.

Tewali ngeri ndala esingako ey’okutandikamu omwaka omuggya esinga okujja awamu okuwulira enkondo, Abusoluuti waffe, nga Ayogera gyetuli. Nnandyagadde okwaniriza buli omu okujja okuwuliriza wamu naffe ku ssaawa 4 ezokumakya mu budde bwe Jeffersonville (ze ssaawa 11 ez’akawungeezi e Uganda), okuwulira Obubaka: Abusoluuti 62-1230M.

Bw’oba nga tosobola kutwegattako, nkukubiriza okulonda obubaka b’okuzannya mu maka gammwe, oba kubiriza Omusumba wo okulonda Obubaka bwemutyo nammwe musobole okutuula awamu, wansi w’okufukibwako amafuta okuliyo, era owulire Abusoluuti w’Omugole eyakakasibwa.

Owol. Joseph Branham