23-0319 Okweroboza Omugole

Obubaka: 65-0429E Okweroboza Omugole

BranhamTabernacle.org

Omu Mu Kakadde Omwagalwa,

Nkulindiridde ebbanga ddene nnyo. Ye ggwe swiitimutima wange omwagalwa, era nkwagala nnyo. Nga bwe nakusuubiza, mbadde nkukolera Amaka amaggya mwe tunaabeerera awamu obutaggwawo bwonna. Nkoze buli kimu mu ngeri ddala nga bw’okyagala.

Kati nsobola okukutunuulira ne ndaba, nga ggwe kifaananyi kyaNge kyennyini. Olina empisa zange zennyini, Ennyama yange, Amagumba gange, Omwoyo gwange gwe gumu, Byonna ebyange bye bimu, ddala. Ofuuse omu nange.

Natuma malayika wange ow’amaanyi ku nsi okukuyitayo okuva mu Lusuku Adeni olwa Sitaani. Namutuma asobole okulaga ebirowoozo byange, ebikula byange, n’okubabuulira ku bintu ebigenda okujja. Nakozesa akamwa ke n’eddoboozi lye okubyogera. Oluvannyuma lw’okubyogera, nabileetera okutuukawo, kubanga Eggulu n’ensi biriggwaawo, naye Ekigambo kyange gy’oli tekiriremwa.

Nakimanya nti bw’onoompulira nga Njogera, nga Nkozesa eddoboozi lya malayika Wange, ojja kutegeera munda mu mutima gwo, nti oyo teyali ye, yali Nze nga njogera naawe. Yali Nze nga nkuweereza akabaluwa k’omukwano, nga nkugamba nti, Nkulonze okubeera Omugole wange swiitimutima.

Mu maaso gange, tewali alinga ggwe. Mpaawo asobola kutwala kifo kyo. Osigadde nga oli wa mazima era omwesigwa gyendi. Bwe nkutunuulira, Omutima gwange guyakaayakana olw’essanyu.

Bwennakugamba, nti wegendereze nnyo swiitimutima, by’owuliriza, walibaawo abaafukibwako amafuta bangi abakozesa Ebigambo byange, naye ba bulimba. Wategeera okulabula kwange olw’Okubikkulirwa era n’osigala nga oli wa mazima era owesigwa eri Eddoboozi lyange.

Nakwenyumirizaamu nnyo bwe wasaba n’obunyiikivu okumanya kkanisa ki gy’okuŋŋaana nayo. Nakugamba okukola okusalawo okutuufu, era ne nkuwa ebyokulabirako eby’ekkanisa etuukiridde bw’eba. Wajjukira bwe nnagamba nti gonna gaba n’emyoyo egigatambulirako, era n’olonda ekkanisa etuukiridde.

Natuuka n’okukugamba nti weegendereze nnyo omusumba wo y’ani. Kale oyinza okuteebereza engeri omutima gwange gye gwabugaana essanyu bwe nnalaba ng’osigadde n’omusumba gwe nnatuma okukuleeta gyendi. Wamanya nti Mwoyo Wange Omutukuvu ye yasiisira mu nnabbi Wange okukukulembera okukuleeta gyendi.

Nzijukira olunaku lwe wali omusanyufu ennyo, era omucamufu ennyo, bwe nnayita malayika wange ne mwambusa mu kifo ekigulumivu nsobole okumulaga ka jjalibu nga bw’olifaanana. Twali tuyimiridde awo nga tukutunuulira nga bw’otambulira ku mudigido gw’oluyimba lwa Abalwanyi Ba Yesu Mwesibe Enkoba mu maaso gaffe.

Yayagala nnyo engeri mwenna gyemwali mwambaziddwa mu ngoye zammwe ez’eggwanga gye muva; nga Switzerland, Bugirimaani, n’okuva mu nsi yonna. Buli omu mu nviiri zammwe empanvu ezaali zitereezeddwa bulungi bitya. Sikaati zammwe zaali zituuka wansi buyonjo ddala. Nakyenyumirizaamu nnyo era nnali musanyufu nnyo okubalagayo mwenna gy’ali, asobole okuddayo abazzeemu amaanyi era abagambe nti yabalabayo Eyo.

Buli liiso lyali lyekaliriza Ffe. Obuwala obumu, emabega mu layini, bwe bwatandika okulobera ku bifo ebyetoolodde, yaleekaana nti, “Tokola otyo! Tokyamya nkumba ya bigere byo!”

Bwe nnakugamba nti nnali ntereka emmere gy’onoolyangako, wamanya kyennyini kyennali njogerako. Wayagala okubeera Omugole Embeerera Kigambo-Kirongoofu Wange. Sikukwatangako ng’opepeya n’omuntu omulala yenna. Bulijjo abaddenga Nze, Ekigambo kyange. Ekyo kyansanyusa nnyo.

Nkulonze, GGWE, okubeera Omugole Wange. Nze nkwagala nnyo, era nga naawe bw’onjagala. Toggwaamu maanyi, ddamu amaanyi, beera musanyufu, sanyuka, olunaku lusembera mangu lwenjijirako okukucima. Nga kinaaba kiseera kya kitalo kye Tunaaba nakyo.

Eri mmwe abasigadde, MWENENYE, ensi eri mu kubejjagala. Olunaku lumu Los Angeles ejja kuba egalamidde wansi mu ssemayanja, ddala nga bwe Nnabagamba nti bwe kiriba. Obusungu bwange bubejjagalira wansi waayo wennyini. Sijja kweyongerayo bbanga ggwanvu nga nkwatiridde ettundutundu ly’omusenyu gw’oku lubalama eryo kw’atudde. Ojja kuseerera obbire mu ssemayanja mu buziba bwa mayiro emu, kyabugazi nga bw’oli ppaka mu ssemayanja Salton. Kijja kuyitirira obubi n’okusinga ku kyaliwo ku jjuuzi wano mu Pompeii.

Ngenda kulongoosa ensi eno n’omuliro mu bbanga ttono. Nja kutta buli kimu ekigiriko n’ekiri wansi waayo. Olaba ebigenda mu maaso okwetoloola ensi yonna, ddala nga bwe Nnakugamba. Olaba Omugole Wange nga yeegattira wamu ku Kigambo kyange, ddala nga bwe Nnakugamba.

Kaakano kye kiseera. Zino z’entuuko. Weetegeke!

Essaawa y’obusungu bwe ku nsi eno ebaze. Dduka nga obudde bw’okuddukiramu bukyaliwo, era ojje mu Kristo.

____________________________________

Muyitibwa okujja okutwegattako, ekitundu ky’Omugole We, nga bwe twetegekera Okujja kwe, okuyita mu kuwulira Eddoboozi lya Katonda nga lyogera naffe era nga lituleetera Obubaka: Okweroboza Omugole 65-0429E Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bwe Jeffersonville. (Y’essaawa 1:00 (emu) ey’akawungeezi e Uganda).

Owol. Joseph Branham

Olubereberye 24:12-14
Isaaya 53:2
Okubikkulirwa 21:9