22-0710 Ebika Ebisatu Eby’Abakkiriza

Obubaka: 63-1124E Ebika Ebisatu Eby’Abakkiriza

PDF

BranhamTabernacle.org

Omukkiriza Omwagalwa,

Kirowoozeeko, Katonda, eyakola ebintu byonna n’abitegeka, yakka n’afuuka omubiri mu masekkati gaffe, okutununula. Era awo n’Atussaamu nnyo ekitiibwa n’Okubeerawo kwe okw’ekitiibwa, okuba nti Yayimirira wano ku nsi eno ey’ekibi mu nnaku ez’oluvannyuma, era n’Akakasa Ekigambo kye okuba nga k’ekyo ddala, kubanga Avunaanyizibwa ku Kigambo ekyo.

Omwoyo Omutukuvu azuukizza Ekigambo ekyo okuba ekiramu gye tuli. Kifuuse kiramu. Olw’okukkiriza tukiraba. Tukimanyi nti ky’ekyo kubanga Ekigambo kyayogera bwekityo, era Omwoyo awa Ekigambo obulamu mu ffe. Kati tugattibwa wamu Ekigambo kya Katonda ekyayolesebwa mu mubiri, ddala nga nnabbi bwe yagamba nti bwekiriba.

Omukkiriza Akikkiriza, akkiriza (ki?) Ekigambo. Si ekikwate; Ekigambo! Si ekibiina ky’eddiini; Ekigambo! Si ekyo omuntu omulala ky’agamba; Ekigambo kye kigamba! Kati, jjukira, oyo ye mukkiriza. Omukkiriza tateekako kabuuza. Omukkiriza tagamba nti, “Kiyinzika kitya? Bwemba nsobola okukifuna nga kinnyonnyoddwa!” Oyo ye mutakkiriza. Ha-haa, Omukkiriza bw’ati bw’abeera, nti, ne bwe Kiba ki, “Bwe kiba nga Kigambo, Kiba Kigambo! Ekyo kituufu.” Oyo bw’atyo ye mukkiriza.

Olina okukkiriza buli katonnyeze na buli nnukuta, na buli kimu ekyogerwa Omwo. Kiteekwa kuba nga kituufu. Bw’ogamba nti, “Ekyo sikikkiriza. Ebimu Katonda, ebimu muntu, ebimu ziba bubeezi mboozi za kuyigga.” Kale, olwo nno oba mutakkiriza. Omukkiriza tateekako kabuuza. Omukkiriza Akikkiriza, awatali kulowooza ku ngeri gye Kiwulikika oba omuntu omulala yenna ky’alina okwogera ku kyo, oba Kirabika nga ekitasoboka kwenkana wa, TUKIKIRIZA!

Buli muntu ali wano, mu buliwo, buli muntu awuliriza olutambi luno; era newankubadde nga olunaku lumu nnina okuva mu nsi eno, entambi zino zaakuwaangaala zisigalewo. Ekyo kituufu. Okiraba? Era oli mu kimu ku bibiina bino. Olina okubeera mu kimu ku byo.

Tuli mu nnaku ezisembayo era olina okutunuulira obulamu bwo olabe kibiina ki eky’abantu ky’olimu. Ogamba nti, “Nzikiriza Katonda yatuma nnabbi eyakakasibwa Empagi y’Omuliro?” Yatugamba okukkiriza buli Kigambo. Okwogera BYENNYINI DDALA ebiri ku ntambi n’obutakyusa Kigambo na kimu. Tuliramulwa ebyo by’AYOGEDDE, si ebyo omuntu omu bye yanyumya nti bye yayogera, oba omuntu omu by’agamba nti bye yali ategeeza, wabula ebyo entambi bye zoogera.

Oba, ogenda kugenda ne Koola ne Dasani, n’abo abagamba nti, “Si ye musajja omutukuvu yekka. Abantu abalala bayitiddwa okukola ebintu bino bye yakola. Mutikka nnabbi wa Katonda omugugu ogumususse. Omwoyo Omutukuvu y’atukulembera kati. Guno mulembe gya njawulo”.

Oli mu kimu ku bibiina bino. Mu mbeera yo eya kati, gy’olimu kati kati, embeera y’okutegeera kwo gy’olimu kati, okuba nga, ggwe ali wano mu abampuliriza bano abalabika, ko naawe ajja okuba mu balimpuliriza bessirabako wano ab’olutambi luno, embeera yo ey’okutegeera kwo gy’on’oba nayo oluvannyuma lw’okuwuliriza olutambi luno, ekukakasa kibiina ki ky’olimu. Egenda kuba ekubuulira wennyini ddala w’oli, oba oli mukkiriza mu Kigambo era nga ojja kusigala nakyo oba on’ofuluma, oba on’oggyako olutambi.

Erinnya lya Mukama Litenderezebwe, tuli BAKKIRIZA aba nnamaddala, so si omuntu omu asikirizibbwa omuntu omulala; si lwa kintu kirala, wabula Omwoyo Omutukuvu Atubikkulidde Ekigambo kyennyini. Tulaba Ekigambo nga kya lwatu, nga kikakasibbwa era nga k yolesebbwa.

Tugezesebwa n’ebigezo, amakubo ag’enfuufu, omusana ogw’okya ogw’okuyigganyizibwa, naye obwesigwa bw’emitima gyaffe butujja matiiriyo wa Kigambo. Kati tuli beetegefu okugenda mu kikula kiri. Tuli baana ba Katonda, abakoleddwako obulungi butuukirivu ddala ku Kigambo kye. Tuli byakulabirako ebiramu, era Ekigambo kya Katonda kiramu era kikolera mu ffe. Ebigezo bijja okutukankanya, okututeekera ddala ku ntobo, tulabe wetunaayimirira. Naye tetusobola kusigulwa, tuyimirira ku buli Kigambo.

Wuliriza nga bw’Akubuulira ky’oli.

Jjukira bujjukizi nti buli kitundu kyo kyali wano, Katonda weYayogerera ekigambo ensi n’ebeerawo. Omubiri gwo Yaguteeka wano mu kiseera ekyo kyennyini. Era tewali kiyinza kuguggyawo okuggyako Katonda.

Tewali kiyinza KuKikuggyako. Tewali ayinza kutwala kifo kyo ne bw’oba ​​mutono otya. Ogamba nti, “Nze ndi mukyala wa waka kyokka.” Tewali asobola kutwala kifo kyo! Katonda, mu mbalirira Ye ey’ekitalo, bw’Atyo bw’Ategese Omubiri gwa Kristo, okutuusa nga tewali n’omu asobola kutwala kifo kyo.

Ekitiibwa… Aleluya… Okuwuliriza Emmere ya Katonda eterekeddwa kiri kweyongera bweyongezi okuba EKY’EKITALO. Gyetukoma okuwulira Katonda ng’Ayogera okuyita mu mubaka we gwe yalonda ng’Atubuulira kye tuli, Okukkiriza kwaffe gye kukoma okweyongera. Essanyu ery’amaanyi ery’okumanya nti:

Ye ffe “BAKKIRIZA ABANNAMADDALA” .
Ye ffe “OMU KUBO” .
Ye ffe “MUGOLE” .

Njagala OKUBAANIRIZA OKUNYIGA ZANNYA wamu nange, ko ne Branham Tabernacle, n’ekitundu ku Omugole okuva mu nsi yonna ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu mu budde bwa Jeffersonville (y’essaawa emu ey’ekiro e Uganda), nga bwe tujja okuba nga tukuŋŋaana okuva mu Buvanjuba, Obugwanjuba, Obukiikakkono n’Obukiikaddyo okuwulira: Ebika By’Abakkiriza Ebisatu 63-1124E. Kino Omwoyo Omutukuvu ky’Atukulembera okukola. Eri ffe, eno ye pulogulaamu ya Katonda.

Nyiga Zannya: Olutambi lwonna Katonda lw’A teeka ku mutima gwo.

Nyiga Zannya: Wuliririza mu budde bwonna bweweerondera.

NYIGA ZANNYA: Bwe bubaka bwange gye muli.

Owol. Joseph Branham.

Omut. Yokaana 6:60 – 71