Obubaka: 65-0718M Okugezaako Okuweereza Katonda Nga Katonda Si Bw’Ayagala
- 26-0426 Okugezaako Okuweereza Katonda Nga Katonda Si Bw’Ayagala
- 24-0721 Okugezaako Okuweereza Katonda Nga Katonda Si Bw’Ayagala
- 23-0101 Okugezaako Okuweereza Katonda Nga Katonda Si Bw’Ayagala
- 21-0905 Okugezaako Okuweereza Katonda Nga Katonda Si Bw’Ayagala
Omugole Ayagalwa ennyo Omwagalwa,
Obudde buyise. Ekiseera kituuse. Okusalawo kulina okukolebwa. Katonda alabula abaana be. Mukama Katonda waffe atubulidde era n’atukakasa amazima ge kye gali mu kigambo kye, n’Omwoyo gwe. Si lwa maanyi, si lwa buyinza, wabula lwa Mwoyo Wange, era Ekigambo Kyo ge Mazima.
Akakasizza ddala Omugole leero nti Yesu Kristo y’omu eggulo, leero, n’emirembe gyonna. Atulaze era atubikkulidde Obubaka n’omubaka w’essaawa bye bimu. Atubikkulidde ebyama bye byonna ebyali bikwekeddwa mu Kigambo. Atukakasizza n’Omwoyo we Omutukuvu. Tewali kibuuzo mu birowoozo byaffe, mu mitima gyaffe oba mu mmeme zzaffe. Eddoboozi lye ku ntambi liri BW’ATI BWAYOGERA MUKAMA ERI MUGOLE WE.
Katonda bulijjo akkirizza engeri nnyingi ez’okujja gy’ali. Aletera okwagala kwe okutatuukiridde okuyingira mu kwagala kwe okutuukiridde. Era bulijjo abadde awa ABAANA BE OKWAGALA OKUTUUKIRIDDE N’ENGERI EY’ETUUKIRIDDE. Bangi bagezaako okujja mu ngeri ey’enjawulo nga bakolera Katonda omulimu nga tekuli mu kwagala kwe okutuukiridde. Kiyinza okulabika n’okuwulikika ng’okwagala kwe okutuukiridde, naye nga tekusinziira ku Kigambo kye.
Nga musajja wakitalo, eyaakafukibwako amafuta, ng’ava mu Kubeerawo kwa Katonda kwennyini, yafuna okubikkulirwa Okubaako kyakolera Katonda, era n’ayagala okukikolera Katonda; naye okubikkulirwa kwe yalina kwali kukyamu.
Buli omu ku ffe tulina okufuna ekkubo lye erituukiridde eryatuweebwa. Tulina okumanya tutya nti tuli mu kwagala kwe okutuukiridde singa omuntu eyafukibwako amafuta mu mazima, ng’ava mu maaso ga Katonda gennyini, n’okubikkulirwa, ali mu kwagala kwa Katonda okutuukiridde?
Waliwo ENGERI EMU YOKKA Y’OKUMANYA MU BUTUUFU, era Katonda ataddewo ekkubo eryo eri Omugole we.
Eddoboozi lya Katonda yennyini litegeezezza ekkanisa eno, na mmwe mwenna abantu abali ku ntambi, n’abantu abali ku buyungiro bwamasimu okubuna ebitundu by’ensi ebirala, luli ne KAAKATI. Yatugamba tuwulirize by’ayogera bulungi ddala, neri ffe OBUTALEMERERWA.
Kale nange ŋŋamba, mu Linya lya Yesu Kristo: Togattako kintu na kimu, totolako, kukiteekamu ebirowoozo byo, yogera bwogeze ebyogeddwa ku ntambi ezzo, kola bukozi ekyo kyennyini Mukama Katonda ky’alagira okukola; toyongera ku Kyo!
Teyagamba, era tekitegeeza, nti ababuulizi tebasobola kubuulira Kigambo, abasomesa tebasobola kuyigiriza Kigambo, oba abasumba oba bannabbi okukola ekyo kye twayitilwa okukola; balina, nange nteekwa. Tuyitiddwa era ne twawulibwa okukikola. Tulina okusonga n’okujuliza Obubaka buno n’omubaka eri abantu, kubanga Kye Kigambo eky’olunaku lwaffe.
Naye atugamba bulungi nti ffenna tusobola okufukibwako amafuta, n’okufukibwako amafuta okwa nnamaddala, nga tujjudde Omwoyo we Omutukuvu, n’okubikkulirwa okupya, ne tubeera wabweru w’okwagala kwe. Mu kiseera kyaffe, atuwadde ENGERI ENTUUFU okumanyira ddala nti tuwulira Ddoboozi lya Katonda, okuva eri Katonda yennyini. Y’engeri YOKKA etuukiridde.
Obuweereza tebulina kukoma bukomi ku kujuliza na kubuulira Bubaka buno, tulina okuzza nnya Eddoboozi lya Katonda ku ntambi eri abantu. Tewali KUFUKIBWAKO MAFUTA KUKULU okusinga okuwulira Ddoboozi lya Katonda. Tewali ngeri ndala yonna gye tuyinza kumanya awatali kisiikirize kya kubuusabuusa kye tuwulira kyekyo DDALA Katonda kye yayogera.
Mu lunaku luno, nga tewali lunaku lulala mu byafaayo by’ensi, Katonda ataddewo ekkubo erikiletera obutasobora kukisubwa, bw’oba oli Mugole We Eyateekebwateekebwa. Kikakasibwa era ne kibikkulwa Empagi y’Omuliro yennyini okuba Eddoboozi lya Katonda lyennyini ng’ayogera butereevu eri Ekkanisa Ye.
Okuyita mu byaasa byonna, abaana ba Katonda beegombanga era n’okulumwa enjala okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga bbo. Nga baagala nnyo ssinga baaliyo ku lunaku olwo Yesu bwe yabuulira enkumi n’enkumi z’abantu abaali ku lusozi. Okuwulira engeri gye yayogeranga mu Ekigambo kye n’okwagala n’okusaasira. Okuwulira engeri gye yassa essira ku buli Kigambo. Engeri gye kyandiyogedde n’okuzzaamu emitima gyabwe amaanyi.
Tubeera kaakati mu Maaso ga Katonda nga tuwulira Eddoboozi lya Katonda.
Olunaku lumu mu bbanga ttono nnyo tetujja kuddamu kudda mu bulamu obw’ekika kino. Tujja kudda ng’ebitonde ebitafa. Ekibi kijja kuggwaawo. Sitaani ajja kusibibwa okumala emyaka lukumi era tujja kubeera ku nsi eno Mukama Katonda waffe gye yatuwa.
Tujjuziddwa 100%. Tetubangako basanyufu oba okuddamu okwebuuza mu bulamu bwaffe. Tuli Bumu naye n’Ekigambo kye. Ffe tuli Kigambo kye. TULI MU KWAGALA KWE OKUTUUKIRIDDE NGA TUSIGALA N’EDDOBOZI LYE, EKIGAMBO KYE. Ajja kuba akomawo olunaku lwonna kati okututwala awamu naye.
Webale Mukama Yesu!
Mukama Katonda wo Amazima agakubuulidde. Mukama Katonda wo Amazima agakakasizza, nga akozesa Ekigambo Kye n’Omwoyo We. “Si lwa maanyi, si lwa buyinza, wabula lwa Mwoyo Wange.” Ate, Omwoyo, “Katonda anoonya abo abamusinziza mu Mwoyo ne mu Mazima.” “Ekigambo Kyo Mazima.” Era akakasirizza ddala nti Yesu Kristo y’omu jjo, leero, n’emirembe gyonna. Abalaze Ensigo ez’akawungeezi. Azibabikkulidde, mu Kigambo. Azikakasizza gye muli, nga akozesa Omwoyo We.
N’omutima gwange gwonna mpita buli omu ku mmwe okujja okwegatta ku kitundu ky’Omugole We nga bwe twegatta okuva mu nsi yonna ku ssaawa 12:00 P.M., obudde bwa Jeffersonville, okuwulira Eddoboozi lye nga lyogera okuyita mu mubaka we malayika ow’omusanvu n’okutuleetera Obubaka: Okugezaako Okuweereza Katonda Nga Si Bw’Ayagala 65-0718M.
Ow’oluganda Joseph Branham.
Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnawulira Bubaka:
Ekyamateeka 4:1-4 / 4:25-26
1 Ebyomumirembe 13
1 Ebyomumirembe 15:15
Zabbuli 22
Makko Omutukuvu 7:7
Yoweeri 2:28
Amosi 3:7
Malaki 3.
Matayo Omutukuvu 11:1-15
1 Abakkolinso 13:1