26-0329 MERUKIZEDDEEKI ONO Y’ANI

Obubaka: 65-0221E MERUKIZEDDEEKI ONO Y’ANI

BranhamTabernacle.org

Omugole Ow’obulamu Obutaggwaawo Omwagalwa,

Lya’ni Eddoboozi eryo eryogerera naffe ku ntambi?

Tusobola okumanya kyokka eky’okuddamu ku kibuuzo ekyo nga tuyita mu Kubikkulirwa okuva eri Katonda. Omugole we yekka eyategekebwa edda y’ajja okuba n’Okubikkulirwa okwo. Bwetutyo, tulina okunoonyereza mu Kigambo kye okutegeera ani gwe yagamba nti: Omuvvuunuzi yekka ow’Ekigambo kye. Ani yandibebudde n’abikkula Envumbo Omusanvu? Ani yandibikkudde ebyama byonna ebikusike ebiri mu Baibuli? Ani anaakoowoola n’akulembera Omugole we? Ani agenda okuba n’Eddoboozi erinatakola nsobi?

Okusinziira ku Kigambo, si mulala wabula Merukisedeeki, Ye kennyini. Omusajja atalina kitaawe wadde nnyina, Atalina ntandikwa wadde enkomerero y’ennaku. Katonda, eyayambala omubiri n’alya ennyama n’akawunga , n’anywa Amata, n’ayogera ne Ibulayimu. Yali Muntu alina enkula y’omuntu, ng’abeera mu mubiri gw’omuntu.

Ekigambo ekyo kye kimu ky’agamba nti Merukizeddeeki, Omuntu oyo, ekikula kyo omuntu oyo, ajja kuba mulamu era yeeyolekera nate mu mubiri gw’omuntu nga bwe yakola eri Ibulayimu, olwo nate mu Yesu Kristo; naye leero, mu malayika we ow’omusanvu omubaka we Okubikkulirwa 10:7.

Omwoyo we ajja kusanikira weema eyo ey’oku nsi asobole okwogera n’okwebikkulira Omugole we. Katonda yennyini ng’abeera era ng’ayogelera mu mubiri gw’omuntu. Ensigo ye eyasooka eyadizibwawo mu bujjuvu yali etuuse mu kukula kwayo mu bujjuvu. Enteekateeka ya Katonda enzijuvu yali etuuse; Katonda n’omuntu baali Omu. Katonda yali ayogera mimwa ku kutu eri Omugole we nga bwe yayogera eri Ibulayimu.

Yayingira n’abeera mu ekyo, mu Muntu wa Merukizeddeeki, olwo oluvannyuma tetwaddamu kuwulira ku Merukizeddeeki, kubanga yafuuka Yesu Kristo, Merukizeddeeki yali Kabona naye n’afuuka Yesu Kristo, kati, ekyo mwakyebalama, kubanga mu kifaananyi ekyo yali amanyi byonna, era ekyo tokisobola kukimanya n’okutuusa kati.

NAYE…!! Olwo ffe baani?

Amaaso gaffe, ekigera kyaffe, kyonna kye twali, twali mu ndowooza ye ku ntandikwa. Nga tewannabaawo Malayika, emmunyeenye, Bakerubi, oba ekintu ekirala kyonna. Yakirowooza, N’akyogera, era wano we tuli.

Ekyo tekirina kkomo. Tetusobola kukitegeera mu birowoozo byaffe, naye oyo ye Katonda. Katonda, atalina kkomo!

Olw’okuba twali mu Ye mu ntandikwa, kiki ekitutuukako oluvannyuma lw’obulamu buno obw’okufa wano ku nsi okuggwa?

Ekyambalo kino eky’omubiri bwe kisuulibwa, wabaawo omubiri ogw’obutonde, theophany, omubiri ogutakolebwa na ngalo, wadde ogutazaalibwa mukazi, gwe tugendamu. Olwo omubiri ogwo ne gudda ne gugyayo omubiri ogwagulumizibwa.

Nga bintu ebyewuunyisa ebitegekeddwa Omugole We. Laba ebigenda mu maaso mu kiseera kino nga bw’atubikkulira ekigambo kye nga bwe kitabangawo. Yogera ku bbaluwa y’omukwano eri Omugole We! Nga lunaku luno lwetulimu.

Tulina Okubikkulirwa era tukimanyi nti ye Merukizeddeeki, Eddoboozi lya Katonda, ng’ayogera naffe ku ntambi. Tulina Okubikkulirwa kwe kwe kwagala kwa Katonda okwaweebwa era okutuukiridde olwaleero. Bwetutyo, TUMANYI YE YAANI ERA TULI MUGOLE WE.

Okubikkulirwa okwo kweyongera obunene buli lunaku. Buli lunaku oluyitawo lutuleetera essanyu elingi, Okubikkulirwa okusingawo. Omugole yeetegeka ng’atudde mu maaso g’Eddoboozi lye, nga bw’atubuulira kye tuli, engeri gy’atwagala, engeri gy’atayinza kulinda ewatali naffe!!!

Jjangu, weetegeke ku ssaawa 12:00 P.M., mu budde bwa Jeffersonville, kw’ebyo ebinaatera okubaawo, nga bwe tuwuliriza Eddoboozi lya Merukizeddeeki

Ow’lugands. Joseph Branham.

Obubaka: 65-0221E “Merukisedeki Ono Ye Ani?”

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma:

Olubereberye Essuula ey’ekkumi n’omunaana
Okuva 33:12-23
Yokaana Omutukuvu 1:1
Abaruumi 8:1
2 Abakkolinso 5:1
1 Abasessaloniika 4:13-18
Timoseewo Asooka 3:16 / 6:15
Abebbulaniya 7:1-3 /13:8
Okubikkulirwa 10:1-7 / 21:16