Obubaka: 63-0320 Akabonero Ak’okusatu
- 25-0330 Akabonero Ak’okusatu
- 23-0806 Akabonero Ak’okusatu
- 22-0213 Akabonero Akookusatu
- 21-0207 Akabonero Ak’okusatu
- 19-0414 Akabonero Ak’okusatu
- 17-0401 Akabonero Ak’okusatu
Kaawa ow’Omwoyo Omwagalwa,
Ka ntandike ebbaluwa yange leero ne bbomu nnamuzisa ya atomu ya Katonda; si mmundu ya kisasi kimu , wabula BBOMU NNAMUZISA eri Omugole wa Yesu Kristo.
Kati, bw’oba oyagala okubiwandiika; ddala, mwenna mubimanyi: Yesu, Yokaana 14:12; ne Yoweeri, Yoweri 2:38; Pawulo, Timoseewo Eky’okubiri 3; Malaki, essuula ey’okuna; ne Yokaana omubikkulirwa, Okubikkulirwa 10:17, 1-17. Laba, kyennyini ddala ekyali eky’okubeerawo kati!
Ekirango n’okulabula: Okunokola kuno wammanga si kukwo bw’oba okkiririza.
“Nnabbi wa Katonda tumutikka emigungu mingi.” “Toyinza kubeera Mugole singa owuliriza nnabbi kyokka.” “Okuzannya entambi mu kkanisa kikyamu.” “Ttooci ekwasiddwa omulala; ekisinga obukulu leero kwe kuwuliriza obuweereza.” “Okunyiga zannya ffenna mu kiseera kye kimu kiba kibiina kya ddiini.”
Eri ekkanisa, Kye ki? Ekigambo ekiweereddwa omubiri nga kifuuse omubiri nate mu masekkati g’abantu be! Okiraba?
KABOOM…Kale nga tunyiga zannya, tusobola okuwulira Ekigambo ekyafuuka omubiri nga kifuulibwa omubiri, nga kyogera kamwa ku kutu gye tuli nga bw’Abikkula Ekigambo kye.
Era omuntu asobola okugamba nti Si lye DDOBOZI ERISINGA OBUKULU LY’OSOBOLA OKUWULIRA? Ekitundu kino mu kunokola kikyo.
Era tebakikkiririza bukkiriza .
Mukama gy’Akoma okutuwa Okubikkulirwa okw’Ekigambo kye, n’ekyo kye tuli, buli muntu ali ebweru w’Okubikkulirwa okwo gy’akoma okutubeera awala.
Ka njogere ekyo, ddala, kale ojja…kijja kunnyikira munda ddala. Njagala kino kitegeerebwe. Eyo y’ensonga ebateganya leero, mulaba, temumanyi Kigambo! Okiraba?
Katonda alinayo abasajja abaafukibwako amafuta okubuulira Obubaka Buno, wabula waliwo Abusoluuti omu yekka: Ekigambo. Bw’owulira omuweereza, oba omuntu yenna ng’ayogera, oteekwa okuba n’okukkiriza okukkiriza nti by’ayogera by’ebyo BYENNYINI DDALA nnabbi wa Katonda byeyamala edda okwogera. Ekigambo kyabwe, okubikkulirwa kwabwe, okuvvuunula kwabwe kuyinza okulemererwa; Eddoboozi lya Katonda ku ntambi TERIRI LEMERERWA.
Yogera ku Katonda mu binyoomebwa nga onyiga zannya…Akyogera NATE.
Bamusubwa, Ekigambo ekiramu ekyoleseddwa mu mubiri, olw’Ekigambo ekyasuubizibwa. Ekigambo kyasuubiza okukola ebintu bino. Ekisuubizo kyakolebwa, nti kijja kuba bwe kiti mu nnaku ez’oluvannyuma.
Wuliriza Okubwatuka kwe. Ekibwatuka lye Ddoboozi lya Katonda. William Marrion Branham ye Ddoboozi lya Katonda eri omulembe guno.
Omu—Omugole tannafuna kudda buggya. Okiraba? Tewabaddewo kudda buggya kubaawo, newankubadde Katonda okweyolesa okukuma omuliro mu Mugole n’okutuusa kati. Okiraba? Tuli mu kinoonya kati. Kijja kwetaagisa Ebibwatuka ebyo omusanvu ebitamanyiddwa emabega eyo, okuddamu okumuzuukusa, olaba. Weewaawo. Ajja kubiweereza. Yakisuubiza. Kati tunula.
Oyinza okukinyoola bw’oba oyagala, wabula Ebibwatuka Omusanvu bijja kuwa Omugole okucamuka okuleetebwa Okubikkulirwa n’okukkiriza okw’okukwakkulibwa, okujja mu ngeri emu yokka eyo nga ye Omwoyo Omutukuvu ng’Ayogera ng’Ayita mu nnabbi wa Katonda. Kigenda mu maaso KATI KATI okwetoloola ensi yonna. Katonda alina Omugole We Acamuse n’Ekigambo kyE.
Si ekyo kyokka, wabula amaze n’okugamba omulabe waffe eky’okukola.
Emikono gyo gikuume nga tegibakoonako. Bamanyi gye balaga, kubanga bafukiddwako amafuta gange. Era olw’okuba nga bafukiddwako amafuta gange, balina omwenge essanyu, ‘kubanga bamanyi Ekigambo kyange eky’ekisuubizo, Ŋŋenda kubazuukiza nate.’ Abo tolumya! Togenda ng’ogezaako okubatabulatabula.
Agambye omulabe waffe akuumire amagalo ge amakyafu okuva wetuli. Wabula obulwadde bukyayinza okutulumba? Weewaawo. Tukyalina ebizibu? Weewaawo. Wabula era Yatugamba eky’okukola.
Kya buziba. Kisome mpola mpola era okiddiŋŋane emirundi n’emirundi.
Nga tekinnaba Kigambo , kiba kirowoozo. Era ekirowoozo kiba kirina okutondebwawo. Kaale. Kale, ebirowoozo bya Katonda byafuuka ebitondeddwawo bwe byayogerwa, okuyita mu Kigambo. Awo w’Akyanjula gyo— gy’oli ng’ekirowoozo, ekirowoozo kyE, era ne kikubikkulirwa. Olwo, kisigala kirowoozo okutuusa lw’okyogera.
Ebirowoozo bye byafuuka ekitondeddwawo bwe byayogerwa. Olwo, ebirowoozo bye byayanjulwa era ne bitubikkulirwa nga biri mu ngeri y’Ekigambo. Kaakano Kikyali kirowoozo ekiri naffe okutuusa lwe tuna Kyogera. N’OLW’EKYO TUKYOGERA… ERA TUKIKKIRIZA.
Yenze Nsigo Ennangira eya Ibulayimu. Yenze Mugole wa Kristo. Nnalondebwa era nnategekerwawo nga ensi tennatondebwa okubeera Omugole we, era tewali kiyinza kukikyusa ekyo. Buli kisuubizo ekiri mu Baibuli kyange. Kye Kigambo kye gyendi. Ndi musika w’Ekisuubizo kyennyini. Ye Mukama Katonda awonya endwadde zange zonna. Kyonna kye nneetaaga kyange, Katonda bw’Atyo bwe yagamba.
Katonda mu Binyoomebwa: Okukkiriza kujja na kuwulira, okuwulira Ekigambo. Ekigambo kijja eri nnabbi.
Buli muntu ayagala okukozesa “OKUNOKOLA” okulaga nti ebirowoozo bye bituufu, okuyiiya kw’ebiriiwoozo bye, obubaka bwe. Era batuufu, nange bwentyo, eyo y’ensonga lwaki byonna bye mbawa kuba kunokola okubagamba nti: Musigale n’Entambi. Muwulirize Eddoboozi eryo. Eryo lye Ddoboozi lya Katonda. Olina okukkiriza buli Kigambo ekiri ku Ntambi, so si omuntu mulala yenna ky’ayogera. Eddoboozi eryo LYE DDOBOOZI ERISINGA OBUKULU LY’OTEEKWA OKUWULIRA.
Abalala bakozesa okunokola okubaleeta mu buweereza bwabwe, mu kkanisa yaabwe, mu kuvvuunula kwabwe, mu kubikkulirwa kwabwe. “Sigala n’omusumba wo.” (Kale, nange okwo nkwagala, kubanga tukikola, enjawulo eri bubeezi nti omusumba tulina mulala.) “Si ke kayinja kokka akali ku lubalama.” “Tagambangako nti muzannye entambi mu kkanisa.”
Tokiteekako kuvvuunula kwonna okwa ssekinnoomu. Ayagala omulongoofu, atatabikiddwamu birala, tayagla wadde okupepeya. Ssandiyagadde mukyala wange kupepeya na musajja omu omulala. Era bw’otanula okutambula nga bw’owuliriza engeri yonna ey’okukubaganya ebirowoozo, esukka ku Ekyo, oba oteze okutu, oba opepeya ne Sitaani. Amiina! Ekyo tekikuleetera kuwulira ng’oli mu nzikiriza? Katonda ayagala osigale nga totabikiddwamu birala. Sigala awo wennyini n’Ekigambo ekyo. Sigalira ddala awo na Kyo. Kaale.
Naye nze n’ennyumba yange, tujja kunyiga zannya tugoberere Ekigambo kya Katonda ekyafuuka Omubiri nga Kyogera nga kiyita mu malayika we omubaka ow’omusanvu. Tetujja kuKyongerako kuvvuunula kwaffe nga ba sekinnoomu; tetujja kupepeya oba okuwuliriza okukubaganya ebiroowoozo okw’engeri yonna. Tujja KUSIGALA N’EKIGAMBO EKYO NGA BWE KYAYOGERWA KU NTAMBI. Ye Katonda mu Binyoomebwa.
Nga kiseera kya kitiibwa kye tugenda okuba nakyo Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga bwe tuwulira: Akabonero Ak’Okusatu 63-0320 . Njagala okukuyita okutwegattako nga bwe twegattira awamu okwetoloola Ekigambo eky’olwaleero.
Owol. Joseph Branham
Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnawulira Bubaka:
Omut. Matayo 25:3-4
Omut. Yokaana 1:1, 1:14, 14:12, 17:17
Ebikolwa 2 Essuula
I Timoseewo 3:16
Abebbulaniya 4:12, 13:8
I Yokaana 5:7
Eby’Abaleevi 8:12
Yeremiya Essuula 32
Yoweri 2:28
Zekkaliya 4:12
Ka ntwale omukisa guno okuddamu okukitangaaza obulungi. Siwakanya buweereza bwa mirundi etaano. Nzikiririza mu buweereza obw’emirundi etaano. Siwulira muli nti kikyamu okuwuliriza omuweereza. Nzikiriza nti olina okuwuliriza omusumba wo Katonda gy’akutadde. Ensonga yange eri nti, nzikiriza nti Katonda yatuma nnabbi mu lunaku lwaffe. Katonda Yabikkula Ekigambo kyE eri nnabbi wE. Nnyinza okuba omukyamu, omusumba wo ayinza okuba omukyamu, wabula TUTEEKEDDWA okukkaanya (bwe tuba tugamba nti tukkiriza OBUBAKA BUNO nti ge mazima era nti Ow’oluganda Branham ye nnabbi wa Katonda) ebyayogerwa ku ntambi biri Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama. Ekyo bw’oba tokikkiriza, olwo oba tokkiriza Bubaka buno. Bwentyo, nzikiriza nti lye DDOBOZI ERISINGA OBUKULU LY’OTEEKWA OKUWULIRA. Tekikweetagisa kumpulira nze, tekikweetaagisa kuwulira muntu mulala yenna, wabula OTEEKWA OKUWULIRA EDDOBOOZI ERYO KU NTAMBI.