Obubaka: 65-0118 Ensigo Ekontana N’ey’Amazima
Omu Ku Bwo [Obw’Entambi – muvvuunuzi] era Omu ku Bo Abaagalwa,
Abantu bwe batubuuza,
Ekibuuzo: Oli omu ku bantu b’olutambi abo ba “Nyiga Zannya” abakkiriza nti Katonda yatuma William Marrion Branham okuyitayo Omugole wa Katonda?
Okwanukulwa: WEEWAWO, ndi omu ku bo.
Ekibuuzo: Okkiriza buli Kigambo ekyayogerwa ku Ntambi ezo?
Okwanukulwa: MUKAMA YEEBAZIBWE, ndi omu ku bo.
Ekibuuzo: Olwo oba oteekeddwa okukkiriza ne kino nti oteekwa Okunyiga Zannya owulire Eddoboozi lyE okusobola okubeera Omugole wE?
Okwanukulwa: Ekitiibwa, ekyo kyennyini kyendi, oyo yenze okutuukira ddala ku kikolo… Ndi omu ku bo.
Ekibuuzo: Kyogezaako okuŋŋamba, okkiririza ddala nti oli Nsigo yE Ennangira, ennonde, gye Yeeroboza, eyategekerwawo okuva ku kutondebwa kw’ensi okukkiriza Ekigambo kyE, okubeera Omugole wE, era nga otuukiridde mu maaso gE, nga tooliko kibi kyonna, era mu ngeri ennyangungu tekisoboka gwe okulimbibwa?
Okwanukulwa: Aleluuya, watuuse dda, oyo yenze kikumi mu kkumi ku kikumi, NDI OMU ku BO.
Okusinziira ku Yesu Mwene yeffe kuvvuunula kw’Ekigambo kyE. Abaana b’Obwakabaka buli. Okulabisibwa kw’Omwoyo Omutukuvu. Ezzadde ly’Obwakabaka buli ery’omulembe guno.
Omanyi nno? Kye kiseera buli omu okumanya kyennyini kyetuli waleme kubaawo nsobi. Katuleke Katonda ayogere nga Ayita mu nnabbi wE kyonna akikukuŋŋaanyirize.
Amaanyi geegamu ago agaayogera Ekigambo ensi n’etondebwawo okuva mu Kyo gali mu bantu abo abalina Omwoyo Omutukuvu. Ekyo kituufu. Abasajja n’abakazi, ky’ekiseera tube nga twazudde kiki ky’oli. Omulabe agezaako okukukweka emabega, nga akugamba nti oli kantu akamu akabubiddwa ekigangabwa ne kafuuka kabwa kagonvu. Ekyo si ky’oli. Muli batabani era bawala ba Katonda.
Obulamba bwa Katonda tebuli mu Ggulu. Buli mu mmwe. Aleluuya!
A: Obulamba bwa Katonda tebuli mu Ggulu, buwangaalira era butudde mu buli omu ku ffe!
Buli lunaku, buli mukka gwetussa, Okubikkulirwa kw’Atuwadde okw’ekyo kyetuli kweyongera era kweyongera. Yeffe Kigambo ekiramu nga kitudde mu mubiri.
Kino tukimanyi kubanga Atuwadde Okubikkulirwa kw’ani gwe yatuma mu lunaku lwaffe; ani Katonda Mwene gwe Yagamba nti alituma okubuulira n’okuyigiriza Ekigambo kyE mu Okubikkulirwa 22.
Nze Yesu ntumye malayika wange okubategeeza mmwe ebyo mu kkanisa.
Yatuma malayika wE: William Marrion Branham, okwogera mu KKANISA ZE. Ekyo tekikwetaagisa na kubikkulirwa, weesomerako bwesomezi.
Okusinziira ku Kigambo, kino kye kiseera ekisingayo okuba eky’okukkirizisa abantu abantu ebintu ebitali bituufu [deceiving mu nkuluze y’olungereza kigamba “cause someone to believe an untruth” – Omuvvuunuzi] ekyali kibaddeyo mu byafaayo by’ensi. Omwoyo gw’amazima n’obulimba giriba gisembereganye nnyo kirikkirizisa abalonde ebintu ebitali bituufu oba nga kiyinzika.
Katonda yatuma MALAYIKA WE eri amakanisa. Tulina Eddoboozi lyE ku ntoli z’engalo zaffe. Tusobola okuwulira kyennyini-nnyini Kigambo ku Kigambo ekyo kye Yayogera. Tekyetaaga kutangaazamu yadde okuvvuunulwa amakulu, Omugole kye yetaaga kyokka okukukola kwe KUNYIGA ZANNYA era AKKIRIZE.
Yatulabula, temwetantala okukyusa ennukuta emu newankubadde akatonnyeze akamu ku ntambi ezo. Temuziteekako ntegeera yammwe oba endowooza yammwe, muwulirize buwuliriza Ddoboozi lyaNge era mukkirize. Okutuusa olunaku luno, ekyo tekisobosenga, wabula leero kisoboka kubanga lye kkubo lya Katonda ly’Ataddewo ku lw’olwaleero.
Twakamala okuwulira Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa era nga okuyita mu buli mulembe, bwe waayimukangawo emyoyo egyo okuggya abantu ku Kigambo ekituufu. Nga mu buli mulembe, oluvannyuma lw’omubaka okuvaawo, byebaakolanga okuzza abantu ku kiyiiye ekimu oba ekikwate; ku bo bennyini ne ku ndowooza y’omuntu.
Leero bagezaako okutta okusikiriza kwaffe mu bantu nga bagamba, “O, abo bakkiriza entambi lye ddoboozi erisinga obukulu ly’oteekwa okuwulira. Oteekeddwa okuzannya entambi mu kkanisa yo… obwo butaliimu. Ow’oluganda Branham teyagambako muzannye entambi mu kkanisa. Kati ddoboozi lya buweereza lye muteekeddwa okuwulira.”
Nze gyendi, eyo ye nsigo eyawukana ku y’amazima! MUTEEKWA OKUNYIGA ZANNYA ne muwulira eddoboozi lya Katonda mu makanisa gammwe anti lye Ddoboozi LYOKKA eryakakasibwa Katonda Mwene obutalekaawo kabuuza. Muteekwa okugondera buli Kigambo Katonda kye Yagamba.
Nze Yesu ntumye omubaka wange okubajulira mmwe ebintu bino mu makanisa.
Malayika oyo omukakase obutalekaawo kabuuza ayogera mu Kkanisa yaffe, na bwentyo mbayita mmwe okujja okutwegattako ffe okuwulira Ekigambo ekyo wamu n’Omugole wE okuva wonna mu nsi abayungiddwa ku mukutu ku ssaawa 6:00 (Mukaaga) ez’omu ttuntu, mu budde bw’e Jeffersonville (y’essawa 1(emu) ey’omu kawungeezi e Uganda), tuwulire: 65-0118 – “Ensigo Eyawukana Ku Y’Amazima.”
Owol. Joseph Branham