26-0322 Okufumbiriganwa n’Okwawukana

Obubaka: 65-0221M Okufumbiriganwa n’Okwawukana

PDF

BranhamTabernacle.org

Omugole Eyalondebwa, Omulonde, era Eyateekebwateekebwa edda Omwagalwa:

 Nzijukira nga nkyali muvubuka nga nkula, nga ngezaako okulonda olutambi olw’okuwuliriza.  Nga nsoma emitwe  nnalowoozanga bulijjo, sijja kuwuliriza Kufumbiriganwa n’Okwawukana, anti bwo tebuirina kakwate nange;  Bw’abantu abafumbo bokka.

 Awo olunaku lumu, bwe nnali mpuuliriza Okufumbiriganwa n’Okwawukana, Taata yampa Okubikkulirwa kw’Obubaka obwo.  Okufukibwako amafuta kwe kwajja mu mutima gwange.  Ayogera nange.  Obubaka Buno BWAANGE.  AŊŊAMBA nti Yannonda nga ensi tennatandikibwawo.  Guno mukolo gwange ogw’obufumbo.  Tewali muntu yenna gwe jagala okuggyako Ye.  Ndi wa mazima era mwesigwa gy’ali, n’Ekigambo kye, n’Eddoboozi lye, LYOKKA.  Ffe tuli OMU.

 Mazima Obubaka buno bwali eri ab’oluganda ne bannyinaffe bangi abaali abafumbo era kati nga baayawukanna, era Ye ng’ababuulira kye balina okukola;  naye waaliwo amakulu agasingako awo AMAJJUVU ERA AMANENE, amakulu ennyo, ag’amaanyi ennyo.

 Waaliwo Omwami omu, era yali ayita era ng’ayogera n’Omugole we omungi, omulonde.  EDDOBOOZI LY’ KATONDA LYALI LIYITA MUGOLE WE OMULONGOFU, ATALIMUKWATEKO, EMBEERERA EKIGAMBO.  Oyo atakwatibwangako wadde okwonoonebwa omuntu yenna.  Oyo ow’amazima era omwesigwa gy’ali n’Ekigambo kye kyokka.  Oyo eyamumatilira ddala n’Eddoboozi lye.

 Olw’Ekisa kye n’Okusaasira kwe, leero tusobola okugamba, awatali kisiikirize ne kimu eky’okubuusabuusa, FFE MUGOLE WE EKIGAMBO EMBEERERA.  EKITIIBWA!!

  Yali ayagala okukakasa nti tewajja kubaawo Kiffo Kilagaya kyonna  bwe kituuka ku kuyita Omugole we, n’olwekyo yajja Ye kennyini n’abeera mu mubiri gw’omuntu okubikkula Ekigambo kye n’okuyita Omugole we gy’ali.   Ye yali Eliezer eyandironze Omugole We yennyini.

 Okukakasa nti tewali ngeri gye twandisobeddwamu ani eyali atwogereza, Ye kennyini yakakasa ekibya kye kye yalonda ng’ayogera naye ng’asinziira mu kibuyaga eyali alengekara ku muti.  Awo N’ayogera naye mu ngeri erabika wansi ku mugga Ohio mu maaso g’enkumi n’enkumi.

 Yatuuka n’okukubibwa n’ekifaananyi kye awamu naye okulaga era n’okubuulira ensi, NABANGAMBA NDI DDAMU NE NBEERA MU MUBIRI.  YE GGWE NNALONDA OKUBEERAMU, OKUKUYITA OKUBEERA MUGOLE WANGE.  SSI YE;  YE NZE NYOGERA MU YE.  NZE NKOZESA DDOBOZI LYE KUBEERA EDDOBOOZI LYANGE ERI GWE.  NZE ABAKUYISEEYO NE NKUTUUKIRIZA OKUBEERA OMGOLE WAANGE ATUUKIRIDDE.

 Okubikkulirwa kw’Obubaka Buno, Ekigambo kye, Eddoboozi lye, era kati kye TULI kisukka ebigambo by’abantu okugezaako okunyonyora.  Nkimanyi nti omanyi bulungi kye njogerako.  Okukwakulibwa mu Kukkiriza kugenda mu maaso.  Omugole yeetegeka ng’atudde mu maaso ga Katonda yennyini, ng’atuukiridde.

 Nga ensi erina omukisa okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga lyogera nabo;  okutuula n’okuwuliriza kigambo ku Kigambo nga bw’ayogera n’okubikkula Ekigambo kye n’okutubuulira kye tuli.  Tewali kiringa kutuula mu maaso ge, kale jangu otwegatteko ku Ssande ku ssaawa 12:00 P.M., obudde bwa Jeffersonville, nga bwe tumuwulira ng’ayogera n’Omugole We, Obubaka, “Okufumbiriganwa N’Okwawukana” 65-0221M.

 Ow’oluganda.  Joseph Branham.

 Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnawulira Bubaka:

 Matayo Omutukuvu 5:31-32 / 16:18 / 19:1-8 / 28:19

 Ebikolwa 2:38

 Abaruumi 9:14-23

 Timoseewo Ekisooka 2:9-15

 Abakkolinso Ekisooka 7:10-15 / 14:34

 Abebbulaniya 11:4

 Okubikkulirwa 10:7

 Olubereberye essuulab 3

 Eby’Abaleevi 21:7

 Yobu 14:1-2

 Isaaya 53

 Ezeekyeri 44:22