Obubaka: 65-0220 Ekifo Kya Katonda Kye Yeeroboza Eky’Okumusinzizaamu
- 26-0315 Ekifo Kya Katonda Kye Yeeroboza Eky’Okumusinzizaamu
- 24-0616 Ekifo Kya Katonda Kye Yeeroboza Eky’Okumusinzizaamu
- 22-1120 Ekifo Kya Katonda Kye Yeeroboza Eky’Okumusinzizaamu
Mukyala Yesu Kristo omwagalwa,
Luno lwe lunaku. Kino kye kiseera. Katonda yasindika empungu ye ey’amaanyi ku nsi okukoowoola Mukyala wa Yesu Kristo, okwogera n’okumugamba nti, “Ggwe Ggwe gwe nnalonda. Ggwe gwe njagala. Ggwe Kigambo kyange ekituukiridde embeerera Omugole. Ffe tuli BUMU.”
Bwe tuwulira ebigambo ebyo byokka, emitima gyaffe gibuuka olw’essanyu. Okulowooza, mu nsi yonna, n’obukadde bwayo n’obukadde n’obukadde bw’abantu, waliwo Mukyala Yesu Kristo OMU yekka, era GGWE Ye, OMU gw’ajjira okukima.
Waliwo ekifo KIMU kyokka ekirondeddwa eky’okusinzizaamu. Waliwo Obubaka BUMU bwokka obulondeddwa obutuukiridde. Waliwo omugole OMU yekka alondeddwa OMUGOLE ATUUKIRIDDE…ERA FFE YE!!
Kitaffe alina ekifo KIMU kye yeroboza okusinzizaamu, Mukama waffe Yesu Kristo; Ye kye Kigambo. Leero, waliwo ekifo KIMU kyokka okufa okw’omwoyo we kutasobola kukuba: Ekigambo. Okufa tekuyinza kukuba Kigambo, kubanga Kye Kigambo kya Katonda Ekiramu.
Okubikkulirwa okujjuvu okw’Ekigambo ekyo Ekiramu kubikkuliddwa eri Mukyala Yesu Kristo yekka. Waliwo ekifo KIMMU kyokka ekirondeddwa Mukyala Yesu Kristo wasobola okugenda n’awulira EKIGAMBO EKITUUFU EKYOGERE. Waliwo nnabbi OMU yekka omulonde okubeera Eddoboozi lya Katonda. Waliwo ekifo KIMU kyokka Mukyala Yesu ky’ayinza okugendamu n’awulira, BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA: NNYIGA ZZANNYA.
Wajja kuba Kitangaala nga mu budde obw’akawungeezi, ekifo kyokka Katonda kye y’eloboza okusinzizaamu. Oh, Obubaka buno bujja kulwa ki, AGENDA kukola ki? Era mu lunaku lwe wajja kuba Musana mu budde obw’akawungeezi, era (kiki?) okwaniriza abaana be okudda eka mu Nsi ensuubize entuufu, olw’akabonero ke kamu ak’empagi ey’omuliro eyakulembera abaana ba Isirayiri okuyita mu ddungu.
Nga Omugole We alina okwegendereza okugoberera n’okuwulira Eddoboozi lya Bba we nga lyogera naye. Waliwo ekifo KIMU kyokka gye tusobola okugendamu ne tukakasa kikumi ku kikumi. Waliwo Eddoboozi LIMU lyokka lye twataddeko ekifo kyaffe eky’Obutaggwaawo.
Mukyala Yesu Kristo akkiriza nti Ebigambo by’awulira ku ntambi bye bigambo bya Bba. Akkiriza nti Ekigambo kye tekyetaaga kutaputa. Bwatyo, Akkiriza nti waliwo ekifo KIMU kyokka ekiweereddwa Gy’asobola okugenda n’agamba nti AMIINA eri buli Kigambo, Eddoboozi lya Bba we ku ntambi.
Nate, Mukyala Yesu Kristo, okuva mu nsi yonna, asobola okugamba nti, “Olunaku luno, Ekigambo kino ekyogere, kituukiridde”.
Katonda omwagalwa, ewala wansi emitala w’eddungu eyo mu Tucson, ewala ennyo mu California, waggulu mu Nevada ne Idaho, ewala ennyo mu Buvanjuba n’okwetooloola, wansi mu Texas; nga okuyitibwa kuno kuweebwa, abantu nga bayingira —mu kkanisa amatonotono, mu masundiro g’amafuta, mu maka, nga bawuliriza.
Oyitibwa okujja okuwuliriza wamu ne Branham Tabernacle ku ssaawa 12:00 P.M., Jeffersonville time, nga tuwulira Katonda ng’ayogera n’Omugole we omulonde, Obubaka: “Ekifo kyokka Katonda Kye Yeroboza Eky’okusinzizamu” 65-0220.
Ow’luganda. Joseph Branham.
Ebyawandiikibwa: Ekyamateeka 16:1 okutuuka ku 3.