25-0302 Katonda Nga Yeekweka Mu Binyoomebwa, Olwo N’Abyebikkuliramu

Obubaka: 63-0317M Katonda Nga Yeekweka Mu Binyoomebwa, Olwo N’Abyebikkuliramu

BranhamTabernacle.org

Amalanga G’oku Mazzi Abaagalwa,

Omwezi Ogw’Okubiri Ennaku Z’Omwezi 28, 1963, waaliwo Okubwatuka. Whew-whew, Bamalayika Musanvu baava mu butaggwawo nebalabikira Omubaka wa Katonda ow’omusanvu. Yasitulibwa waggulu n’ayungibwa mu piramidi y’ekibinja ky’emmunyeenye ekyo. Awo, ekire eky’amaanyi agasusse ku g’obutonde ne kirabika mu bbanga waggulu wa Arizona. Kaali kabonero, Katonda yali asindika malayika we ow’omusanvu okuddayo e Jeffersonville okubembula Envumbo Omusanvu.

Omwezi Ogw’Okubiri Ennaku Z’Omwezi 28, 2025, pulaneti musanvu zaasimbye mu lunyiriri lumu mu bwengula. Omugole ali mu kwetegekera okukuŋŋaana okuwulira Envumbo Omusanvu.

Oyitibwa, Mukama waffe yennyini, okukuŋŋaana n’Omugole okuva mu nsi yonna, okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga libikkula Okubikkulirwa kw’Envumbo Omusanvu.

Olunaku bannabbi n’abagezigezi lwe beegombanga era lwebaalindiriranga okuva ku ntandikwa y’ebiseera, lugenda mu maaso. Malayika ow’amaanyi Katonda gwe yagamba nti agenda kutuma ku nsi mu nnaku ez’oluvannyuma azze okubembula n’okubikkula ebyama bya Katonda ebikusike, Mukama waffe Yesu asobole okukomawo okucima Omugole wE omwesigwa n’okututwala ku ky’Eggulo kyaffe eky’Embaga ey’Obugole.

Obuvunaanyizibwa bwange obwasooka, bwe nnali nnyingira mu kizimbe ky’ekkanisa ekipya, nnagata omuvubuka omuto n’omuwala mu bufumbo obutukuvu nga bayimiridde mu woofiisi. Ka kibeere ekifaananyi, nti nja kuba muweereza omwesigwa eri Kristo, okuteekateeka Omugole olw’omukolo gw’Olunaku olwo.

Leero, Ekigambo kino kiri mu kutuukirizibwa. Katonda ali mu kwogera ng’Ayita mu malayika wE, ng’Ateekateeka Omugole wE olw’omukolo gw’Olunaku olwo. Tuli mu kugoberera ebiragiro bye okutuuka ku kutuukiriza buli nnukuta ebirimu. Omugole yeetegese nga ASIGALA N’EDDOBOOZI LYA KATONDA KU NTAMBI.

Kiki kye twaakawulira okuyita mu birooto n’okwolesebwa? Emmere, YIINO WANO, kino kye kifo. Eddoboozi ne limugamba nti, “Yingiza Emmere. Gitereke mu ggwanika munda. Eyo y’engeri yokka ey’okubakuumira wano, kwe kuziwa Emmere.”

Bangi bakkiriza nti ategeeza butegeeza nti, “sigala busigazi n’Ekigambo,” era ekyo KITUUFU, ekyo ali mu kukyogera; wabula Omugole era ajja kusoma wakati w’ennyiriri ng’Omugole Omusajja bw’Ayogera n’Omugole we.

N’okwolesebwa Katonda kw’Awa wano mu kifo kino, kutegeerebwa bubi nnyo. Eyo y’ensonga lwaki mumpulira ku ntambi, nga ŋŋamba nti, “Yogera entambi kye zoogera. Yogera okwolesebwa kye kwogera.” Kati, bw’oba nga outunula bwankaliriza nga toliimu tulo, ojja kubaako ky’olaba. Olaba? Ka nsuubire nti tekinneetagisa kukikwata mu ngalo ne mbalaga.

N’okwolesebwa kwategeerwanga bubi, n’ oluvannyuma lwe ng’abawadde enzivuunula. Ekyo ky’abadde atugamba, bw’oba toyagala kusoberwa, oba obutategeera, Nyiga Zannya owulire ddala Eddoboozi lya Katonda kye Ligamba.

Nkimanyi nti Ekigambo kirina amakulu ag’enjawulo, naye eno y’entaputa yange: Ebirooto n’okwolesebwa byonna byayogera ekintu ky’ekimu; sigala n’entambi. Bw’oba ofunye ekibuuzo, genda eri entambi. Entambi ye Mmere ya Katonda eyaterekebwa mu ggwanika. Yogera kyokka ekiri ku ntambi; toyongerako kintu kyonna ku Kyo. Entambi ziri Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama eri Omugole. Ekigambo kijja eri nnabbi, yekka. Nabbi ye muvvuunuzi YEKKA ow’obwakatonda ow’Ekigambo. Nabbi yali wa kuyitayo n’okukulembera Omugole. Ndisalirwa omusango kusinziira ku ebyo ebyogerwa ku NTAMBI.

Buli kimu kinsonga ku NTAMBI.

Amalanga gange ag’oku mazzi abaagalwa, gyendi, OKUNYIGA ZANNYA YE KATONDA MU BINYOOMEBWA KULW’OLWALEERO.

Buli wiiki nnyongera okucamuka; kiki ekigenda okubikkulwa leero nga Omugole wE akuŋŋaana okuwulira Obubaka? Nkimanyi Omwoyo Omutukuvu ajja kuba afuka amafuta ku buli omu ku ffe nga bw’Abikkula Ekigambo kyE nga bwe kitabangawo. Mpulira, mu kaseera konna, ajja kujja atukwate atutwale ku ky’Eggulo kyaffe eky’Embaga Ey’Obugole.

Ffe tuli, batabani era bawala ba Katonda. Ffe tuli, ezzadde eriva mu Katonda. Ffe tuli, obusika bw’ensi. Tulifuga obutonde. Tujja kwogera ebintu eitabaddewo ne bibeerawo. Ffe tuli Mugole!

Leka tweweeyo buggya eri omulimu, era twewongeyo eri Kristo.

Owol. Joseph Branham

Olunaku: Ssande Omwezi Ogw’Okusatu Ennaku Z’Omwezi 2, 2025

Obubaka: Katonda Nga Yeekweka Mu Binyoomebwa, Olwo Ne Yeebikkulira Mu Kintu kye kimu 63-0317M

Obudde: Ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda).