Obubaka: 65-0801E Ebyokubaawo Ngabitangazibwa Obunnabbi
- 24-0825 Ebyokubaawo Ngabitangazibwa Obunnabbi
- 23-0205 Ebyokubaawo Ngabitangazibwa Obunnabbi
- 21-1010 Ebyokubaawo Ngabitangazibwa Obunnabbi
- 20-0223 Ebyokubaawo Ngabitangazibwa Obunnabbi
- 18-1104 Ebyokubaawo Ngabitangazibwa Obunnabbi
- 17-0129 Ebyokubaawo Ngabitangazibwa Obunnabbi
Empungu Abaagalwa,
Awali Ennyama ensu, awo empungu weziri mu kukuŋŋaanira. Budde bwa kawungeezi, era obunnabbi buli mu kutuukirira mu maaso gaffe. Emitima gyaffe giri mu kututyemuka munda yaffe anti tumuyise okujja mu masinzizo gaffe, mu maka gaffe, n’obusiisira bwaffe eby’ebitosi ebweru mu nsiko. Agenda kwogera naffe era abikkule Ekigambo kyE. Tulumwa enjala n’ennyonta y’okufuna ebisingawo ebya Katonda.
Yeerobozza engeri Ekigambo kyE gye kinajjanga gye tuli; eyo kwe kuyitira mu nnabbi we, oyo gwe Yateekateekerawo era n’Amwawulirawo. Yalonda William Marrion Branham okubeera omusajja w’omu ssaawa eno okukwata abantu be be Yeeroboza ab’essaawa eno, FFE, Omugole We.
Tewali musajja mulala asobola kutwala kifo kye. Twagala nnyo engeri gy’ayogeramu; hain’t, tote, carry, fetch, ye Katonda nga Ayogera eri amatu gaffe. Katonda, ng’Ayogera ng’Ayita mu mimwa gy’omuntu ow’oku nsi, ng’Akola ekyo kyennyini kye Yagamba nti Ajja kukola. Ekyo kimala eggobe mu kibya!
Katonda Yatambuza emikono gye n’amaaso ge mu kwolesebwa. Yali tasobola kwogera kintu kirala okuggyako bye yali atunuulidde. Katonda Yalina obuyinza obujjuvu ku lulimi lwe, olugalo lwe, ne buli kitundu ky’omubiri gwe kyali kitambuzibwa kiragiddwa Katonda mu bujjuv. Ye yali akamwa ka Katonda kennyini.
Katonda Yakimanyirawo nti mu mulembe guno ekkanisa egenda kutabulwa. N’olwekyo, Yategekerawo nnabbi We olw’omulembe gwaffe, okukoowoolayo n’okukulembera Omugole We omulonde ng’Akozesa Ekigambo kye ekyakakasibwa obutalekaawo kabuuza.
Mu nteekateeka ye ennene, era Yali Akimanyi nti Yali Agenda kutwala nnabbi we eka nga Okujja Kwe tekunnabaawo, kale n’Asiima Eddoboozi lye Likwatibwe ku lutambi era Literekebwe, bw’atyo Omugole We omulonde bulijjo Abeerenga ne Bw’ati Bw’Ayogera Mukama ku ntoli z’engalo zaabwe. Olwo tebajja kuba na kibuuzo kyonna. Tewajja kwetaagisa kuvvuunula kwonna, okujjako Ekigambo embeerera ekirongoofu kye banaasobolanga okuwulira buli kiseera.
Yali akimanyi nti mu nnaku ez’oluvannyuma wajja kubaawo amaloboozi mangi n’okutabulwa kungi.
Wiiki essatu ezisembyeyo ayogedde naffe n’alaga ekifo ky’essaawa gye tulimu. Yatubuulira ku bannabbi ab’obulimba abaali bagenda okujja balimbe abalonde, oba nga kiyinzika.
Engeri katonda w’omulembe guno gy’azibyemu amaaso g’abantu. Engeri Katonda yennyini gy’Ayogedde okuyita mu bunnabbi Bwe nti ebintu bino byali bya kubeerawo mu mulembe guno ogwa Laodikiya. Yatugambye nti tewali kisigadde kitannakolebwa.
Yeeyanjudde mu maaso gaffe nga Akozesa ebintu ebyaMulagulwako nti by’Alikola mu lunaku luno. Ebikolwa bye byennyini bitukakasizza nti Aba bumu jjo, leero, n’emirembe gyonna. Lye Ddoboozi lya Katonda, nga Lyogera eri, era nga Libeera mu, Omugole we.
Okkiriza nti Obubaka buno bwe Abaebbulaniya 13:8? Kye Ekigambo ekiramu? Ye Mwana w’Omuntu oli nga Yeeyoleka mu mubiri? Olwo obunnabbi bujja kubaawo ku Ssande eno singa okkiriza era n’ogonda.
Waliwo ekintu ekigenda okubaawo mu nsi yonna ekitasobokangako mu byafaayo by’ensi. Katonda Ajja kuba Ayogera ng’Ayita mu mimwa gy’omuntu ow’oku nsi, ng’Ayogera eri Omugole we okwetoloola ensi yonna bonna mu kiseera kye kimu. Ajja kutuleetera okussa emikono gyaffe ku bannaffe tusabiragane nga bw’Atusabira ffenna.
Ggwe ebweru eyo ku mikutu gy’essimu, bw’oba okkirizza n’omutima gwo gwonna, ng’abaweereza bwe bakussaako emikono, n’abaagalwa bo nga bakussaako emikono, bw’okkiriza n’omutima gwo gwonna nti kiwedde, kiwedde.
Kyonna kye tulinako obwetaavu, Katonda Ajja kukituwa singa tunaakkiriza bukkiriza… ERA TUKKIRIZA. FFE MUGOLE WE OMWESIGWA . Kijja kubaawo. Empagi y’Omuliro ejja kubeera yonna gye tunaaba tukuŋŋaanidde era ewe buli omu ku ffe kyonna kyetulinako obwetaavu, BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA.
Leka Ekitangaala Ekitukuvu kye kimu kye tutunuulira wano wennyini mu kkanisa, leka Kigwe ku buli omu, era leka bawonyezebwe mu kiseera kino. Tunenya omulabe, sitaani, mu Kubeerawo kwa Kristo; twogera eri omulabe, nti awanguddwa oku—okubonaabona mu kifo kyaffe, okufa kwa Mukama waffe Yesu n’okuzuukira kwe okw’obuwanguzi ku lunaku olw’okusatu; n’obujulizi Bwe obukakasiddwa nti Ali wano mu masekkati gaffe ekiro kyaleero, nga mulamu, oluvannyuma lw’emyaka lukumi mu lwenda. Leka Omwoyo wa Katonda omulamu Ajjuze buli mutima okukkiriza n’amaanyi, n’amaanyi agawonya agava mu kuzuukira kwa Yesu Kristo, oyo Alagiddwa ky’Ali kati nga Ateegezebwa Ekitangaala kino eky’ekitalo ekiri mu kwetooloolera mu kkanisa, mu Kubeerawo Kwe. Mu Linnya lya Yesu Kristo, kituwe olw’ekitiibwa kya Katonda.
Oli Mugole We. Tewali kiyinza kuKikuggyako, TEWALI. Sitaani awanguddwa. Oyinza okuwulira nga olina kajiiko bujiiko ku Ye, ekyo kyokka kye weetaaga, KYA NNAMADDALA . YE YE. OLI WUWE. EKIGAMBO KYE TEKIYINZA KULEMWA.
Kikkirize, Kikkirize, Kyenywerezeeko, Tekisobola kulemererwa. Tolina maanyi naye olina obuyinza Bwe. Gamba nti, “Nkitwala Mukama, kyange, Ggwe okimpadde era sijja kukkiriza Sitaani kukinzigyako.”
Nga kinaaba kiseera kikulu kyetunaabaamu. Tewali kifo kirala kye nnandyagadde okubeeramu. Omwoyo Omutukuvu ajja kuba Atwetoolodde. Okubikkulirwa okusingawo nga kutuweebwa. Emitima egimenyese nga gitungibwa. Buli omu nga Awonyezebwa. Tuyinza tutya obutagamba nti, “Emitima gyaffe tegyabadde nga gitutyemuka munda yaffe, era teguli mu kutyemuka kaakano, okumanya nti kati tuli mu Maaso ga Yesu Kristo eyazuukira, ekitiibwa n’ettendo bibe eri oyo emirembe gyonna.”
Owol. Joseph Branham
Twaniriza ensi okutwegattako ku:
Obudde: Ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda)
Obubaka: 65-0801E Ebigenda Mu Maaso Ng’Obunnabbi Bwabirambulula
Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnawulira Bubaka:
Olubereberye: 22:17-18
Zabbuli: 16:10 / Essuula 22 / 35:11 / 41:9
Zekkaliya 11:12 / 13:7
Isaaya: 9:6 / 40: 3-5 / 50:6 / 53:7 -12
Malaki: 3:1 / Essuula ey’okuna
Omut. Yokaana 15:26
Omut. Lukka: 17:30 / 24:12-35
Abaruumi: 8:5-13
Abebbulaniya: 1:1 / 13:8
Okubikkulirwa: 1:1 -3 / Essuula 10