Obubaka: 63-0707M Okuvunaana
Obubaka: 63-0707E Okusembera
Omugole W’Ekkanisa Y’Awaka Omwagala, leka ffenna tukuŋŋaanire wamu tuwulire Obubaka, Okulumiriza 63-0707m, Ssande eno ku ssaawa 11:00 (kkumi n’emu) ez’omu kawungeezi, mu budde bwa Jeffersonville (z’essaawa mukaaga ogw’ekiro e Uganda).
Olwo ka twetegekere omukisa omutukuvu ogw’okulya ekyeggulo kya Mukama waffe mu maka gaffe amangu ddala nga Obubaka buwedde nga bwe tuwulira 63-0707e Okussa Ekimu. Olwo tujja kuba n’enkuŋŋaana z’Okussa Ekimu n’okunaaza ebigere nga zigoberera. Okufaananako n’olw’Okulumiriza, olutambi lw’Okussa Ekimu lugenda kuzannybiwa ku Voice Radio (mu Lungereza lwokka), nga lugobererwa ennyimba z’ennanga, okunokola okwanjula okunaaza ebigere, n’ennyimba z’Enjiri, nga bwe tukola bulijjo mu nkuŋŋaana z’Okussa Ekimu.
Wammanga tutaddewo okukalala lw’emikutu egikunnyonnyola engeri ey’okufunamu oba okuteekateekamu enviinyo n’omugaati eby’Okussa Ekimu.
Nneeyanzeege nnyo nti Mukama Atuteereddewo ekkubo okuyita Kabaka wa bakabaka mu buli maka gaffe ku lunaku olw’enjawulo ennyo naye. Mazima ddala nneesunga okubasisinkana mwenna ku Meeza Ye.
Katonda abawe omukisa,
Ow’oluganda Joseph Branham