25-1012 Okumalirira Mu Mutima

Obubaka: 63-0901E Okumalirira Mu Mutima

PDF

BranhamTabernacle.org

Omugole w’Olutambi Omwagalwa,

Kati mmwe abantu abali mu ntambi.

Mukama, tuyinza tutya okutandika okutegeeza mu bigambo amakulu obugambo omukaaga buno ge bulina gye tuli, ffe Omugole wa Yesu Kristo? Kwe Kubikkulirwa kw’Obubaka bw’ekiseera gye tuli. Ye Katonda ng’Ayogera ng’Ayita mu mubaka wE malayika ng’Agamba Omugole wE nti, “Nkimanyi nti ojja kusigala n’Eddoboozi lyaNge. Nkimanyi kiki Ekigambo kyaNge ku ntambi zino kye kinaategeeza gy’oli. Nkimanyi nti ojja kuba n’Okubikkulirwa nti Obubaka buno bwe njogedde ku ntambi ke Kabonero kaNge leero.”

“Ntadde Eddoboozi lyaNge ku ntambi zino eza magineeti; kubanga Obubaka buno bulina okukomaga Ekigambo kyonna. Wajja kubaawo enkumi emirundi enkumi ezijja okuwulira Eddoboozi lyaNge ku ntambi era zijja kuba n’Okubikkulirwa nti buno bwe buweereza bwaNge. Ye Mwoyo Omutukuvu ow’olunaku luno. Bwe Bubaka bwaNge Akabonero”

“Ntumye abaweereza bangi abeesigwa mu nsi yonna okulangirira obuweereza bwaNge. Bwe baakomawo, baŊŋamba nti, ‘Tugondedde ebiragiro byO nga tuzannya entambi zO. Tusanzeeyo abantu abakkiriza buli Kigambo. Bafudde ennyumba yaabwe ekkanisa okufuna Obubaka Bwo. Twabagamba nti, bonna abanajja wansi w’Akabonero Ko, Obubaka obw’ekiseera, balirokoka.’”

Kye kiseera buli musajja w’alina okwekebejja n’okwebuuza nti, ekkubo lya Katonda erituukiridde lye liruwa leero? Ekigambo kya nnabbi tekiremereddwako yadde mulundi ogumu. Kikakasibwa nti ge mazima GOKKA, ekintu KYOKKA ekigenda okugatta Omugole wE.

Buli kye yayogera kibaddewo mu ngeri yennyini gye yakyogeramu. Empagi y’omuliro ekyali wano naffe. Eddoboozi lya Katonda Likyayogera naffe ku ntambi. Nabbi atugambye nti Katonda ajja kutuyitako nga alabye Akabonero. Kiseera kya kabyangatano eri bonna okuyingira wansi w’Obubaka obwo obw’Akabonero.

Tulabye Omukono gwa Katonda omunene mu kiseera kino eky’enkomerero. Atuwadde Okubikkulirwa okw’amazima okw’Ekigambo kye era kuzze wansi w’akabonero k’Evumbo. Kati, nga tuli wansi w’akabonero k’Evumbo eyo, ka tusembere tube n’Okkussa Ekimu nga tuli mu kubyangatana; kubanga tukimanyi nti Katonda ateekateeka okukuba ensi n’omusango.

Nnandyagadde okuyita buli omu ku mmwe okuwulira n’okuba n’okusaba kw’Okussa Ekimu n’Okunaaza Ebigere ku Ssande eno, nga bwe tuwulira Obubaka: Okubyangatana 63-0901E.

Obubaka n’Olukuŋŋaana lw’Okussa Ekimu bigenda kubeera ku Voyisi Leediyo okutandika ku ssaawa 11:00 (kkumi n’emu) ez’omu kawungeezi mu budde bw’e Jeffersonville. Nsaba mubeere ba ddembe okubeera n’olukuŋŋaana lwammwe ku ssaawa 11:00 (kkumi n’emu) ez’omu kawungeezi mu budde obw’omu kitundu kye mulimu bwe muba mwagadde, anti mmanyi nga kijja kukaluubiriza bangi ku bakkiriza baffe ab’emitala w’amayanja okutandika olukuŋŋaana lwammwe mu kiseera ekyo. Wajja kubaawo akayungiro akakutuusa ku lutmabi oluwanulibwayo olw’olukuŋŋaana.

Owol. Joseph Branham

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga olukuŋŋaana terunnatandika:
Okuva 12:11
Yeremiya 29:10-14
Omut. Lukka 16:16
Omut. Yokaana 14:23
Abaggalatiya 5:6
Omut. Yakobo 5:16