25-0316 Akabonero Akasooka

Obubaka: 63-0318 Akabonero Akasooka

BranhamTabernacle.org

Nnaabakyala Wange ow’Eggulu Omwagalwa,

Nnina bingi nnyo bye nkutegekedde ku Ssande eno. Okusooka, ojja kuwulira okubwatuka kwa Laddu. Lijja kuba Eddoboozi lyange, Eddoboozi lya Katonda nga lyogera naawe, Omugole Wange. Nja kuba nkubikkulira Ekigambo kyange nga bwe kitabangawo. Ojja kundaba Nze, Omwana gw’endiga ogwasaaba omusaayi eyattibwa okuva ku kutondebwa kw’ensi, nga ntwala Akatabo ne nkabikkula, nga nkayuzaako Envumbo ezikasibye, ne nkasindika wansi ku nsi, eri omubaka wange malayika ow’omusanvu, William Marrion Branham, okukubikkulira GGWE ebyama ebibadde bikwekeddwa okuva ku kutondebwa kw’ensi!

Wajja kubaawo enduulu, okuleekaana, ne zi Aleruuya okuva mu nsi yonna nga bwe Njogera nammwe. Empologoma ejja kuba ewuluguma; abaafukibwako amafuta, amaanyi, ekitiibwa, okwolesebwa bijja kuba biyitirivu obutoogerekeka. Ggwe Nnaabakyala wange, ojja kuba otudde wamu mu bifo eby’omu ggulu nga bwe njogera naawe era n’okukuwa Okuyimusibwa okw’amaanyi ennyo mu Kukkiriza.

Jjukira, oteekwa okuba n’Okukkiriza okwo abatukuvu kwe baaweebwa omulundi ogumu. Nakugamba nti, oteekwa okuwuliriza malayika Wange gwe Nakutumira.

Ye wa ku “kyusa Okukkiriza kw’abaana okukuzzaayo eri kitaabwe.” Okukkiriza kwa Baibuli okwasooka kwa kuzzibwawo malayika ow’omusanvu.

Ekigambo kyange kikugamba, mu nnaku z’Eddoboozi lya malayika ow’omusanvu, nga ayimusa eddoboozi lye, nga afuuwa ekkondeere ly’Enjiri; oyo wa kumaliriza ebyama bya Katonda byonna. Tewayinza kubaawo kintu kimu kyongerwako era mpaawo kitoolwako ku bye nnayogera ku ntambi; yogera kyokka kye njogedde nga mpita mu malayika Wange omubaka. Y’ensonga lwaki nnafuba ndabe nga nkikwata ku lutambi, osobolenga OKUNYIGA ZANNYA mu ngeri ennyangungu era owulire kyennyini ddala kye nnayogera, n’engeri gye nnakyogeramu. Kijja kukuwa Okuyimusibwa okw’amaanyi ennyo mu Kukkiriza.

Nnaabakyala wange omwagalwa, mu Maaso Gange, butuukirivu ddala, mu bulambirira, tolina kibi mu maaso gange. Teweeraliikiriranga, TOJJA kuyita mu kibonyoobonyo; kubanga okkirizza Omusaayi gwange, Ekigambo kyange, malayika wange, Eddoboozi lyange, bw’otyo tolina kibi kyonna mu maaso gange.

Nnina ebintu eby’ekitalo ennyo bityo bye mbategekedde. Olaba Ekigambo kyange nga kyeyanjululira mu maaso go buli lunaku. Mbadde nteeka obubonero mu bbanga okukutegeeza nti waliwo ekiteekateeka okubeerawo. Nzija, weetegeke. Teeka Ekigambo kyange, Eddoboozi lyange, mu kifo ekisooka mu bulamu bwo.

Teeka ku bbali buli kimu, tewali kikulu okusinga Ekigambo kyange. Nkimanyi omulabe agezaako okukukuba okukussa wansi, naye nakusuubiza nti nja kukusitula. Ndi naawe, era MU GGWE. Nze naawe tufuuka Omu nga bwe nkubikkulira Ekigambo kyange.

Omanyi mu mutima gwo, YE GGWE Mugole Nnaabakyala wange. Omanyi nakutegekerawo. Okimanyi nti nkwagala. Omanyi ndi naawe buli katikitiki ka buli lunaku. Omanyi SIRI KULEKA.

Tujja kuba tuba n’akaseera ak’ekitalo ennyo nga bwe nkubikkulira ebisingawo buli Ssande, buli lunaku, nga bw’oMpulira nga njogera naawe nga mpita mu malayika wange. Abalala bayinza obutategeera oba okulaba by’olaba, wabula Kisudde ennanga mu mutima gwo nti lino ly’Ekkubo lyange lye Nnateekawo.

Nga kiddukiro nnyo kye nkugabiridde. Osobola Okunyiga Zannya obudde bwonna, emisana oba ekiro, okumpulira nga njogera naawe. Nja kuleeta okubudaabudibwa eri emmeeme yo nga bwe mbikkula Ekigambo kyange era nga nkubuulira ky’oli. Buli Bubaka buweebwa lwa kuba nga ggwe, era bubwo wekka. Tusobola okussa ekimu n’okusinza ffenna buli lw’oyagala.

Ssande ku saawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), ekitundu ky’Omugole kigenda kukuŋŋaanyizibwa okuva mu nsi yonna okuwulira ebyama bino ebikulu nga bibikkulwa. Nkuyita okujja okutwegattako nga bwe tuwulira, 63-0318 – “Akabonero Akasooka”.

Owol. Yusufu

Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga twetegekera okuwulira Obubaka:

Omut. Matayo 10:1 / 11:1-14 / 24:6 / 28:19
Omut. Yokaana 12:23-28
Ebikolwa 2:38
2 Abasessaloniika 2:3-12
Abebbulaniya 4:12
Okubikkulirwa 6:1-2 / 10:1-7 / 12:7-9 / 13:16 / 19:11-16
Malaki Essuula ey’okusatu n’ey’okuna
Danyeri 8:23-25 / 11:21 / 9:25-27