Obubaka: 63-0317E Ebbanga Wakati w’Emirembe gy’Ekkanisa Omusanvu N’Obubonero Omusanvu
- 25-0309 Ebbanga Wakati w’Emirembe gy’Ekkanisa Omusanvu N’Obubonero Omusanvu
- 23-0716 Ebbanga Wakati w’Emirembe gy’Ekkanisa Omusanvu N’Obubonero Omusanvu
- 22-0123 Ebbanga Wakati W’Emirembe Omusanvu Egy’Ekkanisa n’Obubonero Omusanvu
- 21-0117 Ebbanga Wakati w’Emirembe gy’Ekkanisa Omusanvu N’Obubonero Omusanvu
- 19-0324 Ebbanga Wakati w’Emirembe gy’Ekkanisa Omusanvu N’Obubonero Omusanvu
- 17-0319 Ebbanga Wakati w’Emirembe gy’Ekkanisa Omusanvu N’Obubonero Omusanvu
Abazziddwawo Abaagalwa,
Sikoowa kuwulira Eddoboozi lya Katonda nga litugamba kye tuli, gye tuva, gye tugenda, bye tuli abasika baabyo, na butya bw’Atwagala.
Obwakabona obw’omwoyo, eggwanga ery’obwakabaka, nga liwaayo ssaddaaka ez’omwoyo eri Katonda, ebibala by’emimwa gyabwe, nga batendereza Erinnya lye.” Nga abantu —nga bantu nnabaki! Abalina.
Okubudaabudibwa kwaffe kwokka n’emirembe bijja nga tuwulira Eddoboozi lya Katonda nga Lyogera gyetuli, olwo ne twogera nga tuddamu Kitaffe nga tuwaayo ssaddaaka ez’omwoyo nga tuyita mu bibala by’emimwa gyaffe, nga tutendereza Erinnya lye.
Ensi eno yonna eri mu kusinda. Obutonde businda. Tusinda era nga tulindirira okujja kwa Mukama. Ensi eno terina ky’etukwatidde. Tuli beetegefu okuvaawo tugende mu Kyeggulo kyaffe eky’Embaga ey’obugole n’Amaka gaffe Agajja wamu naYe n’abo bonna abaatuukayo edda Eyo, nga waakasukka olutimbe lw’ebiseera, abatulindiridde.
Leka tugolokoke twegugumule! Tusune ku muntu waffe ow’omunda, twesisimule tulabe ebigenda mu maaso mu kiseera kino n’ebigenda okubaawo mu kaseera k’okutemya ekikoowe.
Mu byafaayo by’ensi tekisobokangako Omugole wa Kristo okwegatta okuva mu nsi yonna, bonna mu kiseera kye kimu ddala, okuwulira Eddoboozi lya Katonda nga lyogera n’okubikkulira Omugole wE Ekigambo kyE.
Abakkiriza mwebuuze, ddoboozi ki, muweereza ki, musajja ki, ayinza okugatta n’okukuŋŋaanya Omugole wa Kristo yenna awamu? Bw’oba nga oli Mugole wa Kristo, okimanyi nti mu ngeri ennyangungu tewali Ddoboozi ddala lyonna okuggyako Eddoboozi lya Katonda ku ntambi.
Weewaawo, Omwoyo Omutukuvu ali mu buli omu ku ffe, mu buli woofiisi y’ekkanisa, wabula Katonda Mwene yatugamba nti aliramula ensi nga akozesa Kigambo kyE. Omugole amanyi nti Ekigambo kyE kijja eri nnabbi wE. Nabbi wE ye muvvuunuzi YEKKA ow’obwakatonda ow’Ekigambo kyE. Bye yayogera tebiyinza kwongerwako wadde okutoolwako. Ekigambo, ku ntambi, ffenna ky’ekiri sinziirwako okutusalira omusango, so si kigambo ekirala kyonna oba okuvvuunula kwonna okw’Ekigambo ekyo.
Tekisoboka eddoboozi eddala lyonna okugatta Omugole. Ddoboozi lya Katonda lyokka eriri ku ntambi lye Lisobola okugatta Omugole wE. Kye Kigambo kyokka Omugole ky’ayinza okukkaanyizaako yenna. Ly’Eddoboozi lyokka Katonda Mwene lye Yakakasa okuba Eddoboozi lyE eri Omugole wE. Omugole we alina okuba mu Ndowooza Emu n’Endagaano emu okusobola okubeera nayE.
Obuweereza bwa ddembe okuweereza, abayigiriza ba ddembe okuyigiriza, abasumba ba ddembe okusumba,wabula Eddoboozi lya Katonda ku ntambi lirina okuba nga ly’Eddoboozi erisinga obukulu lye balina okuteeka mu maaso g’abantu. Eryo ye Abusoluuti w’Omugole.
Bw’oba olina Okubikkulirwa kw’ekyo, olwo kino kye kigenda okubaawo.
Ekigambo kitugamba nti Adamu yafiirwa obusika bwe, ensi. Yamuva mu mikono n’edda mu gy’oyo eyamugula, Sitaani. Yatunda okukkiriza kwe mu Katonda, n’akuguza okukubaganya ebiroowozo okwa Sitaani. Yafiirwa buli kamu ne kadda mu mikono gya Sitaani. Yagiwaayo okuva mu mukono gwe n’agikwasa Sitaani.
Katonda ye Katonda w’obutonde bwonna n’obuli wabweru w’ensi eno omuntu kw’awangaalira, buli wamu, wabula omwana we, Adam, yalina ensi eno omuntu kw’awangaalira wansi w’obuyinza bwe. Yali asobola okwogera, yali asobola okutuuma amannya, yali asobola okugamba, yali asobola okuyimiriza obutonde, yali asobola okukola kyonna ky’ayagala. Yalina obuyinza obujjuvu, obw’enkomeredde ku nsi.
Adamu byonna yabifiirwa, naye ekitiibwa kibe eri Katonda, byonna bye yafiirwa ne bye yasingayo ng’omusingo binunuliddwa Omununuzi waffe Ow’omu lulyo, atali mulala yenna wabula Katonda Omuyinza w’ebintu byonna, eyafuuka Emmanweri, omu ku ffe. KAAKANO, BYAFFE.
Tuli batabani be era bawala be abagenda okufuga era tubeere bakabaka ne bakabona wmu nayE. Tulina obulamu obutaggwaawo wamu naye n’Abaagalwa baffe bonna. Nga tewakyali bulwadde, nga tewakyali nnaku, nga tewakyali kufa, wabula obutaggwawo nga tuli ffenna wamu.
Ekyo bwe tukirowoozaako, tuyinza tutya okuleka sitaani okutukkakkanya? KYAFFE, eyo gye tugenda okwolekera mu bbanga ttono ddala. Atuwadde ekintu ekisinga obukulu kye Yandituwadde. Ennaku zino entono ez’okugezesebwa n’ebigezo ku nsi eno zibbira mangu mu BUWANGUZI bwaffe OBW’EKITALO OBUTULI ENNAKU BUNAKU MU MAASO.
OKUKIRIZA kwaffe tekweyongerangako kusingako wano. Essanyu lyaffe teribangako waggulu nnyo kukira kati. Tumanyi kye tuli na wa gye tugenda. Tukimanyi nti tuli mu Kwagala kwe okutuukiridde nga tusigala n’Ekigambo kyE. Kye twetaaga okukola kwe kusigala n’entambi ne tukkiriza buli Kigambo; si okubitegeera byonna, WABULA OKUKKKIRIZA BULI KIGAMBO…era TUKIKOLA!
Okukkiriza kujja na kuwulira, okuwulira Ekigambo. Ekigambo kijja eri nnabbi. Katonda Yakyogera. Katonda Yakiwandiika. Katonda Yakibikkula. TuKiwulira EKYO. TukiKkiriza EKYO.
Okubikkulirwa kuno engeri yokka gy’osobola okukufuna eri ng’owulira Eddoboozi lya Katonda ku ntambi.
Ebyo byonna Kristo by’Agenda okukola ku nkomerero bijja kutubikkulirwa wiiki eno, mu Nvumbo Omusanvu, Katonda bw’Anaatukkiriza. Olaba? Kaale. Bijja kubikkulwa. Era nga bibikkuddwa, Envumbo nga bwe zimenyebwa ne zisumululwa gyetuli, olwo tusobola okulaba enteekateeka eno ey’ekitalo ey’okununulibwa ky’eri, era ddi na ngeri ki gy’egenda okukolebwamu. Byonna bikwekeddwa mu Kitabo kino eky’ekyama wano. Kissiddwako envumbo, kisibiddwa Envumbo Musanvu, era bwe kityo Omwana gw’Endiga ye yekka Asobola okuzimenya.
Ssande eno ku saawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), ekitundu ky’Omugole okuva mu nsi yonna kigenda kuwuliriza Eddoboozi lya Katonda bonna mu kiseera kye kimu. Tujja kuba tubwatukira eggulu n’essaala zaffe era nga tumusinza. Nkuyita okujja okutwegattako nga bwe tuwulira: Ebbanga Wakati w’Emirembe gy’Ekkanisa Omusanvu N’Obubonero Omusanvu 63-0317E .
Nsaba muleme kwerabira ku nkyukakyuka mu budde mu Jeffersonville wiikendi eno.
Owol. Joseph Branham