Obubaka: 60-1210 Omulembe Gw’Ekkanisa y’e Firaderufiya
- 24-1124 Omulembe Gw’Ekkanisa y’e Firaderufiya
- 23-0604 Omulembe Gw’Ekkanisa y’e Firaderufiya
- 20-1213 Omulembe Gw’Ekkanisa y’e Firaderufiya
- 19-0224 Omulembe Gw’Ekkanisa y’e Firaderufiya
- 16-0402 Omulembe Gw’Ekkanisa y’e Firaderufiya
Mukyala Yesu Kristo Omwagalwa,
Ssande eno egenda kubeeramu biki by’eterekedde Omugole wa Yesu Kristo? Biki mu bulambirira Omwoyo Omutukuvu by’anaatubikkulira ? Okutegeera Okutuukiridde . Kati tujja kutegeera mu bujjuvu okuyita mu Okubikkulirwa, ekyaciikirirwa mu ngeri emu nga tekinnabaawo nga kigeraageranyizibwa bwankaliriza n’ekyo ekyakiciikirira n’ekintu kyennyini nga kigeraageranyizibwa n’ekisiikirize kyakyo. Yesu ye Mugaati ogw’Obulamu ogwa nnamaddala. Ye kyonna awamu mu bulamba bwakyo. Ye Katonda Omu. Ye Abebbulaniya 13:8. Ye NDI oli.
Kristo, nga ayita mu kulabikako mu mubiri n’okuyiwa Omusaayi gwe ye Mwene, aggyeewo ebibi byaffe omulundi gumu era kulwa byonna nga Yeewaayo Ye Mwene; n’olwekyo kati atufudde ABATUKUVU. Obulamu bwe bwennyini buli mu ffe. Omusaayi gwe gutunaazizza. Omwoyo we atujjuza. Emiggo gye GYAMALA DDA okutuwonya.
Ekigambo kye kiri mu mutima gwaffe ne mu kamwa kaffe. Ye Kristo mu bulamu bwaffe so si kirala, kubanga buli kimu mu bulamu bwaffe kizimeera ne kifuuka ekitali kya makulu, okujjako Ye n’Ekigambo kye.
Omutima gwaffe gujja kujjula essanyu nga bw’Atugamba nti olw’ekiragiro kyE eky’obwakatonda, yamanya bulungi ani yali ow’okuba Omugole wE. Engeri gye Yatulondamu. Yatuyita. Yatufiirira. Yatusasulira omuwendo era tuli babE, era ye yekka. Ayogera, naffe ne tuMugondera, kubanga kye kitusanyusa. Ffe tuli kya bwannanyini kyE Ye yekka era talina balala bonna okuggyako FFE. Ye Kabaka wa Bakabaka waffe era ffe bwakabaka bwE. Tuli kya bwannanyini kyE obutaggwawo.
Ajja kutunyweza era Atwakeko Ekitangaala kyE nga Akozesa Ekigambo kyE eddoboozi lyE. Ajja kunnyonnyola bulungi era abikkule nti Ye Mulyango gw’endiga. Ye Alpha ne Omega byombiriri. Ye Kitaffe, Ye Mwana, era Ye Mwoyo Omutukuvu. Ali Omu, era naffe tuli bumu naye era mu Ye.
Ajja kutuyigiriza obugumiikiriza, nga bwe yakola Ibulayimu, ng’Annyonnyola engeri gye tulina okulindirira n’okuguma n’obugumiikiriza bwe tuba twagala okufuna ekisuubizo kyonna.
Ajja kutulaga butangaavu ddala olunaku lwennyini lwetulimu. Engeri omugendo ogugatta amakanisa n’enzikiriza bwegulifuuka ogw’amaanyi ennyo mu kisaawe ky’ebyobufuzi, era guyimusize ku gavumenti akazito okuleetera bonna okugwegattako okuyita mu kugondera enkola ennambike ab’obuyinza ze banaafuula amateeka, kibe nti tewaabe bantu banaatwalibwa nga kkanisa okuggyako okubeera mu bufuzi n’obuyinza bw’olukiiko lwabwe buteerevu oba si buteerevu.
Ajja kubikkula engeri abangi gyebagenda okugenda mu maaso batyo nakyo, nga balowooza nti baweereza Katonda wansi w’olusiisira lw’ekibiina ekitegeke. Wabula atugamba nti, “Temutya, kubanga Omugole tajja kulimbibwa, tujja kusigala n’Ekigambo kyE, Eddoboozi lyE.”
Nga kinaaba kizzaamu nnyo amaanyi okuMuwulira ng’Atugamba nti: “Munyweze, mukikuume. Temuggwaamu maanyi, wabula mwambale ebyokulwanyisa byonna ebya Katonda, buli kyakulwanyisa, buli kirabo kye mbawadde kiri mu maaso gyammwe. Toggwaamu maanyi mukwano, sigala busigazi ng’otunula mu maaso n’essanyu kubanga ogenda kutikkirwa Nze engule, Kabaka wa Bakabaka wo era Mukama wa Bakama, Omwami wo.”
Ggwe ekkanisa Yange eya nnamaddala; yeekaalu yennyini eya Katonda olw’Omwoyo Wange Omutukuvu abeera munda mu mmwe. Mulifuuka empagi mu yeekaalu empya;
omusingi gwennyini ogujja okuwanirira busimba ekizimbe ekizimbibwa waggulu ku ggwo. Nja kubateekawo ng’abawanguzi wamu n’abatume ne bannabbi, kubanga mbawadde Okubikkulirwa kw’Ekigambo kyange, ku Nze kyeNdi.
Ajja kutubikkulira butangaavu ddala nti amannya gaffe gaawandiikibwa mu kitabo kyE eky’Omwana gw’endiga eky’Obulamu ng’ensi tennatandikibwawo. N’olwekyo tujja kubeera mu maaso ga nnamulondo yE emisana n’ekiro okumuweereza mu yeekaalu yE. Ye ffe abantu ba Mukama waffe abafuna okufiibwako okw’enjawulo; ye ffe Mugole wE.
Tujja kuba n’erinnya eppya okuyita mu kufuna erinnya lyE. Lijja kuba linnya erituweebwa ng’Atutwala gy’Ali. Tujja kuba Mukyala Yesu Kristo wE.
Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva ewa Katonda okuva mu ggulu, Omugole ayonjereddwa bba. Tewaliba kufa nate, ennaku wadde okukaaba.Wadde okuddamu okuwulira obulumi nakyo tekiribaayo kubanga eby’olubereberye biweddewo. Ebisuubizo bya Katonda byonna eby’ekitalo birituukirizibwa. Enkyukakyuka eno erimalirizibwa. Omwana gw’Endiga n’Omugole wE bajja kusenga emirembe gyonna mu bintu bya Katonda ebituukirivu byonna.
Mukyala Yesu Kristo omwagalwa, KIROOTE KO. Kijja kuba kya kitalo nnyo okusinga bw’oyinza okulowooza.
Nnyaniriza buli muntu okujja okutwegattako ku Ssande eno ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (z’essaawa bbiri ez’ekiro e Uganda), nga Bbaffe, Yesu Kristo, ayogera ng’Ayita mu mubaka we malayika ow’omusanvu ow’amaanyi era ng’Atubuulira ebintu bino byonna.
Owol. Joseph Branham
Obubaka: Omulembe Gw’Ekkanisa y’e Firaderufiya 60-1210