Obubaka: 65-1205 Omulembe Gw’Ekkanisa ya Efeso
- 24-1020 Omulembe Gw’Ekkanisa ya Efeso
- 23-0430 Omulembe Gw’Ekkanisa ya Efeso
- 20-1108 Omulembe Gw’Ekkanisa ya Efeso
- 19-0120 Omulembe Gw’Ekkanisa ya Efeso
- 16-0313 Omulembe Gw’Ekkanisa ya Efeso
Omugole Omutuufu Omwagalwa,
Nga ekiseera kya kitalo kye tulimu ng’Obulamu bwe bukulukutira era nga bukubira entunnuunsi munda mu ffe era okuyita mu ffe, nga butuwa obulamu. Awatali Ye, tewandibaddewo bulamu. Ekigambo kye gwe mukka gwaffe gwennyini.
Mu lunaku luno olubi oluteeka okunenyezebwa olw’ekizikiza, yeffe kibinja kye eky’omulembe ogusembayo ekiyimuseewo; Omugole we omutuufu ow’olunaku olw’oluvannyuma ajja okuwuliriza Omwoyo yekka, Eddoboozi lya Katonda eri olunaku lwaffe.
Nga twagala nnyo okuMuwulira ng’Atugamba nti, “Eri nze, mugeraageranyizibwa ku zaabu omulongoofu akubiddwa. Obutuukirivu bwammwe bwe butuukirivu bwange. Ebikula byammwe bye bikula byange eby’ekitiibwa. Mmwe Mugole Wange Omutuufu omwagalwa.”
Entalo zaffe nga bwe zirabika okuba nga zeeyongera okukaluba buli wiiki, tunyiga bunyizi Zannya okuMuwulira ng’Ayogera naffe mu ngeri empoomu ennyo n’Atugamba nti, “Temweraliikirira, musaanira enjiri Yange. Muli kintu ekirungi era eky’essanyu. Nyumirwa okubalaba nga muwangula omulabe olw’ebigezo byammwe n’okugezesebwa okw’obulamu buno.”
Ndaba okutegana kwammwe okw’okwagala; kwe kuyita okwa waggulu okw’obulamu bwammwe okumpeereza. Namanya nga ensi tennatandikibwawo nti mujja kutegeera malayika Wange ow’amaanyi gwe nnaaba nsindikise okubeera Eddoboozi lyange gyemuli; engeri gye mutalirimbibwa ng’emisege emikambwe gizze ne gibeezingako nga gigezaako okwewozaako nti girina okubikkulirwa okwenkanankana. Mwali temuli ba kuva ku Kigambo kyange, wadde okumala akaseera akatono, WADDE EKIPIMO EKITONO NNYO EKIZIBU OKULABA. Mwali ba kusigala n’Ekigambo kyange, Eddoboozi lyange.
Mwali ba kutegeera nga bwe mbabikkulira Ekigambo kyange engeri Omuzabbibu Ogw’amazima n’omuzabbibu ogw’obulimba egyatandikira mu Lusuku Adeni bwe gyali gigenda okukulira awamu okuyita mu mirembe gyonna.
Buli ekyatandikira mu kkanisa eyasooka bwe kyali kigenda okweyongerayo okuyita mu buli mulembe gwonna. Engeri mu mulembe gw’ekkanisa ogwasooka, omuzabbibu gwa Sitaani ogw’obulimba gye gwali gujja okutandika okusenserra okuyingira mu, n’okuwangula ekibiina (abagoberezi) okukyeddiza nga gukozesa omwoyo gwagwo ogw’ekinikolayiti . Naye nga bwennyumirwa nti ggwe wekka , Omugole Wange omulonde, ggwe atajja kulimbibwa.
Wiiki eno, nja kunaazaawo buli kubuzaabuza kwonna okwetoolodde Ekigambo kyange mu mmwe nga mbikkula ekyama ekikulu eky’ensigo y’omusota. Ŋŋenda kubabikkulira mu buli bulambulukufu bwonna ekyaliwo mu lusuku Adeni; engeri Sitaani gye yatabula olulyo lwe mu lulyo lw’omuntu.
Kijja kuba kirowoozo ekibudaabuda omutima ennyo kityo bwe mukitegeera nti Nze, Omuti gw’Obulamu mu Lusuku Adeni, ogwali gutatuukikako okutuusa kati olw’okugwa kwa Adamu, kati gubaweereddwa mmwe, abawanguzi baNge.
Eno y’ejja okuba empeera yammwe. Nja kubawa omukisa ogw’olusuku lwa Katonda; okussanga ekimu nange buli kiseera. Temulyawukanyizibwa nange. Gye ηηenda, ggwe, Omugole Wange gy’onoogenda. EkyaNge, nja kukigabana naawe, omwagalwa waNge.
Engeri emitima gyaffe gye gitukubira okumu-kumu munda mu ffe nga tusoma ebigambo bino. Tukimanyi nti okutuukirira kw’ebisuubizo bye kusembera mangu, era kumpi tetusobola kulinda. Ka twanguye okugondera Ekigambo kye era bwe tutyo tulage nti tusaanidde okugabana ekitiibwa kyE.
Njagala okubawenyeza okujja okutwegattako nga tweyongerayo n’okuyiga kwaffe okukulu okw’Emirembe gy’Ekkanisa Omusanvu, Katonda gy’Atubikkulira Ekigambo kye nga Akozesa Ekkubo lyE lye Yatuwa, omubaka we malayika ow’omusanvu.
Owol. Joseph Branham
Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda).
60-1205 Omulembe gw’Ekkanisa y’e Efeso