Obubaka: 65-0217 Omussajja Ng’adduka Okuva Mu Maaso Ga Mukama
- 26-0222 Omussajja Ng’adduka Okuva Mu Maaso Ga Mukama
- 24-0526 Omussajja Ng’adduka Okuva Mu Maaso Ga Mukama
- 22-1030 Omussajja Ng’adduka Okuva Mu Maaso Ga Mukama
Abaana b’endiga abaagalwa,
Nga kitiibwa n’omukisa okugamba nti, “Ffe tuli baana ba ndiga ba Katonda, be yatumira malayika we ow’omusanvu okutukoowoola n’okutuliisa Manu ye eyaterekebwa era eyakwekebwa.”
Tuli bamativu era tukkiriza nti Obubaka buno lye Ddoboozi lya Katonda eryasindikibwa okutuukiriza Omugole we. Tukkiriza nti ekisusuku kyesika okuva ku ŋŋaano, era kati Omugole We agalamidde mu Maaso g’Omwana, ANYIGIZA ZZANNYA okwengera.
Era ekyo kyekituleta wano, mukwano, sigala mu Maaso g’Omwana okutuusa akabinja kaffe akatono ak’abantu wano, okutuusa lwe kafuuka akegefu ennyo eri Kristo, lwe kafuuka omugaati ku mmeeza ye. Ekyo kye njagala kakole.
Omuntu yenna atakkiririza nti OKUNYIGA ZZANNYA n’okuwulira Eddoboozi lya Katonda erikakasibwa nga lyogera lye ddoboozi erisinga obukulu ly’olina okuwulira, muntu yo adduka okuva mu maaso ga Mukama.
Olina okukisisikana, oba okubaako ky’okikola. Olina obuvunaanyizibwa, buli muntu alina, era olina okwolekagana n’ebintu bino.
Nga ekijuliziddwa kino kituufu era kikulu nnyo olwa leero. Waliwo enjawukana nnyingi nnyo mu baayitibwa aba Katonda. Kyakinzo nnyo okuzanya entambi mu kkanisa okuwulira Eddoboozi lya Katonda, oba kati kyetaagisa nnyo obuweereza okuweereza Ekigambo?
Katonda ayise n’ateeka obuweereza wano okukuuma Ekigambo mu maaso g’abantu. Bano Basumba. Ekigambo kikiyigiriza. Balina okuweebwa ekitiibwa n’okuweebwa ekitiibwa ng’abasajja Katonda be yayita n’abateekawo.
Tetusobola, era tetulina kugamba nti bo si Mugole. Ekyo KIKYAMU era tekili okusinziira ku nabbi bye yatuyigiriza. Mpulidde abantu nga bagamba nti: “Bwe baba te bazanya entambi mu masinzizo gaabwe, baba bawakanya Kigambo.” Tolina kwogera kintu ng’ekyo. Ekyo kindaga nti olina omwoyo omukyamu.
Nze mpulidde abalala nga bagamba nti, “Bonna balina kweyunga ku BT oba si ekyo bavudde mu kwagala kwa Katonda”. Tolina kwogera kintu ng’ekyo. Katonda yekka y’amanyi ani ali n’atali Mugole. Ogwo si gwe mwoyo gw’Omugole okwogera ekintu ng’ekyo.
N’abamu ku bantu abeyuunga ku BT bagamba nti, “bw’ogenda mu kkanisa okuwulira entambi n’otazzanyira mu maka go oba okyamu!” Ekyo si kituufu muganda wange ne bannyinaffe. Bw’oba oyogera bw’otyo, Lekelaawo, oli mukyamu. Buli muntu alina okukola nga BWEWULIRA MUKAMA BW’AMULUŊŊAMIZZA OKUKOLA.
Abaweereza bangi bawulira nti okubuulira lye kkubo Katonda lye taddewo leero. Ffe bintu tubilamuko mugeri eye njawulo, ekyo ekituufu. Ow’oluganda Branham yakola okugeraageranya kuno kwe kumu emirundi emeka? Twaakamuwulira mu Q&A, abantu bwe baali boogera ku w’oluganda Jackson nti mukyamu, yabannenya nga boogera ekintu kyonna ekimunnenya n’ekkanisa ye.
Nze mbuulira kyokka nga mpita mu bbaluwa eno kye nzikiriza nti lye kkubo Katonda lye yateekawa eri Weema ya Branham. Bano baganda baffe ne bannyinaffe. Baagala nnyo Mukama n’Obubaka buno. Bw’ebatyo bwe bawulira nti Mukama bw’abakulembedde. Mukama Mutendereze.
Bakiraba mu ngeri emu ate ffe ne tukiraba mu ngeri endala,tekirina buzibu. Sisobola kukiraba mu ngeri yaabwe era nabo tebasobola kuraba kyange. Eri nze, waliwo engeri nnyingi Katonda z’atuwadde, naye waliwo ENGERI EMU yokka ENTUUFU, ERA KU NZE, EYO KWE KUNYIGA ZZANNYA.
Nsaba wano sitegeerwa bubi. Okuteekako emikono n’okusabira abantu kituufu100% okusinziira ku Kigambo. Okufuka amafuta n’okusabira abalwadde kigambo kya Katonda okusinziira ku Byawandiikibwa. Ow’oluganda Branham yabuulira era n’atuyigiriza nti byombi Ekigambo. Naye njagala EKKUBO LYE KATONDA ERI TUUKIRIDDE LYA TADDEWO…. NKKIRIZA BUKKIRIZA KUBANGA KATONDA YAYOGERA BWATYO. Ekyo kye nfuba okukola.
Naye kati olw’okuwona, kusaasira kwa Katonda kwokka nti Ye, “Mu miggo gye mwawonyezebwa.” Kati, okusooka Ekigambo kigamba bwe kityo, ekyo kimala, naye bw’oba tokikkiriza mu Kigambo, olwo waliwo ebirabo mu Kkanisa, gamba ng’abasajja abaluŋŋamizibwa okumanya engeri y’okuyigiriza ekyo, ekyo ekijja kukifuula nga kitegeerekeka ennyo gy’oli, ekyo, n’okukkiriza obukkiriza.
Nzikiriza mu buweereza obw’emirundi 5. Nzikiriza Katonda yayita abasajja okubuulira n’okuyigiriza Ekigambo. Naye, nzikiriza nti okuwulira Eddoboozi lya Katonda ku entambi y’engeri ya Katonda ETUUKIRIDDE GYE NDI.
Mu kuwulira entambi, silina na kubitegeera, NZIKIRIZA BUKKIRIZA BULI KIGAMBO KYE MPULIRA. Tewali muntu, tewali muweereza, tewali kifo kirala kye nsobola kugendamu gye nzikiriza BULI KIGAMBO ne nteeka etuuko yange ey’Emirembe n’Emirembe, wabula entambi.
Tewali n’akatono okuva ku ntandikwa y’ebiseera Katonda nga awa abantu be omukisa n’obusobozi okwewulira ku lwabwe Eddoboozi lye nga lyogera mimwa ku kutu. Buli kyama kibikkulwa mu entambi. Buli kibuuzo kiddibwamu ku entambi. Buli Mugole ky’ayetaaga okutuukirizibwa kiri ku entambi.
Buli Kigambo ekyogerwa ku entambi kigambo kya Katonda. Nnyinza obutategeera oba obutasobola kunnyonnyola buli kimu, naye silina kukikola. Yeetaaga kyokka okugamba AMIINA KU BULI KIGAMBO, era NTAMBI kye kifo KYOKA kye nsobola okukorela ekyo.
Naye bwe —bw’oba olina okukola ekintu eky’enjawulo, bw’oba olina okuyimirira kwekyo kyokkiriza kw’ekyo ky’omanyi nti Mazima, awo awali ekitundu ekizibu, ekyo we kiva okusiiga wekugila, awo wennyini.
Nzikiriza n’ebyo byonna ebiri mu nze, tuli mu Kwagala kwa Katonda okutuukiridde era ku mmeeri egenda e Nineeve. Njagala nnyo ensi okujja okusaabala ku mmeeri yaffe naffe ku Ssande eno ku ssaawa 12:00 P.M., mu budde bwa Jeffersonville, nga bwe tuwulira Katonda ng’ayogera n’Abaana b’endiga be.
Ow’luganda. Joseph Branham
Obubaka: 65-0217 “Omusajja nga dduka Mu maaso Ga Mukama”.
Ebyawandiikibwa by’olina okusoma:
Yona 1:1-3
Malaki 4.
Omutukuvu Yokaana 14:12
Lukka 17:30