25-1130 Omulimu Ogw’ekikugu

Obubaka: 64-0705 Omulimu Ogw’ekikugu

BranhamTabernacle.org

Omulimu ogw’ekikugu ogwa Katonda abagaalwa,

Obulamu bwonna obw’amazima obwali mu kikolo, mu luyange, n’ekikuta, kati bukuŋŋaana mu ffe, Ensigo ya Katonda ey’Obwakabaka, Emirimu gye egy’ekikugu, era gitekeddwatekeddwa ku lw’okuzuukira, nga betegefu okukungula.

Alpha afuuse Omega. Ekisooka kifuuse ekisembayo, ate ekisembayo kati kye kisooka. Tuyise mu nkola era tufuuse Emirimu gye gy’ekikugu, ekitundu ekikubiddwa okuva ku Ye.

Omugole nnaawasa Omugole Omu!

Katonda yalaga nnabbi we okusooka okulaba buli omu ku ffe, Emirimu gye egy’ekikugu, mu kwolesebwa. Nga ayimiridde awo ne Mukama ng’atunuulira Omugole ng’ayita mu maaso ge.
Yalaba buli omu ku ffe.

FFEnna TWAMWEKALIRIZA amaaso gaffe. Yagamba nti ffe abantu abasinga okulabika obulungi be yali alabye mu bulamu bwe. waaliwo empewo ku ffe. Twamulabikira bulungi nnyo gy’ali.

Jjukira nti kino kyali KWOLEBWA kw’Omugole; Engeri gye yandifaananyemu, n’okutubuulira ddala kye yali akola. Wuliriza bulungi.

Ajja kuva mu mawanga gonna, ajja kukola Omugole. Buli omu yalina enviiri empanvu, era nga talina meekaapu, abawala abalungi ddala. Era baali bantunuulira. Ekyo kyali kikiikirira Omugole ng’ava mu mawanga gonna. Okilaba? Ye, buli omu yali akiikirira eggwanga, nga bwe batambula nga bakwatagana bulungi n’Ekigambo.

Omugole, kanzzilemu okwogera ekyo, OMUGOLE, okuva mu buli ggwanga baali batunnulidde omusumba waabwe, ku kibiina ky’abasajja….NEEDDA, ekyo si kyali yagamba. Baali batunnulidde NABBI, nga bamutunuulira.

Kasita bakuumira eriiso lyabwe ku nnabbi, baali batambula bulungi. Naye ate n’atulabula, waliwo ekyaliwo. Abamu baamuggyeko amaaso ne batandika okulaba ekintu ekirala ekyamala okufuluma mu kavuyo.

Era, awo, nnina okumutunuulira. Omukyala ajja okuva mu lunyilili olwe kigambo singa simutunuulire, nga Ayitawo, singa Bwayitawo. Mpozzi kijja kuba kiseera kyange, nga mmaliliza, laba, nga mmaze, oba kyonna.

Yalina okumutunuulira, oba si ekyo ajja kuva mu kkubo nga bw’ayitawo. Naye ate agamba nti osanga kiyinza okuba nga kye kiseera kyange, nga mmaliliza, nga siri wano, Bayinza okuva mu kkubo olwo butamukuumirako maaso gaabwe.

Yali alabula bulungi OMGOLE, Olina okukuumira amaaso go ku Ddoboza lya Katonda ku ntambi. Elyo lye kkubo Katonda lyatadewo leero.

Elyo lye Eddoboozi erigenda okugatta n’okutuukiriza Omugole. Bw’oggya amaaso go n’amatu go ku Eddoboozi, Ojja kuva mu layini era ogende mu kavuyo.

Buli Bubaka bweyongera okutegeerekeka obulungi. Ye Katonda ow’amaanyi abikkulwa mu maaso gaffe, ng’aliisa Omugole we Emanu enkweke gye tusobola okulya yokka. Elimu emilisa kingi nnyo eri abalala bonna, naye Mmere Eyakwekebwa eri Omugole.

Nga Kwebaza Omugole kw’alina, ng’alya ekijjulo ku Kigambo, ng’afuuka Omugole w’Ekigambo kye ekituukiridde.

Ayimiridde yekka, okufaananako Omugole omusajja, “agaanibwa abantu, anyoomebwa n’agaanibwa amakanisa.” Omugole ayimiridde bw’atyo. Kiki? Ggwe Mulimu gwe Ogw’ekikukugu, laba, kye Kigambo ky’asobola okukoleramu, okweyoleka. Okugaanibwa!

Jjangu otwegatteko ku Ssande ku ssaawa 12:00, obudde bwa Jeffersonville, nga nze ssaawa bbiri eze kkiro e Uganda nga Katonda ayogera ng’ayita mu malayika we ow’amaanyi, n’atusala n’okutuloogosa okufuuka Okufuna Omulimu gwe ogw’ekikugu eri Katonda.

Muganda waffe. Joseph Branham

Obubaka: 64-0705 Omulimu ogw’ekikugu


Ebyawandiikibwa by’olina okusoma nga tonnaba kuweereza:
Isaaya 53:1-12
Malaki 3:6
Matayo Omutukuvu 24:24
Makko Omutukuvu 9:7
Yokaana Omutukuvu 12:24
Yokaana Omutukuvu 14:19