25-0928 Ekiseera Ky’Okwegatta n’Akabonero Kaakyo

Obubaka: 63-0818 Ekiseera Ky’Okwegatta n’Akabonero Kaakyo

PDF

BranhamTabernacle.org

Omugole Agatiddwa Awamu omwagalwa,

Nsanyuse nnyo, era ndi wansi w’okusuubira okunene nnyo kuti, okubeera ekitundu ku byonna Katonda by’Akola mu kiseera kyaffe. Ebirowoozo bya Katonda byeYalina ku lubereberye kati bituukirizibwa mu maaso gaffe, era tuli kitundu ku byo.

Mu Baibuli yonna, bannabbi baalagula era ne boogera ebyali bigenda okubaawo. Oluusi obunnabbi obwo tebwatuukirira okumala ebikumi n’ebikumi by’emyaka, naye okutuukirira kw’ebiro bwe kwatuuka, byatuukiriranga; kubanga ekirowoozo kya Katonda ekyogeddwa okuyita mu nnabbi wE KIBA KIRINA okutuukirira.

Nabbi Isaaya yagamba nti, “embeerera eriba olubuto”. Buli nju y’Abaebbulaniya yateekateeka muwala waabwe omuto okuzaala omwana ono. Baamuguliranga engatto ezikoma ku kisinziiro n’ezituuka ku ntumbye, ne bu nnappi, ne beetegekera omwana okujja. Emirembe gyayitawo, naye ku nkomerero Ekigambo kya Katonda kyatuukirira.

Bwe nnali omulenzi omuto nga nkula nneebuuzanga bulijjo, Mukama, ndaba mu Kigambo Kyo nti bulijjo ogassenga abantu bo awamu okutuukiriza Ekigambo kyO. Wagatta abaana Bo Abebbulaniya awamu nga okozesa omusajja omu, Musa, eyabakulembera n’empagi ey’omuliro okutuuka mu nsi ensuubize.

Bwewafuuka omubiri n’obeera wano ku nsi, wagatta abayigirizwa bo. Wabayawula ku buli kintu na buli muntu okubabikkulira Ekigambo kyo. Ku lunaku lwa Pentekooti, Waddamu n’Okukuŋŋaanya Ekkanisa Yo mu kifo kimu, mu ndowooza emu era mu mutima gumu nga tonnajja obawe Omwoyo Wo Omutukuvu.

Nalowoozanga nti, ekyo kiyinza kitya okusoboka leero Mukama? Omugole wO asaasaanidde wonna mu nsi yonna. Omugole yenna anajja e Jeffersonville? Ekyo sisobola kukiteebereza nga kigenda mu maaso Mukama. Naye Mukama, Tokyusa nteekateeka Yo. Ge Mateeka Go, tewali ngeri yonna gyegayinza kuyimirizibwa. Onaakikola otya?

EKITIIBWA…LEERO, tusobola okulaba n’amaaso gaffe, n’ekisinga obukulu, NGA TULI KITUNDU KU KYO: Ekigambo kya Katonda ekitaggwawo nga kituukirira. Tetuli mu kifo kimu mu mubiri, tusaasaanidde mu nsi yonna, wabula Omwoyo Omutukuvu KAAKANO AGASSE OMUGOLE WE AWAMU NGA AYITA MU DDOBOOZI LYA KATONDA. EKIGAMBO KYE EKYAYOGERWA ERA NE KIKWATIBWA KU NTAMBI, Abusoluuti wa Katonda ow’olwaleero, ali mu kukuŋŋaanya N’OKUGATTA MUGOLE WE… ERA TEWALI KIYINZA KUKIYIMIRIZA.

Katonda ali mu kugatta Omugole wE. Ali mu kujja wamu, okuva mu Buvanjuba n’ebugwanjuba, n’obukiikakkono n’obukiikaddyo. Eriyo ekiseera eky’okwegatta, era ekyo kye kiriwo mu kiseera kino. Ali mu kwegattira ki? Okukwakkulibwa. Amiina!

Ekiseera eky’okwegatta kigenda mu maaso KATI!!! Kiki ekiri mu kutugatta? Omwoyo Omutukuvu nga Akozesa Ekigambo kyE, Eddoboozi lyE. Kiki kye twegattira? OKUKWAKKULIBWA!!! Era ffenna tugenda era tetuleka muntu N’OMU mabega.

Katonda ali mu kumuteekateeka omukyala oyo. Yee ssebo, okwegatta awamu! Omukyala oyo ali mu kwegatta na ki? Na Kigambo!

Ekigambo ky’olunaku lwaffe kye kiruwa? OBUBAKA buno, EDDOBOOZI LYE, Eddoboozi lya Katonda eri Omugole wE. Si musajja omu. Si abasajja abamu. Si kibiina. EDDOBOOZI, eryakakasibwa Empagi y’Omuliro obutalekaawo kabuuza, erya Katonda ku ntambi.

“Kubanga waggulu ewabeera eby’omu bbanga yonna, awamu n’ensi biriggwaawo, naye Ekigambo kyange tekijja kuggwaawo.” Ali mu kwegatta awamu ne BW’ATYO BW’AYOGERA MUKAMA nga tafuddeeyo ku kiki eddiini yonna oba omuntu omulala yenna ky’ayogera.

Nga tetufuddeeyo ku MUNTU YENNA ky’ayogera, tuli mu kwegatta n’eddoboozi eryakakasibwa, eryakakasibwa obutaleekawo kabuuza, eriri Bw’Atyo bw’Ayogera Mukama ery’olunaku lwaffe. Si okuvvuunula kwa muntu; nga lwaki tukola ekyo? Okwo kukyuka na buli musajja, naye Eddoboozi lya Katonda ku ntambi TERIKYUKA era Lirangiriddwa Empagi y’Omuliro yennyini okuba Ekigambo kya Katonda era Eddoboozi lya Katonda.

Obuzibu obukirimu buli nti, ekitonde omuntu, tekimanyi mukulembeze waakyo. Weewaawo, ssebo. Bajja kukuŋŋaana okwetoloola eddiini, bajja kukuŋŋaana okwetooloola omulabirizi oba omusajja yenna, wabula tebajja kukungaana kwetoloola Omukulembeze oyo, Omwoyo Omutukuvu mu Kigambo. Okiraba? Bagamba nti, “Oo, kale, nneerariikiridde okucamuukirira ennyo nkole ebintu nga ssibirowoozezzaako; nneerariikiridde ekissa ekigere awantu awakyamu.” Ohhhh, kiikyo awo!

Wano ababanoonyamu ensobi we basonga ebibiina byabwe ne bagamba nti, “Olaba, bali mu kugulumiza muntu, Ow’oluganda Branham. Bakkiririza mu bulamba bwa Katonda obukyamu era bali mu kumwekuŋŋaanyirizaako, omuntu, so si Omwoyo Omutukuvu.”

Butaliimu, tuli mu kwegattira awamu ku DDOBOOZI LYA KATONDA ERYAKAKASIBWA OBUTALEKAAWO KABUUZA ERYAYOGERWA OKUYITA MU MUSSAJJA OYO. Jjukira nti oyo ye musajja Katonda gwe yalonda okubeera Eddoboozi lye okukoowoolayo n’okukulembera Omugole wE mu lunaku luno. Eyo lye ddoboozi LYOKKA eryakakasibwa Katonda yennyini obutalekaawo kabuuza.

Naye okwawukana ku ekyo, BO BALI MU kwegatta okwetoloola ABANTU. TEBAJJA kuzannya Ddoboozi lya Katonda ku ntambi mu masinzizo gaabwe. Ekyo osobola okukiteebereza??? Omuweereza nga agamba nti akkiririza Obubaka buno okuba Obubaka bw’ekiseera, Bw’Atyo Bw’Ayogera Mukama, naye n’afunayo eky’okwekwasa eky’engeri emu OBUTAZANNYA Ddoboozi eryo mu masinzizo gaabwe, wabula n’aweereza abantu nti BATEEKEDDWA okumuwuliriza wamu n’abaweereza abalala nga babuulira Ekigambo… olwo ne bagamba nti ffe tugoberera omusajja !!!

Twaakawulira Ssande ewedde Katonda kyeyabakola abasajja abo!!

Tuli mu kwetegekera Embaga. Tuli mu kufuuka Omu naye. Ekigambo kifuuka ggwe, naawe n’ofuuka Ekigambo. Yesu yagamba nti, “Ku lunaku olwo mulikimanya. Byonna Kitange by’Ali, mbiri; ne byonna nze bye Ndi, mu-biri; na byonna byemuli, mbiri. Ku lunaku olwo mulimanya nti ndi mu Kitange, Kitange mu Nze, nze mu mmwe, nammwe mu Nze.”

Webale Mukama olw’okubikkulirwa okw’ekyo ky’Oli, naffe kye tuli, mu kiseera kyaffe. Omugole Wo ali mu kwetegeka nga Akozesa Ekigambo Kyo Ekyayogerwa. Tukimanyi nti tuli mu Kwagala Kwo okutuukiridde nga tusigala n’Ekigambo Kyo ekyakwatibwa ku lutambi.

Mpita ensi okuwuliriza Eddoboozi lya Katonda eryakakasibwa obutalekaawo kabuuza lyokka olw’olunaku lwaffe Ssande eno. Oyanirizibwa okutwegattako Ssande ku ssaawa 6:00 (mukaaga) ez’omuttuntu, mu budde bw’ e Jeffersonville (y’essaawa emu ey’omu kawungeezi e Uganda), nga bwe tuwulira: 63-0818, Ekiseera Eky’Okwegatta N’Akabonero Kaakyo. Bw’oba tosobola kweyunga ku mukutu oguweereza eddoboozi mu buliwo n’owuliriza naffe, londa olutambi, OLUTAMBI LWONNA; zonna ziri Bw’Ati Bw’Ayogera Mukama, era owulirize Ekigambo kya Katonda nga kikutuukiriza era n’okukuteekateekera okujja kwE okw’amangu.

Owol. Joseph Branham

Zabbuli 86:1-11
Omut. Matayo 16:1-3

Ali mu kwegatta awamu. Ali mu kwetegeka. Lwaki? Ye Mugole. Ekyo kituufu. Era ali mu kwegatta awamu n’Omugole We omusajja, laba, era Omugole omusajja ye Kigambo. “Ku lubereberye waaliwo Kigambo, Kigambo n’aba awali Katonda, Kigambo n’aba Katonda, Kigambo n’afuuka omubiri, n’abeerako gye tuli.”