Obubaka: 63-0707M Okuvunaana
Ekkooti B’Eggyeeko Omusango Ogubalumirizibwa Abaagalwa,
Kati, awo, “bo,” so si mwonoonyi. “Bo,” kwe kugamba, ekkanisa y’olunaku olwo, baasanga ensobi ku Musajja Eyali Kigambo. Ekyo kituufu? Baasanga ensobi ku Musajja Eyali Kigambo. Kaakano basanga ensobi mu Kigambo ekiri mu kukola emirimu nga kiyita mu musajja .
Okuva ku lubereberye ensi yaMumma amazzi, yaMugaana, yajeema okusigala n’Ekigambo kyE nga ekuuma obulombolombo bwayo, ebikwate byabwe, ebirowoozo byabwe. Bulijjo balemereddwanga okuteeba enteekateeka ya Katonda w’eri awatuufu; Katonda, nga Omuntu ow’oku nsi, oyo alina Ekigambo, era nga Ekigambo ekyo kaakano kikolera emirimu gyakyo mu musajja oyo.
Naye mu lunaku lwaffe Yagamba nti, “Nja kuba n’akabinja akatono, abatono abalonde. Baali mu Nze okuva ku lubereberye. Bajja kuNsembeza era bakkirize Ekigambo kyaNge n’omusajja gwe nnonze okubikkula Ekigambo kyaNge. Y’ajja okuba Eddoboozi lyaNge gye bali.”
“Tebajja kukwatibwa nsonyi kulangirira Eddoboozi lyaNge. Tebajja kukwatibwa nsonyi kutegeeza nsi nti Nzize nate era Nneeyolesezza nga mpita mu mubiri gw’omuntu ow’oku nsi nga bwe nnagamba nti ndikola. Ku mulundi guno tebajja kusinza musajja, wabula bajja kusinza Nze, Ekigambo, ekigenda okwogera nga kiyita mu musajja oyo. Bajja kunjagala era baNnangirire na buli kaayi akali mu mubiri gwabwe.”
“Bwentyo, mbawadde byonna bye beetaaga okufuuka Omugole waNge. Mbeetoolozza ekigo nga ky’Ekigambo kyaNge, kubanga BE KIGAMBO KYANGE ekifuuse omubiri. Bwe baba beetaaga okuwonyezebwa, bajja kwogera Kigambo kyaNge. Bwe baba n’omusanvu gwonna ogubaziyiza, boogera Ekigambo kyange. Bwe baba n’omwana aseseetuddwa amayengo g’ensi ne gaMubaawulako, boogera Ekigambo kyaNge. Kyonna kye beetaaga, boogera Ekigambo kyaNge, kubanga be Kigambo kyaNge ekifuuse omubiri mu bo.”
“Bamanyi kye bali, kubanga Mbeebikkulidde. Basigadde nga ba mazima era nga beesigwa eri Ekigambo kyange era bali mu kwegatta awamu okwetooloola Eddoboozi lyaNge. Kubanga bamanyi Eddoboozi lyaNge, Ekigambo kyaNge, Omwoyo gwaNge Omutukuvu. Bamanyi, awali Ekigambo awo Empungu wezikuŋŋaanira.”
Nnabbi wE nga bw’ayogera Ekigambo kyE era ng’alumiriza omulembe guno okukomerera Yesu Kristo omulundi ogw’okubiri era n’abalangirira nti ebyabwe bibi (kaaweddemu dda), Omugole ajja kuba musanyufu. Kubanga tukimanyi nti YEFFE Mugole wE asembezza era ayanirizza Ekigambo kyE. Tuleekaana okuva ku ntobo y’omutima gwaffe ne tugamba nti:
Nze ndi Wuwo Mukama. Nneyala ku kyoto kino, nga nneewaddeyo ddala eri omulimu gwo nga bwe mmanyi okukikola. Njijaamu ensi Mukama. Ebintu ebivunda kaseera buseera binzijeeko; mpa ebitavunda, Ekigambo kya Katonda. Leka nsobole okutambulira mu bulamu bw’Ekigambo ekyo nga nsembereganye nabwo nnyo, okutuusa Ekigambo lwe kinaaba mu nze, nange mu Kigambo. Kimpe Mukama. Nnemenga okukyuka okuKivaako.
Eriyo obulamu, eriyo n’okufa. Eriyo ekkubo ettuufu, eriyo n’ekkubo ekkyamu. Eriyo amazima, eriyo n’obulimba. Obubaka buno, Eddoboozi lino, lye kkubo lya Katonda erituukiridde lye Yateekawo kulw’olwaleero. Jjangu weegatte ku kitundu ky’Omugole wa Katonda ow’amaanyi nga bwe tukuŋŋaana okwetooloola Ekigambo kye ekyabikkulirwa n’okuwulira Obubaka: Okulumirizibwa Omusango 63-0707M.
Owol. Joseph Branham